Chronological
Ebigambo eby’Essuubi
40 (A)Mugumye, mugumye abantu bange,
bw’ayogera Katonda wammwe.
2 (B)Muzzeemu Yerusaalemi amaanyi mumubuulire nti,
entalo ze ziweddewo,
n’obutali butuukirivu bwe
busasuliddwa.
Era Mukama amusasudde emirundi ebiri
olw’ebibi bye byonna.
3 (C)Eddoboozi ly’oyo ayogera
liwulikika ng’agamba nti,
“Muteeketeeke ekkubo lya Mukama mu ddungu,
mutereeze oluguudo lwe mu ddungu.
4 (D)Buli kiwonvu kirigulumizibwa,
na buli lusozi n’akasozi ne bikkakkanyizibwa.
N’obukyamu buligololwa,
ebifo ebitali bisende ne bitereezebwa.
5 (E)Ekitiibwa kya Mukama kiribikkulwa,
ne bonna abalina omubiri balikirabira wamu,
kubanga akamwa ka Mukama ke kakyogedde.”
6 (F)Ne mpulira eddoboozi nga ligamba nti,
“Yogera mu ddoboozi ery’omwanguka.”
Ne ŋŋamba nti, “Nnaayogera ki?” Ne linziramu nti, gamba nti,
“Abantu bonna bali nga muddo, n’obulungi bwabwe bumala ennaku ntono ng’ebimuli eby’omu nnimiro.
7 (G)Omuddo guwotoka, ekimuli kiyongobera,
omukka gwa Mukama bwe gugufuuwako.
Mazima abantu muddo.
8 (H)Omuddo guwotoka, ekimuli kiyongobera,
naye ekigambo kya Katonda waffe kibeerera emirembe gyonna.”
9 (I)Ggwe abuulira Sayuuni ebigambo ebirungi,
werinnyire ku lusozi oluwanvu;
ggwe abuulira Yerusaalemi ebigambo ebirungi,
yimusa eddoboozi lyo n’amaanyi, liyimuse oyogere, totya.
Gamba ebibuga bya Yuda nti, “Laba Katonda wammwe ajja!”
10 (J)Laba, Mukama Katonda ajja n’amaanyi mangi
era afuga n’omukono gwe ogw’amaanyi ag’ekitalo.
Laba empeera ye eri mu mukono gwe,
buli muntu afune nga bw’akoze.
11 (K)Aliisa ekisibo kye ng’omusumba,
akuŋŋaanya abaana b’endiga mu mukono gwe
n’abasitula mu kifuba kye,
n’akulembera mpola mpola ezibayonsa.
12 (L)Ani eyali ageze amazzi g’ennyanja mu kibatu kye,
n’apima eggulu n’oluta,
n’apima enfuufu y’oku nsi mu kibbo,
oba n’apima ensozi ku minzaani,
n’obusozi ku kipima?
13 (M)Ani eyali aluŋŋamizza Omwoyo wa Mukama?
Ani ayinza okumuyigiriza n’amuwa amagezi?
14 (N)Ani gwe yali yeebuuzizzako amuwe ku magezi,
era ani eyali amuyigirizza ekkubo ettuufu?
Ani eyali amusomesezza eby’amagezi n’amulaga okuyiga,
n’okumanya n’okutegeera?
15 Laba amawanga gali ng’ettondo eriri mu nsuwa,
era ng’enfuufu ekutte ku minzaani,
apima ebizinga ng’apima olufuufu ku minzaani.
16 (O)N’ensolo zonna ez’omu kibira kya Lebanooni tezimala kubeera kiweebwayo eri Katonda waffe,
n’emiti gyamu gyonna mitono nnyo tegisobola kuvaamu nku zimala.
17 (P)Amawanga gonna ag’omu nsi
gabalibwa mu maaso ge,
gy’ali gabalibwa nga si kintu n’akamu.
18 (Q)Kale ani gwe mulifaananya Katonda?
Oba kifaananyi ki kye mulimugeraageranyizaako?
19 (R)Ekifaananyi ekyole omukozi akifumba,
n’omuweesi wa zaabu n’akibikkako zaabu,
n’akibikkako n’emikuufu egya ffeeza.
20 (S)Oyo omwavu atasobola kufuna ffeeza
oba zaabu afuna omuti omugumu ogutavunda
ne yenoonyeza omukozi omugezigezi
okusimba n’okunyweza ekifaananyi ekyole.
21 (T)Temunnamanya,
temunnawulira,
temubuulirwanga
okuva ku kutondebwa kw’ensi?
22 (U)Katonda atuula ku nsi enneekulungirivu,
era gy’ali abantu bali ng’amayanzi.
Atimba eggulu ng’olutimbe
era alibamba ng’eweema ey’okubeeramu.
23 (V)Afuula abafuzi obutaba kintu,
afuula n’abalamuzi mu nsi okuba ekitaliimu.
24 (W)Bali ng’ebisimbe ebyakamera biba bya kasimbibwa,
biba byakasigibwa,
biba byakaleeta emirandira,
nga abifuuwa nga biwotoka,
ng’embuyaga ebitwalira ddala ng’ebisasiro.
25 (X)“Kale mulinfaananya ani,
ani gwe mulinnenkanya?” bw’ayogera Omutukuvu.
26 (Y)Muyimuse amaaso gammwe mulabe ebiri ku ggulu.
Ani eyatonda ebyo byonna?
Oyo afulumya ebyaka eby’omu bbanga afulumya kina kimu,
byonna nga bwe biri, n’abiyita amannya gaabyo.
Olw’obukulu bw’obuyinza bwe era kubanga wa maanyi ga nsusso,
tewali na kimu kibulako.
27 (Z)Lwaki ogamba ggwe Yakobo era ne wemulugunya ggwe Isirayiri nti,
“Mukama tamanyi mitawaana gye mpitamu,
era tafaayo nga tuggyibwako
eddembe lyaffe ery’obwebange”?
28 (AA)Tonnamanya?
Tonnawulira?
Mukama, ye Katonda ataliggwaawo.
Omutonzi w’enkomerero y’ensi.
Tazirika so takoowa
era n’amagezi ge tewali n’omu ayinza kugapima.
29 (AB)Awa amaanyi abazirika,
n’oyo atalina buyinza amwongerako amaanyi.
30 (AC)Abavubuka bazirika, bakoowa,
n’abalenzi bagwira ddala.
31 (AD)Naye abo abalindirira Mukama
baliddamu buggya amaanyi gaabwe,
balitumbiira n’ebiwaawaatiro ng’empungu;
balidduka mbiro ne batakoowa,
balitambula naye ne batazirika.
Katonda Agumya Isirayiri
41 (AE)“Musirike mumpulirize mmwe ebizinga,
amawanga gaddemu amaanyi.
Mwetegeke okuleeta emisango gyammwe mu mbuga mujja kufuna obwogerero.
Tukuŋŋaane tulabeko omutuufu.
2 (AF)“Ani eyayita omuweereza we okuva mu buvanjuba,
eyamuyita akole emirimu gye amuweereze mu butuukirivu?
Ani eyamuwa obuwanguzi ku bakabaka ne ku mawanga,
n’abafuula ng’enfuufu n’ekitala kye,
obusaale bwe ne bubafuula ebisasiro
ebitwalibwa empewo?
3 N’agenda ng’abagoba embiro n’ayita bulungi mu makubo
ebigere bye gye by’ali bitayitanga.
4 (AG)Ani eyakola kino ng’ayita emirembe gy’abantu
okuva ku lubereberye?
Nze Mukama ow’olubereberye
era ow’enkomerero, nze wuuyo.”
5 (AH)Ebizinga by’alaba ne bitya;
n’ensi yonna n’ekankana: baasembera kumpi ne batuuka.
6 Buli muntu yayamba muliraanwa we ng’agamba nti;
“Guma omwoyo!”
7 (AI)Awo omubazzi n’agumya omuweesi wa zaabu omwoyo,
n’oyo ayooyoota n’akayondo
n’agumya oyo akuba ku luyijja
ng’ayogera ku kyuma ekigatta nti, “Nga kirungi,”
era ne bakikomerera n’emisumaali kireme okusagaasagana.
Isirayiri Yalondebwa Katonda
8 (AJ)“Naye ggwe Isirayiri omuweereza wange,
Yakobo gwe nalonda,
ezzadde lya Ibulayimu mukwano gwange,
9 (AK)ggwe, gwe naggya ku nkomerero y’ensi
ne nkuyita okuva mu bitundu by’ensi ebikomererayo ddala,
ne nkugamba nti, ‘Oli muddu wange,’
nze nakulonda so sikusuulanga:
10 (AL)Totya kubanga nze ndi wamu naawe;
tokeŋŋentererwa, kubanga nze Katonda wo.
Nnaakuwanga amaanyi.
Wewaawo nnaakuyambanga n’omukono ogwa ddyo ogw’obutuukirivu bwange.”
Isirayiri Alinnya ku Balabe be
11 (AM)“Laba, abo bonna abakukambuwalidde
balikwatibwa ensonyi ne balaba ennaku.
Abo abakuwakanya balifuuka ekitagasa
ne baggwaawo.
12 (AN)Olibanoonya abo abaakukijjanyanga
naye n’otobalaba.
Abo abaakulwanyisanga
baliggwaamu ensa.
13 (AO)Kubanga nze Mukama Katonda wo
akukwata ku mukono ogwa ddyo,
nze nkugamba nti,
Totya nze nzija kukuyamba.
14 Wadde ng’oli lusiriŋŋanyi
totya, ggwe Isirayiri,
kubanga nnaakuyamba,” bw’ayogera Mukama Omununuzi wo,
Omutukuvu wa Isirayiri.
15 (AP)“Laba ndikufuula ng’ekyuma ekiggya ekisala ennyo,
ekyogi eky’amannyo amangi.
Muliwuula ensozi ne muzimementulira ddala,
obusozi ne mubufuula ebisusunku.
16 (AQ)Oliziwewa empewo n’ezifuumula,
embuyaga ezifuumuka zizisaasaanye.
Era naawe olisanyukira mu Mukama,
era mu Mutukuvu wa Isirayiri mw’olyenyumiririza.”
Mukama Ayimusa Isirayiri
17 (AR)“Abaavu n’abali mu bwetaavu bwe baneetaganga amazzi
ne baganoonya naye ne gababula,
ate nga ennimi zaabwe zikaze,
nze Mukama ndibawulira,
nze Katonda wa Isirayiri siribaleka.
18 (AS)Ndikola emigga ku busozi obutaliiko kantu,
era n’ensulo wakati mu biwonvu.
Olukoola ndirufuula ennyanja,
n’eddungu lirivaamu enzizi z’amazzi.
19 (AT)Ndisimba mu lukoola omuvule ne akasiya,
omumwanyi n’omuzeyituuni,
ate nsimbe mu ddungu
enfugo n’omuyovu awamu ne namukago.
20 (AU)Abantu balyoke balabe bamanye,
balowooze
era batuuke bonna okutegeera nti omukono gwa Mukama gwe gukoze kino,
nti Omutukuvu wa Isirayiri yakikoze.”
Mukama Asoomooza bakatonda Abalala
21 (AV)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda gye muli mmwe nti,
“Mmwe bakatonda baamawanga, mujje nammwe mwogere.
Muleete ensonga zammwe tuziwulire,” bw’ayogera Kabaka wa Yakobo.
22 (AW)“Baleete bakatonda bwabwe
batubuulire ebigenda okubaawo.
Batubuulire n’ebyaliwo emabega,
tusobole okubimanya,
n’okubirowoozaako
n’okumanya ebinaavaamu oba okutubuulira ebigenda okujja.
23 (AX)Mutubuulire ebigenda okubaawo
tulyoke tumanye nga muli bakatonda.
Mubeeko kye mukola ekirungi oba ekibi
tulyoke tutye era tukeŋŋentererwe mu mutima.
24 (AY)Laba, temuliiko bwe muli
ne bye mukola tebigasa.
Abo ababasinza bennyamiza.
25 (AZ)Nonze omuntu alifuluma mu bukiikakkono akoowoola erinnya lyange,
abeera mu buvanjuba.
Alirinnyirira abafuzi ng’asamba ettaka,
abe ng’omubumbi asamba ebbumba.
26 (BA)Ani eyakyogera nti kiribeerawo tulyoke tumanye,
eyakyogera edda tulyoke tugambe nti, ‘Wali mutuufu?’
Tewali n’omu yakyogerako,
tewali n’omu yakimanya
era tewali n’omu yawulira kigambo na kimu okuva gye muli.
27 (BB)Nasooka okubuulira Sayuuni
era ne mpeereza omubaka e Yerusaalemi ababuulire amawulire amalungi.
28 (BC)Naye tewali n’omu mu bakatonda bammwe eyabategeeza kino.
Tewali n’omu awa bigambo biruŋŋamya,
tewali n’omu addamu bwe mbuuza.
29 (BD)Laba, bonna temuli nsa!
Bye bakola byonna tebigasa.
Ebifaananyi byabwe byonna ebibajje, mpewo na butaliimu.”
Omuweereza wa Katonda
42 (BE)Laba omuweereza wange gwe mpanirira,
omulonde wange gwe nsanyukira ennyo.
Ndimuwa Omwoyo wange
era alireeta obwenkanya eri amawanga.
2 Talireekaana
wadde okuyimusa eddoboozi lye mu luguudo.
3 (BF)Talimenya lumuli lubetentefu
oba okuzikiza olutambi olwaka empola ennyo;
mu bwesigwa alireeta obwenkanya.
4 (BG)Taliremererwa oba okuggwaamu essuubi okutuusa ng’aleesewo obutebenkevu ku nsi.
N’ebizinga eby’ewala
biririndirira amateeka ge.
5 (BH)Bw’atyo bw’ayogera Mukama Katonda,
eyatonda eggulu n’alibamba.
Eyayanjuluza ensi ne byonna ebigivaamu;
awa omukka abantu baakwo
era n’obulamu eri bonna abagitambulirako.
6 (BI)“Nze Mukama,
nakuyita mu butuukirivu.
Ndikukwata ku mukono era ndikukuuma.
Ndikufuula okuba endagaano eri abantu,
era omusana eri bannamawanga.
7 (BJ)Okuzibula amaaso g’abazibe,
okuta abasibe okuva mu makomera
n’okuggya abo abali mu bunnya, abo abali mu kizikiza.
8 (BK)“Nze Mukama,
eryo lye linnya lyange, n’ekitiibwa kyange sirikiwa mulala,
newaakubadde ettendo lyange okukiwa bakatonda abalala.
9 Laba, ebyo bye nagamba nti
biribaawo bituuse,
kaakano mbabuulira ku bigenda okujja;
mbibategeeza nga tebinnabaawo.”
Oluyimba olw’Okutendereza Mukama
10 (BL)Muyimbire Mukama oluyimba oluggya,
ettendo lye okuva ku nkomerero y’ensi!
Mmwe abasaabala ku nnyanja ne byonna ebigirimu,
mmwe ebizinga ne bonna ababibeeramu.
11 (BM)Leka eddungu n’ebibuga byamu biyimuse amaloboozi gaabyo,
ebyalo Kedali mw’atuula.
Leka abantu b’e Seera bayimbe n’essanyu.
Leka baleekaanire waggulu ku ntikko z’ensozi.
12 (BN)Leka Mukama bamuwe ekitiibwa
era balangirire ettendo lye mu bizinga.
13 (BO)Mukama, anafuluma okulwana ng’omutabaazi ow’amaanyi,
era ng’omutabaazi ow’amaanyi alijja yeeswanta,
n’okuleekaana ng’alangirira olutalo.
Era aliwangula abalabe be.
Katonda Asuubiza Okuyamba Abantu be
14 “Ebbanga ggwanvu nga siriiko kye ŋŋamba,
nga nsirise neekuumye.
Naye okufaanana ng’omukazi alumwa okuzaala,
nkaaba, mpejjawejja era nzisa ebikkowe.
15 (BP)Ndizikiriza ensozi n’obusozi,
egyo emiddo gyakwo gyonna ndi wakugiwotosa.
Era ndikaza ebinywa byabwe byonna
n’emigga ndigifuula ebizinga.
16 (BQ)Era ndikulembera abantu bange abazibe ba maaso mu kkubo lye batamanyi
n’abayise mbaluŋŋamize mu makubo ge batamanyidde.
Ndifuula ekizikiza okuba omusana mu maaso gaabwe
n’ebifo ebizibu okuyitamu ndibirongoosa.
Ebyo by’ebintu bye ndikola,
sirireka bantu bange.
17 (BR)Naye abo abeesiga bakatonda abalala, ababagamba nti,
‘Mwe bakatonda baffe,’ balikwasibwa ensonyi,
era baligobebwa, mu buswavu obungi.”
Ekibi ky’Eggwanga n’Okubonerezebwa
18 (BS)“Muwulire mmwe bakiggala,
mutunule mmwe bamuzibe, mulabe.
19 (BT)Ani muzibe okuggyako omuweereza wange,
oba kiggala okuggyako omubaka wange gwe ntuma?
Eriyo eyaziba amaaso asinga oyo eyeewaayo gye ndi,
oba omuzibe ng’omuweereza wa Mukama?
20 (BU)Olabye ebintu bingi naye tobifuddeko,
amatu go maggule naye tolina ky’owulira.”
21 (BV)Kyasanyusa Mukama olw’obulungi obw’obutuukirivu bwe
okukuza amateeka ge
n’okugassaamu ekitiibwa.
22 (BW)Naye bano, bantu be,
ababbibwa ne banyagibwa bonna
ne basibibwa mu binnya oba abasibibwa mu makomera.
Bafuuka munyago
nga tewali n’omu abanunula,
bafuuliddwa abanyage
nga tewali n’omu agamba nti, “Bateebwe baddeyo.”
23 (BX)Ani ku mmwe anaawuliriza kino,
oba anaafaayo ennyo n’awuliriza mu biro ebigenda okujja?
24 (BY)Ani eyawaayo Yakobo okuba omunyago
ne Isirayiri eri abanyazi?
Teyali Mukama gwe twayonoona?
Ekyo yakikola
kubanga tebaagoberera makubo ge.
Tebaagondera mateeka ge.
25 (BZ)Kyeyava abafukako obusungu bwe obubuubuuka
n’obulumi bw’entalo.
Beebungululwa ennimi z’omuliro naye tebaategeera.
Gwabookya naye ne batakissaako mwoyo.
Omulokozi wa Isirayiri Ali Omu Yekka
43 (CA)Naye kaakano bw’atyo bw’ayogera Mukama oyo eyakutonda,
ggwe Yakobo,
eyakukola ggwe Isirayiri:
“Totya kubanga nkununudde,
nakuyita nga mpitira ddala erinnya lyo, oli wange.
2 (CB)Bw’onooyitanga mu mazzi amawanvu
nnaabeeranga naawe,
ne bw’onooyitanga mu migga
tegirikusaanyaawo;
bw’onooyitanga mu muliro
tegukwokyenga,
ennimi z’omuliro tezirikwokya.
3 (CC)Kubanga nze Mukama Katonda wo,
Katonda Omutukuvu owa Isirayiri; Omulokozi wo.
Mpayo Misiri ggwe osobole okuteebwa,
era Kuusi ne Seba mbiwaayo gwe ofune emirembe gyo.
4 (CD)Kubanga oli wa muwendo gye ndi, ow’ekitiibwa,
era kubanga nkwagala,
ndiwaayo abasajja ku lulwo
mpeeyo n’abantu ku lw’obulamu bwo.
5 (CE)Totya, kubanga nze ndi nawe,
ndireeta ezzadde lyo okuva ebuvanjuba
era nkukuŋŋaanye okuva ebugwanjuba.
6 (CF)Ndigamba obukiikakkono nti, ‘Waayo b’olina,’
n’obukiikaddyo nti, ‘Tobagaanira.’
Leeta batabani bange okuva ewala
ne bawala bange okuva ku nkomerero y’ensi.
7 (CG)Buli muntu yenna ayitibwa erinnya lyange,
gwe natonda olw’ekitiibwa kyange,
gwe nakola gwe natonda.”
Eggwanga erirondeddwa nga Omujulirwa
8 (CH)Fulumya abo abalina amaaso naye nga tebalaba,
abalina amatu naye nga tebawulira.
9 (CI)Amawanga gonna ka gakuŋŋaane
n’abantu bajje.
Ani ku bo eyali ayogedde ku bintu bino?
Ani ku bo eyali alangiridde ebyaliwo?
Leka baleete abajulizi okukakasa nti baali batuufu
abawulira bagambe nti, “Ddala bwe kiri.”
10 (CJ)“Muli bajulirwa bange,” bw’ayogera Mukama,
“omuweereza wange gwe nalonda:
mulyoke mummanye, munzikirize,
mutegeere nga Nze wuuyo:
Tewali Katonda eyansooka
era teriba mulala alinzirira.
11 (CK)Nze, Nze mwene, nze Mukama;
okuggyako nze tewali Mulokozi.
12 (CL)Nze naleeta okwolesebwa ne nangirira ne ndokola;
nze so si katonda mulala mugwira mu mmwe.
Muli bajulirwa bange,” bw’ayogera Mukama.
13 (CM)“Weewaawo, okuva mu nnaku ez’edda Nze Nzuuyo;
tewali n’omu ayinza okuwonya omuntu mu mukono gwange.
Kye nkola ani ayinza okukikyusa?”
14 (CN)Bw’ati bw’ayogera Mukama,
Omununuzi wammwe, Omutukuvu wa Isirayiri nti,
“Ku lwammwe nditumya e Babulooni,
ndeetere ab’e Babulooni bonna nga bawambe
mu byombo ebyabeewanya.
15 Nze Mukama, Omutukuvu wammwe,
Omutonzi wa Isirayiri, Kabaka wammwe.”
16 (CO)Bw’ati bw’ayogera Mukama,
oyo eyakola ekkubo mu nnyanja,
n’oluguudo mu mazzi amangi ennyo,
17 (CP)eyaleetera amagaali, n’embalaasi n’eggye, n’abaali bazze okubayamba,
byonna awamu okugwa omwo,
ne bitaddamu kusituka, nga bizikiridde,
nga bikomye ng’akatambi akabadde kaaka:
18 “Mwerabire eby’emabega,
so temulowooza ku by’ayita.
19 (CQ)Laba, nkola ekintu ekiggya!
Kaakano kitandise okulabika, temukiraba?
Nkola oluguudo mu ddungu
ne ndeeta emigga mu lukoola.
20 (CR)Ensolo ez’omu nsiko zinzisaamu ekitiibwa,
ebibe n’ebiwuugulu;
kubanga nze ngaba amazzi mu ddungu,
n’emigga mu lukoola,
okunywesa abantu bange, abalonde bange,
21 (CS)abantu be nnekolera
balangirire ettendo lyange.
22 (CT)“So tonkowodde ggwe, Yakobo,
era teweekooyeza ggwe Isirayiri.
23 (CU)Tondeetedde ndiga ey’ebiweebwayo ebyokebwa,
wadde okunzisaamu ekitiibwa ne ssaddaaka zo.
Sikukaluubirizanga nga nkusaba ebiweebwayo ebyempeke
wadde okukukooya n’obubaane.
24 (CV)Tondeeteddeeyo bubaane buwunya kawoowo
wadde okunzikusa n’amasavu ga ssaddaaka zo,
naye onkoyesezza n’ebibi byo,
era n’onteganya n’obutali butuukirivu bwo.
25 (CW)“Nze, Nze mwene,
nze wuuyo asangula ebyonoono byo ku lwange nze,
so sirijjukira bibi byo.
26 (CX)Nzijukiza eby’edda, tuwoze ffembi,
jjangu ensonga tuzoogereko fembi,
yogera ebiraga nga toliiko musango.
27 (CY)Kitaawo eyasooka yasobya,
abakulembeze bo baanjemera.
28 (CZ)Kyendiva ndiswaza abakungu ba yeekaalu yo,
era ndiwaayo Yakobo azikirizibwe
ne Isirayiri aswazibwe.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.