Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Chronological

Read the Bible in the chronological order in which its stories and events occurred.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Omubuulizi 1-6

Obutaliimu bw’Amagezi g’Abantu

(A)Ebigambo by’Omubuulizi, mutabani wa Dawudi kabaka mu Yerusaalemi.

(B)“Obutaliimu! Obutaliimu!” bw’ayogera Omubuulizi.
    Byonna butaliimu.

(C)Omuntu afuna ki mu byonna by’akola,
    mu byonna ebimukooya wansi w’enjuba?
(D)Omulembe ogumu gugenda, omulala ne gujja,
    naye ensi ebeerera emirembe gyonna.
(E)Enjuba evaayo era n’egwa,
    ate n’eyanguwa okutuuka mu kifo mw’eviirayo.
Empewo ekunta ng’eraga obukiikaddyo,
    ne yeetooloola okutuuka obukiikakkono;
empewo yeetooloola ne yeetooloola,
    n’ekomerawo ku biwaawaatiro byayo.
(F)Emigga gyonna gikulukuta nga giraga mu nnyanja,
    naye ennyanja tejjula;
ekifo emigga gye gikulukutira
    era gye gyeyongera okukulukutira.
(G)Ebintu byonna bijjudde obukoowu
    omuntu bw’atasobola kutenda!
Eriiso terimatira kulaba,
    wadde okutu okukoowa okuwulira.
(H)Ekyo ekyabaawo era kye kigenda okubaawo,
    n’ekyo ekikoleddwa era kye kigenda okukolebwa;
    era tewali kintu kiggya wansi w’enjuba.
10 Waali wabaddewo ekintu ekyali kigambiddwa nti,
    “Laba kino kiggya”?
Kyaliwo dda
    mu mirembe egyatusooka?
11 (I)Tewali kujjukira bintu byasooka
    era tewaliba kujjukira bintu ebyo ebitanabaawo mu ebyo ebijja oluvannyuma.

Amagezi Agatali ga Katonda Butaliimu

12 (J)Nze Omubuulizi nali kabaka wa Isirayiri mu Yerusaalemi. 13 (K)Nagezaako n’omutima gwange okuyiga n’okwetegereza n’amagezi gange gonna mu ebyo ebikolebwa wansi w’eggulu; omulimu Katonda gwe yawa abaana b’abantu okukola, guteganya. 14 (L)Ndabye ebintu byonna ebikolebwa wansi w’enjuba; era laba, byonna butaliimu na kugoberera mpewo.

15 (M)Ekyo ekyakyama tekisoboka kugololebwa,
    n’ekibulako tekibalibwa.

16 (N)Nayogera munda yange nti, “Nfunye amagezi mangi agasinga ag’abo bonna abaali babadde mu Yerusaalemi, era nfunye amagezi n’okumanya kungi.” 17 (O)Era omutima gwange ne gumanya okwawula amagezi n’eddalu, n’obutategeera. Ne ntegeera nti na kino nakyo kugoberera mpewo.

18 (P)Kubanga mu magezi amangi mujjiramu okunakuwala kungi;
    amagezi gye gakoma obungi, n’okunakuwala gye gukoma.

Amasanyu Tegagasa

(Q)Nayogera munda yange nti, “Jjangu kaakano ngezese okusanyuka. Weesanyuse.” Naye laba, na kino kyali butaliimu. (R)Nagamba nti, “Okuseka busirusiru. Era okusanyuka kugasa ki?” (S)Nanoonyereza n’omutima gwange, bwe nnaasanyusa omubiri gwange n’omwenge, nga nkyagoberera okunoonya amagezi. Nayagala okulaba abantu kyebasaanira okukola wansi w’enjuba mu nnaku ez’obulamu bwabwe entono.

(T)Natandikawo emirimu egy’amaanyi: ne neezimbira amayumba ne neesimbira ennimiro ez’emizabbibu. Ne neerimira ennimiro, ne neekolera n’ebifo ebigazi, ne nsimbamu buli ngeri ya miti egy’ebibala. Ne neesimira ebidiba omuva amazzi ag’okufukirira ebibira by’emiti emito. Neefunira abaddu abasajja n’abakazi, era nalina abaddu abaazaalirwa mu nnyumba yange. Ne mbeera n’amagana g’ente n’ebisibo by’endiga okusinga bonna abansooka okubeera mu Yerusaalemi. (U)Ne neekuŋŋaanyiza ffeeza ne zaabu ebyavanga mu misolo, egyampebwanga bakabaka n’egyavanga mu bwakabaka bwabwe. Neefunira abayimbi abasajja n’abakazi, ne nfuna n’ebintu byonna ebisanyusa omuntu, ne neefunira n’abakazi. (V)Ne nfuuka mukulu ne nsukkirira bonna abansooka mu Yerusaalemi. Mu ebyo byonna nasigala siweebuuse mu magezi.

10 Na buli amaaso gange kye gaayagala okulaba sa kigamma,
    omutima gwange ne ngusanyusa mu buli kimu.
Omutima gwange gwasanyukira bye nakola byonna,
    era eyo y’empeera yange olw’okutegana kwange kwonna.
11 (W)Awo bwe nalowooza byonna emikono gyange bye gyakola,
    n’okutegana kwonna nga nkola,
laba, byonna bwali butaliimu na kugoberera mpewo,
    tewaali na kimu kye nagobolola wansi w’enjuba.

Amagezi Agatali ga Katonda n’Obusirusiru Byombi Butaliimu

12 (X)Awo ne nkyuka ne ndowooza ku magezi,
    ne ku ddalu ne ku busirusiru,
kubanga oyo aliddirira kabaka mu bigere alibaako ki ky’akola,
    okuggyako ekyo kabaka ky’akoze?
13 (Y)Awo ne ndaba amagezi nga gasinga obusirusiru,
    n’ekitangaala nga kisinga ekizikiza.
14 (Z)Omugezi amaaso ge gali mu mutwe gwe,
    naye atalina magezi atambulira mu kizikiza.
Kyokka ne ntegeera
    nga bombi akabi kabatuukako.

15 (AA)Ne ndyoka njogera mu mutima gwange nti,

“Ekyo ekigwa ku musirusiru nange kirintuukako.
    Kale lwaki mbeera omugezi?”
Era na kino ne nkizuula
    nga butaliimu.
16 (AB)Kubanga ku mugezi ne ku musirusiru tewaliwo ajjukirwa lubeerera;
    mu nnaku ezirijja bombi baliba beerabirwa dda.
Okufaanana ng’omusirusiru n’omugezi naye alifa.

17 (AC)Awo ne nkyawa obulamu kubanga buli ekikolebwa wansi w’enjuba kindeetera buyinike. Byonna butaliimu na kugoberera mpewo. 18 (AD)Nakyawa okutegana kwange kwonna kwe nateganamu wansi w’enjuba, kubanga byonna ndi wakubirekera oyo alinzirira mu bigere. 19 Kale ani amanyi obanga aliba musajja mugezi oba musirusiru? Kyokka ye y’aliba mukama w’ebyo byonna bye nateganira nga nkozesa amagezi gange wansi w’enjuba; era na kino nakyo butaliimu. 20 Awo ne nterebuka olw’okutegana kwange kwonna wansi w’enjuba. 21 Kubanga oluusi omuntu ategana ng’akozesa amagezi ge n’okumanya awamu n’obukalabakalaba bwe, naye byonna ateekwa okubirekera oyo atabiteganiranga nako. Na kino nakyo butaliimu na kabi keereere. 22 (AE)Omuntu afuna ki mu kutegana kwe kwonna n’okukaluubirirwa mu ebyo by’ateganamu wansi w’enjuba? 23 (AF)Kubanga ennaku ze zonna n’okutegana kwe bijjula bulumi; era ne mu kiro omutima gwe teguwummula; na kino nakyo butaliimu.

24 (AG)Tewali kisingira muntu kulya na kunywa na kusanyukira mu ebyo by’akola. Na kino nkiraba, kiva mu mukono gwa Katonda, 25 kubanga awatali ye, ani ayinza okulya oba asobola okusanyuka? 26 (AH)Kubanga omuntu asanyusa Katonda, Katonda amuwa amagezi n’okumanya n’essanyu; naye omwonoonyi Katonda amuwa omulimu gw’okukuŋŋaanyiza oyo asanyusa Katonda. Na kino nakyo butaliimu na kugoberera mpewo.

Buli Kintu Kirina Ekiseera Kyakyo

(AI)Buli kintu kirina ekiseera kyakyo,
    na buli ekikolebwa wansi w’eggulu kirina ekiseera kyakyo.

    Waliwo ekiseera eky’okuzaalibwa n’ekiseera eky’okufa;
    ekiseera eky’okusimba ate n’ekiseera eky’okukungula ebyo ebyasimbibwa;
    ekiseera eky’okutta n’ekiseera eky’okuwonya;
    ekiseera eky’okumenya n’ekiseera eky’okuzimba;
    ekiseera eky’okukaabiramu n’ekiseera eky’okusekeramu;
    ekiseera eky’okukungubaga n’ekiseera eky’okuzina;
    ekiseera eky’okusaasaanyizaamu amayinja, n’ekiseera eky’okugakuŋŋaanyizaamu;
    ekiseera eky’okugwiramu mu kifuba n’ekiseera eky’okukyewaliramu;
    waliwo ekiseera eky’okunoonyezaamu n’ekiseera eky’okulekeraawo okunoonya;
    ekiseera eky’okukuumiramu ekintu n’ekiseera eky’okukisuuliramu;
    (AJ)n’ekiseera eky’okuyulizaamu n’ekiseera eky’okuddabiririzaamu;
    ekiseera eky’okusirikiramu n’ekiseera eky’okwogereramu;
    waliwo ekiseera eky’okwagaliramu n’ekiseera eky’okukyayiramu;
    ekiseera eky’entalo n’ekiseera eky’eddembe.

(AK)Ddala omuntu kiki ky’afuna mu kutegana kwe? 10 (AL)Ndabye omugugu Katonda gw’atadde ku bantu. 11 (AM)Buli kimu yakikola nga kirungi mu kiseera kyakyo. Kyokka newaakubadde nga Katonda yateeka mu mitima gy’abantu okutegeera obulamu obutaggwaawo, omuntu tayinza kuteebereza mulimu gwa Katonda gwonna, we gutandikira oba we gukoma. 12 Mmanyi nga tewali kisingira bantu kusanyuka na kukola bulungi nga balamu. 13 (AN)Buli muntu alyoke alye, anywe afune okwesiima olw’ebyo ebiva mu kutegana kwe, kubanga ekyo kirabo kya Katonda. 14 (AO)Mmanyi nga buli Katonda ky’akola kya lubeerera; tekyongerwako, era tewali kikijjibwako. Katonda yakikola bw’atyo, abantu balyoke bamutye.

15 (AP)Ekyo ekiriwo ky’amala dda okubaawo;
    n’ekyo ekinaaberawo kyabaawo dda;
    era Katonda alagira ebyali bibaddewo, ne byongera okubaawo.

16 Ate era nalaba nga wansi w’enjuba,

mu kifo ky’okusala amazima waliwo kusaliriza;
    ne mu kifo ky’obutuukirivu waliwo bwonoonyi.

17 (AQ)Ne njogera munda yange nti,

“Katonda aliramula
    abatuukirivu n’aboonoonyi;
kubanga yateekawo ekiseera ekya buli kimu;
    era na buli mulimu.”

18 (AR)Ne ndowooza nti, “Katonda agezesa abaana b’abantu era bajjukire nti nsolo busolo. 19 (AS)Kubanga ekituuka ku baana b’abantu kye kituuka ne ku nsolo; omuntu afa, n’ensolo n’efa. Bonna bassa omukka gwe gumu; omuntu talina nkizo ku nsolo. Byonna butaliimu. 20 (AT)Bonna bagenda mu kifo kye kimu, bonna bava mu nfuufu era mu nfuufu mwe badda. 21 (AU)Ani amanyi obanga omwoyo gw’omuntu gwambuka waggulu, ogw’ensolo gwo ne gukka mu ttaka?”

22 (AV)Bwe ntyo nalaba nga tewali kisinga muntu kusanyukira mulimu gwe, kubanga ekyo gwe mugabo gwe. Anti tewali asobola kumukomyawo alabe ebyo ebiribaawo oluvannyuma lwe.

Amaziga g’Abanyigirizibwa

(AW)Ate nalaba okunnyigirizibwa kwonna okukolebwa wansi w’enjuba.

Ate laba, amaziga gaabo abanyigirizibwa,
    era nga tebalina wakugabasangulako!
Ababanyigiriza baalina obuyinza,
    kyokka nga tewali asobola kubagambako.
(AX)Ne ndowooza ku abo abaafa,
nga baali ba mukisa okusinga
    abo abakyali abalamu;
(AY)naye abasinga abo,
    y’oyo atannaba kuzaalibwa,
atannalaba bibi
    obukolebwa wansi w’enjuba.

(AZ)Awo ne ndaba ng’okutegana, n’okutuukiriza mu bikolebwa, kuva mu kukwatirwa obuggya muliraanwa. Na kino butaliimu na kugoberera mpewo.

(BA)Omusirusiru awumba emikono gye,
    ne yeezikiriza yekka.
(BB)Kirungi okuba n’emirembe emijjuvu
    okusinga okujjula okubonaabona
    n’okugoberera empewo.

Ate era ne ndaba obutaliimu wansi w’enjuba:

(BC)nalaba omuntu ng’ali bwannamunigina,
    nga talina mwana wabulenzi wadde muganda we, naye ng’ategana okukamala, nga tamatira na bugagga bwe,
    ne yeebuuza nti, “Nteganira ani
    ne neefiiriza essanyu?
Kino nakyo butaliimu,
    era tekiriiko kye kigasa.”

Ababiri basinga omu,
    kubanga bagasibwa nnyo mu kukola kwabwe.
10 Kubanga singa omu agwa,
    munne amuyimusa.
Naye zimusanze oyo ali obw’omu,
    bw’agwa tabaako amuyimusa.
11 Ababiri bwe bagalamira bombi awamu babuguma;
    naye oyo ali obw’omu, ayinza atya okubuguma?
12 Omu awangulwa mangu,
    kyokka ababiri bayinza okwerwanako.
Kubanga omuguwa ogw’emiyondo esatu tegukutuka mangu.

13 Omuvubuka omwavu nga mugezi, akira kabaka amusinga emyaka nga musirusiru, atafaayo ku kubuulirirwa. 14 Omuvubuka ayinza okuba ng’avudde mu kkomera n’alya obwakabaka, oba okulya obwakabaka ng’abadde mwavu. 15 Nalaba abalamu bonna abatambula wansi w’enjuba nga bagoberera omuvubuka oyo ow’okulya obwakabaka. 16 Abantu be yafuganga baali bangi nnyo. Naye abo abajja oluvannyuma lwe tebaamusiima. Na kino nakyo butaliimu na kugoberera mpewo.

Mutye Katonda

Weekuume ng’oyingira mu nnyumba ya Katonda; okumusemberera n’okumuwuliriza, kisinga okuwaayo ssaddaaka ng’ez’abasirusiru abatamanyi nga bakola ebibi.

(BD)Toyanguyirizanga na kamwa ko okwogera ekigambo,
    wadde omutima gwo ogwanguyiriza,
    okwogera ekigambo mu maaso ga Katonda.
Katonda ali mu ggulu
    ng’ate ggwe oli ku nsi;
    kale ebigambo byo bibeerenga bitono.
(BE)Ng’okutawaana ennyo bwe kuleetera omuntu ebirooto,
    n’ebigambo by’omusirusiru bwe bityo bwe biba nga bingi.

(BF)Bwe weeyamanga obweyamo eri Katonda tolwanga kubutuukiriza, kubanga tasanyukira basirusiru. Tuukirizanga obweyamo bwo. (BG)Obuteyama kisinga okweyama n’ototuukiriza kye weeyamye. Akamwa ko kaleme ku kwonoonyesa, n’ogamba oyo atumiddwa gy’oli nti, “Nakola kisobyo okweyama.” Kale lwaki weeretako okusunguwalirwa Katonda olw’ebigambo byo, n’azikiriza emirimu gy’emikono gyo? (BH)Ebirooto entoko n’ebigambo ebingi temuli makulu; noolwekyo otyanga Katonda.

Obugagga ku Bwabwo Bwokka Butaliimu Bwereere

(BI)Bw’olabanga ng’omwavu anyigirizibwa mu ssaza, amazima n’obwenkanya nga tewali, teweewuunyanga! Kubanga omukungu waalyo alinako amusinga, ate nga bombi balina ababatwala. Bonna balya ku bibala bya nsi eyo; kabaka yennyini mu nnimiro zaayo mw’afuna.

10 Oyo alulunkanira ensimbi, tasobola kuba na nsimbi zimumala;
    wadde oyo alulunkanira obugagga n’amagoba:
    na kino nakyo butaliimu.

11 Ebintu nga bwe byeyongera obungi,
    n’ababirya gye bakoma okweyongera.
Kale nnyini byo agasibwa ki,
    okuggyako okusanyusa amaaso ge?

12 (BJ)Otulo tuwoomera omupakasi
    ne bw’aba agabana bitono oba bingi.
Naye obugagga bw’omugagga obuyitiridde,
    tebumuganya kwebaka.

Okukola n’Essanyu

13 (BK)Waliwo ekibi ekinene kye nalaba wansi w’enjuba:

nannyini bugagga abuterekera mu kwerumya,
14     ebyembi bw’ebigwawo eby’obugagga ebyo bibula,
kale bw’aba ne mutabani
    tewabaawo mutabani we ky’asigaza.
15 (BL)Omuntu nga bwe yava mu lubuto lwa nnyina n’ajja mu nsi nga talina kintu,
    bw’atyo bw’aliddayo nga mwereere ng’ava mu nsi.
Tewali ky’aggya mu mirimu gye,
    wadde kyayinza okugenda nakyo mu mukono gwe.

16 (BM)Na kino kya bulumi bwereere:

nga bwe yajja era bw’atyo bw’aligenda;
    mugaso ki gwe yafuna mu kugoberera empewo?
17 Era yamala obulamu bwe bwonna mu kizikiza ne mu buyinike,
    ne mu kweraliikirira, ne mu bulumi ne mu kunyiiga.

18 (BN)Ne ndyoka ntegeera nti kituufu omuntu okulya n’okunywa n’okulaba nga yeyagalira mu kutakabana ne mu kukola kwe wansi w’enjuba, mu nnaku ze entono Katonda z’amuwadde, kubanga ekyo gwe mugabo gwe. 19 (BO)Ate Katonda bw’awa omuntu obugagga, n’ebintu n’amusobozesa okubyeyagaliramu, n’okutegeera omugabo gwe n’okusanyukira by’akoze, ekyo kiba kirabo ekivudde ewa Katonda. 20 (BP)Emirundi giba mitono gy’alowoolezaamu ekiseera ky’obulamu ky’amaze, kubanga Katonda ajjuza omutima gw’omuntu oyo essanyu.

Obutaliimu bw’Obugagga n’Ettiibwatiibwa

Waliwo ekibi ekirala kye ndabye wansi w’enjuba era kibuutikidde abantu. (BQ)Katonda awa omuntu obugagga, n’amuwa ebintu ebingi awamu n’ekitiibwa, na buli mutima gwe kye gwetaaga n’akifuna; naye Katonda n’amumma okubisanyukiramu, kyokka omugwira n’ajja n’abisanyukiramu. Kino butaliimu era kya bubalagaze!

(BR)Omuntu ayinza okuba n’abaana kikumi, n’awangaala; bw’atasanyukira mu bugagga bwe, era n’ataziikwa mu kitiibwa, ne bw’aba ng’awangadde nnyo, omwana afiira mu lubuto ng’agenda okuzaalibwa amusingira wala. Omwana oyo ajja nga taliiko ky’amanyi n’agendera mu butamanya era n’erinnya lye ne libulira mu butamanya. Newaakubadde talabye njuba, wadde okubaako ky’amanya, kyokka awummula bulungi okusinga omusajja oyo: omusajja oyo ne bw’awangaala emyaka enkumi bbiri, naye n’atasanyukira mu bya bugagga bwe. Bombi tebalaga mu kifo kye kimu?

(BS)Buli muntu ateganira mumwa gwe,
    naye tasobola kukkuta by’alina.
(BT)Kale omuntu omugezi asinga oyo omusirusiru?
Omwavu bw’amanya okwefuga mu maaso g’abalala,
    agasibwa ki?
(BU)Amaaso kye galaba
    kisinga olufulube lw’ebirowoozo.
Era na kino nakyo butaliimu,
    na kugoberera mpewo.

10 Buli ekibaawo ky’ateekebwateekebwa dda,
    n’omuntu kyali kyamanyibwa,
tewali muntu ayinza kulwana n’oyo amusinza amaanyi,
    n’amusobola.
11 Ebigambo gye bikoma obungi,
    gye bikoma n’obutabaamu makulu;
    kale ekyo kigasa kitya omuntu?

12 (BV)Kale ani amanyi ekirungi eri omuntu, mu nnaku ezo entono z’amala mu bulamu bwe obutaliimu, obuli ng’ekisiikirize? Ani wansi w’enjuba ayinza okutegeeza ekirimubaako ng’avudde mu bulamu buno?

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.