Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Chronological

Read the Bible in the chronological order in which its stories and events occurred.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Yeremiya 38-40

Yeremiya Asuulibwa mu Kinnya

38 (A)Awo Sefatiya mutabani wa Mattani ne Gedaliya mutabani wa Pasukuli ne Yukali mutabani wa Malukiya ne bawulira ebigambo Yeremiya bye yali agamba abantu bonna nti, (B)“Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Buli muntu anaasigala mu kibuga kino ajja kufa ekitala, enjala oba kawumpuli, naye buli afuluma n’agenda eri Abakaludaaya ajja kuba mulamu.’ (C)Era bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Ekyamazima ekibuga kino kya kuweebwayo eri eggye lya kabaka w’e Babulooni; anaakiwamba.’ ”

(D)Awo abakungu ne bagamba kabaka nti, “Omusajja ono asaana kuttibwa. Amalamu abaserikale abasigadde mu kibuga amaanyi, era n’abantu bonna, olw’ebintu by’abagamba. Omuntu ono tanoonya bulungi bw’abantu naye kuzikirizibwa kwabwe.”

Kabaka Zeddekiya n’addamu nti, “Ali mu mikono gyammwe, siyinza kubawakanya.”

(E)Awo ne batwala Yeremiya ne bamuteeka mu kinnya kya Malukiya mutabani wa kabaka ekyali mu luggya lw’abakuumi. Yeremiya ne baamussaayo n’emiguwa mu kinnya. Tekyalimu mazzi wabula ebitosi, era omwo Yeremiya mwe yabbika.

(F)Naye Ebedumeleki Omuwesiyopya omu ku balaawe b’omu lubiri lwa kabaka bwe yawulira nga batadde Yeremiya mu kinnya, nga ne kabaka atudde ku mulyango gwa Benyamini, Ebedumeleki n’ava mu lubiri n’agenda eri kabaka n’amugamba nti, (G)“Mukama wange kabaka, abantu bano bakoze bubi mu byonna bye bakoze nnabbi Yeremiya okumusuula mu kinnya, gy’anafiira enjala nga tekyali mugaati gwonna mu kibuga.”

10 Awo kabaka n’alagira Ebedumeleki Omuwesiyopya nti, “Twala abasajja amakumi asatu okuva wano musitule nnabbi Yeremiya okuva mu kinnya nga tannafa.”

11 Awo Ebedumeleki n’atwala abasajja ne bagenda mu kisenge wansi w’etterekero ly’ensimbi mu lubiri. Nakwata ebigoye ebimu ebikadde n’engoye enziinaziina n’abissa awamu n’emiguwa eri Yeremiya mu kinnya. 12 Ebedumeleki Omuwesiyopya n’agamba Yeremiya nti, “Teeka ebigoye bino ebikadde wansi w’enkwawa zo okunyweza emiguwa wansi w’emikono gyo.” Yeremiya n’akola bw’atyo. 13 (H)Ne bamusikayo n’emiguwa ne bamuggya mu kinnya. Yeremiya n’asigala mu luggya lw’abakuumi.

Zeddekiya Addamu Okubuuza Yeremiya

14 (I)Kabaka Zeddekiya n’atumya nnabbi Yeremiya bamuleete ku mulyango ogwokusatu ogwa yeekaalu ya Mukama. Kabaka n’agamba Yeremiya nti, “Nnina kye ŋŋenda okukubuuza. Tobaako ky’onkweka.”

15 Yeremiya n’agamba Zeddekiya nti, “Bwe nnaakuddamu tonzite? Ne bwe nnaakuwa amagezi tojja kumpuliriza.”

16 (J)Naye kabaka Zeddekiya n’alayira ekirayiro mu kyama eri Yeremiya nti, “Nga Katonda bw’ali omulamu, eyatuwa omukka gwe tussa, sijja kukutta wadde okukuwaayo eri abo abanoonya okukutta.”

17 (K)Awo Yeremiya n’agamba Zeddekiya nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Singa weewaayo eri abakungu ba kabaka w’e Babulooni, ojja kukuumibwa bulungi tootuukibweko kabi konna, n’ekibuga kino tekijja kwokebwa; ggwe n’ab’omu maka go munaabeera balamu. 18 (L)Naye bw’oteweeyo eri abakungu ba kabaka w’e Babulooni, ekibuga kino kijja kuweebwayo eri Abakaludaaya bakyokye; nawe wennyini tojja kubawona.’ ”

19 (M)Kabaka Zeddekiya n’agamba Yeremiya nti, “Ntya Abayudaaya abaddukidde mu Babulooni, kubanga Abakaludaaya bayinza okumpaayo gye bali ne bambonyaabonya.”

20 (N)Yeremiya n’amuddamu nti, “Tebaakuweeyo. Ggwe gondera Mukama Katonda ng’okola kye nkugamba. Olwo binaakugendera bulungi, nawe tojja kuttibwa. 21 Naye bwonoogaana okwewaayo, kino Mukama kyandaze: 22 (O)Abakazi bonna abasigadde mu lubiri lwa kabaka wa Yuda bajja kuleetebwa eri abakungu ba kabaka w’e Babulooni, bakugambe nti,

“ ‘Mikwano gyo gye weesiga
    baakubuzaabuza ne bakuwangula.
Kaakano otubidde mu ttosi.
    Mikwano gyo gikudduseeko.’ 

23 (P)“Bakazi bo n’abaana bo bonna balireetebwa eri Abakaludaaya. Ggwe kennyini tojja kubasumattuka ojja kukwatibwa kabaka w’e Babulooni; n’ekibuga kino kijja kwokebwa.”

24 Awo Zeddekiya n’agamba Yeremiya nti, “Tobuulirako muntu n’omu ku bye twogedde, bw’onookikola ojja kufa. 25 Abakungu bwe banaawulira nti wayogeddeko nange ne bajja ne bakubuuza nti, ‘Tubuulire kye wagambye kabaka ne kabaka kye yakuzeemu, totukweka kintu kyonna sikulwa nga tukutta,’ 26 (Q)bagambe nti, ‘Mbadde neegayirira kabaka aleme kunzizaayo eri mu nnyumba ya Yonasaani okufiira eyo.’ ”

27 Abakungu bonna ne bajja eri Yeremiya okumubuuza, n’abaddamu byonna nga kabaka bye yamulagira okwogera. Ne bataddayo ku mubuuza kintu kyonna, kubanga tewaali n’omu eyali awulidde bye yali ayogedde ne kabaka.

28 (R)Yeremiya n’asigala mu luggya lw’abakuumi okutuusa olunaku Yerusaalemi lwe kyawambibwa.

Okugwa kwa Yerusaalemi

Yerusaalemi bwe kiti bwe kyawambibwa: 39 (S)Mu mwaka ogwomwenda ogw’obufuzi kwa Zeddekiya kabaka wa Yuda, mu mwezi ogw’ekkumi, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni, n’alumba Yerusaalemi, n’eggye lye lyonna, n’akizingiza. Ku lunaku olw’omwenda olw’omwezi ogwokuna ogw’omwaka ogw’ekkumi n’ogumu ogw’obufuzi kwa Zeddekiya, ekisenge ky’ekibuga kyabotolwa. (T)Awo Nerugalusalezeeri, ne Samugaluneebo, ne Salusekimu, ne Labusalisi, ne Nerugalusalezeeri, ne Labumagi, n’abakungu abalala bonna aba kabaka w’e Babulooni ne bajja ne batuula mu mulyango ogwa wakati ogwa Yerusaalemi. Awo Zeddekiya kabaka wa Yuda n’abaserikale be bonna bwe babalaba ne bava mu kibuga kiro ne badduka; ne bayita mu nnimiro ya kabaka, nga bayita mu mulyango wakati w’ebisenge ebibiri, ne boolekera Alaba.

(U)Naye eggye ly’Abakaludaaya ne libagoba ne lisanga Zeddekiya mu nsenyi ez’e Yeriko, ne bamuwamba, ne bamuleeta eri kabaka Nebukadduneeza ow’e Babulooni e Libuna mu nsi y’e Kamasi; n’amusalira eyo omusango. Kabaka w’e Babulooni n’attira batabani ba Zeddekiya mu maaso ga kitaabwe e Libuna, era kabaka w’e Babulooni n’atta abakungu ba Yuda bonna. (V)Nebukadduneeza n’aggyamu Zeddekiya amaaso, n’amusiba mu masamba n’amutwala e Babulooni.

(W)Abakaludaaya ne bookya ennyumba ya kabaka n’ennyumba z’abantu, ne bamenya n’ebisenge bya Yerusaalemi. (X)Awo Nebuzaladaani omuduumizi w’eggye n’atwala abantu abaali basigaddewo mu kibuga, n’abo abaali bamwegasseeko, n’abo abaali basigaddewo mu bifo ebirala, e Babulooni. 10 Nebuzaladaani omuduumizi w’eggye, n’aleka abamu ku bantu abaavu abaali batalina kantu, mu nsi ya Yuda; n’abawa ebibanja n’ennimiro z’emizabbibu.

11 Awo Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni yali awadde Nebuzaladaani omuduumizi w’eggye lya kabaka w’e Babulooni, ebiragiro bino ebikwata ku Yeremiya ng’amugamba nti, 12 (Y)“Mmutwale omulabirire: tomubonyaabonya wabula mukolere byonna by’ayagala.” 13 Awo Nebuzaladaani omuduumizi w’eggye, ne Nebusazibaani omukungu ow’oku ntikko ne Nerugalusalezeeri, ne Labumagi, n’abakungu bonna aba kabaka w’e Babulooni, 14 (Z)ne batumya ne baggya Yeremiya mu luggya lw’abaserikale. Ne bamukwasa Gedaliya mutabani wa Akikamu, mutabani wa Safani, amuzzeeyo ewaabwe. Olwo n’asigala n’abantu be.

15 Yeremiya bwe yali asibiddwa mu luggya lw’abaserikale abakuumi, ekigambo kya Mukama ne kimujjira nga kigamba nti, 16 (AA)“Genda ogambe Ebedumeleki Omuwesiyopya nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Nnaatera okutuukiriza ebigambo byange eri ekibuga kino nga nkozesa ebibonoobono, si kukulaakulana. Mu biseera ebyo birituukirizibwa nga mulaba n’amaaso gammwe. 17 (AB)Naye ndikuwonya ku lunaku olwo,’ bw’ayogera Mukama; ‘toliweebwayo eri abo b’otya. 18 (AC)Ndikuwonya; tolittibwa, olisigala ng’oli mulamu, kubanga onneesiga, bw’ayogera Mukama.’ ”

40 Ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya, nga Nebuzaladaani omuduumizi w’abambowa amusumuludde e Laama, bwe yamusanga ng’asibiddwa mu masamba n’abasibe abalala bonna ab’e Yerusaalemi ne Yuda abaali batwalibwa e Babulooni mu busibe. (AD)Omuduumizi w’abaserikale yatwala Yeremiya n’amugamba nti, “Mukama Katonda wo, ye yaleeta ekivume kino ku kifo kino. (AE)Kaakano Mukama akireese era akikoze nga bwe yasuubiza. Bino byonna byabaawo kubanga abantu bo baasobya eri Mukama ne batamugondera. (AF)Naye leero nkusumulula okuva mu njegere ez’oku mikono gyo. Jjangu tugende ffembi e Babulooni obanga oyagala, nnaakulabirira; naye bw’oba nga toyagala, tojja. Laba, ensi yonna eri mu maaso go, genda yonna gy’oyagala.” (AG)Wabula Yeremiya nga tannaba kukyuka kugenda, Nebuzaladaani n’ayongerako nti, “Ddayo eri Gedaliya mutabani wa Akikamu mutabani wa Safani, kabaka w’e Babulooni gw’afudde Gavana w’ebibuga bya Yuda, obeere naye mu bantu, oba genda yonna gy’osiima okubeera.” Awo omuduumizi w’abambowa n’amuwa ebyokulya n’ekirabo n’amuleka.

(AH)Awo Yeremiya n’agenda ewa Gedaliya mutabani wa Akikamu e Mizupa n’abeera naye n’abantu abaaliyo abaali balekeddwa mu nsi eyo.

Gedaliya Attibwa

(AI)Awo abakulu b’eggye lya Yuda bonna n’abasajja baabwe abaali bakyali mu byalo ne bawulira nti, Kabaka w’e Babulooni alonze Gedaliya omwana wa Akikamu okuba Gavana w’ensi era ng’amuwadde obuvunaanyizibwa bw’abantu bonna, abasajja, n’abakazi, n’abaana, n’abaali basembayo obwavu mu nsi abataatwalibwa mu buwaŋŋanguse e Babulooni. (AJ)Awo Isimayiri mutabani wa Nesaniya, ne Yokanaani ne Yonasaani batabani ba Kaleya, ne Seraya mutabani wa Tanukumesi, ne batabani ba Efayi Omunetofa, ne Yezaniya omwana w’omu Maakasi, ne bagenda n’abasajja baabwe eri Gedaliya e Mizupa. (AK)Awo Gedaliya mutabani wa Akikamu mutabani wa Safani n’abalayirira bo n’abasajja baabwe ng’ayogera nti, “Temutya kuweereza Bakaludaaya. Mubeere mu nsi, muweereze kabaka w’e Babulooni munaaba bulungi. 10 (AL)Nze kennyini nzija kusigala e Mizupa okubakiikirira eri Abakaludaaya abajja gye tuli, naye mmwe mukungule emizabbibu, n’ebibala eby’omu kyeya, mukuŋŋaanye n’omuzigo mubiteeke mu materekero gammwe, mubeere mu bibuga bye mufuga.”

11 (AM)Awo Abayudaaya bonna mu Mowaabu, ne Amoni, ne Edomu n’ensi endala zonna bwe baawulira nti, Kabaka w’e Babulooni yali aleseeyo abantu mu Yuda era nga ataddewo Gedaliya mutabani wa Akikamu, mutabani wa Safani okuba Gavana waabwe, 12 (AN)bonna ne bakomawo mu nsi ya Yuda eri Gedaliya e Mizupa, ne bava mu nsi zonna gye baali basaasaanidde. Ne bakungula ebirime mu bungi, emizabbibu n’ebibala eby’omu kyeya.

13 (AO)Awo Yokanaani mutabani wa Kaleya n’abakulu bonna ab’ebibinja bya magye abaali mu byalo ne bajja eri Gedaliya e Mizupa. 14 (AP)Ne bamugamba nti, “Tomanyi nga Baalisi kabaka w’abaana ba Amoni atumye Isimayiri mutabani wa Nesaniya okukutta?” Naye Gedaliya mutabani wa Akikamu teyakikkiriza.

15 Awo Yokanaani mutabani wa Kaleya n’ayogera ne Gedaliya e Mizupa kyama ng’agamba nti, “Ka ŋŋende nkwegayiridde nzite Isimayiri mutabani wa Nesaniya, so tewaliba muntu alikimanya. Lwaki akutta, Abayudaaya bonna abakuŋŋaanidde gy’oli basaasaane, ekitundu kya Yuda ekifisseewo nakyo kizikirire?”

16 Naye Gedaliya mutabani wa Akikamu n’agamba Yokanaani mutabani wa Kaleya nti, “Tokola kintu bwe kityo! Ky’oyogera ku Isimayiri si kituufu.”

Zabbuli 74

Zabbuli ya Asafu.

74 (A)Ayi Katonda, lwaki otusuulidde ddala ennaku zonna?
    Obusungu bwo lwaki bunyookera ku ndiga z’omu ddundiro lyo?
(B)Ojjukire abantu bo be wagula edda;
    ekika kye wanunula okuba ababo.
    Ojjukire olusozi Sayuuni gye wabeeranga.
Tambulatambulako mu bifo by’ekibuga olabe bwe byonooneddwa!
    Olabe omulabe nga bw’azikirizza ennyumba yo.

(C)Abalabe bo baleekaanira mu kifo kyo gye twakuŋŋaaniranga;
    ne bagenda nga bakiramba n’ebendera zaabwe.
(D)Beeyisa ng’abantu ababagalidde embazzi
    abatema emiti mu kibira.
(E)Batemyetemye n’embazzi ebintu ebyole,
    era ne babissessebbula n’obubazzi.
Bookezza awatukuvu wo;
    ne bafaafaaganya ekifo kyo eky’Erinnya lyo.
(F)Baateesa nga bagamba nti, “Tujja kubazikiririza ddala!”
    Baayokya dda amasinzizo ga Katonda gonna agali mu nsi eno.

(G)Tetukyalaba ku bubonero bwo; ne bannabbi tewakyali n’omu.
    So tewali n’omu mu ffe ategeera ebyo lwe birikoma.
10 (H)Ayi Katonda, omulabe alituusa ddi ng’akuduulira?
    Omulabe anavvoolanga erinnya lyo ennaku zonna? Bazikirize.
11 (I)Lwaki totuyambye n’omukono gwo ogwa ddyo?
    Kiki ekikukuumisa omukono gwo ogwa ddyo mu kifuba kyo?

12 (J)Naye ggwe, Ayi Katonda, oli Kabaka wange wa dda;
    gw’oleeta obulokozi mu nsi.

13 (K)Ggwe wayawula mu mazzi g’ennyanja;
    omulabe n’omuzikiririza mu mazzi.
14 Wamenyaamenya emitwe gya lukwata ogunene;
    n’oguwaayo okuba ekyokulya eri ebitonde eby’omu ddungu.
15 (L)Ggwe wazibukula ensulo n’emyala;
    ate n’okaza n’emigga
    egyakulukutanga bulijjo.
16 (M)Obudde bw’emisana bubwo, n’ekiro kikyo;
    ggwe wakola omwezi n’enjuba.
17 (N)Ggwe wateekawo ensalo z’ensi;
    ggwe wakola ebiro eby’ekyeya n’eby’obutiti.

18 (O)Jjukira ebyo, Ayi Katonda, olabe okuduula kw’omulabe,
    n’abantu abasirusiru nga bwe banyoomodde erinnya lyo.
19 (P)Ayi Katonda, towaayo mwoyo gwa jjiba lyo eri ensolo enkambwe;
    so teweerabiriranga ddala bulamu bw’abantu bo ababonyaabonyezebwa.
20 (Q)Ojjukire endagaano yo;
    kubanga ensi ejjudde ekizikiza n’abantu abakambwe.
21 (R)Tokkiriza abo abajoogebwa okuwangulwa;
    era leka abaavu n’abeetaaga batenderezenga erinnya lyo ennaku zonna.
22 (S)Yimuka, Ayi Katonda, osalire abalabe baffe omusango.
Jjukira abo abatakussaamu kitiibwa, nga bwe bakuduulira obudde okuziba.
23 (T)Tonyooma luyoogaano lw’abalabe bo,
    n’okuleekaana okwa buli kiseera.

Zabbuli 79

Zabbuli ya Asafu.

79 (A)Ayi Katonda omugabo gwo gulumbiddwa amawanga;
    boonoonye yeekaalu yo entukuvu ne Yerusaalemi kizikiriziddwa,
    ne kifuuka entuumo.
(B)Emirambo gy’abaweereza bo bagifudde
    mmere ya nnyonyi ez’omu bbanga,
    n’emibiri gy’abatukuvu bo giweereddwa ensolo ez’omu nsiko.
(C)Omusaayi gwabwe ne guyiibwa ng’amazzi
    okwetooloola Yerusaalemi,
    so nga abafudde tewali muntu abaziika.
(D)Baliraanwa baffe batuyisaamu amaaso,
    era tufuuse ekisekererwa eri abo abatwetoolodde.

(E)Ayi Mukama olitusunguwalira kutuusa ddi, nnaku zonna?
    Obuggya bwo bunaabuubuukanga ng’omuliro?
(F)Obusungu bwo bubuubuukire ku mawanga
    agatakumanyi,
ne ku bwakabaka
    obutakoowoola linnya lyo.
Kubanga bazikirizza Yakobo,
    ne basaanyaawo ensi ye.

(G)Totubalira kibi kya bajjajjaffe;
    tukusaba oyanguwe okutusaasira
    kubanga tuli mu bwetaavu bungi nnyo.
(H)Tuyambe olw’ekitiibwa ky’erinnya lyo,
    Ayi Katonda ow’obulokozi bwaffe;
otuwonye era otutangiririre olw’ebibi byaffe
    olw’erinnya lyo.
10 (I)Lwaki abamawanga babuuza nti,
    “Katonda waabwe ali ludda wa?”

Kkiriza okuwalana eggwanga olw’omusaayi gw’abaweereza bo ogwayiyibwa,
    kumanyibwe mu mawanga gonna nga naffe tulaba.
11 Wuliriza okusinda kw’omusibe;
    okozese omukono gwo ogw’amaanyi
    owonye abo abasaliddwa ogw’okufa.
12 (J)Ayi Mukama, baliraanwa baffe abakuduulira,
    bawalane emirundi musanvu.
13 (K)Kale nno, ffe abantu bo era endiga ez’omu ddundiro lyo,
    tulyoke tukutenderezenga emirembe gyonna;
    buli mulembe gulyoke gukutenderezenga emirembe gyonna.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.