Bible in 90 Days
11 (A)“Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Laba, ndireeta ekikolimo mu nnyumba yo, ne nzirira bakyala bo ng’olaba ne mbawa muliraanwa wo, ne yeebaka nabo emisana. 12 (B)Wakikola mu kyama, naye nze ndikikola mu maaso ga Isirayiri yenna, emisana.’ ”
13 (C)Awo Dawudi n’agamba Nasani nti, “Nnyonoonye Mukama.” Nasani n’addamu nti, “Kale, Mukama aggyeewo ekyonoono kyo era toofe. 14 (D)Naye olw’ekikolwa ekyo, oleetedde abalabe ba Mukama okumunyooma, omwana anaakuzaalirwa kyanaava afa.” 15 (E)Nasani bwe yaddayo eka, Mukama n’alwaza nnyo omwana muka wa Uliya gwe yazaala. 16 (F)Dawudi ne yeegayirira Katonda ku lw’omwana, n’asiiba, n’agenda mu nnyumba ye n’amala ekiro kyonna nga yeebase wansi. 17 (G)Abakadde ab’ennyumba ye ne bagendanga gy’ali, okumuwaliriza asituke, alye ne ku mmere, naye n’agaana.
18 Ku lunaku olw’omusanvu omwana n’afa. Naye abaddu ba Dawudi ne batya okumutegeeza nti omwana afudde, nga bagamba, nti, “Omwana bwe yali omulamu twagezaako okwogera naye, n’atatuwuliriza, olwo binaabeera bitya bwe tunaamubuulira nti omwana afudde? Ayinza okutabukira ddala.”
19 Naye Dawudi n’alaba abaddu be nga boogera obwama, n’ategeera nti omwana afudde. N’ababuuza nti, “Omwana afudde?” Ne baddamu nti, “Afudde.”
20 (H)Awo Dawudi n’ava wansi, n’anaabako, ne yeerongoosa, n’akyusa ebyambalo bye, n’alaga mu nnyumba ya Mukama n’asinza. Oluvannyuma n’addayo mu nnyumba ye, n’asaba emmere, n’alya. 21 (I)Abaddu be ne bamubuuza nti, “Kiki ekyo ky’okola? Omwana bwe yali omulamu, wasiiba n’okaaba, naye kati afudde, ogolokose, olya!” 22 (J)N’addamu nti, “Omwana we yabeerera omulamu, n’asiiba ne nkaaba, nga ndowooza nti, ‘Ani amanyi, Mukama ayinza okunsaasira, omwana n’aba mulamu?’ 23 (K)Naye kaakano afudde, kiki ekinsiibya? Nkyayinza okumukomyawo? Nze ndigenda gy’ali, naye ye talikomawo gye ndi.”
24 (L)Awo Dawudi n’akubagiza mukyala we Basuseba, ne yeetaba naye, n’aba olubuto, n’azaala omwana wabulenzi, ne bamutuuma Sulemaani, Mukama n’amwagala, 25 (M)era olw’okwagala okwo, Mukama kyeyava atuma Nasani nnabbi n’amutuuma Yedidiya, amakulu nti ayagalibwa Mukama.
26 (N)Mu biro ebyo Yowaabu n’alwana n’abaana ba Amoni, n’awamba Labba ekibuga kyabwe ekikulu. 27 Yowaabu n’atumira Dawudi nti, “Nnumbye Labba, era n’amazzi gaabwe ngasazeeko. 28 Kaakano kuŋŋaanya eggye lyonna, otabaale ekibuga ekikulu, okiwambe, nga sinnaba kukitwala, ne kituumibwa erinnya lyange.”
29 Awo Dawudi n’akuŋŋaanya eggye lyonna n’ayolekera Labba, n’akirumba era n’akiwamba. 30 (O)N’addira engule eyali eya kabaka waabwe, obuzito bwayo kilo asatu mu nnya eza zaabu, nga mu yo baateekamu amayinja ag’omuwendo, n’agyetikkira ku mutwe gwe. N’atwala n’omunyago mungi ddala okuva mu kibuga. 31 (P)N’aggya abantu abaali mu kibuga, n’abatwala okuba abapakasi; ne bakozesanga emisomeeno, n’ensuuluulu, n’embazzi, n’abalala ne babumbanga amatoffaali. Mu ngeri y’emu n’akozesanga abantu ab’ebibuga byonna eby’abaana ba Amoni. Oluvannyuma Dawudi n’eggye lye lyonna, ne baddayo e Yerusaalemi.
Amunoni ne Tamali
13 (Q)Abusaalomu, mutabani wa Dawudi yalina mwannyina omulungi, omubalagavu erinnya lye Tamali[a], naye Amunoni omu ku batabani ba Dawudi omulala n’ayagala okwebaka naye. 2 Amunoni n’atawaana nnyo mu nsonga eyo n’okulwala n’alwala, kubanga Tamali yali mbeerera[b], Amunoni n’akisanga nga kizibu okumufuna. 3 (R)Naye Amunoni yalina mukwano gwe ennyo, eyayitibwanga Yonadabu mutabani wa Simeeya mukulu wa Dawudi, eyali omusajja omukujjukujju. 4 N’abuuza Amunoni nti, “Kiki ekikutawanyanga buli nkya, ggwe omwana wa kabaka? Lwaki tombulira?” Amunoni n’amugamba nti, “Njagala Tamali, mwannyina Abusaalomu muganda wange.” 5 Yonadabu n’amugamba nti, “Genda mu kitanda weefuule okuba omulwadde. Kitaawo bw’anajja okukulaba mugambe nti, ‘Gamba mwannyinaze Tamali ajje ampe ku kyokulya. Mukkirize anteekereteekere ekyokulya nga mmulabako n’amaaso, n’oluvannyuma andiise.’ ”
6 Awo Amunoni n’agenda n’agalamira ku kitanda kye ne yeefuula okuba omulwadde; kabaka bwe yagenda okumulaba n’okumusaasira, Amunoni n’amugamba nti, “Nkwegayiridde, kkiriza Tamali ajje anfumbire emigaati nga mulaba ku maaso, n’oluvannyuma andiise.”
7 Awo Dawudi n’atumya Tamali n’amugamba nti, “Genda ewa muganda wo Amunoni mu nnyumba ye, omuteekereteekere ekyokulya.” 8 Tamali n’agenda ewa Amunoni n’amusanga ng’agalamidde ku kitanda kye. Tamali n’addira obuwunga n’abukanda, n’akola emigaati Amunoni ng’alaba, n’agifumba. 9 (S)Tamali n’addira olukalango, n’aluggyako bye yafumbirako, Amunoni ng’alaba naye n’agaana okulya.
Awo Amunoni n’alagira abaddu be nti, “Buli muntu afulume.” Buli muntu n’afuluma, n’asigalamu ne Tamali. 10 Amunoni n’agamba Tamali nti, “Ndeetera emmere eno mu kisenge kyange, ondiise.” Awo Tamali n’addira emigaati gy’afumbye, n’agitwalira Amunoni mwannyina mu kisenge kye. 11 (T)Naye bwe yagimusembereza okulya n’amukwata, n’amugamba nti, “Jjangu weebake nange, mwannyinaze.”
12 (U)N’amuddamu nti, “Nedda, mwannyinaze, tonkwata n’amaanyi. Ekyo tekikolwa mu Isirayiri. Tokola kya kivve bwe kityo. 13 (V)Nsaasira, nnadda wa obuswavu? Ate ggwe, onoobeera ng’omu ku basajja abasirusiru mu Isirayiri. Nkwegayiridde yogera ne kabaka, tajja kukuziyiza nkufumbirwe.” 14 (W)Naye n’agaana okumuwuliriza, n’amukwata olw’empaka, kubanga yali amusinza amaanyi, ne yeebaka naye.
15 Oluvannyuma Amunoni n’amukyawa nnyo nnyini, okusinga ne bwe yamwagala, n’amulagira nti, “Golokoka ofulume.” 16 Tamali n’amuddamu nti, “Nedda! Okungoba kibi okusinga ekikolwa ky’onkoze.” Naye n’agaana okumuwuliriza. 17 N’ayita omuddu ey’amuweerezanga n’amugamba nti, “Omukazi oyo muggye mu maaso gange, omuggalire ebweru.” 18 (X)Awo omuddu we n’afulumya Tamali ebweru, n’aggalawo oluggi. Yali ayambadde ekyambalo ekiwanvu nga ky’amabala mangi, kubanga eyo ye yabeeranga ennyambala ey’abambejja embeerera. 19 (Y)Tamali n’ateeka evvu mu mutwe gwe, n’ayuza ekyambalo kye, n’ateeka omukono ku mutwe gwe n’agenda ng’akaaba. 20 Abusaalomu mwannyina n’amubuuza nti, “Obadde ne mwannyoko Amunoni? Sirikawo mwannyinaze, oyo mwannyoko. Ekyo kireme okukunakuwaza.” Awo Tamali n’abeeranga ne mwannyina Abusaalomu, nga mukazi munaku.
21 (Z)Kabaka Dawudi bwe yakiwulira, n’asunguwala nnyo. 22 (AA)Naye Abusaalomu n’atabaako kigambo ky’ayogera ne Amunoni, ekirungi oba ekibi, kyokka n’akyawa Amunoni kubanga yayonoonyesa Tamali mwannyina.
Abusaalomu Atta Amunoni
23 (AB)Bwe waayitawo emyaka ebiri nga kiseera kya kusala ebyoya by’endiga, ng’abasazi ba Abusaalomu bali e Baalukazoli, ekiriraanye Efulayimu, Abusaalomu n’ayita abaana ba kabaka bonna. 24 Abusaalomu n’agenda eri kabaka n’amugamba nti, “Omuddu wo alina abasazi ab’ebyoya by’endiga baaleese. Nkusaba kabaka n’abakungu be, mujje munjagulizeeko.” 25 Kabaka n’amuddamu nti, “Nedda, mwana wange. Ffenna bwe tunajja, tujja kuzitoowerera.” Abusaalomu n’amwegayirira nga bw’amuwaliriza, naye n’agaana okugenda, wabula n’amusabira omukisa. 26 Awo Abusaalomu n’amugamba nti, “Ggwe bw’oba nga tojje, nkwegayiridde okkirize Amunoni agende naffe.” Kabaka n’amubuuza nti, “Lwaki Amunoni agenda nammwe?” 27 Naye Abusaalomu n’amwegayirira nnyo okutuusa bwe yakkiriza Amunoni n’abaana ba kabaka bonna okugenda naye.
28 (AC)Awo Abusaalomu n’alagira abaddu be nti, “Muwulire! Mugenderere okulaba Amunoni ng’atudde, n’omutima gwe nga musanyuukirivu; bwe n’abagamba nti, ‘mutte Amunoni,’ mumutte. Temutya, si nze mpadde ekiragiro? Mube n’amaanyi era mube bazira.” 29 Awo abasajja ba Abusaalomu ne batta Amunoni nga Abusaalomu bwe yabalagira. Abaana ba kabaka bonna ne basituka ne beebagala buli muntu ennyumbu ye ne badduka. 30 Bwe baali bakyali mu kkubo, amawulire ne gatuuka eri Dawudi nti, “Abusaalomu asse abaana ba kabaka bonna, era tewasigadde n’omu.” 31 (AD)Kabaka n’agolokoka n’ayuza ebyambalo bye, ne yeebaka mu ttaka n’abaddu be bonna abaaliwo ne bayuza ebyambalo byabwe.
32 Naye Yonadabu mutabani wa Simeeya, mukulu wa Dawudi, n’ayogera nti, “Mukama wange kabaka aleme okulowooza nga basse abalangira bonna, Amunoni yekka y’afudde. Era ekyo kye kyali ekigendererwa kya Abusaalomu okuva ku lunaku Amunoni lwe yakwata Tamali mwannyina. 33 Noolwekyo mukama wange kabaka aleme okweraliikirira olw’amawulire g’afunye agagamba nti abaana ba kabaka bonna bafudde. Amunoni yekka ye afudde.” 34 Kyokka Abusaalomu n’adduka. Omuvubuka omukuumi n’ayimusa amaaso ge, n’alengera abantu bangi mu kkubo ery’ebugwanjuba nga bakkirira ku mabbali g’olusozi. 35 Awo Yonadabu n’agamba kabaka nti, “Laba abaana ba kabaka bajja; kituukiridde omuddu wo kye yayogedde.” 36 Bwe yali yakamala okwogera, abaana ba kabaka ne bayingira nga bakuba ebiwoobe. Kabaka n’abaddu be nabo ne bakaaba nnyo nnyini.
37 (AE)Abusaalomu ye n’addukira eri Talumaayi mutabani wa Ammikuli, kabaka w’e Gesuli, Dawudi n’amukaabiranga buli lunaku. 38 Abusaalomu n’amala e Gesuli emyaka esatu. 39 (AF)Naye omutima gwa Dawudi ne gwegomba okulaba ku Abusaalomu, kubanga yali akubagizibbwa olw’okufa kwa Amunoni.
Abusaalomu Akomawo e Yerusaalemi
14 (AG)Awo Yowaabu mutabani wa Zeruyiya n’ategeera nga omutima gwa kabaka gulumirwa Abusaalomu. 2 (AH)Yowaabu n’atumya omukazi omugezigezi okuva e Tekowa, n’amugamba nti, “Weefuule akungubaga, oyambale engoye ez’okukungubaga, teweesiiga mafuta, obeere ng’omukyala amaze ennaku ennyingi ng’akungubagira omufu. 3 (AI)Genda eri kabaka, omugambe ebigambo bino.” Yowaabu n’amuwa ebigambo eby’okwogera.
4 Awo omukazi ow’e Tekowa n’agenda eri kabaka, n’avuunama amaaso ge ku ttaka, ne yeeyanza, n’ayogera nti, “Mbeera, ayi kabaka.” 5 Kabaka n’amubuuza nti, “Nkubeere mu ki?” N’addamu nti, “Ndi nnamwandu baze yafa. 6 Nalina batabani bange babiri. Bombi baalwanira ku ttale ne wataba n’omu abataasa, omu n’atta munne. 7 (AJ)Kaakano ekika kyonna kiyimukidde omuweereza wo, nga boogera nti, ‘Tuwe omusajja oyo asse muganda we, tumutte olw’obulamu bwa muganda we gwe yatta, tutte n’omusika.’ Mu ngeri eyo banaaba bazikizza etabaaza yokka gye nsigazza, obutalekaawo linnya lya baze wange newaakubadde obusika bwe ku nsi yonna.”
8 (AK)Awo kabaka n’agamba omukazi nti, “Ddayo eka, nzija kukola ku nsonga yo.” 9 (AL)Naye omukazi ow’e Tekowa n’agamba kabaka nti, “Mukama wange kabaka, omusango ka gubeere ku nze, n’ennyumba ya kitange; kabaka n’obwakabaka bwe buleme kubeerako musango.”
10 Kabaka n’addamu nti, “Bwe wanaabeerawo omuntu yenna abaako kya kugamba, mundeetere, taddeyo nate kukutawanya.”
11 (AM)Omukazi n’ayogera nti, “Nkwegayiridde, kabaka, ondayirire eri Mukama Katonda wo, awalana eggwanga olw’omusaayi era aziyiza obubi okweyongera ku bubi, mutabani wange aleme okuzikirizibwa.” N’amuddamu nti, “Mukama nga bw’ali omulamu, tewaliba luviiri olwa mutabani wo olulimuva ku mutwe.”
12 Awo omukazi n’agamba kabaka nti, “Nkwegayiridde, ka mbeeko ekigambo kye ŋŋamba mukama wange kabaka.” N’amuddamu nti, “Yogera.”
13 (AN)Omukazi n’ayogera nti, “Kiki ekikukoza ekigambo bwe kityo abantu ba Katonda? Kabaka aba teyeesalira yekka omusango kubanga takomezaawo omwana we eyagobebwa? 14 (AO)Ffenna tuli baakufa, ng’amazzi bwe gayiibwa ku ttaka, ne gatayinzika kuyooleka nate. Naye Katonda taggyawo bulamu, anoonya engeri gy’anaayinza okukomyawo omuntu abuze.
15 “Kale nno ekyo kye kyandeese eri kabaka, kubanga abantu bantiisizza, ne baleetera omuweereza wo okulowooza nti, ‘Bwe nnaayogera ne kabaka, mpozzi aliddamu omuweereza we ky’amusaba. 16 (AP)Oboolyawo kabaka anaawulira ensonga yange, n’alokola omuzaana we mu mukono gw’omusajja agezaako okunzikiriza nze n’omwana wange okutuggyako obusika Katonda bwe yatuwa.’
17 (AQ)“Era omuweereza wo yayogedde mu mutima gwe nti, ‘Ekigambo kya mukama wange kabaka kye kirimpummuza, kubanga mukama wange kabaka ali nga malayika wa Katonda mu kwawulamu ebirungi n’ebibi. Mukama Katonda wo abeere naawe.’ ”
18 Awo kabaka n’agamba omukazi nti, “Tobaako n’ekimu ky’onkisa ku bye nnaakubuuza.” Omukazi n’addamu nti, “Mukama wange kabaka ambuuze.”
19 (AR)Kabaka n’amubuuza nti, “Omukono gwa Yowaabu guli wamu naawe mu bigambo ebyo byonna?”
Omukazi n’amuddamu nti, “Nga bw’oli omulamu mukama wange kabaka, tewali ayinza okukubuzaabuza ng’adda ku mukono ogwa ddyo oba ogwa kkono okukuggya ku ky’oyogera mukama wange kabaka. Weewaawo, omuddu wo Yowaabu yeyandagidde, n’ampa n’ebigambo ebyo byonna. 20 (AS)Omuddu wo Yowaabu, ekyo y’akikoze okukyusa embeera eriwo kaakano. Naye mukama wange mugezigezi nga malayika wa Katonda amanyi byonna ebifa ku nsi.”
21 Awo kabaka n’agamba Yowaabu nti, “Kale, nzija kukikola. Genda okime omuvubuka Abusaalomu.”
22 (AT)Awo Yowaabu n’agwa bugazi ku ttaka ne yeeyanza, n’asabira kabaka omukisa, n’ayogera nti, “Leero, omuddu wo ategedde ng’alabye ekisa mu maaso go, mukama wange kabaka, kubanga kabaka azeemu okwegayirira okw’omuddu we.”
23 Yowaabu n’agenda e Gesuli n’akima Abusaalomu n’amukomyawo e Yerusaalemi. 24 Naye kabaka n’awa ekiragiro nti, “Ateekwa kugenda mu nnyumba eyiye ku bubwe, tateekwa kulaba maaso gange.” Awo Abusaalomu n’abeera mu nnyumba eyiye ku bubwe, n’atalaba maaso ga kabaka.
25 Mu Isirayiri yonna temwali n’omu eyatenderezebwa nga Abusaalomu olw’endabika ye ennungi, kubanga okuviira ddala ku mutwe okutuuka ku bigere teyaliiko kamogo. 26 (AU)Buli lwe yasalanga enviiri ze, lwe zali ng’ennyingi ku mutwe gwe, obuzito bw’azo bw’ali nga kilo bbiri ne desimoolo ssatu ng’ebipimo bya kabaka bwe byali.
27 (AV)Abusaalomu n’azaalirwa abaana basatu aboobulenzi n’owoobuwala omu. Omuwala ye yali Tamali nga mukyala mulungi nnyo ku maaso.
28 Abusaalomu n’abeera mu Yerusaalemi okumala emyaka ebiri nga talaba maaso ga kabaka. 29 Awo Abusaalomu n’atumya Yowaabu amutume eri kabaka, naye Yowaabu n’atagendayo. N’amutumya omulundi ogwokubiri, naye era n’agaana okugenda yo. 30 (AW)Abusaalomu n’agamba abaddu be nti, “Ennimiro ya Yowaabu eriraanye eyange, era alinamu sayiri. Mugende mugikumeko omuliro.” Awo abaddu ba Abusaalomu ne bagikumako omuliro ne bagyokya.
31 (AX)Yowaabu n’agolokoka n’agenda eri Abusaalomu mu nnyumba ye n’amubuuza nti, “Lwaki abaddu bo bookezza ennimiro yange?” 32 (AY)Abusaalomu n’agamba Yowaabu nti, “Laba, nakutumya, nga ŋŋamba ojje wano nkutume eri kabaka okumubuuza nti, ‘Lwaki nava e Gesuli? Kyandisinze singa nasigala eyo.’ Kaakano njagala kugenda mu maaso ga kabaka, obanga nnina omusango, anzite.”
33 (AZ)Awo Yowaabu n’agenda eri kabaka, n’amutegeeza ebigambo ebyo. Kabaka n’atumya Abusaalomu, n’ajja, n’avuunama amaaso ge wansi mu maaso ga kabaka. Kabaka n’amunywegera.
Obujeemu bwa Abusaalomu
15 (BA)Bwe waayitawo ebbanga, Abusaalomu ne yeefunira amagaali, n’embalaasi, n’abasajja amakumi ataano okumukulemberangamu. 2 (BB)Yagolokokanga mu makya n’ayimirira ku mabbali g’ekkubo okwolekera wankaaki w’ekibuga. Omuntu yenna bwe yabanga n’ensonga gye yaleeteranga kabaka okulamula, Abusaalomu yamuyitanga n’amubuuza nti, “Oviira mu kibuga ki?” Bwe yaddangamu nti, “Omuddu wo aviira mu kimu ku bika bya Isirayiri,” 3 (BC)Abusaalomu n’alyoka amugamba nti, “Laba, ensonga ntuufu era etegeerekeka, naye tewali muntu anaagikulamulira.” 4 (BD)Ate era Abusaalomu yayongerangako ne kino nti, “Singa nnondebwa okuba omukulembeze mu nsi, olwo buli muntu alina ensonga anajjanga gye ndi, ne mukolera ku nsonga ye.”
5 Ate era omuntu yenna eyajjanga n’amuvuunamira ng’amuwa ekitiibwa, yagololanga omukono gwe, n’amukwatako n’amunywegera ng’amulamusa. 6 (BE)Bw’atyo Abusaalomu bwe yeeyisanga eri Abayisirayiri bonna abajjanga eri kabaka nga baagala okubalamulira ensonga zaabwe. Ekyavaamu n’abba emitima gy’abantu ba Isirayiri.
7 Oluvannyuma lw’emyaka ena, Abusaalomu n’agamba kabaka nti, “Nkwegayiridde, nzikiriza ŋŋende e Kebbulooni, ntuukirize obweyamo bwange bwe nakola eri Mukama. 8 (BF)Omuweereza wo bwe yabeeranga e Gesuli mu Busuuli, nakola obweyamo nga ŋŋamba nti, ‘Mukama bw’alinzizaayo e Yerusaalemi, ndisinza Mukama.’ ” 9 Kabaka n’amuddamu nti, “Ggenda mirembe.” N’asitula n’alaga e Kebbulooni.
10 (BG)Abusaalomu n’atuma ababaka kyama mu bika byonna ebya Isirayiri, babagambe nti, “Amangwago nga muwulidde okuvuga kw’amakondeere, mwogere nti, ‘Abusaalomu ye kabaka e Kebbulooni.’ ” 11 Abasajja ebikumi bibiri be baawerekera Abusaalomu oluvannyuma olw’okuyitibwa ng’abagenyi, songa tebaalina kye baamanya ku nsonga eyo. 12 (BH)Mu kiseera ekyo, Abusaalomu bwe yali ng’awaayo ssaddaaka, n’atumya Akisoferi[c] Omugiro, omuwi w’amagezi owa Dawudi, okuva mu kibuga ky’e Giro. Obujeemu ne bwongerwamu amaanyi n’abagoberezi ba Abusaalomu ne beeyongeranga obungi.
13 Omubaka n’ajja n’ategeeza Dawudi nti, “Emitima gy’abantu ba Isirayiri gigoberedde Abusaalomu.”
14 (BI)Awo Dawudi n’agamba abakungu be bonna abaali naye e Yerusaalemi nti, “Mugolokoke tudduke kubanga bwe tutaakole bwe tutyo tewaabeewo n’omu ku ffe anaawona Abusaalomu. Tuteekwa okuvaawo amangu nga bwe kisoboka, aleme okutusaangiriza wano okusaanyaawo ekibuga n’ekitala.” 15 Abakungu ba kabaka ne bamuddamu nti, “Abaddu bo beetegefu okukola kyonna, mukama waffe kabaka ky’anaaba asazeewo.”
16 (BJ)Awo Kabaka n’asitula n’ennyumba ye yonna ne bamugoberera, naye n’alekawo abakyala be kkumi okulabirira olubiri. 17 Kabaka n’abantu bonna abaagenda naye, bwe baatambulako akabanga, ne batuuka mu kifo ekimu ewalako n’olubiri ne bayimirira awo. 18 (BK)Abasajja be bonna ne bamukulemberamu, n’Abakeresi bonna n’Abaperesi bonna, n’Abagitti olukaaga bonna abaali bamugoberedde okuva e Gaasi ne bakumba nga bamukulembeddemu.
19 (BL)Awo kabaka n’agamba Ittayi Omugitti nti, “Lwaki otugoberera? Ddayo obeere ne kabaka Abusaalomu. Oli munnaggwanga eyagobebwa ewaabwe. 20 (BM)Wajja jjuuzi. Lwaki leero nkutambuza eno n’eri, nga ssinamanya gye ndaga? Ddayo n’abantu bo. Ekisa n’emirembe bibeerenga naawe.”
21 (BN)Naye Ittayi n’addamu kabaka nti, “Mukama nga bw’ali omulamu, era mukama wange kabaka nga bw’ali omulamu, buli mukama wange kabaka gy’anaagendanga, oba bulamu oba kufa, omuddu wo anaabeeranga wamu naawe.”
22 Dawudi n’agamba Ittayi nti, “Kale yitawo ogende mu maaso.” Awo Ittayi Omugitti n’abasajja be bonna n’abantu baabwe abaali naye ne bayitawo. 23 (BO)Ab’omu byalo bonna ne bakaaba nnyo bwe baalaba abantu nga bayitawo. Kabaka naye n’asomoka akagga Kidulooni, abantu bonna ne bayitawo ne boolekera eddungu.
24 (BP)Zadooki awamu n’Abaleevi bonna abaali awamu naye, abaasitulanga essanduuko ey’endagaano ya Mukama, baagenda ne kabaka. Essanduuko ya Katonda ne bagissa wansi, Abiyasaali naye n’ayambuka okuwaayo ssaddaaka okutuusa abantu bonna bwe baggwa mu kibuga.
25 (BQ)Awo kabaka n’agamba Zadooki nti, “Zzaayo essanduuko ya Katonda mu kibuga. Bwe ndiraba ekisa mu maaso ga Mukama, alinkomyawo, ne ngirabako n’ekifo Mukama ky’abeeramu. 26 (BR)Naye bw’alisalawo nti, ‘Ssiri musanyufu naawe,’ ndimweteefuteefu ankole nga bw’asiima.”
27 (BS)Ate era kabaka n’agamba Zadooki nti, “Toli mulabi? Ddayo mu kibuga mirembe, ne mutabani wo Akimaazi ne mutabani wa Abiyasaali, Yonasaani. Ggwe ne Abiyasaali muddeeyo ne batabani bammwe. 28 (BT)Ndirindirira ekigambo ekiriva gye muli, we tulisomokera okulaga mu ddungu.” 29 Awo Zadooki ne Abiyasaali ne bazzaayo essanduuko ya Katonda e Yerusaalemi ne basigala eyo.
30 (BU)Naye Dawudi n’alinnyalinnya n’alaga ku lusozi olw’Emizeeyituuni ng’akaaba, n’omutwe ng’agubisse era ng’ali mu bigere[d]. Abantu bonna abaali awamu naye nabo baali beebisse emitwe era nga bakaaba. 31 (BV)Dawudi n’ategeezebwa nti, “Akisoferi ali omu ku abo abeekobaana ne Abusaalomu.” Dawudi n’asaba nti, “Ayi Mukama Katonda nkwegayiridde, fuula amagezi ga Akisoferi obusirusiru.”
32 (BW)Awo Dawudi bwe yatuuka ku ntikko y’olusozi, abantu gye baasinzizanga Katonda, Kusaayi Omwaluki[e] yaliyo okumusisinkana, ekkooti ye ng’eyulise n’omutwe gwe nga gujjudde enfuufu. 33 (BX)Dawudi n’amugamba nti, “Bw’onoogenda nange ojja kunfuukira ekizibu. 34 (BY)Naye bw’onoddayo mu kibuga, n’ogamba Abusaalomu nti, ‘Ndibeera omuddu wo, ayi kabaka; nga bwe naweerezanga kitaawo mu biro eby’edda, bwe ntyo bwe nnaakuweerezanga,’ onooba ombedde mu nsonga ey’okulemesa Akisoferi, afuuse omuwi w’amagezi owa Abusaalomu. 35 (BZ)Zadooki ne Abiyasaali tebaliiyo? Kale bategeeze ekigambo kyonna ky’onoowulira mu lubiri. 36 (CA)Batabani baabwe ababiri, Akimaazi mutabani wa Zadooki ne Yonasaani mutabani wa Abiyasaali nabo bali eyo, era abo boonoontumiranga bwe wanaabangawo ensonga yonna.”
37 (CB)Awo Kusaayi mukwano gwa Dawudi n’atuuka e Yerusaalemi, nga Abusaalomu ayingira ekibuga.
Dawudi ne Ziba
16 (CC)Awo Dawudi bwe yali ng’atambuddeko ebbanga ttono n’okuva awaali olusiisira, Ziba omuddu wa Mefibosesi n’ajja okumusisinkana. Yalina endogoyi bbiri eziriko amatandiiko, nga zeetisse emigaati ebikumi bibiri, n’ebirimba eby’ezabbibu enkalu kikumi, n’ebirimba eby’ebibala eby’ekyeya kikumi, n’ekita kya wayini. 2 (CD)Kabaka n’abuuza Ziba nti, “Bino oleese bya ki?” Ziba n’addamu nti, “Endogoyi za ba mu nnyumba ya kabaka okwebagalanga, n’emigaati n’ebibala bya bavubuka okulya, ne wayini, w’abo abaliyongobera mu ddungu.”
3 (CE)Kabaka n’amubuuza nti, “Ate muzzukulu wa mukama wo ali ludda wa?” Ziba n’amuddamu nti, “Yasigadde mu Yerusaalemi, kubanga yalowoozezza nti, ‘Leero ennyumba ya Isirayiri eneenziriza obwakabaka bwa jjajjange.’ ”
4 Awo kabaka n’agamba Ziba nti, “Byonna ebibadde ebya Mefibosesi, kaakano bibyo.” Ziba n’ayogera nti, “Neeyanzizza, era ŋŋanje mu maaso go, mukama wange kabaka.”
Simeeyi Akolimira Dawudi
5 (CF)Awo kabaka Dawudi bwe yali ng’anaatera okutuuka e Bakulimu ne wajja omusajja ow’omu kika ky’ennyumba ya Sawulo erinnya lye Simeeyi mutabani wa Gera; n’akolima nga bw’asembera okumpi ne we baali. 6 N’akasuukirira Dawudi n’abakungu ba kabaka amayinja, naye abaserikale bonna n’abakuumi ba Dawudi nga bamwetoolodde ku luuyi lwe olwa ddyo ne ku luuyi lwe olwa kkono. 7 Simeeyi n’akolima, nga bw’ayogera nti, “Fuluma, vva wano, ggwe omusajja eyasaaba omusaayi, era ataliiko bw’ali! 8 (CG)Mukama akusasudde olw’omusaayi gwonna gwe wayiwa mu nnyumba ya Sawulo, gwe waddira mu bigere. Mukama obwakabaka abugabidde mutabani wo Abusaalomu. Laba ekikutuusizza kw’ekyo, kubanga engalo zo zijjudde omusaayi!”
9 (CH)Awo Abisaayi mutabani wa Zeruyiya[f] n’agamba kabaka nti, “Lwaki embwa eyo enfu ekolimira mukama wange kabaka? Leka ŋŋende mmutemeko omutwe.” 10 (CI)Naye kabaka n’ayogera nti, “Luganda ki lwe nnina nammwe, mmwe batabani ba Zeruyiya? Bw’aba ng’ankolimira kubanga Mukama ye yamugambye nti, ‘Kolimira Dawudi,’ ani ayinza okubuuza nti, ‘Kiki ekikukoza bw’otyo?’ ”
11 (CJ)Awo Dawudi n’agamba Abisaayi n’abakungu be bonna nti, “Obanga mutabani wange, ow’omusaayi gwange agezaako okunzita, naye ate Omubenyamini oyo. Mumuleke, akolime, kubanga Mukama amulagidde. 12 (CK)Oboolyawo Mukama anaalaba okunakuwala kwange n’ansasula obulungi olw’okukolima okwo.”
13 Awo Dawudi n’abasajja be ne bagenda ku lugendo lwabwe, naye Simeeyi n’ayitira ku lusozi okumwolekera nga bw’akolima, nga bw’amukasuukirira amayinja n’enfuufu. 14 (CL)Kabaka n’abantu bonna abaali naye ne batuuka gye baali bagenda nga bakooye. N’aweereraweerera eyo.
Amagezi Kusaayi ne Akisoferi ge baawa
15 (CM)Mu kiseera kye kimu, Abusaalomu n’abantu bonna aba Isirayiri ne bajja e Yerusaalemi, ne Akisoferi n’ajja naye. 16 (CN)Awo Kusaayi Omwaluki, mukwano gwa Dawudi, n’ajja eri Abusaalomu n’ayogera nti, “Kabaka awangaale! Kabaka awangaale!” 17 (CO)Abusaalomu n’abuuza Kusaayi nti, “Bw’otyo bw’olaga okwagala eri mukwano gwo Kabaka Dawudi? Kiki ekyakulobedde okugenda ne mukwano gwo?”
18 Kusaayi n’addamu Abusaalomu nti, “Nedda. Oyo Mukama gw’anaalonda, n’abantu bano, n’abasajja bonna aba Isirayiri, n’abanga wuwe era n’abeeranga naye. 19 (CP)Era nate n’aweereza ani okuggyako mutabani we? Nga bwe naweerezanga kitaawo, bwe ntyo bwe nnaakuweerezanga.” 20 Abusaalomu n’agamba Akisoferi nti, “Tuwe ku magezi. Tunaakola tutya?”
21 Akisoferi n’addamu nti, “Weebake n’abakyala ba kitaawo be yalekawo okulabirira olubiri. Isirayiri yenna bwe banaawulira ng’ofuuse ekyenyinyalwa eri kitaawo, banaddamu amaanyi.” 22 (CQ)Awo ne basimbira Abusaalomu eweema waggulu ku nnyumba ne yeebaka n’abakyala ba kitaawe, nga Isirayiri yenna balaba.
23 (CR)Mu biro ebyo okuteesa kwa Akisoferi, kwatwalibwanga okuba nga kuva eri Katonda, era Dawudi ne Abusaalomu bwe batyo bwe baatwalanga okuteesa kwe.
17 Awo Akisoferi n’agamba Abusaalomu nti, “Leka nnonde abasajja omutwalo gumu mu enkumi bbiri, ŋŋende mpondere Dawudi ekiro kino. 2 (CS)Ndimulumba mu bukoowu bwe ne mu bunafu bwe ne mutiisatiisa, era n’abantu bonna abali naye balidduka. Ndikuba kabaka yekka ne mutta, 3 naye abantu abalala bonna ndibakomyawo gy’oli. Okufa kw’omusajja omu yekka gw’onoonya, kulikomyawo abantu bonna nga tebaliiko mutawaana.” 4 Ekigambo ekyo Abusaalomu n’abakadde bonna aba Isirayiri ne bakisiima.
5 (CT)Naye Abusaalomu n’ayogera nti, “Mumpitire ne Kusaayi Omwaluki, tuwulire ky’anaayogera ku nsonga eyo.” 6 Kusaayi bwe yajja eri Abusaalomu, Abusaalomu n’amugamba nti, Akisoferi, amagezi g’atuwadde ge gano. Tukole nga Akisoferi bw’agambye? Oba nga si weewaawo, ggwe ogamba otya?
7 Kusaayi n’addamu Abusaalomu nti, “Ago amagezi Akisoferi g’abawadde si malungi ku mulundi guno. 8 (CU)Omanyi kitaawo n’abasajja be nga basajja balwanyi era nga bakambwe ng’eddubu erinyagiddwako abaana baalyo. Ate n’ekirala, kitaawo mulwanyi mumanyirivu; tayinza kusula na baserikale. 9 (CV)Ne mu kiseera kino, ayinza okuba nga yeekwese mu mpuku oba mu kifo ekirala. Bw’anaasooka okulumba abantu bo, buli anaakiwulira anaagamba nti, ‘Bangi ku bagoberezi ba Abusaalomu battiddwa.’ 10 (CW)Olwo n’omuntu omuzira mu bazira, alina omutima oguli ng’omutima gw’empologoma, anaayongoberera ddala, kubanga Isirayiri yenna bamanyi kitaawo nga musajja mulwanyi, era n’abali naye basajja bazira.
11 (CX)“Naye nze amagezi ge nkuwa ge gano: kuŋŋaanya gy’oli Isirayiri yenna okuva ku Ddaani okutuuka e Beeruseba, mu bungi bwabwe, ng’omusenyu ogw’oku nnyanja bwe guli obungi, ggwe mwene obakulembere mu lutalo. 12 Tulimulumba yonna gy’alisangibwa, ne tumugwako ng’omusulo bwe gugwa ku ttaka. Ye newaakubadde abasajja abali naye, tewaliba n’omu aliba omulamu. 13 (CY)Bw’aliddukira mu kibuga, Isirayiri yenna, balireeta emiguwa, ne tukiwalulira mu mugga obutalekawo jjinja n’erimu.”
14 (CZ)Awo Abusaalomu n’abasajja bonna aba Isirayiri ne bakkiriziganya nti, “Ekiteeso Kusaayi Omwaluki ky’aleese kirungi okusinga ekya Akisoferi.” Mukama yasiima okulemesa ekiteeso ekirungi ekya Akisoferi alyoke azikirize Abusaalomu. 15 Naye Kusaayi n’ategeeza Zadooki ne Abiyasaali bakabona nti, “Akisoferi awadde Abusaalomu n’abakadde ba Isirayiri amagezi bwe gati ne bwe gati, naye nze mbawabudde okukola bwe bati ne bwe bati. 16 (DA)Kaakano muweereze mangu obubaka mutegeeze Dawudi nti, ‘Ekiro kya leero tosula ku misomoko egy’omu ddungu; ssomoka, kabaka n’abantu bonna abali naye baleme okumalibwawo.’ ”
17 (DB)Yonasaani ne Akimaazi baabeeranga ku Enerogeri. Baali balinda omuwala okujja okubategeeza byonna, n’oluvannyuma bagende babuulire kabaka Dawudi; baali beewala okulabibwa nga bayingira mu kibuga. 18 (DC)Naye waaliwo omuvubuka eyabalaba, n’agenda n’abuulira Abusaalomu. Amangwago bombi ne baddukira mu nnyumba ey’omwami omu mu Bakulimu. Yalina oluzzi mu luggya lwe; ne bakka omwo. 19 (DD)Omukyala we n’addira ekisaanikira n’asaanikira ku kamwa k’oluzzi, n’ayiwako eŋŋaano n’agisaasaanyizaako. Ne wataba n’omu eyakitegeera.
20 (DE)Awo abasajja ba Abusaalomu bwe batuuka ew’omukyala ku nnyumba, ne bamubuuza nti, “Akimaazi ne Yonasaani bali ludda wa?” N’abaddamu nti, “Basomose akagga ak’amazzi.” Abasajja ne babanoonyako naye ne batalaba muntu yenna, ne baddayo e Yerusaalemi.
21 Abasajja bwe baagenda, abaali beekwese ne bava mu luzzi ne bagenda ne bategeeza kabaka Dawudi. Ne bamugamba nti, “Golokoka osomoke mangu omugga, kubanga Akisoferi ateeseteese bw’ati ne bw’ati.” 22 Awo Dawudi n’abantu bonna abaali naye ne bagolokoka ne basomoka Yoludaani; we bwakeerera nga tewali n’omu atasomose Yoludaani.
23 (DF)Akisoferi bwe yalaba nga amagezi ge tegagobereddwa, ne yeebagala endogoyi ye, n’agenda ewuwe mu kyalo kye waabwe. N’ateekateeka ennyumba ye, n’oluvannyuma ne yeetuga. N’aziikibwa mu ntaana ya kitaawe.
24 (DG)Dawudi n’agenda e Makanayimu, ne Abusaalomu n’abasajja bonna aba Isirayiri ne basomoka Yoludaani. 25 (DH)Abusaalomu n’alonda Amasa okuba omuduumizi w’eggye mu kifo kya Yowaabu. Amasa yali mutabani wa Isira Omuyisimayiri eyawasa Abbigayiri muwala wa Nakasi muganda wa Zeruyiya nnyina Yowaabu. 26 Abayisirayiri ne Abusaalomu ne basiisira mu nsi ya Gireyaadi.
27 (DI)Dawudi bwe yatuuka e Makanayimu, Sobi mutabani wa Nakasi ow’e Labba eky’Abamoni, ne Makiri[g] mutabani wa Ammiyeri ow’e Lodebali, ne Baluzirayi Omugireyaadi ow’e Logerimu, 28 ne bamuleetera ebyokwebikka, n’ebibya, n’entamu, n’eŋŋaano, ne sayiri, n’obutta, n’eŋŋaano ensiike, n’ebijanjaalo, n’empindi, ne mpokya omusiike, 29 (DJ)n’omubisi gw’enjuki, n’omuzigo, n’endiga, ne bbongo, ne babiwa Dawudi n’abantu be okulya. Ne boogera nti, “Abantu enjala ebaluma, era bakooye, n’ennyonta ebalumidde mu ddungu.”
Okufa kwa Abusaalomu
18 Awo Dawudi n’akuŋŋaanya abasajja be yalina, n’abalondamu abaduumizi b’enkumi n’abaduumizi b’ebikumi. 2 (DK)Dawudi n’abalagira bagende, ekimu kya kusatu nga kiduumirwa Yowaabu, ekimu kya kusatu ekirala nga kiduumirwa muganda wa Yowaabu, Abisaayi batabani wa Zeruyiya, n’ekimu kya kusatu ekirala nga kiduumirwa Ittayi Omugitti. Kabaka n’agamba abasajja nti, “Nange n’agenda nammwe.”
3 (DL)Naye abasajja ne boogera nti, “Toteekwa kugenda naffe, kubanga ffe bwe tunadduka tebaatufeeko. Ekitundu ku ffe ne bwe tunaafa tebaafeeyo. Ggwe olimu abantu omutwalo gumu ku ffe ffenna. Ekisinga obulungi weeteeketeeke okutudduukirira ng’osinziira mu kibuga.” 4 Kabaka n’addamu nti, “Kye musiimye kye nnaakola.” Awo kabaka n’ayimirira ku mabbali ga wankaaki, ng’eggye lyonna likumba okufuluma mu bibinja eby’ekikumi n’eby’olukumi. 5 Kabaka n’alagira Yowaabu, ne Abisaayi ne Ittayi ng’ayogera nti, “Omuvubuka Abusaalomu mumukwate n’ekisa ku lwange.”
Abantu bonna ne bawulira kabaka ng’awa abaduumizi bonna ebiragiro ebikwata ku Abusaalomu. 6 (DM)Awo eggye ne lifuluma ku ttale okulwana ne Isirayiri, olutalo ne luba mu kibira kya Efulayimu. 7 Abasajja ba Isirayiri ne bakubibwa abasajja ba Dawudi, era bangi ne battibwa ku lunaku olwo. Baawera ng’emitwalo ebiri. 8 Olutalo ne lubuna ensi yonna, abantu bangi ne bafiira mu kibira okusinga n’abattibwa n’ekitala.
9 (DN)Awo Abusaalomu n’asisinkana n’abasajja ba Dawudi. Yali yeebagadde ennyumbu ye. Ennyumbu n’eyita wansi w’amatabi amangi ag’omwera omunene, omutwe gwa Abusaalomu ne gulaaliramu, n’asigala ng’alengejja mu bbanga, ennyumbu gye yali yeebagadde n’egenda mu maaso. 10 Omu ku basajja bwe yakiraba n’ategeeza Yowaabu nti, “Laba nnalengedde Abusaalomu ng’awanikiddwa ku mwera.” 11 (DO)Yowaabu n’agamba omusajja eyajja okumubuulira nti, “Kiki, wamulabye? Kiki ekyakulobedde okumuttirawo? N’andikusasudde gulaamu kikumi mu kkumi na ttaano eza ffeeza ne nkuwa n’olukoba olw’obuzira.”
12 Naye omusajja n’amuddamu nti, “Ne bwe wandinsasudde kilo kkumi n’emu eza ffeeza, sandigololedde mukono gwange ku mwana wa kabaka. Ffenna twawulidde kabaka ng’abalagira ggwe, Abisaayi ne Ittayi nti, ‘Waleme okubaawo omuntu yenna anaakola Abusaalomu akabi ku lwange.’ 13 (DP)Kale singa mmusse ne ngwa mu mitawaana, tewandimpolerezza, kubanga omanyi nga tewali kigambo ekikwekebwa kabaka.”
14 (DQ)Yowaabu n’ayogera nti, “Sirina bbanga lya kukwonoonerako.” N’addira obusaale busatu n’abulasa mu kifuba kya Abusaalomu ng’akyali mulamu mu mwera. 15 (DR)N’abavubuka kkumi abaasitulanga ebyokulwanyisa bya Yowaabu ne beetooloola Abusaalomu ne bamukuba ne bamutta.
16 (DS)Awo Yowaabu n’afuuwa ekkondeere, eggye ne lireka okugoberera Isirayiri kubanga Yowaabu yabayimiriza. 17 (DT)Ne batwala Abusaalomu, ne bamusuula mu lunnya oluwanvu mu kibira, ne bamutuumako amayinja. Isirayiri yenna ne badduka nga buli muntu adda ewuwe.
18 (DU)Mu bulamu bwe, Abusaalomu yaddira empagi n’agiteeka mu kiwonvu kya kabaka ng’ekijjukizo kye; n’ayogera nti, “Sirina mwana wabulenzi kwe balijjuukirira erinnya lyange.” Empagi n’agituuma erinnya lye, era eyitibwa kijjukizo kya Abusaalomu ne leero.
Dawudi Akungubagira Abusaalomu
19 (DV)Akimaazi mutabani wa Zadooki n’ayogera nti, “Ka nziruke, ntwalire kabaka amawulire nga Mukama bw’amulokodde mu mukono gw’omulabe we.” 20 Naye Yowaabu n’amugamba nti, “Si ggwe onootwala amawulire leero. Oligatwala olunaku olulala olutali lwa leero, kubanga mutabani wa kabaka afudde.”
21 Awo Yowaabu n’agamba omusajja Omukusi nti, “Genda otegeeze kabaka by’olabye.” Omukusi n’avuunama mu maaso ga Yowaabu n’adduka. 22 Akimaazi mutabani wa Zadooki n’agamba Yowaabu nate nti, “Nkwegayiridde, nzikiriza mmale gagoberera Omukusi.” Yowaabu n’amuddamu nti, “Mutabani wange, kiki ekinaaba kikutwala ate nga tolina mawulire g’onootwala aganakuweesa ekirabo?” 23 N’ayogera nti, “Ka mmale gagenda.”
Awo Yowaabu n’amugamba nti, “Dduka.” Akimaazi n’addukira mu kkubo ery’olusenyi lwa Yoludaani n’ayisa Omukusi.
24 (DW)Awo Dawudi yali atudde wakati w’emiryango ebiri ogw’omunda n’ogw’ebweru, omukuumi n’alinnya waggulu ku wankaaki ku bbugwe. Bwe yayimusa amaaso ge n’alengera omusajja ng’ajja adduka yekka. 25 Omukuumi n’ayogerera waggulu n’ategeeza kabaka. Awo kabaka n’amugamba nti, “Bw’aba ng’ali yekka ateekwa okuba ng’aleeta mawulire malungi.” Omusajja n’asembera.
26 (DX)Omukuumi n’alengera omusajja omulala ng’ajja adduka, n’akoowoola omuggazi nti, “Laba omusajja omulala ajja adduka yekka.” Kabaka n’ayogera nti, “Naye ateekwa okuba ng’aleeta mawulire malungi.”
27 (DY)Awo omukuumi n’ayogera nti, “Kindabikira nga enziruka ey’oli akulembedde eri ng’eya Akimaazi mutabani wa Zadooki.” Kabaka n’ayogera nti, “Oyo musajja mulungi era ajja n’amawulire malungi.”
28 Awo Akimaazi n’ayogerera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba kabaka nti, “Byonna birungi.” N’avuunama mu maaso ga kabaka, ne yeeyala wansi n’ayogera nti, “Yeebazibwe Mukama Katonda wo, azikirizza abasajja abayimusizza omukono ku mukama wange kabaka.”
29 Awo kabaka n’abuuza nti, “Omuvubuka Abusaalomu ali bulungi?” Akimaazi n’addamu nti, “Yowaabu bwe yabadde ng’anaatera okutuma omuddu wa kabaka, nange omuddu wo, nalabye oluyoogaano olunene, naye saategedde kyabadde wo.”
30 Kabaka n’amugamba nti, “Ggwe dda wabbali.” N’adda wabbali n’ayimirira awo.
31 Awo Omukusi n’atuuka, n’ayogera nti, “Wulira amawulire amalungi mukama wange kabaka. Mukama akulokodde leero mu mukono gw’abo bonna abakuyimukiramu.”
32 (DZ)Kabaka n’abuuza Omukusi nti, “Omuvubuka Abusaalomu mulamu?” Omukusi n’addamu nti, “Ekituuse ku muvubuka oyo, kituuke ku balabe ba mukama wange kabaka, n’abo bonna abamuyimukiramu okumukola akabi.”
33 (EA)Kabaka n’afuna ensisi, n’ayambuka mu kisenge ekyali waggulu wa wankaaki, n’akaaba. N’agenda nga bw’ayogera nti, “Mutabani wange Abusaalomu, mutabani wange, mutabani wange Abusaalomu. Singa nze nfudde mu kifo kyo, Abusaalomu, mutabani wange!”
19 Yowaabu n’ategeezebwa nti, “Kabaka akaaba era akungubagira Abusaalomu.” 2 Ku lunaku olwo obuwanguzi ne bufuuka okukungubaga eri abantu bonna, kubanga baawulira nti, “Kabaka anakuwadde olwa mutabani we.” 3 Abantu ne bebbirira ne bayingira mu kibuga, ng’abantu abakwatiddwa ensonyi bwe bafaanana nga badduse mu lutalo. 4 Kabaka n’abikka amaaso ge n’akaaba n’eddoboozi ddene nti, “Mutabani wange Abusaalomu! Woowe Abusaalomu mutabani wange!”
5 Awo Yowaabu n’alaga mu nnyumba kabaka gye yali n’amugamba nti, “Leero oswazizza abaweereza bo, abawonyezza obulamu bwo, n’obulamu bwa batabani bo ne bawala bo, n’obulamu bwa bakyala bo n’abazaana bo. 6 Oyagala abakukyawa ate n’okyawa abakwagala. Leero okikakasizza ng’abaduumizi n’abaweereza si kintu gy’oli. Era kindabikira nga singa Abusaalomu abadde mulamu, ffe ffenna nga tufudde leero, wandisanyuse. 7 (EB)Kale nno golokoka ogende ogumye emyoyo gy’abaweereza bo, kubanga nkulayirira eri Mukama, nga bwe wataabeewo musajja n’omu anaasigala naawe ekiro kya leero. Ekyo kye kirisingako obubi okusinga obubi bwonna bwe wali olabye okuva mu buto bwo.”
8 (EC)Awo kabaka n’agolokoka, n’addira entebe ye n’agiteeka mu mulyango ogwa wankaaki, bonna ne bajja gy’ali.
Dawudi Addayo e Yerusaalemi
Mu kiseera ekyo Abayisirayiri baali baddukidde buli muntu ewuwe. 9 (ED)Abantu bonna mu bika byonna ebya Isirayiri baali bakaayana nga boogera nti, “Kabaka yatuwonya mu mukono gw’abalabe baffe, n’atuwonya ne mu mukono gw’Abafirisuuti, kaakano adduse Abusaalomu n’ava mu nsi. 10 Naye Abusaalomu gwe twalonda okutufuga afiiridde mu lutalo. Kaakano kiki ekitulobera okukomyawo kabaka?”
11 (EE)Awo kabaka Dawudi n’atumira Zadooki ne Abiyasaali bakabona nti, “Mubuuze abakadde ba Yuda nti, ‘Lwaki mmwe musembayo okukomyawo kabaka mu lubiri lwe, ebigambo nga byatuuse dda ku kabaka okuva mu Isirayiri yenna? 12 Mmwe muli baganda bange, mubiri gwange era musaayi gwange, naye lwaki mmwe musembayo okukomyawo kabaka?’ 13 (EF)Ate mugambe ne Amasa nti, ‘Toli mubiri gwange era musaayi gwange? Katonda ankole bw’atyo n’okukirawo, bw’otobeere muduumizi wa ggye lyange mu kifo kya Yowaabu okuva ne kaakano.’ ”
14 N’awamba emitima gy’abantu bonna aba Yuda ne baba omuntu omu, ne baweereza obubaka eri kabaka nti, “Mukomeewo, ggwe n’abaweereza bo bonna.” 15 (EG)Awo kabaka n’addayo n’atuuka ku Yoludaani. Abantu ba Yuda ne bajja e Girugaali okusisinkana kabaka, n’okumusomosa Yoludaani. 16 (EH)Simeeyi mutabani wa Gera Omubenyamini ow’e Bakulimu n’aserengeta mangu n’abasajja ba Yuda okusisinkana kabaka Dawudi. 17 (EI)Yagenda n’Ababenyamini lukumi, ne Ziba omuddu w’ennyumba ya Sawulo ne batabani be kkumi na bataano n’abaweereza be amakumi abiri. Ne banguwa okulaga ku Yoludaani kabaka gye yali. 18 Ne basomosa ennyumba ya Dawudi, era ne bakola ng’okusiima kwe bwe kwali.
Awo Simeeyi mutabani wa Gera n’asomoka Yoludaani, n’agwa bugazi mu maaso ga kabaka, 19 (EJ)n’amwegayirira ng’agamba nti, “Mukama wange ansonyiwe, aleme okujjukira ebisobyo bye nakola ku lunaku luli, mukama wange kabaka lwe yava mu Yerusaalemi. Kabaka aleme okukijjukira. 20 Kubanga nze omuweereza wo mmanyi nga nayonoona, naye leero mu nnyumba eya Yusufu nze nsoose okujja okusisinkana mukama wange kabaka.”
21 (EK)Awo Abisaayi mutabani wa Zeruyiya n’ayogera nti, “Lwaki Simeeyi tattibwa olw’okukolimira omulonde wa Mukama?” 22 (EL)Naye Dawudi n’amuddamu nti, “Kiki ekitugatta nze nammwe batabani ba Zeruyiya, mulyoke mufuuke abalabe bange olwa leero? Lwaki omuntu yenna attibwa mu Isirayiri olwa leero, ate nga mmanyi nga nze kabaka wa Isirayiri leero?” 23 (EM)Awo kabaka n’agamba Simeeyi nti, “Tojja kufa.” Era kabaka n’amulayirira.
24 (EN)Mefibosesi muzzukulu wa Sawulo naye n’aserengeta okusisinkana kabaka; yali tanaabanga bigere bye newaakubadde okumwa ekirevu kye newaakubadde okwoza engoye ze, okuva ku lunaku kabaka lwe yagenderako okutuusa ku lunaku lwe yakomawo emirembe. 25 (EO)Awo bwe yatuuka okuva e Yerusaalemi n’asisinkana kabaka, kabaka n’amubuuza nti, “Kiki ekyakulobera okugenda nange Mefibosesi?”
26 (EP)N’addamu nti, “Mukama wange, kabaka, okimanyi nga omuweereza wo mulema. Nagamba omuddu wange nti, ‘Ntekerateekera endogoyi, njebagale, ŋŋende ne kabaka,’ naye n’ambuzaabuza, n’abulawo. 27 (EQ)Yajja eri mukama wange kabaka n’ayogera ku muddu wo ebya kalebule. Naye mukama wange kabaka ali nga malayika wa Katonda, noolwekyo kola nga bw’osiima. 28 (ER)Ab’ennyumba ya jjajjange bonna baali basaanira kufa bufi mu maaso ga mukama wange kabaka, naye nange n’omala gansaasira n’onzikiriza okuba ku abo abatuula ku mmeeza yo. Kale kiki kye sifunye okuva eri kabaka?”
29 Awo kabaka n’amugamba nti, “Lwaki weeyongera okweyogerako? Ndagidde kaakano, ggwe ne Ziba mugabane ettaka eryo.” 30 Mefibosesi n’agamba kabaka nti, “Atwale lyonna, kubanga mukama wange kabaka akomyewo mirembe mu bwakabaka bwe.”
31 (ES)Baluzirayi Omugireyaadi naye n’aserengeta okuva e Logerimu n’agenda okusomosa kabaka, Yoludaani. 32 (ET)Baluzirayi yali musajja mukadde nnyo, ng’awezezza emyaka kinaana, era yali agabiridde kabaka ebyokulya we yabeerera e Makanayimu kubanga yali musajja mugagga nnyo. 33 Awo kabaka n’agamba Baluzirayi nti, “Somoka nange, tugende ffenna e Yerusaalemi, n’akulabiriranga.”
34 Naye Baluzirayi n’addamu kabaka nti, “Nnina ennaku meka okuba omulamu, ndyoke ŋŋende ne kabaka e Yerusaalemi? 35 (EU)Mpezezza emyaka kinaana, olowooza nkyayinza okwawula ekirungi n’ekibi? Olowooza nga omuddu wo akyayinza okutegeera ky’alya ne ky’anywa? Nkyayinza okuwuliriza amaloboozi g’abasajja abayimba n’abakyala abayimbi? Lwaki nzitoowerera mukama wange kabaka? 36 Omuweereza wo anasomosa busomosa kabaka, Yoludaani, naye nga siraba kiki enkimpeesa empeera eyenkana awo. 37 (EV)Nkwegayiridde, kkiriza omuddu wo addeyo, nfiire mu kibuga kyange okumpi n’ebiggya bya kitange ne mmange. Naye omuddu wo Kimamu wuuyo. Leka asomoke ne mukama wange kabaka, onoomukolera byonna nga bw’onoosiima.”
38 Kabaka n’ayogera nti, “Kale Kimamu anaasomoka nange, era ndimukolera nga bw’olisiima; ne kyonna ky’onooyagala n’akikukolera.”
39 (EW)Awo abantu bonna ne basomoka Yoludaani, kabaka n’asomoka nabo. Kabaka n’anywegera Baluzirayi n’amusabira omukisa, n’addayo ewuwe. 40 Kabaka n’agenda e Girugaali ne Kimamu n’agenda naye; abantu bonna aba Yuda, n’ekimu kyakubiri ku bantu ba Isirayiri ne bawerekera kabaka.
41 (EX)Oluvannyuma lwe bbanga ttono, abasajja bonna aba Isirayiri ne bagenda eri kabaka, ne bagamba kabaka nti, “Lwaki baganda baffe, abasajja aba Yuda, babba kabaka, ne bamutwala ye n’ennyumba ye, ne bamusomosa Yoludaani n’abasajja be?”
42 Abasajja bonna aba Yuda ne baddamu abasajja ba Isirayiri nti, “Ekyo twakikola kubanga tuli ba musaayi gumu naye. Kiki ekibatabudde mu nsonga eyo? Tulina bye tulidde ku bya kabaka? Oba mulowooza nga tulina ebirabo bye tugabanye?”
43 (EY)Awo abasajja ba Isirayiri ne baddamu abasajja ba Yuda nti, “Okusooka byonna, obwakabaka tubulinamu emigabo kkumi. N’ekyokubiri, Dawudi wa ku luganda lwaffe n’okusinga mmwe. Kale lwaki mwatunyooma? Si ffe twasooka okwogera ku ky’okukomyawo kabaka waffe?”
Naye ebigambo eby’abasajja ba Yuda ne biba bisongovu nnyo n’okusinga ebigambo eby’abasajja ba Isirayiri.
Seba Ajeemera Dawudi
20 (EZ)Waaliwo omusajja omujeemu erinnya lye Seba, mutabani wa Bikuli, Omubenyamini. Yafuuwa ekkondeere n’ayogerera n’eddoboozi ery’omwanguka nti,
“Tetulina mugabo mu Dawudi,
so tetulina busika mu mutabani wa Yese!
Buli muntu adde mu weema ye, ggwe Isirayiri!”
2 Awo abantu ba Isirayiri bonna ne balekulira Dawudi ne bagoberera Seba mutabani wa Bikuli. Naye abantu ba Yuda bo ne basigala ne kabaka waabwe, okuva ku Yoludaani okutuuka e Yerusaalemi. 3 (FA)Dawudi bwe yadda mu lubiri lwe e Yerusaalemi, n’addira abakyala be ekkumi be yali alese okulabirira olubiri n’abasibira mu kkomera. N’abagabirira mu byokulya kwabwe, naye n’atebaka nabo. Ne baggalirwa eyo okutuusa lwe baafa, nga bali nga bannamwandu.
4 (FB)Awo kabaka n’agamba Amasa nti, “Nkuŋŋaanyiza abasajja ba Yuda mu nnaku ssatu, naawe obeerewo.” 5 Naye Amasa bwe yagenda okukola ky’alagiddwa, n’atwala ekiseera kiwanvu okusinga kabaka kye yali amuwadde. 6 (FC)Dawudi n’agamba Abisaayi nti, “Seba mutabani wa Bikuli alitukola akabi okusinga Abusaalomu bwe yakola. Noolwekyo twala abasajja ba mukama wo omugoberere aleme okuddukira mu bibuga ebiriko bbugwe, n’atusimatuka.” 7 (FD)Awo abasajja ba Yowaabu, n’Abakeresi, n’Abaperesi, n’abaserikale abazira bonna, ne bava mu Yerusaalemi ne bagenda okunoonya Seba mutabani wa Bikuli nga baduumirwa Abisaayi.
8 (FE)Bwe baatuuka ku lwazi olunene mu Gibyoni, Amasa n’ajja okubasisinkana. Yowaabu yali yeesibye ebyambalo bye eby’olutalo, ne mu kiwato nga yeesibye olukoba olwaliko ekitala ekyali mu kiraato kyakyo. Bwe yasituka, ne kisowoka mu kiraato kyakyo ne kigwa wansi.
9 Yowaabu n’alamusa Amasa ng’ayogera nti, “Mirembe, muganda wange?” Yowaabu n’akwata Amasa ekirevu n’omukono gwe ogwa ddyo, n’aba nga agenda okumunywegera. 10 (FF)Naye Amasa n’atassaayo mwoyo okwekuuma ekitala ekyali mu mukono gwa Yowaabu; Yowaabu n’akimufumita mu lubuto, n’ayiwa ebyenda bye wansi. N’atamufumita lwakubiri, Amasa bw’atyo n’afa. Awo Yowaabu ne muganda we Abisaayi ne beeyongera okugoberera Seba mutabani wa Bikuli.
11 Omu ku basajja ba Yowaabu n’ayimirira okumpi n’omulambo gwa Amasa n’ayogera nti, “Buli ayagala Yowaabu, era buli ali ku luuyi lwa Dawudi, agoberere Yowaabu.” 12 (FG)Omulambo gwa Amasa ne gubeera mu musaayi gwe nga gukulukunyirizibwa omwo wakati mu luguudo. Ne wabaawo omusajja eyalaba nga buli eyatuukanga awali omulambo gwa Amasa ng’ayimirira; omusajja oyo n’agusitula n’aguggya mu luguudo n’agutwala ebbali mu nsiko, n’agusuulako olugoye. 13 Awo omulambo gwa Amasa bwe gwaggyibwa mu kkubo abantu bonna ne beeyongerayo ne Yowaabu okugoberera Seba mutabani wa Bikuli.
14 (FH)Seba n’ayita mu bika byonna ebya Isirayiri ng’abakunga okutuuka mu Aberi eky’e Besumaaka, n’ayita ne mu kitundu kyonna eky’Ababeri ne bakuŋŋaanira gy’ali ne bamugoberera. 15 (FI)Eggye lyonna eryali ne Yowaabu, ne bazingiza Seba mu Aberi eky’e Besumaaka. Ne bakola ebifunvu okutuuka ku kibuga n’okwolekera ekigo. Bwe baali nga bakyamenya bbugwe, 16 (FJ)ne wavaayo omukazi ow’amagezi mu kibuga, n’akoowoola ng’ayogera nti, “Muwulirize. Muwulirize! Mugambe Yowaabu ajje wano, mbeeko kye mmugamba.” 17 Yowaabu n’agenda okumpi ne we yali, omukazi n’amubuuza nti, “Ggwe Yowaabu?”
N’addamu nti, “Nze nzuuyo.”
N’amugamba nti, “Wuliriza omuweereza wo by’anaayogera.”
N’addamu nti, “Mpuliriza.”
18 N’ayongera n’ayogera nti, “Edda baayogeranga nti, ‘Bw’oba ng’olina ky’obuuza genda mu Aberi,’ era ekyo kye ky’amalanga ensonga. 19 (FK)Ffe bantu abaagazi b’emirembe era abeesigwa mu Isirayiri. Mwagala okuzikiriza ekibuga, nnyina w’abaana mu Isirayiri. Lwaki oyagala okumira obusika bwa Mukama?”
20 Yowaabu n’addamu nti, “Kikafuuwe, nze okumira ekibuga kino newaakubadde okukizikiriza. 21 (FL)Si bwe kiri. Waliwo omusajja erinnya lye ye Seba, mutabani wa Bikuli, ow’omu nsi ey’ensozi eya Efulayimu, agolodde omukono gwe eri kabaka Dawudi. Bwe munaamuwaayo oyo omu yekka, nange nzija kulekayo okubalumba.”
22 (FM)Omukazi n’agamba Yowaabu nti, “Omutwe gwe gunaakasukibwa gy’oli ku bbugwe.” Awo omukazi n’agenda n’ekiteeso kye eri abantu bonna, ne basalako omutwe gwa Seba mutabani wa Bikuli, ne bagusuulira Yowaabu. Yowaabu n’afuuwa ekkondeere, abasajja be ne bava ku kibuga ne basaasaana, bonna ne baddayo ewaabwe. Yowaabu ye n’addayo eri kabaka mu Yerusaalemi.
23 (FN)Yowaabu yali muduumizi wa ggye lya Isirayiri,
ne Benaya mutabani wa Yekoyaada nga y’akulira Abakeresi, n’Abaperesi.
24 (FO)Adolaamu ye yakuliranga abapakasi,
Yekosafaati mutabani wa Akirudi ye yali omujjukiza.
25 (FP)Seva ye yali omuwandiisi,
Zadooki ne Abiyasaali nga be bakabona,
26 ne Ira Omuyayiri nga ye kabona wa Dawudi.
Dawudi Atangirira Abagibyoni
21 (FQ)Awo mu mirembe gya Dawudi ne waba enjala okumala emyaka esatu, Dawudi ne yeeyongera nnyo okunoonya Mukama. Mukama n’ayogera nti, “Ennyumba ya Sawulo ejjudde omusaayi, kubanga yatta Abagibyoni.”
2 (FR)Kabaka n’akuŋŋaanya Abagibyoni[h] n’ayogera gye bali. (Abagibyoni tebaali Bayisirayiri naye baali bakaawonawo ab’oku baana b’Abamoli. Abayisirayiri baali babalayiridde obutabakola kabi, naye Sawulo olw’obuggya bwe yalina n’agezaako okubazikiriza ku lwa Isirayiri ne Yuda.) 3 (FS)Dawudi n’abuuza Abagibyoni nti, “Mbakolere ki? Nnaabatangirira ntya, mmwe okuwa Isirayiri, obusika bwa Mukama omukisa?” 4 (FT)Abagibyoni ne bamuddamu nti, “Kye twetaaga okuva eri Sawulo oba ennyumba ye, si kigambo kya ffeeza oba zaabu, so tetulina buyinza kutta muntu yenna mu Isirayiri.” Dawudi n’ababuuza nti, “Kiki kye mwagala mbakolere?” 5 Ne baddamu kabaka nti, “Ku lw’omusajja eyatuyigganyanga n’ayagala okutuuzikiriza, ne tubulwako ne we tubeera mu Isirayiri, 6 (FU)tuwe musanvu ku batabani be tubatte tubaanike mu maaso ga Mukama e Gibea ekya Sawulo, omulonde wa Mukama.” Kabaka n’ayogera nti, “Ndibabawa.”
7 (FV)Kabaka n’alekawo Mefibosesi mutabani wa Yonasaani, mutabani wa Sawulo. 8 (FW)Naye kabaka n’addira Alumoni ne Mefibosesi batabani ba Lizupa muwala wa Aya bombi be yazaalira Sawulo, ne batabani ba Mikali[i] muwala wa Sawulo be yazaalira Abuliyeri mutabani wa Baluzirayi Omumekolasi Sawulo be yalabiriranga bataano, n’abawaayo. 9 (FX)N’abawaayo eri Abagibyoni, ne babatta ne babaanika ku lusozi mu maaso ga Mukama. Bonna omusanvu ne battibwa mu nnaku ezaasooka ez’amakungula nga batandika amakungula ga sayiri.
10 (FY)Lizupa muwala wa Aya n’addira ebibukutu, n’abyaliira ku lwazi, okuva ku ntandikwa ey’amakungula okutuusa enkuba lwe yatonnya okuva mu ggulu, n’ataganya nnyonyi za mu bbanga newaakubadde ensolo enkambwe okulya emirambo gyabwe emisana oba ekiro. 11 Dawudi bwe yategeezebwa, Lizupa omuzaana wa Sawulo, muwala wa Aya, kye yakola, 12 (FZ)n’agenda, n’aggya amagumba ga Sawulo n’aga mutabani we Yonasaani ku bantu ab’e Yabesugireyaadi, Abafirisuuti gye baagawanika, ku lunaku kwe battira Sawulo e Girubowa, abaali bagatutte mu bubba mu kifo ekigazi eky’abantu bonna e Besusani. 13 Dawudi n’aggyayo amagumba ga Sawulo n’aga mutabani we Yonasaani, n’agakuŋŋaanya n’amagumba g’abo abattibwa ne baanikibwa.
14 (GA)Ne baziika amagumba ga Sawulo n’aga mutabani we Yonasaani mu ntaana ya Kiisi kitaawe wa Sawulo, e Zeera mu nsi ya Benyamini, ne bakola byonna kabaka bye yalagira. Oluvannyuma Katonda n’addamu okusaba kw’ensi.
Entalo n’Abafirisuuti
15 (GB)Ne waba nate olutalo wakati w’Abafirisuuti n’Abayisirayiri. Dawudi n’aserengeta n’abasajja be okulwana n’Abafirisuuti, n’akoowa nnyo. 16 Awo Isubibenobu omu ku bazzukulu b’agasajja agawanvu yalina effumu ng’obuzito bw’omutwe gw’alyo kilo ssatu n’ekitundu ng’alina n’ekitala ekiggya, n’ayogera nti agenda okutta Dawudi. 17 (GC)Naye Abisaayi mutabani wa Zeruyiya n’adduukirira Dawudi, n’alumba Omufirisuuti, n’amutta. Awo abasajja ba Dawudi ne bamulayirira nti, “Tokyatabaala naffe ettaala ya Isirayiri ereme okuzikira.”
18 (GD)Bwe waayitawo ebbanga ne wabaawo olutalo olulala n’Abafirisuuti e Gobu. Sibbekayi[j] Omukusasi n’atta Safu omu ku bazzukulu b’agasajja gali agawanvu. 19 (GE)Ne wabaawo nate olutalo olulala n’Abafirisuuti e Gobu, Erukanani[k] mutabani wa Yayiri Omubesirekemu n’atta muganda wa Goliyaasi Omugitti eyalina olunyago lw’effumu olwali ng’omuti ogulukirwako engoye.
20 Ne waba olutalo olulala e Gaasi, ne wabaayo omusajja omuwanvu ennyo eyalina engalo mukaaga ku buli mukono n’ebigere mukaaga ku buli kigere, byonna awamu abiri mu bina. Era naye yali muzzukulu w’agasajja gali agawanvu ennyo. 21 (GF)Bwe yasoomooza Isirayiri, Yonasaani mutabani wa Simeeya, muganda wa Dawudi, n’amutta.
22 Abo abana baali bazzukulu b’agasajja gali agawanvu ennyo mu Gaasi, era bonna ne bagwa mu mukono gwa Dawudi ne basajja be.
Oluyimba lwa Dawudi olw’Okutendereza
22 (GG)Awo Dawudi n’ayimbira Mukama ebigambo eby’oluyimba luno, Mukama bwe yamulokola mu mukono gw’abalabe be ne mu mukono gwa Sawulo. 2 (GH)N’ayogera nti,
“Mukama lwe lwazi lwange, era ekigo kyange era omulokozi wange;
3 (GI)Katonda wange lwe lwazi lwange, omwo mwe neekweka,
ye ngabo yange era amaanyi ge bwe bulokozi bwange.
Kye kiddukiro kyange, mwe nneekweka era ye mulokozi wange;
ggwe ondokola eri abantu ababi.
4 (GJ)Nkaabira Mukama asaanidde okutenderezebwa,
n’andokola eri abalabe bange.
5 (GK)“Amayengo ag’okufa ganzingiza;
embuyaga ez’okusaanawo zansaanikira.
6 (GL)Ebisiba eby’amagombe byanneetooloola;
n’emitego gy’okufa ne ginjolekera.
7 (GM)Mu nnaku yange nakoowoola Mukama;
nakoowoola Katonda wange.
Yawulira eddoboozi lyange ng’ali mu yeekaalu ye;
n’okukaaba kwange kwamutuukako.
8 (GN)“Ensi n’ekankana n’ejjugumira,
emisingi gy’eggulu ne ginyeenyezebwa,
ne gikankanyizibwa kubanga yali asunguwadde.
9 (GO)Omukka ne gunyooka okuva mu nnyindo ze,
n’omuliro ne guva mu kamwa ke,
n’amanda agaaliko omuliro ne gava mu ye.
10 (GP)Yayabuluza eggulu n’akka wansi;
ebire ebikutte nga biri wansi w’ebigere bye.
11 (GQ)Ne yeebagala kerubi n’abuuka,
n’aseeyeeyeza ku biwaawaatiro by’empewo.
12 Yafuula ekizikiza ekyamwetooloolanga okuba enkuufiira,
n’ebire ebikutte okuba ekitaba ky’amazzi.
13 (GR)Okumasamasa okwali mu maaso ge
kwayakisa amanda ag’omuliro.
14 (GS)Mukama yabwatuka ng’asinziira mu ggulu;
Ali Waggulu Ennyo n’ayogera mu ddoboozi lye.
15 (GT)Yalasa obusaale n’asaasaanya abalabe
n’okumyansa okw’eggulu, n’abawangula.
16 (GU)Ebiwonvu eby’omu nnyanja ne bibikkulwa
n’emisingi gy’ensi ne gyeruka
olw’okunenya kwa Mukama
n’olw’okubwatuka kw’omukka ogw’omu nnyindo ze.
17 (GV)“Yasinzira waggulu n’antwala
n’ansika mu mazzi amangi.
18 Yamponya abalabe bange ab’amaanyi abankyawa,
abo abaali bansinza amaanyi.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.