Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Bible in 90 Days

An intensive Bible reading plan that walks through the entire Bible in 90 days.
Duration: 88 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zekkaliya 11 - Matayo 4

11 (A)Ggulawo enzigi zo ggwe Lebanooni,
    omuliro gwokye emivule gyo.
(B)Kaaba ggwe omuberosi, kubanga emivule gigudde!
    Emiti emirungi ennyo gyonoonese.
Mukube ebiwoobe mmwe emyera gya Basani,
    kubanga ekibira ekikwafu kigudde.
(C)Wuliriza ebiwoobe by’abasumba,
    amalundiro gaabwe amalungi gazikirizibbwa.
Wuliriza okuwuluguma kw’empologoma.
    Omuddo omulungi oguli ku Yoludaani guzikirizibbwa.

Abasumba Ababiri

Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wange nti, “Lunda endiga zigejje ezinaatwalibwa okuttibwa. (D)Abo abazigula bazitta ne batabaako musango. N’abo abazitunda ne bagamba nti, ‘Mukama atenderezebwe ngaggawadde!’ Abasumba baazo bennyini tebazikwatirwa kisa. (E)Kubanga sikyaddayo kukwatirwa bantu ba nsi eno kisa,” bw’ayogera Mukama. “Ndiwaayo buli muntu okugwa mu mikono gya muliraanwa we, ne mu mikono gya kabaka we. Nabo balijooga ensi era sirigiwonya kuva mu mikono gwabwe.”

Awo ne nunda ekisibo ekyateekebwateekebwa okuttibwa, okusingira ddala ezaali zijoogebwa. Ne ntwala emiggo gy’abasumba ebiri, ogumu ne ngutuuma erinnya Kisa, omulala ne ngutuuma Kwegatta era ne ndiisa endiga. Mu mwezi gumu ne neegobako abasumba basatu, emmeeme yange ng’ebakyaye era nabo nga bankyaye. (F)Awo ne ndyoka ŋŋamba nti, “Siibeere musumba wammwe, ekinaafa leka kife, ekyokwonooneka kyonooneke, era leka ebyo ebisigaddewo biryaŋŋane, buli kimu kirye kinnaakyo.”

10 (G)Ne ndyoka nkwata omuggo gwange Kisa ne ngumenya, ne mmenya endagaano gye nnali nkoze n’abantu bonna. 11 Endagaano n’agikomya ku lunaku olwo era abasuubuzi b’endiga abaali bandaba ne bamanya nti ekyo kyali kigambo kya Katonda.

12 (H)Ne ndyoka mbagamba nti, “Bwe kiba nga kisaanidde mu maaso gammwe mumpe empeera yange; naye obanga temusiimye mulekeeyo.” Awo ne bambalira ensimbi eza ffeeza amakumi asatu.

13 (I)Awo Mukama n’aŋŋamba nti, “Zisuulire omubumbi,” omuwendo guno ogw’ekitalo gwe bansasula! Kale ne ntwala ensimbi amakumi asatu eza ffeeza ne nzisuulira omubumbi mu nnyumba ya Mukama.

14 Awo ne mmenya omuggo gwange ogwokubiri Kwegatta, okulaga nti obumu obwali wakati wa Yuda ne Isirayiri bwali bukomye. 15 Mukama n’alyoka aŋŋamba nti, “Twala nate ebintu eby’omusumba omusirusiru bye yandikozesezza. 16 Kubanga laba, nze nyimusizza omusumba mu nsi atafaayo ku ndiga ezizikirira era atanoonya zisaasaanye, era atayunga zimenyese wadde okuliisa ennamu, naye alya ensolo ensava ng’aziyuzaako ebinuulo.

17 (J)“ ‘Zimusanze omusumba wange ataliiko ky’agasa
    agayaalirira ekisibo!
Ekitala kifumite omukono gwe ogwa ddyo, kiggyemu n’eriiso lye erya ddyo!
    Omukono gwe gukalire ddala,
    n’eriiso lye erya ddyo lizibire ddala!’ ”

Okununulibwa kwa Yerusaalemi Okujja

12 (K)Kino ky’ekigambo kya Katonda ekikwata ku Isirayiri. Bw’ati bw’ayogera Mukama eyabamba eggulu era n’assaawo emisingi gy’ensi, era n’akola n’omwoyo gw’omuntu ogumulimu. (L)“Laba ŋŋenda okufuula Yerusaalemi ekikompe ekitagaza amawanga gonna ageetoolodde enjuuyi zonna. Yuda awamu ne Yerusaalemi birizingizibwa. (M)Awo ku lunaku olwo ndifuula Yerusaalemi ejjinja erizitowa eri amawanga gonna, ag’ensi agalikuŋŋaana okukizingiza. Abo bonna abaligezaako okuliggyawo, balyetusaako ebisago. (N)Ku lunaku olwo, bw’ayogera Mukama, ndikuba buli mbalaasi na buli muvuzi waayo ndimusuula eddalu. Ndikuuma ennyumba ya Yuda kyokka amaaso g’embalaasi za bannaggwanga ndigaziba. Awo abakulembeze ba Yuda baligamba mu mitima gyabwe nti, ‘Abantu b’omu Yerusaalemi ba maanyi, kubanga Mukama Katonda ow’Eggye ye Katonda waabwe.’

(O)“Ku lunaku olwo ndifuula abakulembeze ya Yuda ng’ogusigiri ogwaka ogwetooloddwa enku, ng’olumuli olw’omuliro mu makkati g’ebinywa. Balimalawo amawanga gonna ag’oku njuyi zonna, olw’oku kkono n’olw’oku ddyo; naye Yerusaalemi kirisigalawo, n’abantu baakyo mu kifo kyakyo awatali kunyeenyezebwa.

(P)Mukama alisooka kununula weema za Yuda, ekitiibwa ky’ennyumba ya Dawudi, n’ekitiibwa ky’abatuuze b’omu Yerusaalemi kireme kusukka ku kya Yuda. (Q)Ku lunaku olwo Mukama aliteeka obukuumi ku batuuze b’omu Yerusaalemi; abo abasembayo obunafu ku lunaku olwo babeere nga Dawudi, era ennyumba ya Dawudi ebeere ng’ennyumba ya Katonda, nga malayika wa Mukama abakulembeddemu. (R)Ku lunaku olwo ndizikiriza amawanga gonna agalumba Yerusaalemi.

10 (S)“Era ndifuka ku nnyumba ya Dawudi era ku batuuze ba Yerusaalemi Omwoyo ow’ekisa n’okwegayirira. Balintunuulira nze gwe baafumita: era balimukungubagira ng’omuntu bw’akungubagira omwana we omu yekka, era balimulumirwa nnyo omwoyo ng’omuntu bw’alumirwa mutabani we omubereberye. 11 (T)Ku lunaku olwo okukuba ebiwoobe kuliyitirira mu Yerusaalemi okwenkana ng’okwa Kadadulimmoni mu kiwonvu Megiddoni. 12 (U)Ensi erikungubaga, buli kika kyokka; ekika eky’ennyumba ya Dawudi ne bakazi baabwe kyokka, n’ekika ky’ennyumba ya Nasani ne bakazi baabwe bokka; 13 Ekika eky’ennyumba ya Leevi ne bakazi baabwe, n’ekika kya Simeeyi ne bakazi baabwe; 14 n’ebika byonna ebirala ebisigaddeyo ne bakazi baabwe.

13 (V)“Ku lunaku olwo ensulo z’amazzi ziriggulirwa ennyumba ya Dawudi n’abatuuze b’omu Yerusaalemi okubatukuza okuva mu kibi n’obutali bulongoofu.

(W)“Ku lunaku olwo, ndiggya amannya ga bakatonda abalala okuva mu nsi, galeme kuddayo kujjukirwa, era nzigye bannabbi n’omwoyo ogutali mulongoofu mu nsi,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye. (X)Era singa omuntu yenna awa obunnabbi, kitaawe ne nnyina abamuzaala bennyini balimugamba nti, “Oteekwa kufa kubanga oyogedde eby’obulimba mu linnya lya Mukama.” Bw’aliwa obunnabbi, bakadde be bennyini bamufumitanga.

(Y)“Ku lunaku olwo buli nnabbi alikwatibwa ensonyi olw’okwolesebwa kwe okw’obulimba; era tebalyambala kyambalo kyabwe eky’ebyoya okulimba abantu. (Z)Aligamba nti, ‘Siri nnabbi nze, ndi mulimi bulimi; era mu nnimiro mwe nkoledde emirimu gyange obulamu bwange bwonna.’ Era singa omuntu bamubuuza nti, ‘Ate bino ebiwundu ebiri ku mubiri gwo bya ki?’ Aliddamu nti, ‘Ebiwundu n’abifunira mu nnyumba ya mikwano gyange.’ ”

Isirayiri Ebonerezebwa

(AA)“Zuukuka, ggwe ekitala olwanyise omusumba wange,
    olwane n’omusajja annyimirira ku lusegere,”
    bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
“Kuba omusumba
    endiga zisaasaane
    nange ndiyimusa omukono gwange ku baana abato.
(AB)Mu nsi yonna,” bw’ayogera Mukama,
    “bibiri bya kusatu bye birikubwa bisaanewo,
    naye kimu kya kusatu kye kirisigalamu.
(AC)Ekitundu kino eky’ekimu ekyokusatu ndikireeta mu muliro,
    ne mbalongoosa ng’effeeza bw’erongoosebwa
    mbagezese nga zaabu bw’egezesebwa.
Balikoowoola erinnya lyange
    nange ndibaanukula.
Ndigamba nti, ‘Bantu bange,’
    era nabo baliddamu nti, ‘Mukama ye Katonda waffe.’ ”

Yerusaalemi enunulibwa Mukama

14 (AD)Olunaku lwa Mukama lujja, lwe muligabana bye mwanyaga.

(AE)Ndikuŋŋaanyiza amawanga gonna mu Yerusaalemi mu lutalo okukirwanyisa; ekibuga kiritwalibwa, enju zinyagibwe n’abakazi bakwatibwe. Kimu kyakubiri eky’ekibuga kiritwalibwa mu buwaŋŋanguse; naye abalala abalisigalawo tebaliggibwa mu kibuga.

(AF)Awo Mukama alivaayo n’alwanyisa amawanga gali nga bwe yalwana ku lunaku olw’olutalo. (AG)Ku lunaku olwo ebigere bye biriyimirira ku lusozi olwa Zeyituuni olwolekedde obuvanjuba bwa Yerusaalemi, era olusozi lwa Zeyituuni lulyabuluzibwamu ebitundu bibiri okuva Ebuvanjuba okudda Ebugwanjuba era lujjemu oguwonvu oguwanvu ennyo. Ekitundu ekimu eky’olusozi kidde mu Bukiikakkono ekirala mu Bukiikaddyo. (AH)Nammwe muliddukira mu kkubo ery’omu kiwonvu eky’olusozi lwange kubanga ekiwonvu kirisitulirwa waggulu era muddukanga nga bwe mwadduka musisi eyayita mu mirembe gya Uzziya, kabaka wa Yuda. Awo Mukama Katonda wange alijja n’abatukuvu be bonna.

(AI)Ku lunaku olwo teriba kitangaala, newaakubadde obunnyogovu wadde obutiti. (AJ)Naye luliba lunaku lwa njawulo, awataliba misana wadde kiro: olunaku olumanyiddwa Mukama. Obudde bwe buliwungeera walibaawo ekitangaala.

(AK)Ku lunaku olwo amazzi amalamu galikulukuta okuva mu Yerusaalemi; agamu gagende mu nnyanja ey’Ebuvanjuba n’amalala mu nnyanja ey’Ebugwanjuba; mu kyeya ne mu ttoggo.

Yuda Kabaka w’Ensi ow’Oku Ntikko

(AL)Mukama alibeera kabaka ow’ensi zonna: ku lunaku olwo Mukama alibeera omu yekka n’erinnya lye liribeera erinnya lyokka.

10 (AM)Ensi yonna okuva e Geba okutuuka e Limmoni ku luuyi olw’obukiikaddyo obwa Yerusaalemi; erifuuka nga Alaba naye Yerusaalemi kiriyimusibwa ne kisigala mu kifo kyakyo okuva ku mulongooti gwe Kananeri okutuuka ku masogolero ga kabaka. 11 (AN)Abantu balikibeeramu, tekigenda kuddayo kuzikirizibwa. Yerusaalemi kiriba kinywevu.

12 (AO)Ono ye kawumpuli Mukama gw’alikubisa amawanga gonna agaalwanyisa Yerusaalemi. Emibiri gyabwe girivunda nga bakyali balamu. Amaaso gabavundire mu biwanga, n’ennimi zibavundire mu kamwa. 13 (AP)Ku lunaku olwo Mukama alireetera abantu ekyekango eky’amaanyi. Buli muntu alikwata omukono gwa munne nga balwanagana. 14 (AQ)Ne Yuda alirwanira mu Yerusaalemi era obugagga bw’ensi zonna eziriraanyeewo bukuŋŋaanyizibwe, zaabu n’effeeza n’ebyambalo bingi nnyo nga nabyo bikuŋŋaanyizibbwa. 15 (AR)Era kawumpuli ng’oli aligwa ku mbalaasi, ne ku nnyumbu, ne ku ŋŋamira, n’endogoyi, ne ku nsolo zonna eziriba mu bisulo ebyo.

16 (AS)Abo abalisigalawo ku mawanga agaalumba Yerusaalemi banaayambukanga buli mwaka okusinza Mukama kabaka ow’Eggye era n’okukwatanga embaga ey’ensiisira. 17 (AT)Omuntu yenna mu nsi bw’ataagendenga Yerusaalemi kusinza Mukama Kabaka ow’Eggye, taafunenga nkuba. 18 (AU)Abamisiri bwe bataagendenga kwetabamu, tebaafunenga nkuba. Mukama anaabareeteranga kawumpuli, gwakubisa amawanga agatagenda kukwata mbaga ey’ensiisira. 19 Ekyo kye kinaabanga ekibonerezo kya Misiri n’amawanga gonna agataayambukenga kukwata mbaga ya nsiisira.

20 (AV)Ku lunaku olwo ekigambo kino, “kitukuvu eri Mukama Katonda,” kinaawandikibwa ku bide by’embalaasi era n’entamu ezifuumbirwamu mu nnyumba ya Mukama zinaabeeranga ng’ebibya ebitukuvu mu maaso g’ekyoto. 21 (AW)Weewaawo, buli nsuwa mu Yerusaalemi ne mu Yuda eneebanga ntukuvu mu maaso ga Mukama ow’Eggye; n’abo bonna abanajjanga okuwaayo ssaddaaka banaafumbiranga mu zimu ku ntamu ezo. Era ku lunaku olwo, waliba tewakyali Mukanani mu nnyumba ya Mukama ow’Eggye.

(AX)Buno bwe bubaka Mukama bwe yawa Malaki abutuuse eri abaana ba Isirayiri.

Okwagala kwa Mukama eri Isirayiri

(AY)“Nabaagala,” bw’ayogera Mukama.

“Naye mmwe ne mumbuuza nti, ‘Watwagala otya?’ 

“Esawu teyali muganda wa Yakobo?” bw’ayogera Mukama: “naye nze Yakobo gwe nayagala. (AZ)Esawu namukyawa ne nfuula ensi ye ey’ensozi okuba amatongo, obusika bwe ne mbuwa ebibe eby’omu ddungu.”

(BA)Singa Edomu, ekika ekyava mu Esawu kigamba nti, “Wadde tukubiddwa wansi naye tulidda ne tuzimba ebyagwa.”

Mukama ow’Eggye ayogera nti, “Bo balizimba, naye nze ndibimenya; era abantu banaabayitanga, ensi embi, era nti abantu Mukama be yanyiigira ennaku zonna. (BB)Era amaaso gammwe galiraba ne mwogera nti, ‘Mukama agulumizibwe okusukka ensalo ya Isirayiri.’

Ekibi kya Bakabona

(BC)“Omwana assaamu kitaawe ekitiibwa, n’omuddu atya mukama we. Kale obanga ddala ndi kitammwe, ekitiibwa kye munzisaamu kiri ludda wa? Era obanga ndi mukama wammwe, lwaki temuntya?” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.

Mukama ow’Eggye bw’abagamba mmwe nti, “Mmwe bakabona munyooma erinnya lyange.

“Ne mubuuza nti, ‘Twayonoona tutya?’ 

(BD)“Muwaayo ku kyoto kyange emmere eyonoonese.

“Kyokka ne mwebuuza nti, ‘Twakwonoona tutya?’ 

“Kubanga olujjuliro lwange mulufuula ekitagasa. (BE)Bwe muwaayo ensolo enzibe z’amaaso okuba ssaddaaka, muba temukoze kibi? Ate bwe muwaayo eziwenyera oba endwadde, ekyo si kibi? Kale nno mugezeeko okuzitonera omufuzi wammwe, anaabasanyukira? Ye anaafaayo okukutunulako?” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.

(BF)“Kale nno mbasaba mwegayirire Katonda, atukwatirwe ekisa, kubanga ebyo ffe twabyereetera. Nga muleese ebiweebwayo ebifaanana bityo, waliwo n’omu gw’ayinza okukkiriza?” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.

10 (BG)“Kale waakiri singa omu ku bakabona aggalawo enzigi muleme okukuma omuliro ku kyoto kyange ogw’obwereere! Sibasanyukira n’akatono,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye, “so sikkirize kiweebwayo kyonna ekiva mu mikono gyammwe. 11 (BH)Kubanga okuva enjuba gy’eva okutuusa gy’egwa erinnya lyange kkulu mu baamawanga; obubaane buweerwayo mu buli kifo eri erinnya lyange, nga kuliko n’ekiweebwayo ekirongoofu, kubanga erinnya lyange kkulu mu baamawanga,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.

12 (BI)“Naye mmwe bakabona muvumisa erinnya lyange mu baamawanga buli lukya nga mugamba nti kya Mukama okuwaayo emmere etesaana n’ebiweebwayo ku kyoto kyange. 13 (BJ)Era mwogera nti, ‘Nga tulabye;’ ne mugiwunyako ne mwetamwa, era ne mwesooza,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.

“Bwe muleeta ekinyage, n’ekiwenyera, n’ekirwadde, ebyo bye biweebwayo bye mulina okuleeta, mbikkirize?” bw’ayogera Mukama ow’Eggye. 14 (BK)“Buli mulimba yenna akolimirwe, oyo alina ennume mu kisibo kye eyeeyama okugiwaayo nga ssaddaaka eri Mukama naye n’awaayo ekintu ekiriko obulema: kubanga ndi Kabaka mukulu,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye, “n’erinnya lyange lya ntiisa mu baamawanga.”

Okulabula Bakabona

(BL)“Kale nno, mmwe bakabona, ekiragiro kino kyammwe. (BM)Bwe mutaakyuse ku mpisa zammwe n’engeri zammwe, bwe mutaafeeyo kuwa linnya lyange kitiibwa,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye, “kale ndibasindikira ekikolimo era emikisa gyammwe girifuuka ekikolimo. Ate ddala mmaze okubakolimira kubanga ebikulu gye ndi temubitaddeeko mwoyo.

(BN)“Kale laba, ndibonereza ezzadde lyammwe, mbasiige n’obusa mu maaso, obusa bwa ssaddaaka zammwe, era mbagobewo mu maaso gange. (BO)Olwo lwe mulimanya nga mbawadde ekiragiro kino, endagaano yange ne Leevi eryoke etuukirire,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye. (BP)“Endagaano eri mu mateeka ago yali egenderedde kuleeta bulamu na mirembe era n’embimuwa asobole okuntya, era n’antya n’ayimirira ng’atya erinnya lyange. (BQ)Amateeka ag’amazima gali mu kamwa ke era nga tewali bulimba busangibwa mu kamwa ke. Yatambula nange mu mirembe ne mu butuukirivu era n’aggya bangi mu kibi.

(BR)“Kubanga emimwa gy’abasumba gisaana okukuuma eby’amagezi ebya Katonda era abantu basaana okunoonya okutegeera okuva mu bo, kubanga be babaka ba Mukama ow’Eggye. (BS)Naye mwakyama ne muva mu kkubo; mwesittaza bangi olw’ebyo bye muyigiriza; mwayonoona endagaano ya Leevi,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye. (BT)“Noolwekyo nabafuula ekinyoomebwa era ekisekererwa mu maaso g’abantu bonna olw’obutagoberera makubo gange era musala emisango nga musaliriza.”

Okulabula eri Abatali Beesigwa mu Maka

10 (BU)Kale ffenna tetulina kitaffe omu? Si Katonda omu eyatutonda? Lwaki kale tetuli beesigwa eri bantu bannaffe, ne twonoona endagaano ya bakitaffe?

11 (BV)Yuda takuumye bwesigwa n’eby’omuzizo ne bikolebwa mu Isirayiri ne mu Yerusaalemi. Kubanga Yuda yayonoona ekifo kya Mukama ekitukuvu, ky’ayagala ennyo, bwe yawasa omuwala wa lubaale. 12 (BW)Buli muntu yenna akola kino, oba kabona oba muntu wa bulijjo, Mukama alimuggya mu kika kya Yakobo, newaakubadde ng’aleeta ebiweebwayo eri Mukama ow’Eggye!

13 (BX)Ekirala kye mukola kye kino: Ekyoto kya Mukama mukijjuzza amaziga, nga mukaaba nga mukuba ebiwoobe kubanga ebiweebwayo byammwe takyabifaako. 14 (BY)Kale mubuuza nti, “Lwaki tabifaako?” Kubanga Mukama yali mujulirwa wakati wo ne mukazi wo ow’omu buvubuka bwo, naye ggwe tewali mwesigwa, ng’olimbalimba newaakubadde nga yali munno era mukazi wo gwe walagaana naye endagaano.

15 (BZ)Katonda teyabafuula omu mu mwoyo? Era lwaki yabafuula omu? Kubanga yali anoonya ezzadde eriritya Katonda. Kale mwekuume nnyo waleme kubaawo agoba mukazi we, era alimbalimba mukazi we ow’omu buvubuka bwe.

16 (CA)“Kubanga nkyawa abafumbo okwawukana,” bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri, “n’omusajja ajooga mukazi we,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.

Kale mwekuumenga mu mwoyo gwammwe mubeerenga beesigwa.

Olunaku olw’Okusala Omusango

17 (CB)Mukama mumukooyezza n’ebigambo byammwe.

Naye mubuuza nti, “Tumukooyezza tutya?”

Kubanga mwogera nti buli akola ekibi, mulungi mu maaso ga Mukama, era abasanyukira; oba nti, “Ali ludda wa Katonda ow’obwenkanya?”

(CC)“Laba, ntuma omubaka wange, alinkulembera era alirongoosa ekkubo nga sinnajja: era Mukama gwe munoonya alijja mu yeekaalu ye nga tebamanyiridde; omubaka w’endagaano gwe musanyukira, laba ajja,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.

(CD)“Naye ani ayinza okugumiikiriza olunaku olw’okujja kwe, era ani aliyimirira ye bw’alirabika? Kubanga ali ng’omuliro gw’oyo alongoosa effeeza era nga sabbuuni ow’abayoza. (CE)Era alituula n’atunula ng’oyo alongoosa ffeeza n’agimalamu amasengere, era alirongoosa batabani ba Leevi, bakabona ba Katonda, era alibasengejja ng’ezaabu n’effeeza bwe bisengejjebwa; balyoke baweeyo ssaddaaka mu butuukirivu. (CF)Awo ekiweebwayo ekya Yuda ne Yerusaalemi kiryoke kisanyuse Mukama, nga mu nnaku ez’edda era nga mu myaka egyayita.

(CG)“Era mu kiseera ekyo awatali kulonzalonza ndibasemberera nsale omusango. Ndiyanguwa okuwa obujulizi ku baloga ne ku benzi ne ku abo abalayira eby’obulimba, ne ku abo abalyazaamaanya omupakasi empeera ye; abanyigiriza nnamwandu ne mulekwa, era abajoogereza munnaggwanga, abatatya Mukama,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.

(CH)“Kubanga nze Mukama sijjulukuka: mmwe, batabani ba Yakobo, noolwekyo siribazikiriza. (CI)Okuva mu nnaku za bajjajjammwe mwakyuka ne mukyama okuva ku biragiro byange ne mutabikwata. Mudde gye ndi, nange nadda gye muli era nnaabasonyiwa,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.

“Naye mwebuuza nti, ‘Tunadda tutya?’

(CJ)“Omuntu alinyaga Katonda?

“Naye mmwe munnyaga. Kyokka mugamba nti, ‘Tukunyaga tutya?’ 

“Mu biweebwayo ne mu kimu eky’ekkumi. Mukolimiddwa ekikolimo ekyo, kubanga mmwe, eggwanga lyonna munnyaga nze. 10 (CK)Muleete ekimu eky’ekkumi ekijjuvu mu nnyumba yange, ennyumba yange ebeeremu emmere, era mungezese,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye, “obanga siribaggulirawo ebituli eby’omu ggulu, ne mbawa omukisa ne gutabaako ne we guligya. 11 Kale ndikuuma ennimiro zammwe ne zitazikirizibwa balabe; so n’omuzabbibu gwammwe ne gutakunkumula bibala byagwo ebitannatuuka kwengera,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye. 12 (CL)“Era amawanga gonna galibayita ba mukisa: kubanga muliba nsi esanyusa, kino ky’ekisuubizo,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.

13 (CM)“Weewaawo ebigambo byammwe gye ndi bibadde bya bukambwe,” bw’ayogera Mukama.

“Ate nga mugamba nti, ‘Twakwogerako tutya obubi?’ 

14 (CN)“Mwayogera nti, ‘Eby’okuweereza Katonda tebigasa, era kigasa ki okukwata ebiragiro bye era n’okutambulira mu maaso ga Mukama ow’Eggye ng’abakungubaga? 15 (CO)Okuva kaakano abeegulumiza tubayita ba mukisa; abakozi b’ebibi bakulaakulana era n’abo abasoomoza Katonda nabo bawona.’ ”

16 (CP)Abo abatya Mukama bayogeragana bokka ne bokka, Mukama n’abawulira. Ekitabo eky’okujjukira abatya Mukama ne balowooza ku linnya lye, ne kiwandiikibwa ng’alaba.

17 (CQ)“Kale baliba bange,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye, “ku lunaku lwe ndibakyusizaako okuba ekintu kyange eky’omuwendo; era ndibasonyiwa ng’omuzadde bw’asonyiwa mutabani we amuweereza. 18 (CR)Omulundi omulala mulyawula omutuukirivu n’omubi, oyo aweereza Katonda n’oyo atamuweereza.”

Olunaku lwa Mukama

(CS)“Kubanga, laba, olunaku lujja, lwokya ng’ekikoomi, n’ab’amalala bonna n’abo bonna abakola ebibi baliba bisasiro: ku lunaku lwennyini balyokerwa ddala,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye, “obutabalekerawo mulandira newaakubadde ettabi. (CT)Naye mmwe abatya erinnya lyange, enjuba ey’obutuukirivu eribaviirayo ng’erina okuwonya mu biwaawaatiro byayo. Mulifuluma ne muligita ng’ennyana ez’omu kiraalo. (CU)Era mulirinnya ku babi, kubanga baliba vvu wansi w’ebigere byammwe, ku lunaku lwe ndibalokolerako,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.

(CV)“Mujjukire okugonderanga amateeka ga Musa omuddu wange, ebiragiro n’amateeka bye namukwasa ku Kolebu olwa Isirayiri yenna.

(CW)“Laba, ndibatumira nnabbi Eriya, olunaku lwa Mukama olukulu olw’entiisa nga terunnatuuka, (CX)era alikomyawo omutima gwa bazadde eri abaana baabwe, n’omutima gw’abaana eri bazadde baabwe; nneme okukolimira ensi.”

Ekitabo ky’Olulyo lwa Yesu Kristo

(CY)Luno lwe lulyo lwa Yesu Kristo, omwana wa Dawudi omwana wa Ibulayimu:

(CZ)Ibulayimu yazaala Isaaka,

Isaaka n’azaala Yakobo,

Yakobo n’azaala Yuda ne baganda be.

(DA)Yuda n’azaala Pereezi ne Zeera mu Tamali,

Pereezi n’azaala Kezirooni,

Kezirooni n’azaala Laamu.

Laamu yazaala Aminadaabu,

Aminadaabu n’azaala Nasoni,

Nasoni n’azaala Salumooni.

Salumooni yazaala Bowaazi mu Lakabu,

Bowaazi n’azaala Obedi mu Luusi.

Obedi n’azaala Yese.

(DB)Yese yazaala Kabaka Dawudi.

Dawudi n’azaala Sulemaani mu eyali muka Uliya.

Sulemaani yazaala Lekobowaamu,

Lekobowaamu n’azaala Abiya,

Abiya n’azaala Asa.

Asa n’azaala Yekosafaati,

Yekosafaati n’azaala Yolaamu,

Yolaamu n’azaala Uzziya.

Uzziya n’azaala Yosamu,

Yosamu n’azaala Akazi,

Akazi n’azaala Keezeekiya.

10 (DC)Keezeekiya n’azaala Manaase,

Manaase n’azaala Amosi,

Amosi n’azaala Yosiya.

11 (DD)Yosiya n’azaala Yekoniya ne baganda be mu kiseera eky’okutwalibwa e Babulooni.

12 (DE)Nga bamaze okutwalibwa e Babulooni:

Yekoniya n’azaala Seyalutyeri,

Seyalutyeri n’azaala Zerubbaberi.

13 Zerubbaberi n’azaala Abiwuudi,

Abiwuudi n’azaala Eriyakimu,

Eriyakimu n’azaala Azoli.

14 Azoli n’azaala Zadooki,

Zadooki n’azaala Akimu,

Akimu n’azaala Eriwuudi.

15 Eriwuudi n’azaala Eriyazaali,

Eriyazaali n’azaala Mataani,

Mataani n’azaala Yakobo.

16 (DF)Yakobo n’azaala Yusufu, oyo ye bba wa Maliyamu eyazaala Yesu ayitibwa Kristo.

17 Noolwekyo emirembe gyonna okuva ku Ibulayimu okutuuka ku Dawudi gyali kkumi n’ena, era okuva ku Dawudi okutuuka ku kuwaŋŋaangusibwa e Babulooni, emirembe kkumi n’ena, era okuva ku kuwaŋŋaangusibwa e Babulooni okutuuka ku Kristo, nagyo emirembe kkumi n’ena.

Okuzaalibwa kwa Yesu

18 (DG)Okuzaalibwa kwa Yesu Kristo kwali bwe kuti: Maliyamu nnyina bwe yali ng’akyayogerezebwa Yusufu, era nga tebanaba kufumbiriganwa n’alabika ng’ali lubuto ku bwa Mwoyo Omutukuvu. 19 (DH)Awo Yusufu eyali amwogereza, olwokubanga yali muntu mulungi n’asalawo mu mutima gwe okumuleka, naye ng’ayagala akikole mu kyama aleme kukwasa Maliyamu nsonyi.

20 Naye bwe yali ng’agalamidde ku kitanda kye ng’akyabirowoozaako, n’afuna ekirooto; n’alaba malayika wa Mukama ng’ayimiridde w’ali, n’amugamba nti, “Yusufu, omwana wa Dawudi, totya kutwala Maliyamu okuba mukazi wo! Kubanga olubuto lw’alina yalufuna ku bwa Mwoyo Mutukuvu. 21 (DI)Era alizaala Omwana wabulenzi, olimutuuma erinnya Yesu, (amakulu nti, ‘Omulokozi’) kubanga y’alirokola abantu bonna mu bibi byabwe.”

22 Bino byonna byabaawo kisobole okutuukirira ekyayogerwa Mukama ng’ayita mu nnabbi we ng’agamba nti, 23 (DJ)“Laba omuwala atamanyi musajja aliba olubuto, alizaala omwana wabulenzi, era aliyitibwa Emmanweri.” Amakulu gaalyo nti, “Katonda ali naffe.”

24 Yusufu bwe yazuukuka, n’akola nga Malayika bwe yamulagira, n’atwala Maliyamu okuba mukazi we. 25 (DK)Naye Yusufu n’atamumanya okutuusa lwe yamala okuzaala Omwana. Yusufu n’amutuuma erinnya Yesu.

Okukyala kw’Abagezigezi

(DL)Yesu bwe yazaalibwa mu kibuga Besirekemu eky’omu Buyudaaya, ku mulembe gwa Kabaka Kerode, abasajja abagezigezi, abaava ebuvanjuba ne bajja mu Yerusaalemi, nga babuuza nti, (DM)“Aliwa eyazaalibwa nga Kabaka w’Abayudaaya? Kubanga twalaba emmunyeenye ye nga tuli mu buvanjuba, era tuzze okumusinza.”

Awo Kabaka Kerode bwe yabiwulira ne bimweraliikiriza nnyo, era ne bonna abaali mu Yerusaalemi. N’ayita bakabona abakulu bonna n’abawandiisi b’amateeka n’abeebuuzaako ekifo Kristo gye yali agenda okuzaalibwa. (DN)Ne bamuddamu nti, “Mu Besirekemu eky’omu Buyudaaya, kyawandiikibwa nnabbi nti,

(DO)“ ‘Naawe Besirekemu ekya Yuda,
    toli mutono mu balangira ba Yuda,
kubanga omufuzi aliva mu ggwe,
    alifuga abantu bange Isirayiri.’ ”

Awo Kerode n’atumya Abagezigezi kyama, n’ababuuza ebiro emmunyeenye bye yalabikiramu. N’abasindika e Besirekemu ng’agamba nti, “Mugende mubuulirize ebikwata ku mwana. Bwe mumulaba, mukomeewo muntegeeze, nange ŋŋende musinze!”

Bwe baamala okuwulira Kabaka bye yabagamba ne bagenda. Bwe baafuluma, emmunyeenye eri gye baalaba ebuvanjuba n’eddamu okubalabikira n’okubakulembera, okutuusa lwe yayimirira waggulu Omwana w’ali. 10 Bwe baalaba emmunyeenye ng’eyimiridde, essanyu lyabwe ne libeera lingi nnyo! 11 (DP)Bwe baayingira mu nnyumba[a] ne balaba Omwana ne Maliyamu nnyina ne bavuunama ne basinza Omwana. Ne basumulula ensawo zaabwe, ne bamutonera ebirabo, zaabu, n’obubaane n’omugavu. 12 (DQ)Awo bwe baalabulibwa mu kirooto baleme kuddayo wa Kerode, bwe batyo ne baddayo ewaabwe nga bayita mu kkubo eddala.

Okuddukira e Misiri

13 (DR)Awo abagezigezi bwe baamala okugenda, malayika wa Mukama n’alabikira Yusufu mu kirooto n’amugamba nti, “Golokoka oddusize Omwana ne nnyina e Misiri, mubeere eyo okutuusa lwe ndibalagira okudda. Kubanga Kerode ajja kunoonya Omwana ng’ayagala okumutta.” 14 Ekiro ekyo n’asituka n’atwala Omwana ne nnyina e Misiri. 15 (DS)Ne babeera eyo okutuusa Kerode bwe yafa. Mukama kye yayogerera mu nnabbi we ne kituukirira, bwe yagamba nti:

“Nayita Omwana wange okuva mu Misiri.”

Okutta Abaana Abato

16 Kerode bwe yalaba ng’Abagezigezi banyoomye ekiragiro kye, n’asunguwala nnyo, n’atuma abaserikale e Besirekemu ne mu byalo byakyo batte abaana bonna aboobulenzi ab’emyaka ebiri n’abatannagiweza, ng’asinziira ku bbanga abagezigezi lye baali bamutegeezeza mwe baalabira emmunyeenye. 17 Awo ekigambo nnabbi Yeremiya kye yayogera ne kiryoka kituukirira ng’agamba nti,

18 (DT)“Eddoboozi lyawulirwa mu Laama,
    okukuba emiranga n’okukungubaga okunene,
nga Laakeeri akaabira abaana be,
    nga tewakyali asobola kumuwooyawooya,
    kubanga bonna baweddewo.”

Okuva e Misiri Okudda e Nazaaleesi

19 (DU)Kerode bwe yamala okufa malayika wa Mukama n’alabikira Yusufu mu kirooto e Misiri, 20 n’amugamba nti, “Golokoka ozzeeyo Omwana ne nnyina mu Isirayiri, kubanga abaali baagala okutta Omwana bafudde.”

21 Yusufu n’asitukiramu n’azzaayo Omwana ne nnyina mu nsi ya Isirayiri. 22 (DV)Naye bwe yatuuka mu kkubo n’atya nnyo bwe yawulira nga Alukerawo[b] mutabani wa Kerode ye yali alidde obwakabaka. Mukama n’amulabulira nate mu kirooto aleme kugenda Buyudaaya, bw’atyo n’alaga e Ggaliraaya 23 (DW)n’atuuka mu kibuga ky’e Nazaaleesi, ne babeera omwo. Ebigambo bya bannabbi bye baayogera biryoke bituukirire nga bagamba nti: “Aliyitibwa Munnazaaleesi.”

Yokaana Omubatiza Aluŋŋamya Ekkubo lya Mukama

(DX)Mu nnaku ezo Yokaana Omubatiza n’ajja ng’abuulira mu ddungu ly’e Buyudaaya ng’agamba nti, (DY)“Mwenenye, kubanga obwakabaka obw’omu ggulu bunaatera okutuuka.” (DZ)Oyo nnabbi Isaaya gwe yayogerako ng’agamba nti,

“Mpulira eddoboozi ly’oyo ayogerera waggulu mu ddungu ng’agamba nti,
‘Mulongoose oluguudo lwa Mukama,
    muluŋŋamye amakubo ge!’ ”

(EA)Ebyambalo bya Yokaana byakolebwa mu bwoya bwa ŋŋamira, era nga yeesibya lukoba lwa ddiba. N’emmere ye yali nzige na mubisi gwa njuki. Abantu bangi ne bava mu Yerusaalemi ne mu Buyudaaya mwonna ne mu bifo ebiriraanye Yoludaani ne bajja mu ddungu okuwulira by’abuulira. N’ababatiza mu mugga Yoludaani, nga baatula ebibi byabwe.

(EB)Naye bwe yalaba Abafalisaayo bangi n’Abasaddukaayo nga bajja okubatizibwa n’abagamba nti, “Mmwe, abaana b’essalambwa, ani yabalabula okudduka obusungu bwa Katonda obugenda okujja? (EC)Kale mubale ebibala ebiraga nti Mwenenyeza. Temulowooza mu mitima gyammwe nti, ‘Tuli bulungi kubanga tuli Bayudaaya, abaana ba Ibulayimu, tetufaayo, tetulina kye twetaaga.’ Ekyo tekibasigula. Mbategeeza nti, Katonda ayinza okufuula amayinja gano abaana ba Ibulayimu! 10 (ED)Kaakano embazzi ya Katonda eteekeddwa ku buli kikolo kya muti, omuti ogutabala bibala birungi, gutemebwa gusuulibwe mu muliro.

11 (EE)“Nze mbabatiza na mazzi okutuuka ku kwenenya, naye waliwo omulala ajja, oyo ye ansinga amaanyi era sisaanira na kukwata ngatto ze, oyo alibabatiza ne Mwoyo Mutukuvu n’omuliro. 12 (EF)Ekikuŋŋunta kiri mu mukono gwe, alirongoosa egguuliro lye. Eŋŋaano aligitereka mu tterekero lye, naye ebisusunku alibyokya mu muliro ogutazikira.”

Okubatizibwa kwa Yesu

13 (EG)Awo Yesu n’ava e Ggaliraaya n’ajja ku mugga Yoludaani, abatizibwe Yokaana. 14 Naye Yokaana n’ayagala okugaana, n’agamba nti, “Nze neetaaga ggwe okumbatiza, naye ate gw’ojja gye ndi?”

15 Yesu n’amuddamu nti, “Kkiriza ombatize, kubanga kitugwanidde okutuukiriza obutuukirivu bwonna.” Awo Yokaana n’amukkiriza.

16 (EH)Awo amangwago Yesu nga yakamala okubatizibwa nga yaakava mu mazzi, eggulu ne libikkuka n’alaba Omwoyo wa Katonda ng’amukkako mu kifaananyi ky’ejjiba. 17 (EI)Eddoboozi ne liva mu ggulu ne ligamba nti, “Ono ye Mwana wange omwagalwa gwe nsanyukira ennyo.”

Okukemebwa kwa Yesu

Awo Yesu n’atwalibwa Mwoyo Mutukuvu mu ddungu okukemebwa Setaani. (EJ)N’amala ennaku amakumi ana ng’asiiba, nga talya, emisana n’ekiro, oluvannyuma enjala n’emuluma. (EK)Setaani n’ajja gy’ali n’amugamba nti, “Obanga oli Mwana wa Katonda, lagira amayinja gano gafuuke emmere.”

(EL)Naye Yesu n’amuddamu nti, “Kyawandiikibwa nti: ‘Omuntu tabeera mulamu na mmere yokka, wabula na buli kigambo ekiva mu kamwa ka Katonda.’ ”

(EM)Awo Setaani n’amutwala mu kibuga ekitukuvu n’amussa ku kitikkiro kya Yeekaalu. (EN)N’amugamba nti,

“Obanga oli Mwana wa Katonda weesuule wansi
    kubanga kyawandiikibwa nti, ‘Katonda aliweereza bamalayika be bakuwanirire mu mikono gyabwe
oleme okwekoona ekigere kyo ku jjinja.’ ”

(EO)Yesu n’addamu Setaani nti, “Kyawandiikibwa nti, ‘Tokemanga Mukama Katonda wo.’ ”

Ate Setaani n’amutwala ku lusozi oluwanvu n’amulengeza ensi zonna n’obwakabaka bwamu n’ekitiibwa kyabwo kyonna, n’amugamba nti, “Bino byonna nnaabikuwa bw’onoovuunama n’onsinza.”

10 (EP)Yesu n’addamu nti, “Vvaawo, genda Setaani. Kyawandiikibwa nti, ‘Osinzanga Mukama Katonda wo yekka, era gw’oweerezanga.’ ”

11 (EQ)Setaani n’amuviira n’agenda. Bamalayika ne bajja ne bamuweereza.

Yesu Atandika Okubuulira

12 (ER)Yesu bwe yawulira nga Yokaana bamusibye mu kkomera n’agenda e Ggaliraaya. 13 (ES)Bwe yava e Nazaaleesi n’agenda abeera e Kaperunawumu ekiri ku lubalama lw’ennyanja mu byalo by’e Zebbulooni n’e Nafutaali. 14 Kino ne kituukiriza ekyayogerwa nnabbi Isaaya ng’agamba nti,

15 “Ensi ya Zebbulooni n’ensi ya Nafutaali, okuliraana ennyanja,
    n’ebyalo ebiri emitala w’omugga Yoludaani,
    n’e Ggaliraaya ey’ekyengulu omuli bannaggwanga abangi,
16 (ET)abantu abaatuulanga mu kizikiza,
    balabye Omusana mungi.
Abaatuulanga mu nsi ey’ekisiikirize eky’okufa,
    omusana gubaakidde.”

17 (EU)Okuva mu kiseera ekyo Yesu n’atandika okubuulira nti, “Mwenenye, kubanga obwakabaka obw’omu ggulu busembedde.”

Okuyitibwa kw’Abayigirizwa Abaasooka

18 (EV)Yesu bwe yali ng’atambula ku lubalama lw’ennyanja y’e Ggaliraaya n’alaba abooluganda babiri: Simooni, gwe bayita Peetero, ne Andereya, nga basuula obutimba bwabwe mu nnyanja, kubanga baali bavubi. 19 (EW)Awo Yesu, n’abagamba nti, “Mujje mungoberere, nange ndibafuula abavubi b’abantu.” 20 Amangwago ne baleka awo obutimba bwabwe, ne bamugoberera.

21 (EX)Bwe yeeyongerayo katono, n’asanga abooluganda abalala babiri: Yakobo, ne Yokaana, nga batudde ne kitaabwe Zebbedaayo mu lyato nga baddaabiriza obutimba bwabwe, nabo n’abayita bamugoberere. 22 Amangwago, ne baleka awo kitaabwe mu lyato ne bagenda naye.

Yesu Awonya Abalwadde

23 (EY)Yesu n’abuna wonna mu Ggaliraaya ng’ayigiriza mu makuŋŋaaniro g’Abayudaaya ng’abuulira Enjiri ey’obwakabaka obw’omu ggulu, era ng’awonya buli ndwadde yonna n’obuyongobevu bwonna mu bantu. 24 (EZ)Amawulire ag’ebyamagero bye yakolanga ne gatuuka mu Siriya yonna. Ne bamuleetera abayongobevu, n’abalina ebibabonyaabonya, n’ab’ensimbu n’abo abaaliko baddayimooni, abakoozimbye n’ab’endwadde endala ezitali zimu, bonna n’abawonya. 25 (FA)Ebibiina binene ne bimugoberera, abantu nga bava mu Ggaliraaya ne mu Dekapoli,[c] ne mu Yerusaalemi ne mu Buyudaaya yonna, n’emitala w’omugga Yoludaani.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.