Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Bible in 90 Days

An intensive Bible reading plan that walks through the entire Bible in 90 days.
Duration: 88 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Olubereberye 17:1-28:19

Endagaano y’Okukomola

17 (A)Ibulaamu bwe yaweza emyaka kyenda mu mwenda, Mukama n’amulabikira, n’amugamba nti, “Ndi Katonda Ayinzabyonna, tambulira mu maaso gange obe nga toliiko kya kunenyezebwa. (B)Ndikola endagaano yange naawe era ndikwaliza ddala nnyo.”

Awo Ibulaamu n’avuunama; Katonda n’amugamba nti, (C)“Laba, ndikola naawe endagaano, era onoobeeranga kitaawe w’amawanga mangi. (D)Erinnya lyo tokyayitibwa Ibulaamu, wabula onooyitibwanga Ibulayimu, kubanga nkufudde kitaawe w’amawanga mangi. (E)Ndikwaza nnyo nnyini; era ndikufuula amawanga, ne bakabaka baliva mu ggwe. (F)Era ndituukiriza endagaano yange naawe, n’ezzadde lyo mbeere Katonda wo era Katonda w’ezzadde lyo eririddawo. Endagaano eno teriggwaawo emirembe n’emirembe. (G)Era ndikuwa ggwe n’ezzadde lyo eririddawo ensi mw’obadde omusenze, ensi yonna eya Kanani, okuba eyiyo emirembe gyonna; era ndiba Katonda waabwe.”

Awo Katonda n’agamba Ibulayimu nti, “Ggwe ky’olina okukola kwe kukwata endagaano yange, ggwe n’ezzadde lyo eririddawo emirembe gyabwe gyonna. 10 (H)Eno y’endagaano yange naawe n’ezzadde lyo eririddawo, gy’onookuumanga: Buli musajja mu mmwe anaakomolebwanga. 11 (I)Munaakomolebwanga ekikuta eky’omubiri gwammwe, ekyo kibeere akabonero ak’endagaano yange naawe. 12 (J)Buli mwana owoobulenzi anaawezanga ennaku omunaana ez’obukulu mu mmwe mu mirembe gyammwe gyonna anaakomolebwanga, 13 oyo azaaliddwa mu nnyumba yo oba gw’oguze n’ensimbi zo okuva ku munnaggwanga anaakomolebwanga. Endagaano yange eteriggwaawo eneebanga mu mubiri gwo. 14 (K)Omwana owoobulenzi yenna atali mukomole, atakomolebbwa kikuta kya mubiri gwe, taabalibwenga mu bantu be, aba amenye endagaano yange.”

Ekisuubizo eri Salaayi

15 Katonda n’agamba Ibulayimu nti, “Era Salaayi mukazi wo, tokyamuyita Salaayi, erinnya lye linaabanga Saala. 16 (L)Ndimuwa omukisa, era ndikuwa omwana owoobulenzi mu ye. Ndimuwa omukisa, alibeera jjajja w’amawanga, bakabaka baamawanga baliva mu ye.”

17 (M)Awo Ibulayimu n’avuunama n’aseka, n’agamba munda ye nti, “Omwana alizaalirwa oyo eyaakamala emyaka ekikumi? Saala ow’emyaka ekyenda alizaala omwana?” 18 Ibulayimu n’agamba Katonda nti, “Isimayiri abeerenga mulamu mu maaso go!”

19 (N)Katonda n’amugamba nti, “Nedda, naye Saala mukazi wo alikuzaalira omwana owoobulenzi, olimutuuma erinnya Isaaka. Ndinyweza endagaano yange naye okuba endagaano etaliggwaawo ku zadde lye eririddawo. 20 (O)Ku Isimayiri nkuwulidde: Laba, ndimuwa omukisa, alyeyongera, ndimwaliza ddala nnyo, aliba jjajja w’abalangira kkumi na babiri, era ndimufuula eggwanga ery’amaanyi. 21 (P)Kyokka ndinyweza endagaano yange ne Isaaka, Saala gw’alikuzaalira mu kiseera nga kino omwaka ogujja.” 22 Katonda bwe yamala okwogera naye, Ibulayimu n’ava we yali.

23 Awo Ibulayimu n’atwala Isimayiri mutabani we n’abaddu bonna abaazaalirwa mu nnyumba ye n’abo abaagulibwa n’ensimbi ze, buli musajja yenna mu nnyumba ya Ibulayimu n’akomolwa buli omu ekikuta ky’omubiri gwe ku lunaku olwo lwennyini, nga Katonda bwe yamugamba. 24 (Q)Ibulayimu yali aweza emyaka kyenda mu mwenda bwe yakomolebwa ekikuta ky’omubiri gwe. 25 Ne Isimayiri mutabani we yali wa myaka kkumi n’esatu bwe yakomolebwa ekikuta ky’omubiri gwe. 26 Ku lunaku olwo lwennyini Ibulayimu ne mutabani we Isimayiri lwe baakomolebwa. 27 N’abasajja bonna mu nnyumba y’abo abazaalirwamu n’abo abaagulibwa n’ensimbi ze okuva eri munnaggwanga, baakomolebwa wamu naye.

Ibulayimu n’Abagenyi Abasatu

18 (R)Awo Mukama n’alabikira Ibulayimu mu mivule gya Mamule, mu ttuntu ng’atudde mu mulyango gwa weema ye. (S)Bwe yasitula amaaso ge n’alaba, era laba, abasajja basatu nga bayimiridde mu maaso ge. Bwe yabalaba, n’adduka okuva mu mulyango gwa weema ye, okubasisinkana n’agwa wansi, n’agamba nti, “Mukama wange obanga ndabye ekisa mu maaso go, toyita ku muddu wo. (T)Leka tuleete otuzzi munaabe ku bigere, muwummuleko wano wansi w’omuti, (U)nga bwe ndeeta omugaati mulyeko muddemu amaanyi, mulyoke mugende, anti muzze eri muddu wammwe.”

Ne bamugamba nti, “Kola nga bw’ogambye.”

Ibulayimu n’ayanguwa okugenda eri Saala, n’amugamba nti, “Teekateeka mangu kilo kkumi na mukaaga ez’obutta okande ofumbire mangu abagenyi emmere.”

Ibulayimu n’agenda bunnambiro mu kisibo n’aggyamu ennyana, ento era ennungi n’agiwa omu ku bavubuka[a] eyayanguwa okugifumba. (V)Awo n’addira omuzigo n’amata n’ennyana eyafumbibwa n’abiteeka mu maaso gaabwe; n’ayimirira we baali, wansi w’omuti nga balya. Ne bamubuuza nti, “Saala mukyala wo ali ludda wa?” N’addamu nti, “Ali mu weema.”

10 (W)Mukama n’amugamba nti, “Ddala ndikomawo gy’oli mu kiseera nga kino, era Saala mukazi wo alizaala omwana owoobulenzi.”

Ne Saala yali awuliriza ng’ali mu mulyango gwa weema emabega we. 11 (X)Mu kiseera kino Ibulayimu ne Saala baali bakaddiye nnyo nga Saala takyali na mu nsonga z’abakazi. 12 (Y)Awo Saala n’asekera muli ng’agamba nti, “Nga nkaddiye, nga ne baze akaddiye, ndisanyusibwa?”

13 Mukama n’abuuza Ibulayimu nti, “Lwaki Saala asese ng’agamba nti, ‘Ndiyinza okuzaala omwana nga nkaddiye?’ 14 (Z)Waliwo ekirema Mukama? Omwaka ogujja, mu kiseera kyennyini, ndikomawo gy’oli, ne Saala alizaala omwana owoobulenzi.”

15 Naye Saala ne yeegaana ng’agamba nti, “Si sese,” kubanga yali atidde.

N’amuddamu nti, “Nedda osese.”

Ibulayimu Yeegayiririra Sodomu

16 Awo abasajja bwe bavaayo ne bagenda, ne boolekera oluuyi lwa Sodomu[b]; Ibulayimu n’abawerekerako. 17 (AA)Mukama n’agamba mu mutima gwe nti, “Ibulayimu namukweka kye ŋŋenda okukola? 18 (AB)Ibulayimu agenda kufuuka eggwanga eddene, ery’amaanyi, era mu ye, amawanga gonna mwe galiweerwa omukisa. 19 (AC)Mmulonze alagire abaana be n’abantu be abaliddawo okukwatanga ekkubo lya Mukama nga bakola eby’obutuukirivu era nga ba mazima, Mukama alyoke atuukirize ekyo kye yasuubiza Ibulayimu.”

20 Awo Mukama n’agamba nti, “Olw’okunkaabirira okusukkiridde olw’ebibi bya Sodomu ne Ggomola ebingi ennyo, 21 (AD)nzija kukka ndabe obanga ddala bakozi ba bibi ng’okunkaabirira olw’ebibi byabwe okutuuse gye ndi bwe kuli, era obanga si bwe kiri nnaamanya.”

22 (AE)Awo abasajja ne bakyuka okuva awo, ne batambula okwolekera Sodomu; naye Ibulayimu n’asigala ng’akyayimiridde mu maaso ga Mukama. 23 (AF)Awo Ibulayimu n’amusemberera n’agamba nti, “Ddala olizikiriza abatuukirivu awamu n’ababi? 24 (AG)Singa mu kibuga mulimu abatuukirivu amakumi ataano onookizikiriza n’otokisonyiwa olw’abatuukirivu amakumi ataano abakirimu? 25 (AH)Kireme okuba gy’oli okukola ekintu bwe kityo, okutta abatuukirivu awamu n’ababi, abatuukirivu ne benkana n’ababi! Kireme kuba bwe kityo! Omulamuzi ow’ensi yonna teyandisaanye akole kituufu?”

26 (AI)Mukama n’agamba nti, “Bwe nnaasanga mu Sodomu abatuukirivu amakumi ataano mu kibuga omwo nzija kusonyiwa ekibuga kyonna ku lwabwe.”

27 (AJ)Ibulayimu n’addamu nti, “Laba nnyinziza okwogera ne Mukama, nze ani, nze enfuufu n’evvu! 28 Singa abatuukirivu babulako bataano okuwera amakumi ataano, onoozikiriza ekibuga kubanga kubulako bataano?”

N’amuddamu nti, “Sijja kukizikiriza, bwe nnaasangamu abatuukirivu amakumi ana mu abataano abampulira.”

29 Ate Ibulayimu n’amugamba nti, “Singa musangibwamu amakumi ana.”

Mukama n’amuddamu nti, “Ku lw’amakumi ana sijja kukizikiriza.”

30 Ate n’agamba nti, “Kale nno Mukama aleme okunsunguwalira, nange nnaayogera. Singa musangibwamu amakumi asatu.”

N’addamu nti, “Sijja kukizikiriza singa musangibwamu amakumi asatu.”

31 N’agamba nti, “Laba ŋŋumye ne njogera ne Mukama. Singa musangibwamu amakumi abiri.”

N’agamba nti, “Ku lw’amakumi abiri sijja kukizikiriza.”

32 (AK)Ate n’agamba nti, “Kale Mukama aleme okukwatibwa obusungu, nnaayongera okwogera, naye luno lwokka. Singa kkumi lye linaasangibwamu.”

N’addamu nti, “Ku lw’abo ekkumi sijja kukizikiriza.”

33 Mukama bwe yamala okwogera ne Ibulayimu n’agenda, ne Ibulayimu n’addayo ewuwe.

Sodomu ne Ggomola

19 (AL)Bamalayika ababiri ne batuuka mu Sodomu akawungeezi; Lutti yali atudde mu mulyango gwa Sodomu. Lutti bwe yabalaba n’agolokoka okubasisinkana, n’avuunama, (AM)n’agamba nti, “Bakama bange mukyame mu nnyumba y’omuddu wammwe munaabe ku bigere, mbegayiridde n’okusula musule. Munaazuukuka mangu ku makya ne mukwata ekkubo lyammwe.”

Ne bagamba nti, “Nedda tunaasula mu luguudo.”

(AN)Naye n’abawaliriza nnyo; awo ne bakyama ne bajja gy’ali ne bayingira mu nnyumba ye, n’abategekera ekijjulo n’emigaati egitali mizimbulukuse ne balya. Naye nga tebannaba kugenda kwebaka, abasajja ab’omu kibuga, abasajja ba Sodomu, abakulu n’abato, abantu bonna ne beetooloola ennyumba; (AO)ne bayita Lutti nga bagamba nti, “Abasajja abazze gy’oli ekiro kino bali ludda wa? Batufulumize twebake nabo.”

(AP)Lutti n’afuluma gye bali, n’aggalawo oluggi, n’abagamba nti, “Baganda bange mbasaba temukola kibi kifaanana bwe kityo. (AQ)Laba, nnina bawala bange embeerera babiri, ka mbabafulumize, mubakole kye mwagala; naye temubaako kye mukola basajja bano, bagenyi bange era nze mbalabirira.” (AR)Naye ne bamugamba nti, “Tuviire! Omusajja omugwira ono, ate kati y’atulagira eky’okukola! Nedda, tujja kukukolako n’okusinga abagenyi bo.” Awo ne banyigiriza nnyo Lutti, era kaabula kata bamenye n’oluggi.

10 Naye abasajja ababiri abaali mu nnyumba ne bagolola emikono gyabwe ne bakwata Lutti ne bamuyingiza mu nnyumba ne baggalawo oluggi. 11 (AS)Ne baziba amaaso g’abasajja abaali ebweru ku luggi lw’ennyumba, abato n’abakulu, ne bakoowa nga bawammanta oluggi.

12 (AT)Awo abasajja bali ababiri ne babuuza Lutti nti, “Olina abantu bo abalala wano, batabani bo, oba bakoddomi bo, oba bawala bo, oba omuntu omulala yenna mu kibuga? Bafulumye mu kifo kino; 13 (AU)kubanga tuli kumpi okukizikiriza. Kubanga okukaaba olw’abantu baamu eri Mukama kuyitiridde, era Mukama atutumye okukizikiriza.”

14 (AV)Awo Lutti n’afuluma n’ategeeza bakoddomi be abaali ab’okuwasa bawala be ng’agamba nti, “Musituke, muve mu kifo kino, kubanga Mukama ali kumpi kukizikiriza.” Naye yafaanana ng’abalaata eri bakoddomi be. Lutti n’ab’ennyumba ye ne badduka.

15 (AW)Naye obudde bwe bwali bunaatera okukya, bamalayika ne balagira Lutti nga bagamba nti, “Golokoka, otwale mukazi wo ne bawala bo ababiri abali wano muleme okuzikirira ng’ekibuga kibonerezebwa.”

16 Naye bwe yali akyekunya, abasajja ne bamukwata omukono, n’emikono gya mukazi we, n’emikono gy’abawala be bombi, Mukama ng’abakwatirwa ekisa, ne babafulumya ne babateeka ebweru w’ekibuga. 17 (AX)Bwe baabafulumya ne babagamba nti, “Mudduke muwonye obulamu bwammwe, temutunula mabega wadde okuyimirira mu kiwonvu; muddukire ku nsozi, muleme okuzikirizibwa.”

18 Awo Lutti n’abagamba nti, “Nedda bakama bange; 19 Laba, omuddu wammwe alabye ekisa mu maaso gammwe, era mundaze ekisa kingi nga muwonya obulamu bwange; naye siyinza kuddukira ku nsozi akabi tekalwa kunzingiza ne nfa. 20 Laba, ekibuga kiri ekitono ekiri okumpi, kirungi okuddukira omwo. Leka nzirukire eyo. Era n’obulamu bwange bujja kuwona!” 21 N’amuddamu nti, “Laba, era nnyongedde okukukwatirwa ekisa, sijja kumalawo kibuga ky’oyogeddeko. 22 Yanguwa tolwa, ddukira eyo; kubanga siriiko kye nnaakola nga tonnatuuka eyo.” Erinnya ly’ekibuga kyeryava liba Zowaali.

23 Lutti we yatuukira mu Zowaali enjuba yali evuddeyo, Sodomu ne Ggomola ne bizikirizibwa. 24 (AY)Awo Mukama n’atonnyesa ku Sodomu ne Ggomola omuliro n’obuganga okuva mu ggulu; 25 (AZ)n’azikiriza ebibuga ebyo, n’ekiwonvu kyonna n’abantu bonna abaali mu bibuga, ne buli kintu ekyalimu. 26 (BA)Naye mukazi wa Lutti bwe yatunula emabega, n’afuuka empagi ey’omunnyo. 27 (BB)Awo ku makya ennyo Ibulayimu n’agenda mu kifo mwe yayimiririra mu maaso ga Mukama; 28 (BC)n’atunula wansi okwolekera Sodomu ne Ggomola n’okwolekera ekitundu kyonna eky’olusenyi, n’alaba, era laba, ekitundu kyonna nga kijjudde omukka.

29 (BD)Bwe kityo bwe kyali Katonda bwe yazikiriza ebibuga eby’omu kiwonvu. Katonda n’ajjukira Ibulayimu n’afulumya Lutti ebweru n’amuggya wakati mu kuzikirizibwa, bwe yazikiriza ebibuga Lutti mwe yabeeranga.

Ekibi kya Bawala ba Lutti

30 (BE)Awo Lutti n’ava mu Zowaali, n’abeera mu nsozi wamu ne bawala be, kubanga yatya okubeera mu Zowaali. Ye ne bawala be ne babeera mu mpuku. 31 Olunaku lumu omuwala omukulu n’agamba muto we nti, “Kitaffe akaddiye era tewali na musajja ku nsi ajja kutwagala ng’empisa y’ensi bw’eri. 32 Jjangu tunywese kitaffe omwenge, tulyoke twebake naye, tusobole okufuna ezzadde nga liva mu kitaffe.”

33 Ne batamiiza kitaabwe ekiro ekyo, omukulu n’agenda ne yeebaka ne kitaawe, Lutti n’atamanya bwe yeebaka yadde bwe yagolokoka.

34 Ku lunaku olwaddirira, omuwala omukulu n’agamba omuto nti, “Laba, ekiro neebase ne kitange; Leka tumunywese omwenge ekiro kino, oyingire gy’ali weebake naye, tulyoke tusobole okukuuma ezzadde mu kitaffe.” 35 Awo ne batamiiza kitaabwe ekiro ekyo, omuwala omuto n’asituka ne yeebaka naye, Lutti n’atamanya bwe yeebase ne bw’agolokose.

36 Bwe batyo bawala ba Lutti bombi buli omu n’aba olubuto nga lwa kitaabwe. 37 (BF)Omuwala omukulu n’azaala omwana wabulenzi n’amutuuma Mowaabu, ye jjajja w’Abamowaabu abaliwo kaakano. 38 (BG)Omuto naye n’azaala omwana mulenzi n’amutuuma Benami, ye yavaamu Abamoni abaliwo ne kaakano.

Abimereki Atwala Mukazi wa Ibulayimu

20 (BH)Ibulayimu bwe yava eyo n’atambula okwolekera Negevu, n’abeera wakati wa Kadesi ne Ssuuli; n’agenda mu Gerali. (BI)Ibulayimu n’ayogera ku Saala mukazi we nti, “Mwannyinaze.” Abimereki kabaka we Gerali n’atumya n’atwala Saala.

(BJ)Naye Katonda n’ajja eri Abimereki mu kirooto ekiro n’amugamba nti, “Laba oli mufu, olw’omukazi gw’otutte kubanga muka musajja.” (BK)Naye Abimereki yali tanneebaka naye, n’alyoka agamba nti, “Onotta abantu abataliiko musango. Si yeyaŋŋamba nti, ‘Mwannyinaze?’ Era ne Saala n’aŋŋamba nti, ‘Mwannyina.’ Kino nkikoze mu mutima omutuukirivu n’emikono gyange tegiriiko musango.”

(BL)Awo Katonda n’ayogera naye mu kirooto nti, “Ddala mmanyi nti okoze kino mu mutima omutuukirivu, era nze nakukuuma oleme okwonoona gye ndi; ne nkuziyiza okumukwatako. (BM)Kale kaakano zzaayo mukazi w’omusajja, kubanga nnabbi, era anaakusabira, nawe on’oba mulamu. Naye bw’otomuzzeeyo, manya ng’ojja kufa, ggwe ne by’olina byonna.”

Okwegayirira kw’Abimereki eri Ibulayimu

Awo Abimereki n’agolokoka mu makya ennyo n’ayita abakungu be bonna n’abategeeza ebintu bino byonna; abasajja ne batya nnyo. (BN)Awo Abimereki n’ayita Ibulayimu n’amugamba nti, “Otukoze ki? Era nsobi ki gye nkukoze, n’ondeetera nze n’obwakabaka bwange ekibi ekinene ekyenkana awo? By’onkoze tebisaana kukolebwa muntu.” 10 Era Abimereki n’agamba Ibulayimu nti, “Wali olowooza ki okukola ekintu kino?” 11 (BO)Ibulayimu n’addamu nti, “Nakikola kubanga nalowooza nti mu kifo kino temuliimu kutya Katonda n’akamu, era balinzita olwa mukazi wange. 12 Naze ebyo nga biri awo ddala mwannyinaze, muwala wa kitange, naye si muwala wa mmange; era yafuuka mukazi wange. 13 Katonda bwe yandeeta okuva mu nnyumba ya kitange, ne mugamba nti, ‘Eky’ekisa ky’oyinza okunkolera kye kino, buli kifo kye tutuukamu njogeraako nti ndi mwannyoko.’ ”

14 (BP)Awo Abimereki n’atwala endiga n’ente, abaweereza abasajja n’abaweereza abakazi, n’abiwa Ibulayimu, n’amuddiza Saala mukyala we. 15 (BQ)Era Abimereki n’amugamba nti, “Laba ensi yange eri mu maaso go, beera w’oyagala.”

16 N’agamba ne Saala nti, “Laba mpadde mwannyoko ebitundu bya ffeeza lukumi, okukumalako ensonyi mu maaso gaabo bonna abali naawe.”

17 (BR)Awo Ibulayimu n’asabira Abimereki eri Katonda, ne Katonda n’awonya Abimereki era n’awonya ne mukazi we; n’abaweereza be abakazi ne balyoka bazaala abaana. 18 (BS)Kubanga Mukama yali aggalidde embuto z’ab’omu nnyumba y’Abimereki olwa Saala mukazi wa Ibulayimu.

Okuzaalibwa kwa Isaaka

21 (BT)Awo Mukama n’akwatirwa Saala ekisa nga bwe yagamba Ibulayimu n’akola Saala nga bwe yasuubiza. (BU)Saala n’aba olubuto, n’azaalira Ibulayimu omwana owoobulenzi mu bukadde bwe, mu kiseera Mukama kye yamugamba. (BV)Ibulayimu n’atuuma omwana owoobulenzi, eyamuzaalirwa Saala, erinnya Isaaka. (BW)Ibulayimu n’akomola mutabani we Isaaka ow’ennaku omunaana ez’obukulu nga Katonda bwe yamulagira. Ibulayimu yali aweza emyaka kikumi mutabani we Isaaka bwe yazaalibwa.

(BX)Saala n’agamba nti, “Katonda andeetedde okusekererwa, buli anaawulira anansekerera.” Era n’agamba nti, “Ani yandirowoozezza nti Saala alifuna omwana? Naye, laba mmuzaalidde omwana wabulenzi.”

Agali ne Isimayiri Bagobwa

Isaaka n’akula, n’aggyibwa ku mabeere, Ibulayimu n’afumba embaga ennene ku lunaku Isaaka lwe yaggyibwa ku mabeere.[c] (BY)Naye Saala yalaba nga mutabani wa Agali Omumisiri, gwe yazaalira Ibulayimu ng’azannya ne mutabani we Isaaka. 10 (BZ)N’alyoka agamba Ibulayimu nti, “Goba omuweereza ono ne mutabani we, kubanga omwana w’omuweereza ono talisikira wamu na mwana wange Isaaka.”

11 (CA)Naye ekyo Ibulayimu n’atakisiima. 12 (CB)Katonda n’agamba Ibulayimu nti, “Tonakuwala olw’omulenzi n’olw’omuweereza wo omukazi, buli Saala ky’akugamba kikole; kubanga mu Isaaka mwe ndituukiririza ebyo byonna bye nakusuubiza. 13 (CC)Era n’omwana w’omuweereza wo omukazi ndimufuula eggwanga, kubanga ava mu ggwe.” 14 (CD)Ibulayimu n’agolokoka ku makya ennyo, n’addira omugaati n’ensawo ey’amazzi n’abiwa Agali n’omwana gwe yazaala ng’abiteeka ku kibegabega kye, n’amusiibula. Agali n’agenda ng’atambulatambula mu ddungu lya Beeruseba.

Agali ne Isimayiri mu Ddungu

15 Awo amazzi ag’omu ddiba bwe gaggwaamu, Agali n’ateeka omwana we wansi w’ogumu ku miti. 16 Agali ne yeeyongerayo ebbanga ng’awalasibwa akasaale, nga mita kikumi, n’atuula okumwolekera, kubanga yayogera nti, “Nneme okulaba omwana ng’afa.” Naye bwe yali ng’atudde, omwana n’ayimusa eddoboozi n’akaaba.

17 (CE)Katonda n’awulira eddoboozi ly’omulenzi ng’akaaba, malayika wa Katonda n’ayita Agali ng’asinziira mu ggulu n’amugamba nti, “Kiki ekikuteganya? Totya, kubanga Katonda awulidde eddoboozi ly’omulenzi w’ali. 18 (CF)Golokoka, situla omwana omunyweze mu mikono gyo, kubanga ndimufuula eggwanga eddene.”

19 (CG)Awo Katonda n’azibula amaaso g’Agali, n’alaba oluzzi, n’agenda n’ajjuza ensawo ey’eddiba amazzi, n’anywesa omulenzi.

20 (CH)Awo Katonda n’aba n’omulenzi n’akula n’abeera mu ddungu n’aba mwatiikirivu mu kulasa. 21 (CI)Yabeeranga mu ddungu lya Palani: nnyina n’amufunira omukazi okuva mu nsi y’e Misiri.

Ibulayimu Alagaana n’Abimereki

22 Mu kiseera ekyo Abimereki ng’ali ne Fikoli omukulu w’eggye lye n’agamba Ibulayimu nti, “Katonda ali naawe mu buli ky’okola: 23 (CJ)kale kaakano ndayirira mu maaso ga Katonda nga tolinkuusakuusa, wadde okukuusakuusa omwana wange oba omwana w’omwana wange. Naye nga nze bwe nkukoze obulungi nga naawe bw’olinkola nze n’ensi mw’ozze.”

24 Ne Ibulayimu n’amuddamu nti, “Nkulayiridde.”

25 (CK)Awo Ibulayimu ne yeemulugunya eri Abimereki olw’oluzzi lwe abaddu be lwe baamunyagako. 26 Abimereki n’amugamba nti, “Simanyi n’omu eyakola ekintu ekyo, ggwe tewambulira era sikiwulirangako okutuusa ggwe lw’okintegeezeezza olwa leero.” 27 (CL)Awo Ibulayimu n’addira endiga n’ente n’abiwa Abimereki, ne balagaana endagaano bombi.

28 Awo Ibulayimu n’ayawulako endiga enduusi musanvu okuva mu kisibo kye. 29 Abimereki n’abuuza Ibulayimu nti, “Endiga ezo omusanvu enduusi z’oyawuddeko amakulu gaazo ki?” 30 (CM)N’amuddamu nti, “Endiga ezo enduusi omusanvu onoozitwala okuva gye ndi kalyoke kabe obukakafu nti nze nasima oluzzi olwo.”

31 (CN)Ekifo ekyo kyekyava kiyitibwa Beeruseba, kubanga eyo bombi gye baalagaanira. 32 Bwe baamala okukola endagaano e Beeruseba, Abimereki ne Fikoli omukulu w’eggye lye ne basitula ne baddayo mu nsi y’Abafirisuuti.

33 (CO)Ibulayimu n’asimba omuti omumyulimu mu Beeruseba n’akaabiririra eyo erinnya lya Mukama, Katonda Ataggwaawo. 34 Ibulayimu ne yeeyongera okutambulatambula mu nsi y’Abafirisuuti okumala ennaku nnyingi.

Katonda Agezesa Ibulayimu

22 (CP)Awo oluvannyuma lw’ebyo, Katonda n’agezesa Ibulayimu, n’amuyita nti, “Ibulayimu!”

N’addamu nti, “Nze nzuuno.”

(CQ)Katonda n’amugamba nti, “Twala mutabani wo, mutabani wo omu yekka, Isaaka, gw’oyagala, ogende mu nsi Moliya ku lumu ku nsozi lwe ndikulaga omuweereyo eyo okuba ekiweebwayo ekyokebwa.”

Ibulayimu n’agolokoka ku makya n’ateeka amatandiiko ku ndogoyi ye, n’atwala babiri ku baweereza be abasajja ne Isaaka mutabani we, n’ayasa enku ez’ekiweebwayo ekyokebwa, n’asituka n’agenda mu kifo Katonda kye yamugamba. Ku lunaku olwokusatu Ibulayimu n’ayimusa amaaso ge n’alengera ekifo. Awo Ibulayimu n’agamba balenzi be nti, “Musigale wano n’endogoyi, nze n’omulenzi tugende eri tusinze, tulyoke tukomewo.”

(CR)Ibulayimu n’addira enku ez’ekiweebwayo ekyokebwa n’azitikka Isaaka mutabani we, ye n’akwata omuliro n’akambe, ne bagenda bombi. (CS)Isaaka n’agamba Ibulayimu nti, “Taata.”

Ibulayimu n’amuddamu nti, “Nzuuno mwana wange.”

Isaaka n’amubuuza nti, “Laba, omuliro n’enku biibino, naye omwana gw’endiga ogw’ekiweebwayo ekyokebwa guluwa?” Ibulayimu n’amuddamu nti, “Mwana wange, Katonda aneefunira omwana gw’endiga ogw’ekiweebwayo ekyokebwa.” Kale ne bagenda bombi.

Ibulayimu Awaayo Isaaka

(CT)Bwe baatuuka mu kifo Katonda kye yamugamba, Ibulayimu n’azimba ekyoto, n’atindikira enku, n’asiba omwana we Isaaka, n’amuteeka ku kyoto ku nku. 10 Awo Ibulayimu n’akwata ekiso, n’agolola omukono gwe atte omwana we. 11 Naye malayika wa Mukama n’amukoowoola ng’asinziira mu ggulu, n’agamba nti, “Ibulayimu! Ibulayimu!”

Ibulayimu n’addamu nti, “Nze nzuuno.” N’amugamba nti, 12 (CU)“Togolola mukono gwo ku mulenzi so tomukola kintu na kimu, kubanga kaakano ntegedde nti otya Katonda, ndabye nti omwana wo tomunnyimye, omwana wo omu yekka bw’ati.”

13 (CV)Awo Ibulayimu n’ayimusa amaaso, n’alaba, era laba, emabega we endiga ennume ng’eri mu kisaka ng’amayembe gaayo mwe galaalidde. Ibulayimu n’agenda n’addira endiga eyo n’agiwaayo okuba ekiweebwayo ekyokebwa, mu kifo ky’omwana we. 14 (CW)Ibulayimu kyeyava atuuma ekifo ekyo erinnya Yakuwayire, era ne kaakano bwe kiyitibwa nti ku lusozi lwa Mukama anaagabiriranga.

15 Awo malayika wa Mukama n’ayita Ibulayimu omulundi ogwokubiri ng’asinziira mu ggulu, 16 (CX)n’amugamba nti, “Nze Mukama neerayiridde, nga bw’okoze kino, n’otonnyima mwana wo omu yekka bw’ati, 17 (CY)ddala ndikuwa omukisa, era ndyaza ezzadde lyo, ne liba ng’emmunyeenye ez’eggulu era ng’omusenyu oguli ku lubalama lw’ennyanja. Era ezzadde lyo balitwala eby’abalabe baabwe, 18 (CZ)era mu zzadde lyo amawanga gonna mwe galiweerwa omukisa, kubanga ogondedde eddoboozi lyange.”

19 Ibulayimu n’alyoka addayo eri abavubuka be, ne basitula ne balaga e Beeruseba.

20 (DA)Awo mu biro ebyo ne babuulira Ibulayimu nti, “Laba Mirika azaalidde Nakoli muganda wo abaana: Uzi ye mubereberye,

21 ne muto we ye Buzi, ne Kemweri kitaawe wa Alamu,

22 ne Kesedi, ne Kazo, ne Pirudaasi, ne Yidulaafu ne Besweri.”

23 (DB)Era Besweri yazaala Lebbeeka.

Abaana abo omunaana Mirika be yazaalira Nakoli muganda wa Ibulayimu.

24 Ate ne mukazi we omulala Lewuma n’azaalira Nakoli, abaana aboobulenzi era be bano:

Teba, ne Gakamu, ne Takasi, ne Maaka.

Okufa n’Okuziikibwa kwa Saala

23 Saala yawangaala emyaka kikumi mu abiri mu musanvu. (DC)N’afiira e Kiriyasuwalaba, ye Kebbulooni, mu nsi ya Kanani. Saala bwe yafa Ibulayimu n’ayingira okumukungubagira n’amukaabira.

Oluvannyuma Ibulayimu n’ava awali omulambo gwe n’agenda eri Abakiiti[d] n’abagamba nti, (DD)“Ndi mugenyi era omutambuze mu mmwe, munfunire ekifo aw’okuziika, ndyoke nziikewo omuntu wange anve ku maaso.” Abakiiti ne baddamu Ibulayimu nti, (DE)“Tuwulirize mukama waffe. Laba, oli muntu mukulu wakati mu ffe. Ziika mukazi wo mu emu ku ntaana zaffe gy’oneeroboza. Tewali n’omu mu ffe anaakuuma ntaana ye, oba okukuziyiza okuziika omuntu wo.”

Ibulayimu n’agolokoka n’avuunama eri Abakiiti, bannannyini nsi. (DF)N’abagamba nti, “Obanga munzikirizza mu mwoyo mulungi okuziika omuntu wange, mumpulirize. Kale munneegayiririre Efulooni mutabani wa Zokali, anguze empuku ey’e Makupeera, gy’alina, eri ku nkomerero y’ennimiro ye. Agingulize mu maaso gammwe, mmusasule omuwendo gwayo gwonna, efuuke ekifo kyange eky’okuziikangamu mu mmwe.” 10 (DG)Mu kiseera ekyo Efulooni yali atudde awo wakati mu Bakiiti. Efulooni, Omukiiti n’addamu Ibulayimu nga Abakiiti bonna abaaliwo mu mulyango gw’ekibuga nga bawulira nti, 11 (DH)“Nedda mukama wange. Mpuliriza. Nkuwadde ennimiro n’empuku erimu, ng’abantu bange balaba, ziika omuntu wo.”

12 Awo Ibulayimu n’avuunama mu maaso gaabwe bonna. 13 N’agamba Efulooni, bonna nga bawulira nti, “Obanga okkirizza, nkusaba nsasule omuwendo gw’ennimiro gwonna ndyoke nziikewo mukazi wange.” 14 Efulooni n’addamu Ibulayimu nti, 15 (DI)“Mpuliriza mukama wange, ennimiro esaana ebitundu by’effeeza ebikumi bina. Kale ekyo ki eri ab’omukwano? Twala ennimiro oziikemu abafu bo.”

16 (DJ)Ne bakkiriziganya, Ibulayimu kwe kusasula Efulooni ensimbi ze bakkirizaganya nga Abakiiti bonna balaba.

17 (DK)Olwo ennimiro ya Efulooni mu Makupeera, eyali ku luuyi olw’ebuvanjuba olwa Mamule, ennimiro awamu n’empuku eyalimu, n’emiti gyonna egyali mu nnimiro ekitundu kyonna ne bifuuka bya 18 Ibulayimu nga Abakiiti bonna abaafuluma mu mulyango gw’ekibuga balaba. 19 Oluvannyuma Ibulayimu n’aziika Saala mukazi we mu mpuku mu nnimiro ya Makupeera ku luuyi olw’ebuvanjuba bwa Mamule, ye Kebbulooni, mu nsi ya Kanani. 20 (DL)Abakiiti ne bakwasa Ibulayimu ennimiro awamu n’empuku yaamu mu butongole okubeera obutaka bwe okuziikangamu abantu be.

Okunoonyeza Isaaka Omukazi

24 (DM)Ibulayimu yawangaala n’akaddiwa nnyo; era Mukama yamuwa emikisa mingi mu byonna. (DN)Awo Ibulayimu n’agamba omuddu asinga obukulu mu nnyumba ye, eyali afuga byonna Ibulayimu bye yalina nti, “Teeka omukono gwo wansi w’ekisambi kyange[e] (DO)ndyoke nkulayize mu maaso ga Mukama Katonda w’eggulu era Katonda w’ensi, nga toliwasiza mutabani wange mukazi kuva mu bawala ba nsi ya Bakanani, mwe mbeera, (DP)wabula ng’oligenda mu nsi yange mu bantu bange n’owasiza mutabani wange Isaaka omukazi.”

Omuddu kwe ku mubuuza nti, “Omukazi bw’ataliyagala kujja nange mu nsi eno, ndizzaayo mutabani wo mu nsi mwe wava?” Ibulayimu n’addamu nti, “Togezanga n’ozzaayo mutabani wange. (DQ)Mukama, Katonda w’eggulu, eyanzigya mu nnyumba ya kitange, mu nsi mwe nazaalibwa eyayogera nange era n’andayirira nti, ‘Ezadde lyo ndiriwa ensi eno,’ alituma malayika we n’akukulembera owasirize mutabani wange omukazi era omuggyeyo. Naye omukazi bw’aligaana okujja naawe, olwo ekirayiro kino kiriba tekikyakusiba. Kyokka togezanga n’ozzaayo omwana wange.” (DR)Awo omuddu kwe kuteeka omukono gwe wansi w’ekisambi kya mukama we Ibulayimu.

10 Awo omuddu n’atwala ku ŋŋamira za mukama we n’agenda ng’atutte buli ngeri ya kirabo okuva ku bya mukama we. N’ayimuka n’agenda e Mesopotamiya mu kibuga kya Nakoli. 11 (DS)Obudde bwe bwawungeera n’atuuka ebweru w’ekibuga n’afukamiza awo eŋŋamira okumpi n’oluzzi obudde nga buwungedde abakazi we bagendera okukima amazzi.

12 (DT)N’asaba nti, “Ayi Mukama Katonda wa mukama wange Ibulayimu mpa obuwanguzi leero nkwegayiridde, olage mukama wange Ibulayimu okwagala kwo okutaggwaawo. 13 Laba nnyimiridde okumpi n’oluzzi, ne bawala b’abantu ab’omu kibuga bajja okusena amazzi. 14 (DU)Kale omuwala gwe nnaagamba nti, ‘Nkwegayiridde mpa ku mazzi ag’omu nsuwa yo nnyweko,’ n’amala agamba nti, ‘Kale nnywa, era n’eŋŋamira zo nnaazinywesa,’ oyo y’aba abeera gw’olonze okuba mukazi w’omuddu wo Isaaka. Ku kino kwe nnaategeerera nti olaze mukama wange ekisa kyo ekitaggwaawo.”

Lebbeeka ku Luzzi

15 (DV)Laba, bwe yali nga tannamaliriza kusaba, Lebbeeka muwala wa Besweri mutabani wa Mirika muka Nakoli, muganda wa Ibulayimu, n’ajja ng’atadde ensuwa ye ey’amazzi ku kibegabega kye. 16 (DW)Omuwala oyo yali mulungi okulabako nga muwala mbeerera, n’akka mu luzzi n’ajjuza ensuwa ye n’avaayo.

17 Awo omuddu n’ayanguwa n’amusisinkana, n’amugamba nti, “Nkusaba ompe ku tuzzi ku nsuwa yo.”

18 (DX)N’amuddamu nti, “Nywako mukama wange.” Amangwago n’assa ensuwa mu mikono gye, n’agikwata mu mukono gwe n’amuwa amazzi.

19 (DY)Bwe yamala okumuwa amazzi, n’amugamba nti, “N’eŋŋamira zo nazo nnaazisenera amazzi okutuusa lwe zinaamala okunywa.” 20 Bw’atyo n’ayanguwa n’ayiwa ensuwa ye ey’amazzi n’agimalira mu kyesero, n’adduka n’asena amalala agaali gamala eŋŋamira ze zonna, 21 (DZ)omusajja ng’asirise ng’amwekaliriza amaaso okumanya obanga Mukama awadde olugendo lwe omukisa oba nedda.

22 (EA)Eŋŋamira bwe zaamala okunywa, omusajja n’addira empeta ya zaabu ey’oku matu erimu gulaamu ttaano n’obutundu musanvu n’ebikomo ebya zaabu bibiri eby’oku mikono bya gulamu kikumi mu kkumi na ttaano n’abiwa omuwala abyenaanike. 23 N’amubuuza nti, “Oli muwala w’ani? Mu nnyumba ya kitaawo mulimu ekisenge mwe tuyinza okusuzibwa?” 24 (EB)N’amuddamu nti, “Ndi muwala wa Besweri, mutabani wa Mirika gwe yazaalira Nakoli.” 25 N’ayongerako nti, “Tulina omuddo omukalu n’emmere endala ebimala, era n’ekisenge eky’okusulamu tukirina.”

26 (EC)Awo omusajja n’akutamya omutwe gwe n’asinza Mukama. 27 (ED)N’agamba nti, “Yeebazibwe Mukama Katonda wa mukama wange Ibulayimu atalese kisa kye ekitaggwaawo n’obwesigwa bwe eri mukama wange. Era nze ku lwange Mukama ankulembedde mu kkubo n’antuusa mu nnyumba ya booluganda lwa mukama wange.” 28 Awo omuwala n’adduka n’ategeeza ab’ennyumba ya nnyina ebintu ebyo byonna. 29 (EE)Lebbeeka yalina mwannyina, Labbaani, eyayanguwa okulaga ku luzzi eri omusajja, 30 Labbaani bwe yalaba empeta n’ebikomo ku mikono gya mwannyina, era bwe yawulira ebigambo bya mwannyina ng’omusajja bw’amugambye, n’agenda eri omusajja. Laba omusajja yali ng’ayimiridde awali eŋŋamira ku luzzi. 31 (EF)Labbaani n’amugamba nti, “Jjangu gwe aweereddwa Mukama omukisa. Lwaki obeera eno? Ntegesse ennyumba era n’ekifo ky’eŋŋamira.”

32 (EG)Awo, omusajja n’alaga ku nnyumba, n’asumulula eŋŋamira, ne baziwa essubi n’ebyokulya ne bamuleetera n’amazzi ye n’abasajja be yali nabo banaabe ebigere. 33 Oluvannyuma ne bamuleetera emmere alye. Kyokka ye n’agamba nti, “Sijja kulya nga sinnayogera kindeese.”

Labbaani n’amugamba nti, “Yogera.”

Omuddu Annyonnyola Ekyamutwala

34 Awo n’agamba nti, “Ndi muddu wa Ibulayimu. 35 (EH)Mukama yawa mukama wange emikisa mingi, era afuuse mukulu, amuwadde ebisibo by’endiga n’amagana g’ente, ne ffeeza ne zaabu, abaweereza abasajja n’abaweereza abakazi era n’eŋŋamira awamu n’endogoyi. 36 (EI)Era Saala muka mukama wange bwe yali ng’akaddiye yamuzaalira omwana owoobulenzi, era mukama wange awadde oyo byonna by’alina. 37 (EJ)Mukama wange yandayiza n’aŋŋamba nti, ‘Towasizanga mutabani wange mukazi ava mu Bakanani ba nnyini nsi mwe mbeera. 38 (EK)Wabula oligenda mu nnyumba ya kitange, mu bantu bange, n’owasiza mutabani wange omukazi okuva omwo.’

39 (EL)“Ne mbuuza mukama wange nti, ‘Omukazi bw’atalikkiriza kujja nange?’

40 (EM)“Ye n’anziramu nti, ‘Mukama oyo gwe ntambulira mu maaso ge alikutumira malayika we mu lugendo lwo era alikuwa omukisa, n’owasiza mutabani wange omukazi okuva mu bantu bange, era mu nnyumba ya kitange. 41 (EN)Naye ekirayiro kyange tekirikubaako bw’olituuka mu bantu bange ne batamukuwa, nga ggwe toliiko musango.’

42 (EO)“Leero bwe ntuuse ku luzzi, ne ŋŋamba nti, ‘Ayi Mukama, Katonda wa mukama wange Ibulayimu, obanga onoowa omukisa olugendo luno lwe ndiko, 43 (EP)laba, nnyimiridde awali oluzzi, kale omuwala anajja okusena amazzi, ne mugamba nti, “Nkusaba ku tuzzi mu nsuwa yo nyweko,” 44 n’anziramu nti, “Nnywa, era n’eŋŋamira zo nazo nzija kuzisenera,” oyo y’aba abeera omukazi Mukama gw’alondedde mutabani wa mukama wange.’

45 (EQ)“Laba, bwe nabadde nga nkyayogera mu mutima gwange, Lebbeeka n’avaayo n’ensuwa ye ng’eri ku kibegabega kye, n’aserengeta ku luzzi n’asena amazzi. Ne mugamba nti, ‘Nkusaba ompe nyweko.’

46 (ER)“Nassa mangu ensuwa ye okuva ku kibegabega kye, n’agamba nti, ‘Nnywa, era nnaanywesa n’eŋŋamira zo.’

47 (ES)“Kwe ku mubuuza nti, ‘Oli muwala w’ani?’ N’anziramu nti, ‘Ndi muwala wa Besweri, mutabani wa Nakoli, Mirika gwe yamuzaalira.’ Ne nteeka empeta ku nnyindo ye n’ebikomo ku mikono gye. 48 (ET)Awo ne nkutamya omutwe gwange ne nsinza Mukama ne muwa ekitiibwa, Katonda wa mukama wange Ibulayimu eyankulembera nannuŋŋamya mu lugendo lwange okuwasiriza mutabani wa mukama wange omukazi okuva mu bantu ba mukama wange. 49 (EU)Kale kaakano obanga mu mazima munaakolera mukama wange ebyekisa, mumbuulire, era obanga si bwe kityo mumbuulire; ndyoke mmanye eky’okukola.”

Lebbeeka Agenda n’Omuddu

50 (EV)Awo Labbaani ne Besweri ne baddamu nti, “Kino kivudde wa Mukama, tetuyinza kukuddamu kino oba kiri. 51 Laba, Lebbeeka wuuyo, mutwale, agende abeere muka mutabani wa mukama wo, nga Mukama bw’alagidde.”

52 (EW)Omuddu wa Ibulayimu bwe yawulira ebigambo byabwe n’avuunama wansi mu maaso ga Mukama. 53 (EX)N’aggyayo eby’obugagga ebya ffeeza ne zaabu, n’ebyambalo n’abiwa Lebbeeka, era n’awa mwannyina ne nnyina ebirabo eby’omuwendo omungi. 54 (EY)Awo ye n’abasajja be yali nabo ne balyoka balya era ne banywa; ne basulayo ekiro ekyo.

Bwe baagolokoka enkya n’agamba nti, “Ka nzireyo eri mukama wange.”

55 Mwannyina ne nnyina ne bamuddamu nti, “Leka omuwala abeereko naffe akaseera, wakiri ennaku kkumi, olwo mulyoke mugende.”

56 Ye n’abaddamu nti, “Temundwisa, kubanga Mukama awadde olugendo lwange omukisa.” 57 Ne bagamba nti, “Ka tuyite omuwala tumubuuze.” 58 Ne bayita Lebbeeka, ne bamubuuza nti, “Onoogenda n’omusajja ono?” N’addamu nti, “Nnaagenda.”

59 (EZ)Awo ne basiibula Lebbeeka mwannyinaabwe, n’omuweereza we omuwala, n’omuweereza wa Ibulayimu omusajja awamu n’abasajja be. 60 (FA)Ne basabira Lebbeeka omukisa ne bamugamba nti,

“Mwannyinaffe beera nnyina
    w’enkumi n’enkumi,
abaana n’abazzukulu bo balyenga
    ebibuga by’abalabe baabwe.”

61 Awo Lebbeeka n’abaweereza be ne basituka ne beebagala eŋŋamira ne bagenda n’omuweereza wa Ibulayimu omusajja, bw’atyo omuddu n’atwala Lebbeeka ne bagenda.

Isaaka ne Lebbeeka Bafumbiriganwa

62 (FB)Olwo Isaaka yali ng’avudde e Beerirakayiroyi ng’ali mu Negevu. 63 (FC)Awo bwe yali ng’atambula nga bw’afumiitiriza mu nnimiro akawungeezi, n’ayimusa amaaso ge n’alengera eŋŋamira nga zijja. 64 Ne Lebbeeka n’ayimusa amaaso ge. Bwe yalengera Isaaka n’ava ku ŋŋamira, 65 n’abuuza omuddu nti, “Ani oyo gwe nnengera mu nnimiro ajja okutusisinkana?”

Omuddu n’addamu nti, “Ye mukama wange.” Lebbeeka kwe kutoola omunagiro gwe ne yeebikkirira.

66 Awo omuddu n’ategeeza Isaaka byonna nga bwe byagenda. 67 (FD)Awo Isaaka n’atwala Lebbeeka n’amuyingiza mu weema eyali eya Saala nnyina, n’afuuka mukazi we n’amwagala. Isaaka n’alyoka afuna essanyu kasookedde afiirwa nnyina.[f]

25 Ibulayimu n’awasa omukazi omulala erinnya lye Ketula. (FE)Yamuzaalira Zimulaani, ne Yokusaani, ne Medani, ne Midiyaani, ne Isubaki ne Suwa. Yokusaani n’azaala Seeba ne Dedani. Dedani n’azaala Asulimu, ne Letusimu ne Leumimu. Batabani ba Midiyaani baali Efa, ne Eferi, ne Kanoki, ne Abida ne Eruda. Abo bonna be baana n’abazzukulu ba Ketula.

(FF)Ibulayimu yawa Isaaka byonna bye yalina. (FG)Naye bo abaana b’abaweereza be n’abawa birabo, n’abasiibula bwe yali ng’akyali mulamu bagende ebuvanjuba mu nsi ey’ebuvanjuba; baviire mutabani we Isaaka.

Okufa kwa Ibulayimu

Ibulayimu yawangaala emyaka kikumi mu nsanvu mu etaano. (FH)Ibulayimu yafa ng’akaddiyidde ddala, nga musajja awangaalidde ddala obulungi. (FI)Batabani be Isaaka ne Isimayiri ne bamuziika mu mpuku ey’e Makupeera, mu nnimiro ya Efulooni, mutabani wa Zokali Omukiiti, ebuvanjuba bwa Mamule; 10 (FJ)ennimiro Ibulayimu gye yagula ku Bakiiti. Omwo Ibulayimu mwe yaziikibwa awali Saala mukazi we. 11 (FK)Ibulayimu bwe yafa, Katonda n’awa mutabani we Isaaka omukisa, Isaaka n’abeera e Beerirakayiroyi.

Abaana ba Isimayiri

12 (FL)Bino bye bifa ku b’olulyo lwa Isimayiri mutabani wa Ibulayimu eyazaalibwa Agali Omumisiri, omuweereza wa Saala omuwala.

13 Gano ge mannya gaabwe nga bwe baddiŋŋanwako: Nebayoosi, omubereberye wa Isimayiri, ne Kedali, ne Adubeeri, ne Mibusamu, 14 ne Misuma, ne Duma, ne Massa, 15 ne Kadadi, ne Teema, ne Yetuli, ne Nafisi ne Kedema. 16 (FM)Abo be batabani ba Isimayiri, era ago ge mannya gaabwe, mu byalo ne mu bibuga byabwe mwe baabeeranga, abafuzi kkumi na babiri buli omu n’eggwanga lye. 17 (FN)Isimayiri yafa ng’awezezza emyaka kikumi mu asatu mu musanvu n’atwalibwa mu babe. 18 (FO)Abantu be baatuula okuviira ddala mu Kavira ne batuuka ku Ssuuli okuliraana Misiri ku luuyi olwa Bwasuli. Ennaku zaabwe zonna baawalananga baganda baabwe.

Okuzaalibwa kwa Yakobo ne Esawu

19 Bino bye bifa ku b’olulyo lwa Isaaka, mutabani wa Ibulayimu.

Ibulayimu yazaala Isaaka. 20 (FP)Isaaka yalina emyaka amakumi ana, we yawasiza muwala wa Besweri Omusuuli ow’e Padanalaamu, eyayitibwanga Lebbeeka mwannyina wa Labbaani.

21 (FQ)Isaaka n’asaba Mukama ku lwa mukazi we Lebbeeka kubanga yali mugumba, Mukama n’awulira okusaba kwe, Lebbeeka naaba olubuto. 22 (FR)Abaana bombi ne bagulumbira mu lubuto lwe, Lebbeeka n’agamba nti, “Obanga kiri bwe kityo, lwaki mba omulamu?” Awo n’agenda ne yeebuuza ku Mukama.

23 (FS)Mukama n’amuddamu nti,

“Mu lubuto lwo mulimu amawanga abiri,
    abantu ababiri b’olizaala balibeera ba njawulo,
omu alibeera w’amaanyi okusinga munne,
    era omukulu yaaliweereza omuto.”

24 Ennaku ez’okuzaala bwe zaatuuka, laba, n’azaala abalongo nga babulenzi. 25 (FT)Eyasooka bwe yavaayo nga mumyufu, omubiri gwe gwonna nga gufaanana ng’ekyambalo eky’ebyoya. Kyebaava bamutuuma Esawu. 26 (FU)Oluvannyuma ne muganda we n’azaalibwa, omukono gwe nga gukutte ekisinziiro kya Esawu; kyebaava bamuyita Yakobo. Isaaka yalina emyaka nkaaga Lebbeeka we yazaalira abaana abo.

Esawu Atunda eby’Obukulu Bwe

27 (FV)Abalenzi ne bakula, Esawu n’aba muyizzi lukulwe, omuntu ow’oku ttale. Naye ye Yakobo yali musajja musirise ng’asigala waka. 28 (FW)Isaaka n’ayagala Esawu kubanga yalyanga ku muyiggo gwe, naye Lebbeeka ye n’ayagala Yakobo.

29 Lumu Yakobo yali afumba enva, Esawu n’ajja ng’ava ku ttale; enjala ng’emuluma nnyo. 30 Esawu n’agamba Yakobo nti, “Mpa mpute ku nva ezo, kubanga enjala ejula kunzita.” Kyeyava ayitibwa Edomu.

31 Yakobo n’amuddamu nti, “Sooka onguze obukulu bwo.”

32 Esawu n’agamba nti, “Laba Ndikumpi n’okufa, obukulu bungasa ki?”

33 (FX)Yakobo n’addamu nti, “Sooka ondayirire.” Awo Esawu n’amulayirira, olwo n’aguza Yakobo obukulu bwe.

34 Yakobo n’alyoka awa Esawu emmere n’enva, n’alya n’anywa, n’agolokoka n’agenda.

Bw’atyo Esawu n’anyooma obukulu bwe.

Isaaka Abeera mu Gerali

26 (FY)Ne wabaawo enjala mu nsi, eteri eri eyabaawo mu biseera bya Ibulayimu. Isaaka n’agenda mu Gerali, ewa Abimereki[g] kabaka w’Abafirisuuti. (FZ)Ne Mukama n’amulabikira, n’amugamba nti, “Toserengeta Misiri, beera mu nsi gye ndikulaga. (GA)Beera mu nsi gye ndikulaga, nnaabeeranga naawe, n’akuwanga omukisa kubanga gwe n’abaana bo ndibawa ensi zino zonna, era ndituukiriza ekirayiro kye nalayirira kitaawo Ibulayimu. (GB)Ndyaza abaana b’enda yo ne baba ng’emmunyeenye ez’eggulu, era ndibawa n’ensi zino zonna. Era mu bo amawanga gonna ag’oku nsi mwe galiweerwa omukisa; (GC)kubanga Ibulayimu yagondera eddoboozi lyange, n’akwata bye namukuutira, n’ebiragiro byange, n’ebigambo byange awamu n’amateeka gange.” Bw’atyo Isaaka n’abeera mu Gerali, (GD)abasajja ab’omu nsi omwo bwe baamubuuza ku mukazi we n’abaddamu nti, “Mwannyinaze.” Kubanga yatya okwogera nti, “Mukazi wange,” ng’alowooza nti, “Abasajja ab’omu nsi omwo tebalwa kunzita lwa Lebbeeka,” kubanga yali mulungi nnyo.

Bwe yamalayo ekiseera ekiwanvu, Abimereki, kabaka w’Abafirisuuti n’atunula mu ddirisa, n’alaba Isaaka ng’azannya ne Lebbeeka mukazi we. Abimereki kwe kuyita Isaaka n’amugamba nti, “Ddala, mukazi wo, lwaki wagamba nti, ‘Mwannyinaze’?”

Isaaka n’amuddamu nti, “Kubanga nalowooza nti, ‘Nnyinza okufiirwa obulamu bwange ku lulwe.’ ”

10 (GE)Abimereki n’amugamba nti, “Kale kiki kino ky’otukoze? Omu ku basajja yandiyinzizza okusobya ku mukazi wo, wandituleeseeko omusango.”

11 (GF)Awo Abimereki n’alyoka alagira abantu bonna ng’agamba nti, “Buli alikwata ku musajja ono oba ku mukyala we waakuttibwa.”

12 (GG)Isaaka n’asigala mu nsi omwo, n’afuna amakungula emirundi kikumi ag’ebyo bye yasiga, kubanga Mukama yamuwa omukisa. 13 (GH)N’afuuka mugagga, obugagga bwe ne bweyongera n’agaggawala nnyo. 14 (GI)Yalina ebisibo by’endiga bingi nnyo n’amagana g’ente, era n’abaweereza nfaafa; Abafirisuuti ne bamukwatirwa obuggya. 15 (GJ)Kyebaava bajjuza enzizi zonna abaddu ba kitaawe ze baasima mu biro bya kitaawe Ibulayimu, ne baziziba.

16 (GK)Ne Abimereki n’agamba Isaaka nti, “Ggenda, tuveemu kubanga otuyitiridde amaanyi.”

Abasumba ba Isaaka n’aba Abafirisuuti

17 Awo Isaaka n’avaayo n’azimba mu kiwonvu eky’e Gerali, n’abeera omwo. 18 (GL)Isaaka n’azibukula enzizi ezaali zisimiddwa mu biseera bya Ibulayimu kitaawe, kubanga Abafirisuuti baziziba Ibulayimu bwe yamala okufa. Era ye Isaaka n’aziyita amannya gali kitaawe ge yali azituumye.

19 Naye abaddu ba Isaaka bwe basima mu kiwonvu ne bazuula oluzzi olw’ensulo, 20 (GM)abasumba b’omu Gerali ne bayomba n’abasumba ba Isaaka nga bagamba nti, “Amazzi gaffe.” Oluzzi olwo kyeyava alutuuma Eseki[h], kubanga baawakana naye. 21 Kyebaava basima oluzzi olulala, era nalwo ne baluyombera, lwo kwe kuluyita Situna. 22 (GN)Awo n’avaayo n’asima oluzzi olulala, olwo lwo ne bataluyombera, kyeyava alutuuma Lekobosi, ng’agamba nti, “Kubanga kaakano Mukama atuwadde ebbanga, era tujja kukulaakulanira muno.”

23 Bwe yava eyo n’agenda e Beeruseba. 24 (GO)Ekiro ekyo Mukama n’alabikira Isaaka, n’amugamba nti, “Nze Katonda wa Ibulayimu kitaawo, totya. Kubanga ndiwamu naawe, ndikuwa omukisa era ndyaza abaana bo ku lwa Ibulayimu omuddu wange.”

25 (GP)Awo n’azimbawo ekyoto n’akoowoola erinnya lya Mukama, n’asimba eyo eweema ye. Era n’eyo abaddu be ne basimayo oluzzi.

26 (GQ)Mu kiseera kye kimu Abimereki n’ava mu Gerali ng’ali ne Akuzasa gwe yeebuuzangako amagezi ne Fikoli omukulu w’eggye lye, n’agenda eri Isaaka. 27 (GR)Isaaka n’ababuuza nti, “Lwaki muzze gye ndi ng’ate mwankijjanya ne mungobaganya?”

28 (GS)Ne bamuddamu nti, “Tulabidde ddala nga Mukama ali naawe, kyetuva tugamba nti, ‘Wabeewo ekirayiro wakati wo naffe. Era tukole endagaano naawe, 29 (GT)nga tolitukola kabi, nga ffe bwe tutaakakukola era nga tetuliiko kye tukukoze, wabula ebirungi era nga twakusiibula mirembe.’ Kaakano gwe oli muntu Mukama gw’awadde omukisa.”

30 (GU)Awo Isaaka n’abakolera ekijjulo ne balya ne banywa. 31 (GV)Ku makya ennyo ne bagolokoka ne balayiriragana, Isaaka n’abawerekerako ne bava gy’ali mirembe.

32 Ku lunaku olwo lwennyini, abaddu ba Isaaka ne bajja ne bamutegeeza eby’oluzzi lwe baasima, ne bamugamba nti, “Tuzudde amazzi.” 33 (GW)N’alutuuma Siba; erinnya ly’ekibuga kyeriva liba Beeruseba na buli kati.

34 (GX)Esawu bwe yaweza emyaka amakumi ana egy’obukulu, n’awasa Yudisi muwala wa Beeri Omukiiti, ne Besimansi muwala wa Eroni naye Omukiiti. 35 (GY)Ne bakaluubiriza nnyo Isaaka ne Lebbeeka obulamu.

27 (GZ)Awo Isaaka bwe yali ng’akaddiye nnyo n’amaaso ge nga gayimbadde, nga takyayinza kulaba, n’ayita Esawu mutabani we omukulu, n’amugamba nti, “Mutabani,” n’amuddamu nti, “Nze nzuuno.”

(HA)Isaaka n’amugamba nti, “Laba, nkaddiye, simanyi lwe ndifa. (HB)Kale kaakano kwata by’oyizza, omutego gwo n’obusaale bwo, ogende mu nsiko onjiggire yo omuyiggo. (HC)Onteekereteekere ekyokulya ekiwooma ennyo kye njagala, okindeetere nkirye, ndyoke nkusabire omukisa nga sinnafa.”

Lebbeeka Asala Olukwe ne Yakobo

Ne Lebbeeka yali awo ng’awuliriza, Isaaka ng’agamba mutabani we omukulu Esawu. Awo Esawu bwe yagenda mu nsiko okuyigga omuyiggo aguleete, (HD)Lebbeeka n’agamba mutabani we Yakobo owookubiri nti, “Mpulidde kitaawo ng’agamba muganda wo Esawu nti, ‘Ndeetera omuyiggo onteekereteekere ekyokulya ekiwooma obulungi, nkirye, ndyoke nkusabire omukisa eri Mukama nga sinnafa.’ (HE)Kale nno kaakano mwana wange wulira kye nkugamba. Genda eri ekisibo ondeeteremu embuzi bbiri ennungi, nfumbire kitaawo ekyokulya ekiwooma, nga bw’ayagala, 10 okitwalire kitaawo akirye, alyoke akusabire omukisa nga tannafa.”

11 (HF)Naye Yakobo n’agamba Lebbeeka nnyina nti, “Muganda wange Esawu musajja wa byoya, so nga nze ndi muweweevu. 12 (HG)Singa kitange anampeeweetako, siifuuke mulimba gy’ali, ne nfuna ekikolimo mu kifo ky’okufuna omukisa?”

13 (HH)Nnyina n’amuddamu nti, “Ekikolimo kyo kibe ku nze mwana wange; wulira ekigambo kyange ogende ozindeetere.”

14 Awo Yakobo n’agenda, n’azikwata n’azireeteera nnyina, n’ateekerateekera Isaaka ekyokulya ekiwooma nga bwe yayagala. 15 (HI)Lebbeeka n’addira ebyambalo ebisinga obulungi ebya Esawu, mutabani we omukulu, ebyali mu nnyumba; n’abyambaza Yakobo mutabani we omuto, 16 era n’addira n’amaliba g’embuzi n’agamwambaza ku mikono ne ku bitundu ebyobulago ebiweweera. 17 N’alyoka addira ekyokulya ekiwooma n’omugaati bye yafumba, n’abikwasa Yakobo mutabani we.

Omukisa gwa Yakobo Omubbe

18 Awo Yakobo n’agenda eri kitaawe, n’amugamba nti, “Kitange nzuuno.” Ye n’amuddamu nti, “Ggwe ani mwana wange?”

19 (HJ)Yakobo n’agamba kitaawe nti, “Nze Esawu omwana wo omubereberye, nkoze nga bw’oŋŋambye. Kale kaakano tuula olye ku muyiggo gwange olyoke onsabire omukisa.” 20 (HK)Naye Isaaka n’abuuza mutabani we nti, “Ogufunye otya amangu bw’otyo?” N’amuddamu nti, “Mukama Katonda wo ampadde omukisa.”

21 (HL)Awo Isaaka n’agamba mutabani we nti, “Sembera wendi mutabani, nkukwateko, ntegeerere ddala nga ggwe mutabani wange Esawu.”

22 Yakobo kwe kusembera awali Isaaka kitaawe. Bwe yamuwulira n’agamba nti, “Eddoboozi lya Yakobo naye emikono gya Esawu.” 23 (HM)N’atamutegeera kubanga emikono gye gyaliko obwoya ng’egya Esawu muganda we, kwe kumuwa omukisa. 24 Isaaka n’amubuuza nti, “Ddala gwe mwana wange Esawu?”

N’amuddamu nti, “Ye nze.”

25 (HN)N’alyoka amugamba nti, “Kale gundeetere, ndye ku muyiggo gwa mutabani wange, nkusabire omukisa.” N’alyoka agumuleetera, n’alya era n’amuleetera n’envinnyo n’anywa. 26 Awo kitaawe Isaaka n’amugamba nti, “Sembera onnywegere mwana wange.”

27 (HO)N’amusemberera n’amunywegera, kitaawe n’awulira akaloosa ke ngoye ze n’amuwa omukisa ng’agamba nti,

“Wulira akaloosa k’omwana wange,
    kali ng’akaloosa k’ennimiro
    Mukama gy’awadde omukisa.
28 (HP)Katonda akuwe omusulo ogw’omu ggulu,
    n’obugimu bw’ensi,
    era akuwe emmere ey’empeke nnyingi n’envinnyo.
29 (HQ)Abantu bakuweerezenga,
    n’amawanga gakuvuunamirenga.
Fuganga baganda bo,
    ne batabani ba nnyoko bakuvuunamirenga.
Akolimirwe oyo anaakukolimiranga
    era aweebwenga omukisa oyo anaakusabiranga omukisa.”

Esawu Agwa mu Lukwe

30 Amangu ddala nga Isaaka yakamala okuwa Yakobo omukisa, era nga Yakobo tannava wali Isaaka kitaabwe, Esawu n’atuuka ng’ava okuyigga. 31 (HR)Era naye n’ateekateeka emmere ey’akawoowo n’agireetera kitaawe. N’agamba kitaawe nti, “Kitange golokoka olye ku muyiggo gw’omwana wo olyoke onsabire omukisa.”

32 (HS)Kitaawe Isaaka n’amubuuza nti, “Gwe ani?” Kwe kumuddamu nti, “Nze omwana wo omubereberye Esawu.”

33 (HT)Olwo Isaaka n’akankana nnyo n’abuuza nti, “Ani oyo ayizze omuyiggo n’agundeetera ne ngulya ne ngumalawo nga tonnajja ne mmusabira omukisa? Era ddala ajja kuweebwa omukisa.”

34 (HU)Awo Esawu bwe yawulira ebigambo bya kitaawe ebyo, n’atulika n’akaaba nnyo nnyini, n’agamba kitaawe nti, “Nange mpa omukisa, ayi kitange.” 35 (HV)Naye n’amuddamu nti, “Muganda wo azze n’annimba era akututteko omukisa gwo.”

36 (HW)Esawu n’ayogera nti, “Teyatuumibwa linnya lye Yakobo? Laba, anyingiridde emirundi gino gyombi; yanziggyako eby’obukulu bwange, ate kaakano antutteko n’omukisa gwange.” Kwe kubuuza kitaawe nti, “Tondekeddeewo mukisa n’akatono?”

37 (HX)Isaaka n’addamu Esawu nti, “Laba, mmufudde mukama wo, era mmuwadde baganda be bonna babe baweereza be, era mmusabidde abe n’emmere ey’empeke wamu n’envinnyo nga bingi ddala. Kale nnaakukolera ki mwana wange?”

38 (HY)Esawu n’abuuza kitaawe nti, “Tolinaawo mukisa na gumu kitange? Nange mpa omukisa, ayi kitange.” Bw’atyo Esawu n’ayimusa eddoboozi lye n’akaaba.

39 (HZ)Awo Isaaka kitaawe n’amuddamu nti,

“Laba, onooberanga mu nsi enkalu,
    era toofunenga musulo guva waggulu mu ggulu.
40 (IA)Ekitala kyo kye kinaakukuumanga,
    era onooweerezanga muganda wo.
Naye bw’olimwesimattulako,
    oliba weefunidde eddembe.”

Enteekateeka ya Lebbeeka

41 (IB)Awo Esawu n’akyawa muganda we Yakobo ng’amulanga omukisa kitaabwe gwe yamuwa. Esawu n’alyoka ayogera nti, “Ennaku ez’okukungubagira kitange zinaatera okutuuka. Bwe zirituuka, muganda wange Yakobo nga mutta.”

42 Kyokka Lebbeeka n’atuusibwako ebigambo bya Esawu mutabani we omukulu; kwe kutumya Yakobo mutabani we omuto, n’amugamba nti, “Laba, Esawu muganda wo ateekateeka okukutta. 43 (IC)Kale nno kaakano mwana wange, okole nga bwe nkugamba: Golokoka oddukire ewa, mwannyinaze Labbaani ali mu Kalani, 44 (ID)obeereko eyo, okutuusa obusungu bwa muganda wo nga bukkakkanye. 45 (IE)Obusungu bwe buliba bumuweddeko, nga yeerabidde ky’omukoze, ne ndyoka ntuma ne bakunona. Kale lwaki mbafiirwa mwembi ku lunaku olumu?”

46 (IF)Lebbeeka n’alyoka ategeeza Isaaka nti, “Obulamu bwange bwetamiddwa olw’abakazi bano Abakiiti. Singa Yakobo awasa omu ku bakazi Abakiiti, nga bano, omu ku bakazi aba muno, obulamu bwange buliba tebukyangasa.”

Isaaka Asindika Yakobo eri Labbaani

28 (IG)Awo Isaaka n’ayita Yakobo n’amuwa omukisa, n’amukuutira nti, “Towasanga, wadde omu ku bakazi Abakanani. (IH)Golokoka ogende e Padanalaamu mu nnyumba ya Besweri kitaawe wa nnyoko, ofune omukazi omu ku bawala ba Labbaani mwannyina nnyoko. (II)Katonda Ayinzabyonna akuwe omukisa, akwaze, weeyongere, era obeerenga n’abantu ab’enjawulo bangi. (IJ)Akuwe emikisa gya Ibulayimu, era agiwe n’ezzadde lyo, olyoke ofune ensi mw’otambulira, Katonda gye yawa Ibulayimu.” (IK)Bw’atyo Isaaka n’asiibula Yakobo, Yakobo n’agenda e Padanalaamu ewa Labbaani, mutabani wa Besweri Omusuuli mwannyina Lebbeeka, nnyina wa Esawu ne Yakobo.

(IL)Esawu n’ategeera nga Isaaka awadde Yakobo omukisa, era ng’amusindise e Padanalaamu afuneyo omukazi, era nga bwe yamuwa omukisa yamukuutira nti, “Towasanga ku bakazi Abakanani,” era nga Yakobo agondedde kitaawe ne nnyina n’agenda e Padanalaamu. (IM)Awo n’ategeera nti abakazi Abakanani tebaasanyusa kitaawe Isaaka. (IN)Esawu n’agenda eri Isimayiri n’awasa omukazi erinnya lye Makalasi, muwala wa Isimayiri, mutabani wa Ibulayimu, mwannyina wa Nebayoosi, n’amwongera ku bakazi be yalina.

Ekirooto kya Yakobo ng’ali e Beseri

10 (IO)Awo Yakobo n’ava e Beeruseba n’ayolekera Kalani. N’atuuka mu kifo ekimu, n’asula awo ekiro ekyo, kubanga obudde bwali buzibye. 11 N’addira erimu ku mayinja agaali mu kifo ekyo, n’alyezizika ne yeebaka. 12 (IP)N’aloota ng’alaba eddaala eggwanvu nga liva ku nsi okutuuka mu ggulu, era nga bamalayika ba Katonda balikkirako era nga balinnyirako, 13 (IQ)era nga Mukama atudde waggulu waalyo. Mukama n’agamba Yakobo nti, “Nze Mukama Katonda wa Ibulayimu jjajjaawo, era Katonda wa Isaaka; ensi kw’ogalamidde ndigikuwa ggwe n’ezzadde lyo. 14 (IR)Era ezzadde lyo liriba ng’enfuufu y’oku nsi, era olibuna obugwanjuba n’obuvanjuba era n’obukiikakkono n’obukiikaddyo. Mu ggwe ne mu zadde lyo amawanga gonna ag’oku nsi mwe galiweerwa omukisa. 15 (IS)Laba ndi wamu naawe, era nnaakukuumanga buli gy’onoogendanga yonna, era ndikukomyawo mu nsi eno, kubanga sirikuleka okutuusa nga mmaze okukola ekyo kye nkugambye.”

16 Awo Yakobo n’ava mu tulo n’agamba nti, “Mazima ddala Mukama ali mu kifo kino, nze mbadde ssimanyi.” 17 (IT)N’atya nnyo, n’agamba nti, “Ekifo kino nga kyantiisa! Ekifo kino ye nnyumba ya Katonda, era guno gwe mulyango gw’eggulu.”

18 (IU)Awo Yakobo n’agolokoka ku makya, n’addira ejjinja lye yali yeezizise n’alisimba okuba empagi n’ayiwa amafuta ku mutwe gwalyo. 19 (IV)Ekifo ekyo n’akituuma Beseri, songa ekibuga ekyo kyayitibwanga Luzi.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.