Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Bible in 90 Days

An intensive Bible reading plan that walks through the entire Bible in 90 days.
Duration: 88 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Kaabakuuku 1 - Zekkaliya 10

(A)Buno bwe bubaka bwa Mukama, Kaabakuuku nnabbi bwe yafuna.

Kaabakuuku yeemulugunya olw’Obutali Bwenkanya

(B)Ayi Mukama, ndituusa ddi okukukaabirira
    naye nga tompuliriza?
Lwaki nkukaabirira nti, “Ebikolwa eby’obukambwe bimpitiriddeko,”
    naye n’otonnyamba?
(C)Lwaki ondaga obutali bwenkanya
    era lwaki ogumiikiriza obukyamu?
Kubanga okuzikiriza n’ebikolwa eby’obukambwe biri mu maaso gange,
    empaka n’ennyombo byeyongede.
(D)Amateeka kyegavudde gatagonderwa
    era n’obwenkanya ne butakolebwa.
Ababi be basinga abatuukirivu obungi era babeebunguludde,
    n’obwenkanya ne bulinnyirirwa.

Okuddamu kwa Mukama

(E)“Mutunuulire amawanga, mwetegereze. Mwewuunyize ddala nnyo.
Kubanga ŋŋenda kukola omulimu mu nnaku zammwe
    gwe mutalikkiriza
    newaakubadde nga mugubuuliddwa.
(F)Kubanga laba, nkuyimusiza Abakaludaaya,
    eggwanga eryo eririna ettima era ekkambwe,
ababunye ensi eno n’eri
    nga bawamba amawanga agatali gaabwe.
(G)Ba ntiisa, batiibwa,
    be beetekera amateeka gaabwe era be bagassa mu nkola,
    nga balwanirira ekitiibwa kyabwe.
(H)Embalaasi zaabwe zidduka okukira engo,
    era mu bukambwe zikira emisege egy’ekiro.
Abasajja abeebagala embalaasi bava mu nsi ey’ewala
    era bajja beesaasaanyizza
ne banguwa okutuuka ng’ensega bw’erumba ky’eneerya.
    (I)Bajja n’eryanyi bonna,
ebibinja byabwe birumba ng’embuyaga ey’omu ddungu;
    ne balyoka bayoola abawambe abangi ng’omusenyu.
10 (J)Weewaawo, basekerera bakabaka
    ne baduulira n’abakungu.
Basekerera buli kibuga ekiriko ekigo
    ne bakituumako ebifunfugu ne balinnyira okwo, ne bakiwamba.
11 (K)Awo ne bayita nga bakunta ng’embuyaga;
    abantu bano omusango be gwasinga, eryanyi lyabwe ye katonda waabwe.”

Kaabakuuku Yeemulugunya Ogwokubiri

12 (L)Ayi Mukama toli wa mirembe na mirembe,
    ggwe Mukama Katonda wange, si ggwe Mutukuvu wange? Tetulifa.
Ayi Mukama ggwe wabateekawo n’obawa amaanyi batusalire emisango.
    Era ggwe Olwazi, wabateekawo kubonereza.
13 (M)Amaaso go gajjudde obulongoofu tegatunula ku kibi,
    so toyinza kugumiikiriza bukyamu.
Kale lwaki ggwe ogumiikiriza ab’enkwe,
    n’osirika ng’omubi amalirawo ddala
    omuntu amusinga obutuukirivu?
14 Kubanga abantu obafudde ng’ebyennyanja eby’omu nnyanja,
    ng’ebitonde eby’omu nnyanja ebitaliiko abifuga.
15 (N)Omulabe omubi abakwata bonna ng’eddobo,
    oluusi n’abawalula mu katimba ke,
n’abakuŋŋaanya mu kiragala kye
    n’alyoka asanyuka n’ajaguza.
16 (O)Kyava awaayo ssaddaaka eri akatimba ke
    n’ayotereza n’ekiragala kye obubaane;
akatimba ke kamuwa obulamu obw’okwejalabya,
    n’alya emmere ey’ekigagga.
17 (P)Kale, bwe batyo bwe banaalekebwa okutikkula obutimba bwabwe,
    n’okusaanyaawo amawanga awatali kusaasira?

Obulamu eri Abatuukirivu

(Q)Kale ndiyimirira mu kifo kyange we ntera okubeera
    ntunule nga ndi waggulu eyo ku ggulumu
nnindirire ky’aliŋŋamba,
    era ne kye ndimuddamu ekikwata ku kwemulugunya kw’abantu.

(R)Awo Mukama n’anziramu n’ayogera nti,

“Wandiika okwolesebwa okwo ku bipande.
    Kuwandiike bulungi
    ate omubaka gwe banaatuma, akutwale bunnambiro.
(S)Kubanga okwolesebwa okwo kujja mu kiseera kyakwo ekigere.
    Kwogera ku by’enkomerero
    ate si kwa bulimba.
Bwe kunaaba ng’okuluddewo, mukulindirire,
    kujja kutuukirira, tekugya kulwa.

(T)“Laba oyo ow’emmeeme eteri nnongoofu wa kugwa,
    naye omutuukirivu aliba mulamu olw’obwesigwa bwe.”

Akabi eri Aboonoonyi

(U)Weewaawo, omwenge mulimba
    guleetera omuntu amalala, ate taguwummulako.
Ate olwokubanga gwa mululu ng’emagombe, mu butakkuta gufaanana okufa.
    Era okufaanana ng’olumbe, tegukkuta,
amawanga gonna gugeekuŋŋanyizaako
    ne gugafuula abasibe.

(V)“Bano bonna si be balimugererako engero bamusekerere nga bagamba nti,

“ ‘Zimusanze oyo eyeyongeza ebitali bibye!
    Oyo eyeetuumako obugagga obuva mu nguzi!’
(W)Abakubanja tebalikuyimukirako nga tomanyiridde,
    era tebalizuukuka ne bakweraliikiriza?
    Oliba togudde mu mikono gyabwe?
(X)Kubanga onyaze amawanga mangi,
    abantu abasigaddewo balikunyaga;
Oyiye omusaayi gw’abantu,
    n’oyonoona ensi n’ebibuga n’abantu bonna ababibeeramu.”

(Y)Zimusanze oyo azimbira amaka ge ku bikolwa ebibi,
    azimba ekisu kye waggulu,
    okwekuuma obutatuukwako kabi!
10 (Z)Wategeka okuzikirira kw’abantu bangi,
    n’oswaza ennyumba yo ne weefiiriza obulamu bwo.
11 (AA)Amayinja g’oku bbugwe galikaaba,
    n’emikiikiro gy’ebibajje girikyasanguza.

12 (AB)Zimusanze oyo azimba ekibuga n’omusaayi,
    atandika ekibuga n’obutali butuukirivu.
13 (AC)Tekyategekebwa Mukama ow’Eggye
    nti okutegana kw’abantu nku buku za muliro,
    n’amawanga geemalamu ensa olw’ebintu ebitaliimu?
14 (AD)Kubanga ensi erijjula okumanya ekitiibwa kya Mukama,
    ng’amazzi bwe ganjaala ku nnyanja.

15 Zimusanze oyo awa baliraanwa be ekitamiiza
    n’akibafukira okuva mu kita n’abawa banywe okutuusa lwe batamiira
    asobole okutunuulira ensonyi zaabwe!
16 (AE)Olijjuzibwa ensonyi mu kifo ky’ekitiibwa.
    Naawe olinywa n’oswala.
Ekikompe eky’omu mukono gwa Mukama ogwa ddyo kirikyusibwa kidde gy’oli,
    n’ensonyi ez’obuwemu zisaanikire ekitiibwa kyo.
17 (AF)Ebikolwa eby’obukambwe bye watuusa ku Lebanooni,
    n’okutta ensolo, birikutiisa.
Osse abantu
    n’ozikkiriza ensi n’ebibuga n’abantu ababibeeramu.

18 (AG)“Ekifaananyi ekyole kigasa ki? Anti kibajje bubazzi.
    Oba ekifaananyi eky’ekyuma, ekisomesa obulimba?
Kubanga omuweesi yeesiga mirimu gya mikono gye
    nga akola ebifaananyi ebitayogera!
19 (AH)Zimusanze oyo agamba omuti nti, ‘Lamuka;’
    agamba ejjinja nti, ‘Golokoka!’
Kino kisobola okuluŋŋamya?
    Kibikiddwa zaabu ne ffeeza,
    so tekiriimu bulamu n’akatono.
20 (AI)Naye Mukama ali mu yeekaalu ye entukuvu:
    ensi zonna zisiriikirire mu maaso ge.”

Okusaba kwa Kaabakuuku

Okusaba kwa nnabbi Kaabakuuku, okw’Ekisigiyonosi.

(AJ)Ayi Mukama, mpulidde ebigambo byo;
    mpulidde ettutumu lyo Ayi Mukama, ne ntya.
Bizze buggya mu nnaku zaffe,
    bimanyise mu biro bino,
    era mu busungu jjukira okusaasira.

(AK)Katonda yajja ng’ava e Temani,
    Omutukuvu oyo ng’ava ku lusozi Palani.
Ekitiibwa kye kyatimbibwa ku ggulu,
    ensi n’eryoka ejjula ettendo lye.
Okumasamasa kwe ne kulyoka kubeera ng’enjuba evaayo.
    Ebimyanso byayakanga okuva mu mukono gwe,
    era omwo mwe mwasinziiranga amaanyi ge ag’ekitalo.
Kawumpuli ye yakulembera,
    Endwadde endala zinaamutta ne zigoberera.
(AL)Yayimirira n’anyeenyanyeenya ensi;
    Yatunula n’akankanya amawanga.
Ensozi ez’edda za merenguka,
    obusozi obw’edda ne buggwaawo. Engeri ze, za mirembe na mirembe.
(AM)Nalaba eweema z’e Kusani nga ziri mu nnaku:
    n’entimbe ez’ensi ya Midiyaani nga zijugumira.

(AN)Ayi Mukama, wanyiigira emigga?
    Obusungu bwo bwali ku bugga obutono?
Wanyiigira ennyanja
    bwe weebagala embalaasi zo,
    n’olinnya ku magaali go ag’obuwanguzi?
(AO)Wasowolayo akasaale ko,
    wategeka okulasa obusaale;
ensi n’ogyawulayawulamu n’emigga.
10     (AP)Ensozi zaakulaba, ne zeenyogootola;
Amataba ne gayitawo mbiro,
    obuziba bw’ennyanja ne buwuluguma,
    ne busitula amayengo gaayo waggulu.

11 (AQ)Enjuba n’omwezi ne biyimirira butengerera mu bifo byabyo,
    olw’okumyansa kw’obusaale bwo nga buwenyuka,
    n’olw’okumyansa kw’effumu lyo eritemagana.
12 (AR)Watambula okuyita mu nsi ng’ojjudde ekiruyi,
    wasambirirasambirira amawanga mu busungu bwo.
13 (AS)Wavaayo oleetere abantu bo obulokozi,
    olokole gwe wafukako amafuta;
Wabetenta omukulembeze w’ensi ekola ebibi,
    ng’omwerulira ddala okuva ku mutwe okutuuka ku bigere.
14 (AT)Wafumita omutwe gwe n’effumu lye ye,
    abalwanyi be bwe baavaayo okutugoba,
nga bali ng’abanaatumalawo,
    ffe abaali baweddemu essuubi nga twekwese.
15 (AU)Walinnyirira ennyanja n’embalaasi zo,
    n’otabangula amazzi amangi.

Okusanyukira mu Mukama

16 Nawulira, n’omutima gwange ne gukankana
    n’emimwa gyange gijugumira olw’eddoboozi eryo;
Obuvundu ne buyingira mu magumba gange,
    amagulu gange ne gakankana.
Naye nnaalindirira n’obugumiikiriza olunaku olw’okulabiramu ennaku
    bwe lulijjira eggwanga eritulumba.
17 (AV)Wadde omutiini tegutojjera,
    so n’emizabbibu nga tegiriiko bibala,
amakungula g’emizeeyituuni ne gabula,
    ennimiro ne zitabala mmere n’akamu,
endiga nga ziweddemu mu kisibo,
    nga n’ente tezikyalimu mu biraalo,
18 (AW)kyokka ndijaguliza Mukama,
    ne nsanyukira mu Katonda Omulokozi wange.

19 (AX)Mukama Katonda, ge maanyi gange;
    afuula ebigere byange okuba ng’eby’empeewo,
    era ansobozesa okutambulira mu bifo ebigulumivu.

Ya Mukulu wa Bayimbi, ku bivuga byange ebirina enkoba.

(AY)Ekigambo kya Mukama ekyajjira Zeffaniya mutabani wa Kuusi, muzzukulu wa Gedaliya, muzzukulu wa Amaliya, muzzukulu wa Keezeekiya, mu mirembe gya Yosiya mutabani wa Amoni, Kabaka wa Yuda.

Okulabula kw’Omusango n’Okuzikirizibwa kwa Yuda

(AZ)“Ndizikiririza ddala byonna okuva ku nsi,” bw’ayogera Mukama.
(BA)“Ndizikiriza abantu wamu n’ensolo;
    ndizikiriza ebinyonyi eby’omu bbanga
    n’ebyennyanja;
ababi balisigaza ntuumu ya kafakalimbo;
    bwe ndimalawo abantu okuva ku nsi,”
    bw’ayogera Mukama.
(BB)Ndigololera ku Yuda omukono gwange,
    era ne ku abo bonna abali mu Yerusaalemi;
era ekitundu kya Baali ekifisseewo n’ennyumba ya Bakemali,
    bakabona abasinza ebifaananyi, ndibazikiriza okuva mu kifo kino,
(BC)abo abavuunamira eggye ery’omu ggulu
    ku nnyumba waggulu,
ne balisinza n’abo abalayira mu linnya lya Mukama,
    ate nga balayira ne mu linnya lya Malukamu,
(BD)abo abadda emabega obutagoberera Mukama,
    wadde abo abatamunoonya newaakubadde okumwebuuzaako.

(BE)Siriikirira awali Mukama Katonda,
    kubanga olunaku lwa Mukama luli kumpi.
Mukama ategese ssaddaaka,
    era atukuzizza abagenyi be.

(BF)Ku lunaku olwa ssaddaaka ya Mukama,
    ndibonereza abakungu
    n’abaana ba Kabaka,
n’abo bonna abambadde
    ebyambalo ebitasaana.
(BG)Awo ku lunaku olwo ndibonereza
    abo bonna abeewala okulinnya ku muziziko,
n’abo abajjuza ennyumba ya Mukama waabwe
    ebikolwa eby’obukambwe n’obulimba.

10 (BH)Ku lunaku olwo, bw’ayogera Mukama,
    eddoboozi ery’okukaaba liriwulikika ku Mulyango ogw’Ebyennyanja,
    okukaaba okuva ku luuyi olwokubiri,
    n’okubwatuka okunene okuva ku nsozi.
11 (BI)Mwekaabireko, mmwe abali mu matwale g’akatale;
    abasuubuzi bammwe bonna zibasanze,
    n’abo abeebinika ffeeza balizikirizibwa.
12 (BJ)Awo olulituuka mu biro ebyo ndimulisa Yerusaalemi n’ettabaaza nga nnoonya,
    mbonereze abo bonna abalagajjavu
    abali ng’omwenge ogutanasengejjebwa,
abalowooza nti Mukama
    talibaako ne ky’akolawo.
13 (BK)Obugagga bwabwe bulinyagibwa,
    n’ennyumba zaabwe zimenyebwemenyebwe.
Ne bwe balizimba ennyumba
    tebalizituulamu,
era balisimba ennimiro ez’emizabbibu nazo
    tebalinywa wayini wamu.

Olunaku lwa Mukama Olukulu

14 (BL)Olunaku lwa Mukama olukulu luli kumpi;
    ddala lunaatera okutuuka.
Wuliriza! Omulwanyi alikaabira eyo ng’aliko obuyinike bungi,
    n’okukaaba ku lunaku lwa Mukama kujja kuba kungi nnyo.
15 (BM)Olunaku olwo lunaku lwa busungu,
    lunaku lwa buyinike n’okulaba ennaku,
lunaku lwa mutawaana n’okuzikirira,
    olunaku olw’ekikome n’ekizikiza,
    olunaku lw’ebire n’ekizikiza ekikutte ennyo;
16 (BN)olunaku olw’okufuuwa ekkondeere n’okulangirira olutalo
    ku bibuga ebiriko ebigo
    n’eri eminaala emigulumivu.

17 (BO)Ndireeta, obuyinike ku bantu,
    batambule ng’abazibe b’amaaso,
    kubanga bakoze ebibi mu maaso ga Mukama,
omusaayi gwabwe guliyiyibwa ng’enfuufu,
    n’ebyenda byabwe bivundire kungulu.
18 (BP)Effeeza yaabwe ne zaabu yaabwe
    tebiriyinza kubataasa
    ku lunaku olw’obusungu bwa Mukama.

Ensi yonna erizikirizibwa
    omuliro gw’obuggya bwe,
era alimalirawo ddala
    abo bonna abali mu nsi.

Abalabe ba Isirayiri basalirwa omusango

(BQ)Mukuŋŋaane, weewaawo, mukuŋŋaane,
    mmwe eggwanga eritalina nsonyi,
(BR)ekiseera ekyategekebwa nga tekinnatuuka,
    olunaku ne luba ng’ebisusunku ebifuumulibwa,
obusungu bwa Mukama nga tebunnabatuukako,
    ng’olunaku olw’obusungu bwa Mukama terunnabatuukako.
(BS)Munoonye Mukama, mmwe mwenna abawombeefu ab’omu nsi,
    abakola by’alagira;
munoonye obutuukirivu n’obuwombeefu;
    mpozzi mulikwekebwa
    ku lunaku olw’obusungu bwe.

Obubaka eri Abafirisuuti

(BT)Gaza kirirekebwawo,
    ne Asukulooni kiriba matongo:
abantu ba Asudodi baligobebwamu mu ttuntu,
    ne Ekuloni kirisimbulibwa.
(BU)Zibasanze mmwe ababeera ku lubalama lw’ennyanja,
    eggwanga ery’Abakeresi!
Ekigambo kya Mukama kikwolekedde,
    ggwe Kanani, ensi ey’Abafirisuuti.
Ndikuzikiriza
    so tewaliba asigalawo.
(BV)Olubalama lw’ennyanja ab’Akeresi gye babeera
    luliba malundiro g’abasumba n’ebisulo by’endiga.
(BW)Olubalama lw’ennyanja luliba lwa kitundu ky’ennyumba ya Yuda ekyasigalawo
    era we banaalundiranga,
ne mu nnyumba za Asukulooni
    mwe banaagalamiranga akawungeezi.
Mukama Katonda waabwe alibalabirira,
    n’akomyawo obugagga bwabwe.

Obubaka eri Abamowaabu n’Abamoni

(BX)Mpulidde okuvuma kwa Mowaabu
    n’okusekerera kw’Abamoni
kwe bavumye abantu bange
    ne batiisatiisa ensi yaabwe.
(BY)Kale nga bwe ndi omulamu,
    bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna, Katonda wa Isirayiri,
ddala Mowaabu aliba nga Sodomu,
    n’abaana ba Amoni nga Ggomola,
ekifo emyennyango kye gyemala, n’ebirombe by’omunnyo,
    amatongo agolubeerera. Balinyagibwa abantu bange abaliba basigaddewo,
n’ekitundu ky’eggwanga lyange ekifisseewo kiritwala ensi yaabwe.

10 (BZ)Eno y’eriba empeera yaabwe olw’amalala gaabwe,
    kubanga bavumye ne banyooma abantu ba Mukama Ayinzabyonna.
11 (CA)Mukama aliba wa ntiisa gye bali
    bw’alizikiriza bakatonda bonna ab’ensi.
Amawanga gonna ag’oku mbalama zonna galimusinza,
    buli muntu ng’asinziira mu nsi ye.

Obubaka eri Abaesiyopiya

12 (CB)Nammwe Abaesiyopiya, mulittibwa n’ekitala kyange.

Obubaka eri Obwasuli

13 (CC)Aligololera omukono gwe ku bukiikakkono
    n’azikiriza Obwasuli;
n’afuula Nineeve amatongo
    era ekikalu ng’eddungu.
14 (CD)Ente n’endiga zinaagalamiranga wakati mu kyo,
    n’ensolo zonna eza buli kika:
ekiwuugulu era ne nnamunnungu
    banaasulanga ku mpagi zaakyo.
Amaloboozi gaabyo ganaawulikikanga mu madirisa;
    kafakalimbo ajjudde mu miryango,
    n’emikiikiro egy’emivule giryelulwa.
15 (CE)Kino kye kibuga ekya kyetwala,
    ekyayogeranga mu mutima gwakyo nti,
    Nze we ndi, tewali mulala wabula nze:
nga kifuuse bifulukwa,
    ekifo ensolo ez’omu nsiko we zigalamira!
Buli muntu akiyitako aneesoozanga
    n’akinyoomoola.

Obujeemu bwa Yerusaalemi

(CF)Zikisanze ekibuga ekijooga,
    ekijeemu era ekyonoonefu!
(CG)Tekigondera ddoboozi lya Mukama,
    wadde okukkiriza okubuulirirwa;
tekyesiga Mukama;
    wadde okusemberera Katonda waakyo.
(CH)Abakungu baakyo mpologoma eziwuluguma,
    era n’abalamuzi baakyo misege gya kiro,
    bakirimululu abatafissaawo kantu.
(CI)Bannabbi baakyo si ba buvunaanyizibwa
    era ba nkwe;
bakabona baakyo baweebuusizza ekifo ekitukuvu,
    era bamenya amateeka.
(CJ)Mukama ali wakati mu kyo, mutuukirivu
    era tasobya.
Buli nkya alamula mu bwenkanya,
    era buli lukya talemwa;
    naye atali mutuukirivu taswala.

(CK)“Nsanyizzaawo amawanga,
    era ebigo byabwe bifufuggaziddwa;
nzisizza enguudo zaabwe,
    ne wataba ayitamu.
Ebibuga byabwe bizikiridde,
    ne watabaawo muntu n’omu abeeramu.
(CL)Nagamba eri ekibuga nti,
    ‘Ddala onontya,
    era onokkiriza okubuulirirwa.’
Ennyumba zaakyo tezandimaliddwawo,
    n’ebibonerezo byange byonna tebyandimutuuseeko.
Naye beesunganga nnyo
    okukola ebitasaana mu byonna bye baakolanga.
(CM)Noolwekyo munnindirire,” bw’ayogera Mukama.
    Olunaku lwe ndiyimirira ne ntegeeza byonna
kubanga mmaliridde okukuŋŋaanya amawanga,
    ndireeta obwakabaka wamu
okubayiwako obusungu bwange,
    n’ekiruyi kyange kyonna.
Omuliro ogw’obuggya bwange
    gulisaanyaawo ensi yonna.

Essuubi lya Isirayiri

(CN)“Mu biro ebyo ndirongoosa enjogera ey’amawanga;
    bonna balikoowoola erinnya lya Mukama,
    okumuweereza n’omwoyo gumu.
10 (CO)Okuva emitala w’emigga egy’Obuwesiyopya,
    abo abansinza, abantu bange abasaasaana,
    balindeetera ssaddaaka.
11 (CP)Ku lunaku olwo toliswala
    olw’ebyo byonna by’osobezza gye ndi:
kubanga ndiggya wakati mu ggwe
    abo abeenyumiririza mu malala,
toliddayo nate kwegulumiza
    ku lusozi lwange olutukuvu.
12 (CQ)Naye ndireka wakati mu ggwe
    abantu abakakkamu era abeetoowaze,
    abo abesiga erinnya lya Mukama.
13 (CR)Ekitundu kya Isirayiri ekirisigalawo tebalikola bitali bya butuukirivu
    so tebalyogera bya bulimba
    wadde okuba abakuusa.
Balirya, baligalamira,
    so tewaliba alibatiisa.”

Oluyimba olw’Essanyu

14 (CS)Yimba, ggwe omuwala wa Sayuuni;
    yogerera waggulu, ggwe Isirayiri;
sanyuka ojaguze n’omutima gwo gwonna,
    ggwe omuwala wa Yerusaalemi.
15 (CT)Mukama akuggyeeko ekibonerezo kyo,
    agobyewo omulabe wo.
Kabaka wa Isirayiri, Mukama, ali naawe;
    tokyaddayo kutya kabi konna.
16 (CU)Ku lunaku olwo Yerusaalemi kirigambibwa nti,
    “Totya, ggwe Sayuuni;
    emikono gyo gireme okuddirira.
17 (CV)Mukama Katonda ali naawe,
    ow’amaanyi alokola:
alikusanyukira,
    alikukkakkanyiza mu kwagala kwe,
    alikusanyukira n’okuyimba.”

18 “Ennaku eyabakwatanga olw’embaga ezabakuŋŋaanyanga
    ndigibaggyako;
    kubanga kibafuukidde omugugu.
19 (CW)Laba, mu biro ebyo ndibonereza
    abo bonna abaakubonyaabonya:
era ndinunula omulema,
    ne nkuŋŋaanya n’abo abaasaasaanyizibwa;
era ndibafuula ettendo ne mbawa ekitiibwa
    mu nsi zonna gye baaswazibwa.
20 (CX)Mu biro ebyo ndibakuŋŋaanya;
    mu kiseera ekyo ndibazza eka.
Weewaawo ndibawa ekitiibwa n’ettendo
    mu mawanga gonna ag’omu nsi zonna,
bwe ndikomyawo obugagga bwammwe
    nga mulaba,”
    bw’ayogera Mukama.

Okukoowoola olw’Okuddaabiriza Ennyumba ya Mukama

(CY)Mu mwaka ogwokubiri ogw’okufuga kwa kabaka Daliyo, ku lunaku olusooka mu mwezi ogw’omukaaga, ekigambo kya Mukama ne kijjira nnabbi Kaggayi okutegeeza Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ow’essaza lya Yuda, ne Yoswa mutabani wa Yekozadaaki kabona asinga obukulu nti:

Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’eggye nti, “Abantu bano boogera nti, ‘Ekiseera tekinnatuuka okuddaabiriza ennyumba ya Mukama.’ ”

(CZ)Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira nnabbi Kaggayi nga kyogera nti; (DA)“Kino kye kiseera mmwe okubeera mu nnyumba zammwe enkole obulungi, naye ennyumba eyo n’erekebwa nga kifulukwa?”

(DB)Kale nno bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Mweddeko ku neeyisa yammwe. (DC)Musimbye bingi naye ne mukungula bitono; mulya naye temukkuta; munywa naye ennyonta tebaggwaako; mwambala naye temubuguma; mukolera empeera naye ze mukoze muziteeka mu nsawo ejjudde ebituli.”

Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Mweddeko ku neeyisa yammwe. (DD)Mwambuke mu nsozi muleeteyo embaawo muzimbe ennyumba ngisanyukire, ngulumizibwe,” bw’ayogera Mukama. (DE)“Mwasuubira bingi, naye mulaba bwe muvuddemu ebitono. Bye mwaleeta eka, nabifuumuula. Mumanyi ensonga? bw’ayogera Mukama ow’Eggye. Kubanga buli muntu afa ku nnyumba ye naye ennyumba yange mugigayaaliridde. 10 (DF)Eggulu kyerivudde liziyizibwa okuleeta omusulo, n’ettaka n’okuleeta ne litaleeta bibala byalyo. 11 (DG)Nasindika ekyeya ku nnimiro ne ku nsozi, ku mmere ey’empeke ne ku wayini omuggya, ku mafuta ne ku buli bibala eby’ettaka, ku bantu ne ku nsolo, ne ku mirimu gyonna egy’engalo.”

12 (DH)Awo Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ne Yoswa mutabani wa Yekozadaaki, ye yali kabona asinga obukulu, n’abantu bonna abaasigalawo ne bagondera eddoboozi lya Mukama Katonda waabwe, n’obubaka bwa nnabbi Kaggayi, kubanga Mukama Katonda waabwe ye yamutuma. Abantu ne batya Mukama.

13 (DI)Awo Kaggayi omubaka wa Mukama n’ategeeza abantu obubaka obwava eri Mukama nti, “Ndi wamu nammwe,” bw’ayogera Mukama. 14 (DJ)Awo Mukama n’akubiriza omutima gwa Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ow’essaza lya Yuda, n’omutima gwa Yoswa mutabani wa Yekozadaaki, kabona asinga obukulu, n’emitima egy’abantu bonna abaasigalawo, ne bajja ne batandika omulimu ku nnyumba ya Mukama ow’Eggye, Katonda waabwe, 15 (DK)ku lunaku olw’amakumi abiri mu ennya mu mwezi ogw’omukaaga mu mwaka ogwokubiri ogw’okufuga kwa kabaka Daliyo.

Ekitiibwa ekyasuubizibwa eky’Ennyumba Empya

Awo ku lunaku olw’amakumi abiri mu olumu mu mwezi ogw’omusanvu, ekigambo kya Mukama ne kijjira nnabbi Kaggayi nti, “Yogera ne Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ow’essaza lya Yuda ne Yoswa mutabani wa Yekozadaaki kabona asinga obukulu, n’abantu abaasigalawo, obabuuze nti, (DL)‘Ani mu mmwe akyasigaddewo eyalaba ku kitiibwa ky’ennyumba eno? Ebafaananira etya kaakano? Tebafaananira ng’eteriimu kaabuntu? (DM)Kale nno guma omwoyo, ggwe Zerubbaberi, bw’ayogera Mukama; guma omwoyo, ggwe Yoswa mutabani wa Yekozadaaki kabona asinga obukulu; mugume omwoyo mmwe mwenna abantu ab’omu nsi,’ bw’ayogera Mukama, ‘Mukole, kubanga ndi wamu nammwe,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye. (DN)‘Kino kye nalagaana nammwe bwe mwali muva mu Misiri, ng’Omwoyo wange anaabeeranga nammwe. Temutya.’

(DO)“Bw’atyo bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, ‘Mu bbanga eritali ly’ewala ndikankanya eggulu n’ensi, n’ennyanja n’olukalu. (DP)Ndikankanya amawanga gonna, n’amawanga gonna ge njagala galijja, ne nzijuza ennyumba eno ekitiibwa,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye. ‘Effeeza yange, ne zaabu yange,’ bw’ayogera Mukama ow’eggye. (DQ)‘Ekitiibwa eky’ennyumba eriwo kaakano, kirisinga ekitiibwa ky’eri eyasooka era mu kifo kino ndizzaawo emirembe,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye.”

Okubuulirira n’Okusuubiza

10 (DR)Awo ku lunaku olw’amakumi abiri mu ennya olw’omwezi ogw’omwenda mu mwaka ogwokubiri ogw’okufuga kwa Daliyo, ekigambo kya Mukama ne kijjira nnabbi Kaggayi nti, 11 (DS)“Bw’atyo bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, ‘Buuza bakabona etteeka kye ligamba. 12 (DT)Omuntu bw’asitulira ennyama eyatukuzibwa mu kirenge eky’ekyambalo kye, ekirenge ne kikoma ku mugaati oba ku supu, oba ku wayini, oba ku mafuta oba ku mmere endala yonna, bitukuzibwa?’ ”

Bakabona ne baddamu nti, “Nedda.”

13 (DU)Awo Kaggayi n’abuuza nti, “Omuntu atali mulongoofu olw’omulambo, bw’akoma ku bintu ebyo, bifuuka ebitali birongoofu?”

Bakabona ne baddamu nti, “Bifuuka ebitali birongoofu.”

14 (DV)Kaggayi n’addamu nti, “Kale nno bwe batyo bwe bali abantu bano n’eggwanga lino. Buli kye bakola ne buli kye bawaayo ng’ekiweebwayo, si kirongoofu,” bw’ayogera Mukama.

15 (DW)“ ‘Kale nno, mweddeko okuva ku lunaku lwa leero, mujjukire ebiseera biri bwe byali, nga n’ejjinja erimu terinnateekebwa ku linnaalyo mu yeekaalu ya Mukama. 16 (DX)Omuntu yenna bwe yatuukanga ku ntuumu eyandibadde ey’ebipimo amakumi abiri, yassangawo ebipimo kkumi. Omuntu yenna bwe yalaganga mu ssogolero okusenamu lita amakumi ataano, yasangangamu amakumi abiri. 17 (DY)Nakolimira emirimu gyonna egy’emikono gyammwe n’okugengewala n’obukuku, n’omuzira, naye ne mutakyuka kudda gye ndi,’ bw’ayogera Mukama. 18 (DZ)Okuva olunaku lwa leero, olw’amakumi abiri mu ennya mu mwezi ogw’omwenda, mujjukire olunaku lwe baazimba omusingi gwa yeekaalu ya Mukama. Mwebuuze nti, 19 Wakyaliwo ensigo eyasigala mu tterekero? Mulabe, emiti gino egimenyeddwa, ogw’omuzabbibu n’ogw’omutiini, n’ogw’omukomamawanga, n’ogw’omuzeeyituuni tegibalangako bibala.

“ ‘Naye okuva ne leero ndibawa omukisa.’ ”

20 Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Kaggayi omulundi ogwokubiri ku lunaku olw’amakumi abiri mu ennya olw’omwezi ogwo nga kigamba nti, 21 (EA)“Tegeeza Zerubbaberi gavana wa Yuda nti ndikankanya eggulu n’ensi. 22 (EB)Ndisulika entebe ez’obwakabaka ne nzigyawo obuyinza bw’obwakabaka obunnaggwanga. Ndiwamba amagaali n’abavuzi baago, n’embalaasi na buli abazeebagala, balittibwa baganda baabwe.

23 (EC)“ ‘Ku lunaku olwo, ggwe omuweereza wange Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ndikufuula ng’akabonero, kubanga nkulonze,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye.”

Mukama ayita Abantu be okudda gy’ali

(ED)Mu mwaka ogwokubiri ogw’obufuzi bwa kabaka Daliyo omufuzi w’e Buperusi mu mwezi ogw’omunaana, ekigambo kya Mukama ne kijjira Zekkaliya omwana wa Berekiya, omwana wa Iddo nnabbi, nga kigamba nti:

(EE)Mukama yasunguwalira nnyo bajjajjammwe. (EF)Naye kaakano mubagambe nti: Bw’atyo bw’ayogera Mukama Katonda ow’eggye nti, ‘Mudde gye ndi,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye, ‘nange nadda gye muli,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye. (EG)Temuba nga bajjajjammwe, bannabbi ab’edda be baakoowoolanga nti, ‘Muve mu makubo gammwe amabi, n’ebikolwa byammwe ebikyamu.’ Naye tebampuliriza wadde okuŋŋondera, bw’ayogera Mukama. Ye bajjajjammwe bali ludda wa? Ye bannabbi babeera balamu emirembe gyonna? (EH)Ebigambo byange n’ebiragiro bye nalagira abaddu bange, bannabbi, eri bajjajjammwe tebyatuukirira?

“Ne balyoka beenenya ne bagamba nti, ‘Mukama ow’Eggye bye yasuubiza okutukola olw’empisa zaffe embi n’ebikolwa byaffe ebitali bya butuukirivu, bw’atyo bw’atukoledde ddala.’ ”

Nnabbi Ayolesebwa Embalaasi

Ku lunaku olw’amakumi abiri mu ennya, mu mwezi ogw’ekkumi n’ogumu gwe bayita Sebati, mu mwaka ogwokubiri ogw’obufuzi bwa kabaka Daliyo, ekigambo kya Mukama ne kijjira Zekkaliya mutabani wa Berekiya, omwana wa Iddo nnabbi nga kigamba nti.

(EI)Nalaba ekiro ng’omusajja yeebagadde embalaasi emyufu era yali ayimiridde mu miti emikadasi mu kiwonvu. Emabega we waaliyo embalaasi endala, enjeru, n’eza kikuusikuusi, n’emyufu.

(EJ)Awo ne mbuuza nti, “Mukama wange bino bitegeeza ki?” Malayika eyali ayogera nange n’aŋŋamba nti, “Nzija kukulaga kye bitegeeza.”

10 (EK)Awo omusajja eyali ayimiridde mu miti n’addamu nti, “Ezo embalaasi Mukama z’asindise okulawuna ensi.” 11 (EL)Ne ziddamu malayika wa Mukama eyali ayimiridde mu miti nti, “Tubunye ensi yonna, era laba ensi yonna esiriikiridde teriimu kanyego eteredde mirembe.”

12 (EM)Awo malayika wa Mukama n’agamba nti, “Ayi Mukama ow’Eggye, olituusa ddi obutakwatirwa Yerusaalemi n’ebibuga bya Yuda kisa, by’osunguwalidde okumala emyaka ensanvu?” 13 (EN)Mukama n’alyoka addamu malayika eyali ayogera nange ebigambo ebirungi, ebigambo ebizzaamu amaanyi.

14 (EO)Awo malayika eyali ayogera nange n’agamba nti, “Langirira ogambe nti, Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, ‘Yerusaalemi ne Sayuuni mbikwatiririddwa obuggya obw’amaanyi, 15 (EP)naye nyiigidde nnyo amawanga agali mu mirembe, kubanga abantu bange nnali mbanyiigiddeko katono naye bo ne bababonyaabonyeza ddala.’

16 (EQ)“Noolwekyo, bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Nkomyewo mu Yerusaalemi n’ekisa. Ennyumba yange ne Yerusaalemi kyonna, bijja kuzimbibwa,’ bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.

17 (ER)“Yogera n’eddoboozi ery’omwanguka nti, Mukama Katonda ow’Eggye alangiridde nti, ‘Ebibuga byange bijja kuddamu okukulukuta obugagga, era Mukama alizzaamu Sayuuni amaanyi, ne yeeroboza Yerusaalemi.’ ”

18 Awo ne nnyimusa amaaso gange, era laba, ne ndaba amayembe ana. 19 (ES)Malayika eyali ayogera nange ne mubuuza nti, “Amayembe ago gategeeza ki?”

N’anziramu nti, “Gategeeza obuyinza obwasaasaanya abantu ab’omu Yuda, n’ab’omu Isirayiri, n’ab’omu Yerusaalemi.”

20 Awo Mukama n’andaga abaweesi bana. 21 (ET)Ne mbuuza nti, “Abo bazze kukola ki?”

N’addamu nti, “Ago amayembe, bwe buyinza obwasaasaanya Yuda nga tewali na muntu ayimusa mutwe gwe; naye abaweesi abana bazze okubatiisa era n’okubazikiriza, ago amawanga agaasitukira ku nsi ya Yuda okusaasaanya abantu baamu.”

Okwolesebwa Olukoba Olupima

Awo ne nnyimusa amaaso gange, ne ndaba, omusajja ng’alina mu mukono gwe olukoba olupima. (EU)Ne mubuuza nti, “Ogenda wa?”

Nanziramu nti, “Ŋŋenda kupima Yerusaalemi okulaba obuwanvu n’obugazi bwakyo.”

Awo malayika eyali ayogera nange n’agenda, malayika omulala n’amusisinkana. (EV)N’amugamba nti, “Dduka ogambe omuvubuka oyo nti, ‘Yerusaalemi kijja kuba ekibuga ekitaliiko bbugwe olw’obungi bw’abantu n’ebisibo ebinaabeeramu. (EW)Nze ndiba bbugwe ow’omuliro, okukyebungulula enjuuyi zonna era nze ndiba ekitiibwa kyakyo mu kyo,’ bw’ayogera Mukama.

(EX)“Kale mudduke, mudduke ensi ey’obukiikakkono mugiveemu,” bw’ayogera Mukama, “kubanga mbasaasanyizza ng’empewo ennya ez’eggulu bwe ziri,” bw’ayogera Mukama.

(EY)“Mmwe Sayuuni mudduke, mudukke muwone mmwe ababeera mu buwaŋŋanguse mu Babulooni.” (EZ)Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Mukama nga bw’ampadde ekitiibwa n’antuma eri amawanga agaabanyaganga, anaabakwatako anaaba akutte ku mmunye ya liiso lye. (FA)Kubanga laba ndyolesa omukono gwange gye bali, abaddu baabwe ne babanyaga. Olwo lwe mulimanya nga Mukama ow’Eggye ye yantuma.

10 (FB)“Yimba, osanyuke ggwe muwala wa Sayuuni, kubanga laba nzija era ndibeera wakati mu mmwe,” bw’ayogera Mukama. 11 “Era amawanga mangi galyegatta ku Mukama ku lunaku olwo, era balibeera bantu bange, era nange nnaabeeranga wakati mu ggwe, naawe onootegeera nga Mukama ow’Eggye ye yantuma gy’oli. 12 (FC)Era Yuda aliba mugabo gwa Mukama mu nsi entukuvu, era aliddamu okwerondera Yerusaalemi. 13 (FD)Musiriikirire, abantu mwenna mu maaso ga Mukama, kubanga asituse okuva mu kifo kye ekitukuvu.”

Okwolesebwa kwa Nnabbi Ku Kabona Asinga Obukulu

(FE)Awo n’anjolesa Yoswa, kabona asinga obukulu, ng’ayimiridde mu maaso ga malayika wa Mukama, ne Setaani ng’ayimiridde ku mukono gwe ogwa ddyo okumulumiriza. (FF)Mukama n’agamba Setaani nti, “Mukama akunenye ggwe Setaani, weewaawo Mukama eyeerondedde Yerusaalemi akunenye! Omusajja ono si kisiki ekyaka ekigibbwa mu muliro?” Awo Yoswa yali ayimiridde mu maaso ga malayika ng’ayambadde ebyambalo ebijjudde ekko. (FG)Malayika n’agamba abaali bayimiridde mu maaso ge nti, “Mumwambulemu ebyambalo bye ebijjudde ekko.”

N’agamba Yoswa nti, “Laba nkuggyeeko ekibi kyo, era nnaakwambaza ebyambalo eby’omuwendo.”

(FH)Ne njogera nti, “Mumusibe ekiremba ekitukula ku mutwe gwe.” Awo ne bamusiba ekiremba ekitukula ku mutwe, ne bamwambaza n’engoye, nga malayika wa Mukama ayimiridde awo.

Malayika wa Mukama n’akuutira nnyo Yoswa ng’ayogera nti, (FI)“Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, ‘Bw’onootambuliranga mu makubo gange, era noonywezanga bye nkukuutira, kale, onoofuganga ennyumba yange era onoolamulanga mu mbuga zange, era ndikuwa ekifo obeere mu abo abayimiridde wano.

(FJ)“ ‘Kale wulira, Yoswa kabona asinga obukulu, ggwe ne banno abatuula mu maaso go, abantu kw’otegeerera eby’omu maaso, laba ndireeta omuweereza wange, ye Ttabi. (FK)Kubanga laba, ku jjinja lye ntadde mu maaso ga Yoswa, ku jjinja erimu eririna amaaso omusanvu, laba nditeekako ebiwandiiko,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye. ‘Mu lunaku lumu ndiggyawo ekibi ky’ensi eno.

10 (FL)“ ‘Ku lunaku luli, buli omu ku mmwe, aliyita muliraanwa we okutuulako wansi w’omuzabbibu gwe ne wansi w’omutiini gwe,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye.”

Okwolesebwa kwa Nnabbi ku Kikondo ky’Ettaala ekya Zaabu n’Emiti Emizeeyituuni Ebiri

(FM)Awo malayika eyali ayogera nange n’akomawo, n’anzuukusa ng’omuntu bw’azuukusibwa mu tulo. (FN)N’ambuuza nti, “Kiki ky’olaba?”

Ne muddamu nti, “Ndaba ekikondo ky’ettaala nga kyonna kya zaabu, nga waggulu kiriko n’akabakuli kaakwo, n’ettaala zaakwo omusanvu, nga buli ttaala eriko omumwa gwayo. (FO)Era waliwo emiti emizeeyituuni ebiri ku mabbali gaakyo, ogumu ku mukono ogwa ddyo ogw’akabakuli, n’omulala ku mukono ogwa kkono.”

Ne mbuuza malayika eyali ayogera nange nti, “Bino biki mukama wange?”

(FP)Malayika eyali ayogera nange n’addamu n’aŋŋamba nti, “Tobimanyi?”

Ne muddamu nti, “Nedda mukama wange.”

(FQ)Awo n’addamu n’aŋŋamba nti, “Kino kye kigambo kya Mukama eri Zerubbaberi: ‘Si lwa maanyi so si lwa buyinza naye lwa Mwoyo wange,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye.

(FR)“Ggwe olusozi olunene weyita ki? Mu maaso ga Zerubbaberi olibeera lusenyi, era alireeta ejjinja erya waggulu mu mizira n’okwogerera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba nti, ‘Liweebwe omukisa, liweebwe omukisa!’ ”

Awo ekigambo kya Mukama ne kinzijira nga kyogera nti, (FS)“Emikono gya Zerubbaberi gitaddewo omusingi gwa yeekaalu eno era girigumaliriza, era olitegeera nti Mukama ow’Eggye ye yantuma gye muli.

10 (FT)“Ani anyooma olunaku olw’ebintu ebitono? Abantu balijaguza, bwe baliraba ejjinja erigera mu mukono gwa Zerubbaberi. Gano omusanvu ge maaso ga Katonda agayitaayita mu nsi yonna.”

11 (FU)Ne ndyoka mubuuza nti, “Emizeeyituuni gino ebiri ku mukono ogwa ddyo ne ku gwa kkono ogw’ekikondo ky’ettabaaza, gitegeeza ki?”

12 Ne nnyongera okumubuuza nti, “Gano amatabi abiri ag’emizeeyituuni agaliraanye emidumu gya zaabu ge gayitamu amafuta aga zaabu?”

13 N’anziramu nti, “Tobimanyi?”

Ne njogera nti, “Nedda, mukama wange.”

14 (FV)Awo n’addamu nti, “Abo be babiri abaafukibwako amafuta abaweereza Mukama ow’ensi yonna.”

Okwolesebwa kw’Omuzingo Ogubuuka

(FW)Awo ne nnyimusa amaaso gange era laba ne ndaba, omuzingo gw’ekitabo ogutambulira mu bbanga.

N’ambuuza nti, “Kiki ky’olaba?”

Ne nziramu nti, “Ndaba omuzingo gw’ekitabo ogutambulira mu bbanga, obuwanvu bwagwo buli mita mwenda n’obugazi bwagwo buli mita nnya ne desimoolo ttaano.”

(FX)Awo n’alyoka aŋŋamba nti, “Ekyo ky’ekikolimo ekizze okubuna ensi yonna, kubanga buli muntu yenna abba aliggyibwawo era buli muntu yenna alayiririra obwereere aliggyibwawo, bamutwale ku luuyi olulala. (FY)Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, ‘Ndikifulumya, era ndikiyingiza mu nnyumba y’omubbi ne mu nnyumba y’oyo alayiririra obwereere erinnya lyange. Era kirisigala mu nnyumba ye wakati, era kirigizikiriza yonna, emiti gyayo n’amayinja gaayo.’ ”

Okwolesebwa kw’Omukazi mu Kisero

Malayika eyali ayogera nange n’akomawo n’aŋŋamba nti, “Yimusa amaaso go olabe, waliwo ekintu ekirala ekizze.”

Ne mubuuza nti, “Kiki ekyo?”

N’anziramu nti, “Ekyo kisero, kye kifuluma.” Era n’ayongerako nti, “Ekyo kye kifaananyi ekiraga ekibi ekibunye ensi yonna.”

Awo ekibikka kyakyo, ekyuma eky’essasi ne kibikkulwa era ne ndaba omukazi ng’akituddemu. (FZ)Malayika n’aŋŋamba nti, “Buno bwe bwonoonyi.” N’amusindika n’amuzza munda mu kisero, n’aggalawo omumwa gwakyo n’ekisaanikira eky’ekyuma eky’essasi.

(GA)Ne ndyoka nnyimusa amaaso gange, era laba, abakazi babiri nga bajja gye ndi, baali batambulira mu bbanga nga bakozesa empewo mu biwaawaatiro byabwe. Era ebiwaawaatiro byabwe nga biri ng’ebya kalooli, ne basitula ekisero mu bbanga wakati w’ensi n’eggulu.

10 Ne mbuuza malayika eyali ayogera nange nti, “Abo ekisero bakitwala wa?”

11 (GB)N’anziramu nti, “Mu nsi ya Sinaali ey’e Babulooni, okuzimba ennyumba y’omukazi ali mu kisero, era ennyumba ye bw’eriggwa, aliteekebwa eyo mu kifo kye.”

Okwolesebwa kw’Amagaali Ana

(GC)Ne nyongera okuyimusa amaaso gange, era laba, amagaali g’embalaasi ana nga gava wakati w’ensozi bbiri, n’ensozi ezo zaali nsozi za bikomo. (GD)Eggaali esooka ng’esikibwa embalaasi za lukunyu, eyookubiri nga nzirugavu. (GE)Eggaali eyokusatu ng’esikibwa mbalaasi njeru, eyokuna yo ng’esikibwa za kikuusikuusi atabikiddwamu n’obwoya obweru. Embalaasi ezo zonna zaali z’amaanyi. Ne ndyoka mbuuza malayika eyali ayogera nange nti, “Bino bitegeeza ki mukama wange?”

(GF)Malayika n’anziramu nti, “Ezo z’empewo ennya ez’omu ggulu; ziva kweyanjula mu maaso ga Mukama ow’ensi yonna. Ekigaali eky’embalaasi enzirugavu kigenda mu nsi ey’omu bukiikakkono, ate ekyo eky’enjeru mu bugwanjuba, ekyo ekyali kisikibwa embalaasi ez’obwoya obweru, kiraga mu nsi ey’omu bukiikaddyo.”

(GG)Awo embalaasi ezo ez’amaanyi nga zivudde mu maaso ga Mukama, ne zifuba okutambulatambula mu nsi yonna; n’azigamba nti, “Mugende, mutambuletambule mu nsi yonna.” Awo ne zitambulatambula mu nsi yonna. (GH)Awo n’ampita n’aŋŋamba nti, “Laba, ezo eziraga mu nsi ey’obukiikakkono ziwummuzza Omwoyo wange mu nsi ey’omu bukiikakkono.”

Ekigambo kya Mukama ne kijja gye ndi nga kigamba nti, 10 (GI)“Genda eri bano: Kerudayi, ne Tobiya, ne Yedaya, abaakomawo okuva mu buwaŋŋanguse mu Babulooni, olunaku olwo lwennyini olage mu nnyumba ya Yosiya, mutabani wa Zeffaniya, mwe bali. 11 (GJ)Ddira effeeza ne zaabu okole engule ogitikkire ku mutwe gwa Yoswa, kabona asinga obukulu, omwana wa Yekozadaaki. 12 (GK)Mugambe nti, bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, ‘Laba omuntu erinnya lye ye Ttabi; alirokera mu kifo kye, azimbe yeekaalu ya Mukama. 13 (GL)Oyo y’alizimba yeekaalu ya Mukama, era alijjula ekitiibwa. Alituula ku ntebe ye ey’obwakabaka, n’afuga. Era y’aliba Kabona ku ntebe ye ey’obwakabaka; walibaawo okutegeeragana okw’emirembe wakati wa Ttabi ne Yoswa.’ 14 Era n’engule ya kubeera mu yeekaalu ya Mukama ng’ekijjukizo eri Keremu, ne Tobiya ne Keeni omwana wa Zeffaniya. 15 (GM)Era n’abo abali ewala balijja okuyamba okuzimba yeekaalu ya Mukama, era mulimanya nga Mukama ow’Eggye yantuma gye muli. Bino tebirirema kubaawo singa munaagondera eddoboozi lya Mukama Katonda wammwe n’obumalirivu.”

Mukama Avumirira Okusiiba okw’Obulimba

(GN)Awo olwatuuka mu mwaka ogwokuna ogw’obufuzi bwa kabaka Daliyo, ekigambo kya Mukama ne kijjira Zekkaliya, ku lunaku olwokuna olw’omwezi ogw’omwenda oguyitibwa Kisuleevu. (GO)Abayudaaya mu Beseri baali batumye Salezeeri omukungu wa kabaka ne Legemumereki n’abantu baabwe mu Yerusaalemi okwogerako ne bakabona babegayiririre eri Mukama, (GP)n’okusaba bakabona b’omu nnyumba ya Mukama ow’Eggye ne bannabbi nti, “Nkaabe era nsiibe mu mwezi ogwokutaano nga bwe mbadde nkola okumala emyaka gino gyonna?”

Awo ekigambo kya Mukama ow’Eggye ne kinzijira nga kigamba nti, (GQ)“Gamba abantu bonna abali mu nsi, ne bakabona nti, ‘Bwe mwasiiba ne mukungubaga mu mwezi ogwokutaano ne mu gw’omusanvu mu myaka gino ensanvu, mwali musiibira nze? Era bwe mulya ne munywa, muba temulya ku lwammwe era n’okunywa ku lwammwe? (GR)Bino si bye bigambo Mukama bye yalangirira mu bannabbi ab’edda, Yerusaalemi bwe kyali kikyalimu abantu era nga kikyakulaakulana, nga n’ebibuga byakyo bikyetoolodde, nga ne mu bukiikaddyo ne mu bitundu eby’ensenyi mukyalimu abantu?’ ”

Ekigambo kya Mukama ne kijjira Zekkaliya nate nti, (GS)“Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, ‘Musalenga emisango egy’ensonga, mukwatirweganenga ekisa n’okusaasiragananga buli muntu eri muganda we. 10 (GT)Temutulugunyanga bannamwandu, n’abatalina bakitaabwe, n’abatambuze wadde abaavu, era tewateekwa kubaawo muntu n’omu ku mmwe alowooza mu mutima gwe okukola obulabe ku muganda we!’

11 (GU)“Naye baagaana okuwuliriza ne bakakanyaza emitima gyabwe ne baziba n’amatu gaabwe baleme okuwulira. 12 (GV)Ne bakakanyaza emitima gyabwe ng’ejjinja, ne batawuliriza mateeka wadde ebigambo Mukama ow’Eggye bye yaweereza n’Omwoyo we mu mukono gwa bannabbi ab’edda. Mukama ow’Eggye kyeyava abanyiigira ennyo.

13 (GW)“ ‘Bwe nabakoowoola ne batafaayo, nange ne ŋŋaana okufaayo nga bankowodde,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye. 14 (GX)Era nabasaasaanya n’omuyaga ogukunta mu mawanga ge baali batamanyi. Ensi gye baaleka n’ebeera matongo nga tewali agibeeramu, ensi ennungi esanyusa, kyeyava efuuka eddungu.”

Mukama Asuubiza Okuzzaawo Yerusaalemi

Ekigambo kya Mukama ow’Eggye ne kinzijira nate nti:

Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Nkwatirwa Sayuuni obuggya, obuggya obungi obw’ekitalo.”

(GY)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Ndikomawo mu Sayuuni, ndibeera wakati mu Yerusaalemi era Yerusaalemi kiriyitibwa ekibuga ekyesigwa, olusozi olwa Mukama ow’Eggye, Olusozi Olutukuvu.”

(GZ)Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Abakadde abasajja n’abakazi bajja kuddamu okutuula mu nguudo za Yerusaalemi, nga buli omu akutte omuggo, olw’obukadde. (HA)N’enguudo ez’ekibuga zirijjula abalenzi n’abawala nga bazannya.”

(HB)Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Kirirabika ng’eky’ekitalo mu maaso g’abantu abo abaasigalawo mu nnaku ezo, naye nange gye ndi bwe kiriba?” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.

(HC)Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Laba ndirokola abantu bange abali mu nsi ey’Ebuvanjuba n’abali mu nsi ey’Ebugwanjuba: (HD)Ndibakomyawo, babeere mu Yerusaalemi, nange nnaabeeranga Katonda waabwe mu bwesigwa ne mu butuukirivu.”

(HE)Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Emikono gyammwe gibe n’amaanyi, mmwe, mu nnaku zino ababadde bawulira ebigambo bino ebiva mu kamwa ka bannabbi abaaliwo mu nnaku okuva omusingi gw’ennyumba ya Mukama ow’Eggye lwe gwasimbibwa, yeekaalu ye eryoke ezimbibwe. 10 (HF)Ekiseera ekyo nga tekinnatuuka, tewaali asobola kutoola nsimbi okupangisa omuntu wadde okupangisa ensolo. Era tewaali muntu ayinza kukola mirimu gye mu mirembe olw’omulabe we, kubanga buli muntu nnali mufudde mulabe wa muliraanwa we. 11 (HG)Naye kaakano abantu bano abaasigalawo sijja kubakola nga mu nnaku ezaayita,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.

12 (HH)“Kubanga ensigo erikula bulungi, n’omuzabbibu gubale ekibala kyagwo, n’ettaka lireetenga ekimera kyalyo, n’eggulu lireetenga omusulo gwalyo. Nange abantu bange abaasigalawo ndibawa ebintu ebyo byonna nga gwe mugabo gwabwe. 13 (HI)Nga bwe mwali ekikolimo mu baamawanga, ggwe ennyumba ya Yuda, naawe ennyumba ya Isirayiri, bwe ntyo bwe ndibalokola, era mulibeera omukisa eri abalala. Temutya, munywere emikono gyammwe gibe n’amaanyi.”

14 (HJ)Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Nga bwe nasalawo okubabonereza, bajjajjammwe bwe bansunguwaza,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye, “era ne sibasaasira, 15 (HK)bwe ntyo nate bwe nsazeewo kaakano mu nnaku zino okukola obulungi Yerusaalemi n’ennyumba ya Yuda. Temutya. 16 (HL)Bino bye bintu bye munaakolanga: buli muntu ayogerenga bya mazima ne muntu munne, musalenga emisango mu bwenkanya mu mpya zammwe; 17 (HM)tosaliranga muliraanwa wo lukwe. So tolayiranga bya bulimba, kubanga ebyo byonna mbikyawa,” bw’ayogera Mukama.

18 Ekigambo kya Mukama ow’Eggye ne kinzijira nate nti:

19 (HN)Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Okusiiba omwezi ogwokuna, n’ogwokutaano, n’ogw’omusanvu, n’ogw’ekkumi kunaabeeranga mbaga ey’essanyu era n’okwesiima mu nnyumba ya Yuda. Noolwekyo mwagalenga amazima n’emirembe.”

20 Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Amawanga mangi n’abantu bangi abalijja okuva mu bibuga bingi era n’okuva mu nsi nnyingi; 21 (HO)era ab’ekibuga ekimu baliraga mu kibuga ekirala babagambe nti, ‘Tugende mangu twegayiririre Mukama, tunoonye amaaso ga Mukama ow’Eggye. Nze kennyini ŋŋenda.’ 22 (HP)Abantu bangi n’amawanga mangi ag’amaanyi galijja okunoonya Mukama ow’Eggye mu Yerusaalemi n’okwegayirira Mukama.”

23 (HQ)Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Mu nnaku ezo abasajja kkumi okuva mu buli lulimi olwogerwa mu mawanga balyekwata ku kyambalo ky’Omuyudaaya bagambe nti, ‘Muleke tugende nammwe kubanga twawulira nga Katonda ali nammwe.’ ”

(HR)Ekigambo kya Katonda kyolekedde ensi ya Kadulaki
    era kirituuka e Ddamasiko.
Kubanga abantu bonna n’ebika byonna ebya Isirayiri
    batunuulidde Mukama,
(HS)era ne Kamasi ekiriraanyeewo nakyo bwe kityo,
    ne Ttuulo ne Sidoni wadde nga birina amagezi mangi.
(HT)Ttuulo kyezimbira ekigo
    ne kituuma ffeeza n’eba ng’enfuufu,
    ne zaabu n’eba nnyingi ng’ettaka ery’omu kkubo.
(HU)Laba, Mukama alikyambulako ebintu byakyo,
    alizikiriza amaanyi gaakyo ag’oku nnyanja,
    era kiryokebwa omuliro.
Asukulooni bino kiribiraba ne kitya;
    ne Gaza bwe kityo kiribeera mu kulumwa okw’amaanyi.
    Era n’essuubi lya Ekuloni liriggwaawo;
Gaza aliggyibwako kabaka we,
    ne Asukulooni tekiribaamu bantu.
Abagwira balitwala Asudodi,
    era n’amalala g’Abafirisuuti ndigamalawo.
Era ndiggya omusaayi mu kamwa ke
    n’emmere ey’omuzizo okuva wakati mu mannyo ge.
N’abo bonna abalisigalawo mu kyo baliba bantu ba Katonda waffe,
    balifuuka bakulembeze mu Yuda,
    ne Ekuloni kiriba nga Abayebusi.
(HV)Naye ndirwanirira ennyumba yange
    eri eggye eddumbaganyi,
so tewaliba mulumbaganyi aliddayo kujooga bantu bange
    kubanga kaakano mbalabirira.
(HW)Sanyuka nnyo ggwe omuwala wa Sayuuni:
    leekaana nnyo, ggwe omuwala wa Yerusaalemi;
laba, kabaka wo ajja gy’oli;
    mutuukirivu era muwanguzi;
    muwombeefu era yeebagadde endogoyi,
    endogoyi ento, omwana gw’endogoyi.
10 (HX)Efulayimu ndimuggyako amagaali,
    ne Yerusaalemi muggyeko embalaasi ennwanyi,
    n’omutego gw’obusaale gulimenyebwa
era alireeta emirembe mu mawanga,
    n’obufuzi bwe buliva ku nnyanja emu butuuke ku nnyanja endala
    era buve ku mugga Fulaati butuuke ku nkomerero z’ensi.
11 (HY)Naawe ggwe, olw’omusaayi gw’endagaano gye nakola naawe,
    ndisumulula abasibe bo okuva mu bunnya obutaliimu mazzi.
12 (HZ)Mudde mu nkambi yammwe mmwe abasibe abalina essuubi;
    nangirira leero nti ndibadizaawo emirundi ebiri.
13 (IA)Yuda ndigiweta ng’omutego ogw’obusaale
    ngujjuze Efulayimu.
Ndiyimusa batabani ba Sayuuni,
    balwane n’abaana bo, ggwe Buyonaani,
    mbakozese ng’ekitala eky’omutabaazi.

14 (IB)Era Mukama alirabika ng’ali waggulu waabwe,
    akasaale ke kamyanse ng’okumyansa kw’eggulu.
Mukama Katonda alifuuwa ekkondeere,
    n’akumbira mu muyaga ogw’omu bukiikaddyo.
15     (IC)Mukama ow’Eggye alibakuuma.
Balirinnyirira ne bawangula envuumuulo,
    balinywa ne baleekaana ng’abatamiivu.
    Balijjula ng’ekibya ekikozesebwa okumansira ku nsonda z’ekyoto.
16 (ID)Ku lunaku olwo Mukama Katonda alirokola abantu be
    ng’omusumba bw’alokola ekisibo ky’endiga ze.
Balitangalijja mu nsi ye,
    ng’amayinja ag’omuwendo bwe gatemagana mu ngule.
17 Nga baliba balungi era abatuukirivu!
    Emmere ey’empeke erireetera abavubuka abalenzi obulamu obweyagaza,
    n’abawala nabo beeyagale olwa wayini omuggya.

Mukama Alirabirira Yuda

10 Musabe Mukama enkuba mu biseera byayo;
    kubanga Mukama y’akola ebire
enkuba n’etonnya,
    olwo buli muntu n’afuna ebirime.
(IE)Kubanga bakatonda abalala
    n’abalaguzi balaba okwolesebwa okw’obulimba;
ne baloota ebirooto eby’obulimba,
    ne bagumya abantu eby’obulimba.
Abantu kyebava bazuŋŋana ng’endiga,
    nga banyigirizibwa olw’obutaba na musumba.
(IF)“Obusungu bwange bubuubuukidde ku basumba
    era nzija kubonereza abakulembeze ba Yuda,
kubanga Mukama ow’Eggye ajja
    kulabirira endiga ze, ennyumba ya Yuda,
    era alibafuula ng’embalaasi ye emwenyumiririzaamu ennyo mu lutalo.
(IG)Mu Yuda mulivaamu ejjinja ery’oku nsonda,
    muveemu n’enkondo enyweza weema,
    muveemu n’omutego ogw’akasaale
    era muveemu na buli mufuzi yenna.
(IH)Bonna awamu balyoke babe ng’abasajja abazira ennyo mu lutalo
    abatambulira mu bitoomi by’omu nguudo mu biseera eby’entalo.
Kubanga Mukama ali nabo,
    balirwana ne bawangula eggye eryebagadde embalaasi.

(II)“Ndiwa ennyumba ya Yuda amaanyi
    era ndiwonya ennyumba ya Yusufu,
ndibakomyawo
    kubanga mbakwatiddwa ekisa.
Balibeera
    nga be sseegaanangako
era ndibawulira
    kubanga nze Mukama Katonda waabwe.
(IJ)Olwo aba Efulayimu baliba ng’abasajja ab’amaanyi,
    emitima gyabwe ne gisanyuka nnyo ng’abanywedde wayini.
Abaana baabwe balikiraba ne basanyuka,
    omutima gwabwe gulisanyukira mu Mukama.
(IK)Ddala ndibawonya
    ne mbakuŋŋaanya.
Ddala ndibanunula,
    baddeyo babeere bangi nga bwe baabanga.
(IL)Newaakubadde nga nabasaasaanyiza mu mawanga,
    naye balisinzira eyo mu nsi ezeewala ne banzijukira.
Bo n’abaana baabwe baliba balamu
    era ne bakomawo gye ndi.
10 (IM)Ndibakomyawo okuva mu Misiri,
    mbakuŋŋaanye okuva mu Bwasuli.
Ndibaleeta mu Gireyaadi ne Lebanooni
    ne bajjula ensi ezo ne watasigalawo kabanga ka kubeeramu.
11 (IN)Baliyita mu nnyanja ey’okubonaabona;
    ennyanja ewuluguma erikkakkanyizibwa,
    n’obuziba bwa Kiyira bwonna bulikala.
Amalala ga Bwasuli galibaggwaamu
    n’omugo ogw’obufuzi bwa Misiri gulimenyebwa.
12 (IO)Ndibafuula ba maanyi mu Mukama
    era nabo balitambulira mu linnya lyange,”
    bw’ayogera Mukama.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.