Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Beginning

Read the Bible from start to finish, from Genesis to Revelation.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Omubuulizi 5-8

Mutye Katonda

Weekuume ng’oyingira mu nnyumba ya Katonda; okumusemberera n’okumuwuliriza, kisinga okuwaayo ssaddaaka ng’ez’abasirusiru abatamanyi nga bakola ebibi.

(A)Toyanguyirizanga na kamwa ko okwogera ekigambo,
    wadde omutima gwo ogwanguyiriza,
    okwogera ekigambo mu maaso ga Katonda.
Katonda ali mu ggulu
    ng’ate ggwe oli ku nsi;
    kale ebigambo byo bibeerenga bitono.
(B)Ng’okutawaana ennyo bwe kuleetera omuntu ebirooto,
    n’ebigambo by’omusirusiru bwe bityo bwe biba nga bingi.

(C)Bwe weeyamanga obweyamo eri Katonda tolwanga kubutuukiriza, kubanga tasanyukira basirusiru. Tuukirizanga obweyamo bwo. (D)Obuteyama kisinga okweyama n’ototuukiriza kye weeyamye. Akamwa ko kaleme ku kwonoonyesa, n’ogamba oyo atumiddwa gy’oli nti, “Nakola kisobyo okweyama.” Kale lwaki weeretako okusunguwalirwa Katonda olw’ebigambo byo, n’azikiriza emirimu gy’emikono gyo? (E)Ebirooto entoko n’ebigambo ebingi temuli makulu; noolwekyo otyanga Katonda.

Obugagga ku Bwabwo Bwokka Butaliimu Bwereere

(F)Bw’olabanga ng’omwavu anyigirizibwa mu ssaza, amazima n’obwenkanya nga tewali, teweewuunyanga! Kubanga omukungu waalyo alinako amusinga, ate nga bombi balina ababatwala. Bonna balya ku bibala bya nsi eyo; kabaka yennyini mu nnimiro zaayo mw’afuna.

10 Oyo alulunkanira ensimbi, tasobola kuba na nsimbi zimumala;
    wadde oyo alulunkanira obugagga n’amagoba:
    na kino nakyo butaliimu.

11 Ebintu nga bwe byeyongera obungi,
    n’ababirya gye bakoma okweyongera.
Kale nnyini byo agasibwa ki,
    okuggyako okusanyusa amaaso ge?

12 (G)Otulo tuwoomera omupakasi
    ne bw’aba agabana bitono oba bingi.
Naye obugagga bw’omugagga obuyitiridde,
    tebumuganya kwebaka.

Okukola n’Essanyu

13 (H)Waliwo ekibi ekinene kye nalaba wansi w’enjuba:

nannyini bugagga abuterekera mu kwerumya,
14     ebyembi bw’ebigwawo eby’obugagga ebyo bibula,
kale bw’aba ne mutabani
    tewabaawo mutabani we ky’asigaza.
15 (I)Omuntu nga bwe yava mu lubuto lwa nnyina n’ajja mu nsi nga talina kintu,
    bw’atyo bw’aliddayo nga mwereere ng’ava mu nsi.
Tewali ky’aggya mu mirimu gye,
    wadde kyayinza okugenda nakyo mu mukono gwe.

16 (J)Na kino kya bulumi bwereere:

nga bwe yajja era bw’atyo bw’aligenda;
    mugaso ki gwe yafuna mu kugoberera empewo?
17 Era yamala obulamu bwe bwonna mu kizikiza ne mu buyinike,
    ne mu kweraliikirira, ne mu bulumi ne mu kunyiiga.

18 (K)Ne ndyoka ntegeera nti kituufu omuntu okulya n’okunywa n’okulaba nga yeyagalira mu kutakabana ne mu kukola kwe wansi w’enjuba, mu nnaku ze entono Katonda z’amuwadde, kubanga ekyo gwe mugabo gwe. 19 (L)Ate Katonda bw’awa omuntu obugagga, n’ebintu n’amusobozesa okubyeyagaliramu, n’okutegeera omugabo gwe n’okusanyukira by’akoze, ekyo kiba kirabo ekivudde ewa Katonda. 20 (M)Emirundi giba mitono gy’alowoolezaamu ekiseera ky’obulamu ky’amaze, kubanga Katonda ajjuza omutima gw’omuntu oyo essanyu.

Obutaliimu bw’Obugagga n’Ettiibwatiibwa

Waliwo ekibi ekirala kye ndabye wansi w’enjuba era kibuutikidde abantu. (N)Katonda awa omuntu obugagga, n’amuwa ebintu ebingi awamu n’ekitiibwa, na buli mutima gwe kye gwetaaga n’akifuna; naye Katonda n’amumma okubisanyukiramu, kyokka omugwira n’ajja n’abisanyukiramu. Kino butaliimu era kya bubalagaze!

(O)Omuntu ayinza okuba n’abaana kikumi, n’awangaala; bw’atasanyukira mu bugagga bwe, era n’ataziikwa mu kitiibwa, ne bw’aba ng’awangadde nnyo, omwana afiira mu lubuto ng’agenda okuzaalibwa amusingira wala. Omwana oyo ajja nga taliiko ky’amanyi n’agendera mu butamanya era n’erinnya lye ne libulira mu butamanya. Newaakubadde talabye njuba, wadde okubaako ky’amanya, kyokka awummula bulungi okusinga omusajja oyo: omusajja oyo ne bw’awangaala emyaka enkumi bbiri, naye n’atasanyukira mu bya bugagga bwe. Bombi tebalaga mu kifo kye kimu?

(P)Buli muntu ateganira mumwa gwe,
    naye tasobola kukkuta by’alina.
(Q)Kale omuntu omugezi asinga oyo omusirusiru?
Omwavu bw’amanya okwefuga mu maaso g’abalala,
    agasibwa ki?
(R)Amaaso kye galaba
    kisinga olufulube lw’ebirowoozo.
Era na kino nakyo butaliimu,
    na kugoberera mpewo.

10 Buli ekibaawo ky’ateekebwateekebwa dda,
    n’omuntu kyali kyamanyibwa,
tewali muntu ayinza kulwana n’oyo amusinza amaanyi,
    n’amusobola.
11 Ebigambo gye bikoma obungi,
    gye bikoma n’obutabaamu makulu;
    kale ekyo kigasa kitya omuntu?

12 (S)Kale ani amanyi ekirungi eri omuntu, mu nnaku ezo entono z’amala mu bulamu bwe obutaliimu, obuli ng’ekisiikirize? Ani wansi w’enjuba ayinza okutegeeza ekirimubaako ng’avudde mu bulamu buno?

Okulondawo Ekisinga Obulungi

(T)Obwatiikirivu bw’erinnya eddungi businga eby’akawoowo ebirungi;
    n’olunaku olw’okufa lusinga olwo olw’okuzaalirwako.
(U)Kirungi okulaga mu nnyumba ey’abakungubaga
    okusinga okulaga mu nnyumba ey’ebyassava.
Kubanga buli omu wa kufa,
    ekyo kiteekwa okuba ku mutima gwa buli muntu.
(V)Okunakuwala kusinga okuseka,
    kubanga amaaso amanakuwavu gazzaamu omutima amaanyi.
(W)Omutima gw’omugezi guba wamu n’abo abali mu nnaku;
    naye ogw’omusirusiru guba mu kusanyuka.
(X)Kirungi okussaayo omwoyo ku kunenya kw’omuntu ow’amagezi
    okusinga okuwuliriza ennyimba z’abasirusiru.
(Y)Okuseka kw’abasirusiru
    kuli ng’okutulikatulika kw’amaggwa agali mu muliro gw’entamu[a];
    na kino nakyo butaliimu.

(Z)Kya mazima, okunyigirizibwa kufuula ow’amagezi okuba omusirusiru,
    n’enguzi efaafaaganya okutegeera.

(AA)Enkomerero y’ekintu esinga entandikwa yaakyo,
    n’omugumiikiriza asinga ow’amalala.
(AB)Tosunguwalanga mangu nga waliwo akusokaasoka,
    kubanga obusungu bubeera munda y’abasirusiru.

10 Teweebuuzanga nti, “Lwaki ennaku ziri ez’edda zisinga zino?”
    Kubanga si kya magezi okwebuuza ekibuuzo ng’ekyo.

11 (AC)Amagezi kintu kirungi, okufaanana ng’eky’obugagga ky’obusika,
    era kigasa abo abakyalaba enjuba.
12 Amagezi kiwummulo,
    ng’ensimbi bwe ziri ekiwummulo,
naye enkizo y’okumanya y’eno:
    amagezi gakuuma obulamu bw’oyo agalina.

13 (AD)Lowooza ku Katonda ky’akoze:

ani ayinza okugolola ekyo ekyakyama Katonda kye yakola?
14 Ebiseera bwe biba ebirungi, sanyuka;
    naye bwe biba ebibi, kirowoozeeko;
Katonda eyakola ekimu
    era ye yakola ne kinnaakyo.
Noolwekyo omuntu tayinza kuzuula kirimubaako
    mu nnaku ze ez’omu maaso.

15 (AE)Mu bulamu bwange buno obutaliimu ndabye bino byombi:

omutuukirivu azikiririra mu butuukirivu bwe,
    n’omukozi w’ebibi n’awangaalira mu bibi bye.
16 Teweefuulanga mutuukirivu ayitiridde
    wadde okwefuula ow’amagezi ow’ekitalo;
    oleme okwezikiriza.
17 (AF)Tobanga mwonoonyi kakuzzi
    wadde okuba omusirusiru;
    oleme okufa ng’ekiseera kyo tekinnatuuka.
18 (AG)Ekyo kirungi okiyige, na kiri oleme kukibuusa maaso,
    kubanga oyo atya Katonda abyewala okubiyitiriza.

19 (AH)Ow’amagezi ne bw’aba omu mu kibuga,
    aba w’amaanyi okusinga abakulembeze ekkumi ab’omu kibuga ekyo.

20 (AI)Ddala ku nsi tekuli muntu mutuukirivu,
    atakola bibi.

21 (AJ)Towulirizanga buli kigambo, bantu kye boogera,
    si kulwa ng’owulira omuweereza wo ng’akukolimira,
22 kubanga naawe okimanyidde ddala mu mutima gwo,
    ng’emirundi mingi okolimidde abalala.

23 (AK)Ebyo byonna nabyekenneenya n’amagezi ne ŋŋamba nti,

“Mmaliridde okuba omugezi,”
    wabula kino kyandi wala.
24 (AL)Amagezi ne bwe gaba ga kikula ki, gali wala nnyo era tegalojjeka,
    kale ani ayinza okugavumbula?
25 (AM)Bwe ntyo ne nkyusa omutima gwange nnoonye okutegeera,
    nekkanye, era nnoonyereze amagezi ndowooze ne ku bintu nga bwe biri,
n’okutegeera obusirusiru bw’okukola ebibi:
    n’eddalu ery’obusirusiru.

26 (AN)Ekintu kye nalaba eky’obulabe ekisinga okufa,
    ye mukazi alina omutima ogusendasenda,
era ogusikiriza,
    era emikono gye gisiba ng’enjegere.
Oyo ayagala Katonda, y’awona omukazi oyo,
    kyokka ye omwonoonyi talema kugwa mu mutego gwe.

27 (AO)Omubuulizi agamba nti, “Laba, kino kyenvumbudde:

“Okugatta ekintu ku kinnaakyo, okuzuula enkola y’ebintu,
28     (AP)bwe nnali nga nkyanoonyereza
    nabulako kye nzuula,
okuggyako okulaba omusajja omwesimbu omu mu basajja lukumi,
    kyokka mu bakazi bonna ssaalabamu n’omu atuukiridde.
29 Wabula kino kyokka kye nalaba:
    Katonda yatonda omuntu nga mugolokofu,
    naye abantu ne beenoonyeza ebintu ebirala bingi.”

Obuwulize eri Abakulembeze

Ani afaanana omuntu omugezi
    amanyi okunnyonnyola buli kintu?
Amagezi gaakaayakanyisa obwenyi bw’omuntu,
    ne gakyusa emitaafu gyamu.

Nkugamba nti gondera ekiragiro kya kabaka, kubanga walayira[b] mu maaso ga Katonda. (AQ)Toyanguyiriza kuva mu maaso ga kabaka. Kyokka ensonga bw’ebanga etali ntuufu, tobanga ku ludda lumuwakanya, kubanga ye akola buli ky’ayagala. (AR)Kubanga ekigambo kya kabaka kisukkuluma byonna; kale ani ayinza okumubuuza nti, “Okola ki ekyo?”

Oyo agondera ekiragiro kye talituukibwako kabi,
    omutima ogw’amagezi gulimanya ekiseera ekisaana okukoleramu ekintu gundi, n’engeri ey’okukolamu ekintu ekyo.
(AS)Kubanga waliwo ekiseera ekituufu n’enkola esaana ku buli kintu,
    newaakubadde ng’obuyinike bw’omuntu bumuzitoowerera okukamala.

Nga bwe watali muntu amanyi binaabaawo,
    kale ani ayinza okumutegeeza ebinajja?
Tewali muntu alina buyinza kufuga mpewo;
    bwe kityo tewali n’omu alina buyinza ku lunaku lwa kufa kwe.
Ng’omuntu bw’aweebwa ebiragiro mu biseera eby’olutalo,
    bwe kityo n’obutali butuukirivu bwe buduumira abo ababutambuliramu.

Ebyo byonna bye nalaba bwe nagezaako okwekenneenya buli kintu ekikolebwa wansi w’enjuba. Waliwo ekiseera omufuzi buli lw’abinika baafuga, kyokka nga yeerumya yekka. 10 (AT)Ndabye abantu abakozi b’ebibi nga baziikibwa, abo abaawaanibwanga mu kibuga nga bazze mu kifo ekitukuvu. Na kino nakyo butaliimu.

11 Omuntu bw’asalirwa omusango n’atabonererezebwawo, emitima gy’ababi gijjula kuteekateeka kukola bubi. 12 (AU)Newaakubadde ng’omuntu omubi azza emisango kikumi, ate n’awangaala, nkimanyi ng’abatuukirivu, abo abatya Katonda bijja kubagendera bulungi. 13 (AV)Naye olwokubanga abakozi b’ebibi tebatya Katonda, tebiyinza kubagendera bulungi, era n’ennaku zaabwe zinaayitanga mangu ng’ekisiikirize.

14 (AW)Waliwo ekintu ekirala ekiraga obutaliimu ekiri ku nsi: abantu abatuukirivu batukibwako ebyo ebisaanira ababi, ate abatali batuukirivu ne batuukibwako ebyo ebigwanira abatuukirivu. Kino nakyo nkiyita butaliimu. 15 (AX)Bwe ntyo nteesa nti omuntu yeyagalire mu bulamu: kubanga wansi w’enjuba tewali kisinga, wabula omuntu okulya n’okunywa n’okweyagala. Kale essanyu linaamuwerekeranga mu mirimu gye, ennaku zonna ez’obulamu bwe Katonda bw’amuwadde wansi w’enjuba.

16 (AY)Bwe nanoonyereza amagezi ne neetegereza okutegana kw’omuntu ku nsi kuno, nga teyeebaka emisana n’ekiro. 17 (AZ)Ne ndaba ebyo byonna Katonda by’akoze, nga tewali n’omu ayinza kutegeera Katonda by’akola wansi w’enjuba, omuntu ne bw’agezaako ennyo okukinoonyereza tayinza kukivumbula. Newaakubadde omuntu omugezi yeefuula nti akimanyi, tayinza kukitegeera.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.