Beginning
24 (A)Teweegombanga bakozi ba bibi
era tobeesemberezanga.
2 (B)Kubanga emitima gyabwe giteesa kukola bya butemu,
era akamwa kaabwe koogera ku kukola bya ffujjo.
3 (C)Amagezi ge gazimba ennyumba,
n’okutegeera kwe kugiggumiza.
4 (D)Olw’amagezi ebisenge by’ayo bijjula ebintu ebirungi,
eby’obugagga ebitalabikalabika eby’omuwendo omungi.
5 Omuntu ow’amagezi aba n’obuyinza,
n’omuntu alina okumanya yeeyongera amaanyi.
6 (E)Kubanga okulwana olutalo weetaaga okuluŋŋamizibwa,
n’okuluwangula, weetaaga abawi b’amagezi bangi.
7 Amagezi gasukkirira nnyo omusirusiru,
talina ky’asobola kwogera mu lukuŋŋaana olw’oku wankaaki.
8 Oyo asala enkwe ez’okukola ebibi,
aliyitibwa mukujjukujju.
9 Entegeka ez’obusirusiru muvaamu kwonoona,
abantu beetamwa omukudaazi.
10 (F)Bw’oyongobera mu kiseera eky’ebizibu,
olwo ng’olina amaanyi matono!
11 (G)Odduukiriranga n’owonya abo abatwalibwa okuttibwa,
n’abo abali ku njegoyego z’okuttibwa, obawonye okuttirwa obwemage.
12 (H)Bw’ogambanga nti, “Laba kino twali tetukimanyi,”
oyo akebera emitima aba talaba?
Oyo akuuma obulamu bwo takimanyi?
Talisasula buli muntu ng’omulimu gwe bwe guli?
13 Mwana wange olyanga omubisi gw’enjuki kubanga mulungi,
omubisi oguva mu bisenge byagwo guwoomerera.
14 (I)Era manya nti amagezi gawoomera emmeeme yo,
bw’onoogafuna onoobeera n’essuubi mu bulamu obw’omu maaso,
n’essuubi lyo teririkoma.
15 Toteeganga, ng’omunyazi bw’akola ku nnyumba y’omutuukirivu,
tonyaganga maka ge.
16 (J)Omuntu omutuukirivu ne bw’agwa emirundi omusanvu, addamu n’ayimuka,
naye abakozi b’ebibi basuulibwa mu mitawaana.
17 (K)Tosanyukanga ng’omulabe wo agudde,
bwe yeesittalanga omutima gwo gulemenga okujaguza.
18 Si kulwa nga Mukama akiraba ne kitamusanyusa,
n’amusunguwalira.
19 (L)Teweeraliikiriranga olw’abo abakola ebibi,
so abakozi b’ebibi tobakwatirwanga buggya.
20 (M)Kubanga omuntu omubi talina ssuubi mu maaso,
ettabaaza y’abakozi b’ebibi erizikizibwa.
21 (N)Mwana wange otyanga Mukama, ne kabaka,
era teweetabanga na bajeemu.
22 Kubanga obusungu bwabwe bulibuubuukira ku bajeemu
era ani amaanyi akabi akalibatuukako?
Ebigambo Eby’amagezi
23 (O)Bino nabyo era bigambo by’abalina amagezi.
Okwekubiira ng’osala emisango si kirungi.
24 (P)Kale oyo agamba azizza omusango nti, “Toliiko ky’ovunaanibwa,”
abantu banaamukolimiranga, n’amawanga ganaamwetamwanga.
25 Naye abo abasalira omusobya omusango ne gumusinga banaabanga n’essanyu,
n’omukisa omulungi gulibatuukako.
26 Eky’okuddamu eky’amazima,
kiri ng’okunywegerwa.
27 Malirizanga omulimu gwo ogw’ebweru,
oteeketeeke ennimiro zo,
n’oluvannyuma olyoke weezimbire ennyumba yo.
28 (Q)Towanga bujulizi bwa bulimba ku muliraanwa wo,
so akamwa ko tekalimbanga.
29 (R)Toyogeranga nti, “Omuntu oyo ndimukola nga bw’ankoze,
era ndimusasuza nga bw’ampisizza.”
30 (S)Nayita ku nnimiro ey’omugayaavu,
ne mpita ne ku nnimiro y’emizabbibu ey’oyo atalina kutegeera.
31 Kale laba, ng’ennimiro eyo ebunye amaggwa,
wansi wonna nga wabikkiddwa omuddo,
n’olukomera lwayo olw’amayinja nga lugudde.
32 Ne neekaliriza ne ntegeera
ne nfuna ekyokuyiga mu bye nalaba.
33 (T)Otulo otutonotono, n’okusumagira akatono,
n’okufunya emikono okuwummulako,
34 (U)obwavu bulikutuukako ng’omutemu,
era n’obwetaavu ng’omutemu.
Engero Endala Eza Sulemaani
25 (V)Zino nazo ngero za Sulemaani abasajja ba Keezeekiya kabaka wa Yuda ze baakoppolola.
2 (W)Okukisa ensonga kitiibwa kya Katonda,
naye okunoonyereza ensonga kitiibwa kya bakabaka.
3 Ng’eggulu bwe lyewanise waggulu ennyo n’ensi bw’ekka ennyo wansi,
bwe gityo n’emitima gya bakabaka bwe gitategeerekeka.
4 Effeeza giggyeemu ebisejja,
olyoke ofune omuweesi ky’anaakozesa.
5 (X)Ggyawo abakozi b’ebibi mu maaso ga kabaka,
entebe ye ey’obwakabaka eryoke enywezebwe mu butuukirivu.
6 Teweekuzanga mu maaso ga kabaka,
wadde okwewa ekifo mu bantu ab’ekitiibwa.
7 (Y)Kubanga okukugamba nti, “Jjangu wano mu maaso,”
kisingako okukuswaza mu maaso g’ow’ekitiibwa.
8 (Z)Amaaso go bye galabye
tobyanguyirizanga kubireeta mu mbuga,
kubanga oluvannyuma onookola otya
munno bw’anaakuswaza?
9 Bw’owozanga ne muliraanwa wo,
tobikkulanga kyama kya muntu mulala,
10 akiwulira aleme okukuswaza;
n’onyoomebwa ebbanga lyonna.
11 (AA)Ekigambo ekyogere nga bwe kisaanidde,
kiba kya muwendo nnyo nga zaabu gwe batonye mu bintu bye bakoze mu ffeeza.
12 (AB)Ng’empeta ey’omu kutu eya zaabu, oba akakomo aka zaabu ennungi,
bw’atyo omuntu ow’amagezi anenya, bw’abeera eri okutu okuwuliriza.
13 (AC)Ng’obunnyogovu bw’omuzira bwe bubeera mu biseera eby’okukunguliramu,
bw’atyo bw’abeera omubaka omwesigwa eri abo abamutuma,
aweweeza emmeeme ya bakama be.
14 Ng’ebire n’empewo omutali nkuba,
omuntu asuubiza ebirabo by’atagaba bw’abeera.
Muliraanwa n’Omulabe
15 (AD)Okugumiikiriza okungi kuyinza okukkirizisa omufuzi,
n’olulimi olw’eggonjebwa lumenya eggumba.
16 (AE)Bw’ozuula omubisi gw’enjuki, lyako ogwo gwokka ogukumala,
si kulwa ng’ogukkuta nnyo n’ogusesema.
17 Tokyalanga lunye ewa muliraanwa wo,
si kulwa ng’akwetamwa n’akukyawa.
18 (AF)Omuntu awa obujulizi obw’obulimba ku muliraanwa we,
ali ng’embuukuuli, oba ekitala, oba akasaale akoogi.
19 Okwesiga omuntu ateesigika,
kiri ng’oli alina erinnyo eddwadde oba ekigere ekirema.
20 Ng’omuntu eyeeyambula engoye mu kiseera eky’obutiti,
era ng’omwenge omukaatuufu bwe guteekebwako oluvu,
bw’atyo bw’abeera ayimbira oyo ali mu buyinike.
21 Omulabe wo bw’aba alumwa enjala, muwe emmere alye,
bw’aba alumwa ennyonta muwe amazzi anywe.
22 (AG)Kubanga oliba otuuma amanda g’omuliro ku mutwe gwe,
era Mukama alikuwa empeera.
23 Ng’empewo ey’obukiikakkono bwereeta enkuba,
n’olulimi oluyomba bwe luleetera omuntu obusungu.
24 (AH)Okusulanga mu kasonda waggulu ku nnyumba,
kisinga okubeera n’omukazi omuyombi mu nnyumba.
25 (AI)Ng’amazzi amannyogovu bwe gaba eri emmeeme erumwa ennyonta,
bwe gatyo bwe gaba amawulire amalungi agava mu nsi ey’ewala.
26 Ng’oluzzi olusiikuuse, oba ensulo eyonoonese,
bw’atyo bw’abeera omutuukirivu eyeewaayo eri omukozi w’ebibi.
27 (AJ)Si kirungi kulya mubisi gwa njuki mungi,
bwe kityo si kirungi omuntu okwenoonyeza ekitiibwa.
28 Omuntu ateefuga
ali ng’ekibuga ekimenyeemenye ne kirekebwa nga tekirina bbugwe.
Omusirusiru n’Obusirusiru bwe
26 (AK)Ng’omuzira bwe gutasaana mu biseera bya kusiga oba enkuba mu makungula,
n’ekitiibwa bwe kitasaanira musirusiru.
2 (AL)Ng’enkazaluggya ewabye, ng’akataayi akabuukabuuka,
ekikolimo ekitasaanidde tekibaako kye kikola.
3 (AM)Embooko ya mbalaasi, n’olukoba lwa ndogoyi,
n’omuggo gusaanira migongo gya basirusirusiru.
4 (AN)Toyanukulanga musirusiru ng’obusirusiru bwe, bwe buli,
oleme kubeera nga ye.
5 (AO)Omusirusiru omuddangamu ng’obusirusiru bwe, bwe buli,
si kulwa nga yeerowooza nti mugezi.
6 (AP)Omuntu atuma omusirusiru,
aba ng’eyeetemyeko ebigere n’anywa obusungu.
7 (AQ)Ng’amagulu g’omulema bwe galengejja obulengezzi,
bwe lutyo n’olugero bwe lubeera mu kamwa k’omusirusiru.
8 (AR)Ng’atadde ejjinja mu nvuumuulo bw’aba,
n’oyo awa omusirusiru ekitiibwa bw’atyo bw’abeera.
9 (AS)Ng’eriggwa bwe lifumita mu mukono gw’omutamiivu,
bwe lutyo n’olugero bwe lubeera mu kamwa k’abasirusiru.
10 Ng’omulasi w’akasaale, amala galasa buli gw’asanze,
bw’abeera bw’atyo apangisa omusirusiru oba omuyise yenna gw’asanze.
11 (AT)Ng’embwa bw’eddira ebisesemye by’ayo,
bw’atyo bw’abeera omusirusiru adda mu nsobi ze.
12 (AU)Olaba omuntu omugezi mu maaso ge ye?
Omusirusiru alina essuubi okumusinga.
13 (AV)Omugayaavu agamba nti, “Mu kkubo eriyo empologoma,
empologoma enkambwe eyita mu luguudo!”
14 (AW)Ng’oluggi bwe lukyukira ku ppata zaalwo,
bw’atyo omugayaavu bw’akyukira ku kitanda kye.
15 (AX)Omugayaavu akoza n’engalo ze mu kibya,
naye olw’obunafu bwe n’atasobola kuzizza mu kamwa.
16 Omugayaavu alowooza nti mugezi,
okusinga abantu omusanvu abaddamu ebibuuzo mu butuufu.
17 Ng’asika embwa amatu,
omuyise bw’abeera eyeeyingiza mu luyombo olutali lulwe.
18 Ng’omulalu akasuka
emmuli ez’omuliro oba obusaale obutta,
19 bw’abeera omuntu alimba munne,
n’agamba nti, “Mbadde nsaaga busaazi.”
20 (AY)Enku bwe zibula omuliro guzikira,
awatali lugambo ennyombo ziggwaawo.
21 (AZ)Ng’amanda ku gannaago agaliko omuliro, oba enku ku muliro,
bw’abeera omusajja omuyombi mu kuwakula entalo.
22 (BA)Ebigambo by’omuntu ageya biri ng’emmere ewoomerera,
bigenda mu bitundu by’omubiri eby’ewala.
23 Ng’ekintu eky’ebbumba ekibikkiddwako amasengere,
bwe gibeera emimwa eminyiikivu egisibuka ku mutima omubi.
24 (BB)Omuntu ow’enkwe alimbalimba n’emimwa gye
naye ng’aterese obulimba mu mutima gwe.
25 (BC)Wadde nga by’ayogera bisanyusa, tomukkiririzaamu
kubanga eby’emizizo musanvu bijjuza mu mutima gwe.
26 Enkwe ze ziyinza okubikkibwa mu kubuzaabuuza,
naye obutali butuukirivu bwe buliggyibwayo mu lukuŋŋaana.
27 (BD)Buli asima ekinnya y’alikigwamu,
n’oyo aliyiringisa ejjinja gwe liriddira.
28 (BE)Olulimi olulimba lukyawa abo be lufumita,
n’akamwa akawaanawaana kaleeta okuzikirira.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.