Beginning
Ya mukulu w’okuyimba. Zabbuli ya Dawudi.
140 (A)Omponye abakola ebibi, Ayi Mukama,
omponye abantu abakambwe;
2 (B)abateesa mu mitima gyabwe okukola ebibi;
abanoonya entalo buli kiseera.
3 (C)Ebigambo byabwe byogi ng’ennimi z’emisota;
ebiva mu kamwa kaabwe busagwa ng’obw’essalambwa.
4 (D)Onkuume abakola ebibi baleme okunkwatako, Ayi Mukama;
omponye abantu abakambwe
abateesa okunkyamya.
5 (E)Abantu ab’amalala banteze omutego;
banjuluzza ekitimba kyabwe;
ne batega emitego mu kkubo lyange.
6 (F)Nagamba Mukama nti, “Ggwe oli Katonda wange.”
Wulira okwegayirira kwange, onsaasire, Ayi Mukama!
7 (G)Ayi Mukama, Mukama wange, ggw’omponya n’amaanyi go,
ggwe engabo yange mu lutalo.
8 (H)Ayi Mukama, abakola ebibi tobawa bye beetaaga,
era tokkiriza ntekateeka zaabwe kutuukirira;
baleme kuba na malala wadde okwenyumiriza.
9 (I)Abanneetoolodde baleke enkwe zaabwe
zibeekyusizeeko baboneebone.
10 (J)Amanda agaaka omuliro gabagwire;
basuulibwe mu muliro,
bakasukibwe mu bunnya obutakoma mwe bataliva emirembe gyonna.
11 (K)Tokkiriza balimba kweyongera bungi;
abakambwe bayigganyizibwe bazikirire.
12 (L)Mmanyi nga Mukama ayamba abo ababonaabona, y’ayamba abanaku okuyisibwa mu bwenkanya.
13 (M)Abatuukirivu banaakutenderezanga,
era w’oli we banaabeeranga.
Zabbuli Ya Dawudi.
141 (N)Ayi Mukama nkukaabira; oyanguwe okujja gye ndi!
Owulire eddoboozi lyange, nga nkukoowoola.
2 (O)Okusaba kwange kubeere ng’ebyakaloosa mu maaso go,
n’okugolola emikono gyange gy’oli kubeere nga ssaddaaka ey’akawungeezi.
3 Onkuume, Ayi Mukama, nneme okwasamya akamwa kange,
era bwe njogera onkomeko.
4 (P)Okyuse omutima gwange guleme kugoberera kibi,
n’okwemalira mu bikolwa ebibi;
nneme okwetaba n’abantu abakola ebitali bya butuukirivu,
wadde okulya ku mmere yaabwe.
5 (Q)Leka omuntu omutuukirivu ankube, kubanga anaaba ankwatiddwa ekisa;
muleke annenye, ekyo kinaaba ng’amafuta amalungi agafukiddwa ku mutwe gwange;
sijja kugagaana.
Naye nnaasabanga bulijjo nga sikkiriziganya na babi wadde n’ebikolwa byabwe.
6 Abakola ebibi bwe baliweebwayo eri ab’okubasalira omusango,
olwo ne balyoka bayiga nti ebigambo byange bya mazima.
7 (R)Balyogera nti, “Ng’omuntu bw’akabala n’akuba amavuunike,
n’amagumba gaffe bwe galisaasaanyizibwa bwe gatyo mu kamwa k’emagombe.”
8 (S)Naye nze amaaso ngatadde ku ggwe, Ayi Mukama Katonda;
mu ggwe mwe neekwese, tondeka nga sirina anambeera!
9 (T)Nkuuma omponye omutego gwe banteze,
n’ebitimba by’abo abakola ebitali bya butuukirivu.
10 (U)Ebitimba bye banteze abakola ebibi abo bonna, baleke babigwemu, kyokka nze mpone.
Okusaba kwa Dawudi bwe yali mu mpuku.
142 (V)Nkaabirira Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka;
neegayirira Mukama ansaasire.
2 (W)Mmutegeeza byonna ebinneemulugunyisa,
ne mmwanjulira ebinteganya byonna.
3 (X)Omwoyo gwange bwe gunnennyika,
gw’omanyi eky’okunkolera.
Banteze omutego mu kkubo lyange mwe mpita.
4 (Y)Bwe ntunula ku mukono gwange ogwa ddyo, sirabayo anambeera;
sirina wa kwekweka, era tewali n’omu anfaako.
5 (Z)Nkaabirira ggwe, Ayi Mukama,
nga ŋŋamba nti, “Ggwe kiddukiro kyange,
ggwe mugabo gwange mu nsi muno.”
6 (AA)Owulire okukaaba kwange,
kubanga njeezebwa nnyo!
Mponya abanjigganya,
kubanga bansinza nnyo amaanyi.
7 (AB)Nziggya mu kkomera,
ndyoke nkwebaze nga ntendereza erinnya lyo.
Abatuukirivu balinneetooloola,
ng’onkoledde ebyekisa ekingi ebingi.
Zabbuli Ya Dawudi.
143 (AC)Wulira okusaba kwange, Ayi Mukama,
wulira okwegayirira kwange!
Ggwe omwesigwa
era omutuukirivu jjangu ombeere.
2 (AD)Tonsalira musango,
kubanga mu maaso go tewali n’omu atuukiridde.
3 Omulabe wange angoba n’ankwata n’ansuula wansi;
anteeka mu kizikiza ne nfaanana ng’abaafa edda.
4 (AE)Noolwekyo omwoyo gwange guweddemu endasi,
n’omutima gwange gwennyise.
5 (AF)Nzijukira ennaku ez’edda,
ne nfumiitiriza ku ebyo bye wakola byonna,
ne ndowooza ku mirimu gy’emikono gyo.
6 (AG)Ngolola emikono gyange gy’oli,
ne nkuyaayaanira ng’ettaka ekkalu bwe liyaayaanira enkuba.
7 (AH)Yanguwa okunziramu, Ayi Mukama,
kubanga omwoyo gwange guggwaamu amaanyi.
Tonkisa maaso go,
nneme okufaanana ng’abafu.
8 (AI)Obudde nga bukedde, nsaba ondage okwagala kwo okutaggwaawo;
kubanga ggwe gwe neesiga.
Njigiriza ekkubo lye nsaana okutambuliramu,
kubanga omwoyo gwange gwonna guli gy’oli.
9 (AJ)Mponya, Ayi Mukama, abalabe bange,
kubanga ggwe kiddukiro kyange.
10 (AK)Njigiriza okukola by’oyagala,
kubanga ggwe Katonda wange!
Omwoyo wo omulungi ankulembere,
antambulize mu kkubo eddungi ery’omuseetwe.
11 (AL)Olw’erinnya lyo, Ayi Mukama, onkuume,
mu butuukirivu bwo onzigye mu kabi.
12 (AM)Omalewo abalabe bange olw’okwagala kwo,
ozikirize n’abanjigganya bonna,
kubanga nze ndi muddu wo.
Zabbuli ya Dawudi.
144 (AN)Atenderezebwe Mukama, olwazi lwange,
atendeka emikono gyange okulwana,
era ateekerateekera engalo zange olutalo.
2 (AO)Mukama anjagala ye Katonda wange era kye kiddukiro kyange,
ge maanyi gange amangi era ye mulokozi wange.
Ye ngabo yange mwe neekweka.
Awangula amawanga n’agassa wansi w’ebigere byange.
3 (AP)Ayi Mukama, omuntu kye ki ggwe okumufaako,
oba omwana w’omuntu, ggwe okumulowoozaako?
4 (AQ)Omuntu ali nga mukka.
Ennaku ze ziri ng’ekisiikirize ekiyita obuyisi.
5 (AR)Yawula mu ggulu lyo, Ayi Mukama, okke!
Kwata ku nsozi zinyooke omukka!
6 (AS)Myansa abalabe basaasaane,
era lasa obusaale bwo obazikirize.
7 (AT)Ogolole omukono gwo ng’osinziira waggulu ennyo,
omponye,
onzigye mu mazzi amangi,
era onzigye mu mikono gya bannamawanga;
8 (AU)ab’emimwa egyogera eby’obulimba,
abalayira nti kya mazima, so nga bulimba bwereere.
9 (AV)Ayi Mukama, nnaakuyimbiranga oluyimba oluggya;
nnaakukubiranga ennanga ey’enkoba ekkumi,
10 (AW)ggwe awa bakabaka obuwanguzi;
amponya, nze omuddu wo Dawudi, ekitala ekyogi.
11 (AX)Ndokola, omponye onzigye
mu mukono gwa bannamawanga bano
ab’emimwa egyogera eby’obulimba,
era omukono gwabwe ogwa ddyo gwa bulimba.
12 (AY)Batabani baffe mu buvubuka bwabwe, Ayi Mukama,
babeere ng’ebisimbe ebikulidde ddala obulungi,
ne bawala baffe babe ng’empagi ennungi ez’oku nsonda
okuzimbirwa ennyumba ya kabaka mu lubiri.
13 Amawanika gaffe gajjule ebibala
ebya buli ngeri.
Endiga zaffe zizaale
enkumi n’obukumi zijjule amalundiro gaffe.
14 Ente zaffe ziwalule ebizito.
Ebisenge by’ekibuga bireme kumenyebwa.
Waleme kubaawo kukaaba
n’okwaziirana kwonna mu nguudo ez’omu bibuga byaffe.
15 (AZ)Abantu abaweereddwa emikisa egyo beesiimye!
Balina omukisa abantu abo abalina Katonda waabwe nga ye Mukama.
Oluyimba lwa Dawudi olw’okutendereza.
145 (BA)Nnaakugulumizanga ggwe Katonda wange, era Kabaka wange;
era nnaatenderezanga erinnya lyo buli lunaku emirembe n’emirembe.
2 (BB)Nnaakutenderezanga buli lunaku;
era nnaasuutanga erinnya lyo emirembe n’emirembe.
3 (BC)Mukama mukulu, wa kitiibwa, era asaanira okutenderezebwanga ennyo,
n’obukulu bwe tebwogerekeka.
4 (BD)Buli mulembe gunaatenderanga gunnaagwo ebikolwa byo,
era gunaatendanga emirimu gyo egy’amaanyi.
5 (BE)Nnaatendanga obukulu n’obulungi bw’ekitiibwa kyo,
era nnaafumiitirizanga ku bikolwa byo ebyewuunyisa.
6 (BF)Abantu banaatendanga amaanyi g’ebikolwa byo eby’ekitalo,
nange nnaatendanga obukulu bwo obw’ekitiibwa.
7 (BG)Banaayogeranga ku bulungi bwo obw’ekitalo nga bajaguza;
era banaayimbanga olw’obutuukirivu bwo.
8 (BH)Mukama wa kisa, ajudde okusaasira,
alwawo okusunguwala era ajudde okwagala okutaggwaawo.
9 (BI)Mukama mulungi eri buli muntu,
era okusaasira kwe kubuna byonna bye yatonda.
10 (BJ)Byonna bye watonda binaakutenderezanga, Ayi Mukama;
n’abatukuvu bo banaakugulumizanga.
11 Banaayogeranga ku kitiibwa ky’obwakabaka bwo,
era banaatendanga amaanyi go.
12 (BK)Balyoke bategeeze abantu bonna ebikolwa byo eby’amaanyi,
n’ekitiibwa ky’obukulu obw’obwakabaka bwo.
13 (BL)Obwakabaka bwo, bwakabaka bwa lubeerera,
n’obufuzi bwo bwa mirembe na mirembe.
Mukama by’ayogera byonna bya bwesigwa,
n’ebikolwa bye bijjudde okusaasira.
14 (BM)Mukama awanirira abo bonna abazitoowereddwa,
era ayimusa bonna abagwa.
15 (BN)Amaaso g’abantu bonna gatunuulira ggwe, Ayi Mukama,
era bonna gw’obawa ebyokulya mu biseera byabyo.
16 (BO)Oyanjuluza engalo zo,
ebiramu byonna n’obigabira bye byetaaga ne bikkuta.
17 Mukama mutuukirivu mu bikolwa bye byonna
era ayagala byonna bye yatonda.
18 (BP)Mukama abeera kumpi n’abo bonna abamukoowoola;
abo bonna abamukoowoola mu mazima.
19 (BQ)Abo bonna abamussaamu ekitiibwa abawa bye baagala,
era awulira okukaaba kwabwe n’abawonya.
20 (BR)Mukama akuuma bonna abamwagala,
naye abakola ebibi alibazikiriza.
21 (BS)Akamwa kange kanaatenderezanga Mukama,
era na buli kitonde kinaatenderezanga erinnya lye ettukuvu
emirembe n’emirembe.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.