Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Beginning

Read the Bible from start to finish, from Genesis to Revelation.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 103-105

Zabbuli Ya Dawudi.

103 (A)Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange;
    ne byonna ebiri mu nze byebaze erinnya lye ettukuvu.
Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange,
    era teweerabiranga birungi bye byonna.
(B)Asonyiwa ebibi byo byonna,
    n’awonya n’endwadde zo zonna.
Anunula obulamu bwo emagombe, n’akusaasira
    era n’akwagala n’okwagala okutaggwaawo.
(C)Awa emmeeme yo ebintu ebirungi byeyagala;
    obuvubuka bwo ne budda buggya ng’empungu.[a]

Mukama asala mu butuukirivu ne mu bwenkanya,
    ensonga z’abo bonna abajoogebwa.

(D)Yamanyisa Musa ebyo by’ayagala,
    n’alaga abaana ba Isirayiri ebikolwa bye.
(E)Mukama wa kisa era ajjudde okusaasira,
    tasunguwala mangu, era alina okwagala okutaggwaawo.
(F)Taasibenga busungu ku mwoyo,
    era tasunguwala kumala bbanga lyonna.
10 (G)Tatukola ng’okwonoona kwaffe bwe kuli,
    wadde okutusasula ng’ebikolwa byaffe ebitali bya butuukirivu bwe biri.
11 (H)Ng’eggulu bwe litumbidde ennyo waggulu w’ensi,
    n’okwagala kwe bwe kuli okunene bwe kutyo eri abo abamutya.
12 (I)Ebibi byaffe abituggyako
    n’abitwala wala ng’ebuvanjuba bw’eri ewala okuva ebugwanjuba.

13 (J)Kitaawe w’abaana nga bw’asaasira abaana be,
    ne Mukama bw’atyo bw’asaasira abo abamutya.
14 (K)Kubanga amanyi nga bwe twakolebwa
    era ng’ajjukira nti tuli nfuufu.
15 (L)Wabula omuntu, ennaku z’obulamu bwe ziri ng’omuddo;
    akula n’agimuka ng’ekimuli eky’omu nnimiro;
16 (M)empewo ekifuuwa, ne kifa;
    nga ne we kyali tewakyajjukirwa.
17 Naye okwagala kwa Katonda eri abo abamutya tekuggwaawo
    emirembe gyonna,
    n’obulokozi bwe eri abaana b’abaana baabwe.
18 (N)Be bo abakuuma endagaano ye
    ne bajjukira okugondera amateeka ge.

19 (O)Mukama anywezezza entebe ye ey’obwakabaka mu ggulu,
    n’obwakabaka bwe bufuga ensi yonna.

20 (P)Mwebaze Mukama mmwe bamalayika be,
    mmwe ab’amaanyi abakola ky’agamba,
    era abagondera ekigambo kye.
21 (Q)Mwebaze Mukama mmwe amaggye ge ag’omu ggulu,
    mmwe abaweereza be abakola by’ayagala.
22 (R)Mwebaze Mukama, mmwe ebitonde bye byonna
    ebiri mu matwale ge gonna.

Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange.
104 (S)Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange.

Ayi Mukama Katonda wange, oli mukulu nnyo;
    ojjudde obukulu n’ekitiibwa.

(T)Yeebika ekitangaala ng’ayeebikka ekyambalo
    n’abamba eggulu ng’eweema,
    (U)n’ateeka akasolya k’ebisulo bye eby’oku ntikko kungulu ku mazzi;
ebire abifuula amagaali ge,
    ne yeebagala ebiwaawaatiro by’empewo.
(V)Afuula empewo ababaka be,
    n’ennimi z’omuliro ogwaka abaweereza be.

(W)Yassaawo ensi ku misingi gyayo;
    teyinza kunyeenyezebwa.
(X)Wagibikkako obuziba ng’ekyambalo;
    amazzi ne gatumbiira okuyisa ensozi ennene.
(Y)Bwe wagaboggolera ne gadduka;
    bwe gaawulira okubwatuka kwo ne gaddukira ddala;
(Z)gaakulukutira ku nsozi ennene,
    ne gakkirira wansi mu biwonvu
    mu bifo bye wagategekera.
Wagassizaawo ensalo ze gatasaana kusukka,
    na kuddayo kubuutikira nsi.

10 (AA)Alagira ensulo ne zisindika amazzi mu biwonvu;
    ne gakulukutira wakati w’ensozi.
11 Ne ganywesa ebisolo byonna eby’omu nsiko;
    n’endogoyi ne gazimalako ennyonta.
12 (AB)Ebinyonyi eby’omu bbanga bizimba ebisu byabyo ku mabbali g’amazzi,
    ne biyimbira mu matabi.
13 (AC)Afukirira ensozi ennene ng’osinziira waggulu gy’obeera;
    ensi n’ekkuta ebibala by’emirimu gyo.
14 (AD)Olagira omuddo ne gukula okuliisa ente,
    n’ebirime abantu bye balima,
    balyoke bafune ebyokulya okuva mu ttaka.
15 (AE)Ne wayini okusanyusa omutima gwe,
    n’ebizigo okwesiiga awoomye endabika ye,
    n’emmere okumuwa obulamu.
16 Emiti gya Mukama gifuna amazzi mangi;
    gy’emivule gy’e Lebanooni gye yasimba.
17 (AF)Omwo ebinyonyi mwe bizimba ebisu byabyo;
    ne ssekanyolya asula mu miti omwo.
18 (AG)Ku nsozi empanvu eyo embulabuzi ez’omu nsiko gye zibeera;
    n’enjazi kye kiddukiro ky’obumyu.

19 (AH)Wakola omwezi okutegeeza ebiro;
    n’enjuba bw’egwa n’eraga olunaku.
20 (AI)Oleeta ekizikiza, ne buba ekiro;
    olwo ebisolo byonna eby’omu bibira ne biryoka bivaayo.
21 (AJ)Empologoma ento zikaabira emmere gye zinaalya;
    nga zinoonya ebyokulya okuva eri Katonda.
22 (AK)Enjuba bw’evaayo ne zigenda, n’oluvannyuma
    ne zikomawo ne zigalamira mu mpuku zaazo.
23 (AL)Abantu ne bagenda ku mirimu gyabwe,
    ne bakola okutuusa akawungeezi.

24 (AM)Ayi Mukama, ebintu bye wakola nga bingi nnyo!
    Byonna wabikola n’amagezi ag’ekitalo;
    ensi ejjudde ebitonde byo.
25 (AN)Waliwo ennyanja, nnene era ngazi,
    ejjudde ebitonde ebitabalika,
    ebintu ebirina obulamu ebinene era n’ebitono.
26 (AO)Okwo amaato kwe gaseeyeeyera nga galaga eno n’eri;
    ne galukwata ge wakola mwe gabeera okuzannyiranga omwo.

27 (AP)Ebyo byonna bitunuulira ggwe
    okubiwa emmere yaabyo ng’ekiseera kituuse.
28 (AQ)Bw’ogibiwa,
    nga bigikuŋŋaanya;
bw’oyanjuluza engalo zo n’obigabira ebintu ebirungi
    ne bikkusibwa.
29 (AR)Bw’okweka amaaso go
    ne byeraliikirira nnyo;
bw’obiggyamu omukka nga bifa,
    nga biddayo mu nfuufu.
30 Bw’oweereza Omwoyo wo,
    ne bifuna obulamu obuggya;
    olwo ensi n’ogizza buggya.

31 (AS)Ekitiibwa kya Katonda kibeerengawo emirembe gyonna;
    era Mukama asanyukirenga ebyo bye yakola.
32 (AT)Atunuulira ensi, n’ekankana;
    bw’akwata ku nsozi ennene, ne zinyooka omukka.

33 (AU)Nnaayimbiranga Mukama obulamu bwange bwonna;
    nnaayimbanga nga ntendereza Katonda wange ennaku zonna ze ndimala nga nkyali mulamu.
34 (AV)Ebirowoozo byange, nga nfumiitiriza, bimusanyusenga;
    kubanga mu Mukama mwe neeyagalira.
35 (AW)Naye abakola ebibi baggweewo ku nsi;
    aboonoonyi baleme kulabikirako ddala.

Weebaze Mukama, gwe emmeeme yange.

Mumutenderezenga Mukama.
105 (AX)Mwebaze Mukama, mukoowoole erinnya lye;
    amawanga gonna mugategeeze by’akoze.
(AY)Mumuyimbire, mumutendereze;
    muyimbe ku byamagero bye.
Mumusuute, ng’erinnya lye ettukuvu muligulumiza;
    emitima gy’abo abanoonya Mukama gijjule essanyu.
(AZ)Munoonye Mukama n’amaanyi ge;
    mumunoonyenga ennaku zonna.

(BA)Mujjukirenga eby’ekitalo bye yakola,
    ebyamagero bye, n’emisango gye yasala;
(BB)mmwe abazzukulu ba Ibulayimu, abaweereza be
    mmwe abaana ba Yakobo, abalonde be.
Ye Mukama Katonda waffe;
    ye alamula mu nsi yonna.

(BC)Ajjukira endagaano ye emirembe gyonna,
    kye kigambo kye yalagira, ekyakamala emirembe olukumi,
(BD)ye ndagaano gye yakola ne Ibulayimu,
    era kye kisuubizo kye yalayirira Isaaka.
10 (BE)Yakikakasa Yakobo ng’etteeka,
    n’akiwa Isirayiri ng’endagaano eteriggwaawo nti,
11 (BF)“Ndikuwa ggwe ensi ya Kanani
    okuba omugabo gwo.”

12 (BG)Bwe baali bakyali batono,
    nga si bangi n’akamu, era nga bagwira mu nsi omwo,
13 baatambulatambulanga okuva mu ggwanga erimu okulaga mu ddala,
    ne bavanga mu bwakabaka obumu ne balaga mu bulala.
14 (BH)Teyaganya muntu yenna kubayisa bubi;
    n’alabulanga bakabaka ku lwabwe nti,
15 (BI)“Abalonde bange,
    ne bannabbi bange temubakolangako kabi.”

16 (BJ)Yaleeta enjala mu nsi,
    emmere yaabwe yonna n’agizikiriza.
17 (BK)N’atuma omuntu okubeesooka mu maaso,
    ye Yusufu eyatundibwa ng’omuddu,
18 (BL)ebigere bye ne binuubulwa enjegere ze baamusibya,
    obulago bwe ne buteekebwa mu byuma,
19 (BM)okutuusa bye yategeeza lwe byatuukirira,
    okutuusa ekigambo kya Mukama lwe kyamukakasa nti bye yayogera bya mazima.
20 (BN)Kabaka n’atuma ne bamusumulula;
    omufuzi w’ensi eyo yamuggya mu kkomera.
21 Yamufuula omukulu w’eby’omu maka ge,
    n’akulira byonna omufuzi oyo bye yalina;
22 (BO)okukangavvulanga abalangira be nga bwe yalabanga,
    n’okuyigiriza abakulu eby’amagezi.

23 (BP)Oluvannyuma Isirayiri n’ajja mu Misiri;
    Yakobo bw’atyo n’atuula mu nsi ya Kaamu nga munnaggwanga.
24 (BQ)Mukama n’ayaza nnyo abantu be;
    ne baba bangi nnyo, n’abalabe baabwe ne beeraliikirira,
25 (BR)n’akyusa emitima gyabwe ne bakyawa abantu be,
    ne basalira abaweereza be enkwe.
26 (BS)Yatuma abaweereza be Musa
    ne Alooni, be yalonda.
27 (BT)Ne bakola obubonero bwe obw’ekitalo mu bantu abo;
    ne bakolera ebyamagero bye mu nsi ya Kaamu.
28 (BU)Yaleeta ekizikiza ensi yonna n’ekwata,
    kubanga baali bajeemedde ekigambo kye.
29 (BV)Amazzi gaabwe yagafuula omusaayi,
    ne kireetera ebyennyanja byabwe okufa.
30 (BW)Ensi yaabwe yajjula ebikere,
    ebyatuukira ddala ne mu bisenge by’abafuzi baabwe.
31 (BX)Yalagira, ebiwuka ebya buli ngeri ne bijja,
    n’ensekere ne zeeyiwa mu bitundu byonna eby’ensi yaabwe.
32 (BY)Yafuula enkuba okuba amayinja g’omuzira;
    eggulu ne libwatuka mu nsi yaabwe yonna.
33 (BZ)Yakuba emizeeyituuni n’emizabbibu,
    n’azikiriza emiti gy’omu nsi yaabwe.
34 (CA)Yalagira, enzige ne zijja
    ne bulusejjera obutabalika muwendo.
35 Ne birya buli kimera kyonna mu nsi yaabwe,
    na buli kisimbe kyonna mu ttaka lyabwe ne kiriibwa.
36 (CB)N’azikiriza abaana ababereberye bonna mu nsi yaabwe,
    nga bye bibala ebisooka eby’obuvubuka bwabwe.
37 (CC)Yaggya Abayisirayiri mu nsi eyo nga balina ffeeza nnyingi ne zaabu;
    era bonna baali ba maanyi.
38 (CD)Abamisiri baasanyuka bwe baalaba Abayisirayiri nga bagenze,
    kubanga baali batandise okubatiira ddala.
39 (CE)Yayanjuluzanga ekire ne kibabikka,
    n’omuliro ne gubamulisiza ekiro.
40 (CF)Baamusaba, n’abaweereza enkwale
    era n’abaliisanga emmere eva mu ggulu ne bakkuta.
41 (CG)Yayasa olwazi, amazzi ne gatiiriika,
    ne gakulukuta mu ddungu ng’omugga.

42 (CH)Kubanga yajjukira ekisuubizo kye ekitukuvu
    kye yawa omuweereza we Ibulayimu.
43 (CI)Abantu be yabaggyayo nga bajaguza,
    abalonde be nga bayimba olw’essanyu.
44 (CJ)Yabawa ensi eyali ey’amawanga amalala,
    ne basikira ebyo abalala bye baakolerera;
45 (CK)balyoke bakwatenga amateeka ge,
    era bagonderenga ebiragiro bye.

Mumutendereze Mukama.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.