Beginning
Amaziya Kabaka wa Yuda
25 Amaziya yalina emyaka amakumi abiri mu etaano we yafuukira kabaka, era n’afugira emyaka amakumi abiri mu mwenda mu Yerusaalemi. Nnyina ye yali Yekoyadaani ow’e Yerusaalemi. 2 (A)N’akola ebirungi mu maaso ga Mukama, naye si na mutima ogutuukiridde. 3 Obwakabaka bwe bwanywezebwa mu buyinza bwe, n’atta abakungu abatta kabaka kitaawe. 4 (B)Naye n’atatta baana baabwe, wabula n’akola ng’etteeka mu kitabo kya Musa, Mukama we yalagira nti, “Abazadde tebattibwenga olw’ekibi ky’abaana baabwe, so n’abaana tebattibwenga olw’ekibi ky’abazadde baabwe, naye buli muntu anaafanga olw’ekibi kye ye.”
5 (C)Amaziya n’akuŋŋaanya abasajja ba Yuda, n’abategeka mu nnyiriri z’ennyumba zaabwe, nga baduumirwa ab’enkumi n’ab’ebikumi mu Yuda yonna ne mu Benyamini. N’oluvannyuma n’abala abo abaalina emyaka amakumi abiri n’okusingawo, ne baba abasajja emitwalo amakumi asatu, abaali basobola okugenda mu lutalo, era nga bayinza n’okukwata effumu n’ekitala. 6 Ate era n’agulayo n’abasajja abalala ab’amaanyi nga bazira emitwalo kkumi okuva mu Isirayiri, olwa ttani ssatu ne bisatu byakuna ebya ffeeza.
7 (D)Naye ne wabaawo omusajja wa Katonda eyagenda gy’ali n’amugamba nti, “Ayi kabaka, tokkiriza eggye lya Isirayiri okugenda naawe, kubanga Mukama tali wamu ne Isirayiri, talina n’omu gwali naye ku bantu ba Efulayimu. 8 (E)Ate ne bw’onoogenda ng’olowooza nti oli muzira nnyo mu ntalo, Katonda alikuwaayo mu maaso g’omulabe, kubanga Katonda alina obuyinza okuyamba, n’okulekerera.”
9 (F)Awo Amaziya n’abuuza omusajja wa Katonda nti, “Naye tunaakola tutya ku bya ttani esatu n’ebisatu byakuna ebya ffeeza ze nasasula eggye lya Isirayiri?” Omusajja wa Katonda n’addamu nti, “Mukama ayinziza ddala okukuwa n’ebisinga ku ebyo.”
10 (G)Awo Amaziya n’alagira eggye eryali lizze gy’ali okuva mu Efulayimu okuddayo ewaabwe waalyo. Ne banyiigira nnyo Yuda, era ne baddayo ewaabwe nga banyiize nnyo.
11 Amaziya ne yeefungiza, n’akulembera abantu be, n’agenda mu kiwonvu eky’omunnyo n’atta abasajja omutwalo gumu ab’e Seyiri. 12 (H)Eggye lya Yuda ne liwamba n’abasajja abalala omutwalo gumu nga balamu, ne babatwala waggulu ku lwazi, ne babasuula wansi okuva ku bbangabanga, ne basesebbuka ebifiififi.
13 Naye eggye liri Amaziya lye yasindika okuddayo, n’ataliganya kugenda naye mu lutalo; lyalumba ebibuga bya Yuda okuva e Samaliya okutuuka e Besukolooni, ne litta abantu enkumi ssatu ku bo, era ne litwala n’omunyago mungi. 14 (I)Awo Amaziya bwe yakomawo ng’amaze okutta Abayedomu, n’aleeta bakatonda b’abantu ab’e Seyiri, n’abassaawo nga bakatonda be, n’abasinzanga, era n’abaweerangayo ebiweebwayo ebyokebwa. 15 (J)Obusungu bwa Mukama kyebwava bubuubuukira ku Amaziya, n’amuweereza nnabbi, eyamutegeeza nti, “Lwaki ogoberera bakatonda b’abantu, abataayinza kulokola bantu baabwe mu mukono gwo?”
16 Naye bwe yali ng’akyayogera, kabaka n’amubuuza nti, “Twali tukulonze okuba omuwi wa magezi owa kabaka? Sirika! Lwaki onoonya okuttibwa?” Awo nnabbi nga tannasirika, n’ayogera kino nti, “Mmanyi nga Katonda amaliridde okukuzikiriza, kubanga tossizaayo mwoyo ku kubuulirira kwange.”
17 Awo Amaziya kabaka wa Yuda ne yeebuuza ku bawi b’amagezi be, n’aweereza obubaka eri Yowaasi mutabani wa Yekoyakaazi, muzzukulu wa Yeeku, kabaka wa Isirayiri, ng’agamba nti, “Jjangu tusisinkane amaaso n’amaaso.”
18 (K)Naye Yowaasi kabaka wa Isirayiri n’addamu Amaziya kabaka wa Yuda bw’ati nti, “Omwennyango ogwali mu Lebanooni gw’aweereza obubaka eri omuvule ogwali mu Lebanooni, nga gugamba nti, ‘Waayo muwala wo eri mutabani wange, amufumbirwe,’ naye ensolo ey’omu nsiko eyali mu Lebanooni, ng’eyitawo, n’erinnyirira omwennyango. 19 Weewaana nga bw’owangudde Edomu, era omutima gwo gujjudde okwegulumiza n’okwenyumiriza. Naye sigala ewuwo. Lwaki onoonya emitawaana, ne weeretera okugwa, ggwe ne Yuda?”
20 (L)Naye Amaziya n’atawuliriza, kubanga okuwangulwa abalabe baabwe kwava eri Katonda, kubanga bava ku Katonda waabwe ne banoonya bakatonda ba Edomu. 21 Awo Yowaasi kabaka wa Isirayiri n’alumba, ye ne Amaziya kabaka wa Yuda ne basisinkana amaaso n’amaaso mu lutalo e Besusemesi ekya Yuda. 22 Isirayiri n’awangula Yuda, buli muntu n’addukira ewuwe. 23 (M)Yowaasi kabaka wa Isirayiri n’awambira Amaziya kabaka wa Yuda mutabani wa Yowaasi, muzzukulu wa Yekoyakaazi e Besusemesi, n’amuleeta e Yerusaalemi. Yowaasi n’amenyaamenya n’ekitundu ekya bbugwe wa Yerusaalemi okuva ku mulyango gwa Efulayimu okutuuka ku Mulyango ogw’oku Nsonda, eyali mita kikumi mu kinaana obuwanvu. 24 (N)N’atwala ezaabu n’effeeza yonna, n’ebintu ebirala byonna ebyali mu yeekaalu ya Katonda ebyali bikuumibwa Obededomu, wamu n’eby’obugagga eby’omu lubiri, n’abawambe, n’addayo e Samaliya.
25 Awo Amaziya mutabani wa Yowaasi kabaka wa Yuda n’awangaala emyaka emirala kkumi n’ettaano, oluvannyuma olw’okufa kwa Yowaasi mutabani wa Yekoyakaazi, kabaka wa Isirayiri. 26 Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Amaziya, okuva ku ntandikwa okutuuka ku nkomerero, tebyawandiikibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Yuda ne Isirayiri? 27 (O)Okuva mu kiseera, Amaziya lwe yakyuka okuva ku Mukama, baamusalira olukwe mu Yerusaalemi, n’addukira e Lakisi. Kyokka ne bamusindikira abasajja abaamugoberera okutuuka e Lakisi, era ne bamuttira eyo. 28 Omulambo gwe ne baguleetera ku mbalaasi, n’aziikibwa mu masiro ga bajjajjaabe mu kibuga kya Yuda.
Uzziya Kabaka wa Yuda
26 (P)Awo Uzziya bwe yali ng’aweza emyaka kkumi na mukaaga egy’obukulu, abantu bonna aba Yuda, ne bamufuula kabaka n’asikira kitaawe Amaziya. 2 N’addaabiriza Erosi, n’akiddiza Yuda nga Amaziya amaze okuziikibwa.
3 Uzziya yali awezezza emyaka kkumi na mukaaga we yaliira obwakabaka, n’afugira emyaka amakumi ataano mu ebiri mu Yerusaalemi. Nnyina ye yali Yekkiriya ow’e Yerusaalemi. 4 N’akola ebirungi mu maaso ga Mukama, nga kitaawe Amaziya bwe yasooka okukola. 5 (Q)N’amalirira okunoonya Katonda mu biro bya Zekkaliya eyamubuuliriranga okutya Katonda. Era ebbanga lyonna lye yanoonya Mukama, Katonda n’amuwa omukisa.
6 (R)N’agenda n’alwana n’Abafirisuuti, n’amenyaamenya bbugwe wa Gaasi, ne bbugwe wa Yabune ne bbugwe wa Asudodi, n’oluvannyuma n’azimba ebibuga okumpi ne Asudodi ne mu bitundu ebirala wakati mu Bafirisuuti. 7 (S)Katonda n’amuyambanga ng’alwana n’Abafirisuuti, n’Abawalabu abaabeeranga mu Gulubaali, era n’Abamewunimu. 8 (T)Abamoni ne bawanga Uzziya busuulu, era n’erinnya lye ne lyatiikirira n’okutuusa ku nsalo ya Misiri, kubanga yali afuuse wa maanyi nnyo.
9 (U)Uzziya n’azimba eminaala mu Yerusaalemi ku wankaaki ow’oku Nsonda, ne ku wankaaki ow’omu Kiwonvu, ne mu kifo bbugwe w’akyukira, era n’agissaako bbugwe. 10 Era n’azimba n’eminaala mu ddungu, ate era n’asima n’ebidiba bingi mu biwonvu ne mu lusenyi, olw’amaggana amanene ge yalina. Yalina n’abantu abaakolanga mu nnimiro ze ez’emizabbibu mu nsozi n’abaalimanga ettaka eggimu, kubanga yayagalanga nnyo okulima.
11 Uzziya yalina eggye ery’abasajja abalwanyi abaatendekebwa obulungi, abaatabaalanga mu bibinja ng’emiwendo gyabwe bwe gyali, Yeyeri omuwandiisi gye yabala ne Maaseya omukungu, eyali wansi wa Kananiya, omu ku baduumizi b’eggye lya kabaka. 12 Omuwendo gwonna awamu ogw’abakulu b’ennyumba ez’abasajja abalwanyi gwali enkumi bbiri mu lukaaga (2,600). 13 Abo be baaduumiranga eggye ery’abasajja abatendeke mu kulwana, abaawera emitwalo amakumi asatu mu kasanvu mu ebikumi bitaano (307,500), abaakuumanga kabaka. 14 (V)Uzziya n’awa eggye lyonna, engabo, n’amafumu, n’enkuufiira ez’ebyuma, n’ebizibaawo eby’ebyuma, n’emitego emigumu, n’envuumuulo. 15 N’akozesa ebyuma mu Yerusaalemi ebyayiyizibwa abasajja abamanyirivu, ebyakozesebwanga ku minaala ne ku nkomera okulasa obusaale n’okuvuumuula amayinja amanene. Yayambibwa nnyo, n’atutumuka era erinnya lye ne lyatiikirira nnyo.
16 (W)Kyokka Uzziya bwe yatutumuka, ne yeegulumiza, n’okugwa n’agwa kubanga teyali mwesigwa eri Mukama Katonda we, n’okuyingira n’ayingira mu yeekaalu ya Mukama okwotereza obubaane ku kyoto eky’obubaane. 17 (X)Azaliya kabona ne bakabona ba Mukama abalala abazira kinaana ne bagenda gy’ali, 18 (Y)ne bamuziyiza, nga bamugamba nti, “Si mulimu gwo, Uzziya, okwotereza Mukama obubaane, naye mulimu gwa bakabona bazzukulu ba Alooni abaayawulibwa okwotezanga obubaane. Ffuluma ove mu watukuvu, kubanga osobezza, era tojja kusiimibwa Mukama Katonda.”
19 (Z)Awo Uzziya n’asunguwala ng’akyakutte ekyoterezo mu mukono gwe. Mu kiseera ekyo ng’asunguwalidde bakabona ng’ayimiridde ku mabbali g’ekyoto eky’obubaane mu yeekaalu ya Mukama, ebigenge ne bimukwata ekyenyi kyonna. 20 Awo Azaliya kabona asinga obukulu ne bakabona abalala bwe bamutunuulira, ne balaba ng’akwatiddwa ebigenge mu kyenyi kye ne banguwa okumufulumya ebweru. Ate era naye yennyini n’ayagala okufuluma kubanga Mukama yali amukubye omuggo.
21 (AA)Kabaka Uzziya n’aba mugenge okutuusa lwe yafa, ng’abeera mu nnyumba eyayawulibwa ku ndala zonna olw’obugenge bwe, nga n’obuvunaanyizibwa bwonna bumuggyibbwako, ate era nga takkirizibwa kuyingira mu yeekaalu ya Mukama. Yosamu mutabani we n’atwala obuvunaanyizibwa obw’olubiri n’afuga abantu ab’eggwanga. 22 (AB)Ebyafaayo ebirala eby’omu mirembe gya Uzziya, okuva ku ntandikwa okutuusa ku nkomerero, byawandiikibwa Isaaya nnabbi, mutabani wa Amozi. 23 (AC)Uzziya n’afa, n’aziikibwa okumpi ne bajjajjaabe mu kiggya kya bakabaka, kubanga, yali mugenge. Yosamu mutabani we n’amusikira, bw’atyo n’afuga mu kifo kye.
Yosamu Kabaka wa Yuda
27 (AD)Yosamu yali wa myaka amakumi abiri mu etaano, bwe yalya obwakabaka, n’afugira mu Yerusaalemi emyaka kkumi na mukaaga. Nnyina ye yali Yerusa muwala wa Zadooki. 2 Newaakubadde ng’abantu beeyongera okukola ebitali bya butuukirivu, Yosamu yakola ebirungi mu maaso ga Mukama, nga kitaawe Uzziya bwe yakola; naye obutafaanana nga kitaawe bwe yakola, teyayingira mu yeekaalu ya Mukama. 3 (AE)N’addaabiriza Omulyango ogw’Ekyengulu ogwa yeekaalu ya Mukama, ate era n’akola omulimu munene ogw’okuddaabiriza bbugwe wa Oferi. 4 N’azimba n’ebibuga mu nsozi za Yuda, ate mu bibira n’azimbamu ebigo n’asimbamu n’eminaala.
5 (AF)Yosamu n’alwana ne kabaka w’Abamoni n’amuwangula, era omwaka ogwo Abamoni ne bamuwa ttani ssatu eza ffeeza ne desimoolo nnya, n’ebigero by’eŋŋaano obukadde bubiri mu emitwalo amakumi abiri, n’ebigero bya sayiri obukadde bubiri mu emitwalo amakumi abiri. Abamoni ne bamuleeteranga ebintu byebimu mu bigero byebimu mu mwaka ogwokubiri ne mu mwaka ogwokusatu.
6 (AG)Yosamu n’aba n’obuyinza bungi kubanga yatambuliranga mu makubo ga Mukama Katonda we.
7 Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Yosamu, entalo ze yalwana, ne bye yakola, byawandiikibwa mu kitabo kya Bassekabaka ba Isirayiri ne Yuda. 8 Yosamu yali wa myaka amakumi abiri mu etaano bwe yalya obwakabaka, era n’afugira emyaka kkumi na mukaaga mu Yerusaalemi. 9 Ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, n’aziikibwa mu Kibuga kya Dawudi; Akazi mutabani we n’amusikira.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.