Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Beginning

Read the Bible from start to finish, from Genesis to Revelation.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
1 Ebyomumirembe 18-21

Obuwanguzi bwa Dawudi

18 Awo oluvannyuma lw’ebyo, Dawudi n’awangula Abafirisuuti, era n’awamba ne Gaasi n’ebyalo ebyali bikyetoolodde okuva mu mukono gw’Abafirisuuti. (A)Dawudi n’awangula n’Abamowaabu, ne bafuuka baddu be, ne bamuwanga obusuulu. (B)Ate era Dawudi yalwanagana ne Kadalezeri kabaka w’e Zoba okutuukira ddala e Kamasi, bwe yali ng’anyweza okufuga kwe ku nsalo ey’Omugga Fulaati. (C)Dawudi n’amuwambako amagaali lukumi, n’abeebagala embalaasi abasajja kasanvu, n’abasajja abeebigere emitwalo ebiri. Embalaasi endala zonna ez’amagaali n’azitema enteega, ne yeerekerawo kikumi.

(D)Awo Abasuuli ab’e Ddamasiko bwe bajja okudduukirira Kadalezeri kabaka w’e Zoba, Dawudi n’abattamu abantu emitwalo ebiri mu enkumi bbiri. N’ateeka olusiisira lw’eggye lye mu Busuuli e Ddamasiko, era Abasuuli baafuuka baweereza be, ne bamutonera ebirabo. Mukama n’awa Dawudi obuwanguzi buli gye yatabaalanga.

Dawudi n’atwala engabo eza zaabu abaserikale ba Kadalezeri ze baasitulanga, n’azireeta e Yerusaalemi. (E)Mu Tibukasi ne mu Kuni, ebibuga ebyali ebya Kadadezeri n’aggyayo ebikomo bingi nnyo, era ebyo Sulemaani bye yakolamu ennyanja ey’ekikomo, n’empagi, n’ebintu eby’ebikomo ebirala. Awo kabaka Toowu ow’e Kamasi bwe yawulira nga Dawudi awangudde eggye lyonna erya Kadadezeri, kabaka w’e Zoba 10 n’atuma mutabani we Kadolaamu eri kabaka Dawudi okumulamusaako n’okumuyozaayoza okuwangula olutalo wakati we ne Kadadezeri, kubanga Kadadezeri yalwananga ne Toowu. Kadolaamu yaleeta zaabu, n’effeeza, n’ebikomo, nga bya ngeri za ngyawulo.

11 (F)Ebintu byonna ebyaleetebwa, kabaka Dawudi yabiwonga eri Mukama, nga bwe yakola effeeza ne zaabu gye yawamba ku mawanga amalala nga Edomu ne Mowaabu, n’Abamoni, n’Abafirisuuti, ne Amaleki. 12 (G)Ye Abisaayi mutabani wa Zeruyiya yattira abasajja ba Edomu omutwalo gumu mu kanaana mu Kiwonvu eky’Omunnyo. 13 Era yateeka olusiisira lw’abaserikale mu Edomu, era aba Edomu bonna ne bafuuka baweereza ba Dawudi. Mukama n’awa Dawudi obuwanguzi mu bifo byonna gye yatabaalanga.

14 (H)Dawudi n’afuga Isirayiri yenna, mu bwenkanya ne mu butuukirivu abantu be bonna.

15 (I)Yowaabu mutabani wa Seruyiya ye yali omuduumizi w’eggye;

Yekosafaati mutabani wa Akirudi nga ye mujjukiza;

16 (J)Zadooki mutabani wa Akitubu ne Abimereki mutabani wa Abiyasaali be baali bakabona;

Savusa ye yali muwandiisi;

17 (K)Benaya mutabani wa Yekoyaada ye yakuliranga Abakeresi n’Abaperesi;

ate batabani ba Dawudi baali bakungu bakulu ddala era nga babeera ku lusegere lwa kabaka.

19 (L)Awo oluvannyuma lw’ebyo, nga wayiseewo ebbanga, Nakasi kabaka w’Abamoni n’afa, mutabani we n’amusikira. Dawudi n’alowooza nti, “Nzija kulaga ebyekisa Kanuni mutabani wa Nakasi, kubanga ne kitaawe yankolera ebyekisa.” Awo Dawudi n’amuweereza ababaka okumukubagiza nga kitaawe amaze okufa.

Naye abasajja ba Dawudi bwe baatuuka eri Kanuni mu nsi ey’Abamoni okumukubagiza, (M)abakungu b’abaana ba Amoni ne bagamba Kanuni nti, “Olowooza nga Dawudi assaamu kitaawo ekitiibwa, bwakuweerezza abakubagizza? Era olowooza nga, abasajja be tebazze kulawuna na kuketta nsi era na kugirya?” Awo Kanuni n’alagira abasajja ba Dawudi bakwatibwe, n’abamwako enviiri n’abasalako n’ebirevu, n’asala ebyambalo byabwe wakati okukoma ku nnyuma, n’oluvannyuma n’abagoba baddeyo.

Awo Dawudi bwe yawulira bye baakola abasajja be yatuma, n’abagamba nti, “Musigale e Yeriko okutuusa ebirevu byammwe lwe birikula, mulyoke mukomewo.” (N)Awo abaana ba Amoni bwe baalaba nga Dawudi abanyiigidde; bo ne kabaka waabwe Kanuni ne baweereza ttani eza ffeeza amakumi asatu mu nnya e Mesopotamiya n’e Alamumaaka, ne Zoba, okubeyazikako amagaali n’abeebagala embalaasi. (O)Beeyazika amagaali n’abeebagala embalaasi emitwalo esatu mu enkumi bbiri, era ne kabaka w’e Maaka n’eggye lye, abajja okumwegattako ne basiisira okumpi ne Medeba. Abaana ba Amoni bo baakuŋŋaana okuva mu bibuga byabwe ne bagenda okutabaala.

Olwawulira ekyo, Dawudi n’aweereza Yowaabu n’eggye lyonna ery’abasajja abalwanyi abazira. Abamoni ne bavaayo bategeke okutabaala nga basimbye ennyiriri ku wankaaki w’ekibuga kyabwe, ate nga bakabaka abaali bazze okubayamba baali bokka ku ttale.

10 Awo Yowaabu bwe yalaba ng’abalabe bamutabaala mu maaso n’emabega, n’alonda mu basajja be, abasajja abazira mu Isirayiri, era abo n’abaweereza okulwana n’Abasuuli. 11 (P)Abalala n’abakwasa Abisaayi muganda we okubaduumira, ne bagenda okulwana n’Abamoni. 12 Yowaabu n’agamba muganda we nti, “Abasuuli bwe banaaba nga bansinza amaanyi, onojja n’ombeera, naye Abamoni bwe banaaba nga bakusinza amaanyi nange nzija kujja nkubeere. 13 Guma omwoyo, tulwanirire abantu baffe n’ebibuga bya Katonda waffe n’obuzira. Mukama akole ng’okusiima kwe bwe kuli.”

14 Awo Yowaabu n’abalwanyi be yalina ne batabaala Abasuuli, Abasuuli ne babadduka. 15 Abaana ba Amoni bwe balaba ng’Abasuuli badduse, nabo ne badduka Abisaayi muganda wa Yowaabu, ne bayingira ekibuga. Awo Yowaabu n’addayo e Yerusaalemi.

16 Abasuuli bwe baalaba nga Isirayiri abawangudde, ne batuma ababaka, okuggyayo Abasuuli abaali emitala w’Omugga Fulaati, nga Sofaki omuduumizi ow’eggye lya Kadalezeri yabakulembedde.

17 (Q)Awo Dawudi bwe yategeezebwa ebyo, n’akuŋŋaanya Isirayiri yenna, n’asomoka Yoludaani nabo, n’agenda n’abalumba n’asimba ennyiriri ng’abesimbye mu maaso. Dawudi n’atandika okulwana n’Abasuuli, n’abo ne bamulwanyisa. 18 Naye Abasuuli ne badduka Isirayiri, era Dawudi n’atta abeebagala embalaasi kasanvu, n’abaserikale ab’ebigere emitwalo ena. Ate n’atta ne Sofaki omuduumizi w’eggye lyabwe.

19 Awo abantu ba Kadalezeri bwe baalaba nga bawanguddwa Isirayiri, ne batabagana ne Dawudi era ne bafuuka abaddu be; so n’Abasuuli tebakkiriza kuyamba abaana be Amooni nate.

Labba Kiwambibwa

20 (R)Awo mu biro, bakabaka mwe bagenderanga okulwana, Yowaabu n’akulembera eggye, n’azisa ensi y’abaana ba Amoni, ate era n’azingiza Labba. Naye Dawudi ye n’asigala mu Yerusaalemi, Yowaabu ye n’alumba Labba, n’akizikiriza. Awo Dawudi n’addira engule eyali eya kabaka waabwe, obuzito bwayo kilo asatu mu nnya eza zaabu, nga mu yo baateekamu amayinja ag’omuwendo, n’agitikka ku mutwe. N’atwala n’omunyago mungi ddala okuva mu kibuga ekyo. (S)Yatwala abantu abaali mu kibuga ekyo n’abawa emirimu nga bakozesa n’emisumeeno, n’ensuuluulu, n’embazzi. Bw’atyo Dawudi bwe yakola ebibuga byonna eby’abaana ba Amoni, oluvannyuma ye n’eggye lye lyonna ne baddayo e Yerusaalemi.

(T)Awo olwatuuka oluvannyuma lw’ebyo ne wabalukawo entalo n’Abafirisuuti e Gezeri. Mu kiseera ekyo Sibbekayi Omukusasi n’atta Sippayi omu ku bazzukulu b’agasajja aganene ddala, era ne bawangula Abafirisuuti.

(U)Mu lutalo olulala n’Abafirisuuti, Erukanani mutabani wa Yayiri n’atta Lakani muganda wa Goliyaasi Omugitti, eyalina olunyago lw’effumu olwali ng’omuti ogulukirwako engoye.

Mu lutalo olulala olwali e Gaasi, waaliwo omusajja omuwanvu ennyo eyali omu ku bazzukulu b’agasajja aganene, ng’alina engalo mukaaga ku buli mukono, n’obugere mukaaga ku buli kigere. Yasoomooza nnyo Isirayiri, era Yonasaani mutabani wa Simeeyi, muganda wa Dawudi n’amutta.

Abo bonna baali bazzukulu ba lisajja Laafa ow’e Gaasi, era bonna ne bagwa mu mikono gya Dawudi n’abasajja be.

Okubalibwa kw’Abayisirayiri

21 (V)Awo Setaani n’atandika okulwana ne Isirayiri, Dawudi n’asendebwasendebwa okubala Abayisirayiri. (W)Dawudi n’alagira Yowaabu, n’abaduumizi b’eggye nti, “Mugende mubale Abayisirayiri okuva e Beeruseba okutuuka e Ddaani, mukomewo, muntegeeze bwe beenkana.”

(X)Naye Yowaabu n’amuddamu nti, “Mukama ayongere ku bantu be, n’okusingawo emirundi kikumi. Mukama wange kabaka, bonna si baweereza ba mukama wange, kale kiki ekimukoza kino? Lwaki aleetera Isirayiri emitawaana?”

Naye ekigambo kya kabaka ne kisinga ebya Yowaabu, era Yowaabu n’agenda n’abuna Isirayiri yonna, n’akomawo e Yerusaalemi. (Y)Yowaabu n’ategeeza Dawudi omuwendo gw’abasajja abalwanyi. Mu Isirayiri mwalimu abasajja abalwanyi akakadde kamu n’emitwalo kkumi, ng’okwo kw’otadde emitwalo amakumi ana mu emitwalo musanvu abaali mu Yuda.

Naye teyabalirako Baleevi n’Ababenyamini, kubanga ekiragiro kya kabaka tekyasanyusa Yowaabu. Ekikolwa ekyo ky’okubala abantu, kyali kya kivve mu maaso ga Katonda era n’abonereza Isirayiri.

Awo Dawudi n’agamba Katonda nti, “Nnyonoonye nnyo olw’ekikolwa ekyo. Kaakano, nkusaba ogyewo obutali butuukirivu obw’omuddu wo, kubanga nkoze ekintu eky’obusirusiru ennyo.”

(Z)Mukama Katonda n’ayogera ne nnabbi Gaadi eyaluŋŋamyanga Dawudi nti, 10 “Genda otegeeze Dawudi nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti: nkuteekeddewo eby’okulondako bisatu, weerobozeeko ekimu kye nnaakukola.’ ”

11 Awo Gaadi n’agenda eri Dawudi n’amugamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Weerobozeeko ku bisatu: 12 (AA)emyaka esatu egy’enjala, oba emyezi esatu egy’okumalibwawo abalabe bo, oba ennaku ssatu ez’ekitala kya Mukama Katonda, kawumpuli agwe mu nsi, ne malayika wa Mukama azikirize abantu mu bitundu byonna ebya Isirayiri.’ Kale nno, ssalawo kye mbanziramu oyo antumye.”

13 (AB)Dawudi n’addamu Gaadi nti, “Nsobeddwa nnyo. Wakiri ka ngwe mu mukono gwa Mukama Katonda, kubanga okusaasira kwe kungi, okusinga okugwa mu mukono gw’omuntu.”

14 (AC)Awo Mukama Katonda n’aweereza kawumpuli ku Isirayiri, abantu emitwalo musanvu ne bafa. 15 (AD)Ate era Katonda n’atuma malayika okuzikiriza Yerusaalemi. Naye Mukama bwe yalaba ebyo byonna, n’alumwa nnyo olw’ebyo byonna, n’alagira malayika eyali azikiriza abantu nti, “Ekyo kimala! Zzaayo omukono gwo.” Mu kiseera ekyo malayika wa Mukama Katonda yali ayimiridde kumpi ne gguuliro lya Olunaani Omuyebusi.

16 (AE)Dawudi n’ayimusa amaaso ge, n’alaba malayika wa Mukama Katonda ng’ayimiridde wakati w’ensi n’eggulu ng’asowodde ekitala mu mukono gwe, nga kigoloddwa ku Yerusaalemi. Awo Dawudi n’abakadde, nga bambadde ebibukutu ne bavuunama amaaso gaabwe.

17 (AF)Dawudi n’agamba Katonda nti, “Si nze nalagira abantu babalibwe? Nze nnyonoonye, era nkoze ebibi. Bano ndiga, kiki kye bakoze? Ayi Mukama Katonda wange, ombonereze nze ne nnyumba yange, naye toganya kawumpuli ono kusigala ku bantu bo.”

18 (AG)Awo malayika wa Mukama Katonda n’alagira Gaadi okugamba Dawudi ayambuke, azimbire Mukama ekyoto ku gguuliro lya Olunaani Omuyebusi. 19 Awo Dawudi n’agondera ekigambo Gaadi kye yayogera mu linnya lya Mukama Katonda, n’ayambuka.

20 (AH)Laba Olunaani bwe yali ng’awuula eŋŋaano, n’akyuka n’alaba malayika wa Mukama, ne batabani be abana abaaliwo ne beekweka. 21 Awo Dawudi bwe yasembera okumpi ne Olunaani we yali, Olunaani n’amulaba, n’ava mu gguuliro, n’amuvuunamira.

22 Dawudi n’amugamba nti, “Mpa ekifo egguuliro lyo mwe liri, nzimbire Mukama ekyoto, nange n’asasula omuwendo gwakyo gwonna, kawumpuli ave ku bantu.”

23 Olunaani n’addamu Dawudi nti, “Kitwale! Mukama wange kabaka akole nga bw’asiima. Laba, nzija kukuwa ziseddume z’onoowaayo ng’ebiweebwayo ebyokebwa, n’ebintu ebiwuula ng’enku, n’eŋŋaano okuba ekiweebwayo eky’obutta. Ebyo byonna nzija kubikuwa.” 24 Naye Dawudi n’agamba Olunaani nti, “Nedda, maliridde okusasula omuwendo omujjuvu. Sijja kutwalira Mukama ekikyo, wadde okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa bye sisasulidde.”

25 Awo Dawudi n’agula ekifo kya Olunaani kilo musanvu eza zaabu. 26 (AI)Dawudi n’azimbira Mukama ekyoto mu kifo ekyo, era n’awaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe, ng’akoowoola Mukama, era Mukama n’amuddamu n’omuliro okuva mu ggulu ogwaka ku kyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa.

27 Awo Mukama Katonda n’alagira malayika okuzaayo ekitala kye mu kiraato kyakyo. 28 Okuva mu kiseera ekyo, Mukama bwe yaddamu Dawudi ku gguuliro lya Olunaani Omuyebusi, Dawudi n’aweerangayo ssaddaaka eyo. 29 (AJ)Mu biro ebyo Eweema ya Mukama, Musa gye yali azimbidde mu ddungu, n’ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa byali mu kifo ekigulumivu e Gibyoni. 30 Naye Dawudi yali tasobola kugendayo kwebuuza ku Katonda, kubanga yali atya ekitala kya malayika wa Mukama Katonda.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.