Beginning
8 (A)Awo abasajja ba Efulayimu ne babuuza Gidyoni nti, “Lwaki watuyisa bw’otyo, n’ototuyita bwe wagenda okulwana ne Midiyaani?” Ne bamunenya nnyo. 2 Naye n’abaddamu nti, “Kiki kye nkoze okugeraageranya nammwe kye mukoze? Amakungula ga Efulayimu tegasinga ezabbibu Abiyezeeri z’akungudde? 3 (B)Katonda yagabula Olebu ne Zeebu abakulembeze ba Midiyaani mu mukono gwammwe. Kiki kye nandiyinzizza okukola okugeraageranya nammwe?” Awo bwe yabagamba ebigambo ebyo ne bakkakkana.
4 (C)Awo Gidyoni n’abasajja be ebikumi bisatu, nga bakooye, naye nga bakyabawondera, ne batuuka ku Yoludaani ne basomoka. 5 (D)N’agamba abasajja ab’omu Sukkosi nti, “Muwe ku basajja bange, ekyokulya, bakooye. Mpondera Zeba ne Zalumunna bakabaka ba Midiyaani.”
6 (E)Naye abakungu ab’omu Sukkosi ne bamuddamu nti, “Eggye lyo limaze okuwamba Zeba ne Zalumunna tulyoke tubawe emmere?” 7 (F)Awo Gidyoni n’abaddamu nti, “Kale olw’ekyo kye muŋŋambye, Mukama Katonda bw’aligabula Zeba ne Zalumunna mu mukono gwange, ndiyuza emibiri gyammwe n’amaggwa ag’omu ddungu n’emyeramannyo.” 8 (G)Bwe yava eyo, n’ayambuka n’alaga e Penieri[a], n’abasaba ekintu kye kimu. Naye abantu b’e Penieri ne bamuddamu ng’abasajja ab’omu Sukkosi bwe bamuddamu. 9 (H)Kyeyava agamba abantu b’e Penieri nti, “Bwe ndikomawo emirembe, ndimenyaamenya omunaala guno.”
10 (I)Zeba ne Zalumunna baali mu Kalukoli n’eggye lyabwe ery’abasajja ng’omutwalo gumu n’ekitundu, nga be bantu abaasigalawo ku ggye lyonna ery’abantu ab’obuvanjuba. Abasajja ng’emitwalo kkumi n’ebiri abaasowolanga ebitala be baali bafudde. 11 (J)Awo Gidyoni n’ayambukira mu kkubo ly’abo ababeera mu weema ku luuyi olw’ebuvanjuba olw’e Noba n’e Yogubeka n’alumba eggye nga teritegedde. 12 Zeba ne Zalumunna ne badduka, naye n’abawondera, era n’awamba bakabaka bombi aba Midiyaani, n’awangulira ddala eggye lyabwe lyonna.
13 Awo Gidyoni mutabani wa Yowaasi n’akomawo okuva mu lutalo ng’ayitira mu Lukuubo lwa Keresi. 14 N’asangiriza omuvubuka ow’oku bantu ab’omu Sukkosi, n’abaako by’amubuuza. Omuvubuka n’amuwandiikira amannya g’abakungu ab’omu Sukkosi, abakadde nsanvu mu musanvu. 15 (K)Gidyoni n’alyoka ajja eri abasajja ab’omu Sukkosi n’abagamba nti, “Zeba ne Zalumunna baabo be mwasinzirako okundulira nga muŋŋamba nti, temuyinza kuwa basajja bange abaali bakooye mmere, nga sirina Zeba ne Zalumunna mu mukono gwange.” 16 (L)N’akwata abakadde b’ekibuga n’addira amaggwa ag’omu ddungu n’emyeramannyo n’abonereza abasajja ab’omu Sukkosi. 17 (M)N’agenda n’e Penieri n’amenyaamenya omunaala gwa Penieri, n’atta n’abasajja b’omu kibuga.
18 (N)N’alyoka abuuza Zeba ne Zalumunna nti, “Abasajja be mwattira e Taboli baali bafaanana batya?” Ne bamuddamu nti, “ggwe nga bw’oli nabo bwe baali. Buli omu yali afaanana abalangira.” 19 N’abaddamu nti, “Abo baali baganda bange, abaana ba mmange. Mukama Katonda nga bw’ali omulamu, singa mwabalekawo, sandi basse mmwe.” 20 Awo n’agamba Yeseri mutabani we omubereberye nti, “Golokoka obatte.” Naye omuvubuka oyo n’atasowolayo kitala kye okubatta. Yatya kubanga yali akyali mulenzi bulenzi. 21 (O)Zeba ne Zalumunna ne boogera nti, “Ggwe jjangu otutte, kubanga ng’omusajja bw’ali, n’amaanyi ge bwe genkana. Gidyoni n’agolokoka n’atta Zeba ne Zalumunna, n’atwala n’ebyali bitimbiddwa mu bulago bw’eŋŋamira zaabwe.”
22 Awo abantu ba Isirayiri ne bagamba Gidyoni nti, “Tufugire ddala ggwe ne mutabani wo, kubanga otulokodde okuva mu mukono gwa Midiyaani.” 23 (P)Naye Gidyoni n’abaddamu nti, “Nze sijja kubafuga, so ne mutabani wange tajja kubafuga, wabula Mukama y’anaabafuganga.” 24 (Q)Gidyoni n’abagamba nti, “Mbasaba ekintu kimu; buli omu ku mmwe ampe empeta ze yanyaga ku Bayisimayiri.”
25 Ne bamuddamu nti, “Okuzikuwa tujja kuzikuwa.” Ne bayalirira olugoye wansi, buli omu n’ateekako empeta ze yanyaga. 26 Obuzito bw’empeta eza zaabu ne buba sekeri lukumi mu lusanvu (nga kilo kkumi na mwenda n’ekitundu), obutabalirako bya kwewoomya, ebirengejja, n’ebyambalo ebya ffulungu, ebyayambalwanga bakabaka ba Midiyaani, n’emikuufu egyateekebwanga mu bulago bw’eŋŋamira zaabwe. 27 (R)Awo Gidyoni n’addira zaabu n’amusaanuusa n’amukolamu ekifaananyi eky’ekkanzu (efodi), n’akiteeka mu kibuga kye Ofula. Abayisirayiri bonna ne bakivuunamiranga ne bakisinzanga, era ne kifuukira Gidyoni n’enju ye yonna omutego.
28 (S)Awo Midiyaani n’ewangulwa abaana ba Isirayiri, era n’etaddayo kubalumba. Ensi n’eba n’emirembe okumala emyaka amakumi ana, Gidyoni gye yabalamula. 29 (T)Yerubbaali ye Gidyoni mutabani wa Yowaasi, n’addayo ewaabwe. 30 (U)Gidyoni yazaala abaana aboobulenzi nsanvu mu bakazi abangi be yalina. 31 (V)N’omuzaana we ow’omu Sekemu yamuzaalira omwana wabulenzi, era n’amutuuma Abimereki. 32 (W)Awo Gidyoni mutabani wa Yowaasi n’afa, ng’akaddiye bulungi, n’aziikibwa mu ntaana ya kitaawe Yowaasi mu Ofula eky’Ababiezeri.
33 (X)Gidyoni nga y’akafa, abaana ba Isirayiri ne bakyuka okusinza babaali ne bafuula Baaluberisi[b] katonda waabwe. 34 (Y)Abaana ba Isirayiri ne batajjukira Mukama Katonda waabwe eyabalokola okuva mu mukono gw’abalabe baabwe bonna ku njuyi zonna. 35 (Z)Ne batalaga kusiima eri ab’enju ya Yerubbaali, ye Gidyoni, olw’ebirungi byonna bye yakolera Isirayiri.
9 (AA)Abimereki mutabani wa Yerubbaali n’agenda e Sekemu eri baganda ba nnyina n’eri ab’ekika bonna, ab’ennyumba ya kitaawe, n’ennyumba ya nnyina n’abagamba nti, 2 (AB)“Mubuuze kaakano ng’abatuuze b’e Sekemu bonna bawulira nti, ‘Kiki ekisingako obulungi? Batabani ba Yerubbaali bonna ensanvu okubafuganga oba omuntu omu y’aba abafuganga?’ Mujjukire nti ndi wa musaayi gwammwe.”
3 Awo baganda ba nnyina ne bategeeza abatuuze b’e Sekemu ebintu ebyo byonna. Ab’e Sekemu ne basalawo okugoberera Abimereki nga bwe bagamba nti, “Muganda waffe.” 4 (AC)Ne bamuwa ebitundu bya ffeeza ebya sekeri nsanvu[c] okuva mu ssabo lya Baaluberisi. Abimereki n’apangisa abayaaye n’abantu abataalina bya buvunaanyizibwa ne bamugoberera. 5 (AD)N’alaga mu nnyumba ya kitaawe mu Ofula n’addira baganda be, batabani ba Yerubbaali nsanvu n’abattira ku jjinja. Naye omu ku baana abo omuto ayitibwa Yosamu mutabani wa Yerubbaali, n’adduka ne yeekweka. 6 Awo abatuuze bonna ab’e Sekemu n’e Besimiiro ne bakuŋŋaana ne batikkira Abimereki ng’ayimiridde okuliraana omuti omunene, ne bamufuula kabaka mu Sekemu.
7 (AE)Awo Yosamu bwe baamugamba ebigambo ebyo, n’alinnya ku ntikko y’olusozi Gerizimu n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba nti, “Mumpulirize abatuuze b’e Sekemu, Katonda alyoke abawulirize. 8 Emiti gy’agenda okulonda kabaka, ne gigamba omuzeyituuni nti, ‘Ba kabaka waffe.’ 9 Naye omuzeyituuni ne gubaddamu nti, ‘Ndekeyo okuvaamu amafuta ag’omuzeeyituuni agampeesa balubaale n’abantu ekitiibwa, ŋŋende okuyuuguumya emiti?’ 10 Awo ne giraga eri omutiini ne gigugamba nti, ‘Ggwe jjangu obeere kabaka waffe.’ 11 Naye nagwo ne guddamu nti, ‘Ndekeyo okuvaamu obuwoomi n’ekibala ekirungi, ŋŋende okuyuuguumya emiti?’ 12 Awo ne giraga eri omuzabbibu ne gigugamba nti, ‘Ggwe jjangu obeere kabaka waffe.’ 13 (AF)Naye omuzabbibu ne gubaddamu nti, ‘Ndekeyo okuvaamu wayini asanyusa balubaale n’abantu, ŋŋende okuyuuguumya emiti?’ 14 Awo emiti gyonna ne gigamba omweramannyo nti, ‘Jjangu obeere kabaka waffe.’ 15 (AG)Awo omweramannyo ne gugamba emiti nti, ‘Bwe muba nga ddala munnonda okuba kabaka wammwe, mujje mwewogome mu kisiikirize kyange. Naye bwe kitaba kityo, omuliro guve mu mweramannyo gusaanyeewo emivule gy’omu Lebanooni.’
16 “Kale nno obanga mwakola kya kitiibwa era mu mutima omulungi ne mufuula Abimereki kabaka, era bwe muba nga mwalaga obwenkanya eri Yerubbaali n’ennyumba ye, ne mumukola nga bwe kyamusaanira, 17 kubanga kitange yabalwanirira, n’awaayo obulamu bwe, n’abawonya mu mukono gwa Midiyaani, 18 (AH)naye mmwe ne mujeemera ennyumba ya kitange ne muttira batabani be nsanvu ku jjinja limu, ne mufuula Abimereki omwana w’omuddu omukazi, kabaka w’abatuuze ab’omu Sekemu, kubanga ye muganda wammwe, 19 era bwe muba nga mwakola kya kitiibwa era nga mwakikola mu mutima omulungi ne muyisa Yerubbaali n’ennyumba ye bwe mutyo, kale Abimereki asanyuke, era nammwe abasanyuse. 20 (AI)Naye bwe kitaba bwe kityo, omuliro guve mu Abimereki, gusaanyeewo abatuuze b’omu Sekemu n’ab’e Besimiiro, ate era omuliro guve mu batuuze ab’omu Sekemu ne mu Besimiiro gusaanyeewo Abimereki.”
21 Oluvannyuma lw’ebyo, Yosamu n’adduka n’alaga e Beeri, n’abeera eyo olw’okutya muganda we Abimereki.
22 Awo Abimereki n’afuga Isirayiri okumala emyaka esatu. 23 (AJ)Katonda n’akyawaganya Abimereki n’abatuuze b’omu Sekemu, ne balya mu Abimereki olukwe, 24 (AK)Katonda ng’awoolera eggwanga olw’ekikolwa eky’okutta batabani ba Yerubbaali ensanvu, n’omusaayi gwabwe ng’aguteeka ku Abimereki muganda waabwe eyabatta ng’ayambibwako abatuuze b’omu Sekemu. 25 Abatuuze b’omu Sekemu ne bassaawo abasajja ku nsozi babbenga era banyagululenga buli eyayitanga mu kkubo. Abimereki n’ategeezebwa.
26 Awo Gaali mutabani wa Ebedi n’ajja ne baganda be mu Sekemu, abatuuze b’omu Sekemu, ne batanula okumwesiga. 27 (AL)Ne balaga mu nnimiro ne bakungula ezzabbibu zaabwe, ne basogola omubisi, n’oluvannyuma ne bakola embaga mu ssabo lya katonda waabwe, ne balya ne banywa ne bakolimira Abimereki. 28 (AM)Awo Gaali mutabani wa Ebedi n’ayogera nti, “Abimereki ye ani? Ab’omu Sekemu be baani okumuweereza? Si ye mutabani wa Yerubbaali, era Zebbuli si ye mumyuka we? Muweereze abantu ba Kamoli, kitaawe wa Sekemu. Lwaki tuweereza Abimereki? 29 (AN)Ani ayinza okumpa obuyinza okukulembera abantu bano, olwo ndyoke nziggyewo Abimereki? Era nzija kumusoomooza nga mugamba nti, ‘Kuŋŋaanya eggye lyo, otulumbe.’ ”
30 Awo Zebbuli omukulu w’ekibuga bwe yawulira ebigambo bya Gaali mutabani wa Ebedi, n’asunguwala nnyo. 31 N’aweereza ababaka eri Abimereki mu kyama okumugamba nti, “Laba Gaali mutabani wa Ebedi, ne baganda be bazze mu Sekemu. Basekeeterera ekibuga okukulwanyisa. 32 (AO)Kaakano, ggwe jjangu mu kiro n’abasajja bo muteegere mu nnimiro. 33 (AP)Mu makya enjuba ng’evaayo, onoogolokoka n’olumba ekibuga. Onoomulumba ye n’abantu abali naye abajja okukulumba, ggwe olyoke obakole ekyo omukono gwo kye guteekeddwa okukola.”
34 Awo Abimereki n’abasajja be ne bagolokoka mu kiro ne bagenda ne beekweka mu bibanja bina okumpi n’e Sekemu. 35 (AQ)Gaali mutabani wa Ebedi n’afuluma n’ayimirira mu mulyango gwa wankaaki w’ekibuga, ne Abimereki n’abasajja be nabo ne bavaayo gye baali beekwese.
36 Awo Gaali bwe yabalaba, n’agamba Zebbuli nti, “Laba abantu nga bava ku nsozi waggulu!” Zebbuli n’amuddamu nti, “Ebisiikirize eby’ensozi by’olaba ng’abantu.” 37 Naye Gaali n’ayogera nate nti, “Laba, abantu bajja nga bayitira mu muwaatwa gw’ensi, n’ekibinja ekimu kifuluma mu kkubo ery’omwera ogw’abafumu.”
38 (AR)Awo Zebbuli n’alyoka amugamba nti, “Biki bye wali oyogera bwe wagamba nti, ‘Abimereki ye ani ffe okumuweereza?’ Abo si be bantu be wanyooma? Kaakano genda obalwanyise.” 39 Awo Gaali n’akulembera abatuuze b’omu Sekemu okulwanyisa Abimereki. 40 Abimereki n’amugoba, ne Gaali n’amudduka, era bangi ne batuusibwako ebiwundu, era ne bagwa ku mulyango gwa wankaaki. 41 Abimereki n’abeera mu Aluma. Zebbuli n’agoba Gaali ne baganda be mu Sekemu baleme kubeerangamu.
42 Ku lunaku olwaddirira, Abimereki n’ategeezebwa ng’abantu bwe bagenda okulima. 43 (AS)Awo n’addira abasajja be n’abaawulamu ebibinja bisatu, n’ateegera abantu mu nnimiro. Bwe yalaba ng’abantu bafuluma ekibuga balage mu nnimiro, n’abalumba. 44 Abimereki n’ekibinja kye yali nakyo ne banguwa okuwamba omulyango gwa wankaaki w’ekibuga, ate ebibinja ebibiri byo ne byanguwa okulaga mu nnimiro ne batta abaaliyo. 45 (AT)Abimereki n’azibya olunaku olwo ng’alwanyisa ab’omu kibuga, n’akiwamba, n’abaalimu n’abatta, n’ekibuga n’akizikiriza, n’akiyiwamu n’omunnyo.
46 (AU)Olwawulira ebyo, abatuuze abaali mu kigo kya Sekemu, ne baddukira mu ssabo lya Eruberisi. 47 Awo bwe baategeeza Abimereki nti abatuuze b’omu Sekemu baali bakuŋŋaanidde mu kigo kya Sekemu, 48 (AV)ye n’abasajja be ne balinnya ku lusozi Zalumoni, n’akwata embazi n’atema ettabi n’alyetikka ku kibegabega. N’alagira n’abasajja be yali nabo ng’abagamba nti, “Mwanguwe, mukole nga bwe nkoze.” 49 Buli omu ku bo n’atema ettabi n’alyetikka, ne bagoberera Abimereki. Ne bagatuuma ku kigo, ne bakikumako omuliro. Abantu bonna abaali mu kigo kya Sekemu, be basajja n’abakazi nga lukumi ne bafiiramu.
50 (AW)Awo Abimereki n’agenda e Sebezi, n’asiisira okwetooloola ekibuga ekyo era n’akiwamba. 51 Mu kibuga ekyo mwalimu ekigo eky’amaanyi, era abantu bonna abasajja n’abakazi ab’omu kibuga ne baddukira omwo ne beggaliramu. Ne balinnya ku kasolya k’ekigo. 52 Abimereki n’alumba ekigo, naye bwe yali ng’akisemberedde, akume omuliro ku mulyango gwakyo, 53 (AX)ne wabaawo omukazi omu eyakasuka olubengo ku mutwe gwa Abimereki, n’amwasa omutwe.
54 (AY)Amangwago Abimereki n’agamba eyasitulanga ebyokulwanyisa bye nti, “Sowola ekitala kyo onzite, si kulwa nga kinjogerwako nti nattibwa mukazi.” Omuddu we n’amufumita ekitala n’afa. 55 Awo abantu ba Isirayiri bwe baalaba nga Abimereki afudde, buli omu n’addayo ewuwe.
56 Katonda bw’atyo n’awalana eggwanga olw’obutali butuukirivu bwa Abimereki, olwa Abimereki okutta abaana ba kitaawe, abooluganda nsanvu. 57 (AZ)Katonda n’abonereza n’abantu b’omu Sekemu olw’obutali butuukirivu bwabwe bwonna, n’atuukiriza n’ekikolimo Yosamu mutabani wa Yerubbaali kye yabakolimira.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.