Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Beginning

Read the Bible from start to finish, from Genesis to Revelation.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Yoswa 12-15

Bakabaka Abaawangulwa

12 (A)Bano be bakabaka b’ensi Abayisirayiri be baawangula era bannyini nsi Abayisirayiri gye baatwala eri ebuvanjuba bwa Yoludaani, okuva ku kiwonvu ekya Alunoni okutuuka ku lusozi Kerumooni, ne Alaba yonna ku luuyi olw’ebuvanjuba.

(B)Sikoni kabaka w’Abamoli eyafuga mu Kesuboni, okuva ku Aloweri, ekiri ku mabbali g’ekiwonvu ekya Alunoni, n’ekibuga ekiri wakati mu kiwonvu, n’ekitundu ekya Gireyaadi, okutuuka ku mugga Yaboki, y’ensalo y’abaana ba Amoni; kino ng’ogasseeko n’ekitundu Gireyaadi,

(C)ne Alaba okutuuka ku nnyanja Kinnerosi, ku luuyi olw’ebuvanjuba, ne ku Nnyanja ya Araba y’Ennyanja ey’Omunnyo ku luuyi olw’ebuvanjuba mu kkubo ery’e Besu Yesimosi, ne ku luuyi olw’obukiikaddyo wansi w’olusozi Pisuga,

(D)ne ku nsalo ya Ogi kabaka w’e Basani, omu ku baasembayo ku ba Balefa eyafuganga mu Asutaloosi ne mu Ederei.

(E)Era ye yali afuga olusozi Kerumooni ne Saleka ne Basani yenna okutuuka ku nsalo ey’Abagesuli, n’Abamaakasi, n’ekitundu kya Gireyaali, ensalo ya Sikoni kabaka we Kesuboni.

(F)Musa omuweereza wa Mukama n’abaana ba Isirayiri babawangula, era ensi yaabwe Musa omuweereza wa Mukama n’agiwa Abalewubeeni, n’Abagaadi n’ekitundu ky’ekika kya Manase.

(G)Bano be bakabaka b’ensi, Yoswa n’abaana ba Isirayiri be baawangula ku luuyi lw’ebugwanjuba olwa Yoludaani okuva ku Baalugadi mu kiwonvu kya Lebanooni okutuuka ku lusozi Kalaki okwambuka okutuuka e Seyiri. Yoswa yagiwa ebika bya Isirayiri bigigabane nga bwe byali byayawulwamu. (H)Mu nsi ey’ensozi, ne mu nsi ey’ensenyi ne mu Alaba ne ku bitundu ebya wansi ku nsozi, ne mu ddungu ne mu nsi ey’obugwanjuba mu Negevu, ensi ez’Abakiiti, n’Abamoli, n’Abakanani, n’Abaperezi, n’Omukiivi, n’Omuyebusi.

(I)Kabaka w’e Yerikoomu,
ne kabaka w’e Ayi ekiriraanye Beseriomu,
10 (J)ne kabaka w’e Yerusaalemiomu,
ne kabaka w’e Kebbulooniomu,
11 ne kabaka w’e Yalamusiomu,
ne kabaka w’e Lakisiomu,
12 (K)n’ow’e Egulooniomu,
n’ow’e Gezeriomu,
13 ne kabaka w’e Debiriomu,
n’ow’e Gederiomu,
14 (L)n’ow’e Kolumaomu,
n’ow’e Yaladiomu,
15 n’ow’e Libunaomu,
n’ow’e Adulamuomu,
16 (M)n’ow’e Makkedaomu,
n’ow’e Beseriomu,
17 (N)ne kabaka ow’e Tappuaomu,
n’owe Keferiomu,
18 (O)n’ow’e Afeki omu n’ow’e Lasaloniomu,
19 n’ow’e Madoniomu,
n’ow’e Kazoliomu,
20 (P)ne kabaka w’e Simuloni Meroniomu,
ne kabaka w’e Akusafuomu,
21 n’ow’e Taanakiomu,
n’ow’e Megiddoomu,
22 (Q)n’ow’e Kedesiomu,
ne kabaka w’e Yokuneamu ku Kalumeeriomu,
23 (R)ne kabaka w’e Doli ku lusozi Doliomu,
ne kabaka w’e Goyiyimu mu Girugaali[a]omu,
24 (S)n’ow’e Tiruzaomu.
Bonna awamu bakabaka amakumi asatu mu omu.

Amawanga Agaali Tegannawangulwa

13 (T)Awo Yoswa[b] bwe yali ng’akaddiye ng’amaze emyaka mingi. Mukama n’amugamba nti, “Okaddiye omaze emyaka mingi naye, wakyaliwo ensi nnyingi nnyo ez’okuwangula.

“Zino z’ensi ezikyaliwo:

“ensi yonna ey’Abafirisuuti n’Abaseguli (U)okuva ku mugga Sikoli oguli ebuvanjuba wa Misiri, n’okwambukira ddala ku nsalo y’e Ekuloni emanyiddwa nga ey’Abakanani, eriyo abafuzi bataano ab’Abafirisuuti, ow’e Gaza, n’ow’e Asudodi, n’ow’e Asukulooni, n’ow’e Gaasi n’ow’e Ekuloni awamu n’Abavi.

(V)Okuva mu bukiikaddyo ensi yonna ey’Abakanani, ne Meyala ekya Basidoni, okutuuka ku Afiki, ku nsalo ey’Abamoli,

(W)n’ensi y’Abagebali,

ne Lebanooni yonna, ne ku luuyi olw’ebuvanjuba, n’okuva ku Baalugadi wansi w’olusozi Kerumooni okutuuka w’oyingirira e Kamasi.

(X)“N’abantu bonna ab’omu nsozi za Lebanooni okutuuka ku Misurefosumayima, be Basidoni bonna; nze kennyini ndibagoba mbaggye mu maaso g’abaana ba Isirayiri. Kakasa nti ensi eno ogigabira abaana ba Isirayiri nga bwe nakulagira. (Y)Noolwekyo ojja kugigabanya ng’omugabo eri ebika omwenda era n’ekitundu ky’ekika kya Manase.”

Ensi Ebuvanjuba bwa Yoludaani

(Z)Ekitundu ekirala ekya Manase, n’Abalewubeeni n’Abagaadi ne baweebwa omugabo gwabwe, Musa bwe yabawa emitala wa Yoludaani ku luuyi olw’ebuvanjuba nga Musa omuweereza wa Mukama bwe yabagabira.

(AA)Okuva ku Aloweri ekiri ku mabbali g’ekiwonvu ekya Alunoni, n’ekibuga ekiri wakati mu kiwonvu, n’olusenyi lwonna olwa Medeba okutuuka ku Diboni; 10 (AB)n’ebibuga byonna ebya Sikoni kabaka w’Abamoli, eyafuga mu Kesuboni, okutuuka ku nsalo y’abaana ba Amoni.

11 (AC)Era kyatwaliramu Gireyaadi, n’ekitundu ky’Abagesuli, n’Abamaakasi, n’olusozi lwonna Kerumooni ne Basani yonna okutuukira ddala ku Saleka. 12 (AD)Obwakabaka bwonna obwa Ogi mu Basani, eyali afuga mu Asutaloosi ne mu Ederei, ye yali asigaddewo yekka ku Balefa, bwawangulwa Musa n’atwala ensi yaabwe. 13 (AE)Naye abaana ba Isirayiri tebaawangula Bagesuli wadde Abamaakasi, bwe kityo Abagesuli n’Abamaakasi ne babeera wakati mu bo ne leero.

14 (AF)Ekika kya Leevi kyokka Musa ky’ataawa mugabo, ebiweebwayo ebyokebwa n’omuliro eri Mukama Katonda wa Isirayiri, gwe mugabo gwe nga bwe yamugamba.

Ensi ya Lewubeeni

15 Musa yagabira ekika ky’abaana ba Lewubeeni ng’enju zaabwe bwe zaali:

16 (AG)Ensalo yaabwe ng’eva ku Aloweri, ekiri ku mabbali g’ekiwonvu eky’Alunoni, n’ekibuga ekiri wakati mu kiwonvu, n’olusenyi lwonna oluliraanye Medeba, 17 (AH)ne Kesuboni, n’ebibuga byakyo byonna ebiri mu lusenyi, ne Diboni ne Bamosi Baali, ne Besubaalumyoni; 18 (AI)ne Yakazi, ne Kedemosi, ne Mefaasi; 19 (AJ)ne Kiriyasayimu, ne Sibuma, ne Zeresusakali ku lusozi olw’Ekiwonvu, 20 (AK)ne Besupyoli ne Pisuga awayambukirwa ku lusozi, ne Besu Yesimosi, 21 (AL)n’ebibuga byonna eby’omu lusenyi, n’obwakabaka bwonna obwa Sikoni kabaka w’Abamoli, eyafugira mu Kesuboni, Musa gwe yawangula awamu n’abaami abaali bafuga ab’e Midiyaani, eri ne Lekemu, ne Zuuli, ne Kuli ne Leba, n’abalangira ba Sikoni abaabeeranga mu nsi. 22 (AM)Era ne mu abo be batta n’ekitala, abaana ba Isirayiri battiramu n’omulaguzi Balamu omwana wa Byoli. 23 Era n’ensalo y’abaana ba Lewubeeni yali omugga Yoludaani. Ebibuga n’ebyalo byamu Musa yabiwa abaana ba Lewubeeni okuba omugabo gwabwe.

Ensi y’Abagaadi

24 Musa yagabira ekika kya Gaadi omugabo ng’enju zaabwe bwe zaali:

25 (AN)Ettaka lyabwe lyali Yazeri, n’ebibuga byonna ebya Gireyaadi, n’ekitundu ky’ensi y’abaana ba Amoni, okutuuka ku Aloweri okumpi ne Labba, 26 (AO)n’okuva e Kesuboni okutuuka ku Lamasumizupe, ne Betonimu, era n’okuva ku Makanayimu okutuuka mu nsi y’e Debiri, 27 (AP)ne mu kiwonvu, Besukalamu, ne Besu Nimira, ne Sukkosi, ne Zafoni, n’ekitundu ekyasigalawo ekyobwakabaka bwa Sikoni kabaka ow’e Kesuboni, Yoludaani n’ensalo yaagwo, okutuuka ku lubalama lw’ennyanja ey’e Kinneresi emitala wa Yoludaani ku luuyi olw’ebuvanjuba.

28 (AQ)Eyo y’ensi eyafuuka omugabo gw’abaana ba Gaadi ng’enju zaabwe bwe zaali, ebibuga n’ebyalo byamu.

Ensi y’Abamanase

29 Musa n’awa ekitundu ky’ekika kya Manase omugabo gwabwe, abaana ba Manase ne bagabirwa omugabo ng’enju zaabwe bwe zaali.

30 (AR)N’ensalo yaabwe ng’eya Makanayimu, n’eyita mu Basani n’obwakabaka bwonna obwa Ogi kabaka w’e Basani, n’ebibuga ebya Yayiri, ebiri mu Basani ebibuga nkaaga; 31 (AS)n’ekitundu ekimu ekya Gireyaadi ne Asutaloosi, ne Ederei, ebibuga eby’obwakabaka bwa Ogi mu Basani byali b’abaana ba Makiri omwana wa Manase, ekitundu eky’abaana ba Makiri ng’enju zaabwe bwe zaali.

32 Ogwo gwe mugabo Musa gwe yagaba mu nsenyi eza Mowaabu, emitala wa Yoludaani ebuvanjuba bwa Yeriko. 33 (AT)Naye ekika kya Leevi Musa teyakiwa mugabo. Mukama Katonda wa Isirayiri, ye mugabo gwabwe gwe yabawa, nga Mukama bwe yabagamba.

Okugabanya ensi ebuvanjuba bwa Yoludaani

14 (AU)Bino by’ebitundu Abayisirayiri bye baafuna ng’omugabo mu nsi y’e Kanani, Eriyazaali[c] kabona, ne Yoswa, omwana wa Nuuni, n’emitwe gy’ennyumba eza bakitaabwe ez’ebika by’abaana ba Isirayiri bye baabagabira. (AV)Emigabo baagifunanga nga bakuba kalulu nga Mukama bwe yalagira Musa olw’ebika omwenda n’ekitundu, (AW)kubanga Musa yali agabidde ebika ebibiri n’ekitundu omugabo gwabwe emitala wa Yoludaani, naye Abaleevi bo teyabagabira; (AX)kubanga abaana ba Yusufu baali bafuuse ebika bibiri, Manase ne Efulayimu[d], bo Abaleevi ne bataweebwa mugabo gwonna mu nsi, wabula ebibuga byokka eby’okubeeramu, n’ensiko ey’okulundiramu ebisibo byabwe n’ebintu byabwe. (AY)Abantu ba Isirayiri ne bagabana ensi nga Mukama bwe yalagira Musa.

Kalebu Afuna Kebbulooni

(AZ)Abantu ba Yuda ne balyoka bajja eri Yoswa e Girugaali, ne Kalebu omwana wa Yefune Omukenizi n’amugamba nti, “Omanyi Mukama kye yayogera ne Musa omusajja wa Katonda e Kadesubanea ekikwata ku ggwe nange. (BA)Nalina emyaka amakumi ana, Musa omuweereza wa Mukama bwe yantuma okuva e Kadesubanea okuketta ensi, era namuleteera ekigambo nga bwe kyali mu mutima gwange. (BB)Naye baganda bange be nnali nabo ne baleteera emitima gy’abantu okuggwaamu amaanyi olw’okutya, wabula nze nagoberera Mukama Katonda wange n’omutima gwange gwonna. (BC)Era Musa yandayirira nti, ‘Ensi ebigere byo kwe biririnnya, mugabo gwo n’abaana bo emirembe gyonna, kubanga ogoberedde Mukama Katonda wange n’omutima gwo gwonna.’

10 (BD)“Era kaakano Mukama ampangaazizza nga bwe yayogera emyaka gino amakumi ana okuva lwe yakigamba Musa, nga Isirayiri etambula mu ddungu. Era laba kaakano ndi wa myaka kinaana! 11 (BE)Nkyalina amaanyi leero nga ge nalina Musa bwe yantuma, amaanyi ge nnina leero galinga ge nalina mu kulwana, mu kufuluma ne mu kuyingira. 12 (BF)Kale noolwekyo mpa olusozi luno, Mukama lwe yayogera ku lunaku luli, kubanga wawulira ku olwo ng’Abanaki kwe baali n’ebibuga ebinene ebiriko enkomera. Mukama nga ye mubeezi wange, nnaabagoba nga Mukama bwe yayogera.”

13 (BG)Yoswa n’amusabira omukisa n’awa Kalebu omwana wa Yefune Omukenezi Kebbulooni okuba omugabo gwe. 14 Olusozi Kebbulooni ne lufuuka lwa Kalebu mutabani wa Yefune ne leero, kubanga yagoberera ddala Mukama Katonda wa Isirayiri. 15 (BH)Kebbulooni edda kyayitibwanga Kiriasualuba era Aluba ye yali omukulu asingayo mu Banaki.

Olwo ensi n’eryoka ewummula n’etebaamu ntalo.

Ensalo za Yuda

15 (BI)Omugabo gw’abaana ba Yuda ng’enju zaabwe bwe zaali bwe baakuba akalulu, baaweebwa ekitundu okutuuka ku nsalo ya Edomu, ku lukoola lwa Zini, ku nkomerero y’oluuyi olw’obukiikaddyo.

N’ensalo yaabwe ey’oluuyi olwo okuva ku Nnyanja ey’Omunnyo w’eva, ku kikono ekitunudde mu bukiikaddyo; (BJ)n’esala wansi w’ekkubo eririnnya ku Akkulabimu n’eyita okutuuka ku Zini n’erinnya okuyita wansi wa Kadesubanea, n’eyita kumpi ne Kezulooni, n’erinnya ku Addali, n’ekyamira ku Kaluka; (BK)n’eyita ku Azumoni n’ekoma ku mugga ogw’e Misiri, n’eryoka esibira ku nnyanja. Eno ye yali ensalo yaabwe ey’obukiikaddyo.

(BL)N’ensalo yaabwe ey’obuvanjuba yali nnyanja ey’obukiikakkono. Kyali kikono kya Yoludaani we guyiyira ku Nnyanja ey’Omunnyo.

N’ensalo ey’obukiikakkono kyali kikono kya nnyanja Yoludaani we guyiyiramu. (BM)N’eyambuka n’eyita ku Besukogula n’eyita ku luuyi lw’ebuvanjuba bwa Besualaba n’eyambuka okutuuka ku jjinja lya Bokani omwana wa Lewubeeni. (BN)Era n’erinnya ku Debiri okuva mu kiwonvu Akoli, n’egenda ku luuyi olw’obukiikakkono, n’edda e Girugaali emitala w’ekkubo eryambuka ku Adummimu, ekiri emitala w’omugga mu bukiikaddyo, n’etuuka ku nsalo ku mazzi ag’e Ensemesi, n’esala n’ekoma ku Enerogeri. Awo n’eryoka eyita ku kiwonvu kya Kinomu ku luuyi lw’ebugwanjuba ekyali ku nkomerero ey’ekiwonvu kya Lefayimu ku luuyi olw’obukiikakkono. (BO)Awo n’eryoka eva ku kiwonvu ky’omwana wa Kinomu n’etuuka ku njegoyego za Yebusi ku luuyi olw’obukiikaddyo ye Yerusaalemi, ne yeeyongera ku ntikko y’olusozi oluli w’okkira mu kiwonvu kya Kinomu ku luuyi olw’ebugwanjuba, ku nkomerero y’ekiwonvu kya Lefayimu mu bukiikakkono; (BP)ne yeeyongera okuva ku ntikko y’olusozi n’etuuka ku luzzi olw’amazzi ga Nefutoa, ne yeeyongerayo n’etuuka ku bibuga eby’oku lusozi Efuloni, n’etuuka ku Baala, ye Kiriyasuyalimu, 10 (BQ)n’ewetamu okuva e Baala ku luuyi olw’ebugwanjuba n’etuuka ku lusozi Sayiri n’eyita n’etuuka ku mabbali g’olusozi Yealimu ku luuyi olw’omu bukiikakkono, ye Kyesaloni, n’ekka ku Besusemesi, n’eyita ku Timuna, 11 (BR)n’egenda ku mabbali ag’e Ekuloni mu bukiikakkono, n’ekka ku Sikkeroni n’etuuka ku lusozi Baala, n’ekoma ku Yabuneeri, ne ku nnyanja.

12 (BS)Ensalo ey’ebugwanjuba yali Ennyanja Ennene n’olubalama lwayo.

Eyo ye yali ensalo y’abaana ba Yuda ku njuyi zonna ng’enju zaabwe bwe zaali.

Omugabo gwa Kalebu

13 (BT)Yoswa n’awa Kalebu omwana wa Yefune omugabo mu baana ba Yuda Kiriasualuba, ye Kebbulooni, ng’ekiragiro kya Mukama bwe kyali. Aluba ye yali kitaawe wa Anaki. 14 (BU)Kalebu n’agobamu abaana abasatu aba Anaki: Sesayi ne Akimaani, ne Talumaayi, abaana ba Anaki. 15 N’ava eyo n’alumba abaali mu Debiri, edda eyayitibwanga Kiriasuseferi. 16 (BV)Kalebu n’agamba nti, “Anaakuba Kiriasuseferi n’akiwamba ndimuwa muwala wange Akusa amuwase.” 17 (BW)Osunieri omwana wa Kenazi, muganda wa Kalebu, n’akikuba, Kalebu n’amuwa Akusa muwala we amuwase.

18 Awo bwe yajja gy’ali, n’amugamba asabe kitaawe ennimiro. Bwe yava ku ndogoyi ye, Kalebu n’amubuuza nti, “Kiki kyoyagala nkukolere?” 19 N’addamu nti, “Nsaba onnyambe nga bwe wampa ettaka mu Negebu, ompe n’ensulo z’amazzi.” Kalebu n’amuwa ensulo ez’engulu n’ez’emmanga.

Omugabo gwa Yuda

20 Guno gwe mugabo gw’ekika ky’abaana ba Yuda ng’enju zaabwe bwe zaali.

21 (BX)Ebibuga ebyali bisemberayo ddala mu bukiikaddyo mu Negebu eri ensalo ya Edomu byali,

Kabuzeeri, n’e Ederei n’e Yaguli, 22 n’e Kina n’e Dimona, n’e Adada, 23 n’e Kedesi, n’e Kazoli, n’e Isunani, 24 (BY)n’e Zifu, n’e Teremu n’e Beyaloosi, 25 n’e Kazolukadatta, n’e Keriosukezulooni, ye Kazoli, 26 (BZ)n’e Amamu n’e Sema, n’e Molada, 27 n’e Kazalugadda n’e Kesuboni, n’e Besupereti 28 (CA)n’e Kazalusuwali, n’e Beeruseba n’e Biziosia 29 n’e Baala n’e Yimu, n’e Ezemu, 30 (CB)n’e Erutoladi n’e Kyesiri n’e Koluma, 31 (CC)n’e Zikulagi, n’e Madumanna, n’e Samusanna, 32 (CD)n’e Lebaosi, n’e Sirukimu, n’e Ayini, n’e Limmoni. Ebibuga byonna awamu amakumi abiri mu mwenda, n’ebyalo byabyo.

33 (CE)Era ne mu nsi ey’ensenyi Esutaoli, n’e Zola, n’e Asuna, 34 (CF)n’e Zanowa n’e Engannimu, n’e Tappua, n’e Enamu, 35 (CG)n’e Yalamusi n’e Adulamu, n’e Soko, n’e Azeka 36 (CH)n’e Saalayimu, n’e Adisaimu, n’e Gedera, n’e Gederosaimu, ebibuga kkumi na bina n’ebyalo byabyo.

37 Zenani, n’e Kadasa, n’e Migudalugadi, 38 (CI)n’e Dirani, n’e Mizupe, n’e Yokuseeri, 39 (CJ)n’e Lakisi, n’e Bozukasi, n’e Eguloni, 40 n’e Kabboni, n’e Lamamu, n’e Kitulisi, 41 (CK)n’e Gederosi, Besudagoni, n’e Naama, n’e Makkeda, ebibuga kkumi na mukaaga n’ebyalo byabyo.

42 (CL)Libuna n’e Eseri, n’e Asani, 43 n’e Ifuta n’e Asuna, n’e Nezibu, 44 (CM)n’e Keira, n’e Akuzibu, n’e Malesa, ebibuga mwenda n’ebyalo byabyo.

45 Ekuloni n’ebibuga byamu n’ebyalo byakyo, 46 okuva ku Ekuloni okutuuka ku nnyanja, ebibuga byonna ebiriraanye Asudodi n’ebyalo byabyo; 47 (CN)Asudodi, ebibuga byakyo n’ebyalo byakyo; Gaza, ebibuga byakyo n’ebyalo byakyo okutuuka ku mugga ogw’e Misiri, n’ennyanja ennene, n’ensalo yaayo.

48 (CO)Ne mu nsi ey’ensozi,

Samiri, n’e Yattiri, n’e Soko, 49 (CP)ne Danna, ne Kiriasusanna, ye Debiri, 50 (CQ)ne Anabu, n’e Esutemoa, n’e Animu, 51 (CR)n’e Goseni, n’e Koloni, n’e Giro, ebibuga kkumi na kimu n’ebyalo byabyo.

52 (CS)Alabu, n’e Duma, n’e Esani, 53 n’e Yanimu, n’e Besutappua, n’e Afeka, 54 n’e Kumuta n’e Kiriasualuba, ye Kebbulooni, n’e Zioli ebibuga mwenda n’ebyalo byabyo.

55 (CT)Mawoni, n’e Kalumeeri, n’e Zifu, n’e Yuta, 56 (CU)n’e Yezuleeri, n’e Yokudeamu, n’e Zanoa, 57 (CV)Kaini, n’e Gibea, n’e Timuna, ebibuga kkumi n’ebyalo byabyo.

58 (CW)Kalukuli, Besuzuli, n’e Gedoli; 59 n’e Maalasi, n’e Besuanosi, n’e Erutekoni, ebibuga mukaaga n’ebyalo byabyo.

60 (CX)Kiriasubaali, ye Kiriyasuyalimu, n’e Laaba ebibuga bibiri n’ebyalo byabyo.

61 Mu ddungu:

Besualaba, n’e Middini, n’e Sekaka, 62 (CY)n’e Nibusani, n’ekibuga eky’omunnyo, n’e Engedi, ebibuga mukaaga n’ebyalo byabyo.

63 (CZ)Abayebusi, be baali mu Yerusaalemi abaana ba Yuda ne batayinza kubagobamu; Abayebusi ne babeera wamu n’abaana ba Yuda mu Yerusaalemi n’okutuusa kaakano.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.