Beginning
Omukolo ogw’Okutangiririra
16 (A)Awo Mukama n’ayogera ne Musa, abaana ba Alooni ababiri bwe baali bamaze okufa olwokubanga baasemberera Mukama. 2 (B)Mukama n’agamba Musa nti, “Tegeeza muganda wo Alooni alemenga okujja buli w’anaayagaliranga, mu kifo Awatukuvu ekiri munda w’eggigi, okutunuulira entebe ey’okusaasira eri ku Ssanduuko ey’Endagaano; bw’alikikola talirema kufa; kubanga nzijanga kulabikira mu kire nga kiri waggulu w’entebe ey’okusaasira. 3 (C)Naye Alooni bw’anaabanga ajja mu kifo Awatukuvu anaaleetanga ennyana ennume olw’ekiweebwayo olw’ekibi, n’endiga ennume olw’ekiweebwayo ekyokebwa. 4 (D)Anaayambalanga ekkooti entukuvu eya bafuta, ne munda ku mubiri gwe anaasookangako empale eya bafuta, nga yeesibye olukoba olwa bafuta, ne ku mutwe ng’asibyeko ekitambaala ekya bafuta. Ebyambalo ebyo bitukuvu, noolwekyo kimusaaniranga okusooka okunaaba omubiri gwe mu mazzi nga tannabyambala. 5 (E)Era anaggyanga mu baana ba Isirayiri embuzi ennume bbiri nga za kiweebwayo olw’ekibi, n’endiga emu nga ya kiweebwayo ekyokebwa.
6 (F)“Alooni anaawangayo ennyana ennume nga ya kiweebwayo kye olw’ekibi alyoke yeetangiririre awamu n’ab’omu maka ge. 7 Era anaddiranga embuzi ebbiri n’azireeta eri Mukama mu mulyango gw’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. 8 Embuzi ebbiri Alooni anaazikubirangako obululu; akalulu akamu nga ka kugwa ku mbuzi ya Mukama, n’akalala nga ka kugwa ku mbuzi enessibwangako omusango. 9 Alooni anaddiranga embuzi akalulu ka Mukama kwe kanaagwanga, n’agiwaayo okubeera ekiweebwayo olw’okwonoona. 10 (G)Naye embuzi eneegwangako akalulu ak’okugissibyako omusango, eneeweebwangayo eri Mukama nga nnamu, n’eteebwa n’eddukira mu ddungu mu kifo Azazeri ng’esibiddwako omusango olw’okutangirira.
Ekiweebwayo olw’Ekibi ekya Kabona n’Abantu
11 (H)“Alooni anaawangayo ennyana eyo ennume nga ya kiweebwayo kye olw’ekibi, alyoke yeetangiririre awamu n’ab’omu maka ge; ennyana eyo ennume anaagittanga nga kye kiweebwayo kye olw’ekibi. 12 (I)Anaddiranga ekyoterezo ky’obubaane nga kijjudde amanda g’omuliro nga gavudde ku kyoto eri Mukama, n’embatu bbiri ez’obubaane obw’akaloosa obumerunguddwa obulungi, n’abireeta munda w’eggigi. 13 (J)Anassanga obubaane ku muliro eri Mukama, n’omukka ogunaavanga mu bubaane gunaabikkanga entebe ey’okusaasira eri kungulu w’Essanduuko ey’Endagaano, alyoke aleme okufa. 14 (K)Anaddiranga ku musaayi ogw’ennyana eyo ennume n’agumansira n’olunwe lwe ku ludda olw’ebuvanjuba olw’entebe ey’okusaasira; era omusaayi ogumu anaagumansiranga n’olunwe lwe emirundi musanvu mu maaso g’entebe ey’okusaasira.
15 (L)“Era anattanga embuzi ey’ekiweebwayo ky’abantu olw’ekibi, n’atwala omusaayi gwayo munda w’eggigi n’agukola nga bwe yakola omusaayi gw’ennyana ennume; anaagumansiranga ku ntebe ey’okusaasira ne mu maaso gaayo. 16 (M)Mu ngeri eyo anaatangiririranga Ekifo eky’Awatukuvu Ennyo olw’obutali bulongoofu n’obujeemu eby’abaana ba Isirayiri, n’olw’ebyonoono byabwe ebirala byonna nga bwe byali. Era anaakolanga bw’atyo ne ku Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu eri mu bo wakati mu butali bulongoofu bwabwe. 17 Mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu temuubengamu muntu n’omu Alooni bw’anaayingirangamu okutangiririra Ekifo eky’Awatukuvu Ennyo, okutuusa lw’anaafulumanga ng’amaze okwetangiririra awamu n’ab’omu maka ge, n’ekibiina kyonna ekya Isirayiri. 18 (N)Era anaafulumanga n’ajja ku kyoto ekiri awali Mukama n’akitangiririra. Anaddiranga ku musaayi gw’ennyana eya seddume ne ku musaayi gw’embuzi n’agusiiga ku mayembe gonna ag’ekyoto. 19 (O)Ku musaayi ogwo anaamansirangako ku kyoto n’olunwe lwe emirundi musanvu okukifuula ekirongoofu n’okukitukuza okukiggya mu butali bulongoofu obw’abaana ba Isirayiri.
Embuzi Esibibwako Omusango
20 “Awo Alooni bw’anaamalanga okutangiririra Ekifo eky’Awatukuvu Ennyo, n’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, n’ekyoto, anaaleetanga embuzi ennamu. 21 (P)Anaateekanga emikono gye gyombi ku mutwe gw’embuzi eyo ennamu n’agikwatako, n’agyenenyerezaako ebyonoono by’abaana ba Isirayiri, n’obujeemu bwabwe, n’ebibi byabwe byonna, ng’abitadde ku mutwe gw’embuzi eyo. Embuzi anaagisindikanga mu ddungu ng’etwalibwa omusajja anaalondebwanga okukola omulimu ogwo. 22 (Q)Embuzi eyo eneetikkanga ebyonoono by’abaana ba Isirayiri byonna n’ebitwala mu kifo eteri bantu, eyo omusajja oyo gy’anaagiteeranga n’eraga mu ddungu.
23 (R)“Alooni anaayingiranga mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, ne yeeyambulamu ebyambalo ebya bafuta bye yayambadde nga tannayingira mu Kifo eky’Awatukuvu Ennyo, era naabirekanga awo. 24 (S)Anaanaabiranga omubiri gwe mu mazzi nga gali mu kifo ekitukuvu, n’alyoka ayambala ebyambalo bye ebya bulijjo. Anaafulumanga n’awaayo ekiweebwayo kye ekyokebwa ku lulwe, n’ekiweebwayo ekyokebwa olw’abantu bonna, alyoke yeetangiririre era n’abantu abatangiririre. 25 Era n’amasavu ag’ekiweebwayo olw’ekibi anaagookeranga ku kyoto.
26 (T)“Omusajja anaatanga embuzi esibiddwako omusango, eraze mu Azazeri mu ddungu, kinaamugwaniranga okwoza engoye ze n’okunaaba omubiri gwe n’amazzi; oluvannyuma anaakomangawo mu lusiisira. 27 (U)Ennyana ennume n’embuzi ennume ez’okuwaayo olw’ebiweebwayo olw’ekibi, era omwava omusaayi ogwaleetebwa mu Kifo eky’Awatukuvu Ennyo olw’okutangiririra, ziteekwa okufulumizibwa ebweru w’olusiisira, amaliba gaazo n’ennyama yaazo eriibwa n’eyo eteriibwa, zonna binaayokebwanga. 28 Oyo anaazokyanga anaateekwanga okwoza engoye ze, n’okunaaba omubiri gwe mu mazzi; oluvannyuma anaakomangawo mu lusiisira.
Olunaku olw’Okutangiririra
29 (V)“Etteeka lino munaalikwatanga emirembe gyonna: Ku lunaku olw’ekkumi mu mwezi ogw’omusanvu muneelesanga eby’amasanyu byonna n’emirimu gyammwe gyonna, temuukolerengako mulimu gwonna mmwe bannannyini nsi era n’abagwira ababeera mu mmwe, 30 (W)kubanga ku lunaku olwo mulitangiririrwa ne mufuulibwa abalongoofu. Bwe mutyo munaabeeranga muvudde mu byonoono byammwe ne mufuulibwa balongoofu mu maaso ga Mukama Katonda. 31 (X)Lunaabanga ssabbiiti nga lwa kuwummula; era kibasaanira okwefiisanga bye mwandiyagadde; etteeka eryo linaabanga lya mirembe gyonna. 32 (Y)Kabona eyafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni era ng’ayawulibbwa n’asikira kitaawe, y’anaatangiririranga. Anaayambalanga ebyambalo ebya linena ebitukuvu, 33 (Z)n’atangiririra Ekifo Awatukuvu Ennyo, n’atangiririra n’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, n’atangiririra n’ekyoto, ne bakabona awamu n’abantu bonna mu kibiina kyonna.
34 (AA)“Etteeka eryo linaababeereranga lya mirembe gyonna, ng’okutangiririra okwo kukolebwa omulundi gumu buli mwaka olw’ebyonoono byonna eby’abaana ba Isirayiri.”
Awo byonna ne bikolebwa nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.
Etteeka ku Biweebwayo Ebitali bya Bulijjo
17 Awo Mukama n’agamba Musa nti, 2 “Tegeeza Alooni ne batabani be n’abaana ba Isirayiri bonna, obagambe nti, Kino Mukama ky’alagidde: 3 Omuntu yenna Omuyisirayiri anaawangayo ekiweebwayo eky’ente, oba endiga ento, oba embuzi, munda mu lusiisira oba ebweru w’olusiisira, 4 (AB)nga tagireese ku mulyango gw’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, okugiwaayo ng’ekirabo ekiweebwayo eri Mukama Katonda mu kisasi ky’Eweema ya Mukama; omuntu oyo anaabanga azzizza omusango ogw’okuyiwa omusaayi; olwokubanga ayiye omusaayi, anaagobwanga n’agaanibwa okukolagananga ne banne. 5 Ekyo kiri bwe kityo abaana ba Isirayiri balyoke balekeraawo okuweerangayo ebiweebwayo byabwe ebweru mu nnimiro, naye babireetenga awali Mukama Katonda. Kibagwanira okubireetanga eri Mukama babikwasenga kabona ku mulyango gw’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, ne biryoka bittibwa nga bye biweebwayo eri Mukama olw’emirembe. 6 (AC)Kabona anaamansiranga omusaayi ku kyoto kya Mukama ku mulyango gw’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, amasavu n’agookya ne muvaamu akaloosa akalungi akasanyusa Mukama Katonda. 7 (AD)Tebasaana kwongera kuwangayo biweebwayo byabwe eri bakatonda be beekoledde mu kifaananyi ky’embuzi, be bakola nabyo eby’obwamalaaya[a]. Eryo linaabanga tteeka lyabwe lya lubeerera n’okuyita mu mirembe egigenda okuddawo.
8 “Era bagambe nti, Buli muntu yenna Omuyisirayiri, oba omunnaggwanga yenna abeera mu bo, aliwaayo ekiweebwayo ekyokebwa, oba ekiweebwayo eky’engeri yonna, 9 (AE)nga takireese ku mulyango gw’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, okukiwaayo eri Mukama Katonda, omuntu oyo anaagobwanga n’agaanibwa okukolagananga ne banne.
10 (AF)“Omuntu yenna Omuyisirayiri oba ow’omu bannamawanga ababeera mu Isirayiri bw’anaalyanga omusaayi ogw’engeri yonna, nnaamunyiigiranga oyo anaalyanga omusaayi, era nnaamugobanga ne mugaana okukolagananga ne banne. 11 (AG)Kubanga obulamu bw’ekitonde buli mu musaayi, ate nkibawadde okubatangiririra ku kyoto; omusaayi gwe gutangiririra obulamu bw’omuntu. 12 Noolwekyo Abayisirayiri mbagamba nti tewabanga n’omu mu mmwe anaalyanga omusaayi, era ne munnaggwanga abeera mu mmwe naye taalyenga musaayi.
13 (AH)“Omuyisirayiri yenna, oba omunnaggwanga abeera mu mmwe, bw’anaayigganga ensolo oba ennyonyi nga ya kulya, anaagikenenulangamu omusaayi n’agubikkako ettaka, 14 (AI)kubanga obulamu bwa buli kitonde gwe musaayi gwakyo. Abayisirayiri kyenvudde mbagamba nti temulyanga musaayi gwa kitonde eky’engeri yonna, kubanga obulamu bwa buli kitonde gwe musaayi gwakyo, omuntu yenna anaagulyanga anaagobwanga n’agaanibwa okukolagana ne banne.
15 (AJ)“Omuntu yenna omuzaaliranwa oba omunnaggwanga anaalyanga ekintu kyonna ekinaabanga kisangiddwa nga kifu, oba nga kitaaguddwataaguddwa ensolo enkambwe, anaayozanga ebyambalo bye, n’anaaba mu mazzi, era anaabeeranga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi; oluvannyuma anaabeeranga mulongoofu. 16 Naye bw’ataayozenga byambalo bye, n’okunaaba n’atanaaba, ye anaabanga yeeretedde obutali bulongoofu bwe okumusigalako.”
Okusula n’Omukazi mu Ngeri Emenya Amateeka
18 Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 2 (AK)“Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Nze Mukama Katonda wammwe. 3 (AL)Temusaana kweyisanga mu bikolwa byammwe ng’ab’omu Misiri, gye mwabeeranga, bwe beeyisa, era temusaana kweyisanga ng’ab’omu Kanani, gye mbatwala, bwe beeyisa. Temutambuliranga mu mateeka gaabwe. 4 (AM)Munaagonderanga ebiragiro byange, munaakwatanga amateeka gange, era mwe munaatambuliranga. Nze Mukama Katonda wammwe. 5 (AN)Mugonderenga ebiragiro byange awamu n’amateeka gange, kubanga buli muntu anaabikwatanga mu byo mwanaatambulizanga obulamu bwe. Nze Mukama Katonda.
6 “ ‘Tewabanga omuntu yenna mu mmwe ajja eri munne gw’alinako oluganda ne yeebaka naye. Nze Mukama.
7 (AO)“ ‘Toleeteranga kitaawo buswavu ng’okola ebyensonyi ne nnyoko. Oyo ye maama wo eyakuzaala, teweebakanga naye ne mukola ebyensonyi, n’omuleetako obuswavu.
8 (AP)“ ‘Teweebakanga na muka kitaawo ne mukola ebyensonyi, ekyo kireetera kitaawo obuswavu ne kimumalamu ekitiibwa.
9 (AQ)“ ‘Teweebakanga na mwannyoko, azaalibwa kitaawo, oba azaalibwa nnyoko, ne bwe muba nga mwakulira mu maka gamu oba nga temwakulira wamu, tomukolangako bya nsonyi okumuleetera obuswavu.
10 “ ‘Teweebakanga na muwala azaalibwa mutabani wo, oba muwala w’omwana wo omuwala, n’okola naye ebyensonyi; ekyo ne kikuleetako obuswavu.
11 “ ‘Teweebakanga na mwana wa muka kitaawo ow’obuwala eyazaalibwa kitaawo n’omukolako ebyensonyi; oyo mwannyoko. Tomuleeteranga bya buswavu.
12 (AR)“ ‘Teweebakanga na mwannyina wa kitaawo n’okola naye ebyensonyi; oyo ne kitaawo ba musaayi gwe gumu.
13 “ ‘Teweebakanga na muwala bwe bazaalibwa ne nnyoko n’okola naye ebyensonyi; kubanga oyo ne nnyoko ba musaayi gwe gumu.
14 (AS)“ ‘Toweebuulanga muganda wa kitaawo, ng’olaga eri mukazi we weebake naye mukole ebyensonyi; oyo maama wo omuto.
15 (AT)“ ‘Teweebakanga na muka mutabani wo ne mukola ebyensonyi; kubanga oyo ye mukyala wa mutabani wo; tomuleeteranga bya buswavu.
16 (AU)“ ‘Teweebakanga na muka muganda wo ne mukola ebyensonyi, kubanga ekyo kinaaleeteranga muganda wo obuswavu.
17 (AV)“ ‘Teweebakanga na mukazi ate ne muwala we n’okola nabo ebyensonyi. Era teweebakanga na mwana muwala owa mutabani wa mukazi oyo oba na mwana muwala owa muwala we; kubanga abo ba musaayi gwe gumu n’ogw’omukazi oyo. Ekyo kibi kinene.
18 “ ‘Toleetanga mukazi nga muganda wa mukyala wo ne badda mu kuvuganya, era ne weebaka naye ne mukola ebyensonyi nga mukyala wo akyali mulamu.
19 (AW)“ ‘Tosembereranga mukazi ng’oyagala weebake naye omukoleko ebyensonyi ng’ali mu kiseera kye ekya buli mwezi eky’okuvaamu omusaayi mw’abeerera atali mulongoofu.
20 (AX)“ ‘Teweebakanga na mukyala wa munnansi yammwe okumukolako ebyensonyi, n’akuleetera obutali bulongoofu.
21 (AY)“ ‘Mu baana bo towangayo n’omu ng’ekiweebwayo ekyokeddwa mu muliro eri Moleki, kubanga erinnya lya Katonda wo tosaanira kuliweebuulanga. Nze Mukama.
22 (AZ)“ ‘Teweebakanga na musajja nga bwe wandyebase n’omukazi, ekyo kibi ekikyayibwa ennyo.
23 (BA)“ ‘Tokolanga bya nsonyi ku nsolo kubanga ekyo kinaakufuulanga atali mulongoofu. Omukazi teyeewangayo eri ensolo emukoleko ebyensonyi, okwo kwe kuwabira ddala.
24 (BB)“ ‘Temwereetangako obutali bulongoofu nga mugoberera amayisa ago amabi; kubanga n’amawanga ge ŋŋenda okugoba mu nsi mwe mujja okuyingira bwe geefuula bwe gatyo agatali malongoofu; 25 (BC)n’ensi n’efuuka etali nnongoofu, ne ngibonereza olw’ebyonoono byayo, n’abantu baamu abagibeeramu n’ebasesema. 26 Naye mmwe mukuumenga ebiragiro byange n’amateeka gange. Abazaaliranwa ne bannamawanga abali mu mmwe tewabanga n’omu anaakolanga ku bintu ebyo n’akatono ebikyayibwa ennyo bwe bityo. 27 Kubanga ebintu ebyo byonna byakolebwanga abantu abaabasooka mmwe okubeera mu nsi omwo, ensi n’efuuka etali nnongoofu. 28 Ensi eyo bwe muligifuula etali nnongoofu, egenda kubasesema nga bwe yasesema amawanga agaabasooka okugibeeramu.
29 “ ‘Abantu bonna abanaakolanga ebintu ebyo ebibi ebikyayibwa ennyo, abantu ng’abo banaagobwanga ne bagaanibwa okukolagana ne bannaabwe. 30 (BD)Mukwatenga amateeka gange, nga mwewalanga okukola ebyonoono ebyo ebikyayibwa eby’amayisa amabi, abo abaabasooka ge beeyisanga si kulwa nga gabafuula abatali balongoofu. Nze Mukama Katonda wammwe.’ ”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.