Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Beginning

Read the Bible from start to finish, from Genesis to Revelation.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
2 Abakkolinso 1-4

Okulamusa n’Okwebaza

(A)Pawulo omutume wa Kristo Yesu, olw’okusiima kwa Katonda, n’owooluganda Timoseewo, tuwandiikira ekkanisa ya Katonda eri mu Kkolinso awamu n’abatukuvu bonna abali mu Akaya yonna, (B)ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo bibeerenga nammwe.

(C)Katonda oyo Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, Kitaffe ow’okusaasira era Katonda azaamu bonna amaanyi yeebazibwe, (D)atuzaamu amaanyi mu kubonaabona kwonna kwe tuyitamu, tulyoke tugumye abalala abayita mu kubonaabona okwa buli ngeri, olw’okugumya kwe tufuna nga Katonda atuzaamu amaanyi. (E)Kubanga nga bwe tugabana ku kubonaabona kwa Kristo, ne Kristo bw’atyo bw’atuzzaamu amaanyi. (F)Bwe tubonaabona, tubonaabona mulyoke muzibwemu amaanyi era mulokolebwe; oba ne bwe tuba nga tuzzibwamu endasi nammwe muzibwamu endasi, mulyoke mugumire okubonaabona kwe kumu kwe tuyitamu. (G)Essuubi lyaffe gye muli linywevu, nga tumanyi nti nga bwe mugabanira awamu naffe mu kubonaabona, bwe mutyo bwe mugabanira awamu naffe mu kuzibwamu amaanyi.

(H)Kubanga tetwagala mmwe abooluganda obutategeera, okubonaabona kwe twayitamu mu Asiya kwali kungi ekiyitiridde n’essuubi ery’okuba abalamu ne lituggwaamu. (I)Naye ffe ffennyini nga tusaliddwa gwa kufa, nga tetusaanidde kwetekamu bwesige bwaffe ffe, wabula mu Katonda azuukiza abafu, 10 (J)eyatuwonya mu kufa okwo okw’entiisa, era anaatulokolanga, era gwe tulinamu essuubi ery’okutuwonyanga. 11 (K)Tukolere wamu nga mutusabira, bangi balyoke batwebalizeeko olw’ekirabo kye twaweebwa.

Pawulo akyusa mu ntegeka ze

12 (L)Tulina okwenyumiriza ng’omwoyo gwaffe gutujulira kubanga twatambulira mu buwombeefu ne mu mazima ga Katonda, so si mu magezi ag’omubiri, naye mu kisa kya Katonda nga tuli mu nsi n’okusingira ddala gye muli. 13 Kubanga tetubawandiikira lwa bintu birala wabula ku ebyo bye musomako era ku ebyo bye mumanyiiko; era nsuubira nga mulibimanyira ddala okutuusa ku nkomerero, 14 (M)era nga bwe mwamanyako ekitundu nti muli kya kwenyumiriza gye tuli nga naffe bwe tuli eky’okwenyumiriza gye muli ku lunaku lwa Mukama waffe Yesu. 15 (N)Olw’okwekakasa mu ekyo, nateekateeka okujja gye muli edda, mulyoke musanyuke omulundi ogwokubiri, 16 (O)nga mpita gye muli okugenda e Makedoniya, ate n’amadda nga nkomawo, mulyoke munsibirire okulaga e Buyudaaya. 17 (P)Mulowooza nga nateekateeka bwe ntyo olwokubanga nnekyusiza? Oba nti ntekateeka ebintu nga ngoberera omubiri, nga ŋŋamba nti weewaawo ye weewaawo, ate nti si weewaawo, si weewaawo?

18 (Q)Naye nga Katonda bw’ali omwesigwa ekigambo kyaffe gye muli tekiri weewaawo ate nti si weewaawo. 19 (R)Omwana wa Katonda Yesu Kristo gwe twababuulira, nze ne Sirwano[a] ne Timoseewo teyali nti weewaawo ne si weewaawo, wabula mu ye mwe muli weewaawo bulijjo. 20 (S)Kubanga nga bwe biri ebisuubizo ebingi ebya Katonda, era mu ye kyetuva tugamba Amiina nga tuyita mu ye, Katonda atenderezebwe mu ffe. 21 (T)Naye atunyweza ffe awamu nammwe mu Kristo, era eyatufukako amafuta, ye Katonda, 22 (U)era ye oyo eyatussaako akabonero, n’atuwa amazima g’omwoyo mu mitima gyaffe.

23 (V)Katonda oyo ye mujulirwa w’emmeeme yange, nga nabasabira ne sijja Kkolinso. 24 (W)Temusaanye kulowooza nti ffe tufuga okukkiriza kwammwe, naye tuli bakozi bannammwe, mulyoke musanyuke, kubanga okukkiriza kwammwe kwe kubanywezezza.

(X)Kino nakimalirira munda mu nze obutakomawo nate eyo nneme okubanakuwaza. (Y)Kubanga bwe nnaabanakuwaza, ani anansanyusa wabula oyo gwe nnaanakuwaza? (Z)Kyennava mbawandiikira ebyo byennyini bwe ndijja nneme kunakuwazibwa abo abandinsanyusizza, nga nnesiga nti essanyu lyange lye lyammwe mwenna. (AA)Nabawandiikira wakati mu kubonaabona okungi n’okunyolwa mu mutima, era nga nkaaba amaziga mangi, si lwa kubanakuwaza, naye mutegeere okwagala okungi ennyo kwe nnina gye muli.

(AB)Bwe wabaawo eyanakuwaza munne, teyanakuwaza nze, si kulwa nga mbazitoowerera mwenna. (AC)Omuntu ng’oyo ekibonerezo ekyamuweebwa abangi kimumala; (AD)kyekiva kisaana mmwe okumusonyiwa n’okumuzzaamu amaanyi si kulwa ng’ennaku emuyitirirako n’emuyinga obungi. Noolwekyo mbakuutira okwongera okumukakasa nti mumwagala. (AE)Kyennava mbawandiikira ndyoke ntegeere obanga muli bawulize mu nsonga zonna. 10 Bwe musonyiwa omuntu mu nsonga yonna, nange mmunsonyiwa, kubanga bwe mba nga nsonyiye, nsonyiye ku lwammwe mu maaso ga Kristo. 11 (AF)Setaani alemenga okutuwangula, kubanga tumanyi enkwe ze.

Pawulo mu Tulowa

12 (AG)Bwe natuuka mu Tulowa olw’enjiri ya Kristo, Mukama n’anzigulirawo oluggi, 13 (AH)saawumula mu mutima gwange, bwe ssaalaba owooluganda Tito. Bwe namala okubasiibula ne ndaga e Makedoniya.

Obuwanguzi mu Kristo

14 (AI)Katonda yeebazibwe atuwanguzisa bulijjo mu Kristo Yesu, n’akawoowo ak’okumanya, ke tubunyisa wonna. 15 (AJ)Tuli kawoowo eri Katonda olwa Kristo mu abo abalokolebwa ne mu abo abatannalokolebwa. 16 (AK)Eri abatannalokolebwa, akawoowo kaffe ka kufa akatuusa mu kufa, naye eri abalokolebwa, ke kawoowo akongera obulamu ku bulamu. Kale ebyo ani abisobola? 17 (AL)Tetuli ng’abangi abakozesa ekigambo kya Katonda olw’okwenoonyeza ebyabwe, naye ffe twogera nga tetuliimu bukuusa. Naye twogera okuva eri Katonda era mu maaso ga Katonda, kubanga twogerera mu Kristo nga tetwekomoma.

(AM)Tutandike okwetendereza? Oba twetaaga ebbaluwa ez’okutusemba gye muli mmwe oba okuva gye muli ng’abalala? (AN)Mmwe muli bbaluwa yaffe, ewandiikiddwa mu mitima gyaffe, emanyiddwa era esomebwa abantu bonna, ekiraga nti muli bbaluwa eva eri Kristo, enywezeddwa ffe, etaawandiikibwa na bwino, wabula na Mwoyo wa Katonda omulamu, si ku bipande eby’amayinja naye ku bipande by’emitima egy’omubiri.

(AO)Obwo bwe bwesige bwe tulina eri Katonda nga tuyita mu Kristo. (AP)Si lwa kubanga obwesige obwo buva mu ffe ku lwaffe, naye obwesige bwaffe buva eri Katonda, (AQ)oyo ye yatusaanyiza okuba abaweereza b’endagaano empya etali ya nnukuta wabula ey’omwoyo. Kubanga ennukuta etta, naye omwoyo aleeta obulamu.

Ekitiibwa ekiri mu ndagaano empya

(AR)Kale obanga obuweereza bw’amateeka agaleeta okufa agaayolebwa ku mayinja bwaleetebwa n’ekitiibwa kingi, eri abaana ba Isirayiri, abantu ne batasobola na kutunula mu maaso ga Musa, olw’ekitiibwa ekyali kiva ku maaso ge, ekyali kigenda okuggwaako, kale obuweereza obw’omwoyo tebulisinga nnyo okuba obw’ekitiibwa? (AS)Kuba obanga obuweereza bw’okusalirwa omusango bwa kitiibwa, obuweereza bw’obutuukirivu businga nnyo ekitiibwa. 10 Kubanga ekyaweebwa ekitiibwa tekyakiweebwa mu kigambo kino. 11 Kale obanga ekyo ekiggwaawo kaakano kyajja n’ekitiibwa, ekyo ekitaggwaawo kisinga nnyo ekitiibwa kya kiri ekyasooka.

12 (AT)Olw’okuba n’essuubi eringi bwe lityo, kyetuva tuweereza n’obuvumu bungi, 13 (AU)so si nga Musa eyeebikkanga ku maaso ge, abaana ba Isirayiri baleme okulaba ekitiibwa bwe kiggwaako. 14 (AV)Naye ebirowoozo byabwe byakkakkanyizibwa kubanga n’okutuusa leero ekibikka ku maaso ekyo kikyali kye kimu kye beebikkanga nga basoma endagaano enkadde, kye bakyebikako nga bagisoma, tekyababikkulirwa, kubanga kiggyibwawo mu Kristo. 15 Naye n’okutuusa leero, Musa bye yawandiika bwe bisomebwa, emitima gyabwe giba gibikiddwako essuuka. 16 (AW)Naye buli muntu akyuka n’adda eri Mukama, abikkulwako essuuka eyo. 17 (AX)Kale nno Mukama ye Mwoyo, era buli Omwoyo wa Mukama w’abeera, wabaawo eddembe. 18 (AY)Kaakano ffe ffenna, amaaso gaffe nga gabikuddwa, ekitiibwa kya Katonda kyakaayakana mu ffe ng’endabirwamu emulisa ekitiibwa kye ne tukyusiibwa okumufaanana okuva mu kitiibwa okutuuka mu kitiibwa, ekiva eri Mukama waffe, Mwoyo.

Eby’obugagga eby’omuwendo mu bibya eby’ebbumba

(AZ)Noolwekyo nga bwe tulina obuweereza buno bwe twaweebwa olw’okusaasirwa, tuleme kuddirira. (BA)Twaleka ebikisibwa eby’ensonyi, nga tetutambulira mu bukuusa, wadde okukyamya ekigambo kya Katonda, wabula okuggyayo amazima nga bwe gali, nga tweraga eri buli ndowooza y’omuntu mu maaso ga Katonda. (BB)Naye obanga ddala Enjiri yaffe ekwekeddwa, ekwekeddwa eri abo ababula. (BC)Katonda w’emirembe gino yazibikira ebirowoozo by’abo abatakkiriza, obutabamulisiza njiri ey’ekitiibwa kya Kristo, ye nga kye kifaananyi kya Katonda. (BD)Kubanga tetweyogerako wabula Kristo Yesu Mukama, naffe tuli baddu bammwe ku lwa Yesu. (BE)Kubanga Katonda oyo ye yagamba nti, “Omusana gwake mu kizikiza,” ye yayaka mu mitima gyaffe, okuleetera abantu ekitangaala eky’okumanya ekitiibwa kya Katonda ekirabikira mu Yesu Kristo.

(BF)Naye kaakano tulina ekyobugagga kino mu bibya eby’ebbumba, okulaga nti obuyinza bwonna bwa Katonda, so si bwaffe. Tunyigirizibwa erudda n’erudda, naye ne tutabetenteka. Ne tweraliikirira, naye ne tutazirika. (BG)Tuyigganyizibwa, naye Katonda tatuleka. Tusuulibwa wansi, naye ne tutabetentuka, 10 nga tulaga okufa kwa Yesu bulijjo mu mibiri gyaffe, okufa kwa Yesu kulyoke kulabisibwe mu mibiri gyaffe. 11 Kubanga ffe abalamu tuweebwayo eri okufa olwa Yesu, obulamu bwa Yesu bulyoke bulabisibwe mu mibiri gyaffe. 12 Kale nno okufa kukolera mu ffe, naye obulamu bukolera mu mmwe.

13 (BH)Bwe tuba n’omwoyo omu ow’okukkiriza, ng’ekyawandiikibwa bwe kigamba nti, “Nakkiriza noolwekyo kyennava njogera,” naffe tukkiriza, noolwekyo kyetuva twogera. 14 (BI)Tumanyi ng’oyo eyazuukiza Mukama waffe Yesu, naffe agenda kutuzuukiza ne Yesu, era alitwanjulira wamu nammwe. 15 (BJ)Kubanga byonna biri bwe bityo ku bwammwe, okusiimibwa okwo bwe kweyongera okuyita mu bangi, n’okwebaza ne kulyoka kweyongera, Katonda n’agulumizibwa.

Okuba abalamu olw’okukkiriza

16 (BK)Noolwekyo tetuterebuka, kubanga newaakubadde ng’emibiri gyaffe gifa, naye omuntu waffe ow’omunda adda buggya bulijjo. 17 (BL)Kubanga okubonaabona kwaffe okutono okw’ekiseera ekya kaakano, kwongerayongera nnyo okututeekerateekera ekitiibwa eky’amaanyi eky’emirembe n’emirembe. 18 Noolwekyo tetutunuulira bintu ebirabika naye ebintu ebitalabika, kubanga ebintu ebirabika bya kiseera buseera, naye ebyo ebitalabika bya mirembe na mirembe.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.