Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Beginning

Read the Bible from start to finish, from Genesis to Revelation.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
1 Abakkolinso 12-14

Ebirabo bya Mwoyo Mutukuvu

12 (A)Abooluganda, ssaagala mmwe obutategeera ebikwata ku birabo ebya Mwoyo. (B)Mumanyi nti bwe mwali Abaamawanga mwabuzibwabuzibwanga ne mutwalibwa eri ebifaananyi ebitayogera. (C)Noolwekyo njagala mutegeere nti tewali muntu aba ne Mwoyo wa Katonda n’ayogera nti, “Yesu akolimirwe.” Era tewali n’omu asobola okwogera nti, “Yesu ye Mukama waffe,” wabula ku bwa Mwoyo Mutukuvu.

(D)Waliwo ebirabo bya ngeri nnyingi, naye Mwoyo abigaba y’omu. Waliwo engeri nnyingi ez’okuweererezaamu, naye Mukama aweerezebwa y’omu. (E)Waliwo okukola kwa ngeri nnyingi kyokka Katonda asobozesa bonna mu byonna bye bakola y’omu.

(F)Mwoyo Mutukuvu yeeragira mu buli omu olw’okugasa bonna. (G)Omu Omwoyo amuwa okwogera ekigambo eky’amagezi, omulala Omwoyo oyo omu n’amuwa okuyiga n’ategeera. (H)Omulala Omwoyo y’omu n’amuwa okukkiriza, n’omulala n’amuwa obuyinza okuwonyanga abalwadde. 10 (I)Omu, Omwoyo amuwa okukolanga ebyamagero, n’omulala n’amuwa okwogera eby’obunnabbi, ate omulala n’amuwa okwawulanga emyoyo emirungi n’emibi. Omulala amuwa okwogera ennimi ezitali zimu, n’omulala n’amuwa okuzivvuunula. 11 (J)Naye Omwoyo akola ebyo byonna y’omu, y’agabira buli muntu ng’Omwoyo oyo bw’ayagala.

Omubiri guli gumu naye ebitundu byagwo bingi

12 (K)Kuba omubiri nga bwe guli ogumu, ne guba n’ebitundu bingi, ate ebitundu byonna ne byegatta ne biba omubiri gumu, kale, ne Kristo bw’ali bw’atyo. 13 (L)Bwe tutyo ffenna twabatizibwa mu Mwoyo omu, ne tufuuka omubiri gumu, oba Bayudaaya, oba baamawanga, oba baddu, oba ba ddembe, era ne tunywa ku Mwoyo oyo omu.

14 Kubanga omubiri tegulina kitundu kimu, naye gulina ebitundu bingi. 15 Singa ekigere kigamba nti, “Nze siri mukono, noolwekyo siri kitundu kya mubiri,” ekyo tekikifuula butaba kitundu kya mubiri. 16 Era singa okutu kugamba nti, “Siri liiso, noolwekyo siri kitundu kya mubiri,” ekyo kikiggyako okubeera ekitundu ky’omubiri? 17 Kale singa omubiri gwonna gwali liiso, olwo okuwulira kwandibadde wa? Era singa omubiri gwonna gwali kutu, olwo okuwunyiriza kwandibadde wa? 18 (M)Naye kaakano Katonda yakola ebitundu bingi eby’enjawulo n’alyoka abifuula omubiri gwaffe nga bwe yayagala. 19 Singa byonna byali ekitundu kimu olwo omubiri gwandibadde wa? 20 (N)Naye kaakano ebitundu bingi naye ng’omubiri guli gumu.

21 Eriiso terisobola kugamba mukono nti, “Ggwe sikwetaaga,” oba n’omutwe teguyinza kugamba bigere nti, “Mmwe sibeetaaga.” 22 Era ebitundu ebyo eby’omubiri ebirabika ng’ebisinga obunafu bye byetaagibwa ennyo. 23 Era n’ebitundu ebyo eby’omubiri bye tulowooza obutaba bya kitiibwa bye bisinga okwambazibwa, n’ebitundu ebitukwasa ensonyi bye tusinga okulabirira, 24 so ng’ebitundu byaffe ebisinga okwolekebwa mu bantu tebikyetaaga. Bw’atyo Katonda bwe yakola omubiri, ebitundu ebyandibadde biragajjalirwa n’abyongera ekitiibwa, 25 olwo omubiri ne guteeyawulamu naye ebitundu byonna, ne biyambagana byokka ne byokka. 26 Ekitundu ekimu bwe kirumwa, ebitundu ebirala byonna birumirwa. Era ekitundu ekimu bwe kigulumizibwa, ebitundu byonna bijaguliza wamu nakyo.

27 (O)Kale mwenna awamu muli mubiri gwa Kristo, era buli omu ku mmwe kitundu kyagwo. 28 (P)Era abamu Katonda yabateekawo mu kkanisa: abasooka be batume, abookubiri be bannabbi, n’abookusatu be bayigiriza, ne kuddako abakola eby’amagero, ne kuddako abalina ebirabo eby’okuwonya endwadde, n’okuyamba abali mu kwetaaga, abakulembeze, era n’aboogezi b’ennimi. 29 Bonna batume? Bonna bannabbi? Bonna bayigiriza? Bonna bakola ebyamagero? 30 (Q)Bonna balina ekirabo ky’okuwonya endwadde? Bonna boogera mu nnimi? Bonna bavvuunula ennimi? 31 (R)Kale mwegombenga ebirabo ebisinga obukulu, naye ka mbalage ekkubo eddungi erisinga gonna.

Okwagala

13 (S)Singa njogera ennimi z’abantu n’eza bamalayika, naye nga sirina kwagala, mba ng’ekidde, ekireekaana oba ng’ekitaasa ekisaala. (T)Ne bwe mba n’ekirabo eky’okwogera eby’obunnabbi, ne ntegeera ebyama byonna, era ne mmanya ebintu byonna, era ne bwe mba n’okukkiriza okungi ne kunsobozesa n’okusiguukulula ensozi, naye nga sirina kwagala, mba siri kintu. (U)Ne bwe mpaayo ebyange byonna okuyamba abaavu, era ne bwe mpaayo omubiri gwange ne nneewaana, naye ne siba na kwagala, sibaako kye ngasibbwa.

(V)Okwagala kugumiikiriza era kwa kisa. Okwagala tekulina buggya era tekwenyumiikiriza wadde okwekuluntaza. (W)Okwagala tekukola bitasaana, tekunoonya byakwo, tekunyiiga mangu, era tekusiba kibi ku mwoyo. (X)Okwagala tekusanyukira bitali bya butuukirivu, wabula kusanyukira mazima. Okwagala kugumira byonna, kukkiriza byonna, kusuubira byonna era kugumiikiriza byonna.

(Y)Okwagala tekulemererwa; obunnabbi buliggyibwawo, n’ennimi zirikoma, n’eby’amagezi birikoma. (Z)Kubanga tumanyiiko kitundu, ne bunnabbi nabwo bwa kitundu. 10 (AA)Naye ebituukiridde bwe birijja, olwo eby’ekitundu nga biggwaawo. 11 Bwe nnali omuto, nayogeranga ng’omuto, nalowoozanga ng’omuto, ne byonna nga mbiraba mu ngeri ya kito. Naye bwe nakula ne ndeka eby’ekito. 12 (AB)Kaakano tulaba kifaananyi bufaananyi, ng’abali mu ndabirwamu eteraba bulungi; naye tulirabira ddala bulungi amaaso n’amaaso. Kaakano mmanyiiko kitundu butundu, naye luli ndimanyira ddala byonna, mu bujjuvu.

13 (AC)Kaakano waliwo ebintu bisatu eby’olubeerera: okukkiriza, n’okusuubira, era n’okwagala. Naye ekisingako ku ebyo obukulu kwe kwagala.

Ebirabo eby’Omwoyo

14 (AD)Mugobererenga okwagala era muluubirirenga ebirabo eby’Omwoyo, na ddala ekirabo eky’okwogera eby’obunnabbi. (AE)Kubanga ayogera mu nnimi tayogera n’abantu, wabula ayogera na Katonda. Kubanga tewali n’omu ategeera by’agamba. Aba ayogera bya kyama mu Mwoyo. (AF)Naye oyo ategeeza abantu eby’obunnabbi ayogera ebibazimba, ebibagumya era n’okubazzaamu amaanyi. (AG)Ayogera ennimi yeezimba yekka, naye oyo ayogera eby’obunnabbi azimba ekibiina kyonna eky’abakkiriza. (AH)Nandyagadde mwenna mwogere mu nnimi, naye ekisingira ddala nandyagadde mwenna mwogere eby’obunnabbi, kubanga ayogera eby’obunnabbi akira oyo ayogera mu nnimi, okuggyako nga waliwo avvuunula, Ekkanisa eryoke egasibwe.

(AI)Kale kaakano, abooluganda, bwe nzija gye muli ne njogera mu nnimi mbagasa ntya? Naye bwe mbategeeza ebyo Katonda by’ambikulidde oba bye njize mu kutegeera, oba eby’obunnabbi, oba bye njigiriza, olwo mmanyi nga mbagasa. Era n’ebivuga ebitalina bulamu, ng’endere oba ennanga, bwe bitavuga mu maloboozi gategeerekeka, omuntu ayinza atya okutegeera oluyimba olufuuyibwa oba olukubibwa? (AJ)Era singa omufuuyi w’eŋŋombe tafuuwa ddoboozi Iitegeerekeka, ani ayinza okweteekerateekera olutalo? Mu ngeri y’emu, bwe mwogera n’omuntu mu lulimi lw’atamanyi, asobola atya okutegeera kye mugamba? Muba mwogeredde bwereere. 10 Weewaawo waliwo ennimi nnyingi mu nsi, era zonna zirina amakulu. 11 Naye omuntu bw’ayogera olulimi lwe simanyi, aba ng’omugwira gye ndi, nange mba ng’omugwira gy’ali. 12 Bwe mutyo nga bwe mwegomba okufuna ebirabo eby’Omwoyo, mufubenga nnyo mulyoke musobole okuzimba Ekkanisa ya Kristo.

13 Kale buli ayogera mu lulimi asabe Katonda amusobozese okuluvvuunula. 14 Kubanga bwe nsaba Katonda mu lulimi lwe sitegeera, omwoyo gwange gusaba, naye sibaako kye nganyulwa. 15 (AK)Kale kino ki? Nnaasinzanga Katonda n’omwoyo gwange awamu n’amagezi gange era nnaayimbanga mu mwoyo gwange awamu n’amagezi gange. 16 (AL)Kubanga bw’otendereza Katonda mu mwoyo gwo, omuntu atategeera ky’ogamba ayinza atya okuddamu nti, “Amiina!” ng’omaliriza okwebaza, ng’ebigambo ebyebazizza tabitegedde? 17 Weewaawo oyinza okuba nga weebazizza Katonda, naye omulala nga tagasibbwa.

18 Neebaza Katonda kubanga njogera ennimi okubasinga mwenna. 19 Naye mu lukuŋŋaana njagala njogere n’amagezi gange ebigambo bitaano abalala bye bategeera nga mbayigiriza, okusinga okwogera ebigambo omutwalo mu nnimi, bye bataategeere.

20 (AM)Abooluganda, temulowooza bya kito. Mube ng’abaana abato ku bikwata ku kukola ebibi, mube bakulu mu kulowooza kwammwe. 21 (AN)Era kyawandiikibwa mu mateeka nti,

“Ndyogera n’abantu bano
    mu nnimi endala,
n’emimwa egy’abalala,
    naye era tebalimpulira,
    bw’ayogera Mukama.”

22 (AO)Noolwekyo ennimi kyeziva ziba akabonero, si eri abo abakkiriza naye eri abo abatali bakkiriza, naye okutegeeza obunnabbi kw’abo abakkiriza so si abo abatali bakkiriza. 23 (AP)Kale singa Ekkanisa ekuŋŋaana bonna ne boogera mu nnimi abatamanyi oba abatali bakkiriza ne bayingira, tebagamba nti mulaluse? 24 Naye singa bonna boogera eby’obunnabbi, atali mukkiriza oba atamanyi n’ayingira, ebyo ebyogerebwa byonna, bijja kumuleetera okulumirizibwa olw’ebibi bye, yeesalire omusango, 25 (AQ)ebyama by’omu mutima gwe bibikkulwe, alyoke afukamire asinze Katonda, nga bw’agamba nti, “Ddala Katonda ali mu mmwe.”

Byonna Bikolebwe mu Bulambulukufu

26 (AR)Kale abooluganda tugambe tutya? Bwe mukuŋŋaana buli omu aba ne zabbuli, oba eky’okuyigiriza, oba ekyo Katonda ky’amubikkulidde, oba okwogera mu nnimi, oba okuvvuunula. Ebyo byonna bisaana bikolebwe olw’okuzimba Ekkanisa ya Katonda. 27 Singa wabaawo aboogera mu nnimi bandyogedde babiri, oba obutasussa basatu, era nga boogera mu mpalo, ate wabeewo n’avvuunula. 28 Naye bwe watabaawo avvuunula omwogezi w’ennimi asirike busirisi mu Kkanisa wabula ayogerere munda ye ne Katonda.

29 (AS)Kyokka abo aboogera eby’obunnabbi boogerenga babiri oba basatu, ng’abalala bafumiitiriza ku ebyo ebyogerwa. 30 Naye singa omu ku batudde abikkulirwa ekigambo kya Katonda, oyo abadde ayogera asirikenga. 31 Kubanga mwenna musobola okwogera eby’obunnabbi nga mwogera mu mpalo, bonna balyoke bayige era bongerwemu amaanyi. 32 (AT)Abalina omwoyo ogw’obunnabbi bafugibwa bannabbi, 33 (AU)kubanga Katonda si wa luyoogaano, wabula wa mirembe.

Kale nga bwe kiri mu Kkanisa z’abatukuvu zonna, 34 (AV)abakazi basirikenga busirisi mu kuŋŋaaniro, kubanga tebakkirizibwa kwogera, wabula okukulemberwa ng’amateeka bwe gagamba. 35 Bwe wabangawo kye baagala okubuuza babuuzenga ba bbaabwe eka, kubanga kya nsonyi omukazi okwogera mu Kkanisa.

36 Kale mulowooza nti ekigambo kya Katonda kyatandikira mu mmwe oba nti mmwe be kyatuukako mwekka? 37 (AW)Omuntu yenna alowooza okuba nnabbi oba omuntu ow’omwoyo, ategeere mu bujjuvu nti bino bye mbawandiikira kye kiragiro kya Mukama. 38 Naye omuntu yenna atabifaako naye si wa kufiibwako.

39 (AX)Kale baganda bange muyaayaanirenga okwogera eby’obunnabbi, kyokka okwogera mu nnimi temukuziyiza. 40 (AY)Naye byonna bikolebwenga nga bwe kisaana era mu ntegeka entuufu.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.