Beginning
Timoseewo Yeegatta ku Pawulo ne Siira
16 (A)Awo Pawulo n’asookera e Derube n’oluvannyuma n’alaga e Lusitula. Eyo waaliyo omuyigirizwa erinnya lye Timoseewo. Nnyina yali Muyudaaya omukkiriza, nga kitaawe Muyonaani, 2 (B)abooluganda mu Lusitula ne mu Ikoniya nga bamwogerako birungi byereere. 3 (C)Pawulo n’ayagala Timoseewo agende nabo mu lugendo lwabwe. Bw’atyo n’amala okumukomola, kubanga Abayudaaya bonna mu kitundu ekyo baali bamanyi kitaawe wa Timoseewo nga bw’ali Omuyonaani. 4 (D)Awo bwe baali nga bayita mu bibuga ne babategeeza okukwatanga ebiragiro ebyasalibwawo abatume n’abakadde b’Ekkanisa mu Yerusaalemi ebikwata ku baamawanga. 5 (E)Ekkanisa ne yeeyongeranga amaanyi mu kukkiriza era n’abantu ne beeyongera obungi buli lunaku.
Okwolesebwa kwa Pawulo
6 (F)Pawulo ne banne ne batambula ne bayita mu nsi y’e Fulugiya n’e Ggalatiya kubanga Mwoyo Mutukuvu yali abaziyizza okugenda mu Asiya okubuulirayo Ekigambo. 7 (G)Bwe baatuuka e Musiya ne bagezaako okugenda Bisuniya, naye Mwoyo wa Yesu n’atabakkiriza. 8 (H)Kyebaava bayita obuyisi mu kitundu kya Musiya ne baserengeta e Tulowa. 9 (I)Ekiro ekyo Pawulo n’afuna okwolesebwa, omusajja Omumakedoni ng’ayimiridde mu maaso ge ng’amwegayirira nti, “Jjangu ewaffe e Makedoniya otuyambe.” 10 (J)Pawulo bwe yafuna okwolesebwa okwo ne yeetegeka mangu okulaga e Makedoniya, kubanga yakitegeera nga Katonda atutumye okubabuulira Enjiri.
Okukyuka kwa Ludiya mu Firipi
11 (K)Awo ne tusaabala ku nnyanja e Tulowa, ne tuwunguka okutuuka e Samoserakiya, enkeera ne tulaga e Neyapoli, 12 n’oluvannyuma ne tutuuka e Firipi, ettwale ly’Abaruumi, era nga ky’ekibuga ekikulu mu kitundu ekyo ekya Makedoniya. Ne tumalawo ennaku ntonotono.
13 (L)Ku Ssabbiiti ne tufuluma mu kibuga okulaga ku mugga ogwali okumpi n’ekibuga gye baali batutegeezezza nti waliwo abakuŋŋaanirayo okusabirayo. Ne tutuula wamu n’abakazi abaali bazze okusaba ne twogera nabo. 14 (M)Omu ku bakazi abo erinnya lye nga ye Ludiya, yali musuubuzi wa ngoye ez’effulungu ng’abeera mu kibuga Suwatira. Yali asinza Katonda bulijjo. Katonda n’amubikkulira okutegeera obulungi ebyo Pawulo bye yali ayigiriza. 15 (N)Bw’atyo n’abatizibwa n’ab’omu nnyumba ye bonna. N’atuyita tumukyalire mu maka ge, ng’agamba nti, “Obanga mukakasa nti nzikirizza Mukama, mujje mubeere mu maka gange.” N’atuwaliriza.
Pawulo ne Siira Basibwa mu Kkomera
16 (O)Olunaku lumu twali tuserengeta ku mugga mu kifo we twasabiranga, ne tusisinkana omuwala omuddu ng’aliko ddayimooni eyalagulanga, era n’afuniranga bakama be ensimbi nnyingi. 17 (P)N’atuvaako emabega ng’aleekaana nti, “Bano baddu ba Katonda Ali Waggulu Ennyo, era babategeeza ekkubo ly’obulokozi.” 18 (Q)Ekyo yakikola okumala ennaku nnyingi Pawulo n’anyiiga. Pawulo kyeyava akyuka n’agamba ddayimooni nti, “Nkulagira mu linnya lya Yesu Kristo, muveeko!” Era amangwago dayimooni n’ava ku muwala.
19 (R)Bannannyini muwala bwe baalaba nga tewakyali ssuubi lya kwongera kumufunamu nsimbi, ne bakwata Pawulo ne Siira ne babatwala mu katale eri ab’obuyinza. 20 (S)Ne babaleeta mu maaso g’abalamuzi, ne bagamba nti, “Abasajja bano Bayudaaya, basasamaza ekibuga kyaffe 21 (T)nga bayigiriza empisa n’obulombolombo bye tutakkirizibwa kugoberera na kukozesa mu mateeka gaffe ag’Ekiruumi.”
22 (U)Ekibiina ky’abantu ne kibeeyiwako, abalamuzi ne balagira bambulwemu engoye era bakubwe emiggo. 23 (V)Bwe baamala okukubwa emiggo mingi, ne baggalirwa mu kkomera, era omukuumi w’ekkomera n’akuutirwa abakuume butiribiri. 24 (W)Omukulu w’ekkomera bwe yafuna ebiragiro ebyo, n’abateekera ddala mu kkomera ery’omunda, n’amagulu gaabwe n’agassa mu nvuba.
25 (X)Awo ekiro mu ttumbi Pawulo ne Siira bwe baali nga basaba, era nga bwe bayimba n’ennyimba ez’okutendereza Katonda, nga n’abasibe abalala bawuliriza, 26 (Y)amangwago ne wabaawo musisi ow’amaanyi ennyo. Emisingi gy’ekkomera ne ginyeenyezebwa, n’enzigi z’ekkomera zonna ne zibanduka ne zeggula, era n’enjegere ezaali zisibye abasibe ne zisumulukuka ne zigwa eri! 27 (Z)Omukuumi w’ekkomera n’azuukuka, n’alaba ng’enzigi zonna nzigule, n’alowooza nti abasibe bonna badduse, n’asowolayo ekitala kye yette! 28 Naye Pawulo n’aleekaana nti, “Teweekola kabi!”
29 Omukuumi w’ekkomera n’akankana nnyo ng’ajjudde entiisa nnyingi, n’alagira ne baleeta ettaala, n’afubutuka n’ayingira munda, n’agwa wansi mu maaso ga Pawulo ne Siira ng’akankana. 30 (AA)Awo n’abafulumya, n’ababuuza nti, “Bassebo, nkole ki okulokolebwa?”
31 (AB)Ne bamugamba nti, “Kkiriza Mukama waffe Yesu onoolokolebwa, ggwe n’ennyumba yo yonna.” 32 Awo ne bamubuulira Ekigambo kya Mukama waffe, ye n’ab’omu maka ge bonna. 33 (AC)Mu kiseera ekyo kyennyini n’abatwala n’abanaaza ebiwundu. Era ye n’ab’omu maka ge bonna ne babatizibwa. 34 (AD)Omukuumi w’ekkomera n’abatwala mu nnyumba ye, n’abawa emmere, era amaka gonna ne gajjula essanyu kubanga baali bakkirizza Katonda.
35 Awo obudde bwe bwakya, abalamuzi ne batuma abaserikale eri omukuumi w’ekkomera ne bamugamba nti, “Abasajja abo basumulule.” 36 (AE)Omukuumi w’ekkomera n’ategeeza Pawulo nti, “Abalamuzi balagidde muteebwe. Noolwekyo kaakano mugende mirembe.”
37 (AF)Naye Pawulo n’addamu nti, “Ekyo ffe tetukikkiriza! Baatukubidde mu lujjudde lw’abantu nga tebamaze na kutuwozesa, ne batusiba mu kkomera, ng’ate tuli Baruumi! Olwo kaakano baagala batusumulule mu kyama? Nedda! Bo bennyini be baba bajja batuggye mu kkomera!”
38 (AG)Abaserikale abaatumibwa ne bazzaayo ebigambo eri abalamuzi. Naye bwe baawulira nti Pawulo ne Siira Baruumi ne batya nnyo. 39 (AH)Ne bajja mu kkomera ne basaba Pawulo ne Siira bagende, ne babaggya mu kkomera ne babeegayirira babaviire mu kibuga kyabwe. 40 (AI)Pawulo ne Siira bwe baava mu kkomera ne bagenda mu maka ga Ludiya, ne bongera okubuulira abooluganda ekigambo kya Katonda nga babanyweza, n’oluvannyuma ne basitula ne bagenda.
Pawulo mu Sessaloniika
17 (AJ)Awo ne batambula ne bayita mu bibuga Anfipoli ne Apolooniya ne batuuka e Sessaloniika, omwali ekkuŋŋaaniro ly’Abayudaaya. 2 (AK)Pawulo, ng’empisa ye bwe yali, n’agenda n’ababuuliranga ekigambo kya Katonda okuva mu byawandiikibwa, ku buli lwa Ssabbiiti okumala Ssabbiiti ssatu. 3 (AL)N’abannyonnyola era n’abalaga nga bwe kyali kyetaagisa Kristo okubonaabona n’okuzuukira mu bafu, era nti, “Oyo ye Kristo Yesu gwe mbabuulira.” 4 (AM)Abamu ku Bayudaaya abaamuwuliriza ne bakkiriza ne beegatta ku Pawulo ne Siira; era n’Abayonaani bangi abatya Katonda awamu n’abakazi bangi ab’ekitiibwa mu kibuga ekyo.
5 (AN)Naye Abayudaaya ne bakwatibwa obuggya, ne bagenda nga bafukuutirira abantu ab’empisa embi ne babaggya mu nguudo z’omu kibuga ne mu katale, ne batandikawo akasasamalo mu kibuga. Ne balumbagana amaka ga Yasooni nga banoonyaamu Pawulo ne Siira babatwale mu kibiina ky’abantu. 6 (AO)Bwe baababulwa, kwe kukwata Yasooni n’abooluganda abamu ne babaleeta mu maaso g’abakulu b’ekibuga, nga bwe baleekaana nti, “Pawulo ne Siira batabuddetabudde ebifo ebirala mu nsi yonna, ne kaakano bazze wano batabuletabule ekibuga kyaffe, 7 (AP)era Yasooni oyo y’abaaniriza mu maka ge. Bano bonna bazizza omusango ogw’okuseeketerera eggwanga ne bamenya amateeka ga Kayisaali nga bayimbirira kabaka omulala Yesu.” 8 Ekibiina n’abakulu b’ekibuga bwe baawulira ebintu ebyo ne basasamala. 9 (AQ)Bwe baamala okusasuza Yasooni ne banne omutango, ne babaleka ne bagenda.
Pawulo mu Beroya
10 (AR)Obudde bwe bwaziba abooluganda ne bafulumya Pawulo ne Siira mu kibuga ne babaweereza e Beroya. Bwe baatuuka eyo ne bagenda mu kkuŋŋaaniro ly’Abayudaaya okusinza n’okubuulira, nga bwe yali empisa yaabwe. 11 (AS)Abayudaaya b’omu Beroya baali balungi okusinga ab’e Sessaloniika, ne bawuliriza bulungi n’essanyu Ekigambo ekyababuulirwa. Buli lunaku nga babikkula Ebyawandiikibwa okunoonyaamu ebyo Pawulo ne Siira bye baayogerangako bakakase nti bya mazima. 12 Era Abayudaaya bangi ne bakkiriza, n’abakazi ab’ekitiibwa Abayonaani bangi n’abasajja, nabo ne bakkiriza.
13 Naye Abayudaaya ab’omu Sessaloniika bwe baategeera nga Pawulo abuulira ekigambo kya Katonda mu Beroya, ne bamuwondera ne batabangula ekibiina. 14 (AT)Amangwago abooluganda bwe bakitegeera ne baweereza Pawulo ku nnyanja, Siira ne Timoseewo bo ne basigala e Beroya. 15 (AU)Abaawerekera ku Pawulo ne bagenda naye okutuukira ddala mu Asene, eyo gye baamuleka ne bakomawo e Beroya ng’abatumye bagambe Siira ne Timoseewo bagende mangu gy’ali.
Pawulo mu Asene
16 Ebbanga Pawulo lye yamala ng’alinda Siira ne Timoseewo mu Asene, n’alumwa nnyo mu mutima bwe yalaba ng’ekibuga kijjudde bakatonda abalala. 17 (AV)N’abeeranga mu kkuŋŋaaniro buli lunaku ng’akubaganya ebirowoozo n’Abayudaaya n’Abamawanga abatya Katonda, era n’ayogeranga eri abantu bonna abajjanga okumuwuliriza mu kibuga wakati okumpi n’akatale. 18 (AW)Abamu ku bayigiriza bakagezimunnyu Aba Epikuliyo ne Abasutoyiiko ne batandika okuwakana naye. Bwe yabuulira ku Yesu n’okuzuukira kw’abafu ne bagamba nti, “Aloota buloosi,” n’abalala nti, “Waliwo eddiini empya etali ya wano gy’ayimbirira.” 19 (AX)Naye ne bamuyita ajje mu kukuŋŋaana kwabwe okwa Aleyopaago[a] nga bagamba nti, “Twagala okwongera okumanya ebikwata ku kuyigiriza kuno okuggya, 20 kubanga oyogedde ebintu bingi ebyewuunyisa, noolwekyo twagala okwongera okumanya kye bitegeeza.” 21 Abaasene bonna n’abagenyi abajjanga mu Asene, baayagalanga nnyo okumala ebiseera byabwe mu kukubaganya ebirowoozo ku bintu ebiggya bye baakawulira.
22 Awo Pawulo n’ayimirira mu maaso gaabwe mu Aleyopaago, n’abagamba nti, “Abasajja b’omu Asene! Ntegedde nga bwe muli abannaddiini ennyo; 23 (AY)kubanga bwe mbadde ntambulatambula ne ndaba ebyoto bya ssaddaaka bingi, ne ku kimu nga kuliko ebigambo bino nti:
Kya Katonda Atamanyiddwa.
Mubadde mumusinza nga temumumanyi, nange kaakano njagala mbamutegeeze.
24 (AZ)“Katonda oyo ye yakola ensi n’ebintu byonna ebigirimu. Era olwokubanga ye Mukama w’eggulu n’ensi tabeera mu yeekaalu ezikolebwa n’emikono gy’abantu, 25 (BA)era abantu tebayinza kumuyamba mu byetaago bye, kubanga talina byetaago! Ye yennyini y’awa buli muntu obulamu n’omukka gw’assa n’ebintu byonna. 26 (BB)Ye yatonda abantu bonna mu nsi, ng’abaggya mu muntu omu, n’abasaasaanya mu mawanga okubuna ensi yonna. N’ateekateeka amawanga agalisituka n’agaligwa, era n’ebbanga lye galimala. Era n’agakolera n’ensalo zaago. 27 (BC)Yakola bw’atyo ng’ayagala abantu bonna banoonye Katonda, nga bafuba okumuvumbula, okumutuukako, newaakubadde nga buli omu ku ffe tamuli wala. 28 (BD)Kubanga mu ye mwe tubeera, era mwe tutambulira, era mwe muli obulamu bwaffe. Ng’omu ku bawandiisi bammwe bw’agamba nti, ‘Tuli baana ba Katonda.’
29 (BE)“Obanga kino kya mazima nti tuli baana ba Katonda, tetusaana kumulowoozaako ng’ekibajje ekikoleddwa abantu oba ekintu ekyoleddwa mu zaabu oba ffeeza oba ekitemeddwa mu jjinja. 30 (BF)Edda mu biseera ebyayita Katonda yagumiikiriza obutamanya bw’omuntu ku bintu ng’ebyo, naye kaakano alagira abantu bonna buli wantu okwenenya. 31 (BG)Kubanga yateekawo olunaku, oyo gwe yalonda lw’alisalirako ensi yonna omusango mu bwenkanya. Era yamukakasa eri abantu bonna kubanga yamuzuukiza mu bafu.”
32 (BH)Awo bwe baawulira Pawulo ng’ayogera ku kuzuukira kw’abafu, abamu ne bamusekerera, abalala ne bamugamba nti, “Twandiyagadde okwongera okukuwuliriza ku nsonga eyo olulala.” 33 Bw’atyo Pawulo n’afuluma mu lukuŋŋaana lwabwe. 34 (BI)Naye abamu ku bo ne bamugoberera ne bakkiriza Mukama waffe. Omwo mwe mwali Diyonusiyo Omwaleyopaago, n’omukazi erinnya lye Damali n’abalala.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.