Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Beginning

Read the Bible from start to finish, from Genesis to Revelation.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Lukka 2-3

Okuzaalibwa kwa Yesu

(A)Awo olwatuuka mu biseera ebyo, Kayisaali Agusito n’ayisa etteeka abantu bonna beewandiisa. (B)Okubala kuno kwe kwasooka okubaawo ku mulembe gwa Kuleniyo nga ye gavana w’Obusuuli[a]. Bonna ne bagenda okwewandiisa, buli muntu mu kibuga ky’ewaabwe.

(C)Awo Yusufu n’ava e Nazaaleesi eky’e Ggaliraaya, n’agenda mu kibuga kya Dawudi ekiyitibwa Besirekemu eky’e Buyudaaya, kubanga yali wa mu kika kya Dawudi, yeewandiise ne Maliyamu eyali olubuto, oyo gwe yali ayogereza. Naye bwe baali bali eyo ekiseera kya Maliyamu eky’okuzaala ne kituuka. N’azaala omwana we omubereberye omulenzi, n’amubikka mu bugoye, n’amuzazika mu lutiba ente mwe ziriira, kubanga tebaafuna kifo mu nnyumba y’abagenyi.

Mu kiro ekyo waaliwo abasumba abaali mu kitundu ekyo kye kimu ku ttale nga bakuuma endiga zaabwe. (D)Awo malayika wa Mukama n’abalabikira, ne waakaayakana n’ekitiibwa kya Mukama, ne batya nnyo. 10 (E)Malayika n’abagumya nti, “Temutya, kubanga mbaleetedde amawulire amalungi ag’essanyu eringi, era nga ga bantu bonna. 11 (F)Kubanga Omulokozi, ye Kristo Mukama waffe azaaliddwa leero mu kibuga kya Dawudi. 12 (G)Ku kino kwe munaamutegeerera: Mujja kulaba omwana omuwere, ng’abikkiddwa mu ngoye, ng’azazikiddwa mu lutiba lw’ente.”

13 Amangwago eggye lya bamalayika ab’omu ggulu ne beegatta ne malayika oyo ne batendereza Katonda nga bagamba nti,

14 (H)“Ekitiibwa kibe eri Katonda Ali Waggulu ennyo.
    N’emirembe gibe mu nsi eri abantu Katonda b’asiima.”

15 Awo bamalayika bwe baamala okuddayo mu ggulu, abasumba ne bateesa nti, “Tugende e Besirekemu tulabe kino ekibaddewo, Mukama ky’atutegeezezza.”

16 Ne bayanguwa ne bagenda, ne balaba Maliyamu ne Yusufu, n’omwana omuwere ng’azazikiddwa mu lutiba lw’ente. 17 Awo abasumba ne bategeeza bye baalabye, n’ebya bategeezeddwa ebikwata ku mwana oyo. 18 Bonna abaawulira ebigambo by’abasumba ne beewuunya nnyo. 19 (I)Naye Maliyamu n’akuumanga ebigambo ebyo mu mutima gwe era ng’abirowoozaako nnyo. 20 (J)Awo abasumba ne baddayo gye balundira ebisibo byabwe, nga bagulumiza era nga batendereza Katonda, olw’ebyo byonna bye baawulira era ne bye baalaba nga bwe baali bategeezeddwa.

Yesu Atwalibwa mu Yeekaalu

21 (K)Olunaku olw’omunaana olw’okukomolerwako bwe lwatuuka, n’atuumibwa erinnya YESU, malayika lye yayogera nga Yesu tannaba kuba mu lubuto lwa nnyina.

22 (L)Awo ekiseera bwe kyatuuka Maliyamu okugenda mu Yeekaalu atukuzibwe, ng’amateeka ga Musa bwe galagira ne batwala Yesu e Yerusaalemi okumuwaayo eri Mukama. 23 (M)Kubanga mu mateeka ago, Katonda yalagira nti, “Omwana omubereberye bw’anaabanga omulenzi, anaaweebwangayo eri Mukama.” 24 (N)Era mu kiseera kye kimu bakadde ba Yesu ne bawaayo ssaddaaka amateeka nga bwe galagira okuwaayo amayiba abiri oba enjiibwa bbiri.

25 (O)Ku lunaku olwo, waaliwo omusajja erinnya lye Simyoni, eyabeeranga mu Yerusaalemi, nga mutuukirivu, ng’atya Katonda, era ng’ajjudde Mwoyo Mutukuvu, ng’alindirira okusanyusibwa kwa Isirayiri. 26 Kubanga yali abikkuliddwa Mwoyo Mutukuvu nti tagenda kufa nga tannalaba ku Kristo, Omulokozi. 27 (P)Mwoyo Mutukuvu n’amuluŋŋamya okujja mu Yeekaalu. Maliyamu ne Yusufu bwe baaleeta Omwana Yesu okumuwaayo eri Mukama ng’amateeka bwe galagira, ne Simyoni naye yaliwo. 28 Simyoni n’ajja n’asitula Omwana mu mikono gye, n’atendereza Katonda ng’agamba nti,

29 (Q)“Mukama wange, kaakano osiibule omuweereza wo mirembe,
    ng’ekigambo kyo bwe kigamba.
30 (R)Kubanga amaaso gange galabye Obulokozi bwo,
31     bwe wateekateeka mu maaso g’abantu bonna,
32 (S)okuba Omusana ogw’okwakira amawanga.
    N’okuleetera abantu bo Abayisirayiri ekitiibwa!”

33 Kitaawe w’omwana ne nnyina ne beewuunya ebigambo ebyayogerwa ku Yesu. 34 (T)Awo Simyoni n’abasabira omukisa. N’alyoka n’agamba Maliyamu nti, “Omwana ono bangi mu Isirayiri tebagenda kumukkiriza, era alireetera bangi okugwa n’abalala ne bayimusibwa. 35 Era naawe ennaku eri ng’ekitala erikufumita omutima, n’ebirowoozo by’omu mitima gy’abantu birimanyibwa.”

36 (U)Waaliwo nnabbi omukazi, ayitibwa Ana, muwala wa Fanweri, ow’omu kika kya Aseri, era nga mukadde nnyo, eyafumbirwa nga muwala muto n’amala ne bba emyaka musanvu gyokka, bba n’afa, 37 (V)n’asigala nga nnamwandu. Mu kiseera kino yali yaakamala emyaka kinaana mu ena, era teyavanga mu Yeekaalu ng’asiiba n’okwegayiriranga Katonda emisana n’ekiro. 38 (W)Awo Ana mu kiseera ekyo yali ayimiridde okumpi ne Maliyamu ne Yusufu, naye n’atandika okutendereza Katonda ng’amwogerako eri abo bonna abaali balindirira okununulibwa kwa Yerusaalemi.

39 (X)Awo bakadde ba Yesu bwe baamala okutuukiriza byonna ng’amateeka ga Mukama bwe galagira, ne baddayo e Nazaaleesi eky’omu Ggaliraaya. 40 (Y)Omwana n’akula, n’aba w’amaanyi, n’ajjuzibwa amagezi n’ekisa kya Katonda kyali ku ye.

41 (Z)Bakadde ba Yesu buli mwaka bagendanga mu Yerusaalemi ku Mbaga y’Okuyitako. 42 Awo Yesu bwe yaweza emyaka kkumi n’ebiri egy’obukulu n’ayambuka e Yerusaalemi ne bakadde be ku mbaga, nga empisa yaabwe bwe yali. 43 Awo embaga ng’ewedde, ne bakyusa okuddayo ewaabwe, naye omulenzi Yesu n’asigala mu Yerusaalemi, naye bazadde be ne batakimanya. 44 Kubanga baalowooza nti ali ne bannaabwe mu kibiina ekirala, ekiro ekyo bwe bataamulaba, ne bamunoonya mu kibiina omwali baganda baabwe ne mikwano gyabwe. 45 Bwe bataamulaba kwe kuddayo e Yerusaalemi nga bamunoonya. 46 Awo nga baakamunoonyeza ennaku ssatu, ne bamusanga ng’atudde mu Yeekaalu n’abannyonnyozi b’amateeka ng’abawuliriza awamu n’okubabuuza ebibuuzo. 47 (AA)Bonna abaali bamuwuliriza ne beewuunya nnyo olw’amagezi ge n’okuddamu kwe. 48 (AB)Awo bazadde be bwe baamulaba ne beewuunya nnyo, nnyina n’amugamba nti, “Mwana waffe otukoze ki kino? Kitaawo nange tweraliikiridde nnyo nga tukunoonya!”

49 (AC)Yesu n’abaddamu nti, “Mubadde munnoonyeza ki? Temwategedde nga kiŋŋwanidde okukola ebintu bya Kitange?” 50 (AD)Naye ne batategeera bigambo ebyo bye yabagamba.

51 (AE)N’asituka n’agenda nabo e Nazaaleesi, n’abagonderanga; kyokka nnyina ebigambo ebyo byonna n’abikuuma mu mutima gwe. 52 (AF)Awo Yesu n’akula mu mubiri, mu magezi, era n’alaba ekisa mu maaso ga Katonda ne mu maaso g’abantu.

Yokaana Omubatiza alongoosa ekkubo

(AG)Awo mu mwaka ogw’ekkumi n’ettaano ogw’okufuga kwa Kayisaali Tiberiyo, Pontiyo Piraato bwe yali nga ye gavana wa Buyudaaya, Kerode nga y’afuga Ggaliraaya, muganda we Firipo nga y’afuga Italiya ne Tirakoniti, ne Lusaniya nga y’afuga Abireene, (AH)Ana ne Kayaafa nga be Bakabona Abasinga Obukulu, Yokaana, mutabani wa Zaakaliya ng’ali mu ddungu, n’afuna obubaka obuva eri Katonda. (AI)Yokaana n’atambulanga ng’agenda abuulira mu bitundu ebyetoolodde Yoludaani, ng’ategeeza abantu obubaka obw’okubatizibwa obw’okwenenya olw’okusonyiyibwa ebibi, nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo eky’ebigambo bya nnabbi Isaaya nti,

“Eddoboozi ly’oyo ayogerera mu ddungu nti,
Mulongoose ekkubo lya Mukama,
    Muluŋŋamye amakubo ge;
Buli kiwonvu kirijjuzibwa,
    na buli lusozi n’akasozi birisendebwa,
na buli ekyakyama kirigololwa,
    n’obukubo obulimu obugulumugulumu bulifuuka enguudo ez’omuseetwe.
(AJ)Abalina omubiri bonna baliraba obulokozi bwa Katonda.”

(AK)Kyeyava agamba abantu abajjanga gy’ali okubatizibwa nti, “Mmwe abaana b’emisota, ani eyabalabula okudduka obusungu obugenda okujja? (AL)Kale mubale ebibala ebiraga nga mwenenyezza, so temwogera munda zammwe nti tulina jjajjaffe Ibulayimu. Kubanga mbagamba nti Katonda asobola, mu mayinja gano, okuggyiramu Ibulayimu abazzukulu. (AM)Ne kaakano embazzi eteekeddwa ku kikolo ky’emiti. Noolwekyo buli muti ogutabala bibala birungi gujja kutemebwawo gusuulibwe mu muliro.”

10 (AN)Ekibiina ne kimumubuuza nti, “Kale tukole ki?”

11 (AO)Yokaana n’abaddamu ng’agamba nti, “Alina ekkooti ebbiri, emu agigabire atalina, n’oyo alina emmere aweeko oyo atalina kyakulya.”

12 (AP)Awo abasolooza b’omusolo nabo, ne bajja babatizibwe. Ne babuuza Yokaana nti, “Omuyigiriza tukole ki?”

13 (AQ)Yokaana n’abaddamu nti, “Temusoloozanga muwendo gusukka ku ogwo ogwalagibwa.”

14 (AR)Abaserikale nabo ne babuuza Yokaana nti, “Ate ffe, tukole tutya?”

Yokaana n’abagamba nti, “Temuggyangako bantu nsimbi zaabwe. So temubawaayirizanga, n’empeera ebaweebwa ebamalenga.”

15 (AS)Abantu baali balindirira nga basuubira, era nga buli muntu yeebuuza obanga Yokaana ye Kristo. 16 (AT)Yokaana n’addamu bonna ng’agamba nti, “Nze mbabatiza na mazzi, naye waliwo ajja, alina obuyinza okunsinga, n’okusaanira sisaanira na kusumulula lukoba lwa ngatto ze. Oyo alibabatiza n’omuliro ne Mwoyo Mutukuvu; 17 (AU)n’olugali luli mu mukono gwe okulongoosa egguuliro lye n’okukuŋŋaanyiza eŋŋaano mu tterekero lye, naye ebisusunku alibyokya n’omuliro ogutazikira.” 18 Yokaana n’abuulirira abantu ebigambo bingi ebirala, nga bw’ababuulira Enjiri.

19 (AV)Naye Yokaana bwe yanenya Kerode, omufuzi, olw’okutwala Kerodiya eyali muka muganda we, n’olw’ebibi ebirala Kerode bye yali akoze, 20 (AW)ate ku ebyo byonna Kerode n’ayongerako na kino: n’akwata Yokaana n’amuggalira mu kkomera.

Okubatizibwa kwa Yesu

21 (AX)Olunaku lumu, abantu bonna abaaliwo nga babatizibwa, ne Yesu n’abatizibwa. Yesu n’asaba, eggulu ne libikkuka, 22 (AY)Mwoyo Mutukuvu n’amukkako mu kifaananyi eky’ejjiba. Eddoboozi ne liva mu ggulu ne ligamba nti, “Ggwe Mwana wange omwagalwa gwe nsanyukira ennyo.”

Olulyo lwa Yesu

23 (AZ)Yesu yali awezezza emyaka ng’amakumi asatu bwe yatandika omulimu gwe. Yesu nga bwe kyalowoozebwa, yali mwana wa Yusufu:

ne Yusufu nga mwana wa Eri, 24 Eri nga mwana wa Mattati,

ne Mattati nga mwana wa Leevi, ne Leevi nga mwana wa Mereki,

ne Mereki nga mwana wa Yanayi, ne Yanayi nga mwana wa Yusufu,

25 ne Yusufu nga mwana wa Mattasiya, ne Mattasiya nga mwana wa Amosi,

ne Amosi nga mwana wa Nakkumu, ne Nakkumu nga mwana wa Esuli,

ne Esuli nga mwana wa Naggayi, 26 ne Naggayi nga mwana wa Maasi,

ne Maasi nga mwana wa Mattasiya, ne Mattasiya nga mwana wa Semeyini,

ne Semeyini nga mwana wa Yoseki, ne Yoseki nga mwana wa Yoda,

27 (BA)ne Yoda nga mwana wa Yokanaani, ne Yokanaani nga mwana wa Lesa,

ne Lesa nga mwana wa Zerubbaberi, ne Zerubbaberi nga mwana wa Seyalutyeri,

ne Seyalutyeri nga mwana wa Neeri, 28 ne Neeri nga mwana wa Mereki,

ne Mereki nga mwana wa Addi, ne Addi nga mwana wa Kosamu,

ne Kosamu nga mwana wa Erumadamu, ne Erumadamu nga mwana wa Eri,

29 ne Eri nga mwana wa Yoswa, ne Yoswa nga mwana wa Eryeza,

ne Eryeza nga mwana wa Yolimu, ne Yolimu nga mwana wa Mattati,

ne Mattati nga mwana wa Leevi,

30 ne Leevi nga mwana wa Simyoni, ne Simyoni nga mwana wa Yuda,

ne Yuda nga mwana wa Yusufu, ne Yusufu nga mwana wa Yonamu,

ne Yonamu nga mwana wa Eriyakimu,

31 (BB)ne Eriyakimu nga mwana wa Mereya, ne Mereya nga mwana wa Menna,

ne Menna nga mwana wa Mattasa, ne Mattasa nga mwana wa Nasani,

ne Nasani nga mwana wa Dawudi, 32 ne Dawudi nga mwana wa Yese,

ne Yese nga mwana wa Obedi, ne Obedi nga mwana wa Bowaazi,

ne Bowaazi nga mwana wa Salumooni, ne Salumooni nga mwana wa Nakusoni,

33 (BC)ne Nakusoni nga mwana wa Amminadaabu, ne Aminadaabu nga mwana wa Aluni,

ne Aluni nga mwana wa Kezulooni, ne Kezulooni nga mwana wa Pereezi,

ne Pereezi nga mwana wa Yuda, 34 (BD)ne Yuda nga mwana wa Yakobo,

ne Yakobo nga mwana wa Isaaka, ne Isaaka nga mwana wa lbulayimu,

ne Ibulayimu nga mwana wa Teera, ne Teera nga mwana wa Nakoli,

35 ne Nakoli nga mwana wa Serugi, ne Serugi nga mwana wa Lewu,

ne Lewu nga mwana wa Peregi, ne Peregi nga mwana wa Eberi,

ne Eberi nga mwana wa Seera, 36 (BE)ne Sera nga mwana wa Kayinaani,

ne Kayinaani nga mwana wa Alupakusaadi, ne Alupakusaadi nga mwana wa Seemu,

ne Seemu nga mwana wa Nuuwa, ne Nuuwa nga mwana wa Lameka,

37 ne Lameka nga mwana wa Mesuseera, ne Mesuseera nga mwana wa Enoki,

ne Enoki nga mwana wa Yaledi, ne Yaledi nga mwana wa Makalaleri,

ne Makalaleri nga mwana wa Kayinaani, 38 (BF)ne Kayinaani nga mwana wa Enosi,

ne Enosi nga mwana wa Seezi, ne Seezi nga mwana wa Adamu,

ne Adamu nga mwana wa Katonda.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.