Beginning
Mukama ayita Abantu be okudda gy’ali
1 (A)Mu mwaka ogwokubiri ogw’obufuzi bwa kabaka Daliyo omufuzi w’e Buperusi mu mwezi ogw’omunaana, ekigambo kya Mukama ne kijjira Zekkaliya omwana wa Berekiya, omwana wa Iddo nnabbi, nga kigamba nti:
2 (B)“Mukama yasunguwalira nnyo bajjajjammwe. 3 (C)Naye kaakano mubagambe nti: Bw’atyo bw’ayogera Mukama Katonda ow’eggye nti, ‘Mudde gye ndi,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye, ‘nange nadda gye muli,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye. 4 (D)Temuba nga bajjajjammwe, bannabbi ab’edda be baakoowoolanga nti, ‘Muve mu makubo gammwe amabi, n’ebikolwa byammwe ebikyamu.’ Naye tebampuliriza wadde okuŋŋondera, bw’ayogera Mukama. 5 Ye bajjajjammwe bali ludda wa? Ye bannabbi babeera balamu emirembe gyonna? 6 (E)Ebigambo byange n’ebiragiro bye nalagira abaddu bange, bannabbi, eri bajjajjammwe tebyatuukirira?
“Ne balyoka beenenya ne bagamba nti, ‘Mukama ow’Eggye bye yasuubiza okutukola olw’empisa zaffe embi n’ebikolwa byaffe ebitali bya butuukirivu, bw’atyo bw’atukoledde ddala.’ ”
Nnabbi Ayolesebwa Embalaasi
7 Ku lunaku olw’amakumi abiri mu ennya, mu mwezi ogw’ekkumi n’ogumu gwe bayita Sebati, mu mwaka ogwokubiri ogw’obufuzi bwa kabaka Daliyo, ekigambo kya Mukama ne kijjira Zekkaliya mutabani wa Berekiya, omwana wa Iddo nnabbi nga kigamba nti.
8 (F)Nalaba ekiro ng’omusajja yeebagadde embalaasi emyufu era yali ayimiridde mu miti emikadasi mu kiwonvu. Emabega we waaliyo embalaasi endala, enjeru, n’eza kikuusikuusi, n’emyufu.
9 (G)Awo ne mbuuza nti, “Mukama wange bino bitegeeza ki?” Malayika eyali ayogera nange n’aŋŋamba nti, “Nzija kukulaga kye bitegeeza.”
10 (H)Awo omusajja eyali ayimiridde mu miti n’addamu nti, “Ezo embalaasi Mukama z’asindise okulawuna ensi.” 11 (I)Ne ziddamu malayika wa Mukama eyali ayimiridde mu miti nti, “Tubunye ensi yonna, era laba ensi yonna esiriikiridde teriimu kanyego eteredde mirembe.”
12 (J)Awo malayika wa Mukama n’agamba nti, “Ayi Mukama ow’Eggye, olituusa ddi obutakwatirwa Yerusaalemi n’ebibuga bya Yuda kisa, by’osunguwalidde okumala emyaka ensanvu?” 13 (K)Mukama n’alyoka addamu malayika eyali ayogera nange ebigambo ebirungi, ebigambo ebizzaamu amaanyi.
14 (L)Awo malayika eyali ayogera nange n’agamba nti, “Langirira ogambe nti, Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, ‘Yerusaalemi ne Sayuuni mbikwatiririddwa obuggya obw’amaanyi, 15 (M)naye nyiigidde nnyo amawanga agali mu mirembe, kubanga abantu bange nnali mbanyiigiddeko katono naye bo ne bababonyaabonyeza ddala.’
16 (N)“Noolwekyo, bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Nkomyewo mu Yerusaalemi n’ekisa. Ennyumba yange ne Yerusaalemi kyonna, bijja kuzimbibwa,’ bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.
17 (O)“Yogera n’eddoboozi ery’omwanguka nti, Mukama Katonda ow’Eggye alangiridde nti, ‘Ebibuga byange bijja kuddamu okukulukuta obugagga, era Mukama alizzaamu Sayuuni amaanyi, ne yeeroboza Yerusaalemi.’ ”
18 Awo ne nnyimusa amaaso gange, era laba, ne ndaba amayembe ana. 19 (P)Malayika eyali ayogera nange ne mubuuza nti, “Amayembe ago gategeeza ki?”
N’anziramu nti, “Gategeeza obuyinza obwasaasaanya abantu ab’omu Yuda, n’ab’omu Isirayiri, n’ab’omu Yerusaalemi.”
20 Awo Mukama n’andaga abaweesi bana. 21 (Q)Ne mbuuza nti, “Abo bazze kukola ki?”
N’addamu nti, “Ago amayembe, bwe buyinza obwasaasaanya Yuda nga tewali na muntu ayimusa mutwe gwe; naye abaweesi abana bazze okubatiisa era n’okubazikiriza, ago amawanga agaasitukira ku nsi ya Yuda okusaasaanya abantu baamu.”
Okwolesebwa Olukoba Olupima
2 Awo ne nnyimusa amaaso gange, ne ndaba, omusajja ng’alina mu mukono gwe olukoba olupima. 2 (R)Ne mubuuza nti, “Ogenda wa?”
Nanziramu nti, “Ŋŋenda kupima Yerusaalemi okulaba obuwanvu n’obugazi bwakyo.”
3 Awo malayika eyali ayogera nange n’agenda, malayika omulala n’amusisinkana. 4 (S)N’amugamba nti, “Dduka ogambe omuvubuka oyo nti, ‘Yerusaalemi kijja kuba ekibuga ekitaliiko bbugwe olw’obungi bw’abantu n’ebisibo ebinaabeeramu. 5 (T)Nze ndiba bbugwe ow’omuliro, okukyebungulula enjuuyi zonna era nze ndiba ekitiibwa kyakyo mu kyo,’ bw’ayogera Mukama.
6 (U)“Kale mudduke, mudduke ensi ey’obukiikakkono mugiveemu,” bw’ayogera Mukama, “kubanga mbasaasanyizza ng’empewo ennya ez’eggulu bwe ziri,” bw’ayogera Mukama.
7 (V)“Mmwe Sayuuni mudduke, mudukke muwone mmwe ababeera mu buwaŋŋanguse mu Babulooni.” 8 (W)Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Mukama nga bw’ampadde ekitiibwa n’antuma eri amawanga agaabanyaganga, anaabakwatako anaaba akutte ku mmunye ya liiso lye. 9 (X)Kubanga laba ndyolesa omukono gwange gye bali, abaddu baabwe ne babanyaga. Olwo lwe mulimanya nga Mukama ow’Eggye ye yantuma.
10 (Y)“Yimba, osanyuke ggwe muwala wa Sayuuni, kubanga laba nzija era ndibeera wakati mu mmwe,” bw’ayogera Mukama. 11 “Era amawanga mangi galyegatta ku Mukama ku lunaku olwo, era balibeera bantu bange, era nange nnaabeeranga wakati mu ggwe, naawe onootegeera nga Mukama ow’Eggye ye yantuma gy’oli. 12 (Z)Era Yuda aliba mugabo gwa Mukama mu nsi entukuvu, era aliddamu okwerondera Yerusaalemi. 13 (AA)Musiriikirire, abantu mwenna mu maaso ga Mukama, kubanga asituse okuva mu kifo kye ekitukuvu.”
Okwolesebwa kwa Nnabbi Ku Kabona Asinga Obukulu
3 (AB)Awo n’anjolesa Yoswa, kabona asinga obukulu, ng’ayimiridde mu maaso ga malayika wa Mukama, ne Setaani ng’ayimiridde ku mukono gwe ogwa ddyo okumulumiriza. 2 (AC)Mukama n’agamba Setaani nti, “Mukama akunenye ggwe Setaani, weewaawo Mukama eyeerondedde Yerusaalemi akunenye! Omusajja ono si kisiki ekyaka ekigibbwa mu muliro?” 3 Awo Yoswa yali ayimiridde mu maaso ga malayika ng’ayambadde ebyambalo ebijjudde ekko. 4 (AD)Malayika n’agamba abaali bayimiridde mu maaso ge nti, “Mumwambulemu ebyambalo bye ebijjudde ekko.”
N’agamba Yoswa nti, “Laba nkuggyeeko ekibi kyo, era nnaakwambaza ebyambalo eby’omuwendo.”
5 (AE)Ne njogera nti, “Mumusibe ekiremba ekitukula ku mutwe gwe.” Awo ne bamusiba ekiremba ekitukula ku mutwe, ne bamwambaza n’engoye, nga malayika wa Mukama ayimiridde awo.
6 Malayika wa Mukama n’akuutira nnyo Yoswa ng’ayogera nti, 7 (AF)“Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, ‘Bw’onootambuliranga mu makubo gange, era noonywezanga bye nkukuutira, kale, onoofuganga ennyumba yange era onoolamulanga mu mbuga zange, era ndikuwa ekifo obeere mu abo abayimiridde wano.
8 (AG)“ ‘Kale wulira, Yoswa kabona asinga obukulu, ggwe ne banno abatuula mu maaso go, abantu kw’otegeerera eby’omu maaso, laba ndireeta omuweereza wange, ye Ttabi. 9 (AH)Kubanga laba, ku jjinja lye ntadde mu maaso ga Yoswa, ku jjinja erimu eririna amaaso omusanvu, laba nditeekako ebiwandiiko,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye. ‘Mu lunaku lumu ndiggyawo ekibi ky’ensi eno.
10 (AI)“ ‘Ku lunaku luli, buli omu ku mmwe, aliyita muliraanwa we okutuulako wansi w’omuzabbibu gwe ne wansi w’omutiini gwe,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye.”
Okwolesebwa kwa Nnabbi ku Kikondo ky’Ettaala ekya Zaabu n’Emiti Emizeeyituuni Ebiri
4 (AJ)Awo malayika eyali ayogera nange n’akomawo, n’anzuukusa ng’omuntu bw’azuukusibwa mu tulo. 2 (AK)N’ambuuza nti, “Kiki ky’olaba?”
Ne muddamu nti, “Ndaba ekikondo ky’ettaala nga kyonna kya zaabu, nga waggulu kiriko n’akabakuli kaakwo, n’ettaala zaakwo omusanvu, nga buli ttaala eriko omumwa gwayo. 3 (AL)Era waliwo emiti emizeeyituuni ebiri ku mabbali gaakyo, ogumu ku mukono ogwa ddyo ogw’akabakuli, n’omulala ku mukono ogwa kkono.”
4 Ne mbuuza malayika eyali ayogera nange nti, “Bino biki mukama wange?”
5 (AM)Malayika eyali ayogera nange n’addamu n’aŋŋamba nti, “Tobimanyi?”
Ne muddamu nti, “Nedda mukama wange.”
6 (AN)Awo n’addamu n’aŋŋamba nti, “Kino kye kigambo kya Mukama eri Zerubbaberi: ‘Si lwa maanyi so si lwa buyinza naye lwa Mwoyo wange,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
7 (AO)“Ggwe olusozi olunene weyita ki? Mu maaso ga Zerubbaberi olibeera lusenyi, era alireeta ejjinja erya waggulu mu mizira n’okwogerera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba nti, ‘Liweebwe omukisa, liweebwe omukisa!’ ”
8 Awo ekigambo kya Mukama ne kinzijira nga kyogera nti, 9 (AP)“Emikono gya Zerubbaberi gitaddewo omusingi gwa yeekaalu eno era girigumaliriza, era olitegeera nti Mukama ow’Eggye ye yantuma gye muli.
10 (AQ)“Ani anyooma olunaku olw’ebintu ebitono? Abantu balijaguza, bwe baliraba ejjinja erigera mu mukono gwa Zerubbaberi. Gano omusanvu ge maaso ga Katonda agayitaayita mu nsi yonna.”
11 (AR)Ne ndyoka mubuuza nti, “Emizeeyituuni gino ebiri ku mukono ogwa ddyo ne ku gwa kkono ogw’ekikondo ky’ettabaaza, gitegeeza ki?”
12 Ne nnyongera okumubuuza nti, “Gano amatabi abiri ag’emizeeyituuni agaliraanye emidumu gya zaabu ge gayitamu amafuta aga zaabu?”
13 N’anziramu nti, “Tobimanyi?”
Ne njogera nti, “Nedda, mukama wange.”
14 (AS)Awo n’addamu nti, “Abo be babiri abaafukibwako amafuta abaweereza Mukama ow’ensi yonna.”
Okwolesebwa kw’Omuzingo Ogubuuka
5 (AT)Awo ne nnyimusa amaaso gange era laba ne ndaba, omuzingo gw’ekitabo ogutambulira mu bbanga.
2 N’ambuuza nti, “Kiki ky’olaba?”
Ne nziramu nti, “Ndaba omuzingo gw’ekitabo ogutambulira mu bbanga, obuwanvu bwagwo buli mita mwenda n’obugazi bwagwo buli mita nnya ne desimoolo ttaano.”
3 (AU)Awo n’alyoka aŋŋamba nti, “Ekyo ky’ekikolimo ekizze okubuna ensi yonna, kubanga buli muntu yenna abba aliggyibwawo era buli muntu yenna alayiririra obwereere aliggyibwawo, bamutwale ku luuyi olulala. 4 (AV)Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, ‘Ndikifulumya, era ndikiyingiza mu nnyumba y’omubbi ne mu nnyumba y’oyo alayiririra obwereere erinnya lyange. Era kirisigala mu nnyumba ye wakati, era kirigizikiriza yonna, emiti gyayo n’amayinja gaayo.’ ”
Okwolesebwa kw’Omukazi mu Kisero
5 Malayika eyali ayogera nange n’akomawo n’aŋŋamba nti, “Yimusa amaaso go olabe, waliwo ekintu ekirala ekizze.”
6 Ne mubuuza nti, “Kiki ekyo?”
N’anziramu nti, “Ekyo kisero, kye kifuluma.” Era n’ayongerako nti, “Ekyo kye kifaananyi ekiraga ekibi ekibunye ensi yonna.”
7 Awo ekibikka kyakyo, ekyuma eky’essasi ne kibikkulwa era ne ndaba omukazi ng’akituddemu. 8 (AW)Malayika n’aŋŋamba nti, “Buno bwe bwonoonyi.” N’amusindika n’amuzza munda mu kisero, n’aggalawo omumwa gwakyo n’ekisaanikira eky’ekyuma eky’essasi.
9 (AX)Ne ndyoka nnyimusa amaaso gange, era laba, abakazi babiri nga bajja gye ndi, baali batambulira mu bbanga nga bakozesa empewo mu biwaawaatiro byabwe. Era ebiwaawaatiro byabwe nga biri ng’ebya kalooli, ne basitula ekisero mu bbanga wakati w’ensi n’eggulu.
10 Ne mbuuza malayika eyali ayogera nange nti, “Abo ekisero bakitwala wa?”
11 (AY)N’anziramu nti, “Mu nsi ya Sinaali ey’e Babulooni, okuzimba ennyumba y’omukazi ali mu kisero, era ennyumba ye bw’eriggwa, aliteekebwa eyo mu kifo kye.”
Okwolesebwa kw’Amagaali Ana
6 (AZ)Ne nyongera okuyimusa amaaso gange, era laba, amagaali g’embalaasi ana nga gava wakati w’ensozi bbiri, n’ensozi ezo zaali nsozi za bikomo. 2 (BA)Eggaali esooka ng’esikibwa embalaasi za lukunyu, eyookubiri nga nzirugavu. 3 (BB)Eggaali eyokusatu ng’esikibwa mbalaasi njeru, eyokuna yo ng’esikibwa za kikuusikuusi atabikiddwamu n’obwoya obweru. Embalaasi ezo zonna zaali z’amaanyi. 4 Ne ndyoka mbuuza malayika eyali ayogera nange nti, “Bino bitegeeza ki mukama wange?”
5 (BC)Malayika n’anziramu nti, “Ezo z’empewo ennya ez’omu ggulu; ziva kweyanjula mu maaso ga Mukama ow’ensi yonna. 6 Ekigaali eky’embalaasi enzirugavu kigenda mu nsi ey’omu bukiikakkono, ate ekyo eky’enjeru mu bugwanjuba, ekyo ekyali kisikibwa embalaasi ez’obwoya obweru, kiraga mu nsi ey’omu bukiikaddyo.”
7 (BD)Awo embalaasi ezo ez’amaanyi nga zivudde mu maaso ga Mukama, ne zifuba okutambulatambula mu nsi yonna; n’azigamba nti, “Mugende, mutambuletambule mu nsi yonna.” Awo ne zitambulatambula mu nsi yonna. 8 (BE)Awo n’ampita n’aŋŋamba nti, “Laba, ezo eziraga mu nsi ey’obukiikakkono ziwummuzza Omwoyo wange mu nsi ey’omu bukiikakkono.”
9 Ekigambo kya Mukama ne kijja gye ndi nga kigamba nti, 10 (BF)“Genda eri bano: Kerudayi, ne Tobiya, ne Yedaya, abaakomawo okuva mu buwaŋŋanguse mu Babulooni, olunaku olwo lwennyini olage mu nnyumba ya Yosiya, mutabani wa Zeffaniya, mwe bali. 11 (BG)Ddira effeeza ne zaabu okole engule ogitikkire ku mutwe gwa Yoswa, kabona asinga obukulu, omwana wa Yekozadaaki. 12 (BH)Mugambe nti, bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, ‘Laba omuntu erinnya lye ye Ttabi; alirokera mu kifo kye, azimbe yeekaalu ya Mukama. 13 (BI)Oyo y’alizimba yeekaalu ya Mukama, era alijjula ekitiibwa. Alituula ku ntebe ye ey’obwakabaka, n’afuga. Era y’aliba Kabona ku ntebe ye ey’obwakabaka; walibaawo okutegeeragana okw’emirembe wakati wa Ttabi ne Yoswa.’ 14 Era n’engule ya kubeera mu yeekaalu ya Mukama ng’ekijjukizo eri Keremu, ne Tobiya ne Keeni omwana wa Zeffaniya. 15 (BJ)Era n’abo abali ewala balijja okuyamba okuzimba yeekaalu ya Mukama, era mulimanya nga Mukama ow’Eggye yantuma gye muli. Bino tebirirema kubaawo singa munaagondera eddoboozi lya Mukama Katonda wammwe n’obumalirivu.”
Mukama Avumirira Okusiiba okw’Obulimba
7 (BK)Awo olwatuuka mu mwaka ogwokuna ogw’obufuzi bwa kabaka Daliyo, ekigambo kya Mukama ne kijjira Zekkaliya, ku lunaku olwokuna olw’omwezi ogw’omwenda oguyitibwa Kisuleevu. 2 (BL)Abayudaaya mu Beseri baali batumye Salezeeri omukungu wa kabaka ne Legemumereki n’abantu baabwe mu Yerusaalemi okwogerako ne bakabona babegayiririre eri Mukama, 3 (BM)n’okusaba bakabona b’omu nnyumba ya Mukama ow’Eggye ne bannabbi nti, “Nkaabe era nsiibe mu mwezi ogwokutaano nga bwe mbadde nkola okumala emyaka gino gyonna?”
4 Awo ekigambo kya Mukama ow’Eggye ne kinzijira nga kigamba nti, 5 (BN)“Gamba abantu bonna abali mu nsi, ne bakabona nti, ‘Bwe mwasiiba ne mukungubaga mu mwezi ogwokutaano ne mu gw’omusanvu mu myaka gino ensanvu, mwali musiibira nze? 6 Era bwe mulya ne munywa, muba temulya ku lwammwe era n’okunywa ku lwammwe? 7 (BO)Bino si bye bigambo Mukama bye yalangirira mu bannabbi ab’edda, Yerusaalemi bwe kyali kikyalimu abantu era nga kikyakulaakulana, nga n’ebibuga byakyo bikyetoolodde, nga ne mu bukiikaddyo ne mu bitundu eby’ensenyi mukyalimu abantu?’ ”
8 Ekigambo kya Mukama ne kijjira Zekkaliya nate nti, 9 (BP)“Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, ‘Musalenga emisango egy’ensonga, mukwatirweganenga ekisa n’okusaasiragananga buli muntu eri muganda we. 10 (BQ)Temutulugunyanga bannamwandu, n’abatalina bakitaabwe, n’abatambuze wadde abaavu, era tewateekwa kubaawo muntu n’omu ku mmwe alowooza mu mutima gwe okukola obulabe ku muganda we!’
11 (BR)“Naye baagaana okuwuliriza ne bakakanyaza emitima gyabwe ne baziba n’amatu gaabwe baleme okuwulira. 12 (BS)Ne bakakanyaza emitima gyabwe ng’ejjinja, ne batawuliriza mateeka wadde ebigambo Mukama ow’Eggye bye yaweereza n’Omwoyo we mu mukono gwa bannabbi ab’edda. Mukama ow’Eggye kyeyava abanyiigira ennyo.
13 (BT)“ ‘Bwe nabakoowoola ne batafaayo, nange ne ŋŋaana okufaayo nga bankowodde,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye. 14 (BU)Era nabasaasaanya n’omuyaga ogukunta mu mawanga ge baali batamanyi. Ensi gye baaleka n’ebeera matongo nga tewali agibeeramu, ensi ennungi esanyusa, kyeyava efuuka eddungu.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.