Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Beginning

Read the Bible from start to finish, from Genesis to Revelation.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Kaabakuuku 1-3

(A)Buno bwe bubaka bwa Mukama, Kaabakuuku nnabbi bwe yafuna.

Kaabakuuku yeemulugunya olw’Obutali Bwenkanya

(B)Ayi Mukama, ndituusa ddi okukukaabirira
    naye nga tompuliriza?
Lwaki nkukaabirira nti, “Ebikolwa eby’obukambwe bimpitiriddeko,”
    naye n’otonnyamba?
(C)Lwaki ondaga obutali bwenkanya
    era lwaki ogumiikiriza obukyamu?
Kubanga okuzikiriza n’ebikolwa eby’obukambwe biri mu maaso gange,
    empaka n’ennyombo byeyongede.
(D)Amateeka kyegavudde gatagonderwa
    era n’obwenkanya ne butakolebwa.
Ababi be basinga abatuukirivu obungi era babeebunguludde,
    n’obwenkanya ne bulinnyirirwa.

Okuddamu kwa Mukama

(E)“Mutunuulire amawanga, mwetegereze. Mwewuunyize ddala nnyo.
Kubanga ŋŋenda kukola omulimu mu nnaku zammwe
    gwe mutalikkiriza
    newaakubadde nga mugubuuliddwa.
(F)Kubanga laba, nkuyimusiza Abakaludaaya,
    eggwanga eryo eririna ettima era ekkambwe,
ababunye ensi eno n’eri
    nga bawamba amawanga agatali gaabwe.
(G)Ba ntiisa, batiibwa,
    be beetekera amateeka gaabwe era be bagassa mu nkola,
    nga balwanirira ekitiibwa kyabwe.
(H)Embalaasi zaabwe zidduka okukira engo,
    era mu bukambwe zikira emisege egy’ekiro.
Abasajja abeebagala embalaasi bava mu nsi ey’ewala
    era bajja beesaasaanyizza
ne banguwa okutuuka ng’ensega bw’erumba ky’eneerya.
    (I)Bajja n’eryanyi bonna,
ebibinja byabwe birumba ng’embuyaga ey’omu ddungu;
    ne balyoka bayoola abawambe abangi ng’omusenyu.
10 (J)Weewaawo, basekerera bakabaka
    ne baduulira n’abakungu.
Basekerera buli kibuga ekiriko ekigo
    ne bakituumako ebifunfugu ne balinnyira okwo, ne bakiwamba.
11 (K)Awo ne bayita nga bakunta ng’embuyaga;
    abantu bano omusango be gwasinga, eryanyi lyabwe ye katonda waabwe.”

Kaabakuuku Yeemulugunya Ogwokubiri

12 (L)Ayi Mukama toli wa mirembe na mirembe,
    ggwe Mukama Katonda wange, si ggwe Mutukuvu wange? Tetulifa.
Ayi Mukama ggwe wabateekawo n’obawa amaanyi batusalire emisango.
    Era ggwe Olwazi, wabateekawo kubonereza.
13 (M)Amaaso go gajjudde obulongoofu tegatunula ku kibi,
    so toyinza kugumiikiriza bukyamu.
Kale lwaki ggwe ogumiikiriza ab’enkwe,
    n’osirika ng’omubi amalirawo ddala
    omuntu amusinga obutuukirivu?
14 Kubanga abantu obafudde ng’ebyennyanja eby’omu nnyanja,
    ng’ebitonde eby’omu nnyanja ebitaliiko abifuga.
15 (N)Omulabe omubi abakwata bonna ng’eddobo,
    oluusi n’abawalula mu katimba ke,
n’abakuŋŋaanya mu kiragala kye
    n’alyoka asanyuka n’ajaguza.
16 (O)Kyava awaayo ssaddaaka eri akatimba ke
    n’ayotereza n’ekiragala kye obubaane;
akatimba ke kamuwa obulamu obw’okwejalabya,
    n’alya emmere ey’ekigagga.
17 (P)Kale, bwe batyo bwe banaalekebwa okutikkula obutimba bwabwe,
    n’okusaanyaawo amawanga awatali kusaasira?

Obulamu eri Abatuukirivu

(Q)Kale ndiyimirira mu kifo kyange we ntera okubeera
    ntunule nga ndi waggulu eyo ku ggulumu
nnindirire ky’aliŋŋamba,
    era ne kye ndimuddamu ekikwata ku kwemulugunya kw’abantu.

(R)Awo Mukama n’anziramu n’ayogera nti,

“Wandiika okwolesebwa okwo ku bipande.
    Kuwandiike bulungi
    ate omubaka gwe banaatuma, akutwale bunnambiro.
(S)Kubanga okwolesebwa okwo kujja mu kiseera kyakwo ekigere.
    Kwogera ku by’enkomerero
    ate si kwa bulimba.
Bwe kunaaba ng’okuluddewo, mukulindirire,
    kujja kutuukirira, tekugya kulwa.

(T)“Laba oyo ow’emmeeme eteri nnongoofu wa kugwa,
    naye omutuukirivu aliba mulamu olw’obwesigwa bwe.”

Akabi eri Aboonoonyi

(U)Weewaawo, omwenge mulimba
    guleetera omuntu amalala, ate taguwummulako.
Ate olwokubanga gwa mululu ng’emagombe, mu butakkuta gufaanana okufa.
    Era okufaanana ng’olumbe, tegukkuta,
amawanga gonna gugeekuŋŋanyizaako
    ne gugafuula abasibe.

(V)“Bano bonna si be balimugererako engero bamusekerere nga bagamba nti,

“ ‘Zimusanze oyo eyeyongeza ebitali bibye!
    Oyo eyeetuumako obugagga obuva mu nguzi!’
(W)Abakubanja tebalikuyimukirako nga tomanyiridde,
    era tebalizuukuka ne bakweraliikiriza?
    Oliba togudde mu mikono gyabwe?
(X)Kubanga onyaze amawanga mangi,
    abantu abasigaddewo balikunyaga;
Oyiye omusaayi gw’abantu,
    n’oyonoona ensi n’ebibuga n’abantu bonna ababibeeramu.”

(Y)Zimusanze oyo azimbira amaka ge ku bikolwa ebibi,
    azimba ekisu kye waggulu,
    okwekuuma obutatuukwako kabi!
10 (Z)Wategeka okuzikirira kw’abantu bangi,
    n’oswaza ennyumba yo ne weefiiriza obulamu bwo.
11 (AA)Amayinja g’oku bbugwe galikaaba,
    n’emikiikiro gy’ebibajje girikyasanguza.

12 (AB)Zimusanze oyo azimba ekibuga n’omusaayi,
    atandika ekibuga n’obutali butuukirivu.
13 (AC)Tekyategekebwa Mukama ow’Eggye
    nti okutegana kw’abantu nku buku za muliro,
    n’amawanga geemalamu ensa olw’ebintu ebitaliimu?
14 (AD)Kubanga ensi erijjula okumanya ekitiibwa kya Mukama,
    ng’amazzi bwe ganjaala ku nnyanja.

15 Zimusanze oyo awa baliraanwa be ekitamiiza
    n’akibafukira okuva mu kita n’abawa banywe okutuusa lwe batamiira
    asobole okutunuulira ensonyi zaabwe!
16 (AE)Olijjuzibwa ensonyi mu kifo ky’ekitiibwa.
    Naawe olinywa n’oswala.
Ekikompe eky’omu mukono gwa Mukama ogwa ddyo kirikyusibwa kidde gy’oli,
    n’ensonyi ez’obuwemu zisaanikire ekitiibwa kyo.
17 (AF)Ebikolwa eby’obukambwe bye watuusa ku Lebanooni,
    n’okutta ensolo, birikutiisa.
Osse abantu
    n’ozikkiriza ensi n’ebibuga n’abantu ababibeeramu.

18 (AG)“Ekifaananyi ekyole kigasa ki? Anti kibajje bubazzi.
    Oba ekifaananyi eky’ekyuma, ekisomesa obulimba?
Kubanga omuweesi yeesiga mirimu gya mikono gye
    nga akola ebifaananyi ebitayogera!
19 (AH)Zimusanze oyo agamba omuti nti, ‘Lamuka;’
    agamba ejjinja nti, ‘Golokoka!’
Kino kisobola okuluŋŋamya?
    Kibikiddwa zaabu ne ffeeza,
    so tekiriimu bulamu n’akatono.
20 (AI)Naye Mukama ali mu yeekaalu ye entukuvu:
    ensi zonna zisiriikirire mu maaso ge.”

Okusaba kwa Kaabakuuku

Okusaba kwa nnabbi Kaabakuuku, okw’Ekisigiyonosi.

(AJ)Ayi Mukama, mpulidde ebigambo byo;
    mpulidde ettutumu lyo Ayi Mukama, ne ntya.
Bizze buggya mu nnaku zaffe,
    bimanyise mu biro bino,
    era mu busungu jjukira okusaasira.

(AK)Katonda yajja ng’ava e Temani,
    Omutukuvu oyo ng’ava ku lusozi Palani.
Ekitiibwa kye kyatimbibwa ku ggulu,
    ensi n’eryoka ejjula ettendo lye.
Okumasamasa kwe ne kulyoka kubeera ng’enjuba evaayo.
    Ebimyanso byayakanga okuva mu mukono gwe,
    era omwo mwe mwasinziiranga amaanyi ge ag’ekitalo.
Kawumpuli ye yakulembera,
    Endwadde endala zinaamutta ne zigoberera.
(AL)Yayimirira n’anyeenyanyeenya ensi;
    Yatunula n’akankanya amawanga.
Ensozi ez’edda za merenguka,
    obusozi obw’edda ne buggwaawo. Engeri ze, za mirembe na mirembe.
(AM)Nalaba eweema z’e Kusani nga ziri mu nnaku:
    n’entimbe ez’ensi ya Midiyaani nga zijugumira.

(AN)Ayi Mukama, wanyiigira emigga?
    Obusungu bwo bwali ku bugga obutono?
Wanyiigira ennyanja
    bwe weebagala embalaasi zo,
    n’olinnya ku magaali go ag’obuwanguzi?
(AO)Wasowolayo akasaale ko,
    wategeka okulasa obusaale;
ensi n’ogyawulayawulamu n’emigga.
10     (AP)Ensozi zaakulaba, ne zeenyogootola;
Amataba ne gayitawo mbiro,
    obuziba bw’ennyanja ne buwuluguma,
    ne busitula amayengo gaayo waggulu.

11 (AQ)Enjuba n’omwezi ne biyimirira butengerera mu bifo byabyo,
    olw’okumyansa kw’obusaale bwo nga buwenyuka,
    n’olw’okumyansa kw’effumu lyo eritemagana.
12 (AR)Watambula okuyita mu nsi ng’ojjudde ekiruyi,
    wasambirirasambirira amawanga mu busungu bwo.
13 (AS)Wavaayo oleetere abantu bo obulokozi,
    olokole gwe wafukako amafuta;
Wabetenta omukulembeze w’ensi ekola ebibi,
    ng’omwerulira ddala okuva ku mutwe okutuuka ku bigere.
14 (AT)Wafumita omutwe gwe n’effumu lye ye,
    abalwanyi be bwe baavaayo okutugoba,
nga bali ng’abanaatumalawo,
    ffe abaali baweddemu essuubi nga twekwese.
15 (AU)Walinnyirira ennyanja n’embalaasi zo,
    n’otabangula amazzi amangi.

Okusanyukira mu Mukama

16 Nawulira, n’omutima gwange ne gukankana
    n’emimwa gyange gijugumira olw’eddoboozi eryo;
Obuvundu ne buyingira mu magumba gange,
    amagulu gange ne gakankana.
Naye nnaalindirira n’obugumiikiriza olunaku olw’okulabiramu ennaku
    bwe lulijjira eggwanga eritulumba.
17 (AV)Wadde omutiini tegutojjera,
    so n’emizabbibu nga tegiriiko bibala,
amakungula g’emizeeyituuni ne gabula,
    ennimiro ne zitabala mmere n’akamu,
endiga nga ziweddemu mu kisibo,
    nga n’ente tezikyalimu mu biraalo,
18 (AW)kyokka ndijaguliza Mukama,
    ne nsanyukira mu Katonda Omulokozi wange.

19 (AX)Mukama Katonda, ge maanyi gange;
    afuula ebigere byange okuba ng’eby’empeewo,
    era ansobozesa okutambulira mu bifo ebigulumivu.

Ya Mukulu wa Bayimbi, ku bivuga byange ebirina enkoba.

Zeffaniya 1-3

(A)Ekigambo kya Mukama ekyajjira Zeffaniya mutabani wa Kuusi, muzzukulu wa Gedaliya, muzzukulu wa Amaliya, muzzukulu wa Keezeekiya, mu mirembe gya Yosiya mutabani wa Amoni, Kabaka wa Yuda.

Okulabula kw’Omusango n’Okuzikirizibwa kwa Yuda

(B)“Ndizikiririza ddala byonna okuva ku nsi,” bw’ayogera Mukama.
(C)“Ndizikiriza abantu wamu n’ensolo;
    ndizikiriza ebinyonyi eby’omu bbanga
    n’ebyennyanja;
ababi balisigaza ntuumu ya kafakalimbo;
    bwe ndimalawo abantu okuva ku nsi,”
    bw’ayogera Mukama.
(D)Ndigololera ku Yuda omukono gwange,
    era ne ku abo bonna abali mu Yerusaalemi;
era ekitundu kya Baali ekifisseewo n’ennyumba ya Bakemali,
    bakabona abasinza ebifaananyi, ndibazikiriza okuva mu kifo kino,
(E)abo abavuunamira eggye ery’omu ggulu
    ku nnyumba waggulu,
ne balisinza n’abo abalayira mu linnya lya Mukama,
    ate nga balayira ne mu linnya lya Malukamu,
(F)abo abadda emabega obutagoberera Mukama,
    wadde abo abatamunoonya newaakubadde okumwebuuzaako.

(G)Siriikirira awali Mukama Katonda,
    kubanga olunaku lwa Mukama luli kumpi.
Mukama ategese ssaddaaka,
    era atukuzizza abagenyi be.

(H)Ku lunaku olwa ssaddaaka ya Mukama,
    ndibonereza abakungu
    n’abaana ba Kabaka,
n’abo bonna abambadde
    ebyambalo ebitasaana.
(I)Awo ku lunaku olwo ndibonereza
    abo bonna abeewala okulinnya ku muziziko,
n’abo abajjuza ennyumba ya Mukama waabwe
    ebikolwa eby’obukambwe n’obulimba.

10 (J)Ku lunaku olwo, bw’ayogera Mukama,
    eddoboozi ery’okukaaba liriwulikika ku Mulyango ogw’Ebyennyanja,
    okukaaba okuva ku luuyi olwokubiri,
    n’okubwatuka okunene okuva ku nsozi.
11 (K)Mwekaabireko, mmwe abali mu matwale g’akatale;
    abasuubuzi bammwe bonna zibasanze,
    n’abo abeebinika ffeeza balizikirizibwa.
12 (L)Awo olulituuka mu biro ebyo ndimulisa Yerusaalemi n’ettabaaza nga nnoonya,
    mbonereze abo bonna abalagajjavu
    abali ng’omwenge ogutanasengejjebwa,
abalowooza nti Mukama
    talibaako ne ky’akolawo.
13 (M)Obugagga bwabwe bulinyagibwa,
    n’ennyumba zaabwe zimenyebwemenyebwe.
Ne bwe balizimba ennyumba
    tebalizituulamu,
era balisimba ennimiro ez’emizabbibu nazo
    tebalinywa wayini wamu.

Olunaku lwa Mukama Olukulu

14 (N)Olunaku lwa Mukama olukulu luli kumpi;
    ddala lunaatera okutuuka.
Wuliriza! Omulwanyi alikaabira eyo ng’aliko obuyinike bungi,
    n’okukaaba ku lunaku lwa Mukama kujja kuba kungi nnyo.
15 (O)Olunaku olwo lunaku lwa busungu,
    lunaku lwa buyinike n’okulaba ennaku,
lunaku lwa mutawaana n’okuzikirira,
    olunaku olw’ekikome n’ekizikiza,
    olunaku lw’ebire n’ekizikiza ekikutte ennyo;
16 (P)olunaku olw’okufuuwa ekkondeere n’okulangirira olutalo
    ku bibuga ebiriko ebigo
    n’eri eminaala emigulumivu.

17 (Q)Ndireeta, obuyinike ku bantu,
    batambule ng’abazibe b’amaaso,
    kubanga bakoze ebibi mu maaso ga Mukama,
omusaayi gwabwe guliyiyibwa ng’enfuufu,
    n’ebyenda byabwe bivundire kungulu.
18 (R)Effeeza yaabwe ne zaabu yaabwe
    tebiriyinza kubataasa
    ku lunaku olw’obusungu bwa Mukama.

Ensi yonna erizikirizibwa
    omuliro gw’obuggya bwe,
era alimalirawo ddala
    abo bonna abali mu nsi.

Abalabe ba Isirayiri basalirwa omusango

(S)Mukuŋŋaane, weewaawo, mukuŋŋaane,
    mmwe eggwanga eritalina nsonyi,
(T)ekiseera ekyategekebwa nga tekinnatuuka,
    olunaku ne luba ng’ebisusunku ebifuumulibwa,
obusungu bwa Mukama nga tebunnabatuukako,
    ng’olunaku olw’obusungu bwa Mukama terunnabatuukako.
(U)Munoonye Mukama, mmwe mwenna abawombeefu ab’omu nsi,
    abakola by’alagira;
munoonye obutuukirivu n’obuwombeefu;
    mpozzi mulikwekebwa
    ku lunaku olw’obusungu bwe.

Obubaka eri Abafirisuuti

(V)Gaza kirirekebwawo,
    ne Asukulooni kiriba matongo:
abantu ba Asudodi baligobebwamu mu ttuntu,
    ne Ekuloni kirisimbulibwa.
(W)Zibasanze mmwe ababeera ku lubalama lw’ennyanja,
    eggwanga ery’Abakeresi!
Ekigambo kya Mukama kikwolekedde,
    ggwe Kanani, ensi ey’Abafirisuuti.
Ndikuzikiriza
    so tewaliba asigalawo.
(X)Olubalama lw’ennyanja ab’Akeresi gye babeera
    luliba malundiro g’abasumba n’ebisulo by’endiga.
(Y)Olubalama lw’ennyanja luliba lwa kitundu ky’ennyumba ya Yuda ekyasigalawo
    era we banaalundiranga,
ne mu nnyumba za Asukulooni
    mwe banaagalamiranga akawungeezi.
Mukama Katonda waabwe alibalabirira,
    n’akomyawo obugagga bwabwe.

Obubaka eri Abamowaabu n’Abamoni

(Z)Mpulidde okuvuma kwa Mowaabu
    n’okusekerera kw’Abamoni
kwe bavumye abantu bange
    ne batiisatiisa ensi yaabwe.
(AA)Kale nga bwe ndi omulamu,
    bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna, Katonda wa Isirayiri,
ddala Mowaabu aliba nga Sodomu,
    n’abaana ba Amoni nga Ggomola,
ekifo emyennyango kye gyemala, n’ebirombe by’omunnyo,
    amatongo agolubeerera. Balinyagibwa abantu bange abaliba basigaddewo,
n’ekitundu ky’eggwanga lyange ekifisseewo kiritwala ensi yaabwe.

10 (AB)Eno y’eriba empeera yaabwe olw’amalala gaabwe,
    kubanga bavumye ne banyooma abantu ba Mukama Ayinzabyonna.
11 (AC)Mukama aliba wa ntiisa gye bali
    bw’alizikiriza bakatonda bonna ab’ensi.
Amawanga gonna ag’oku mbalama zonna galimusinza,
    buli muntu ng’asinziira mu nsi ye.

Obubaka eri Abaesiyopiya

12 (AD)Nammwe Abaesiyopiya, mulittibwa n’ekitala kyange.

Obubaka eri Obwasuli

13 (AE)Aligololera omukono gwe ku bukiikakkono
    n’azikiriza Obwasuli;
n’afuula Nineeve amatongo
    era ekikalu ng’eddungu.
14 (AF)Ente n’endiga zinaagalamiranga wakati mu kyo,
    n’ensolo zonna eza buli kika:
ekiwuugulu era ne nnamunnungu
    banaasulanga ku mpagi zaakyo.
Amaloboozi gaabyo ganaawulikikanga mu madirisa;
    kafakalimbo ajjudde mu miryango,
    n’emikiikiro egy’emivule giryelulwa.
15 (AG)Kino kye kibuga ekya kyetwala,
    ekyayogeranga mu mutima gwakyo nti,
    Nze we ndi, tewali mulala wabula nze:
nga kifuuse bifulukwa,
    ekifo ensolo ez’omu nsiko we zigalamira!
Buli muntu akiyitako aneesoozanga
    n’akinyoomoola.

Obujeemu bwa Yerusaalemi

(AH)Zikisanze ekibuga ekijooga,
    ekijeemu era ekyonoonefu!
(AI)Tekigondera ddoboozi lya Mukama,
    wadde okukkiriza okubuulirirwa;
tekyesiga Mukama;
    wadde okusemberera Katonda waakyo.
(AJ)Abakungu baakyo mpologoma eziwuluguma,
    era n’abalamuzi baakyo misege gya kiro,
    bakirimululu abatafissaawo kantu.
(AK)Bannabbi baakyo si ba buvunaanyizibwa
    era ba nkwe;
bakabona baakyo baweebuusizza ekifo ekitukuvu,
    era bamenya amateeka.
(AL)Mukama ali wakati mu kyo, mutuukirivu
    era tasobya.
Buli nkya alamula mu bwenkanya,
    era buli lukya talemwa;
    naye atali mutuukirivu taswala.

(AM)“Nsanyizzaawo amawanga,
    era ebigo byabwe bifufuggaziddwa;
nzisizza enguudo zaabwe,
    ne wataba ayitamu.
Ebibuga byabwe bizikiridde,
    ne watabaawo muntu n’omu abeeramu.
(AN)Nagamba eri ekibuga nti,
    ‘Ddala onontya,
    era onokkiriza okubuulirirwa.’
Ennyumba zaakyo tezandimaliddwawo,
    n’ebibonerezo byange byonna tebyandimutuuseeko.
Naye beesunganga nnyo
    okukola ebitasaana mu byonna bye baakolanga.
(AO)Noolwekyo munnindirire,” bw’ayogera Mukama.
    Olunaku lwe ndiyimirira ne ntegeeza byonna
kubanga mmaliridde okukuŋŋaanya amawanga,
    ndireeta obwakabaka wamu
okubayiwako obusungu bwange,
    n’ekiruyi kyange kyonna.
Omuliro ogw’obuggya bwange
    gulisaanyaawo ensi yonna.

Essuubi lya Isirayiri

(AP)“Mu biro ebyo ndirongoosa enjogera ey’amawanga;
    bonna balikoowoola erinnya lya Mukama,
    okumuweereza n’omwoyo gumu.
10 (AQ)Okuva emitala w’emigga egy’Obuwesiyopya,
    abo abansinza, abantu bange abasaasaana,
    balindeetera ssaddaaka.
11 (AR)Ku lunaku olwo toliswala
    olw’ebyo byonna by’osobezza gye ndi:
kubanga ndiggya wakati mu ggwe
    abo abeenyumiririza mu malala,
toliddayo nate kwegulumiza
    ku lusozi lwange olutukuvu.
12 (AS)Naye ndireka wakati mu ggwe
    abantu abakakkamu era abeetoowaze,
    abo abesiga erinnya lya Mukama.
13 (AT)Ekitundu kya Isirayiri ekirisigalawo tebalikola bitali bya butuukirivu
    so tebalyogera bya bulimba
    wadde okuba abakuusa.
Balirya, baligalamira,
    so tewaliba alibatiisa.”

Oluyimba olw’Essanyu

14 (AU)Yimba, ggwe omuwala wa Sayuuni;
    yogerera waggulu, ggwe Isirayiri;
sanyuka ojaguze n’omutima gwo gwonna,
    ggwe omuwala wa Yerusaalemi.
15 (AV)Mukama akuggyeeko ekibonerezo kyo,
    agobyewo omulabe wo.
Kabaka wa Isirayiri, Mukama, ali naawe;
    tokyaddayo kutya kabi konna.
16 (AW)Ku lunaku olwo Yerusaalemi kirigambibwa nti,
    “Totya, ggwe Sayuuni;
    emikono gyo gireme okuddirira.
17 (AX)Mukama Katonda ali naawe,
    ow’amaanyi alokola:
alikusanyukira,
    alikukkakkanyiza mu kwagala kwe,
    alikusanyukira n’okuyimba.”

18 “Ennaku eyabakwatanga olw’embaga ezabakuŋŋaanyanga
    ndigibaggyako;
    kubanga kibafuukidde omugugu.
19 (AY)Laba, mu biro ebyo ndibonereza
    abo bonna abaakubonyaabonya:
era ndinunula omulema,
    ne nkuŋŋaanya n’abo abaasaasaanyizibwa;
era ndibafuula ettendo ne mbawa ekitiibwa
    mu nsi zonna gye baaswazibwa.
20 (AZ)Mu biro ebyo ndibakuŋŋaanya;
    mu kiseera ekyo ndibazza eka.
Weewaawo ndibawa ekitiibwa n’ettendo
    mu mawanga gonna ag’omu nsi zonna,
bwe ndikomyawo obugagga bwammwe
    nga mulaba,”
    bw’ayogera Mukama.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.