Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Beginning

Read the Bible from start to finish, from Genesis to Revelation.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Nakkumu 1-3

(A)Kuno kwe kwolesebwa Katonda kwe yalaga Nakkumu, Omwerukoosi okukwata ku bibambulira ebyali bijjira Nineeve.

Obusungu bwa Mukama ku Nineeve

(B)Katonda wa buggya era Mukama awalana eggwanga.
    Mukama awalana eggwanga era ajudde ekiruyi.
Mukama yeesasuza ku balabe be
    era aterekera abamuwakanya obusungu bwe.
(C)Mukama tatera kusunguwala, ate nga wa maanyi mangi
    era tayinza n’akatono butabonereza oyo gwe gusinze.
Ekkubo lye liri mu mpewo ey’akazimu ne mu kibuyaga,
    n’ebire ye nfuufu y’ebigere bye.
(D)Akangavvula ennyanja n’agikaza
    era akaza emigga gyonna,
ennimiro ez’omu Basani zikala, olusozi Kalumeeri lwonna lukayuse,
    n’ebimuli bya Lebanooni biwotose.
(E)Ensozi zikankanira mu maaso ga Katonda,
    obusozi ne busaanuuka,
ettaka ne lyatikayatika mu maaso ge,
    ensi n’ekankana n’abantu bonna abagirimu.
(F)Ani ayinza okuyimirira mu maaso ge ng’asunguwadde?
    Ani ayinza okugumira obusungu bwe obw’amaanyi?
Ekiruyi kye kibuubuuka ng’omuliro,
    n’enjazi n’eziyatikayatika.

(G)Mukama mulungi,
    kiddukiro mu kiseera eky’okulabiramu ennaku,
era alabirira abo bonna abamwesiga.
    Naye alisaanyaawo abalabe be mu mataba amazibu,
ekizikiza kiribawondera.

Buli kye mwekobaana okukola Mukama,
    alikikomya.
    Akabi tekalijja mulundi gwakubiri.
10 (H)Kubanga baliba ng’amaggwa agakwataganye,
    era nga batamidde,
    balyoke bookebwe omuliro ng’ekisambu ekikalu.
11 Mu ggwe Nineeve muvuddemu omuntu
    alowooza akabi
    era ateesa ebibi ku Mukama.

12 (I)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Newaakubadde nga balina be bakolagana nabo bangi, ate nga bangi,
    balizikirizibwa ne baggwaawo.
Newaakubadde nga mbabonereza mmwe abantu bange,
    siriddayo kukikola nate.
13 (J)Kaakano nzija kumenya ekikoligo kyabwe nkibaggyeko
    era n’ebibasibye nnaabikutulakutula.”

14 (K)Kino Mukama ky’alagidde ekikwata ku Nineeve:
    “Erinnya lyo terikyayala nate.
Ndizikiriza ekifaananyi ekyole n’ekifaananyi ekisaanuuse
    ebiri mu masabo g’abakatonda bo;
ndisima entaana yo
    kubanga oyinze obugwagwa.”

15 (L)Yimusa amaaso, tunula ku nsozi, laba,
    ebigere ebirungi eby’oyo aleese amawulire amalungi,
    alangirira emirembe.
Ggwe Yuda kwata embaga zo entukuvu,
    era otuukirize obweyamo bwo;
omubi kaakano takyakulumba,
    azikiririzibbwa ddala, tolimulaba nate.

Okugwa kwa Nineeve

(M)Nineeve, olumbiddwa omulabe;
    kuuma ekigo,
    Kuuma ekkubo,
    weesibire ddala onywere mu kiwato,
    kuŋŋaanya amaanyi go gonna.
(N)Kubanga Mukama alizzaawo ekitiibwa kya Yakobo,
    kibe ng’ekitiibwa kya Isirayiri,
newaakubadde ng’abazikiriza baabasaanyawo,
    ne boonoona emizabbibu gyabwe.

(O)Engabo z’eggye erikutabadde zonna myufu
    n’engoye ze bambadde nazo bwe zityo.
Amagaali g’ebyuuma gamasamasa
    ku lunaku lwe gategekebwa,
    era n’amafumu gagalulwa mu ngeri ey’entiisa!
(P)Amagaali g’abalwanyi gatayira mu nguudo,
    gadda eno n’eri,
galabika ng’emimuli egyaka,
    gamyansa ng’eggulu.

(Q)Omuduumizi bw’ayita abalwanyi be
    bajja bagwirana.
Badduka mbiro ku bbugwe w’ekibuga
    we beetegekera okwerwanako.
(R)Enzigi ez’omugga zigguddwawo,
    amazzi ne gasaanyaawo olubiri.
(S)Etteeka lyayisibwa ku kibuga
    nti kiriwaŋŋangusibwa,
abaddu abakazi bakungubaga ng’amayiba,
    nga bwe beekuba mu bifuba.
Ab’omu Nineeve bafaanana ng’ekidiba
    eky’amazzi agakalira.
Wadde nga babakoowoola nti, “Muyimirire, muyimirire!”
    bo beeyongerayo bweyongezi.
Ffeeza yaakyo temugirekaawo,
    ne zaabu nayo mugitwalire ddala,
omunyago teguggwaayo,
    eby’obugagga byakyo ebitabalika ebirungi ddala.
10 (T)Ekibuga kisigadde kyangaala!
    Abantu bonna emitima gibeewanise, emibiri gibakankana,
    amaviivi gabakubagana, basiiwuuse ne mu maaso.

11 (U)Eri ludda wa empuku y’empologoma,
    ekifo we ziriisiza empologoma zaazo ento,
empologoma ensajja, n’enkazi,
    n’ento we zaatambuliranga nga tewali kizikanga?
12 (V)Empologoma ensajja yayigganga ennyama y’abaana ebamala,
    n’enkazi n’ezittira eyaazo,
n’ejjuza empuku n’omuyiggo,
    ne mu bisulo ne mujjula ennyama.

13 (W)“Laba nze Mukama ow’Eggye
    nkwolekedde,
era ndyokya amagaali go gonna ne ganyooka,
    n’ekitala kirizikiriza empologoma zo ento.
    Era tolifuna munyago mulala nate ku nsi,
n’eddoboozi ly’ababaka bo
    teririddayo kuwulirwa.”

Ebibi bya Nineeve

(X)Zikusanze ggwe ekibuga eky’omusaayi!
    Kyonna ekijjudde eby’obulimba
n’obunyazi,
    ekitaggwaamu banyagiddwa.
Muwulire okuvuga kw’embooko,
    n’okuvuuma kwa namuziga z’amagaali
n’ebigere by’embalaasi nga bwe bivuga
    n’amagaali nga gakubaganira mu nguudo!
(Y)Laba eggye ery’embalaasi erirumba,
    n’ebitala ebitemagana,
    n’amafumu agamyansa.
Abatuukiddwako ebisago nga bayitirivu,
    ne ntuumu ennene ez’emirambo
egitamanyiddwa muwendo;
    abantu bagirinnyirira.
(Z)Bino byonna biri bityo kubanga Nineeve yeeweerayo ddala okwetunda eri abalabe ba Katonda obutasalako, nga malaaya omukulu,
    kye kibuga ekikyaamu ekitali kyesigwa ekyawubisa ebirala, omukulu w’obufumu,
ekyafuula amawanga abaddu baakyo olw’obwamalaaya bwakyo,
    n’olw’obulogo bwakyo.
(AA)“Laba nkwolekedde,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye,
    “era nditikka engoye zo ne zidda ku mutwe gwo.
Ensi zonna ziriraba obwereere bwo
    n’obwakabaka bwonna bulabe ensonyi zo.
(AB)Ndikukanyugira kazambi,
    era ndikufuula ekyenyinyalwa
    ne nkufuula eky’okwelolera.
(AC)Awo bonna abalikutunuulira balikwesamba ne bagamba nti,
    ‘Nineeve kifuuse matongo, ani anakikungubagira?’
    Abalikikubagiza baliva wa?”

(AD)Ggwe Nineeve ggw’osinga Tebesi
    ekyali kizimbiddwa ku mugga Kiyira
    ng’amazzi gakyetoolodde okukikuuma ku njuyi zonna?
Olukomera lwakyo gwali mugga
    era amazzi ge gaali bbugwe waakyo.
(AE)Esiyopya ne Misiri ze zaakiwagiranga.
    Ate nga Abapuuti[a] n’ab’omu Libiya nabo nga bakiyamba.
10 (AF)Kyawambibwa, ne kitwalibwa mu buwaŋŋanguse.
    Abaana bwakyo abawere babetentebwa mu ntandikwa ya buli luguudo.
Abakungu baakyo baakubirwa obululu,
    n’abasajja be ab’amaanyi baasibibwa mu njegere.
11 (AG)Nineeve naawe olitamiira,
    olyekweka
    ng’onoonya obuddukiro owone omulabe wo.

12 (AH)Ebigo byo byonna biri ng’emitiini
    egiriko ebibala ebisooka okwengera;
bwe ginyeenyezebwa
    ne bigwa mu kamwa k’oyo anaabirya.
13 (AI)Laba abalwanyi bammwe balinafuwa
    ne batiitiira ng’abakazi.
Enzigi z’ensi yo
    nzigule eri abalabe bo.
    Era omuliro gwokezza emikiikiro gyazo.

14 (AJ)Weenyweze bajja kukulumba!
    Weeterekere ku mazzi g’onoonywako.
Nyweza ebisenge byo.
    Noonya ettaka olisambe
    oddaabirize ekisenge eky’amatoffaali.
15 (AK)Omuliro gulikulya,
    ekitala kirikuzikiriza.
    Wenna oliriibwa ng’enzige bwe zirya ebirime.
Mweyongere obungi ng’enseenene,
    mwale ng’enzige.
16 Mwongedde ku bungi bwa basuubuzi bammwe
    okusinga emmunyeenye ez’oku ggulu.
Naye ensi baligikaza okufaanana ng’enzige bwe zimalawo ensi
    ne ziryoka zibuuka.
17 (AL)Abakuumi bammwe bali ng’enzige,
    n’abakungu bammwe ng’ebibinja by’enzige
    ezibeera ku bisenge ku lunaku olw’obutiti.
Enjuba bw’evaayo zibuuka
    ne ziraga etamanyiddwa.

18 (AM)Abasumba bo nga babongoota, ggwe kabaka wa Bwasuli,
    n’abakungu abeekitiibwa bagalamidde nga bawumuddeko.
Abantu bo basaasaanira ku nsozi
    nga tewali n’omu abakuŋŋaanya.
19 (AN)Tewali kisobola kuwonya
    kiwundu kyo ekinene bwe kityo.
Bonna abawulira ebikuguddeko
    bakuba bukubi mu ngalo olw’okugwa kwo.
Ani ataakosebwa
    olw’ettima lyo eringi?

Kubanga muntu ki ataatuusibwako bukambwe bwo obwa buli kakedde?

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.