Beginning
Omwoyo Ogwonoona gwe Gulifa
18 Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira, n’aŋŋamba nti, 2 (A)“Mutegeeza ki bwe mugerera olugero luno ensi ya Isirayiri nti,
“ ‘Bakitaabwe balidde ezabbibu ezikaawa,
n’amannyo g’abaana ganyenyeera’?
3 “Nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera Mukama Katonda, temuliddayo kugera lugero olwo mu Isirayiri. 4 (B)Buli kiramu, kyange; obulamu bw’omuzadde n’obw’omwana bwonna nabwo bwange.
5 “Emmeeme eyonoona ye erifa,
omuntu bw’abeera omutuukirivu n’akola ebyalagirwa era ebituufu;
6 (C)nga talya mu masabo agali ku nsozi
newaakubadde okusinza bakatonda abalala ab’ennyumba ya Isirayiri;
n’atayenda ne mukazi wa muliraanwa we,
newaakubadde okwebaka n’omukazi ali mu biseera bye eby’abakyala;
7 (D)omuntu atalyazaamaanya muntu yenna,
naye asasula ebbanja lye lyonna,
atanyaga muntu yenna,
naye emmere ye agigabira abayala,
n’ayambaza n’abali obwereere;
8 (E)atawola lwa magoba
newaakubadde okutwala ensimbi ezisukkamu mu ezo ze yawola.
Yeewala okukola ekibi,
era asala emisango egy’ensonga.
9 (F)Agoberera ebiragiro byange,
n’akuuma amateeka gange n’obwesigwa,
oyo ye muntu omutuukirivu
era aliba mulamu,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
10 (G)“Bw’aba n’omwana omulalu, ayiwa omusaayi, oba akola ebifaanana ng’ebyo, 11 newaakubadde nga kitaawe ebyo tabikola:
“N’alya mu masabo agali ku nsozi,
n’ayenda ku mukazi wa muliraanwa we,
12 (H)n’anyigiriza omwavu n’omunaku,
n’okubba n’abba,
n’atasasula kye yeeyama,
n’asinza bakatonda abalala,
n’akola eby’ekivve,
13 (I)n’awola ng’asuubira amagoba, oba n’okutwala ensimbi ezisukka mu ezo ze yawola;
omuntu ng’oyo aliba mulamu? Taliba mulamu. Kubanga akoze ebintu ebyo byonna eby’ekivve, kyaliva attibwa, n’omusaayi gwe guliba ku mutwe gwe ye.
14 (J)“Naye bw’aba n’omuzzukulu, alaba ebibi byonna kitaawe by’akola, n’atakola bya ngeri eyo;
15 “N’atalya mu masabo agali ku nsozi
newaakubadde okusinza bakatonda abalala ab’ennyumba ya Isirayiri,
n’atayenda na mukazi wa muliraanwa we,
16 (K)atanyigiriza muntu yenna
newaakubadde okusaba amagoba ku bbanja lye yawola,
atabba, naye agabira emmere abayala
n’abali obwereere
n’abambaza.
17 Yeekuuma obutakola kibi,
n’atalya magoba ku bbanja newaakubadde okutwala ensimbi ezisukiridde,
era akuuma amateeka gange n’agoberera n’ebiragiro byange.
Talifa olw’ebibi bya kitaawe, naye aliba mulamu. 18 Naye kitaawe alifa olw’ebibi bye ye kubanga yalyazaamanya, n’anyaga muliraanwa we, n’akola ebitaali birungi mu bantu banne.
19 (L)“Mubuuza nti, ‘Lwaki omwana tabonaabona olw’ebibi bya kitaawe?’ Omwana bw’aba akoze eby’ensonga era ebituufu, ng’agoberedde ebiragiro byange, aliba mulamu. 20 (M)Emmeeme eyonoona ye erifa. Omwana talibonaabona olw’ebibi bya kitaawe, so ne kitaawe talibonaabona olw’ebibi eby’omwana we. Obutuukirivu bw’omuntu omutuukirivu bulibalirwa ye, n’obutali butuukirivu bw’oyo atali mutuukirivu bulibalirwa ye.
21 (N)“Naye omuntu atali mutuukirivu bw’alikyuka n’alekeraawo okukola ebibi byonna, n’akuuma ebiragiro byange byonna n’akola eby’ensonga era ebituufu, aliba mulamu, talifa. 22 (O)Tewaliba kyonoono na kimu ku ebyo bye baakola ebirijjukirwa, naye olw’eby’obutuukirivu bye baliba bakoze, baliba balamu. 23 (P)Mulowooza nga nsanyukira okufa kw’atali mutuukirivu? Bw’ayogera Mukama. Sisinga kusanyuka nnyo bwe ndaba ng’akyuse okuva mu ngeri ze n’aba omulamu?
24 (Q)“Naye omuntu omutuukirivu bw’alekeraawo okukola eby’obutuukirivu, n’akola eby’ekivve bye bimu n’eby’omuntu atali mutuukirivu, aliba mulamu? Tewaliba ne kimu ku ebyo eby’obutuukirivu bye yakola, ebirijjukirwa: Olw’obutaba mwesigwa aliba n’omusango, era n’olw’ebibi bye yakola, alifa.
25 (R)“Mugamba nti, ‘Mukama si mwenkanya.’ Kaakano muwulire mwe ennyumba ya Isirayiri, enkola yange y’etali ya bwenkanya oba mmwe mutali benkanya? 26 Omuntu omutuukirivu bw’aleka okukola ebikolwa bye eby’obutuukirivu n’akola ebibi, mw’alifiira, kubanga ebibi by’akoze bye birimuleetera okufa. 27 (S)Naye bw’alikyuka okuva mu butali butuukirivu bwe bw’akoze, n’akola eby’ensonga era ebituufu, alirokola obulamu bwe. 28 Era bw’alirowooza ku bibi byonna by’akoze, n’akyuka n’alekeraawo okubikola, mazima ddala aliba mulamu, talifa. 29 Naye oluvannyuma ennyumba ya Isirayiri ne mwogera nti, ‘Ekkubo lya Mukama si lya bwenkanya.’ Mmwe ennyumba ya Isirayiri, engeri zange ze zitali za bwenkanya? Engeri zammwe si ze zitali za bwenkanya?
30 (T)“Kyendiva mbasalira omusango, mmwe ennyumba ya Isirayiri, buli muntu ng’ebikolwa byammwe bwe biri, bw’ayogera Mukama. Mwenenye, muleke ebikolwa ebitali bya butuukirivu, oba nga ssi weewaawo ebibi byammwe biribaleetera okuzikirira. 31 (U)Mweggyeeko ebikolwa byonna ebitali bya butuukirivu, bye mukoze, mufune omutima omuggya n’omwoyo omuggya. Kiki ekibaleetera okufa, mmwe ennyumba ya Isirayiri? 32 (V)Sisanyukira kufa kwa muntu yenna, bw’ayogera Mukama Katonda. Mwenenye mube balamu.”
Okukungubagira Abalangira ba Isirayiri
19 (W)Kungubagira abalangira ba Isirayiri, 2 oyogere nti,
“ ‘Maama wo nga yali mpologoma nkazi,
mu mpologoma!
Yagalamiranga wakati mu mpologoma ento,
n’erabirira abaana baayo.
3 N’ekuza emu ku baana baayo
n’efuuka empologoma ey’amaanyi,
n’eyiga okuyigga ebisolo,
n’okulya abantu.
4 (X)Amawanga gaawulira ebimufaako,
n’akwatirwa mu kinnya kye yali asimye,
ne bamusibamu amalobo
ne bamuleeta mu nsi y’e Misiri.
5 (Y)“ ‘Awo bwe yalaba essuubi lye nga terituukiridde,
ne bye yali alindirira nga biyise,
n’eddira emu ku baana baayo ab’empologoma endala,
n’egifuula empologoma ey’amaanyi.
6 (Z)N’etambulatambula mu mpologoma,
kubanga yali efuuse empologoma ey’amaanyi,
era n’eyiga okuyigga ensolo,
n’okulya abantu.
7 (AA)N’emenyaamenya ebifo byabwe eby’amaanyi,
n’ezikiriza n’ebibuga byabwe;
ensi n’abo bonna abaagibeerangamu,
ne batya olw’okuwuluguma kwayo.
8 (AB)Awo amawanga gonna ne gagirumba,
okuva mu bitundu ebyali byetooloddewo,
ne bayanjuluza ekitimba kyabwe,
ne bagikwatira mu kinnya kyabwe.
9 (AC)Ne bakozesa amalobo okugisikayo,
ne bagiteeka mu kayumba ak’ebyuma,
ne bagitwala eri kabaka w’e Babulooni;
n’eteekebwa mu kkomera,
n’etaddayo kuwulikika nate ku nsozi za Isirayiri.
10 (AD)“ ‘Maama wo yali ng’omuzabbibu mu nnimiro
ogwasimbibwa okumpi n’amazzi;
ne gubala ebibala ne bijjula amatabi,
kubanga waaliwo amazzi mangi.
11 (AE)Amatabi gaagwo gaali magumu,
era nga gasaanira okukolebwamu omuggo gw’obwakabaka.
Omuzabbibu ogwo gwali muwanvu ne guyitamu
okusinga emiti emirala,
ne gumanyibwa olw’obuwanvu bwagwo,
n’olw’amatabi gaagwo amangi.
12 (AF)Naye gwasigulibwa n’ekiruyi
ne gusuulibwa wansi;
embuyaga ez’Ebuvanjuba ne zigukaza,
ebibala byagwo ne biggwaako,
n’amatabi gaakwo amagumu ne gakala,
era ne gwokebwa omuliro.
13 (AG)Kaakano gusimbiddwa mu ddungu,
awakalu awatali mazzi.
14 (AH)Omuliro gwava ku limu ku matabi,
ne gwokya amatabi gaagwo n’ebibala byagwo.
Tewasigadde ttabi ggumu na limu ku gwo
eriyinza okukolwamu omuggo ogw’obwakabaka.’
Kuno kukungubaga, era kukozesebwa ng’okukungubaga.”
Isirayiri Omujeemu
20 (AI)Awo mu mwaka ogw’omusanvu, mu mwezi ogwokutaano ku lunaku olw’ekkumi, abamu ku bakadde ba Isirayiri ne bajja okwebuuza ku Mukama Katonda, ne batuula wansi mu maaso gange.
2 Ekigambo kya Mukama ne kinzijira, mbategeeze nti, 3 (AJ)“Omwana w’omuntu, yogera eri abakadde ba Isirayiri obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti: Muzze kunneebuuzaako? Mazima nga bwe ndi omulamu temujja kunneebuuzaako, bw’ayogera Mukama Katonda.’
4 (AK)“Olibasalira omusango? Olibasalira omusango ggwe omwana w’omuntu? Kale bategeeze ebikolwa eby’ekivve bajjajjaabwe bye baakola, 5 (AL)era bategeeze nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti: ku lunaku lwe, neroboza Isirayiri, nalayirira bazzukulu b’ennyumba ya Yakobo, ne mbeeyabiza mu Misiri nga njogera nti, “Nze Mukama Katonda wammwe.” 6 (AM)Ku lunaku olwo nabalayirira nti ndibaggya mu nsi y’e Misiri ne mbatwala mu nsi gye nabanoonyeza, ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki, ensi esinga mu nsi zonna obulungi. 7 (AN)Ne mbagamba nti, “Buli muntu aggyewo ebintu eby’omuzizo mu maaso ge, muleme okweyonoonyesa ne bakatonda abalala ab’e Misiri, kubanga nze Mukama Katonda wammwe.”
8 (AO)“ ‘Naye ne banjeemera, ne bagaana okumpuliriza; tebaggyawo bintu eby’omuzizo mu maaso gaabwe, newaakubadde okuleka bakatonda abalala ab’e Misiri. Kyenava njogera nti ndibabonerereza mu Misiri. 9 (AP)Naye olw’obutavumisa linnya lyange mu maaso g’amawanga mwe baabeeranga, ne mu maaso gaabo be neeyabiza eri Abayisirayiri nga mbaggya mu Misiri, nakola bwe nti olw’erinnya lyange. 10 (AQ)Kyenava mbaggya mu Misiri ne mbatwala mu ddungu. 11 (AR)Nabawa ebiragiro byange ne mbamanyisa n’amateeka gange, omuntu yenna bw’abigoberera abeere mulamu. 12 (AS)Ne mbawa ne Ssabbiiti zange ng’akabonero wakati wange nabo, bategeere nga nze Mukama abatukuza.
13 (AT)“ ‘Naye era abantu ba Isirayiri ne banjeemera mu ddungu, ne batagoberera biragiro byange, ne banyooma amateeka gange, ebyandiyinzizza okulokola omuntu abigondera, ne Ssabbiiti zange ne batazitukuza. Kyenava njogera nti ndibasunguwalira ne mbazikiririza mu ddungu. 14 (AU)Naye olw’erinnya lyange nakola ekyo obutavumisibwa obuteeswaza mu maaso g’amawanga mwe nabaggya. 15 (AV)Era ne mbalayirira mu ddungu nga bwe siribaleeta mu nsi gye nnali mbawadde, ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki, ensi esinga endala zonna obulungi, 16 (AW)kubanga baajeemera amateeka gange ne batagoberera biragiro byange, ne batatukuza Ssabbiiti zange, kubanga emitima gyabwe gyasinzanga bakatonda abalala. 17 Naye wakati mu ebyo byonna ne mbasaasira ne sibazikiriza, newaakubadde okubasaanyaawo mu ddungu. 18 (AX)Ne ŋŋamba abaana baabwe mu ddungu nti, “Temugoberera biragiro bya bakitammwe, newaakubadde okukwata amateeka gaabwe, so temweyonoonyesanga ne bakatonda baabwe abalala. 19 (AY)Nze Mukama Katonda wammwe, mugoberere ebiragiro byange era mwegendereze okukwata amateeka gange, 20 (AZ)n’okutukuza Ssabbiiti zange, era ebyo binaabanga kabonero wakati wange nammwe, olwo mulimanya nga nze Mukama Katonda wammwe.”
21 “ ‘Naye abaana banjeemera; tebaagoberera biragiro byange newaakubadde okukwata amateeka gange, ebyandiyinzizza okulokola omuntu abigondera, ne Ssabbiiti zange ne batazitukuza. Kyenava njogera nti ndibasunguwalira mu ddungu. 22 (BA)Naye neekuuma olw’erinnya lyange obutaliswaza mu maaso g’amawanga mwe nnali mbaggye. 23 (BB)Era ne mbalayirira mu ddungu nti ndibasaasaanya mu mawanga, ne mbabunya mu nsi, 24 (BC)kubanga tebaagoberera mateeka gange era ne bajeemera n’ebiragiro byange, era ne batatukuza Ssabbiiti zange, naye amaaso gaabwe ne gayaayaanira bakatonda abalala aba bajjajjaabwe. 25 (BD)Kyennava mbawaayo eri ebiragiro ebitali birungi n’amateeka ebitayinza kubabeezesaawo mu bulamu; 26 (BE)ne mbaswaza nga nkozesa ebirabo byabwe, bwe baleeta omuggulanda waabwe ng’ekiweebwayo, balyoke bajjule entiisa, era bamanye nga nze Mukama.’
27 (BF)“Kale omwana w’omuntu, yogera eri abantu ba Isirayiri obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti: mu kino nakyo bajjajjammwe mwe banvumira ne banzivoola. 28 (BG)Bwe nabaleeta mu nsi gye nabalayirira ne balaba buli lusozi oluwanvu na buli muti ogwamera yo, ne baweerangayo ssaddaaka zaabwe, ne baweerangayo ebiweebwayo ebyannyiiza, ne banyookerezanga obubaane bwabwe, era ne baweerangayo n’ebiweebwayo ebyokunywa. 29 Kyenava mbabuuza nti, Ekifo ekyo ekigulumivu gye mugenda kya mugaso ki?’ ”
Okusala Omusango n’Okuzzibwa Obuggya
30 (BH)“Noolwekyo gamba ennyumba ya Isirayiri nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Mulyeyonoona nga bajjajjammwe bwe baakola ne mugoberera ebintu eby’ekivve? 31 (BI)Bwe muwaayo ebirabo, ne muwaayo n’abaana bammwe mu muliro ng’ebiweebwayo, mweyongera okweyonoona ne bakatonda bammwe abalala bonna. Nnyinza okubakkiriza okunneebuuzaako mmwe ennyumba ya Isirayiri? Nga bwe ndi omulamu temujja kunneebuuzaako, bw’ayogera Mukama Katonda.
32 “ ‘Mwogera nti, “Twagala okuba ng’amawanga amalala, ng’abantu ab’ensi endala, abaweereza embaawo n’amayinja,” naye ebyo bye mulowooza tebiribaawo n’akatono. 33 (BJ)Nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera Mukama Katonda, ndibafuga n’omukono ogw’amaanyi, era ndigolola omukono gwange n’obusungu bungi. 34 (BK)Ndibaggya mu mawanga n’omukono ogw’amaanyi omugolole, nga nzijudde obusungu, ne mbakuŋŋaanya okuva mu nsi gye mwasaasaanira. 35 (BL)Ndibaleeta mu ddungu ery’amawanga, era eyo gye ndibasalira omusango nga tutunuuliganye amaaso n’amaaso. 36 (BM)Nga bwe nasalira bajjajjammwe omusango mu ddungu ery’ensi ya Misiri, bwe ntyo bwe ndibasalira omusango, bw’ayogera Mukama Katonda. 37 (BN)Ndibeetegereza nga muyita wansi w’omuggo gwange ne mbassaako envumbo y’endagaano yange. 38 (BO)Ndibamaliramu ddala mu mmwe abajeemu era abansobya. Era newaakubadde nga ndibaggya mu nsi gye balimu, tebaliyingira mu nsi ya Isirayiri, mulyoke mumanye nga nze Mukama.
39 (BP)“ ‘Ate ggwe ennyumba ya Isirayiri, bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Mugende muweereze bakatonda bammwe abalala, mugende, naye oluvannyuma mulimpuliriza, ne mulekayo n’okuvumisa erinnya lyange ettukuvu n’ebirabo byammwe era ne bakatonda bammwe abalala. 40 (BQ)Ku lusozi lwange olutukuvu, olusozi oluwanvu olwa Isirayiri mu nsi eyo, ennyumba ya Isirayiri yonna balimpeereza, nange ndibasembeza. Era eyo gye ndibasabira ebiweebwayo byammwe, n’ebibala ebibereberye eby’ebirabo byammwe, wamu ne ssaddaaka zammwe ezitukuzibbwa. 41 (BR)Bwe ndibaggya mu mawanga ne mbakuŋŋaanya okuva mu nsi gye mwasaasaanira, ndibakkiriza nga bwenzikiriza akaloosa ak’evvumbe eddungi, era ndibalaga obutukuvu bwange mu maaso g’amawanga. 42 (BS)Mulimanya nga nze Mukama, bwe ndibaleeta mu nsi ya Isirayiri ensi gye nalayirira bajjajjammwe n’omukono ogugoloddwa. 43 (BT)Era eyo gye mulijjuukirira enneeyisa yammwe n’ebikolwa byammwe byonna bye mweyonoonyesa, era mulyetukuza olw’ebibi byonna bye mwakola. 44 (BU)Mulimanya nga nze Mukama, bwe ndibakola ng’erinnya lyange bwe liri so si ng’ebibi byammwe bwe biri, n’ebikolwa byammwe eby’obukumpanya bwe biri, mmwe ennyumba ya Isirayiri, bw’ayogera Mukama Katonda.’ ”
Obubaka eri Obukiikaddyo
45 Ekigambo kya Mukama ne kinzijira nti, 46 (BV)“Omwana w’omuntu, simba amaaso go mu bukiikaddyo, obabuulire era owe obunnabbi gye bali n’eri ekibira eky’ensi ey’Obukiikaddyo. 47 (BW)Yogera eri ekibira eky’omu bukiikaddyo nti, ‘Wulira ekigambo kya Mukama. Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Nnaatera okukukumako omuliro, era gulizikiriza emiti gyonna, omubisi n’omukalu. Ennimi ez’omuliro tezirizikizibwa, na buli ludda okuva mu bukiikaddyo okutuuka mu bukiikakkono bulyokebwa. 48 (BX)Buli muntu aliraba nga nze Mukama abyokezza, era tegulizikizibwa.’ ”
49 (BY)Awo ne njogera nti, “Ayi Mukama Katonda, banjogerako nti, ‘Oyo tanyumya ngero bugero.’ ”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.