Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Beginning

Read the Bible from start to finish, from Genesis to Revelation.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Yeremiya 46-48

Obubaka Obukwata ku Misiri

46 (A)Kino kye kigambo kya Mukama Katonda ekyajjira nnabbi Yeremiya ekikwata ku mawanga:

(B)Ebikwata ku Misiri:

Buno bwe bubaka obukwata ku ggye lya Falaawo Neko kabaka w’e Misiri, eryawangulwa e Kalukemisi, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni lye yakuba mu mwaka ogwokuna ogw’obufuzi bwa Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda ku Mugga Fulaati.

(C)“Mutegeke engabo zammwe,
    ennene n’entono mukumbe okugenda mu lutalo!
(D)Mutegeke embalaasi
    muzeebagale!
Muyimirire mu bifo byammwe
    n’esseppeewo zammwe!
Muzigule amafumu,
    mwambale ebizibaawo eby’ebyuma!
(E)Kiki kye ndaba?
    Batidde,
badda ennyuma,
    abalwanyi baabwe bawanguddwa.
Badduka mu bwangu
    awatali kutunula mabega,
    era waliwo okufa ku buli luuyi,”
    bw’ayogera Mukama Katonda.
(F)“Abawenyusi b’embiro tebasobola kuwona
    n’ab’amaanyi tebasobola kwewonya.
Beesittala
    ne bagwa mu bukiikakkono obw’Omugga Fulaati.

(G)“Ani oyo ayimuka ng’omugga Kiyira,
    ng’emigga egy’amazzi agabimba?
Misiri eyimuka nga Kiyira,
    ng’emigga egy’amazzi agabimba.
Agamba nti, ‘Ndisituka ne mbuutikira ensi yonna.
    Ndizikiriza ebibuga n’abantu baabyo.’
(H)Mulumbe, mmwe embalaasi!
    Muzidduse n’amaanyi, mmwe abalwanyi b’oku mbalaasi!
Mukumbe mmwe abalwanyi,
    abasajja b’e Kuusi ne Puuti[a] abeettika engabo,
    abasajja b’e Luudi abakozesa obusaale.
10 (I)Naye olunaku olwo lwa Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye,
    olunaku olw’okuwalanirako eggwanga, olw’okusalira abalabe omusango.
Ekitala kijja kulya nga kimaliddwa,
    okutuusa nga kyemazeeko ennyonta y’omusaayi.
Kubanga Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye,
    alibawaayo babeere ng’ekiweebwayo mu nsi ey’obukiikakkono ku Mugga Fulaati.

11 (J)“Genda e Gireyaadi ofune eddagala ery’okusaaba,
    ggwe Omuwala Embeerera owa Misiri.
Naye mwongerera bwereere obujjanjabi;
    temujja kuwonyezebwa.
12 (K)Amawanga gajja kuwulira obuswavu bwammwe;
    emiranga gyammwe gijja kujjuza ensi.
Omulwanyi omu alitomera omulala
    bombi ne bagwa.”

13 (L)Buno bwe bubaka Mukama Katonda bwe yayogera eri nnabbi Yeremiya ku bikwata ku kujja kwa Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni okulumba Misiri:

14 (M)“Langirira kino mu Misiri, era okyogere e Migudooli;
    kirangirire e Tapaneese ne Noofu nti,
‘Muyimirire mu bifo byammwe mwetegeke
    kubanga ekitala kirya abo ababeetoolodde.’
15 (N)Lwaki abalwanyi bo bagudde wansi?
    Tebasobola kuyimirira, kubanga Mukama Katonda ajja kubasindika wansi.
16 (O)Balyesittala emirundi egiwera;
    baligwiragana.
Bagambe nti, ‘Yimuka, tuddeyo
    eri abantu baffe era n’ensi zaffe,
    tuve awali ekitala ky’oyo atunyigiriza.’
17 (P)Eyo gye baliwowogganira nti,
    ‘Falaawo kabaka w’e Misiri mulekaanyi bulekaanyi
    afiiriddwa omukisa gwe.’ 

18 (Q)“Nga bwe ndi omulamu,” bw’ayogera oyo Kabaka
    ayitibwa Mukama Katonda ow’Eggye,
“Waliwo alijja ali nga Taboli wakati mu nsozi,
    nga Kulumeeri ku nnyanja.
19 (R)Musibe engugu zammwe muwaŋŋanguke,
    mmwe abali mu Misiri
kubanga Noofu kirifuuka matongo,
    ekiryaawo omutali bantu.

20 (S)“Misiri nte nduusi nnungi nnyo,
    naye kawawa avudde mu bukiikakkono azze okumulumba.
21 (T)N’abajaasi be abapangise
    bagezze ng’ennyana.
Nabo bajja kukyuka badduke,
    tebaasobole kuyimirirawo,
kubanga olunaku olw’ekikangabwa lubajjira,
    ekiseera kyabwe eky’okubonerezebwa kisembedde.
22 Misiri alikaaba ng’omusota ogudduka,
    omulabe alimulumba mu maanyi,
amujjire n’embazzi,
    ng’abatemi b’emiti.
23 (U)Balitema ekibira kye,” bw’ayogera Mukama Katonda,
    “newaakubadde nga kikutte nnyo.
Bangi n’okusinga enzige,
    tebasobola kubalika.
24 (V)Muwala wa Misiri aliswazibwa,
    aweebweyo mu mukono gw’abo abava mu bukiikakkono.”

25 (W)Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri, agamba nti, “Nnaatera okuleeta ekibonerezo ku Amoni katonda w’e Tebeesi, ne ku Falaawo, ne ku Misiri, ne ku bakatonda be, ne ku bakabaka be, ne ku abo abeesiga Falaawo. 26 (X)Ndibawaayo eri abo abaagala okubatta, eri Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’abakungu be. Wabula oluvannyuma, Misiri eribeeramu abantu nga bwe yali edda,” bw’ayogera Mukama Katonda.

27 (Y)“Totya, ggwe Yakobo omuweereza wange;
    toggwaamu maanyi, ggwe Isirayiri.
Ddala ddala ndikununula okuva mu kifo eky’ewala,
    n’ezzadde lyo ndinunule okuva mu nsi ey’obuwaŋŋanguse bwalyo.
Yakobo aliddamu okufuna emirembe n’atebenkera,
    era tewali alimutiisa.
28 (Z)Totya, ggwe Yakobo omuddu wange,
    kubanga ndi naawe,” bw’ayogera Mukama.
“Wadde nga nazikiririza ddala amawanga gonna
    gye nabasaasaanyiza,
    naye mmwe siribazikiririza ddala.
Ndibabonereza naye mu bwenkanya;
    siribaleka nga temubonerezebbwa.”

Obubaka Obukwata ku Bafirisuuti

47 (AA)Kino kye kigambo kya Mukama Katonda ekyajjira nnabbi Yeremiya ekikwata ku Bafirisuuti nga Falaawo tannalumba Gaza nga kigamba nti:

(AB)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“Laba amazzi agatumbira mu bukiikakkono,
    galifuuka omugga ogwanjaala.
Galyanjaala ku nsi
    ne mu bibuga byonna ebigirimu n’ababituulamu.
Abantu balikaaba;
    bonna abali mu nsi baliwowoggana.
Olw’emisinde gy’embalaasi ezidduka
    n’okufuumuuka kw’amagaali g’omulabe
    era n’okuwuuma kwa nnamuziga,
bakitaabwe tebajja kukyuka kuyamba baana baabwe,
    emikono gyabwe gya kulebera.
(AC)Kubanga olunaku lutuuse
    okuzikiriza Abafirisuuti bonna,
n’okusalako bonna abandisigaddewo
    abandiyambye Ttuulo ne Sidoni.
Mukama wa kuzikiriza Abafirisuuti
    abaasigalawo ku mbalama z’ekizinga Kafutoli.
(AD)Gaza alimwa omutwe gwe ng’akungubaga.
    Asukulooni alisirisibwa.
Ggwe eyasigala mu kiwonvu,
    olituusa ddi okwesalaasala?

(AE)“ ‘Ayi ggwe ekitala kya Mukama Katonda, okaaba,
    obudde bunaatuuka ddi owummule?
Ddayo mu kiraato kyo
    sirika teweenyeenya.’
Naye kiyinza kitya okuwummula
    nga Mukama y’akiragidde,
ng’akiragidde
    okulumba Asukulooni n’olubalama lw’ennyanja?”

Obubaka Obukwata ku Mowaabu

48 (AF)Ebikwata ku Mowaabu:

Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti,

“Zikisanze Nebo, kubanga kijja kuzikirizibwa,
    Kiriyasayimu kiswale kiwambibwe,
    ekigo eky’amaanyi kijja kuswala kimenyebwe.
(AG)Mowaabu taddeyo kutenderezebwa;
    mu Kesuboni abantu balitegeka okugwa kwe, nga boogera nti,
    ‘Mujje, tumalewo ensi eyo.’
Nammwe, mmwe Madumeni mulisirisibwa,
    n’ekitala kirikugoberera.
(AH)Muwulirize emiranga egiva e Kolonayimu,
    okwonoonekerwa n’okuzikirizibwa okunene.
Mowaabu alimenyebwa;
    abawere ne bakaaba.
(AI)Bakwata ekkubo erigenda e Lukisi,
    nga bwe bakungubaga
ku luguudo olugenda e Kolonayimu,
    emiranga egy’okuzikirizibwa giwulirwa.
(AJ)Mudduke! Muwonye obulamu bwammwe;
    mubeere ng’ebisaka mu ddungu.
(AK)Kubanga mwesiga ebikolwa byammwe n’obugagga bwammwe,
    nammwe mulitwalibwa ng’abaddu,
ne Kemosi alitwalibwa mu buwaŋŋanguse
    awamu ne bakabona be n’abakungu be.
Omuzikiriza alirumba buli kibuga,
    era tewali kibuga kiriwona.
Ekiwonvu kiryonoonebwa
    n’olusenyu luzikirizibwe
    kubanga Mukama ayogedde.
Muwe Mowaabu ebiwaawaatiro abuuke agende
    kubanga alifuuka matongo,
ebibuga bye birizikirizibwa,
    nga tewali abibeeramu.

10 (AL)“Akolimirwe oyo agayaalira omulimu gwa Mukama Katonda.
    Akolimirwe oyo aziyiza ekitala kye okuyiwa omusaayi.

11 (AM)“Mowaabu abadde mirembe okuva mu buvubuka bwe,
    nga wayini gwe batasengezze,
gwe bataggye mu kibya ekimu okumuyiwa mu kirala,
    tagenzeko mu buwaŋŋanguse.
Kale awooma ng’edda,
    n’akawoowo ke tekakyukanga.
12 Naye ennaku zijja,”
    bw’ayogera Mukama Katonda,
“lwe ndituma basajja bange abaggya wayini mu bibya,
    era balimuyiwa ebweru;
balittulula ensuwa ze
    baase n’ebibya bye.
13 (AN)Awo Mowaabu alikwatibwa ensonyi olwa Kemosi,
    ng’ennyumba ya Isirayiri bwe yaswala
    bwe yeesiga Beseri.

14 (AO)“Oyinza otya okugamba nti, ‘Tuli balwanyi,
    abasajja abazira mu ntalo?’
15 (AP)Mowaabu alizindibwa n’ebibuga bye ne bizikirizibwa;
    abavubuka be abato bagende battibwe,”
    bw’ayogera Kabaka, erinnya lye ye Mukama Katonda ow’Eggye.
16 (AQ)“Okugwa kwa Mowaabu kusembedde;
    akabi katuuse.
17 Mumubeesebeese mwenna abamwetoolodde,
    mwenna abamanyi ettutumu lye;
mugambe nti, ‘Ng’Omuggo ogw’amaanyi ogw’obwakabaka gumenyese,
    ng’oluga olw’ekitiibwa lumenyese!’ 

18 (AR)“Mukke muve mu kitiibwa kyammwe
    mutuule ku ttaka,
    mmwe abatuuze b’Omuwala w’e Diboni,
kubanga oyo azikiriza Mowaabu
    alibajjira azikirize ebibuga byammwe ebya bbugwe.
19 (AS)Muyimirire ku luguudo mulabe,
    mmwe ababeera mu Aloweri.
Mubuuze omusajja adduka, n’omukazi atoloka,
    mubabuuze nti, ‘Kiki ekiguddewo?’
20 (AT)Mowaabu aswadde kubanga amenyesemenyese.
    Mukaabe muleekaane!
Mulangiririre mu Alunoni
    nti Mowaabu kizikiridde.
21 (AU)Okusala omusango kutuuse mu nsi ey’ensenyi
    ku Koloni ne ku Yaza ne ku Mefaasi,
22     (AV)ne ku Diboni, ne ku Nebo ne ku Besudibulasayimu,
23     (AW)ne ku Kiriyasayimu ne ku Besugamuli ne ku Besumyoni;
24     (AX)ne ku Keriyoosi ne ku Bozula
    ne ku bibuga byonna eby’omu nsi ya Mowaabu ebiri ewala n’ebiri okumpi.
25 (AY)Ejjembe lya Mowaabu lisaliddwako,
    n’omukono gwe gumenyese,”
    bw’ayogera Mukama Katonda.

26 (AZ)“Mumutamiize;
    kubanga ajeemedde Mukama.
Ka Mowaabu yekulukuunyize mu bisesemye bye,
    era asekererwe.
27 (BA)Isirayiri tewagisekereranga?
    Baali bamukutte mu bubbi,
olyoke onyeenye omutwe gwo ng’omusekerera
    buli lw’omwogerako?
28 (BB)Muve mu bibuga byammwe mubeere mu njazi,
    mmwe ababeera mu Mowaabu.
Mubeere ng’ejjiba erikola ekisu kyalyo
    ku mumwa gw’empuku.

29 (BC)“Tuwulidde amalala ga Mowaabu
    amalala ge agayitiridde n’okwemanya,
okwewulira kwe era n’okweyisa kwe
    era n’okwegulumiza kwe okw’omutima.
30 Mmanyi obusungu bwe obutaliimu,” bw’ayogera Mukama Katonda,
    “okwenyumiriza kwe okutaliiko kye kugasa.
31 (BD)Noolwekyo nkaabirira Mowaabu,
    olwa Mowaabu yenna nkaaba,
    nkungubagira abasajja ab’e Kirukeresi.
32 (BE)Nkukaabira ggwe amaziga, nga Yazeri bw’akaaba,
    ggwe omuzabbibu gw’e Sibuna.
Amatabi gammwe geegolola okutuuka ku nnyanja;
    gatuuka ku nnyanja y’e Yazeri.
Omuzikiriza agudde ku bibala byo
    ebyengedde era n’emizabbibu.
33 (BF)Essanyu n’okujaguza biggiddwa ku nnimiro
    ne ku bibanja bya Mowaabu.
Nziyizza okukulukuta kwa wayini mu masogolero;
    tewali asogola ng’aleekaana olw’essanyu.
Newaakubadde nga waliyo okuleekaana,
    okuleekaana okwo si kwa ssanyu.

34 (BG)“Amaloboozi g’okukaaba kwabwe galinnye
    okuva e Kesuboni okutuuka ku Ereyale, n’okutuuka ku Yakazi.
Okuva e Zowaali okutuuka e Kolanayimu n’e Egulasuserisiya,
    kubanga n’amazzi g’e Nimulimu gakalidde.
35 (BH)Ndiggyawo
    abo abawaayo ebiweebwayo mu bifo ebigulumivu e Mowaabu,
    ne bootereza n’obubaane eri bakatonda baabwe,” bw’ayogera Mukama Katonda.
36 (BI)“Noolwekyo omutima gwange gukaabira Mowaabu ng’endere;
    gukaaba ng’endere olw’abasajja b’e Kirukesi.
    Obugagga bwe baafuna buweddewo.
37 (BJ)Buli mutwe mumwe
    na buli kirevu kisaliddwako;
buli mukono gutemeddwako
    na buli kiwato kisibiddwamu ebibukutu.
38 (BK)Ku buli kasolya ka nnyumba e Mowaabu
    ne mu bifo awakuŋŋaanirwa,
tewaliwo kintu kirala wabula okukungubaga,
    kubanga njasizzayasizza Mowaabu
    ng’ekibya ekitaliiko akyagala,” bw’ayogera Mukama Katonda.
39 “Ng’amenyeddwamenyeddwa! Nga bakaaba!
    Mowaabu ng’akyusa omugongo gwe olw’obuswavu!
Mowaabu afuuse kyakusekererwa,
    ekyekango eri bonna abamwetoolodde.”
40 (BL)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti:
“Laba! Empungu ekka,
    ng’eyanjuluza ebiwaawaatiro byayo ku Mowaabu.
41 (BM)Ebibuga birikwatibwa
    n’ebigo biwambibwe.
Ku lunaku olwo emitima gy’abalwanyi ba Mowaabu
    giribeera ng’omutima gw’omukazi alumwa okuzaala.
42 (BN)Mowaabu alizikirizibwa,
    kubanga yajeemera Mukama.
43 (BO)Entiisa n’obunnya n’omutego bibalindiridde,
    mmwe abantu ba Mowaabu,”
    bw’ayogera Mukama Katonda.
44 (BP)“Buli alidduka entiisa
    aligwa mu bunnya,
n’oyo aliba avudde mu bunnya
    alikwatibwa omutego;
kubanga ndireeta ku Mowaabu
    omwaka gw’okubonaabona kwe,”
    bw’ayogera Mukama Katonda.

45 (BQ)“Mu kisiikirize kya Kesuboni,
    abadduka mwe bayimirira nga tebalina maanyi,
kubanga omuliro guvudde mu Kesuboni,
    ennimi z’omuliro wakati mu Sikoni,
era gw’okezza ebyenyi bya Mowaabu,
    n’obuwanga bw’abo abaleekaana nga beewaanawaana.
46 (BR)Zikusanze ggwe, Mowaabu.
    Abantu b’e Kemosi bazikiridde,
batabani bo batwaliddwa mu buwaŋŋanguse
    ne bawala bammwe mu busibe.

47 (BS)“Ndikomyawo nate obugagga bwa Mowaabu
    mu nnaku ezijja,”
    bw’ayogera Mukama Katonda.

Omusango Mowaabu gw’asaliddwa gukoma wano.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.