Beginning
Olugero lw’Omubumbi n’Ebbumba
18 Kino ky’ekigambo ekyajjira Yeremiya ekyava eri Mukama nti, 2 “Serengeta mu nnyumba y’omubumbi nkuweere eyo obubaka bwange.” 3 Awo ne nserengeta eri ennyumba y’omubumbi ne mmulaba ng’akolera emirimu gye ku nnamuziga. 4 Naye ekintu kye yali abumba kyali kyonoonekedde mu ngalo ze, omubumbi kyeyava akibumbamu ekintu ekirala ng’akibumba nga bwe yasiima.
5 Awo ekigambo kya Mukama ne kinzijira nga kigamba nti, 6 (A)“Gwe ennyumba ya Isirayiri, siyinza nze kubakola ng’omubumbi ono bw’akoze?” bw’ayogera Mukama. “Okufaanana ng’ebbumba mu mukono gw’omubumbi, bwe mutyo bwe muli mu ngalo zange, ggwe ennyumba ya Isirayiri. 7 (B)Ekiseera kyonna bwe nnangirira nti eggwanga oba obwakabaka bwa kusiguukululwa, okumenyebwa era n’okuzikirizibwa, 8 (C)era singa eggwanga lye nalabula lyenenya ebibi byalyo, olwo ndyejjusa ne sibatuusaako kabi ke nnali ŋŋambye okubakola. 9 (D)Era ekiseera kyonna nnangirira ebikwata ku ggwanga oba obwakabaka nti ndizimba era ndisimba, 10 (E)era bwe likola ebibi mu maaso gange, ne litaŋŋondera, ndyejjusa obulungi bwe nagamba okubakolera.
11 (F)“Noolwekyo gamba abantu ba Yuda n’abo ababeera mu Yerusaalemi nti, ‘Kino Mukama ky’ayogera nti, Laba ntekateeka okubatuusaako ekikangabwa era nteesezza okubakola akabi. Kale muve mu makubo gammwe amabi, buli omu ku mmwe, mukyuse enneeyisa yammwe n’ebikolwa byammwe.’ 12 (G)Naye ne boogera nti, ‘Tekirina kye kigasa. Tujja kugenda mu maaso n’entegeka yaffe; buli omu ku ffe anaakolanga ng’obukakanyavu bw’omutima gwe bwe buli.’ ”
13 (H)Noolwekyo bw’ati Mukama ng’agamba nti,
“Mwebuuzeeko mu mawanga.
Ani eyali awuliddeko ekintu bwe kiti?
Muwala wange Isirayiri
akoze ekintu eky’ekivve.
14 Omuzira oguli ku Lebanooni
gwali guwedde ku njazi zaakwo?
Amazzi gaakwo amannyogovu agava ewala
gaali galeseeyoko okukulukuta?
15 (I)Naye ate abantu bange banneerabidde,
banyookezza obubaane eri bakatonda abalala,
abaleetera okwesittala mu makubo gaabwe
era ne mu makubo ag’edda
era ne balaga mu bukubokubo.
16 (J)Ensi yaabwe ya kusigala matongo,
ekintu eky’okusekererwa emirembe gyonna,
abo bonna abayise balyewuunya
era ne banyeenya emitwe gyabwe.
17 (K)Ndibasaasaanya mu maaso g’abalabe baabwe
ng’empewo eva ebuvanjuba;
ndibalaga mabega
so si maaso gange ku lunaku olw’okulabirako ennaku.”
18 (L)Awo ne balyoka bagamba nti, “Mujje tubeeko kye tukola Yeremiya. Kubanga bakabona weebali banaatutegeezanga amateeka, n’amagezi tunaagafunanga ku bagezi, era n’ebyobunnabbi binaavanga mu bannabbi. Kaakano mujje tumulumbe tumuwakanye era tuleme okussaayo omwoyo ku bigambo bye.”
19 Ompulirize, Ayi Mukama,
owulirize abampakanya kye bagamba.
20 (M)Ebikolwa ebirungi binaasasulwanga na bikolwa ebibi?
Bansimidde obunnya.
Ojjukire nga nayimirira mu maaso go
ne nkaaba ku lwabwe,
nga nsaba olekeraawo okubasunguwalira.
21 (N)Noolwekyo abaana baabwe baleke bafe enjala,
obaweeyo battibwe n’ekitala.
Leka bakazi baabwe bafuuke bagumba era babe bannamwandu;
abasajja baabwe battibwe;
abavubuka baabwe batirimbulwe n’ekitala mu lutalo.
22 (O)Leka okukaaba kuwulirwe nga kuva mu nnyumba zaabwe,
bwe banaalumbibwa ne bazindibwa embagirawo,
kubanga bansimidde ekinnya bankwate
era bateze ebigere byange emitego.
23 (P)Naye Ayi Mukama, gw’omanyi byonna,
bye bateesa banzite.
Tobasonyiwa byonoono byabwe
wadde okusangulawo ebibi byabwe mu maaso go.
Obawangulire ddala,
era obabonereze mu kiseera ky’obusungu bwo.
Olugero lw’Ensumbi Eyayatika
19 (Q)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Genda ogule ensumbi ey’ebbumba okuva ku mubumbi. Twala abamu ku bakadde ne ku bakabona, 2 (R)ofulume ogende mu kiwonvu kya mutabani wa Kinomu ekiri awayingirirwa mu mulyango Kalusiisi, olangiririre eyo ebigambo bye nnaakutegeeza. 3 (S)Ogambe nti, ‘Muwulire ekigambo kya Mukama mmwe bakabaka ba Yuda nammwe abali mu Yerusaalemi, bw’atyo bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Muwulirize! Ndireeta ekikangabwa mu kifo kino ekiriwaawaaza buli kutu. 4 (T)Kubanga banvuddeko ekifo kino ne bakifuula ekya bakatonda abalala. Bookerezaamu ebiweebwayo eri bakatonda, bakitaabwe wadde bakabaka ba Yuda be batamanyangako, nga bajjuzza ekifo kino omusaayi gw’abataliiko musango. 5 (U)Bazimbye ebifo ebigulumivu ebya Baali, bookereyo batabani baabwe mu muliro ng’ekiweebwayo eri Baali, ekintu kye siragiranga, era kye soogerangako, wadde okukirowoozaako. 6 (V)Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Mwegendereze, ennaku zijja, ng’ekifo kino abantu tebakyakiyita Tofesi newaakubadde Kiwonvu kya mutabani wa Kinomu, wabula nga bakiyita ekiwonvu eky’ettambiro.
7 (W)“ ‘Mu kifo kino ndizikiriza entegeka za Yuda ne Yerusaalemi. Ne mbawaayo mu mikono gy’abalabe baabwe battibwe n’ekitala, era ndiwaayo emirambo gyabwe okuba emmere y’ebinyonyi eby’omu bbanga n’ebisolo eby’omu nsiko. 8 (X)Ndidibaga ekibuga kino ne nkifuula eky’okusekererwa, n’abo bonna abayitawo bennyamire era baseke olw’ebiwundu byakyo byonna. 9 (Y)Olw’okuzingizibwa n’okunyigirizibwa abalabe baabwe abanoonya okubatta, ndibaliisa emirambo gya batabani baabwe n’egy’abawala baabwe era buli omu alirya munne.’
10 (Z)“Awo n’olyoka omenya ensumbi abo b’ogenze n’abo nga balaba, 11 (AA)obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti, Ndiyasaayasa eggwanga lino n’ekibuga kino ng’ensumbi y’omubumbi eno bw’engiyasaayasa nga tekikyayinzika kugiddaabiriza. Baliziika abafu mu Tofesi okutuusa ekifo awaziikibwa lwe kirijjula. 12 Kino kye ndikola ekifo kino n’abo abakibeeramu, bw’ayogera Mukama. Ekibuga kino ndikifuula nga Tofesi. 13 (AB)Amayumba g’omu Yerusaalemi n’aga bakabaka ba Yuda galiyonoonebwa ng’ago mu Tofesi, ennyumba zonna mwe booterezza obubaane eri eggye lyonna erya bakatonda ab’omu bbanga, ne baweerayo ekiweebwayo ekyokunywa.’ ”
14 (AC)Awo Yeremiya n’akomawo okuva e Tofesi Mukama gye yali amutumye okuwa obunnabbi, n’ayimirira mu mbuga ya yeekaalu ya Mukama n’agamba abantu bonna nti, 15 (AD)“Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Muwulirize, ndireeta ku kibuga kino ne ku bubuga obukyetoolodde buli kikangabwa kyonna kye nakirangirirako, kubanga baakakanyaza ensingo zaabwe ne batagondera bigambo byange.’ ”
Yeremiya Ayigganyizibwa ng’Abuulira
20 (AE)Awo Pasukuli eyali kabona mutabani wa Immeri, eyali omukulu mu yeekaalu ya Mukama, yawulira nga Yeremiya awa obubaka buno, 2 (AF)n’alagira Yeremiya akubibwe. N’asibibwa mu nvuba eyali mu mulyango ogw’ekyengulu ogwa Benyamini ku yeekaalu ya Mukama. 3 (AG)Olunaku olwaddirira, nga Pasukuli amusumuludde mu nvuba, Yeremiya n’amugamba nti, “Mukama takyakuyita Pasukuli, naye Magolumissabibu. 4 (AH)Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Laba, ndikufuula eky’entiisa, ekikangabwa, eri ggwe n’eri mikwano gyo bonna; era balifa ekitala ky’abalabe baabwe, n’amaaso go galikiraba, era Yuda yonna ndigiwaayo mu mukono gwa kabaka w’e Babulooni, alibatwala e Babulooni oba okubattisa ekitala. 5 (AI)Era ndigabula obugagga bw’ekibuga kino bwonna obulimu, n’eby’omuwendo omungi era n’eby’obugagga byonna ebya bakabaka ba Yuda mu mukono gw’abalabe baabwe. Balibutwala babwetikke ng’omunyago mu Babulooni. 6 (AJ)Era ggwe Pasukuli, era n’abo bonna ab’omu nnyumba yo balitwalibwa mu busibe, e Babulooni. Eyo gy’olifiira era oziikibwe, ggwe ne mikwano gyo bonna b’otegeezezza obunnabbi obw’obulimba.’ ”
Okwemulugunya kwa Yeremiya
7 Ayi Mukama, wannimba era n’ennimbibwa,
wansinza amaanyi n’ompangula.
Nvumibwa okuva ku makya okuzibya obudde,
buli muntu ankudaalira.
8 (AK)Buli lwe njogera,
ndeekaana ne nnangirira akatabanguko n’okuzikirira.
Kale ekigambo kya Mukama kindeetera
kuvumwa na kusekererwa buli lunaku.
9 (AL)Naye bwe ŋŋamba nti,
“Sijja kumwogerako oba okweyongera okwogera mu linnya lye,”
ekigambo kye mu mutima gwange kiri ng’omuliro ogwaka,
ogukwekeddwa mu magumba gange.
Nkooye okukizibiikiriza
era ddala sisobola.
10 (AM)Mpulira bangi nga beegeya nti, “Akabi kali enjuuyi zonna.
Mumuloope.
Leka naffe tumuloope.”
Mikwano gyange bonna
banninda ngwe,
nga bagamba nti, “Oboolyawo anaasobya,
tumugweko
tuwoolere eggwanga.”
11 (AN)Naye Mukama ali nange ng’omulwanyi ow’amaanyi ow’entiisa,
kale abanjigganya kyebaliva bagwa ne bataddayo kuyimirira.
Baakulemererwa era baswalire ddala
n’okuswala kwabwe tekulyerabirwa emirembe gyonna.
12 (AO)Ayi Mukama Katonda ow’Eggye oyo agezesa abatuukirivu,
alaba ebiri munda mu mitima era n’ebirowoozo,
kale leka ndabe bw’obawoolererako eggwanga,
kubanga ensonga zange nzitadde mu mikono gyo.
13 (AP)Muyimbire Mukama Katonda.
Mumuwe ettendo.
Kubanga awonyezza obulamu bw’omunaku
mu mikono gy’abo abakozi b’ebibi.
14 (AQ)Lukolimirwe
olunaku kwe nazaalirwa!
Olunaku mmange kwe yanzaalira
luleme kuweebwa mukisa!
15 Akolimirwe eyaleetera kitange amawulire,
agaamusanyusa ennyo,
ng’agamba nti, “Omwana omulenzi akuzaaliddwa.”
16 (AR)Omusajja oyo abeere ng’ebibuga Mukama bye yamenyaamenya
awatali kusaasira kwonna.
Okukaaba kuwulirwe ku makya,
ne nduulu z’abalwanyi mu ttuntu.
17 (AS)Yandinzitidde mu lubuto lwa mmange.
Mmange yandibadde entaana yange,
olubuto lwe ne luba lunene emirembe gyonna.
18 (AT)Lwaki nava mu lubuto
okulaba emitawaana n’obuyinike
era ennaku zange ne nzimala mu buswavu?
Katonda Agaana Okusaba kwa Zeddekiya
21 (AU)Kino kye kigambo ekyajja eri Yeremiya okuva eri Mukama, kabaka Zeddekiya bwe yamutumira Pasukuli mutabani wa Malukiya ne Zeffaniya kabona mutabani wa Maaseya okumugamba nti, 2 (AV)“Tubuulize kaakano ku Mukama kubanga Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni atulumbye. Oboolyawo Mukama anatukolera ekyamagero ng’edda, Nebukadduneeza n’atuleka.”
3 Naye Yeremiya n’abaddamu nti, “Mugambe Zeddekiya nti, 4 (AW)‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri nti, Nnaatera okuboolekeza ebyokulwanyisa byammwe ebiri mu mikono gyammwe bye mukozesa okulwanyisa kabaka w’e Babulooni n’Abakaludaaya ababazinze ne beetooloola ebweru wa bbugwe w’ekibuga kyammwe. Nzija kubakuŋŋaanyiza munda mu kibuga kino. 5 (AX)Nze kennyini nzija kubalwanyisa n’omukono gwange ogw’amaanyi, ogugoloddwa mu busungu, n’ekiruyi n’obukambwe obungi. 6 (AY)Era ndittisa kawumpuli omubi, abantu awamu n’ensolo enkambwe, mu kibuga kino. 7 (AZ)Oluvannyuma lw’ekyo, nnaawaayo Zeddekiya kabaka wa Yuda, n’abakungu be n’abantu bonna mu kibuga kino abanaaba bawonye kawumpuli, ekitala n’enjala ebya Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’abalabe baabwe ababanoonya okubatta. Nebukadduneeza anaabatta n’ekitala, taabalage kisa n’akatono wadde okubasaasira oba okubasonyiwa.’
8 “Era abantu bagambe nti, ‘Bw’ati Mukama bw’ayogera nti: Laba mbateereddewo ekkubo ery’obulamu era n’ekkubo ery’okufa. 9 (BA)Buli anaasigala mu kibuga kino ajja kufa ekitala, oba enjala oba kawumpuli. Naye buli afuluma ne yeewaayo eri Abakaludaaya ababazingizza, ajja kuba mulamu, era anaawonya obulamu bwe. 10 (BB)Mmaliridde okuleetera ekibuga kino akabi so si mirembe, bw’ayogera Mukama. Kijja kuweebwayo mu mikono gya kabaka w’e Babulooni, era ajja kukizikiriza n’omuliro.’
11 (BC)“N’ekirala gamba ennyumba ya Yuda ey’obwakabaka nti, ‘Wulira ekigambo kya Mukama; 12 (BD)ggwe ennyumba ya Dawudi,
“ ‘kino Mukama ky’agamba:
Musale emisango mu bwenkanya,
mununule ababa banyagiddwa ababanyigiriza,
obusungu bwange buleme kuvaayo
bubookye ng’omuliro olw’ekibi kye mukoze,
nga tewakyali n’omu abuziyiza.
13 (BE)Laba nkugguddeko olutalo,
ggwe Yerusaalemi abeera waggulu w’ekiwonvu,
ku lusozi olwagaagavu olw’ekyaziyazi, bw’ayogera Mukama,
mmwe abagamba nti, “Ani ayinza okutulumba?
Ani ayinza okuyingira mu nnyumba zaffe?”
14 (BF)Nzija kubabonereza ng’ebikolwa byammwe bwe biri,
era ndikoleeza omuliro mu kibira kyammwe,
gwokye byonna ebikyetoolodde,’ ”
bw’ayogera Mukama.
Omusango eri Bakabaka Ababi
22 Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Serengeta ogende mu lubiri lwa kabaka wa Yuda 2 (BG)olangirire obubaka buno nti, Wulira ekigambo kya Katonda ggwe kabaka wa Yuda, ggw’atuula ku ntebe ya Dawudi, mmwe abakungu n’abantu bammwe abayita mu miryango gino. 3 (BH)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Musale emisango egy’ensonga, mukole ebituufu. Anyagiddwako ebibye mumuggye mu mukono gw’oyo amujooga. Temukola kibi oba eby’obukambwe eri omugwira, newaakubadde atalina kitaawe, newaakubadde nnamwandu so temuyiwa musaayi gw’abantu abataliiko musango mu kifo kino. 4 (BI)Kubanga bwe muneegendereza ne mukuuma ebiragiro bino, olwo bakabaka abatuula ku ntebe ya Dawudi baliyita mu miryango gy’olubiri luno nga batudde mu magaali gaabwe n’abo abeebagadde embalaasi nga bawerekerwako n’abakungu baabwe, n’abantu baabwe. 5 (BJ)‘Naye bwe mutaagondere biragiro bino, nneelayirira ku lwange nti olubiri luno lulifuuka matongo,’ bw’ayogera Mukama.”
6 (BK)Kubanga kino Mukama ky’agamba ku lubiri lwa kabaka wa Yuda nti,
“Newaakubadde ng’oli nga Gireyaadi gye ndi,
ng’entikko y’olusozi Lebanooni,
ddala ddala nzija kukufuula ddungu,
ng’ebibuga ebitaliimu bantu.
7 (BL)Ndikusindikira abakuzikiriza,
buli musajja n’ebyokulwanyisa bye,
era balitema emivule gyo egisinga obulungi
ne bagisuula mu muliro.
8 (BM)“Abantu abava mu mawanga amangi baliyita ku kibuga kino nga beebuuzaganya bokka ne bokka nti, ‘Lwaki Mukama yakola ekintu ekifaanana bwe kiti ku kibuga kino ekikulu bwe kiti?’ 9 (BN)Era eky’okuddamu kibeere nti, ‘Kubanga beerabira endagaano ya Mukama Katonda waabwe ne basinza era ne baweereza bakatonda abalala.’ ”
10 (BO)Temukaabira kabaka afudde
oba okumukungubagira,
wabula mukaabire nnyo oyo omuwaŋŋanguse,
kubanga taliddayo kulaba nsi ye nate.
11 (BP)Kubanga kino Mukama ky’agamba ku Sallumu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda eyasikira Yosiya n’afuuka kabaka wa Yuda naye n’atwalibwa. “Talidda. 12 (BQ)Alifiira eyo gye baamutwala nga musibe, taliraba nsi eno nate.”
13 (BR)“Zimusanze oyo azimba olubiri ku butali butuukirivu,
ebisenge bye ebya waggulu ku butali bwenkanya
abantu b’ensi ye n’abakozeseza bwereere
n’atabasasula mpeera yaabwe.
14 (BS)Agamba nti, ‘Nzija kwezimbira olubiri olunene
n’ebisenge ebya waggulu ebigazi ennyo.’
Kale nnaakola amadirisa amanene
nnaateekamu emivule
era nnaasiigako langi emyufu.
15 (BT)“Okweyongerayongera emivule emingi kikufuula kabaka?
Kitaawo teyalina byakulya na byakunywa?
Yakola ebituufu eby’obwenkanya.
Noolwekyo byonna
byamugendera bulungi.
16 (BU)Yalwanirira abaavu n’abali mu bwetaavu
kale byonna ne bimugendera bulungi.
Ekyo si kye kitegeeza okummanya?”
bw’ayogera Mukama.
17 (BV)“Naye amaaso gammwe n’emitima gyammwe
biri ku magoba ag’obukuusa,
ne ku kuyiwa omusaayi ogutaliiko musango
ne ku kunyigiriza ne ku kunyaga.”
18 Noolwekyo kino Mukama ky’ayogera ku Yekoyakimu omwana wa Yosiya kabaka wa Yuda nti,
“Tebalimukungubagira;
‘Kikafuuwe, mukama wange!’
Kikafuuwe,
obugagga bwe!
19 (BW)Aliziikibwa
nga bwe baziika endogoyi,
akululwe asuulibwe ebweru w’enzigi za Yerusaalemi.”
20 (BX)“Genda mu Lebanooni okaabe,
leka eddoboozi lyo liwulirwe mu Basani.
Kaabira ku Abalimu,
kubanga bonna ababadde ku ludda lwo bazikiridde.
21 (BY)Nayogera gy’oli ng’okyali mu biseera byo eby’obugagga
naye n’ogamba nti, ‘Sijja kuwuliriza!’
Bw’oti bw’obadde okuva mu buto bwo,
togonderanga ku ddoboozi lyange.
22 Empewo erikunguzza abalunzi b’ebisibo byo bonna,
n’abawagizi bo batwalibwe mu buwaŋŋanguse.
Olwo okwatibwe ensonyi
oggweemu amaanyi olw’ebibi byo byonna.
23 (BZ)Mmwe abali mu Lebanooni,[a]
abesulira mu bizimbe eby’emivule,
nga mulikaaba, ng’obulumi bubajjidde!
Okulumwa ng’okw’omukazi alumwa okuzaala.
24 (CA)“Ddala ddala nga bwe ndi omulamu, wadde ggwe Koniya omwana wa Yekoyakimu, singa wali mpeta ey’obuyinza ku mukono gwange ogwa ddyo, nandikusiseeko,” bw’ayogera Mukama. 25 (CB)“Ndikuwaayo eri abo abanoonya obulamu bwo, abo bootya, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni era n’eri Abakaludaaya. 26 (CC)Ndikusuula mu nsi endala gye mutaazaalibwa, ggwe ne maama wo eyakuzaala, era eyo mwembi gye mulifiira. 27 Temulidda mu nsi gye mwegomba okuddamu.”
28 (CD)Omusajja ono Koniya kintu ekinyoomebwa,
ekimenyese, ekitaliiko ayagala?
Lwaki ye n’abaana be balikanyugibwa ebweru,
basuulibwe mu nsi gye batamanyi?
29 (CE)Ayi ggwe ensi, ensi,
wulira ekigambo kya Katonda!
30 (CF)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Omusajja ono mumubale ng’atazaalangako
kubanga tewali ku baana be alikulaakulana,
alituula ku ntebe ya Dawudi
oba aliddayo okufuga mu Yuda.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.