Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Beginning

Read the Bible from start to finish, from Genesis to Revelation.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Yeremiya 1-3

(A)Ebigambo ebyayogerwa Yeremiya, mutabani wa Kirukiya, ow’oku bakabona abaali mu Anasosi mu nsi ya Benyamini. Mukama Katonda yayogera naye mu mirembe gya Yosiya, kabaka wa Yuda, mutabani wa Amoni, nga yakafugira emyaka kkumi n’esatu, (B)ne mu biro bya Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, okutuusa mu mwezi ogwokutaano, ogw’omwaka ogw’ekkumi n’ogumu ogw’obufuzi bwa Zeddekiya mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, abantu b’e Yerusaalemi lwe baatwalibwa mu buwaŋŋanguse.

Okuyitibwa kwa Yeremiya

Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira, ng’agamba nti,

(C)“Nakumanya bwe nnali sinnakubumba mu lubuto lwa maama wo;
    nga tonnava mu lubuto n’akutukuza.
    Nakulonda okubeera nnabbi eri amawanga.”

(D)Ne ndyoka ŋŋamba nti, “Laba nno, Mukama Katonda! Simanyi kwogera mu bantu, ndi mwana muto.” Naye Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Toyogera nti, ‘Ndi mwana bwana;’ kubanga yonna gye nnaakutumanga gy’onoogendanga, era byonna bye nnaakulagiranga by’onooyogeranga. (E)Tobatyanga, kubanga nze ndi naawe okukuwonya,” bw’ayogera Mukama Katonda.

(F)Awo Mukama Katonda n’agolola omukono gwe, n’akwata ku mimwa gyange, n’aŋŋamba, nti, “Wuliriza. Nkuwa ebigambo by’onooyogeranga. 10 (G)Leero nkutaddewo okuba n’obuyinza ku mawanga era ne ku bwakabaka. Okusimbula n’okumenya, okuzikiriza n’okuwamba; okuzimba n’okusimba.” 11 (H)Ekigambo kya Mukama Katonda ate ne kinzijira nga kigamba nti, “Yeremiya kiki ekyo ky’olaba?”

Ne ŋŋamba nti, “Ndaba ettabi ly’omuti ogw’omulozi.”

12 Awo Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Olabye bulungi, kubanga neetegereza ndabe ng’ekigambo kyange kituukirira.”

13 (I)Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijjira nate nti, “Kiki ky’olaba, kaakano?”

Ne ŋŋamba nti, “Ndaba ensuwa ey’amazzi ageesera, ng’etunudde waggulu mu bukiikakkono.”

14 Awo Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Okuzikirira kujja kubaawo nga kutandikira mu bukiikakkono kutuuke ku bantu bonna abali mu ggwanga. 15 (J)Kubanga laba nnaatera okuyita abantu bonna ab’omu bwakabaka obuli mu bukiikakkono,” bw’ayogera Mukama Katonda.

Bakabaka baabwe balyoke bajje bateeke entebe zaabwe ez’obwakabaka
    mu miryango egiyingira ekibuga Yerusaalemi,
balizinda bbugwe waakyo yenna
    era bazinde n’ebibuga byonna ebya Yuda.
16 (K)Era ndibonereza abantu bange olw’ebibi byabwe byonna,
    kubanga banvaako ne booteeza obubaane eri bakatonda abalala,
era ne basinza ebibajje bye beekolera
    n’emikono gyabwe.

17 (L)“Naye ggwe weetegeke! Yimirira obabuulire byonna bye nkulagira. Tobatya kubanga bw’onoobatya nzija kubakutiisa. 18 (M)Kubanga leero nze nkufudde ekibuga ekiriko enkomera ez’amaanyi, era empagi ey’ekyuma, era bbugwe ow’ekikomo eri ensi yonna, eri bakabaka ba Yuda, eri abakungu baayo, ne bakabona n’abantu ab’omu nsi. 19 (N)Balirwana naawe naye tebalikuwangula; kubanga nze ndi wamu naawe okukununula,” bw’ayogera Mukama Katonda.

Isirayiri eva ku Katonda

Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira nga kigamba nti, (O)“Genda olangirire nga Yerusaalemi ewulira nti:

“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“ ‘Nzijukira okwewaayo kwe weewaayo ng’okyali muto,
    engeri gye wanjagalamu nga twakafumbiriganwa,
wangoberera mu ddungu
    mu nsi etali nnime.
(P)Isirayiri wali mutukuvu wa Mukama,
    ebibala ebibereberye ebyamakungula ge;
bonna abaakulyangako nga bazzizza omusango,
    akabi nga kabatuukako,’ ”
    bw’ayogera Mukama Katonda.

Muwulirize ekigambo kya Mukama mwe ezzadde lya Yakobo,
    era n’ab’enju zonna ez’ebika eby’omu Isirayiri.

(Q)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

Kibi ki bakitammwe kye bansangamu ne banvaako
    ne bagenda ewala ennyo bwe batyo?
Baagoberera ebifaananyi bya bakatonda abakole n’emikono ebitaliimu
    nabo bennyini ne bafuuka ebitaliimu.
(R)Ne batagamba nako nti; “Ali ludda wa Mukama eyatuggya mu nsi y’e Misiri;
    eyatuyisa mu lukoola,
mu nsi ey’amalungu n’obunnya, mu nsi enkalu n’ekisiikirize eky’okufa,
    mu nsi omutali muntu n’omu, so n’omuntu yenna mw’atayinza kuyita?”
(S)Ne mbaleeta mu nsi engimu,
    mulye ebibala byamu n’ebintu ebirungi.
Naye bwe mwajja ne mwonoona ensi yange,
    ne mufuula omugabo gwange ekivume.
(T)Bakabona ne batabuuzaako nti, “Mukama ali ludda wa?”
    Abo abakola ku mateeka tebammanya.
Abakulembeze ne banjeemera.
    Bannabbi nga baweereza ku lwa Baali, ne bagoberera ebitagasa.

(U)“Kyenva nnyongera okubalumiriza,”
    bw’ayogera Mukama,
    “Era ndirumiriza n’abaana b’abaana bammwe.
10 Muwunguke ennyanja mugende ku bizinga bya Kittimu mulabe;
    era mutume e Kedali, mwetegereze.
    Mujja kulaba nga tekibangawo.
11 (V)Waali wabaddewo eggwanga erikyusa bakatonda baalyo,
    wadde nga si bakatonda, naye nga bitaliimu?
Naye abantu bange baawaanyisa ekitiibwa kyabwe
    n’ebitagasa.
12 Wewuunye ggwe eggulu,
    era okankane n’entiisa ey’amaanyi,”
    bw’ayogera Mukama.
13 (W)“Kubanga abantu bange bakoze ebibi bibiri,
banvuddeko
    nze ensulo ey’amazzi amalamu
ne beesimira ettanka ez’omu ttaka,
    ettanka ez’omu ttaka ezirimu enjatika ezitanyweeramu mazzi.”

Ebyava mu kubula kwa Isirayiri

14 (X)“Isirayiri muddu, omuddu omuzaale?
    Kale lwaki afuuse omuyiggo?
15 (Y)Bamuwulugumirako ng’empologoma bw’ewuluguma,
    abalabe bawulugumye nnyo.
Ensi ye efuuse matongo,
    ebibuga bye bigyiridde ddala omuliro birekeddwa ttayo, nga temukyali muntu n’omu.
16 (Z)Ate era abasajja b’e Noofu n’e Tapeneesi
    bamaliddewo ddala ekitiibwa kyo.
17 (AA)Si ggwe weeretedde bino ng’ova ku Mukama Katonda wo,
    eyakukulemberanga
    akulage ekkubo?
18 (AB)Kaakano olowooza onooganyulwamu ki
    okugenda okukolagana ne Misiri?
Olowooza kiki ky’onoganyulwa
    bw’onogenda okukolagana ne Bwasuli?
19 (AC)Ebibi byo byennyini bye biri kubonereza,
    n’okudda kwo emabega kwe kulikusalira omusango.
Kale lowooza era otegeere nga bwe kiri ekibi era eky’omutawaana gy’oli bw’ova ku Mukama Katonda wo,
    n’oba nga tokyantya,”
    bw’ayogera Mukama, Katonda ow’eggye.

Isirayiri Ebonerezebwa olw’Okusinza bakatonda abalala

20 (AD)Mukama ow’eggye agamba nti,

“Isirayiri, ebbanga ddene eriyiseewo bukya weggya mu buyinza bwange,
    n’ogamba nti, ‘Sijja kukugondera.’
Era ddala, ku buli kasozi era na buli wansi w’omuti oguyimiridde
    wakuba obwamalaaya
    ng’ovuunamira bakatonda abalala.
21 (AE)Songa nnali nkusimbye ng’oli muzabbibu omulungi,
    ensigo eteriimu kikyamu n’akatono,
naye ate lwaki oyonoonese
    n’ofuuka ng’omuzabbibu ogw’omu nsiko?
22 Kubanga ne bw’onaaba n’oluvu n’okozesa ne sabbuuni omungi,
    naye era ebbala lyo n’obutali butuukirivu bwo
    bisigala bikyalabika,”
    bw’ayogera Mukama Katonda.
23 (AF)Oyinza otya okugamba nti, “Sseeyonoonanga,
    sigobereranga ba Baali?”
Jjukira bwe weeyisa ng’oli mu kiwonvu;
    tegeera kye wakola.
Oli ng’eŋŋamira enkazi efuumuuka embiro
    ngeraga eno n’eri,
24 (AG)ng’endogoyi ey’omu nsiko
    eddukira mu ddungu mw’emanyidde,
ng’ewunyiriza mu bbanga eno n’eri mu kwaka kwayo,
    mu kiseera ekyo ani ayinza okugiziyiza?
Ensajja zonna ezigyetaaga tezeetaaga kwekooya;
    mu biseera by’okulabaganiramu za kugifuna.
25 (AH)Tokooya bigere byo,
    era tokaza mimiro gyo.
Naye n’oddamu nti, “Ebyo bya bwereere,
    sisobola kukyuka, nayagala bakatonda abalala,
    nteekwa okubanoonya.”

26 (AI)Ng’omubbi bw’aswala ng’akwatiddwa,
    n’ennyumba ya Isirayiri bw’eswala bw’etyo,
bakabaka baayo, n’abalangira baayo, ne bakabona baayo,
    era ne bannabbi baayo,
27 (AJ)nga bagamba emiti nti, “Ggwe kitange,”
    era n’ejjinja nti, “Ggwe wanzaala.”
Bankubye amabega,
    naye bwe balaba ennaku bankaabirira nti, “Yimuka ojje otulokole.”
28 (AK)Kale bakatonda be weekolera baluwa?
    Leka bajje, bwe baba basobola okukulokola mu biseera eby’emitawaana.
Kubanga obungi bwa bakatonda bammwe
    bwenkanankana n’ebibuga byo ggwe Yuda.

Okubonerezebwa kutuuse

29 (AL)“Lwaki munneemulugunyiza?
    Mwenna mwanneeddiimira,”
    bw’ayogera Mukama.
30 (AM)Abaana bammwe nababonereza naye nga bwerere,
    tebakkiriza kugololwa.
Mmwe bennyini ne mwettira bannabbi bammwe
    ng’empologoma bw’etta.

31 (AN)Mmwe ab’omulembe guno muwulirize ekigambo kya Katonda.

Mbadde nga ddungu gye muli
    ng’ensi ejjudde ekizikiza eky’amaanyi?
Kale lwaki abantu bange bagamba nti,
    “Tulina eddembe, tetukyadda gy’oli?”
32 Omuwala omuto ayinza okwerabira ebikomo,
    oba omugole okwerabira ekyambalo kye?
Naye ng’ate abantu bange
    Bannerabidde!
33 Ng’omanyi nnyo okukuba amakubo ag’okunoonya abanaakwagala!
    N’asembayo okuba omukugu mu bamalaaya aba alina kuyigira ku ggwe.
34 (AO)Engoye zo zijjudde omusaayi gw’abaavu
    n’abatalina musango,
awatali kugamba nti
    bakwatibwa nga babba.
Ate nga wadde byonna biri bwe bityo
35     (AP)ogamba nti, “Sirina musango,
    ddala takyanninako busungu!”
Laba, ŋŋenda kukusalira omusango
    olw’okugamba nti, “Sirina kibi kye nkoze.”
36 (AQ)Lwaki ogenda ng’okyusakyusa
    amakubo go!
Misiri ejja kukuswaza
    nga Bwasuli bwe yakuswaza.
37 (AR)Era n’eyo olivaayo
    ng’emikono ogyetisse ku mutwe,
kubanga Mukama agaanye abo be weesiga;
    tagenda kukuyamba.

Yuda Omukazi Atali Mwesigwa

(AS)“Omusajja bw’agoba mukazi we,
    omukazi oyo n’agenda n’afuuka ow’omusajja omulala,
omusajja we alimukomyawo nate?
    Ensi eba teyonoonekedde ddala nnyo?
Naye obadde nga malaaya, ng’olina abasajja bangi;
    naye kaakano oyagala okukomawo gye ndi?”
    bw’ayogera Mukama.
(AT)Yimusa amaaso go olabe ku ntikko y’obusozi.
    Waliwo ekifo we bateebakira naawe?
Ku mabbali g’ekkubo we watulanga
    n’olinda abasajja ng’oli nga Omuwalabu mu ddungu;
n’olyoka oyonoona ensi
    n’obwenzi bwo n’ekibi kyo.
(AU)Noolwekyo enkuba kyevudde eziyizibwa,
    n’enkuba eya ttoggo n’etetonnya.
Naye era otemya nga malaaya
    tokwatibwa nsonyi.
(AV)Tewakaŋŋamba nti Kitange ggwe mukwano gwange
    okuva mu buto bwange,
(AW)onoonyiigira ddala emirembe gyonna,
    olisunguwala emirembe gyonna?
Bw’otyo bw’oyogera,
    naye okoze ebibi byonna ebisoboka.

Isirayiri, Atali Mwesigwa

(AX)Mu nnaku z’obufuzi bwa kabaka Yosiya Mukama yayogera nange n’aŋŋamba nti, “Olabye Isirayiri etali neesigwa ky’ekoze? Agenze ku buli kasozi na buli wansi w’omuti oguyimiridde ne yeeyisa ng’omukazi omwenzi. (AY)Nalowooza nti, Bw’alimala okukola bino byonna agenda kudda gye ndi naye teyadda, era muganda we atali mwesigwa Yuda n’akiraba. (AZ)Yalaba nti bwe namala okugoba Isirayiri eyanvaako, ne muwa n’ebbaluwa ey’okumugoba olw’obwenzi bwe. Naye ate ne ndaba muganda we atali mwesigwa Yuda nga taliimu kutya, naye n’agenda n’akola obwenzi. (BA)Awo obwenzi bwe bwatuuka ne bumwanguyira nnyo n’ayenda n’asinza amayinja n’ebikonge. 10 (BB)Naye wadde nga byonna bimaze okubaawo, muganda we Yuda atali mwesigwa, teyakomawo gye ndi na mutima gwe gwonna, naye yali alimbalimba,” bw’ayogera Mukama.

11 (BC)Mukama n’aŋŋamba nti, Isirayiri asudde obwesigwa, mutukuvu okusinga Yuda atali mwesigwa. 12 (BD)Genda obuulire abantu b’omu bukiikakkono obubaka buno, obagambe nti,

“ ‘Komawo ggwe Isirayiri,
    eyanvaako,’ bw’ayogera Mukama.
‘Siribatunuuliza busungu kubanga ndi waakisa,’ bw’ayogera Mukama;
    ‘Sirisiba busungu ku mwoyo emirembe gyonna.
13 (BE)Mukkirize bukkiriza ekibi kyammwe,
    mwajeemera Mukama Katonda wammwe,
mwasinza bakatonda abalala,
    wansi wa buli muti oguyimiridde,
    era ne mutaŋŋondera,’ ”
    bw’ayogera Mukama.

14 (BF)“Mukomeewo mmwe abaana abanvaako,” bw’ayogera Mukama; “kubanga nze bbammwe, era ndibalondamu omu ku omu okuva mu buli kibuga, babiri babiri okuva mu buli kika mbaleete ku lusozi Sayuuni. 15 (BG)Era ndibawa abasumba abakola ng’omutima gwange bwe gwagala, abalibakulembera mu kumanya era ne mu kutegeera. 16 (BH)Ennaku bwe zirituuka nga mwaze era nga muli bangi nnyo mu nsi,” bw’ayogera Mukama, “abantu baliba tebakyayogera ku Ssanduuko y’Endagaano. Baliba tebakyagirowooza nako, okugijjukira; oba okulumwa emitima olw’obutaba nayo wadde okukola endala. 17 (BI)Ebbanga lyonna Yerusaalemi kiriyitibwa Entebe ya Mukama ey’Obwakabaka, amawanga gonna mwe ganaakuŋŋaaniranga okumugulumiza Mukama mu Yerusaalemi era tebaliddayo kugoberera mitima gyabwe minyoomi. 18 (BJ)Mu nnaku ezo ennyumba ya Yuda eryegatta ku nnyumba ya Isirayiri, era bombi awamu baliva mu nsi ey’omu bukiikakkono ne bajja mu nsi gye ndiwa bakitammwe okuba omugabo.

19 (BK)“Nze kennyini nalowooza

“nga nayagala okubayisanga nga batabani bange,
    era mbawe ensi eyeegombebwa,
    nga gwe mugabo ogusinga obulungi mu mawanga gonna.
Nalowooza nti mulimpita ‘Kitammwe,’
    ne mutanvaako ne mwongera okungoberera.
20 Naye ng’omukazi atali mwesigwa eri bba bw’abeera,
    bwe mutyo bwe mutabadde beesigwa gye ndi, mmwe ennyumba ya Isirayiri,”
    bw’ayogera Mukama.

Okuyitibwa Okwenenya

21 (BL)Okukaaba kw’Abaana ba Isirayiri
    kuwuliddwa ku ntikko z’ensozi ezitaliiko kantu,
nga bakaaba n’okwegayirira, kubanga baatambulira mu kukola ebibi,
    ne beerabira Mukama Katonda waabwe.

22 (BM)“Mukomeewo mmwe abantu abatali beesigwa,
    nnaabawonya ne mbafuula abeesigwa.”
Ne mugamba nti, “Weewaawo tujja kudda gy’oli,
    kubanga ggwe Mukama Katonda waffe.
23 (BN)Ddala okusuubira obuyambi okuva mu nsozi gye twasinzizanga bakatonda abalala
    temuli kantu.
Ddala mu Mukama Katonda waffe
    mwe muli obulokozi bwa Isirayiri.
24 (BO)Naye okuva mu buto bwaffe
    bakatonda abo abalala abatagasa balidde ne bamalawo ebibala
bakitaffe bye baamalirako amaanyi gaabwe, embuzi zaabwe, n’ente zaabwe,
    batabani baabwe ne bawala baabwe.
25 (BP)Leka tugalamire, ng’ensonyi zitutta, n’obuswavu bwaffe butuyitiridde
    kubanga twonoonye eri Mukama Katonda waffe, ffe ne bakadde baffe,
okuva mu buto bwaffe n’okutuusa ku lunaku luno;
    kubanga tetugondedde ddoboozi lya Mukama Katonda waffe.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.