Beginning
Sennakeribu Atiisatiisa Yerusaalemi
36 (A)Awo olwatuuka, mu mwaka ogw’ekkumi n’ena ogw’obufuzi bwa kabaka Keezeekiya, Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli n’ayambuka okulumba ebibuga byonna ebya Yuda ebyali bizimbiddwako bbugwe n’abiwamba. 2 (B)Awo kabaka w’e Bwasuli n’asindika Labusake omuduumizi we ow’oku ntikko okuva e Lakisi n’eggye eddene ayolekere Yerusaalemi ewa kabaka Keezeekiya. Omuduumizi ono n’asimba amakanda ku mabbali g’omukutu gw’amazzi omunene ku luguudo olugenda ku Nnimiro y’Omwozi w’Engoye. 3 (C)Awo Eriyakimu mutabani wa Kirukiya, eyali akulira olubiri, ne Sebuna omuwandiisi, ne Yoswa mutabani wa Asafu eyavunaanyizibwanga ebiwandiiko ne bafuluma okumusisinkana.
4 Labusake n’abagamba nti,
“Mugambe Keezeekiya nti, ‘Bw’ati bw’ayogera kabaka omukulu, kabaka w’e Bwasuli nti, Kiki ddala kye weesiga? 5 (D)Olowooza ebigambo obugambo birina amaanyi n’amagezi okuwangula olutalo. Ani gwe weesiga olyoke onjemere? 6 (E)Laba weesiga Misiri, ogwo omuggo obuggo, olumuli olubetente, oluyinza okufumita engalo z’omuntu ng’alwesigamyeko: bw’atyo Falaawo, ye kabaka w’e Misiri bw’ayisa bonna abamwesiga.’ 7 (F)Naye bw’onoŋŋamba nti, ‘Twesiga Mukama Katonda waffe,’ si ye yali nannyini byoto n’ebifo ebigulumivu Keezeekiya bye yaggyawo n’agamba Yuda ne Yerusaalemi nti, ‘Mu maaso g’ekyoto kino we munaasinzizanga’?
8 “ ‘Kale nno Mukama wange Kabaka w’e Bwasuli agamba nti, Ajja kukuwa embalaasi enkumi bbiri bw’obanga ddala olina abanaazeebagala. 9 (G)Mu mbeera eyo gy’olimu oyinza otya okuwangula wadde omuduumizi asembayo obunafu mu gye lyaffe ne bwe weesiga ebigaali n’embalaasi za Misiri? 10 (H)Ate ekirala olowooza nzize okulumba ensi eno n’okugizikiriza nga Mukama si y’andagidde? Mukama yaŋŋamba nnumbe ensi eno ngizikirize.’ ”
11 (I)Awo Eriyakimu ne Sebuna ne Yoswa ne bagamba Labusake nti, “Tukwegayiridde yogera n’abaddu bo mu Lusuuli kubanga tulumanyi, toyogera naffe mu Luyudaaya[a] ng’abantu abali ku bbugwe bawulira.”
12 Naye Labusake n’ayogera nti, “Ebyo ebigambo Mukama wange yantumye kubyogera eri mukama wo n’eri ggwe mwekka, so si n’eri abasajja abatudde ku bbugwe abali nga mmwe abagenda okulya obubi bwabwe n’okunywa omusulo gwabwe?”
13 (J)Awo Labusake n’ayimirira n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka mu lulimi olw’Abayudaaya nti, “Muwulire ebigambo bya kabaka omukulu, kabaka w’e Bwasuli. 14 Kabaka agambye bw’ati nti, Temukkiriza Keezeekiya kubalimbalimba tayinza kubawonya. 15 (K)Temukkiriza Keezeekiya kubasigula ng’abagamba nti, ‘Mukama ddala ajja kutununula, ekibuga kino tekijja kugwa mu mukono gwa Bwasuli.’
16 (L)“Temuwuliriza Keezeekiya kubanga bw’ati bw’ayogera kabaka w’e Bwasuli nti, ‘Mutabagane nange mufulume mujje gye ndi, olwo buli muntu ku mmwe lw’alirya ku muzabbibu gwe na buli muntu ku mutiini gwe, era buli omu alinywa ku mazzi ag’omu kidiba kye, 17 okutuusa lwe ndijja ne mbatwalira ddala mu nsi efaanana ensi yammwe, ensi ey’eŋŋaano ne wayini, ensi ey’emigaati n’ennimiro ez’emizabbibu.’
18 “Mwekuume Keezeekiya aleme okubasendasenda ng’ayogera nti, ‘Mukama alibalokola.’ Waliwo katonda yenna ow’amawanga eyali awonyezza ensi ye mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli? 19 Bali ludda wa bakatonda ab’e Kamasi ne Alupadi? Bali ludda wa bakatonda ab’e Sefarayimu? Baali bawonyezza Samaliya mu mukono gwange? 20 (M)Baani ku bakatonda bonna ab’ensi ezo abaali bawonyezza ensi zaabwe mu mukono gwange? Kale Mukama asobola atya okuwonya Yerusaalemi mu mukono gwange?”
21 (N)Kyokka bo baasirika busirisi tebaddamu, kubanga kabaka yali alagidde nti, “Temumuddamu.”
22 Awo Eriyakimu mutabani wa Kirukiya eyali akulira olubiri ne Sebuna Omuwandiisi ne Yoswa mutabani wa Asafu Omukuumi w’ebiwandiiko, ne baddayo eri Keezeekiya nga bayuzizza engoye zaabwe, ne bamubuulira ebigambo bya Labusake.
Keezeekiya Akaabirira Mukama
37 Awo kabaka Keezeekiya bwe yabiwulira n’ayuza engoye ze n’ayambala ebibukutu n’ayingira mu nnyumba ya Mukama. 2 (O)N’atuma Eriyakimu eyali akulira olubiri ne Sebuna omuwandiisi ne bakabona abakulu, nga bambadde ebibukutu, eri nnabbi Isaaya mutabani wa Amozi. 3 (P)Ne bamugamba nti, “Keezeekiya atutumye okukugamba nti, Olunaku luno lunaku lwa kulabiramu nnaku era lwa kuvumirwamu era lwa kujoogebwa; kubanga abaana batuuse okuzaalibwa naye nga tewali maanyi ga kubazaala. 4 (Q)Oboolyawo Mukama Katonda wo anaawulira ebigambo bya Labusake eyatumibwa kabaka w’e Bwasuli mukama we okuvuma Katonda omulamu, Mukama Katonda wo n’amunenya olw’ebigambo by’awulidde: Kale waayo okusaba kwo wegayiririre ekitundu ekikyasigaddewo.”
5 Abaddu ba kabaka Keezeekiya bwe bajja eri Isaaya, 6 (R)Isaaya n’abagamba nti, “Mutegeeze mukama wammwe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Ebigambo by’owulidde abaddu ba kabaka w’e Bwasuli bye banvumye, tebikutiisa. 7 (S)Laba ndimusindikira omwoyo omubi, awulire olugambo addeyo mu nsi ye. Era eyo gye ndimuzikiririza afe ekitala.’ ”
8 (T)Awo Labusake omuduumizi wa Bwasuli bwe yaddayo, n’asanga kabaka w’e ng’alwana ne Libuna: kubanga yawulira nti avudde e Lakisi.
9 (U)Ate era kabaka Sennakeribu n’afuna obubaka nti Tiraaka kabaka w’e Kuusi azze okumulwanyisa. Bwe yakiwulira n’asindika ababaka eri Keezeekiya n’obubaka buno nti, 10 (V)“Keezeekiya kabaka wa Yuda mumugambe nti, Katonda wo gwe weesiga takulimbanga ng’ayogera nti, ‘Yerusaalemi tekirigabulwa mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli.’ 11 (W)Laba wawulira bakabaka b’e Bwasuli kye baakola amawanga gonna, ne bagazikiririza ddala. Mwe munaawona? 12 (X)Amawanga bakitange ge baasaanyaawo, Gozani, ne Kalani, ne Lezefu n’abantu ba Adeni abaabanga mu Terasali, bakatonda baago, baabayamba? 13 Ali ludda wa kabaka w’e Kamasi ne kabaka w’e Alupadi ne kabaka w’ekibuga Sefarayimu oba ow’e Keena, oba ow’e Yiva?”
Okusaba kwa Keezeekiya
14 Keezeekiya n’aggya ebbaluwa mu mukono gw’ababaka n’agisoma: Keezeekiya n’ayambuka mu nnyumba ya Mukama n’agyanjuluza mu maaso ga Mukama. 15 N’asaba ne yeegayirira Mukama nga agamba nti, 16 (Y)“Ayi Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri, atuula wakati mu bakerubbi, ggwe Katonda wekka afuga obwakabaka bwonna obw’omu nsi, ggwe wakola eggulu n’ensi. 17 (Z)Otege okutu kwo Ayi Mukama owulire, ozibule amaaso go, Ayi Mukama, olabe: owulire ebigambo byonna ebya Sennakeribu by’aweerezza okuvuma Katonda omulamu.
18 (AA)“Mazima ddala Mukama, bakabaka b’e Bwasuli baazisa amawanga gonna n’ensi zaago, 19 (AB)ne basuula bakatonda baabwe mu muliro: kubanga tebaali bakatonda, naye mulimu gwa ngalo z’abantu, miti na mayinja; kyebaava babazikiriza. 20 (AC)Kale nno, ayi Mukama Katonda waffe, tulokole mu mukono gwa Sennakeribu, obwakabaka bwonna obw’ensi butegeere nga ggwe wekka ggwe Mukama.”
21 (AD)Awo Isaaya mutabani wa Amozi n’atumira Keezeekiya ng’ayogera nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri nti, Kubanga onneegayiridde ku bya Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli, 22 (AE)kino kye kigambo kye mmwogeddeko:
“ ‘Omuwala wa Sayuuni embeerera
akunyooma era akusekerera.
Omuwala wa Yerusaalemi
akunyeenyeza omutwe gwe nga bw’odduka.
23 (AF)Ani gw’ovumye
gw’ovodde?
Era ani gw’oyimuyisirizzaako eddoboozi lyo n’okanulira n’amaaso?
Omutukuvu wa Isirayiri!
24 (AG)Okozesezza abaddu bo
okuvuma Mukama n’oyogera nti,
Nyambuse n’amagaali gange amangi ku ntikko y’olusozi,
ntuuse ku njuyi ez’omunda eza Lebanooni;
era ntemedde ddala emivule gyakwo emiwanvu,
n’enfugo zaakwo ezisinga obulungi,
era natuuka ne ku lusozi lwakwo olukomererayo,
ekibira kyayo ekisinga obunene.
25 (AH)Waduula nti wasima enzizi
era n’onywa n’amazzi mu mawanga
era nti ebigere by’abajaasi bo
byakaliza amazzi g’omugga Kiyira mu Misiri.’
26 (AI)“Tewawulira nga nakisalawo dda?
Nakiteekateeka dda.
Mu biro eby’edda nakiteekateeka;
era kaakano nkituukirizza,
olyoke ofuule ebibuga ebiriko bbugwe
okuba ng’entuumo y’amayinja.
27 (AJ)Abantu baamu kyebaavanga baggwaamu amaanyi,
ne baterebuka
ne bakeŋŋentererwa
ne baba ng’essubi mu nnimiro, ng’omuddo omuto,
ng’omuddo ogumera ku nnyumba
ogwokebwa ne gufa nga tegunnakula.
28 (AK)“Naye mmanyi obutuuliro bwo
era mmanyi okufuluma kwo n’okuyingira kwo
n’obuswandi bw’ondaga.
29 (AL)Kubanga oneereegeddeko,
okwepanka kw’okoze nkutuuseeko.
Era kaakano ntuuse okuteeka eddobo mu nnyindo zo,[b]
n’oluuma ndufumite mu mimwa gyo,
nkuzzeeyo
ng’opaala mu kkubo lye wajjiramu.”
Katonda Atuukiriza Ekisuubizo kye
30 Awo Isaaya n’agamba Keezeekiya nti,
“Kano ke kabonero akanaakuweebwa:
Omwaka guno mugenda kulya eŋŋaano eyeemeza yokka.
Eno gye muliryako n’omwaka ogwokubiri.
Mu mwaka ogwokusatu
mulirya ku birime byammwe bye musize
era ne mukungula mu nnimiro zammwe ez’emizabbibu.
31 (AM)Abantu ba Yuda abalifikkawo baliba ng’ebisimbe
emirandira gyabyo nga gikka wansi ate nga bigimuka ne bibala.
32 (AN)Mu Yerusaalemi walibaawo abalisigalawo
ne ku Lusozi Sayuuni walibeerawo abaliwona,
kubanga Mukama Ayinzabyonna mu bumalirivu bwe,
yeewaddeyo okukikola.
33 “Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama ku bikwata ku Kabaka w’e Bwasuli nti,
“Kabaka oyo taliyingira mu kibuga kino
wadde okulasayo akasaale.
Talikisemberera n’engabo
newaakubadde okutuumako ekifunvu ng’akitaayiza.
34 (AO)Ekkubo lye yajjiramu lye limu ly’anaakwata okuddayo.
Tajja kuyingira mu kibuga kino,”
bw’ayogera Mukama.
35 (AP)“Ndirwanirira ekibuga kino
nkirokole.”
36 (AQ)Awo malayika wa Mukama n’afuluma n’atta mu lusiisira olw’Abasuli abantu emitwalo kkumi na munaana mu enkumi ttaano. Abaasigalawo bagenda okuzuukuka enkya nga wonna wajjudde mirambo. 37 (AR)Awo Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli n’avaayo n’addayo n’abeera e Nineeve.
38 (AS)Lumu bwe yali ng’asinziza mu ssabo lya Nisuloki katonda we, Adulammereki, ne Salezeri batabani be ne bamusalira olukwe ne bamutta: ne baddukira mu nsi ya Alalati. Esaludooni mutabani we n’amusikira.
Okusaba Kwa Keezeekiya ng’Alwadde
38 (AT)Mu nnaku ezo Keezeekiya n’alwala nnyo, katono afe. Nnabbi Isaaya mutabani wa Amozi n’ajja gy’ali n’amugamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Teekateeka ennyumba yo, kubanga togenda kulama, ogenda kufa.”
2 Awo Keezeekiya n’akyuka n’atunuulira ekisenge n’asaba ne yeegayirira Mukama 3 (AU)ng’agamba nti, “Jjukira kaakano, Ayi Mukama, nkwegayiridde, engeri gye natambuliranga mu maaso go n’amazima n’omutima ogutuukiridde, ne nkola ebisaanidde mu maaso go.” Era Keezeekiya n’akaaba nnyo amaziga.
4 Awo Ekigambo kya Katonda ne kijja eri Isaaya, 5 (AV)nga Mukama agamba nti, “Genda ogambe Keezeekiya nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Dawudi kitaawo nti, Mpulidde okusaba kwo, ndabye amaziga go: laba nzija kwongera ku nnaku zo emyaka kkumi n’ettaano. 6 (AW)Era ndikuwonya ggwe n’ekibuga kino mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli: Era ndikuuma ekibuga kino.
7 (AX)“ ‘Era kano ke kabonero k’onoofuna okuva eri Mukama nti Mukama alikola ekigambo ky’ayogedde. 8 (AY)Laba nzija kuzza emabega ekisiikirize ebigere kkumi enjuba bw’eneeba egwa, ky’eneekola ku madaala kabaka Akazi ge yazimba.’ ” Bw’etyo enjuba n’edda emabega ebigere kkumi.
9 Awo Keezeekiya Kabaka wa Yuda bwe yassuuka, n’awandiika ebigambo bino;
10 (AZ)nayogera nti, “Mu maanyi g’obulamu bwange
mwe nnali ŋŋenda okufiira nnyingire mu miryango gy’emagombe,
nga simazeeyo myaka gyange egisigaddeyo.”
11 (BA)Ne ndyoka njogera nti,
“Sigenda kuddayo kulaba Mukama,
mu nsi y’abalamu.
Sikyaddamu kulaba bantu mu nsi abantu mwe babeera.
12 (BB)Obulamu bwange buzingiddwako
ng’eweema y’omusumba w’endiga bw’enzigibwako.
Ng’olugoye lwe babadde balanga ate ne balusala ku muti kwe babadde balulukira,
bwe ntyo bwe nawuliranga emisana n’ekiro nga obulamu bwange
obumalirawo ddala.
13 (BC)Ekiro kyonna nakaabanga olw’obulumi
nga ndi ng’empologoma gw’emmenyaamenya amagumba,
ekiro n’emisana nga ndowooza nga Mukama yali amalawo obulamu bwange.
14 (BD)Nakaabanga ng’akasanke oba akataayi,
n’empuubaala ng’enjiibwa,
amaaso gange ne ganfuyirira olw’okutunula mu bbanga eri eggulu.
Ne nkaaba nti, Ayi Mukama, nga nnyigirizibwa, nziruukirira.”
15 (BE)Naye ate nga naagamba ki?
Yali ayogedde nange nga ye yennyini ye yali akikoze.
N’atambulanga n’obwegendereza mu bulumi buno
obw’obulamu bwange.
16 (BF)Ayi Mukama, olw’ebyo, abantu babeera abalamu,
era mu ebyo omwoyo gwange mwe gubeerera omulamu.
Omponye,
mbeere mulamu.
17 (BG)Ddala laba okulumwa ennyo bwe ntyo kyali ku lwa bulungi bwange,
naye ggwe owonyezza obulamu bwange okugwa mu bunnya obw’okuzikirira.
Kubanga otadde ebibi byange byonna
emabega wo.
18 (BH)Kubanga tewali n’omu mu nsi y’abafu ayinza kukutendereza,
abafu tebayinza kukusuuta;
tebaba na ssuubi
mu bwesigwa bwo.
19 (BI)Akyali omulamu,
y’akutendereza nga nze bwe nkola leero;
bakitaabwe b’abaana babategeeza
nga bw’oli omwesigwa ennyo.
20 (BJ)Mukama alindokola,
kyetunaavanga tuyimba
ne tukuba n’ebivuga eby’enkoba ennaku zonna ez’obulamu bwaffe,
mu nnyumba ya Mukama.
21 Isaaya yali agambye nti, “Baddire ekitole ky’ettiini bakisiige ku jjute, liwone.”
22 Kubanga Keezeekiya yali abuuzizza nti, “Kabonero ki akalaga nga ndiwona ne ntuuka okulagako mu nnyumba ya Mukama?”
Ababaka Okuva e Babulooni
39 (BK)Awo mu nnaku ezo Merodakubaladani mutabani wa Baladani kabaka w’e Babulooni, n’aweereza Keezeekiya ebbaluwa n’ekirabo, kubanga yawulira nti yali alwadde naye ng’awonye. 2 (BL)Keezeekiya n’abasanyukira, n’abalaga ennyumba ye ey’ebintu bye eby’omuwendo omungi, effeeza ne zaabu, n’ebyakaloosa, n’amafuta ag’omuwendo omungi, n’ennyumba yonna ey’ebyokulwanyisa. Byonna ebyali mu bugagga bwe, tewaali kintu mu nnyumba ye newaakubadde mu bwakabaka bwe bwonna Keezeekiya ky’ataabalaga.
3 (BM)Awo Isaaya nnabbi n’ajja eri kabaka Keezeekiya n’amubuuza nti, “Abasajja banno bagamba ki? Era bavudde wa okujja gy’oli?”
Keezeekiya n’amuddamu nti, “Bazze wange, bava mu nsi ey’ewala e Babulooni.”
4 N’amubuuza nti, “Balabye ki mu nnyumba yo?”
Keezeekiya n’addamu nti, “Byonna ebiri mu nnyumba yange babirabye, tewali kintu mu byobugagga bwange kye sibalaze.”
5 Awo Isaaya n’agamba Keezeekiya nti, “Wuliriza Mukama Katonda ow’Eggye ky’agamba: 6 (BN)Laba, ennaku zijja, byonna ebiri mu nnyumba yo n’ebyo bajjajjaabo bye baaterekanga ebikyaliwo n’okutuusa leero, lwe biritwalibwa e Babulooni, ne watasigala kintu na kimu, bw’ayogera Mukama. 7 (BO)N’abamu ku batabani bo, ggwe kennyini b’ozaala balitwalibwa mu lubiri lwa kabaka w’e Babulooni ne balaayibwa.”
8 (BP)Awo Keezeekiya n’agamba Isaaya nti, “Ekigambo kya Mukama ky’oŋŋambye kirungi.” Kubanga yalowooza nti, “Kasita emirembe, n’obutebenkevu binaabangawo mu mulembe gwange.”
Ebigambo eby’Essuubi
40 (BQ)Mugumye, mugumye abantu bange,
bw’ayogera Katonda wammwe.
2 (BR)Muzzeemu Yerusaalemi amaanyi mumubuulire nti,
entalo ze ziweddewo,
n’obutali butuukirivu bwe
busasuliddwa.
Era Mukama amusasudde emirundi ebiri
olw’ebibi bye byonna.
3 (BS)Eddoboozi ly’oyo ayogera
liwulikika ng’agamba nti,
“Muteeketeeke ekkubo lya Mukama mu ddungu,
mutereeze oluguudo lwe mu ddungu.
4 (BT)Buli kiwonvu kirigulumizibwa,
na buli lusozi n’akasozi ne bikkakkanyizibwa.
N’obukyamu buligololwa,
ebifo ebitali bisende ne bitereezebwa.
5 (BU)Ekitiibwa kya Mukama kiribikkulwa,
ne bonna abalina omubiri balikirabira wamu,
kubanga akamwa ka Mukama ke kakyogedde.”
6 (BV)Ne mpulira eddoboozi nga ligamba nti,
“Yogera mu ddoboozi ery’omwanguka.”
Ne ŋŋamba nti, “Nnaayogera ki?” Ne linziramu nti, gamba nti,
“Abantu bonna bali nga muddo, n’obulungi bwabwe bumala ennaku ntono ng’ebimuli eby’omu nnimiro.
7 (BW)Omuddo guwotoka, ekimuli kiyongobera,
omukka gwa Mukama bwe gugufuuwako.
Mazima abantu muddo.
8 (BX)Omuddo guwotoka, ekimuli kiyongobera,
naye ekigambo kya Katonda waffe kibeerera emirembe gyonna.”
9 (BY)Ggwe abuulira Sayuuni ebigambo ebirungi,
werinnyire ku lusozi oluwanvu;
ggwe abuulira Yerusaalemi ebigambo ebirungi,
yimusa eddoboozi lyo n’amaanyi, liyimuse oyogere, totya.
Gamba ebibuga bya Yuda nti, “Laba Katonda wammwe ajja!”
10 (BZ)Laba, Mukama Katonda ajja n’amaanyi mangi
era afuga n’omukono gwe ogw’amaanyi ag’ekitalo.
Laba empeera ye eri mu mukono gwe,
buli muntu afune nga bw’akoze.
11 (CA)Aliisa ekisibo kye ng’omusumba,
akuŋŋaanya abaana b’endiga mu mukono gwe
n’abasitula mu kifuba kye,
n’akulembera mpola mpola ezibayonsa.
12 (CB)Ani eyali ageze amazzi g’ennyanja mu kibatu kye,
n’apima eggulu n’oluta,
n’apima enfuufu y’oku nsi mu kibbo,
oba n’apima ensozi ku minzaani,
n’obusozi ku kipima?
13 (CC)Ani eyali aluŋŋamizza Omwoyo wa Mukama?
Ani ayinza okumuyigiriza n’amuwa amagezi?
14 (CD)Ani gwe yali yeebuuzizzako amuwe ku magezi,
era ani eyali amuyigirizza ekkubo ettuufu?
Ani eyali amusomesezza eby’amagezi n’amulaga okuyiga,
n’okumanya n’okutegeera?
15 Laba amawanga gali ng’ettondo eriri mu nsuwa,
era ng’enfuufu ekutte ku minzaani,
apima ebizinga ng’apima olufuufu ku minzaani.
16 (CE)N’ensolo zonna ez’omu kibira kya Lebanooni tezimala kubeera kiweebwayo eri Katonda waffe,
n’emiti gyamu gyonna mitono nnyo tegisobola kuvaamu nku zimala.
17 (CF)Amawanga gonna ag’omu nsi
gabalibwa mu maaso ge,
gy’ali gabalibwa nga si kintu n’akamu.
18 (CG)Kale ani gwe mulifaananya Katonda?
Oba kifaananyi ki kye mulimugeraageranyizaako?
19 (CH)Ekifaananyi ekyole omukozi akifumba,
n’omuweesi wa zaabu n’akibikkako zaabu,
n’akibikkako n’emikuufu egya ffeeza.
20 (CI)Oyo omwavu atasobola kufuna ffeeza
oba zaabu afuna omuti omugumu ogutavunda
ne yenoonyeza omukozi omugezigezi
okusimba n’okunyweza ekifaananyi ekyole.
21 (CJ)Temunnamanya,
temunnawulira,
temubuulirwanga
okuva ku kutondebwa kw’ensi?
22 (CK)Katonda atuula ku nsi enneekulungirivu,
era gy’ali abantu bali ng’amayanzi.
Atimba eggulu ng’olutimbe
era alibamba ng’eweema ey’okubeeramu.
23 (CL)Afuula abafuzi obutaba kintu,
afuula n’abalamuzi mu nsi okuba ekitaliimu.
24 (CM)Bali ng’ebisimbe ebyakamera biba bya kasimbibwa,
biba byakasigibwa,
biba byakaleeta emirandira,
nga abifuuwa nga biwotoka,
ng’embuyaga ebitwalira ddala ng’ebisasiro.
25 (CN)“Kale mulinfaananya ani,
ani gwe mulinnenkanya?” bw’ayogera Omutukuvu.
26 (CO)Muyimuse amaaso gammwe mulabe ebiri ku ggulu.
Ani eyatonda ebyo byonna?
Oyo afulumya ebyaka eby’omu bbanga afulumya kina kimu,
byonna nga bwe biri, n’abiyita amannya gaabyo.
Olw’obukulu bw’obuyinza bwe era kubanga wa maanyi ga nsusso,
tewali na kimu kibulako.
27 (CP)Lwaki ogamba ggwe Yakobo era ne wemulugunya ggwe Isirayiri nti,
“Mukama tamanyi mitawaana gye mpitamu,
era tafaayo nga tuggyibwako
eddembe lyaffe ery’obwebange”?
28 (CQ)Tonnamanya?
Tonnawulira?
Mukama, ye Katonda ataliggwaawo.
Omutonzi w’enkomerero y’ensi.
Tazirika so takoowa
era n’amagezi ge tewali n’omu ayinza kugapima.
29 (CR)Awa amaanyi abazirika,
n’oyo atalina buyinza amwongerako amaanyi.
30 (CS)Abavubuka bazirika, bakoowa,
n’abalenzi bagwira ddala.
31 (CT)Naye abo abalindirira Mukama
baliddamu buggya amaanyi gaabwe,
balitumbiira n’ebiwaawaatiro ng’empungu;
balidduka mbiro ne batakoowa,
balitambula naye ne batazirika.
Katonda Agumya Isirayiri
41 (CU)“Musirike mumpulirize mmwe ebizinga,
amawanga gaddemu amaanyi.
Mwetegeke okuleeta emisango gyammwe mu mbuga mujja kufuna obwogerero.
Tukuŋŋaane tulabeko omutuufu.
2 (CV)“Ani eyayita omuweereza we okuva mu buvanjuba,
eyamuyita akole emirimu gye amuweereze mu butuukirivu?
Ani eyamuwa obuwanguzi ku bakabaka ne ku mawanga,
n’abafuula ng’enfuufu n’ekitala kye,
obusaale bwe ne bubafuula ebisasiro
ebitwalibwa empewo?
3 N’agenda ng’abagoba embiro n’ayita bulungi mu makubo
ebigere bye gye by’ali bitayitanga.
4 (CW)Ani eyakola kino ng’ayita emirembe gy’abantu
okuva ku lubereberye?
Nze Mukama ow’olubereberye
era ow’enkomerero, nze wuuyo.”
5 (CX)Ebizinga by’alaba ne bitya;
n’ensi yonna n’ekankana: baasembera kumpi ne batuuka.
6 Buli muntu yayamba muliraanwa we ng’agamba nti;
“Guma omwoyo!”
7 (CY)Awo omubazzi n’agumya omuweesi wa zaabu omwoyo,
n’oyo ayooyoota n’akayondo
n’agumya oyo akuba ku luyijja
ng’ayogera ku kyuma ekigatta nti, “Nga kirungi,”
era ne bakikomerera n’emisumaali kireme okusagaasagana.
Isirayiri Yalondebwa Katonda
8 (CZ)“Naye ggwe Isirayiri omuweereza wange,
Yakobo gwe nalonda,
ezzadde lya Ibulayimu mukwano gwange,
9 (DA)ggwe, gwe naggya ku nkomerero y’ensi
ne nkuyita okuva mu bitundu by’ensi ebikomererayo ddala,
ne nkugamba nti, ‘Oli muddu wange,’
nze nakulonda so sikusuulanga:
10 (DB)Totya kubanga nze ndi wamu naawe;
tokeŋŋentererwa, kubanga nze Katonda wo.
Nnaakuwanga amaanyi.
Wewaawo nnaakuyambanga n’omukono ogwa ddyo ogw’obutuukirivu bwange.”
Isirayiri Alinnya ku Balabe be
11 (DC)“Laba, abo bonna abakukambuwalidde
balikwatibwa ensonyi ne balaba ennaku.
Abo abakuwakanya balifuuka ekitagasa
ne baggwaawo.
12 (DD)Olibanoonya abo abaakukijjanyanga
naye n’otobalaba.
Abo abaakulwanyisanga
baliggwaamu ensa.
13 (DE)Kubanga nze Mukama Katonda wo
akukwata ku mukono ogwa ddyo,
nze nkugamba nti,
Totya nze nzija kukuyamba.
14 Wadde ng’oli lusiriŋŋanyi
totya, ggwe Isirayiri,
kubanga nnaakuyamba,” bw’ayogera Mukama Omununuzi wo,
Omutukuvu wa Isirayiri.
15 (DF)“Laba ndikufuula ng’ekyuma ekiggya ekisala ennyo,
ekyogi eky’amannyo amangi.
Muliwuula ensozi ne muzimementulira ddala,
obusozi ne mubufuula ebisusunku.
16 (DG)Oliziwewa empewo n’ezifuumula,
embuyaga ezifuumuka zizisaasaanye.
Era naawe olisanyukira mu Mukama,
era mu Mutukuvu wa Isirayiri mw’olyenyumiririza.”
Mukama Ayimusa Isirayiri
17 (DH)“Abaavu n’abali mu bwetaavu bwe baneetaganga amazzi
ne baganoonya naye ne gababula,
ate nga ennimi zaabwe zikaze,
nze Mukama ndibawulira,
nze Katonda wa Isirayiri siribaleka.
18 (DI)Ndikola emigga ku busozi obutaliiko kantu,
era n’ensulo wakati mu biwonvu.
Olukoola ndirufuula ennyanja,
n’eddungu lirivaamu enzizi z’amazzi.
19 (DJ)Ndisimba mu lukoola omuvule ne akasiya,
omumwanyi n’omuzeyituuni,
ate nsimbe mu ddungu
enfugo n’omuyovu awamu ne namukago.
20 (DK)Abantu balyoke balabe bamanye,
balowooze
era batuuke bonna okutegeera nti omukono gwa Mukama gwe gukoze kino,
nti Omutukuvu wa Isirayiri yakikoze.”
Mukama Asoomooza bakatonda Abalala
21 (DL)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda gye muli mmwe nti,
“Mmwe bakatonda baamawanga, mujje nammwe mwogere.
Muleete ensonga zammwe tuziwulire,” bw’ayogera Kabaka wa Yakobo.
22 (DM)“Baleete bakatonda bwabwe
batubuulire ebigenda okubaawo.
Batubuulire n’ebyaliwo emabega,
tusobole okubimanya,
n’okubirowoozaako
n’okumanya ebinaavaamu oba okutubuulira ebigenda okujja.
23 (DN)Mutubuulire ebigenda okubaawo
tulyoke tumanye nga muli bakatonda.
Mubeeko kye mukola ekirungi oba ekibi
tulyoke tutye era tukeŋŋentererwe mu mutima.
24 (DO)Laba, temuliiko bwe muli
ne bye mukola tebigasa.
Abo ababasinza bennyamiza.
25 (DP)Nonze omuntu alifuluma mu bukiikakkono akoowoola erinnya lyange,
abeera mu buvanjuba.
Alirinnyirira abafuzi ng’asamba ettaka,
abe ng’omubumbi asamba ebbumba.
26 (DQ)Ani eyakyogera nti kiribeerawo tulyoke tumanye,
eyakyogera edda tulyoke tugambe nti, ‘Wali mutuufu?’
Tewali n’omu yakyogerako,
tewali n’omu yakimanya
era tewali n’omu yawulira kigambo na kimu okuva gye muli.
27 (DR)Nasooka okubuulira Sayuuni
era ne mpeereza omubaka e Yerusaalemi ababuulire amawulire amalungi.
28 (DS)Naye tewali n’omu mu bakatonda bammwe eyabategeeza kino.
Tewali n’omu awa bigambo biruŋŋamya,
tewali n’omu addamu bwe mbuuza.
29 (DT)Laba, bonna temuli nsa!
Bye bakola byonna tebigasa.
Ebifaananyi byabwe byonna ebibajje, mpewo na butaliimu.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.