Beginning
146 (A)Tendereza Mukama!
Tendereza Mukama ggwe emmeeme yange!
2 (B)Nnaatenderezanga Mukama ennaku zonna ez’obulamu bwange;
nnaayimbanga okutendereza Katonda wange nga nkyali mulamu.
3 (C)Teweesiganga bafuzi,
wadde abantu obuntu omutali buyambi.
4 (D)Kubanga bafa ne bakka emagombe;
ne ku lunaku olwo lwennyini, byonna bye baba bateeseteese ne bifa.
5 (E)Yeesiimye oyo ayambibwa Katonda wa Yakobo;
ng’essuubi lye liri mu Mukama Katonda we,
6 (F)eyakola eggulu n’ensi
n’ennyanja ne byonna ebirimu,
era omwesigwa emirembe gyonna.
7 (G)Atereeza ensonga z’abajoogebwa mu bwenkanya,
n’abalumwa enjala abawa ebyokulya.
Mukama asumulula abasibe.
8 (H)Mukama azibula amaaso ga bamuzibe,
era awanirira abazitoowereddwa.
Mukama ayagala abatuukirivu.
9 (I)Mukama alabirira bannamawanga,
era ayamba bamulekwa ne bannamwandu;
naye ekkubo ly’abakola ebibi alifaafaaganya.
10 (J)Mukama anaafuganga emirembe gyonna,
Katonda wo, Ayi Sayuuni, anaabanga Katonda wa buli mulembe.
Mutendereze Mukama!
147 (K)Mutendereze Mukama!
Kubanga kirungi okutenderezanga Katonda waffe;
kubanga ajjudde ekisa, n’oluyimba olw’okumutenderezanga lumusaanira.
2 (L)Mukama azimba Yerusaalemi;
era akuŋŋaanya Abayisirayiri abaali mu buwaŋŋanguse.
3 Azzaamu amaanyi abo abalina emitima egimenyese,
era ajjanjaba ebiwundu byabwe.
4 (M)Mukama ategeka omuwendo gw’emmunyeenye;
era buli emu n’agituuma erinnya.
5 (N)Mukama waffe mukulu era wa kitiibwa; amaanyi g’obuyinza bwe tegatendeka,
n’okutegeera kwe tekuliiko kkomo.
6 (O)Mukama awanirira abawombeefu,
naye abakola ebibi abasuulira ddala wansi.
7 (P)Muyimbire Mukama ennyimba ez’okumwebaza;
mumukubire entongooli ezivuga obulungi.
8 (Q)Mukama abikka eggulu n’ebire,
ensi agitonnyeseza enkuba,
n’ameza omuddo ne gukula ku nsozi.
9 (R)Ente aziwa emmere, ne bannamuŋŋoona abato abakaaba abaliisa.
10 (S)Essanyu lya Mukama teriri mu maanyi ga mbalaasi,
wadde mu magulu g’omuntu,
11 wabula Mukama asanyukira abo abamussaamu ekitiibwa,
era abalina essuubi mu kwagala kwe okutaggwaawo.
12 Tendereza Mukama ggwe Yerusaalemi,
tendereza Katonda wo ggwe Sayuuni,
13 kubanga ebisiba enzigi zo, ye abinyweza,
n’abantu bo abasulamu n’abawa omukisa.
14 (T)Aleeta emirembe ku nsalo zo;
n’akukkusa eŋŋaano esinga obulungi.
15 (U)Aweereza ekiragiro kye ku nsi;
ekigambo kye ne kibuna mangu.
16 (V)Ayaliira omuzira ku ttaka ne gutukula ng’ebyoya by’endiga enjeru,
n’omusulo ogukutte n’agusaasaanya ng’evvu.
17 Omuzira agukanyuga ng’obuyinjayinja;
bw’aleeta obutiti ani ayinza okubusobola?
18 (W)Mukama aweereza ekigambo kye, omuzira ne gusaanuuka;
n’akunsa empewo, amazzi ne gakulukuta.
19 (X)Yategeeza Yakobo ekigambo kye;
Isirayiri n’amanya amateeka ga Mukama n’ebiragiro bye.
20 (Y)Tewali ggwanga na limu lye yali akolaganye nalyo bw’atyo;
amawanga amalala tegamanyi mateeka ge.
Mutendereze Mukama!
148 Mutendereze Mukama!
Mumutendereze nga musinziira mu ggulu,
mumutenderereze mu bifo ebiri waggulu.
2 (Z)Mumutendereze mmwe mwenna bamalayika be,
mumutendereze mmwe mwenna eggye lye ery’omu ggulu.
3 Mmwe enjuba n’omwezi mutendereze Mukama,
nammwe mwenna emmunyeenye ezaaka mumutendereze.
4 (AA)Tendereza Mukama ggwe eggulu eriri waggulu ennyo,
naawe amazzi agali waggulu w’eggulu.
5 (AB)Leka byonna bitendereze erinnya lya Mukama!
Kubanga ye yalagira, ne bitondebwa.
6 (AC)Yabinywereza ddala mu bifo byabyo ennaku zonna,
n’ateekawo etteeka eritaliggwaawo.
7 (AD)Mumutendereze nga musinziira ku nsi,
mmwe balukwata n’ebifo byonna eby’omu buziba bw’ennyanja,
8 (AE)mmwe okumyansa, n’omuzira ogw’amakerenda, n’omuzira ogukutte era n’olufu,
naawe kikuŋŋunta, mugondere ekiragiro kye,
9 (AF)mmwe agasozi n’obusozi,
emiti egy’ebibala n’emivule;
10 ensolo ez’omu nsiko era n’ente zonna,
ebyewalula n’ebinyonyi ebibuuka,
11 bakabaka b’ensi n’amawanga gonna,
abalangira n’abafuzi bonna ab’ensi,
12 abavubuka abalenzi n’abawala;
abantu abakulu n’abaana abato.
13 (AG)Bitendereze erinnya lya Mukama,
kubanga erinnya lye lyokka lye ligulumizibwa;
ekitiibwa kye kisinga byonna eby’omu nsi n’eby’omu ggulu.
14 (AH)Abantu be abawadde amaanyi,
era agulumizizza abatukuvu be,
be bantu be Isirayiri abakolagana naye.
Mutendereze Mukama.
149 (AI)Mutendereze Mukama!
Muyimbire Mukama oluyimba oluggya,
mumutenderereze wamu n’ekibiina ky’abatukuvu.
2 (AJ)Isirayiri asanyukirenga eyamutonda;
n’abantu ba Sayuuni bajagulize Kabaka waabwe!
3 (AK)Batenderezenga erinnya lye nga bwe bazina,
bamutenderezenga nga bwe bakuba ennanga n’ebitaasa.
4 (AL)Kubanga Mukama asanyukira abantu be,
n’abawombeefu abawa engule ey’obulokozi.
5 (AM)Abatuukirivu bajagulizenga mu kitiibwa kino;
bayimbire ku bitanda byabwe olw’essanyu.
6 (AN)Batenderezenga Katonda waabwe,
bakwate ekitala eky’obwogi obubiri,
7 bawoolere eggwanga,
babonereze n’amawanga,
8 bateeke bakabaka baago mu njegere,
n’abakungu baago babasibe amagulu n’ebyuma,
9 (AO)babasalire omusango ogwabawandiikirwa.
Kino kye kitiibwa ky’abatukuvu be bonna.
Mutendereze Mukama.
150 (AP)Mutendereze Mukama!
Mutendereze Katonda mu kifo kye ekitukuvu;
mumutenderereze ne mu ggulu lye ery’amaanyi.
2 (AQ)Mumutendereze olw’ebikolwa bye ebiraga amaanyi ge;
mumutendereze olw’obukulu bwe obusukkiridde.
3 (AR)Mumutendereze n’eddoboozi ery’ekkondeere,
mumutendereze n’ennanga ey’enkoba n’endere.
4 (AS)Mumutendereze n’ebitaasa n’amazina;
mumutendereze n’ebivuga eby’enkoba n’endere!
5 (AT)Mumutendereze nga mukuba ebitaasa;
mumutendereze n’ebitaasa ebivuga ennyo!
6 (AU)Buli ekissa omukka kitenderezenga Mukama!
Mutendereze Mukama.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.