Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Beginning

Read the Bible from start to finish, from Genesis to Revelation.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 120-132

Oluyimba nga balinnya amadaala.

120 (A)Nkoowoola Mukama nga ndi mu nnaku,
    era n’annyanukula.
(B)Omponye, Ayi Mukama,
    emimwa egy’obulimba,
    n’olulimi olw’obukuusa.

Onooweebwa ki,
    era onookolebwa otya, ggwe olulimi olukuusa?
(C)Onoofumitibwa n’obusaale obwogi obw’omulwanyi omuzira,
    n’oyokerwa ku manda ag’omuti entaseesa.

(D)Ndabye ennaku, kubanga mbeera mu Meseki;
    nsula mu weema za Kedali!
Ndudde nnyo
    mu bantu abakyawa eddembe.
Nze njagala mirembe,
    naye bwe njogera bo baagala ntalo.

Oluyimba nga balinnya amadaala.

121 Nnyimusa amaaso gange eri ensozi,
    okubeerwa kwange kuva wa?
(E)Okubeerwa kwange kuva eri Mukama,
    eyakola eggulu n’ensi.

Taliganya kigere kyo kusagaasagana;
    oyo akukuuma taabongootenga.
Laba, oyo akuuma Isirayiri
    taabongootenga so teyeebakenga.

(F)Mukama ye mukuumi wo;
    Mukama y’akusiikiriza ku mukono gwo ogwa ddyo;
(G)emisana enjuba teekwokyenga,
    wadde omwezi ekiro.

(H)Mukama anaakukuumanga mu buli kabi;
    anaalabiriranga obulamu bwo.
(I)Mukama anaakukumanga amagenda go n’amadda,
    okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.

Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi.

122 Nasanyuka bwe baŋŋamba nti,
    “Tugende mu nnyumba ya Mukama!”
Ebigere byaffe biyimiridde
    mu miryango gyo, Ayi Yerusaalemi.

Yerusaalemi yazimbibwa okuba
    ekibuga ekinywevu ekiyimiridde awamu.
Eyo ebika byonna gye biraga,
    ebika bya Mukama,
okutendereza erinnya lya Mukama
    ng’ebiragiro ebyaweebwa Isirayiri bwe biri.
Eyo entebe ez’okusalirako emisango gye zaateekebwa;
    z’entebe ez’obwakabaka ez’ennyumba ya Dawudi.

(J)Musabirenga Yerusaalemi emirembe:
    “Abo abakwagala bafune ebirungi.
Emirembe gibeerenga munda w’ebisenge byo;
    n’amayumba go amanene gabeerenga n’omukisa era nga manywevu.”
Olwa baganda bange ne mikwano gyange
    nnaayogeranga nti, “Emirembe gibeerenga mu ggwe.”
(K)Olw’obulungi bw’ennyumba ya Mukama Katonda waffe, nnaanoonyanga okukulaakulana kwa Yerusaalemi.

Oluyimba nga balinnya amadaala.

123 (L)Nnyimusa amaaso gange gy’oli,
    Ayi ggwe atuula ku ntebe ey’obwakabaka mu ggulu.
(M)Amaaso g’abaddu nga bwe gatunuulira omukono gwa mukama waabwe;
    n’amaaso g’omuweereza omukazi nga bwe gatunuulira omukono gwa mugole we[a],
n’amaaso gaffe bwe gatyo bwe gatunuulira Mukama Katonda waffe,
    okutuusa lw’alitusaasira.

Tusaasire, Ayi Mukama, tusaasire,
    kubanga tunyoomeddwa nnyo ddala.
Emitima gyaffe gijjudde ennaku olw’okuduulirwa abo abeeyagala,
    n’okunyoomebwa ab’amalala.

Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi.

124 (N)Isirayiri agamba nti,
    singa Katonda teyali ku ludda lwaffe,
singa Katonda teyali ku ludda lwaffe
    abalabe baffe bwe baatulumba,
banditusaanyizzaawo mu kaseera buseera,
    obusungu bwabwe bwe bwatubuubuukirako.
Amataba g’obusungu bwabwe ganditusaanyizzaawo,
    ne mukoka n’atukulukutirako;
amazzi ag’obusungu bwabwe agayira
    ganditukuluggusizza.

Mukama atenderezebwe
    atatugabuddeeyo ne tutaagulwataagulwa amannyo gaabwe.
(O)Tuwonye ng’ekinyonyi bwe kiva
    ku mutego gw’abatezi;
omutego gukutuse,
    naffe tuwonye!
(P)Okubeerwa kwaffe kuli mu linnya lya Mukama,
    eyakola eggulu n’ensi.

Oluyimba nga balinnya amadaala.

125 (Q)Abeesiga Mukama bali ng’olusozi Sayuuni
    olutayinza kusiguukululwa, naye olubeerawo emirembe gyonna.
(R)Ensozi nga bwe zeetooloola Yerusaalemi,
    ne Mukama bw’atyo bwe yeetooloola abantu be,
    okuva kaakano n’okutuusa emirembe gyonna.

(S)Kubanga abafuzi abakola ebibi tebalifugira
    mu nsi y’abatuukirivu,
baleme okuwaliriza abatuukirivu
    okukola ebibi.

(T)Ayi Mukama, abalungi n’abo abalina omutima omulongoofu
    bakolere ebirungi.
(U)Naye abo abalaga mu makubo gaabwe amakyamu,
    Mukama alibawaŋŋangusa wamu n’abakola ebitali bya butuukirivu.

Emirembe gibe ku Isirayiri.

Oluyimba nga balinnya amadaala.

126 (V)Mukama bwe yakomyawo abawaŋŋanguse ba Sayuuni,
    twafaanana ng’abaloota.
(W)Olwo akamwa kaffe ne kajjula enseko,
    ne nnimi zaffe ne ziyimba ennyimba ez’essanyu.
Amawanga ne gagamba nti,
    Mukama abakoledde ebikulu.”
(X)Mukama atukoledde ebikulu,
    kyetuvudde tusanyuka.

(Y)Otuzze obuggya, Ayi Mukama,
    tufaanane ng’emigga egikulukutira mu lusenyi.
(Z)Abo abasiga nga bakaaba amaziga,
    baliyimba ennyimba ez’essanyu nga bakungula.
Oyo agenda ng’akaaba
    ng’atwala ensigo okusiga;
alikomawo ng’ayimba ennyimba ez’essanyu
    ng’aleeta ebinywa bye.

Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Sulemaani.

127 (AA)Mukama bw’atazimba nnyumba,
    abo abagizimba bazimbira bwereere.
Mukama bw’atakuuma kibuga,
    abakuumi bateganira bwereere.
(AB)Oteganira bwereere bw’okeera mu makya n’okola,
    ate n’olwawo n’okwebaka
ng’okolerera ekyokulya;
    kubanga Mukama abaagalwa be abawa otulo.

(AC)Abaana aboobulenzi kya bugagga okuva eri Mukama;
    era abaana mpeera gy’agaba okuva gy’ali.
Ng’obusaale bwe bubeera mu mukono gw’omulwanyi,
    n’abaana abazaalibwa mu buvubuka bw’omuntu bwe bali bwe batyo.
(AD)Alina omukisa omuntu oyo
    ajjuzza ensawo ye n’obusaale,
kubanga tebaliswazibwa;
    balyolekera abalabe baabwe mu mulyango omunene.

Oluyimba nga balinnya amadaala.

128 (AE)Balina omukisa abatya Katonda;
    era abatambulira mu makubo ge.
(AF)Olirya ebibala ebiriva mu kutegana kwo;
    oliweebwa emikisa era olifuna ebirungi.
(AG)Mu nnyumba yo,
    mukyala wo aliba ng’omuzabbibu ogubala ennyo;
abaana bo aboobulenzi baliba ng’amatabi g’emizeeyituuni
    nga beetoolodde emmeeza yo.
Bw’atyo bw’aweebwa emikisa
    omuntu atya Mukama.

(AH)Mukama akuwenga omukisa ng’asinziira mu Sayuuni,
    era olabe Yerusaalemi nga kijjudde ebirungi
ennaku zonna ez’obulamu bwo.
    (AI)Owangaale olabe abaana b’abaana bo!

Emirembe gibeere mu Isirayiri.

Oluyimba nga balinnya amadaala.

129 (AJ)Isirayiri ayogere nti,
    “Bambonyaabonyezza nnyo okuva mu buvubuka bwange.”
(AK)Ddala bambonyaabonyezza nnyo okuva mu buvubuka bwange;
    naye tebampangudde.
Newaakubadde ng’omugongo gwange gujjudde enkovu olw’embooko ze bankubye
    era ne gulabika nga kwe bayisizza ekyuma ekirima,
(AL)kyokka Mukama mutuukirivu;
    amenyeemenye enjegere z’abakola ebibi.

(AM)Abo bonna abakyawa Sayuuni bagobebwe
    era bazzibweyo emabega nga baswadde.
(AN)Babeere ng’omuddo ogumera waggulu ku nnyumba[b],
    oguwotoka nga tegunnakula.
Omukunguzi tagufaako, n’oyo asiba ebinywa agunyooma.
(AO)Wadde abayitawo baleme kwogera nti,
    “Omukisa gwa Mukama gube ku mmwe.
    Tubasabidde omukisa mu linnya lya Mukama.”

Oluyimba nga balinnya amadaala.

130 (AP)Ayi Mukama, nkukaabira nga nsobeddwa nnyo.
    (AQ)Ayi Mukama, wulira eddoboozi lyange;
otege amatu go
    eri eddoboozi ly’okwegayirira kwange.

(AR)Ayi Mukama, singa otubalira obutali butuukirivu bwaffe,
    ani eyandiyimiridde mu maaso go?
(AS)Naye osonyiwa;
    noolwekyo ossibwamu ekitiibwa.

(AT)Nnindirira Mukama, emmeeme yange erindirira
    era essuubi lyange liri mu kigambo kye.
(AU)Emmeeme yange erindirira Mukama;
    mmulindirira okusinga ng’abakuumi bwe balindirira obudde okukya;
    okusingira ddala ng’abakuumi bwe balindirira obudde okukya.

(AV)Ayi Isirayiri, weesigenga Mukama,
    kubanga Mukama y’alina okwagala okutaggwaawo;
    era y’alina okununula okutuukiridde.
(AW)Mukama y’alinunula Isirayiri n’amuggya
    mu byonoono bye byonna.

Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi.

131 (AX)Ayi Mukama siri wa malala,
    so n’amaaso gange tegeegulumiza.
Siruubirira bintu binsukiridde
    newaakubadde ebintu eby’ekitalo ebinsinga.
(AY)Naye ŋŋonzezza emmeeme yange era ngisiriikirizza
    ng’omwana bw’asiriikirira nga nnyina amuggye ku mabeere.
    Omwana avudde ku mabeere nga bw’asiriikirira, n’emmeeme yange bw’eri bw’etyo.

(AZ)Ayi Isirayiri, weesigenga Mukama
    okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.

Oluyimba nga balinnya amadaala.

132 Ayi Mukama jjukira Dawudi
    n’okubonaabona kwe yagumiikiriza kwonna.

(BA)Nga bwe yalayirira Mukama,
    ne yeeyama eri Katonda Ayinzabyonna, Katonda wa Yakobo,
ng’agamba nti, “Siriyingira mu nnyumba yange,
    wadde okulinnya ku kitanda kyange.
Sirikkiriza tulo kunkwata
    newaakubadde okuzibiriza amaaso gange,
(BB)okutuusa lwe ndimala okufunira Mukama ekifo;
    ekifo eky’okubeeramu ekya Katonda Ayinzabyonna, Katonda wa Yakobo.”

(BC)Laba, twakiwulirako mu Efulasa,
    ne tukizuula mu nnimiro ya Jaali.
(BD)Kale tugende mu kifo kye mw’abeera,
    tumusinzirize awali entebe y’ebigere bye.
(BE)Golokoka, Ayi Mukama, ogende mu kifo kyo mw’owummulira;
    ggwe n’Essanduuko yo ey’Endagaano, eraga obuyinza bwo.
(BF)Bakabona bo bambazibwe obutuukirivu,
    n’abatukuvu bo bayimbe n’essanyu.

10 Ku lulwe Dawudi omuddu wo,
    tomugaana oyo gwe wafukako amafuta.

11 (BG)Mukama Katonda yalayirira Dawudi
    ekirayiro ekitaliggwaawo, era talikivaako.
Kubanga yamugamba nti, “Omu ku batabani bo
    gwe ndituuza ku ntebe yo ey’obwakabaka.
12 (BH)Batabani bo bwe banaakuumanga Endagaano yange
    n’ebiragiro byange bye nnaabayigirizanga,
ne batabani baabwe nabo banaatuulanga
    ku ntebe yo ey’obwakabaka emirembe gyonna.”

13 (BI)Kubanga Mukama yalonda Sayuuni,
    nga kye yasiima okutuulangamu, n’agamba nti:
14 (BJ)“Kino kye kifo mwe nnaawummuliranga emirembe gyonna;
    omwo mwe nnaatuulanga nga ndi ku ntebe ey’obwakabaka kubanga nkisiimye.
15 (BK)Nnaakiwanga omukisa ne nkiwa n’ebirungi,
    era n’abaavu baamu nnaabakkusanga ebyokulya.
16 (BL)Bakabona baakyo, obulokozi bunaabanga kyambalo kyabwe;
    n’abatukuvu baakyo banaayimbanga ennyimba ez’essanyu n’essanyu.

17 (BM)“Eyo gye ndyaliza batabani ba Dawudi obuyinza;
    ne muteekerawo ettabaaza olw’oyo gwe nayiwako amafuta.
18 (BN)Abalabe be ndibajjuza ensonyi,
    naye ye ndimwambaza engule ey’ekitiibwa ekingi.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.