Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Beginning

Read the Bible from start to finish, from Genesis to Revelation.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
2 Ebyomumirembe 21-24

21 (A)Awo Yekosafaati ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, n’aziikibwa mu kibuga kya Dawudi; Yekolaamu mutabani we n’amusikira. Yekolaamu yalina baganda be, batabani ba Yekosafaati, nga be ba Azaliya, ne Yekyeri, ne Zekkaliya, ne Azaliya, ne Mikayiri ne Sefatiya. Abo bonna bali baana ba Yekosafaati kabaka wa Yuda. (B)Kitaabwe yabawa eby’obugagga bingi, ebya ffeeza ne zaabu, n’ebintu eby’omuwendo ebirala, wamu n’ebibuga ebiriko bbugwe mu Yuda, naye obwakabaka n’abuwa Yekolaamu kubanga ye yali omuggulanda.

Yekolaamu Kabaka wa Yuda

(C)Awo Yekolaamu bwe yamala okwenywereza ddala ku ntebe ye ey’obwakabaka, n’atta baganda be bonna n’ekitala, era n’abakungu abamu aba Isirayiri.[a] Yekolaamu yalina emyaka amakumi asatu mu ebiri we yafuukira kabaka, era n’afugira emyaka munaana mu Yerusaalemi. (D)N’atambulira mu makubo ga bakabaka ba Isirayiri, ng’ennyumba ya Akabu bwe yakolanga, era n’okuwasa n’awasa muwala wa Akabu. N’akola eby’ebibi mu maaso ga Mukama. (E)Newaakubadde ng’ebyo byonna byali bwe bityo, Mukama teyayagala kusaanyaawo nnyumba ya Dawudi, kubanga yali akoze endagaano ne Dawudi, ate ng’asuubizza okukuuma ettabaaza ye n’eya bazzukulu be ng’eyaka emirembe gyonna.

(F)Mu biro bya Yekolaamu Edomu n’ajeemera okufuga kwa Yuda ne beeteekerawo kabaka owaabwe. Awo Yekolaamu n’agendayo n’abakungu be n’amagaali ge gonna. Abayedomu ne bamutaayiza ye n’abaduumizi ab’amagaali ge mu kiro, naye n’abagolokokerako n’abakuba. 10 (G)Okuva ku olwo Edomu ne bajeemera Yuda n’okutuusa leero. Mu kiseera ekyo Libuna naye ne n’amujeemera, kubanga Yekolaamu yali avudde ku Mukama Katonda wa bajjajjaabe. 11 Yali azimbye n’ebifo ebigulumivu ku nsozi za Yuda, era ng’aleetedde n’abatuuze ba Yerusaalemi obutaba beesigwa, nga ne Yuda bawabye.

12 (H)Yekolaamu n’afuna ebbaluwa okuva eri Eriya nnabbi ng’egamba nti,

“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa jjajjaawo Dawudi nti, ‘Olw’obutatambulira mu makubo ga kitaawo Yekosafaati, wadde mu makubo ga Asa kabaka wa Yuda, 13 (I)naye n’otambulira mu kkubo lya bakabaka ba Isirayiri, n’oleetera Yuda n’abantu b’e Yerusaalemi obutaba beesigwa, ng’ennyumba ya Akabu bwe yakola, era n’otta ne baganda bo ab’ennyumba ya kitaawo, abaali bakusinga empisa, 14 Mukama kyaliva aleeta kawumpuli ow’amaanyi, ku bantu bo, n’abaana bo, n’abakyala bo, ne ku bintu byo byonna, 15 (J)ate naawe olirwala obulwadde obw’amaanyi mu lubuto, erireetera ebyenda byo okuvaayo, buli lunaku.’ ”

16 (K)Awo Mukama n’asitusa obusungu bw’Abafirisuuti n’Abawalabu abaabeeranga okumpi n’Abaesiyopiya eri Yekolaamu, 17 (L)ne balumba Yuda, ne bakiwangula, ne batwala ebintu byonna ebyali mu lubiri lwa kabaka, ne batabani be, ne bakazi be, ne wataba mutabani we n’omu eyalekebwa okuggyako Yekoyakaazi, omuggalanda.

18 Oluvannyuma lw’ebyo byonna, Mukama n’aleetako Yekolaamu obulwadde obutawonyezeka obw’omu lubuto. 19 (M)Awo ebiro bwe byayitawo, nga wayiseewo emyaka ebiri, ebyenda bye ne bitanula okumuvaamu, olw’obulwadde, n’afa mu bulumi bungi. Abantu be ne batamukumira lumbe, nga bwe baali bakoledde bajjajjaabe.

20 (N)Yekolaamu yali wa myaka amakumi asatu mu ebiri bwe yatandika okuba kabaka, era n’afugira mu Yerusaalemi emyaka munaana. Okufa kwe tekwaleetera muntu n’omu kwejjusa, n’aziikibwa mu kibuga kya Dawudi naye si ku biggya bya bassekabaka.

Akaziya Kabaka wa Yuda

22 (O)Abantu ab’omu Yerusaalemi ne bafuula Akaziya, mutabani wa Yekolaamu omuggalanda, kabaka, kubanga abasajja abanyazi abajja n’Abawalabu baali bamaze okutta abaana be bonna abakulu. Awo Akaziya mutabani wa Yekolaamu n’atandika okufuga Yuda. Akaziya yalina emyaka amakumi ana mu ebiri bwe yatandika okufuga, era n’afugira omwaka gumu mu Yerusaalemi. Erinnya lya nnyina yali Asaliya, muzzukulu wa Omuli.

(P)Ne Akaziya n’atambulira mu makubo ag’ennyumba ya Akabu, kubanga nnyina yamupikirizanga okukola ebibi. N’akola ebibi mu maaso ga Mukama, ng’ennyumba ya Akabu bwe yakola, kubanga oluvannyuma olw’okufa kwa kitaawe be baamuwabyanga, okukola ebikyamu. (Q)Era naye yagobereranga ebirowoozo byabwe, era n’agenda ne Yekolaamu, mutabani wa Akabu kabaka wa Isirayiri okutabaala Kazayeeri kabaka w’e Busuuli e Lamosugireyaadi. Abasuuli ne bafumita Yolaamu ebiwundu (R)era n’addayo e Yezuleeri okujjanjabibwa ebiwundu bye yali afunidde e Laama, bwe yali ng’alwana ne Kazayeeri kabaka w’e Busuuli. Awo Akaziya mutabani wa Yekolaamu kabaka wa Yuda n’agenda okulaba ku Yolaamu mutabani wa Akabu olw’ebisago ebyali bimutuusibbwako.

(S)Naye kyali kyategekebwa Katonda, nti okugwa kwa Akaziya kulimutuukako ng’akyalidde Yolaamu. Awo Akaziya bwe yatuuka eyo, n’agenda ne Yolaamu okusisinkana Yeeku mutabani wa Nimusu, Mukama gwe yali afuseeko amafuta okuzikiriza ennyumba ya Akabu. (T)Awo Yeeku bwe yali ng’asalira ennyumba ya Akabu omusango, n’asanga abakungu ba Yuda, ne batabani ba baganda ba Akaziya, abaaweerezanga Akaziya, n’abatta. (U)N’oluvannyuma n’anoonya Akaziya, era abasajja be ne bamuwambira e Samaliya gye yali yeekwese, n’aleetebwa ewa Yeeku n’attibwa. Ne bamuziika nga boogera nti, “Ono ye muzzukulu wa Yekosafaati, eyanoonya Mukama, n’omutima gwe gwonna.” Era mu nnyumba ya Akaziya ne wataba n’omu eyayinza okusikira obwakabaka.

Asaliya ne Yowaasi

10 Awo Asaliya, nnyina Akaziya bwe yalaba nga mutabani we afudde, n’asitula olutalo era n’azikiriza ennyumba yonna ey’obwakabaka bwa Yuda. 11 Naye Yekosabeyaasi, muwala wa kabaka Yekolaamu, n’abba Yowaasi mutabani wa Akaziya okuva mu balangira abaali bagenda okuttibwa, n’amukweka ye n’omukozi we mu kimu ku bisenge. Awo Yekosabeyaasi muwala wa kabaka Yekolaamu, ate nga ye yali mukyala wa Yekoyaada kabona, n’akweka omwana, Asaliya aleme okumutta. Yekosabeyaasi, yali mwannyina Akaziya. 12 Omwana n’akwekebwa okumala emyaka mukaaga mu nnyumba ya Katonda, nga Asaliya y’afuga ensi.

23 Naye mu mwaka ogw’omusanvu Yekoyaada n’alaga obuyinza bwe. N’akola endagaano n’abaduumizi ab’ebibinja eby’ekikumi, era baali Azaliya mutabani wa Yekokamu, ne Isimayiri mutabani wa Yekokanani, ne Azaliya mutabani wa Obedi, ne Maaseya mutabani wa Adaya, ne Erisafaati mutabani wa Zikuli. (V)Ne bagenda mu Yuda yonna ne bakuŋŋaanya Abaleevi n’abakulembeze b’ennyumba za bajjajja ba Isirayiri okuva mu bibuga byonna ebya Yuda ne bajja e Yerusaalemi. (W)Ekibiina kyonna ne bakola endagaano ne kabaka mu yeekaalu ya Katonda.

Awo Yekoyaada n’abagamba nti, “Mutabani wa kabaka y’alifuga, nga Mukama bwe yasuubiza bazzukulu ba Dawudi. Era bwe muti bwe munaakola: kimu kya kusatu ku mmwe bakabona n’Abaleevi abanaaberanga ku luwalo ku ssabbiiti munaakuumanga wankaaki, ate kimu kya kusatu ekirala munaakuumanga olubiri lwa kabaka, n’ekimu kya kusatu ekirala munaakuumanga Omulyango ogw’Omusingi, n’abantu abalala bonna banaabeeranga mu luggya olwa yeekaalu ya Mukama. (X)Tewabanga n’omu ayingira mu yeekaalu ya Mukama wabula bakabona, n’Abaleevi abanaabeeranga mu luwalo; abo banaayingiranga kubanga batukuvu, naye abantu abalala bonna banaagobereranga ekyo Mukama kye yalagira. Abaleevi banaayimiriranga okwetooloola kabaka, buli omu ku bo ng’akutte ebyokulwanyisa bye mu mukono gwe, na buli anaayingiranga mu yeekaalu wa kuttibwa. Mubeere kumpi nnyo ne kabaka, buli gy’anaalaganga.”

(Y)Abaleevi n’abantu bonna aba Yuda ne bakola nga Yekoyaada kabona bwe yalagira. Buli omu ku bo n’atwala abasajja be, abo abaali mu luwalo ku Ssabbiiti, wamu n’abo abaali bamaliriza olwabwe, kubanga Yekoyaada kabona yali tannabagaba mu mpalo. N’awa abaduumizi ab’ekikumi amafumu, n’engabo ennene, n’engabo entono, ebyali ebya Kabaka Dawudi, ebyabeeranga mu yeekaalu ya Katonda. 10 Era n’ateekateeka buli musajja okuba omukuumi wa kabaka, nga buli omu ku bo akutte ekyokulwanyisa mu mukono gwe, nga beetoolodde kabaka, n’okwetooloola ekyoto ne yeekaalu, okuva mu bukiikaddyo, okutuuka ku bukiikakkono obwa yeekaalu.

11 (Z)Awo Yekoyaada ne batabani be ne bafulumya mutabani wa kabaka ne bamutikkira engule ey’obwakabaka, ne bakola endagaano, era ne bamulangirira okuba kabaka. Ne bamufukako amafuta, ne boogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Wangaala kabaka!”

12 Naye Asaliya bwe yawulira oluyoogaano lw’abantu nga badduka era nga batendereza kabaka, n’agenda gye bali mu yeekaalu ya Mukama. 13 (AA)N’atunula, laba, kabaka ng’ayimiridde okuliraana empagi ye ku mulyango, n’abakungu n’abafuuwa amakondeere nga bayimiridde okumwetooloola, era nga n’abantu bonna ab’ensi nga basanyuka nga bafuuwa n’amakondeere, n’abayimbi nga bakutte ebivuga byabwe nga bakulembedde okujaguza. Awo Asaliya n’ayuza ebyambalo bye, n’aleekaanira waggulu nti, “Bujeemu! Bujeemu!”

14 Yekoyaada kabona n’atuma abaduumizi ab’ebibinja eby’ekikumi, abaavunaanyizibwanga eggye, n’abagamba nti, “Mumufulumye mumuteeke wakati w’enyiriri, mutte n’ekitala omuntu yenna anaamugoberera.” Kabona yali ayogedde nti, “Temumuttira mu yeekaalu ya Mukama.” 15 (AB)Bwe yali ng’anaatera okutuuka ku mulyango ogw’embalaasi mu luggya olwokubiri, ne bamukwata ne bamuttira eyo.

16 (AC)Awo Yekoyaada n’akola endagaano wakati we n’abantu bonna era ne kabaka, nti baliba bantu ba Mukama. 17 (AD)Abantu bonna ne bagenda mu ssabo lya Baali ne balimenyaamenya, ne bamenyaamenya n’ebyoto bye n’ebifaananyi bye, era ne battira ne Matani kabona wa Baali mu maaso g’ebyoto bya Baali.

18 (AE)Awo Yekoyaada n’assaawo abanaalabiriranga yeekaalu ya Mukama, era n’alonda bakabona n’Abaleevi Dawudi be yali awadde obuvunaanyizibwa obw’okuwangayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama, nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka ga Musa, nga bajaguza era nga bayimba, nga Dawudi bwe yalagira. 19 (AF)N’ateeka n’abaggazi ku wankaaki za yeekaalu ya Mukama, waleme okubaawo omuntu yenna atali mulongoofu ayingira.

20 (AG)N’agenda n’abaduumizi ab’ekikumi, n’abakungu, n’abafuzi b’abantu, n’abantu bonna ab’eggwanga, ne baggya kabaka mu yeekaalu ya Mukama, ne bayita mu wankaaki ow’ekyengulu ne balaga mu lubiri lwa kabaka. Ne batuuza kabaka ku ntebe ye ey’obwakabaka. 21 (AH)Abantu bonna ab’ensi ne bajaguza, n’ekibuga ne kitereera, kubanga Asaliya yali attiddwa n’ekitala.

Yowaasi Addaabiriza Yeekaalu

24 Yowaasi yalina emyaka musanvu we yafuukira kabaka, era n’afugira emyaka amakumi ana mu Yerusaalemi n’erinnya lya nnyina ye yali Zebbiya ow’e Beeruseba. (AI)Yowaasi n’akola ebirungi mu maaso ga Mukama mu biro byonna ebya Yekoyaada kabona. Yekoyaada n’amulondera abakyala babiri, era ne bamuzaalira abaana aboobulenzi n’aboobuwala.

Bwe waayitawo ebbanga, Yowaasi n’ayagala okuddaabiriza yeekaalu ya Mukama. (AJ)N’ayita bakabona n’Abaleevi, n’abagamba nti, “Mugende mu bibuga bya Yuda, musolooze ensimbi eza buli mwaka okuva mu Isirayiri yenna, olw’okuddaabiriza yeekaalu ya Mukama, era mutandikirewo.” Naye Abaleevi ne batakikolerawo.

(AK)Awo kabaka n’atumya Yekoyaada kabona asinga obukulu, n’amubuuza nti, “Kiki ekyakulobera okugamba Abaleevi, n’ekibiina kya Isirayiri ku lw’eweema ey’Obujulirwa, okuva eri Yuda ne Yerusaalemi okuleetanga omusolo, Musa omuddu wa Katonda gwe yalagira?”

Mu biro eby’emabegako, batabani ba Asaliya, omukazi oli omubi, baali baamenya ne bayingira mu yeekaalu ya Mukama, ne bakozesa ebintu byonna ebyawongebwa mu yeekaalu ya Mukama, emirimu gya Baali.

Awo kabaka n’alagira ne bakola essanduuko, ne bagissa ebweru wa wankaaki wa yeekaalu ya Mukama. Ekiragiro ne kiyita mu Yuda yonna ne mu Yerusaalemi yonna, okuleeteranga Mukama omusolo, Musa omuddu wa Katonda gwe yalagira Isirayiri nga bali mu ddungu. 10 (AL)Abakungu bonna n’abantu bonna ne baleetanga omusolo ogwo nga basanyufu, ne baguteekanga mu ssanduuko, okutuusa lwe yajjulanga. 11 Buli essanduuko bwe yaleetebwanga Abaleevi eri abakungu ba kabaka ne balaba ng’erimu sente nnyingi, omuwandiisi wa kabaka n’omukungu wa kabona asinga obukulu, baagitwalanga ne baziggyamu, ne bagikomyawo mu kifo kyayo. Kino baakikolanga buli lunaku, era ne bakuŋŋaanya ensimbi nnyingi. 12 (AM)Kabaka ne Yekoyaada ne bazikwasa abo abaavunaanyizibwanga omulimu gwa yeekaalu ya Mukama, bo ne bapangisa abaagula amayinja n’ababazzi okuddaabiriza yeekaalu ya Mukama, n’abalala baali baweesi ba byuma n’ebikomo era nabo nga baakuddaabiriza yeekaalu ya Mukama.

13 Abasajja abaavunaanyizibwanga omulimu ogwo baali banyiikivu, era n’omulimu ogwo gwali mu mikono gyabwe, era ne baddaabiriza yeekaalu ya Katonda okutuuka ku mutindo gwayo ogugisaanira, ne baginyweza. 14 Awo bwe baamaliriza, ensimbi ezafikkawo ne bazikomyawo ewa kabaka ne Yekoyaada, ate ezo ne zikozesebwa okukola ebintu eby’omu yeekaalu ya Mukama, eby’obuweereza n’eby’ebiweebwayo ebyokebwa, ne bbakuli ez’obubaane, n’ebibya ebya zaabu ne ffeeza. Era ne baweerangayo ebiweebwayo ebyokebwa mu yeekaalu ya Mukama ennaku zonna eza Yekoyaada.

15 Yekoyaada n’akaddiwa, n’awangaala nnyo, n’afa ng’aweza emyaka kikumi mu asatu egy’obukulu. 16 N’aziikibwa mu kibuga kya Dawudi ne bassekabaka, kubanga yakola ebirungi mu Isirayiri, ku lwa Katonda ne ku lwa yeekaalu ye.

Enneeyisa Embi eya Yowaasi

17 Awo Yekoyaada ng’amaze okufa, abakungu ba Yuda ne bajja ne bavuunamira kabaka, n’abawuliriza. 18 (AN)Ne baleka yeekaalu ya Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe, ne baweerezanga Baasera n’ebifaananyi, obusungu bwa Katonda kyebwava bubuubuukira ku Yuda ne Yerusaalemi. 19 (AO)Newaakubadde nga Mukama yabatumira bannabbi okubakomyawo gy’ali, ne babalumiriza, tebassaayo mwoyo.

20 (AP)Awo Omwoyo wa Katonda n’akka ku Zekkaliya muzzukulu wa Yekoyaada, n’ayimirira mu maaso g’abantu n’ayogera nti, “Bw’ati bw’ayogera Katonda nti, ‘Lwaki mujeemera amateeka ga Mukama? Temujja kufuna mukisa kukulaakulana. Kubanga muvudde ku Mukama naye kyavudde abaleka.’ ”

21 (AQ)Naye ne basala olukwe okutta Zekkaliya, kabaka n’alagira n’akubibwa amayinja, n’afiira mu luggya lwa yeekaalu ya Mukama. 22 (AR)Kabaka Yowaasi n’atajjukira kisa Yekoyaada kitaawe wa Zekkaliya kye yamulaga, n’atta mutabani we. Zekkaliya bwe yali ng’afa n’ayogera nti, “Mukama kino akirabe, era akuvunaane.”

23 (AS)Ku nkomerero ey’omwaka, eggye ery’Abasuuli ne lirumba Yowaasi. Ne bajja mu Yuda ne mu Yerusaalemi ne bazikiriza abakungu bonna, ne baweereza omunyago gwonna eri kabaka waabwe e Ddamasiko. 24 (AT)Newaakubadde ng’eggye ery’Abasuuli ly’ajja n’abasajja batono, Mukama yawaayo eggye eddene ennyo erya Yuda mu mukono gw’Abasuuli kubanga Yuda baava ku Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe. Abasuuli ne babonereza Yowaasi. 25 (AU)Awo Abasuuli bwe baavaayo, ne baleka nga Yowaasi alumizibbwa nnyo, era abaddu be ne bamusalira olukwe, olw’omusaayi gw’abaana ba Yekoyaada kabona, gwe yayiwa, ne bamuttira mu kitanda kye. Bwe yafa, n’aziikibwa mu kibuga kya Dawudi, naye si mu masiro ga bassekabaka.

26 (AV)Abaamusalira olukwe baali Zabadi mutabani wa Simeyaasi omukazi Omwamoni, ne Yekozabadi mutabani wa Simulisi omukazi Omumowaabu. 27 Ebyafaayo ebikwata ku batabani be, n’ebyamulagulwako, n’eby’okuddaabiriza kwa yeekaalu ya Katonda, byawandiikibwa mu ngero ez’ekitabo ekya bassekabaka. Amaziya mutabani we n’amusikira.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.