Beginning
Okukendeera kw’Amataba
8 (A)Katonda n’ajjukira Nuuwa n’ensolo zonna ez’awaka n’ez’omu nsiko ezaali naye mu lyato, n’asindika empewo ku nsi, amazzi ne gakendeera; 2 (B)ensulo eza wansi w’ensi n’ebituli eby’eggulu ne biggalibwa, n’enkuba eva mu ggulu n’eziyizibwa, 3 n’amazzi ne geeyongera okukendeera ku nsi. Ku nkomerero y’ennaku kikumi mu ataano amazzi gaali gakalidde; 4 ne mu mwezi ogw’omusanvu, ku lunaku lwagwo olw’ekkumi n’omusanvu, eryato ne litereera ku nsozi eza Alalaati. 5 Bwe gatyo amazzi ne geeyongera okukalira okutuusa mu mwezi ogw’ekkumi, ku lunaku olusooka olw’omwezi ogwo entikko z’ensozi ne zirabika.
6 Oluvannyuma lw’ennaku amakumi ana Nuuwa n’aggula eddirisa lye yakola ku lyato 7 n’atuma namuŋŋoona n’agenda nga bw’akomawo okutuusa amazzi lwe gaakalira. 8 Oluvannyuma n’atuma ejjuba ne liva w’ali okulaba ng’amazzi gakalidde ku nsi; 9 naye ejjuba ne litalaba we lissa kigere kyalyo, ne likomawo gy’ali mu lyato, kubanga amazzi gaali gakyali ku nsi yonna. N’agolola omukono gwe n’alikwata n’aliyingiza mu lyato. 10 N’alinda ennaku endala musanvu n’atuma ate ejjuba okuva mu lyato; 11 ne likomawo akawungeezi, era laba, nga lirina mu kamwa kaalyo akakoola akabisi ke liggye ku muti omuzeyituuni. Awo Nuuwa n’ategeera nti amazzi gakendedde ku nsi. 12 Ate n’alinda ennaku endala musanvu, n’asindika ejjuba, naye ku mulundi guno teryadda.
13 Ku lunaku olw’olubereberye, olw’omwezi ogw’olubereberye nga Nuuwa aweza emyaka lukaaga mu gumu, amazzi gaali gakalidde ku nsi. Awo Nuuwa n’aggyako ekibikka ku lyato n’alaba ng’ensi ekalidde. 14 Ku lunaku olw’amakumi abiri mu omusanvu olw’omwezi ogwokubiri ensi yali ekalidde.
15 Awo Katonda n’agamba Nuuwa nti, 16 (C)“Vva mu lyato, ggwe, ne mukazi wo, ne batabani bo ne bakazi baabwe. 17 (D)Fulumya buli kiramu ekiri naawe: ebinyonyi, n’ensolo, na buli kiramu ekitambula ku ttaka, biryoke bizaale byale ku nsi, byeyongerenga obungi.”
18 Awo Nuuwa n’afuluma ne batabani be, ne mukazi we wamu ne bakazi ba batabani be. 19 N’ensolo n’ebitonde byonna ebitambula ku ttaka, n’ebinyonyi byonna, byonna ne biva mu lyato bibiri bibiri mu bibinja.
20 (E)Awo Nuuwa n’azimbira Mukama ekyoto, n’addira ku zimu ku nsolo ennongoofu ne ku binyonyi ebirongoofu n’awaayo ekiweebwayo ekyokebwa ku kyoto. 21 (F)Mukama n’awulira akawoowo akalungi akamusanyusa, n’ayogera mu mutima gwe nti, “Sikyaddayo kukolimira nsi olw’omuntu, newaakubadde ng’endowooza y’omutima gwe mbi okuva mu buto bwe. Sikyaddayo na kuzikiriza bitonde byonna ebiramu, nga bwe nkoze.
22 (G)“Ensi ng’ekyaliwo,
okusiga n’amakungula,
obunnyogovu n’ebbugumu,
ebiseera eby’omusana n’eby’obutiti,
emisana n’ekiro,
tebiggwengawo.”
Endagaano ya Katonda ne Nuuwa
9 (H)Awo Katonda n’awa Nuuwa ne batabani be omukisa n’agamba nti, “Muzaale mwale mweyongerenga nnyo mujjuze ensi. 2 Ensolo zonna ez’omu nsiko, n’ebinyonyi eby’omu bbanga, na buli ekitambula ku nsi, buli ekiri mu nnyanja, byonna binaakutyanga, mbikuwadde mu mikono gyo. 3 (I)Buli kintu ekiramu, ekitambula onookiryanga. Nga bwe nakuwa ebimera, kaakano nkuwa buli kintu.
4 (J)“Naye toolyenga nnyama ng’ekyalimu omusaayi gwayo. 5 (K)Era ndivunaana ayiwa omusaayi gwammwe ne nvunaana n’omuntu olw’omusaayi gw’ensolo ne muvunaana n’olw’omusaayi gwa muntu munne.
6 (L)“Buli anaayiwanga omusaayi gw’omuntu,
n’ogugwe gunaayiibwanga,
kubanga mu kifaananyi kya Katonda,
Katonda mwe yakolera omuntu.
7 (M)Naye ggwe onoozaalanga ne weeyongera obungi. Oneeyongeranga ku nsi.”
Endagaano ne Nuuwa
8 Awo Katonda n’agamba Nuuwa ne batabani bwe baali 9 (N)nti, “Laba nkola endagaano yange nammwe ne bonna abaliva mu mmwe oluvannyuma lwammwe, 10 era na buli kitonde ekiramu ekiri naawe: ebinyonyi, n’ensolo ez’awaka n’ez’omu nsiko zonna, ne byonna bye muvudde nabyo mu lyato, ne buli kitonde kyonna ku nsi. 11 (O)Nkola endagaano yange eno nammwe: tewaabengawo mataba gazikiriza bulamu bwonna, tewakyaddayo kubaawo mataba gasaanyaawo nsi.”
12 (P)Katonda n’agamba nti, “Kano ke kabonero ke nteeka wakati wange nammwe, na buli kitonde ekiramu ekiri nammwe, era n’ab’emirembe egiriddawo. 13 Nteeka musoke wange mu kire, nga ke kabonero ak’endagaano wakati wange n’ensi.
14 “Kale olunaatuukanga, bwe nnaaleetaanga ekire ku nsi, musoke anaalabikiranga ku bire, 15 (Q)ne nzijukira endagaano yange nammwe na buli kiramu; era amazzi tegakyaddayo kuzikiriza biramu. 16 (R)Musoke bw’anaabanga ku bire, nnaamutunuuliranga ne nzijukira endagaano eteriggwaawo eriwo wakati wa Katonda na buli kitonde ekiramu ekiri ku nsi.”
17 (S)Katonda n’agamba Nuuwa nti, “Kano ke kabonero ak’endagaano gye ntaddewo wakati wange ne buli kiramu ekiri ku nsi.”
Batabani ba Nuuwa
18 (T)Batabani ba Nuuwa abaava mu lyato ye Seemu, ne Kaamu ne Yafeesi. Kaamu ye yali kitaawe wa Kanani. 19 (U)Bonna abasatu be baali batabani ba Nuuwa; era okuva mu bano ensi yonna yajjula abantu.
Kanani Akolimirwa, Seemu ye Aweebwa Omukisa
20 Nuuwa n’atandika okulima n’asimba emizabbibu; 21 n’anywa omwenge n’atamiira, ne yeebaka mu weema ng’ali bwereere. 22 Kaamu kitaawe wa Kanani n’alaba obwereere bwa kitaawe, n’abuulirako baganda be ababiri abaali ebweru. 23 Awo ne bateeka olugoye ku bibegabega byabwe ne batambula ekyennyumannyuma, ne babikka ku bwereere bwa kitaabwe.
24 Omwenge bwe gwamwamukako, Nuuwa n’azuukuka n’ategeera mutabani we omuto ky’amukoze. 25 (V)N’akolimira ezzadde lya Kaamu n’agamba nti,
“Kanani akolimirwe,
abeere muddu wa baddu eri baganda be.”
26 Era n’agamba nti,
“Mukama Katonda wange, awe Seemu omukisa,
Kanani abeere muddu we.”
27 Katonda yaza Yafeesi,
abeere mu weema za Seemu,
Kanani abeere muddu we.
28 Oluvannyuma lw’amataba Nuuwa yawangaala emyaka emirala ebikumi bisatu mu ataano. 29 Emyaka gyonna Nuuwa, gye yamala ku nsi ne giba lwenda mu amakumi ataano, n’afa.
Bazzukulu ba Nuuwa
10 (W)Bano be bazzukulu ba Nuuwa, Seemu ne Kaamu, ne Yafeesi be baazaala oluvannyuma lw’amataba.
Bazzukulu ba Kuusi
2 (X)Batabani ba Yafeesi:
Gomeri, ne Magogi, ne Madayi, ne Yivani, ne Tubali ne Meseki ne Tirasi.
3 (Y)Batabani ba Gomeri be bano:
Asukenaazi, ne Lifasi, ne Togaluma.
4 (Z)Batabani ba Yivani baali:
Erisa, ne Talusiisi, ne Kittimu ne Dodanimu. 5 (Mu bano mwe mwava abo abaabuna olubalama lw’ennyanja. Bano be batabani ba Yafeesi mu bitundu byabwe, buli bamu mu nnimi zaabwe ng’ennyumba zaabwe n’amawanga gaabwe bwe biri.)
Bazzukulu ba Kaamu
6 (AA)Batabani ba Kaamu be bano:
Kuusi, ne Misiri, ne Puuti,[a] ne Kanani.
7 Batabani ba Kuusi be bano:
Seeba, ne Kavira, ne Sabuta, ne Laama ne Sebuteka.
Batabani ba Laama baali:
Seeba ne Dedani.
8 Kuusi ye yazaala Nimuloodi; ye yasooka okuba omuntu ow’amaanyi ennyo ku nsi. 9 Yali muyizzi kkungwa, mu maaso ga Mukama, kyekyava kigambibwa nti, “Afaanana Nimuloodi omuyizzi kkungwa mu maaso ga Mukama.” 10 (AB)Obwakabaka bwe bwatandikira Baberi, ne Eneki ne Akudi ne Kalune, nga byonna bya mu nsi Sinali.[b] 11 (AC)Bwe yava mu nsi eyo n’agenda mu Bwasuli, n’azimba Nineeve, ne Lekobosiyira, ne Kala ne 12 Leseni, wakati wa Nineeve ne Kala; Leseni kye kyali ekibuga ekikulu.
13 Mizulayimu oba Misiri ye kitaawe wa
Ludimu, ne Anamimu, ne Lekabimu, ne Nafutukimu, 14 (AD)ne Pasulusimu, ne Kasulukimu (omwava Abafirisuuti) ne Kafutorimu.
15 (AE)Kanani ye yazaala
Sidoni, omwana we omubereberye, ne Keesi, 16 (AF)n’Abayebusi, n’Abamoli, n’Abagirugaasi, 17 n’Abakiivi, n’Abaluki, n’Abasiini, 18 (AG)n’Abaluvada, n’Abazemali, n’Abakamasi n’ebika eby’omu Kanani ne babuna wonna. 19 (AH)Ekitundu kya Kanani kyava ku Sidoni, okwolekera Gerali n’okutuukira ddala e Gaza okwolekera Sodomu, ne Ggomola, ne Adima, ne Zeboyimu okutuukira ddala e Lasa.
20 Abo be bazzukulu ba Kaamu, mu nda zaabwe ne nnimi zaabwe, mu bitundu byabwe ne mu mawanga gaabwe.
Bazzukulu ba Seemu
21 (AI)Seemu kitaawe w’abo bonna abaava mu Eberi, mukulu wa Yafeesi naye yazaalirwa abaana.
22 (AJ)Abaana ba Seemu be bano:
Eramu, ne Asuli,[c] ne Alupakusaadi, ne Ludi ne Alamu.
23 (AK)Batabani ba Alamu:
Uzi, ne Kuuli, ne Ggeseri ne Masi.
24 (AL)Alupakusaadi ye kitaawe wa[d] Seera.
Seera ye kitaawe wa Eberi.
25 Omu ku batabani ba Eberi yali Peregi,
kubanga we yazaalirwa ensi yali yeesazeemu, muganda we ye yali Yokutaani.
26 Yokutaani ye yali kitaawe wa
Alumodaadi, ne Serefu, ne Kazalumaveesi, ne Yera, 27 ne Kadolaamu, ne Uzali, ne Dikula, 28 ne Obali, ne Abimayeeri, ne Seeba, 29 ne Ofiri, ne Kavira ne Yobabu; bano bonna baali batabani ba Yokutaani.
30 Ekitundu mwe baali kyava ku Mesa okwolekera Serali, okutuukira ddala ku kitundu eky’ensozi ku luuyi olw’ebuvanjuba.
31 Abo be bazzukulu ba Seemu, mu nnyumba zaabwe, ne mu nnimi zaabwe, ne mu bitundu byabwe ne mu mawanga gaabwe.
32 (AM)Abo ze nnyumba za batabani ba Nuuwa ng’okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, n’amawanga gaabwe; era okuva mu bano amawanga gonna mwe gaayalira ne gabuna ensi yonna oluvannyuma lw’amataba.
Omunaala gwa Babiri
11 Ensi yonna yalina olulimi lumu, nga bakozesa ebigambo bye bimu. 2 (AN)Abantu bwe baava oluuyi olw’ebuvanjuba ne batuuka mu lusenyi nsi ya Sinaali ne babeera omwo.
3 (AO)Ne bateesa nti, “Mujje tukole amatoffaali, tugookye bulungi.” Ne baba n’amatoffaali mu kifo ky’amayinja, ne kolaasi mu kifo ky’ettosi. 4 (AP)Awo ne bagamba nti, “Mujje twezimbire ekibuga, tutuuse omunaala gwakyo ku ggulu; twekolere erinnya, tuleme okusaasaanyizibwa okubuna ensi yonna.”
5 (AQ)Naye Mukama nakka okulaba ekibuga n’omunaala, abaana b’abantu kye baali bazimba. 6 Mukama n’ayogera nti, “Laba, bali omuntu omu, era boogera olulimi lumu! Era eno ntandikwa butandikwa ey’ebyo bye banaakola; era tewali kye banaateesa kukola ekinaabalemerera. 7 (AR)Mujje, tukke wansi tutabuletabule olulimi lwabwe, baleme kutegeeragana.”
8 (AS)Bw’atyo Mukama n’abasaasaanya ne babuna ensi yonna, n’ekibuga kyabwe ne batakimaliriza. 9 (AT)Ekibuga ekyo erinnya lyakyo kye lyava liyitibwa Babiri, kubanga eyo Mukama gye yatabuliratabulira olulimi lw’ensi yonna. Eyo Mukama gye yabasaasaanyiza okubuna ensi yonna.
Abaana n’abazzukulu ba Seemu
10 Bino bye bifa ku b’olulyo lwa Seemu:
Seemu bwe yali ng’aweza emyaka kikumi, n’azaala[e] Alupakusaadi nga wakayita emyaka ebiri okuva ku mataba. 11 Seemu n’amala emyaka ebikumi bitaano nga Alupakusaadi amaze okusaalibwa. N’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala.
12 (AU)Alupakusaadi bwe yaweza emyaka asatu mu etaano n’azaala Seera, 13 Alupakusaadi bwe yamala okuzaala Seera n’awangaala emyaka emirala ebikumi bina mu esatu, omwo n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala.
14 Seera bwe yaweza emyaka amakumi asatu n’azaala Eberi, 15 ate Seera n’aweza emyaka emirala ebikumi bina mu asatu ng’amaze okuzaala Eberi, era omwo n’azaaliramu abaana abalala aboobulenzi n’aboobuwala.
16 Eberi bwe yaweza emyaka amakumi asatu mu ena n’azaala Peregi. 17 Eberi bwe yamala okuzaala Peregi n’awangaala emyaka ebikumi bina mu amakumi asatu, omwo n’azaaliramu abaana abalala aboobulenzi n’aboobuwala.
18 Peregi bwe yaweza emyaka amakumi asatu n’azaala Leewo, 19 bwe yamala okuzaala Leewo n’awangaala emyaka emirala ebikumi bibiri mu mwenda, n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala.
20 (AV)Leewo bwe yaweza emyaka amakumi asatu mu ebiri n’azaala Serugi. 21 N’awangaala emyaka emirala ebikumi bibiri mu musanvu. Omwo n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala.
22 Serugi bwe yaweza emyaka amakumi asatu n’azaala Nakoli, 23 bwe yamala okuzaala Nakoli n’awangaala emyaka emirala ebikumi bibiri. Omwo n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala.
24 (AW)Nakoli bwe yaweza emyaka amakumi abiri mu mwenda n’azaala Teera. 25 Bwe yamala okuzaala Teera n’awangaala emyaka emirala kikumi mu kkumi na mwenda, era omwo n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala.
26 (AX)Teera bwe yaweza emyaka nsanvu, n’azaala Ibulaamu, ne Nakoli ne Kalani.
Obuzaale bwa Ibulaamu
27 (AY)Bino bye bifa ku b’olulyo lwa Teera:
Teera ye kitaawe wa Ibulaamu, ne Nakoli ne Kalani; Kalani ye yali kitaawe wa Lutti. 28 (AZ)Kalani yafa nga kitaawe Teera tannafa. Yafiira mu Uli ey’Abakaludaaya mwe yazaalirwa. 29 (BA)Ibulaamu ne Nakoli ne bawasa; erinnya lya mukazi wa Ibulaamu lyali Salaayi, ate mukazi wa Nakoli nga ye Mirika, muwala wa Kalani, kitaawe wa Mirika ne Isika. 30 (BB)Salaayi yali mugumba, teyalina mwana.
31 (BC)Teera n’atwala Ibulaamu mutabani we Lutti muzzukulu we mutabani wa Kalani, ne Salaayi muka mutabani we Ibulaamu, ne bagenda bonna okuva mu Uli eky’Abakaludaaya okugenda mu nsi ya Kalani; bwe baatuuka mu Kalani,[f] ne babeera omwo.
32 Emyaka gya Teera gyali ebikumi bibiri mu etaano; Teera n’afiira mu Kalani.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.