Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Beginning

Read the Bible from start to finish, from Genesis to Revelation.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Abaebbulaniya 7-10

Kabona Merukizeddeeki

(A)Merukizeddeeki yali kabaka w’e Ssaalemi, era yali kabona wa Katonda Ali Waggulu Ennyo. Ibulayimu bwe yali ng’ava mu lutalo mwe yattira bakabaka, Merukizeddeeki n’amusisinkana, n’amusabira omukisa. Ne Ibulayimu n’awa Merukizeddeeki ekitundu eky’ekkumi ekya byonna bye yanyaga. Okusooka erinnya Merukizeddeeki litegeeza nti Kabaka ow’Obutuukirivu. Ate era litegeeza kabaka w’e Ssaalemi ekitegeeza nti ye kabaka ow’emirembe. (B)Merukizeddeeki taliiko kitaawe oba nnyina. Ennaku ze teziriiko ntandikwa wadde enkomerero, era n’obulamu bwe tebukoma. Asigala kabona emirembe gyonna, ng’Omwana wa Katonda.

(C)Kale mulabe Merukizeddeeki oyo nga bwe yali omukulu! Ibulayimu jjajjaffe yamuwa ekimu eky’ekkumi ekya byonna bye yanyaga. (D)N’abo abazzukulu ba Leevi abaaweebwa obwakabona, balagirwa okusoloozanga ekimu eky’ekkumi ng’etteeka bwe ligamba, newaakubadde nga baava mu ntumbwe za Ibulayimu, kwe kugamba nti nabo baganda baabwe. (E)Naye oyo ataabalibwa mu kika kyabwe, yafuna ekimu eky’ekkumi okuva eri Ibulayimu, Merukizeddeeki n’asabira omukisa oyo eyalina ebyasuubizibwa. Tewali kubuusabuusa omukulu y’asabira omuto omukisa. (F)Mu ngeri emu, ekimu eky’ekkumi kiweebwa eri abantu abafa, naye mu ngeri endala, kiweebwa eri oyo akakasibwa nga mulamu. Noolwekyo ka tugambe nti okuyita mu Ibulayimu, ne Leevi aweebwa ekimu eky’ekkumi, naye yawaayo ekimu eky’ekkumi. 10 Yali akyali mu ntumbwe za jjajjaawe, Merukizeddeeki bwe yamusisinkana.

11 (G)Kale singa okutuukirira kwaliwo lwa bwakabona obw’Ekileevi, kubanga abantu baaweebwa amateeka nga gasinzira ku bwo, kiki ekyetaaza kabona omulala okuva mu lubu lwa Merukizeddeeki, mu kifo ky’okuva mu lubu lwa Alooni? 12 Kubanga bwe wabaawo okukyusibwa mu bwakababona, era kiba kyetaagisa n’okukyusa mu mateeka. 13 (H)Oyo ayogerwako ebigambo ebyo wa kika kirala omutaavanga muntu eyali aweerezaako ku Kyoto. 14 (I)Kubanga kimanyiddwa nga Mukama waffe yava mu Yuda ekika Musa ky’ataayogerako bigambo bya bwakabona. 15 Era kitegeerekeka nga wazeewo Kabona omulala mu kifaananyi kya Merukizeddeeki, 16 atassibwawo ng’amateeka ag’ebiragiro eby’omubiri bwe gali, wabula ng’amaanyi bwe gali ag’obulamu obutaggwaawo. 17 (J)Kubanga Kristo ayogerwako nti,

“Oli kabona okutuusa emirembe gyonna
    ng’olubu lwa Merukizeddeeki bwe luli.”

18 (K)Ekiragiro ekyasooka kijjululwa olw’obunafu n’olw’obutagasa bwakyo, 19 (L)kubanga amateeka tegaliiko kye gatuukiriza, wabula essubi erisinga obulungi, mwe tuyita okusemberera Katonda.

20 Era kino tekyakolebwa watali kirayiro. Waliwo abaafuulibwa bakabona awatali kirayiro, 21 (M)naye ye yafuulibwa kabona mu kirayiro, ng’ayita mu oyo amwogerako nti,

“Mukama yalayira
    era tagenda kwejjusa:
‘Oli kabona emirembe gyonna.’ ”

22 (N)Yesu kyeyava afuuka omuyima w’endagaano esinga obulungi.

23 Bangi abaafuulibwa bakabona kubanga baafanga ne basikirwa. 24 (O)Naye olwokubanga Yesu abeerera emirembe gyonna, alina obwakabona obutakyukakyuka. 25 (P)Era kyava ayinza okulokolera ddala abajja eri Katonda ku bubwe, kubanga abeera mulamu ennaku zonna okubawolereza.

26 (Q)Noolwekyo Kabona Asinga Obukulu afaanana bw’atyo ye yatusaanira, omutukuvu, ataliiko musango, wadde ebbala, eyayawulibwa okuva ku abo abalina ebibi, era eyagulumizibwa okusinga eggulu, 27 (R)ataliiko kye yeetaaga ekya buli lunaku, nga bakabona abakulu abalala, okusooka okuwangayo ssaddaaka olw’ebibi bye ye, n’oluvannyuma olw’ebyo eby’abantu abalala. Ekyo yakikola omulundi gumu, bwe yeewaayo yennyini. 28 (S)Amateeka gaalondanga abantu okuba Bakabona Abasinga Obukulu n’obunafu bwabwe, naye ekigambo eky’ekirayiro, ekyaddirira amateeka, kironda Omwana eyatuukirira okutuusa emirembe gyonna.

Kabona Omukulu ow’Endagaano Empya

(T)Ekigambo ekikulu ekiri mu bye twogedde kye kino nti, Tulina Kabona Asinga Obukulu, atudde ku mukono ogwa ddyo, ogw’entebe ya Katonda ey’obwakabaka mu ggulu, (U)omuweereza w’ebitukuvu, era ow’eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu ey’amazima, etaazimbibwa bantu wabula Mukama.

(V)Kubanga Kabona Asinga Obukulu yenna alondebwa olw’omulimu ogw’okuwaayo ebirabo ne ssaddaaka, bwe kityo n’oyo kyamugwanira okuba n’ekintu ky’awaayo. (W)Singa yali ku nsi, teyandibadde kabona kubanga waliwo bakabona abawaayo ebirabo ng’amateeka bwe galagira. (X)Kye bakola kifaananako bufaananyi era kisiikirize ky’ebyo ebikolebwa mu ggulu. Musa kyeyava alabulwa, bwe yali ng’anaatera okumaliriza weema, Mukama n’amugamba nti, “Bw’oba ng’ozimba, goberera entegeka yonna eyakulagirwa ku lusozi.” (Y)Naye kaakano omulimu Yesu gwe yaweebwa, gusinga nnyo ogwa bali obukulu, kubanga n’endagaano gy’alimu ng’omutabaganya y’esinga obulungi, n’ebisuubizo kw’enyweredde, bye bisinga obulungi.

(Z)Singa endagaano eyasooka teyaliiko kyakunenyezebwa, tewandibaddewo kyetaagisa yaakubiri. (AA)Kubanga bw’abanenya ayogera nti,

“Laba ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama,
    “ndiragaana endagaano empya n’ennyumba ya Isirayiri,
awamu n’ennyumba ya Yuda.
(AB)Endagaano eno empya terifaanana n’eri gye nalagaana ne bajjajjaabwe
    lwe nabakwata ku mukono okubaggya mu nsi y’e Misiri.
Olw’okubanga tebaagoberera ndagaano yange,
    nange ssaabassaako mwoyo,”
    bw’ayogera Mukama.
10 (AC)“Eno y’endagaano gye ndiragaana n’ennyumba ya Isirayiri,
    oluvannyuma lw’ennaku ezo, bw’ayogera Mukama.
Ndissa amateeka gange mu birowoozo byabwe
    era ndiwandiika amateeka gange ku mitima gyabwe,
nange nnaabeeranga Katonda waabwe,
    nabo banaabeeranga bantu bange.
11 (AD)Era tewaliba nate muntu ayigiriza munne oba muliraanwa we, oba muganda we ng’agamba nti,
    ‘Manya Mukama,’
Kubanga okuva ku muto okutuuka ku mukulu
    bonna balimmanya.
12 (AE)Era ndibasaasira,
    n’ebibi byabwe siribijjukira nate.”

13 (AF)Katonda bw’ayogera ku ndagaano empya, olwo ng’andibizza ey’edda; n’eyo gy’adibizza n’okukaddiwa n’ekaddiwa, eriggwaawo.

Okusinza ku nsi ne mu ggulu

(AG)Endagaano ey’olubereberye, yalina amateeka agaalagirwa ag’okusinzanga Katonda, era waaliwo n’eweema entukuvu ey’oku nsi. (AH)Mu weema eno mwalimu ebisenge bibiri. Mu kisenge ekisooka nga mwe muli ekikondo ekya zaabu eky’ettaala, n’emmeeza okwabeeranga emigaati emyawule, ekisenge kino kyayitibwanga Ekifo Ekitukuvu. (AI)Era waaliwo olutimbe olwokubiri ng’emabega waalwo we wali ekifo ekiyitibwa Awatukuvu w’Awatukuvu. (AJ)Mu kifo ekyo mwalimu ekyoterezo ky’obubaane ekya zaabu, n’essanduuko ey’endagaano, eyabikkibwako zaabu ku buli ludda. Mu ssanduuko nga mulimu ekibya ekya zaabu ekyalimu emmaanu, n’omuggo gwa Alooni nga gutojjedde, n’ebipande eby’amayinja eby’Amateeka Ekkumi eby’endagaano. (AK)Ku kisaanikira ky’essanduuko nga kuliko bakerubbi ab’ekitiibwa nga basiikirizza entebe ey’okusaasira; ebintu ebyo tetuyinza kubyogerako kaakano kinnakimu.

(AL)Ebintu byonna nga bimaze okutegekebwa bwe bityo, bakabona baayingiranga mu kisenge ekisooka buli lunaku ne bakola emirimu gyabwe egy’okuweereza. (AM)Naye Kabona Asinga Obukulu yekka ye yayingiranga mu kisenge eky’omunda omulundi gumu buli mwaka. Yagendangayo n’omusaayi, gwe yawangayo ku lulwe n’olw’ebibi by’abantu bye baakolanga mu butanwa. (AN)Mu bino byonna, Mwoyo Mutukuvu atutegeeza bulungi nti, Ekkubo erituuka mu bifo ebitukuvu lyali terinnamanyika, ng’eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu ey’olubereberye ekyaliwo, n’enkola ey’edda ng’ekyaliwo. (AO)Amakulu geekyo mu kiseera kya leero, ge gano: ebirabo ne Ssaddaaka ebyaweebwangayo tebiyinza kutukuza mutima gw’oyo asinza. 10 (AP)Bikoma ku byakulya na byakunywa na ku bulombolombo obw’okunaaba, n’ebiragiro abantu bye baalina okukwata n’okugondera okutuusa ku biro eby’okuzza ebintu obuggya.

Omusaayi gwa Kristo

11 (AQ)Kristo yajja nga Kabona Asinga Obukulu ow’ebintu ebirungi ebyali bigenda okujja. Yayingira mu weema esinga obukulu n’okutuukirira, etaakolebwa na mikono gya bantu, etali ya mu nsi muno. 12 (AR)Teyayingira na musaayi gwa mbuzi wadde ogw’ente ennume, naye yayingira mu Watukuvu w’Awatukuvu omulundi gumu gwokka n’omusaayi gwe; bw’atyo ye yennyini n’atufunira obulokozi obutaggwaawo. 13 (AS)Obanga omusaayi gw’embuzi, n’ente ennume, n’evvu ly’ente enduusi, bimansirwa ku abo abalina ebibi, ne bibatukuza mu mubiri; 14 (AT)omusaayi gwa Kristo ataliiko kamogo, eyeewaayo ye yennyini eri Katonda olw’Omwoyo ataggwaawo, tegulisinga nnyo okutukuza emyoyo gyaffe okuva mu bikolwa ebifu tulyoke tuweereze Katonda omulamu?

15 (AU)Noolwekyo Kristo ye mutabaganya mu ndagaano empya, okufa bwe kwabaawo olw’okununulibwa okuva mu byonoono eby’omu ndagaano eyasooka, abo abaayitibwa ab’obusika obutaggwaawo balyoke baweebwe ekisuubizo.

16 Kubanga ekiraamo kiteekebwa mu nkola ng’eyakikola amaze kufa. 17 Kubanga kikola ng’eyakikola afudde, kubanga tekiba na makulu eyakikola bw’aba ng’akyali mulamu. 18 (AV)Era n’endagaano ey’olubereberye teyakolebwa awatali musaayi. 19 (AW)Kubanga Musa bwe yamala okuwa abantu bonna Amateeka, n’atwala omusaayi gwa zisseddume n’ogw’embuzi, n’amazzi, n’addira obutabi obw’akawoowo obwa ezobu, n’ebyoya by’endiga ebiriko omusaayi, n’amansira ku kitabo kyennyini era ne ku bantu. 20 (AX)N’ayogera nti, “Guno gwe musaayi gw’endagaano Katonda gye yabalagira okukwata.” 21 Era bw’atyo n’amansira ne ku weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, ne ku byonna ebyakozesebwanga mu kusinza. 22 (AY)Era mu mateeka buli kintu kitukuzibwa na musaayi, era awatali kuyiwa musaayi tewabaawo kusonyiyibwa.

23 (AZ)Ebifaananyi by’ebintu eby’omu ggulu kyebiva byetaaga okutukuzibwa ne ssaddaaka, naye ebintu eby’omu ggulu byennyini biteekwa kutukuzibwa na ssaddaaka ezisinga ezo. 24 (BA)Kubanga Kristo teyayingira mu kifo kya Watukuvu w’Awatukuvu ekyakolebwa n’emikono gy’abantu, naye yayingira mu ggulu mwennyini gy’ali kaakano mu maaso ga Katonda ku lwaffe. 25 (BB)Kristo teyayingira mu ggulu kwewangayo mirundi mingi, nga Kabona Asinga Obukulu bw’ayingira mu Watukuvu w’Awatukuvu buli mwaka n’omusaayi ogutali gugwe, 26 (BC)kubanga kyali kimugwanira okubonaabonanga emirundi mingi okuva ku kutondebwa kw’ensi. Naye kaakano yajja omulundi gumu ku nkomerero y’omulembe, ne yeewaayo yennyini ng’ekiweebwayo. 27 (BD)Ng’abantu bwe baterekerwa okufa omulundi gumu n’oluvannyuma okulamulwa ne kutuuka, 28 (BE)era ne Kristo bw’atyo yaweebwayo omulundi gumu ne yeetikka ebibi by’abantu bonna. Alirabika nate omulundi ogwokubiri, si kuddamu kwetikka bibi byaffe, wabula okuleeta obulokozi eri abo abamulindirira.

Kristo yeewaayo omulundi gumu ku lwa bonna

10 (BF)Amateeka kisiikirize busiikirize eky’ebirungi ebigenda okujja, go ku bwagwo tegamala, kubanga ssaddaaka ezo ze zimu eza buli mwaka ze bawaayo obutayosa ezitayinza kutukuza abo abaziwaayo. Ssaddaaka ezo zandibadde tezikyaweebwayo, kubanga abaaziwaayo, omulundi ogumu gwandibamaze okubatukuza, ne bataddayo kweraliikirira olw’ebibi byabwe. (BG)Naye ssaddaaka eza buli mwaka zaabajjukizanga ebibi byabwe. (BH)Kubanga omusaayi gw’ente ennume n’embuzi tegusobola kuggyawo bibi.

(BI)Noolwekyo Kristo bwe yali ng’ajja mu nsi kyeyava agamba nti,

“Ssaddaaka n’ebiweebwayo tewabyagala.
    Naye wanteekerateekera omubiri.
Ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’ekibi,
    tewabisiima.
(BJ)Kyennava njogera nti, ‘Nzuno, nga bwe kyawandiikibwa mu mizingo gy’ebyawandiikibwa:
    Nzize okukola by’oyagala, ng’Ebyawandiikibwa bwe binjogerako.’ ”

(BK)Nga bwe kyogera waggulu nti, Ssaddaaka n’ebiweebwayo, n’ebiweebwayo ebiramba ebyokebwa, n’ebiweebwayo olw’ebibi tewabyagala so tewabisiima, so nga biweebwayo ng’amateeka bwe galagira, (BL)n’alyoka agamba nti, “Nzuuno nzize okukola by’oyagala.” Noolwekyo aggyawo enkola esooka alyoke anyweze enkola eyookubiri. 10 (BM)Twatukuzibwa olw’okwagala kwe, omubiri gwa Yesu Kristo bwe gwaweebwayo omulundi ogumu ku lwaffe ffenna.

11 (BN)Buli kabona ayimirira buli lunaku ng’aweereza, n’awaayo ssaddaaka mu ngeri y’emu, ezitayinza kuggyawo bibi, 12 naye Kristo bwe yamala okuwaayo ssaddaaka ey’emirembe gyonna, olw’ebibi, n’alyoka atuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda. 13 (BO)Okuva mu kiseera kino alindirira abalabe be bafuulibwe entebe y’ebigere bye. 14 (BP)Kubanga olw’ekiweebwayo ekyo ekimu, abaatukuzibwa yabawa obutuukirivu obw’emirembe gyonna.

15 (BQ)Mwoyo Mutukuvu naye akikakasa bw’ayogera nti,

16 (BR)“Eno y’endagaano gye ndikola nabo,
    oluvannyuma lw’ennaku ezo, bw’ayogera Mukama.
Nditeeka amateeka gange ku mitima gyabwe,
    era ndiwandiika amateeka gange mu myoyo gyabwe.”

17 (BS)Ayongerako kino nti,

“Sirijjukira nate bibi byabwe
    newaakubadde obujeemu bwabwe.”

18 Naye kaakano awali okusonyiyibwa ebintu ebyo, waba tewakyali kyetaagisa kuwaayo kiweebwayo olw’ebibi.

Obugumiikiriza

19 (BT)Kale abooluganda nga bwe tulina obuvumu okuyingira mu Watukuvu w’Awatukuvu olw’omusaayi gwa Yesu, 20 (BU)eyatuggulirawo ekkubo eriggya era eddamu eriyita mu lutimbe, gwe mubiri gwe, 21 (BV)kale nga bwe tulina Kabona Asinga Obukulu nga y’afuga ennyumba ya Katonda, 22 (BW)tusembere awali Katonda n’omwoyo ogw’amazima ogujjudde okukkiriza nga tulina emitima egitukuzibbwa okuva mu ndowooza embi, era nga n’emibiri gyaffe ginaazibbwa n’amazzi amatukuvu. 23 (BX)Kale tunyweze essuubi lye twatula nga tetusagaasagana, kubanga eyasuubiza mwesigwa, 24 era tussengayo omwoyo buli muntu eri munne, nga twekubiriza mu kwagala ne mu kukola ebikolwa ebirungi. 25 (BY)Tuleme kulekayo kukuŋŋaana, ng’abamu bwe bakola, naye buli muntu agumye munne, na ddala nga bwe mulaba nti, Olunaku lw’okudda kwa Mukama waffe lusembedde.

26 (BZ)Singa tukola ebibi mu bugenderevu, nga tumaze okumanya amazima, waba tewakyaliwo ssaddaaka eweebwayo olw’ekibi. 27 (CA)Wabula ekiba kisigadde kwe kulindirira okusalirwa omusango ogw’ekibonerezo eky’omuliro ogw’amaanyi ogugenda okumalawo abalabe ba Katonda. 28 (CB)Omuntu yenna eyajeemeranga amateeka ga Musa yattibwanga awatali kusaasirwa, bwe waabangawo abajulirwa babiri oba basatu abamulumiriza. 29 (CC)Noolwekyo omuntu alinnyirira Omwana wa Katonda, era n’omusaayi gw’endagaano ogunaazaako ebibi n’aguyisa ng’ogwa bulijjo, era n’anyoomoola Omwoyo ow’ekisa, talibonerezebwa n’obukambwe obusingawo? 30 (CD)Kubanga tumumanyi oyo eyagamba nti, “Okuwoolera eggwanga kwange. Nze ndisasula.” Era nti, “Mukama y’aliramula abantu be.” 31 (CE)Kintu kya ntiisa okugwa mu mikono gya Katonda omulamu!

32 (CF)Mujjukire ennaku ez’edda bwe mwategeera Kristo, ne mugumiikiriza okubonyaabonyezebwa okw’amaanyi. 33 (CG)Oluusi mwavumibwanga era ne muyigganyizibwa mu lwatu, ate olulala ne mussa kimu n’abo abaabonaabona nga mmwe. 34 Mwalumirwa wamu n’abasibe, era mwagumiikiriza n’essanyu bwe mwanyagibwako ebyammwe kubanga mwamanya nti mulina ebisinga obulungi era eby’olubeerera ebibalindiridde.

35 Kale munywererenga ku buvumu bwammwe bwe mulina, obuliko empeera ennene. 36 (CH)Kubanga kibasaanira okugumiikiriza nga mukola Katonda by’ayagala mulyoke mufune ebyo bye yasuubiza.

37 (CI)Wasigadde akaseera katono nnyo,
    oyo ow’okujja ajje era talirwa.
38 (CJ)Omutuukirivu wange, anaabanga mulamu lwa kukkiriza,
    kyokka bw’adda emabega simusanyukira.

39 Naye ffe tetuli ba kudda mabega mu kuzikirira, wabula tulina okukkiriza okunywevu okutuleetera okulokoka.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.