Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Beginning

Read the Bible from start to finish, from Genesis to Revelation.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Yobu 29-31

29 (A)Yobu n’ayongera okwogera nti,

(B)“Nga nneegomba emyezi egyayita,
    ennaku Katonda mwe yali nga y’andabirira,
(C)ettaala ye bwe yayakiranga omutwe gwange,
    n’ekitangaala kye bwe kyanjakiranga nga ntambulira mu kizikiza.
(D)Mu biro we nabeerera ow’amaanyi,
    omukwano gwa Katonda omuyitirivu nga gukuuma amaka gange,
Ayinzabyonna bwe yali ng’akyali nange
    n’abaana bange nga bakyanneetoolodde,
(E)n’ekkubo lyange nga lisiigiddwa omuzigo
    n’olwazi nga lunfukirira omugga ogw’amafuta.

(F)“Bwe nalaganga ku mulyango gw’ekibuga
    ne ntuula ku ntebe mu kifo we baakubiranga enkiiko,
abavubuka abato bandabanga ne badda ebbali,
    abakadde ne basituka ne bayimirira;
(G)abakungu ab’oku ntikko ne balekeraawo okwogera,
    ne bakwata ne ku mimwa;
10 (H)ab’ebitiibwa ne balekeraawo okwogera,
    ennimi zaabwe ne zeesibira waggulu mu kamwa.
11 Buli kutu okwampuliranga nga kwesiima,
    era n’abo abandabanga nga basiima
12 (I)kubanga nawonyanga abaavu abaakaabiranga obuyambi,
    n’abatalina bakitaabwe abatalina abayamba.
13 (J)Omusajja ng’afa, y’ansabira omukisa,
    ne ndeetera omutima gwa nnamwandu okuyimba.
14 (K)Ne nnyambala obutuukirivu ng’engoye zange,
    obwenkanya bwe bwali omunagiro gwange era ekitambala kye neesiba ku mutwe.
15 (L)Nnali maaso g’abamuzibe
    era ebigere by’abalema.
16 (M)Nnali kitaawe w’abanaku,
    ne nneyama okuwolereza besimanyiiko.
17 (N)Namenyanga amannyo g’abakozi b’ebibi,
    ne nziggya mu kamwa kaabwe, be baali bakutte.

18 (O)“Nalowooza nti, ‘Ndifiira mu nnyumba yange
    nga mpezezza ennaku zange nga nnyingi ng’omusenyu ogw’oku nnyanja.
19 (P)Omulandira gwange gulituuka mu mazzi,
    era n’omusulo gulibeera ku ttabi lyange okukeesa obudde.
20 (Q)Ekitiibwa kyange tekirikaddiwa mu nze,
    n’omutego gwange ogw’akasaale gusigale nga tegukaddiye mu mukono gwange.’ 

21 “Abantu beesunganga okumpuliriza,
    nga balindirira mu kasirise amagezi gange.
22 (R)Bwe namalanga okwogera, nga tewaba addayo kwogera,
    ebigambo byange byagwanga mpola mpola mu matu gaabwe.
23 Bannindiriranga ng’enkuba
    ne banywa ebigambo byange ng’enkuba eya ttoggo.
24 Bwe nabamwenyeranga nga tebakikkiriza;
    ekitangaala ky’oku maaso gange kyali kya muwendo gye bali.
25 (S)Nabasalirangawo eky’okukola,
    ne ntuula nga kabaka n’amaggye ge;
    nnali ng’abo ababeesabeesa abakungubazi.”
30 (T)“Naye kaakano bansekerera;
    abantu abansinga obuto,
bakitaabwe be nnandibadde nteeka
    wamu n’embwa ezikuuma endiga zange.
Amaanyi g’emikono gyabwe gaali gangasa ki?
    Abantu abaali baweddemu amaanyi ag’obuvubuka bwabwe,
abakoozimbye abaali mu bwetaavu era abayala,
    bameketa ettaka ekkalu mu nsi enjereere mu budde obw’ekiro.
Banoga ebiragala ebiwoomerera ng’omunnyo mu bisaka,
    enkolokolo ez’omwoloola y’emmere yaabwe.
Baagobebwa bave mu bantu bannaabwe,
    ne babaleekaanira gy’obeera nti, baali babbi.
Baawalirizibwa okubeera mu migga egyakalira,
    mu njazi ne mu binnya wansi mu ttaka.
Baakaabira mu bisaka ng’ensolo
    ne beekweka mu bikoola by’emiti.
Ezzadde ly’abasirusiru abatalina bwe bayitibwa,
    baagobebwa mu nsi.
(U)Naye kaakano abaana baabwe bansekerera nga bannyimba;
    nfuuse ekyenyinyalwa gye bali,
10 (V)abatanjagala abanneesalako,
    banguwa okunfujjira amalusu mu maaso.
11 (W)Kaakano Katonda nga bw’atagguludde akasaale kange, ammazeemu amaanyi;
    beeyisizza nga bwe balaba mu maaso gange.
12 (X)Abantu bano bannumba ku mukono gwange ogwa ddyo;
    bategera ebigere byange emitego,
    ne baziba amakubo banzikirize.
13 (Y)Banzingiza
    ne banzikiriza,
    nga tewali n’omu abayambye.
14 Banzingiza ng’abayita mu kituli ekigazi,
    bayingira nga bayita mu muwaatwa.
15 (Z)Nnumbiddwa ebitiisa eby’amaanyi;
    ekitiibwa kyange kifuumuuse ng’ekifuuyiddwa empewo,
    era n’obukuumi bwange ne bubulawo ng’ekire.”

Okubonaabona kwa Yobu

16 (AA)“Era kaakano obulamu bwange buseebengerera buggwaawo,
    ennaku ez’okubonaabona zinzijjidde.
17 Ekiro kifumita amagumba gange
    era obulumi bwe nnina tebukoma.
18 Mu maanyi ge amangi Katonda abeera ng’olugoye lwe nneebikka,
    n’ensibibwa ng’ekitogi ky’ekyambalo kyange.
19 (AB)Ansuula mu bitosi,
    ne nfuuka ng’enfuufu n’evvu.

20 (AC)“Nkukaabirira nti, Ayi Katonda, naye toddamu;
    nnyimirira, naye ontunuulira butunuulizi.
21 (AD)Onkyukira n’obusungu;
    onnumba n’omukono gwo ogw’amaanyi.
22 (AE)Onsitula mu bbanga n’ongobesa empewo,
    n’onziza eno n’eri mu muyaga.
23 (AF)Mmanyi nga olintuusa mu kufa,
    mu kifo kye wateekerawo abalamu bonna.

24 (AG)“Ddala tewali ayamba muntu anyigirizibwa
    ng’akaaba mu kunyigirizibwa kwe.
25 (AH)Saakaabira abo abaali mu buzibu?
    Emmeeme yange teyalumirirwa abaavu?
26 (AI)Naye bwe nanoonya obulungi, ekibi kye kyajja;
    bwe nanoonya ekitangaala, ekizikiza kye kyajja.
27 (AJ)Olubuto lwange lutokota, terusirika;
    ennaku ez’okubonaabona kwange zinjolekedde.
28 (AK)Nzenna ŋŋenda nzirugala naye si lwa kwokebwa musana;
    nnyimirira mu lukuŋŋaana, ne nsaba obuyambi.
29 (AL)Nfuuse muganda w’ebibe,
    munne w’ebiwuugulu.
30 (AM)Olususu lwange luddugadde, era lususumbuka;
    n’omubiri gwange gwokerera.
31 (AN)Ettendo lyange lifuuseemu kukaaba
    n’akalere kange ne kavaamu eddoboozi ery’ebiwoobe.”

Obutukuvu bwa Yobu

31 (AO)“Nakola endagaano n’amaaso gange;
    obutatunuulira muwala n’amaaso ag’obukaba.
(AP)Kiki Katonda kye yandinsasudde okuva waggulu,
    omugabo ogwandivudde eri oyo Ayinzabyonna ali waggulu?
(AQ)Emitawaana tegijjira abo abatali batukuvu,
    n’okulaba ennaku ne kujjira abakola eby’obujeemu?
(AR)Amakubo gange gonna tagalaba,
    era tamanyi ntambula yange?
(AS)Obanga natambulira mu bulimba
    era nga n’ekigere kyange kyayanguyiriza okukola obukuusa;
(AT)leka mpimibwe ku minzaani ya Katonda
    amanye obutuukirivu bwange.
(AU)Obanga ekigere kyange kyali kikyamye okuva mu kkubo,
    n’omutima gwange ne gugoberera amaaso gange,
    engalo zange ne zibaako ebbala lyonna;
(AV)kale nsige, omulala abirye,
    weewaawo ebirime byange bikuulibwe.
(AW)Obanga omutima gwange gwali gusendeddwasendeddwa omukazi,
    oba ne mmuteegera ku mulyango gwa muliraanwa,
10 (AX)kale omukazi wange ase eŋŋaano y’omusajja omulala,
    n’abasajja abalala beebake naye.
11 (AY)Kubanga ekyo kyandibadde kya kivve,
    ekibi ekiŋŋwanira okubonerezebwa.
12 (AZ)Ogwo gwandibadde muliro ogwokya okutuusa mu kuzikirira,
    ogwandyokezza ebyange byonna bye nasimba.”

Abaddu n’Abaavu Okubassaako Omwoyo

13 (BA)“Obanga nnali nnyoomye ensonga y’omuddu wange oba omuddu wange omukazi,
    bwe banninaako ensonga,
14 kale ndikola ntya Katonda bw’alinnyimukiramu?
    Era bw’alimbuuza, ndimuddamu ki?
15 (BB)Eyantonda mu lubuto nabo si ye yabatonda?
    Ffenna si ye yatukola mu mbuto za bannyaffe?

16 (BC)“Obanga nnamma omwavu ekintu kyonna,
    era obanga nakaabya nnamwandu;
17 (BD)obanga nnali ndidde akamere kange nzekka
    atalina kitaawe n’atalyako,
18 kubanga okuva mu buto bwange namulera nga kitaawe,
    era okuva mu lubuto lwa mmange nayamba nnamwandu.
19 (BE)Obanga nnali ndabye omuntu yenna ng’afa olw’okubulwa ebyambalo,
    oba ali mu kwetaaga atalina kye yeebikka;
20 mpozzi omutima gwe, gwe gutansiima,
    olw’okumubugumya n’ebyoya by’endiga zange;
21 (BF)obanga nayimusa omukono gwange eri abatalina bakitaabwe,
    kubanga mmanyi nti, mmanyiganye n’ab’obuyinza,
22 (BG)kale omukono gwange gukutuke ku kibegabega kyange,
    leka gukutukireyo mu kinywa we guyungira.
23 (BH)Olw’okutya okuzikirizibwa Katonda n’olw’obukulu bwe,
    nnali sisobola kukola bintu ng’ebyo.

24 (BI)“Obanga nateeka obweyamo bwange mu zaabu
    oba ne ŋŋamba zaabu ennongoose nti, ‘Ggwe bwesige bwange;’
25 (BJ)obanga neeyagala olw’okuba n’obugagga obungi,
    oba olw’okuba emikono gyange gy’ali ginfunyisizza bingi;
26 (BK)obanga nnali ntunuulidde enjuba,
    oba omwezi nga byaka mu kitiibwa,
27 omutima gwange ne gusendebwasendebwa mu kyama,
    ne mbinywegera nga mbisaamu ekitiibwa,
28 (BL)era n’ekyo kyandibadde kibi ekiŋŋwanyiza okusalirwa omusango
    olw’obutaba mwesigwa eri Katonda ali waggulu.”

Abalabe n’abagwira Okubassaako Omwoyo

29 (BM)“Obanga nasanyuka ng’omulabe wange afunye emitawaana
    oba ne njaguza olw’ebizibu ebyamutuukako,
30 sakkiriza kamwa kange kwonoona
    nga nkolimira obulamu bwe.
31 (BN)Abantu b’omu nnyumba yange bwe baba tebabuuzanga nti,
    ‘Ani atakkuse nnyama?’
32 (BO)Tewali mutambuze yasula ku kkubo,
    kubanga oluggi lwange lwali luggule eri buli muyise.
33 (BP)Obanga nakweka ekibi kyange ng’abantu bwe bakola,
    nga nkweka obutali butuukirivu bwange mu mutima gwange,
34 (BQ)olw’okutya ekibiina,
    nga ntya okuswala mu kika,
    ne nsirika ne ntya n’okufuluma ebweru,
35 (BR)so nga waliwo ayinza okumpulira,
    leka nteekeko omukono ku mpoza yange, leka Ayinzabyonna anziremu;
    n’oyo ampawaabira abiteeke mu buwandiike.

36 “Ddala ddala nandibyambadde ku kibegabega kyange,
    nandibyambadde ku mutwe ng’engule.
37 (BS)Nandimunnyonnyodde buli kifo we nalinnya ekigere,
    nandimusemberedde ng’omulangira.

38 (BT)“Singa ettaka lyange linkaabirira,
    n’ebinnya byalyo bye nsimye ne bitotobala n’amaziga;
39 (BU)obanga ndiddemu ebibala awatali kusasula,
    era ne ndeetera bannannyini lyo okufa,
40 (BV)leka omwennyango gumere mu kifo ky’eŋŋaano,
    n’omuddo oguwunya gumere mu kifo kya sayiri.”

Ebigambo bya Yobu byakoma wano.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.