Book of Common Prayer
Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi.
131 (A)Ayi Mukama siri wa malala,
so n’amaaso gange tegeegulumiza.
Siruubirira bintu binsukiridde
newaakubadde ebintu eby’ekitalo ebinsinga.
2 (B)Naye ŋŋonzezza emmeeme yange era ngisiriikirizza
ng’omwana bw’asiriikirira nga nnyina amuggye ku mabeere.
Omwana avudde ku mabeere nga bw’asiriikirira, n’emmeeme yange bw’eri bw’etyo.
3 (C)Ayi Isirayiri, weesigenga Mukama
okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.
Oluyimba nga balinnya amadaala.
132 Ayi Mukama jjukira Dawudi
n’okubonaabona kwe yagumiikiriza kwonna.
2 (D)Nga bwe yalayirira Mukama,
ne yeeyama eri Katonda Ayinzabyonna, Katonda wa Yakobo,
3 ng’agamba nti, “Siriyingira mu nnyumba yange,
wadde okulinnya ku kitanda kyange.
4 Sirikkiriza tulo kunkwata
newaakubadde okuzibiriza amaaso gange,
5 (E)okutuusa lwe ndimala okufunira Mukama ekifo;
ekifo eky’okubeeramu ekya Katonda Ayinzabyonna, Katonda wa Yakobo.”
6 (F)Laba, twakiwulirako mu Efulasa,
ne tukizuula mu nnimiro ya Jaali.
7 (G)Kale tugende mu kifo kye mw’abeera,
tumusinzirize awali entebe y’ebigere bye.
8 (H)Golokoka, Ayi Mukama, ogende mu kifo kyo mw’owummulira;
ggwe n’Essanduuko yo ey’Endagaano, eraga obuyinza bwo.
9 (I)Bakabona bo bambazibwe obutuukirivu,
n’abatukuvu bo bayimbe n’essanyu.
10 Ku lulwe Dawudi omuddu wo,
tomugaana oyo gwe wafukako amafuta.
11 (J)Mukama Katonda yalayirira Dawudi
ekirayiro ekitaliggwaawo, era talikivaako.
Kubanga yamugamba nti, “Omu ku batabani bo
gwe ndituuza ku ntebe yo ey’obwakabaka.
12 (K)Batabani bo bwe banaakuumanga Endagaano yange
n’ebiragiro byange bye nnaabayigirizanga,
ne batabani baabwe nabo banaatuulanga
ku ntebe yo ey’obwakabaka emirembe gyonna.”
13 (L)Kubanga Mukama yalonda Sayuuni,
nga kye yasiima okutuulangamu, n’agamba nti:
14 (M)“Kino kye kifo mwe nnaawummuliranga emirembe gyonna;
omwo mwe nnaatuulanga nga ndi ku ntebe ey’obwakabaka kubanga nkisiimye.
15 (N)Nnaakiwanga omukisa ne nkiwa n’ebirungi,
era n’abaavu baamu nnaabakkusanga ebyokulya.
16 (O)Bakabona baakyo, obulokozi bunaabanga kyambalo kyabwe;
n’abatukuvu baakyo banaayimbanga ennyimba ez’essanyu n’essanyu.
17 (P)“Eyo gye ndyaliza batabani ba Dawudi obuyinza;
ne muteekerawo ettabaaza olw’oyo gwe nayiwako amafuta.
18 (Q)Abalabe be ndibajjuza ensonyi,
naye ye ndimwambaza engule ey’ekitiibwa ekingi.”
Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi.
133 (R)Laba bwe kiri ekirungi era nga kisanyusa,
abooluganda okubeera awamu nga batabaganye.
2 (S)Kiri ng’amafuta ag’omuwendo omungi agafukibwa ku mutwe gwa Alooni
ne gakulukutira mu kirevu;
gakulukutira mu kirevu kya Alooni,
ne gakka ku kitogi ky’ebyambalo bye.
3 (T)Kiri ng’omusulo gw’oku lusozi Kerumooni,
ogugwa ne ku nsozi za Sayuuni;
kubanga eyo Mukama gy’agabira omukisa
n’obulamu emirembe gyonna.
Oluyimba nga balinnya amadaala.
134 (U)Mulabe, mutendereze Mukama, mmwe mwenna abaddu ba Mukama,
abaweereza ekiro mu nnyumba ya Mukama.
2 (V)Mugolole emikono gyammwe mu kifo ekitukuvu,
mutendereze Mukama.
Mutendereze erinnya lya Mukama.
Mumutendereze mmwe abaddu ba Mukama;
2 (Y)mmwe abaweereza mu nnyumba ya Mukama,
mu mpya z’ennyumba ya Katonda waffe.
3 (Z)Mutendereze Mukama, kubanga Mukama mulungi;
mutendereze erinnya lye kubanga ekyo kisanyusa.
4 (AA)Kubanga Mukama yeerondera Yakobo okuba owuwe;
ye Isirayiri gwe yeeroboza okuba eky’omuwendo.
5 (AB)Mmanyi nga Mukama mukulu wa kitiibwa,
era nga Mukama oyo y’asinga bakatonda bonna.
6 (AC)Mukama kyonna ky’asiima ky’akola,
mu ggulu ne ku nsi;
mu nnyanja ne mu buziba bwayo.
7 (AD)Alagira ebire ne byekuluumulula okuva ku nkomerero y’ensi;
atonnyesa enkuba erimu okumyansa,
n’asumulula empewo okuva mu mawanika ge.
8 (AE)Ye yakuba ababereberye ab’e Misiri;
ababereberye b’abantu n’ebibereberye by’ebisolo.
9 (AF)Ye yaweereza obubonero n’ebyewuunyo wakati wo, ggwe Misiri,
eri Falaawo n’abaweereza be bonna.
10 (AG)Ye yakuba amawanga amangi,
n’atta bakabaka ab’amaanyi era be bano,
11 (AH)Sikoni kabaka w’Abamoli,
ne Ogi kabaka w’e Basani
ne bakabaka bonna ab’e Kanani.
12 (AI)Ensi yaabwe n’agiwaayo ng’obusika,
okuba obusika bw’abantu be Isirayiri.
13 (AJ)Ayi Mukama, erinnya lyo lya lubeerera,
era n’obukulu bwo bumanyibwa emirembe gyonna.
14 (AK)Kubanga Katonda aliggyako abantu be omusango,
era alisaasira abaweereza be.
15 Abamawanga ebifaananyi byonna ebyole bye basinza,
ebyakolebwa n’emikono gy’abantu mu ffeeza ne zaabu,
16 birina emimwa, naye tebyogera;
birina amaaso, naye tebiraba;
17 birina amatu naye tebiwulira;
so ne mu kamwa kaabyo temuyitamu mukka.
18 Ababikola balibifaanana;
na buli abyesiga alibifaanana.
19 Ayi ennyumba ya Isirayiri mutendereze Mukama;
mmwe ennyumba ya Alooni mutendereze Mukama.
20 Mmwe ennyumba ya Leevi mutendereze Mukama;
mmwe abatya Mukama mutendereze Mukama.
21 (AL)Mukama ali mu Sayuuni yeebazibwe;
yeebazibwe oyo abeera mu Yerusaalemi.
Mutendereze Mukama.
14 (A)Ekiseera ekyokulya bwe kyatuuka, Bowaazi n’agamba Luusi nti, “Jjangu okoze omugaati gwo mu wayini akatuuse[a].”
Awo Luusi bwe yatuula wansi, Bowaazi n’amuwa sayiri ensiike, n’alya, n’akkuta, n’emulemera nawo. 15 Oluvannyuma ng’okulya kuwedde, n’agolokoka agende alonde, era Bowaazi n’alagira abaddu be nti, “Ne bw’anaalonda mu binywa temumugaana. 16 Wakiri, mumuleke yerondere mu miganda so temumuwuuna.”
17 Awo Luusi n’alonda mu nnimiro okutuuka akawungeezi, oluvannyuma n’awuula ne sayiri gye yali akuŋŋaanyizza, n’aweza nga kilo kkumi na ssatu. 18 (B)Yonna n’agyetikka, n’agitwala mu kibuga, ne nnyazaala we n’agiraba. Era yamuleetera ne ku mmere gye yali afissizzaawo.
19 (C)Nnyazaala we yasanyuka nnyo, era n’amubuuza nti, “Wakoze mu nnimiro y’ani leero? Aweebwe omukisa oyo akukwatiddwa ekisa!” Awo Luusi n’abuulira nnyazaala we nannyini nnimiro mwe yakoze, n’erinnya ly’omwami nga ye Bowaazi.
20 (D)Nawomi namugamba nti, “Mukama Katonda atalekanga kulaga kisa eri abalamu n’abafu, amuwe omukisa. Anti omusajja oyo muganda waffe ddala, era y’omu ku banunuzi[b] baffe ddala.”
21 Luusi Omumowaabu n’ayongerako nti, “N’okuŋŋamba yaŋŋambye nti nkolere wamu n’abakozi be okutuusa lwe balimala eby’okukungula bye.”
22 Awo Nawomi n’agamba Luusi muka mwana we nti, “Kijja kuba kirungi nnyo muwala wange, okubeeranga kumpi nabaweereza be abakazi, kubanga singa onoogenda mu nnimiro y’omulala akabi kayinza okukutuukako.”
23 (E)Awo Luusi n’abeeranga kumpi n’abaweereza ba Bowaazi ng’alonda okutuusa amakungula ga sayiri n’eŋŋaano bwe gaggwa, n’abeeranga wamu ne nnyazaala we.
3 (A)Tutandike okwetendereza? Oba twetaaga ebbaluwa ez’okutusemba gye muli mmwe oba okuva gye muli ng’abalala? 2 (B)Mmwe muli bbaluwa yaffe, ewandiikiddwa mu mitima gyaffe, emanyiddwa era esomebwa abantu bonna, 3 ekiraga nti muli bbaluwa eva eri Kristo, enywezeddwa ffe, etaawandiikibwa na bwino, wabula na Mwoyo wa Katonda omulamu, si ku bipande eby’amayinja naye ku bipande by’emitima egy’omubiri.
4 (C)Obwo bwe bwesige bwe tulina eri Katonda nga tuyita mu Kristo. 5 (D)Si lwa kubanga obwesige obwo buva mu ffe ku lwaffe, naye obwesige bwaffe buva eri Katonda, 6 (E)oyo ye yatusaanyiza okuba abaweereza b’endagaano empya etali ya nnukuta wabula ey’omwoyo. Kubanga ennukuta etta, naye omwoyo aleeta obulamu.
Ekitiibwa ekiri mu ndagaano empya
7 (F)Kale obanga obuweereza bw’amateeka agaleeta okufa agaayolebwa ku mayinja bwaleetebwa n’ekitiibwa kingi, eri abaana ba Isirayiri, abantu ne batasobola na kutunula mu maaso ga Musa, olw’ekitiibwa ekyali kiva ku maaso ge, ekyali kigenda okuggwaako, 8 kale obuweereza obw’omwoyo tebulisinga nnyo okuba obw’ekitiibwa? 9 (G)Kuba obanga obuweereza bw’okusalirwa omusango bwa kitiibwa, obuweereza bw’obutuukirivu businga nnyo ekitiibwa. 10 Kubanga ekyaweebwa ekitiibwa tekyakiweebwa mu kigambo kino. 11 Kale obanga ekyo ekiggwaawo kaakano kyajja n’ekitiibwa, ekyo ekitaggwaawo kisinga nnyo ekitiibwa kya kiri ekyasooka.
12 (H)Olw’okuba n’essuubi eringi bwe lityo, kyetuva tuweereza n’obuvumu bungi, 13 (I)so si nga Musa eyeebikkanga ku maaso ge, abaana ba Isirayiri baleme okulaba ekitiibwa bwe kiggwaako. 14 (J)Naye ebirowoozo byabwe byakkakkanyizibwa kubanga n’okutuusa leero ekibikka ku maaso ekyo kikyali kye kimu kye beebikkanga nga basoma endagaano enkadde, kye bakyebikako nga bagisoma, tekyababikkulirwa, kubanga kiggyibwawo mu Kristo. 15 Naye n’okutuusa leero, Musa bye yawandiika bwe bisomebwa, emitima gyabwe giba gibikiddwako essuuka. 16 (K)Naye buli muntu akyuka n’adda eri Mukama, abikkulwako essuuka eyo. 17 (L)Kale nno Mukama ye Mwoyo, era buli Omwoyo wa Mukama w’abeera, wabaawo eddembe. 18 (M)Kaakano ffe ffenna, amaaso gaffe nga gabikuddwa, ekitiibwa kya Katonda kyakaayakana mu ffe ng’endabirwamu emulisa ekitiibwa kye ne tukyusiibwa okumufaanana okuva mu kitiibwa okutuuka mu kitiibwa, ekiva eri Mukama waffe, Mwoyo.
Etteeka ly’Obwenzi
27 (A)“Mwawulira bwe kyagambibwa nti, ‘Toyendanga!’ 28 (B)Naye mbagamba nti Buli muntu atunuulira omukazi n’amwegomba aba amaze okumwendako mu mutima gwe. 29 (C)Noolwekyo obanga eriiso Lyo erya ddyo likuleetera okwesittala, liggyeemu olisuule wala. Kubanga kirungi okugenda mu ggulu ng’ebitundu byo ebimu tobirina okusinga okugenda nabyo byonna mu ggeyeena. 30 Era obanga omukono gwo ogwa ddyo gukukozesa ebibi, kirungi okugutemako ogusuule wala. Okugenda mu ggulu ng’ekitundu ky’omubiri gwo ekimu tokirina kisinga okugenda mu ggeyeena n’ebitundu by’omubiri gwo byonna. 31 (D)Kyagambibwa nti, ‘Buli anaagobanga mukazi we, anaawanga omukazi oyo ebbaluwa ey’okumugoba.’ 32 (E)Naye mbagamba nti Buli anaagobanga mukazi we wabula olw’obwenzi anaabanga amwenzesezza, n’oyo anaawasanga omukazi gwe bagobye anaabanga ayenze.”
Okulayira
33 (F)“Mwawulira bwe kyagambibwa ab’edda nti, ‘Buli kye weeyamanga eri Mukama okituukirizanga.’ 34 (G)Naye mbagamba nti: Temulayiranga n’akatono! Temulayiranga ggulu, kubanga ye ntebe y’obwakabaka bwa Katonda. 35 (H)Temulayiranga nsi, kubanga y’entebe y’ebigere bye. Temulayiranga Yerusaalemi, kubanga ky’ekibuga kya Kabaka omukulu. 36 Era tolayiranga mutwe gwo, kubanga toyinza na kufuula luviiri lwo olumu okuba olweru oba oluddugavu. 37 (I)Naye muddangamu buzzi nti, ‘Weewaawo.’ Oba nti, ‘Si weewaawo’. Kubanga bw’ogezaako okukakasa ebigambo byo n’okulayira kiraga nti waliwo ekitali kituufu.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.