Book of Common Prayer
33 (A)Afuula emigga amalungu,
n’emikutu gy’amazzi ne giba ng’ettaka ekkalu,
34 (B)ensi engimu n’agifuula olukoola olw’olunnyo
olw’obwonoonyi bw’abantu baamu.
35 (C)Eddungu yalijjuza ebidiba by’amazzi,
n’ensi enkalu n’agikulukusizaamu amazzi,
36 abalina enjala n’abateeka omwo,
ne beezimbira ekibuga eky’okubeeramu,
37 (D)ennimiro zaabwe ne bazisigamu emmere, ne basimba emizabbibu,
ne bakungula ebibala bingi.
38 (E)Yabawa omukisa gwe, ne beeyongera obungi;
n’ebisibo byabwe n’atabiganya kukendeera.
39 (F)Ate ne bakendeera obungi, ne bakkakkanyizibwa
olw’okujeezebwa, n’okujoogebwa n’okulaba ennaku;
40 (G)oyo anyooma n’abakungu,
n’ababungeetanyiza mu lukoola omutali kantu.
41 (H)Naye abaali mu kwetaaga yabamalako ennaku n’okubonaabona,
n’ayaza ezzadde lyabwe ng’ebisibo.
42 (I)Abagolokofu, bino babiraba ne basanyuka;
naye abakola ebibi bo basirika busirisi.
43 (J)Abalina amagezi bonna, bagondere ebigambo bino
era bategeere okwagala kwa Mukama okutaggwaawo.
Oluyimba. Zabbuli ya Dawudi.
108 Omutima gwange munywevu, Ayi Katonda;
nnaayimbanga ne nkutendereza n’omwoyo gwange gwonna.
2 Muzuukuke, mmwe entongooli n’ennanga ey’enkoba,
nzija kuyimba okukeesa obudde.
3 Nnaakutenderezanga, Ayi Mukama, mu bantu bonna,
nnaakuyimbiranga mu mawanga gonna.
4 Okwagala kwo kunene, kutumbiira okutuuka ku ggulu;
n’obwesigwa bwo butuuka ku bire.
5 (K)Ogulumizibwenga, Ayi Katonda, okuyisa eggulu;
n’ekitiibwa kyo kibune ensi yonna.
6 Tulokole otuyambe n’omukono gwo ogwa ddyo,
abo booyagala banunulibwe.
7 Katonda ayogedde ng’asinziira mu kifo kye ekitukuvu n’agamba nti,
“Nga nzijudde essanyu, ndisala mu Sekemu,
era n’Ekiwonvu kya Sukkosi ndikigabanyagabanyaamu.
8 (L)Ensi ya Gireyaadi yange, n’eya Manase nayo yange.
Efulayimu mwe muli abalwanyi bange abazira;
ate mu Yuda mwe munaavanga bakabaka.
9 Mowaabu be baweereza bange abawulize;
ate Edomu be baddu bange;
Abafirisuuti ndibaleekaanira mu ddoboozi ery’omwanguka ery’obuwanguzi.”
10 Ani anantuusa ku kibuga ekigumu ekinywevu?
Ani anankulembera okunnyingiza mu Edomu?
11 (M)Si ggwe, ayi Katonda, atusudde,
atakyatabaala n’amaggye gaffe?
12 Tudduukirire nga tulwanyisa abalabe baffe,
kubanga obuyambi bw’abantu temuli nsa.
13 Bwe tunaabeeranga ne Katonda tunaabanga bawanguzi;
kubanga y’anaalinnyiriranga abalabe baffe wansi w’ebigere bye.
Zabbuli ya Dawudi.
33 (A)Muyimbire Mukama n’essanyu mmwe abatuukirivu;
kisaanira abalongoofu okumutenderezanga.
2 (B)Mutendereze Mukama n’ennanga,
mumukubire ennyimba ku ntongooli ey’enkoba ekkumi.
3 (C)Mumuyimbire oluyimba oluggya;
musune enkoba ze ntongooli n’amagezi nga bwe muyimba mu ddoboozi ery’omwanguka olw’essanyu.
4 (D)Kubanga ekigambo kya Mukama kituufu era kya mazima;
mwesigwa mu buli ky’akola.
5 (E)Mukama ayagala obutuukirivu n’obwenkanya.
Ensi ejjudde okwagala kwa Mukama okutaggwaawo.
6 (F)Mukama yayogera kigambo, eggulu ne likolebwa;
n’assiza omukka mu kamwa ke eggye lyonna ery’omu ggulu ne litondebwa.
7 Yakuŋŋaanya amazzi g’ennyanja mu ntuumu,
agayanja n’agasibira mu masitoowa gaago.
8 (G)Ensi yonna esaana etyenga Mukama,
n’abantu ab’omu mawanga gonna bamussengamu ekitiibwa;
9 (H)kubanga yayogera bwogezi n’etondebwa,
n’alagira n’eyimirira nga nywevu.
10 (I)Mukama asansulula enteekateeka y’amawanga;
alemesa abantu okutuukiriza bye bagenderera.
11 (J)Naye enteekateeka za Mukama zibeerawo nga nywevu emirembe gyonna;
n’ebigendererwa by’omutima gwe bya lubeerera.
12 (K)Lirina omukisa eggwanga eririna Katonda nga ye Mukama waalyo,
ng’abantu baalyo yabalonda babeere bantu be.
13 (L)Mukama asinziira mu ggulu
n’alaba abaana b’abantu bonna;
14 (M)asinziira mu kifo kye mw’abeera
n’alaba abantu bonna abali ku nsi.
15 (N)Ye y’ategeka ebirowoozo byabwe bonna
ne yeetegereza byonna bye bakola.
16 (O)Tewali kabaka asobola kuwona olw’obunene bw’eggye lye;
era tewali mulwanyi ayinza kuwona olw’amaanyi ge amangi.
17 (P)Okusuubira embalaasi yokka okukuwanguza olutalo kuteganira bwerere;
newaakubadde erina amaanyi mangi naye tesobola kulokola.
18 (Q)Naye amaaso ga Mukama galabirira abo abamutya;
abalina essuubi mu kwagala kwe okutaggwaawo,
19 (R)abawonya okufa,
era abawonya enjala.
66 (A)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda,
“Eggulu y’entebe yange kwe nfugira
n’ensi ke katebe kwe mpummuliza ebigere byange,
nnyumba ki gye mulinzimbira?
Kifo ki kye mulimpa okuwummuliramu?
2 (B)Ebintu bino byonna emikono gyange si gye gyagikola,
noolwekyo ebintu bino byonna byange?”
bw’ayogera Mukama Katonda.
“Ono ye muntu gwe ntunulako;
oyo ow’eggonjebwa era omwetoowaze mu mwoyo,
oyo akankanira ekigambo kyange.
3 (C)Naye asaddaaka ente aba ng’asse omuntu,
oyo awaayo omwana gw’endiga n’aba ng’amenye ensingo y’embwa,
n’oyo awaayo ekiweebwayo eky’empeke
aba ng’awaddeyo omusaayi gw’embizzi,
era oyo anyookeza obubaane bw’ekijjukizo
aba ng’asinza ekifaananyi ekikole n’emikono.
Abantu bakutte amakubo gaabwe,
era emmeeme zaabwe zisanyukira eby’emizizo byabwe.
4 (D)Nange ndisalawo mbatuuseeko ekibambulira,
mbaleeteko kye batandyagadde kibatuukeko.
Kubanga bwe nayita,
teri n’omu yayanukula,
bwe nnaayogera
tebanfaako.
Bakola ebibi mu maaso gange
ne bagoberera ebitansanyusa.”
5 (E)Muwulirize ekigambo kya Mukama Katonda
mmwe abakankanira ekigambo kye.
“Baganda bammwe abatabaagala
era ababayigganya olw’erinnya lyange babasekerera nti,
‘Leka Mukama alage obukulu bwe
abalokole tulabe bwe musanyuka!’
Naye bo be banaakwasibwa ensonyi.
6 (F)Muwulirize.
Oluyoogaano oluva mu kibuga, muwulirize eddoboozi eriva mu yeekaalu.
Eddoboozi eryo lya Mukama Katonda ng’asasula abalabe be
nga bwe kibagwanira.
6 (A)Weewaawo okutya Katonda kulimu amagoba mangi, omuntu bw’amalibwa mu ekyo ky’alina. 7 (B)Kubanga tetulina kye twajja nakyo mu nsi, era tetuliiko kye tuliggyamu nga tuvaamu. 8 (C)Naye bwe tuba n’emmere, n’ebyokwambala ebyo bitumalenga. 9 (D)Abo abaagala okugaggawala bagwa mu kukemebwa ne mu katego ak’okwegomba okw’obusirusiru era okw’akabi, okunnyika abantu mu kubula ne mu kuzikirira. 10 (E)Kubanga okululunkanira ensimbi y’ensibuko y’ebibi byonna, era olw’okululunkana okwo abamu bawabye, ne bava mu kukkiriza, ne beereetera obulumi bungi mu mitima gyabwe.
Okulabula
11 (F)Naye ggwe, omuntu wa Katonda, ddukanga ebintu ebyo, ogobererenga obutuukirivu, n’okutya Katonda, n’okukkiriza, n’okwagala, n’okugumiikiriza, n’obuwombeefu. 12 (G)Lwananga okulwana okulungi okw’okukkiriza, nywezanga obulamu obutaggwaawo bwe wayitirwa, n’oyatula okwatula okulungi mu maaso g’abajulirwa abangi. 13 (H)Nkukuutira mu maaso ga Katonda, awa byonna obulamu, ne mu maaso ga Kristo Yesu eyayatula okwatula okulungi mu maaso ga Pontiyo Piraato, 14 okuumenga ekiragiro nga tekiriiko bbala, wadde eky’okunenyezebwa okutuusa ku kulabika kwa Mukama waffe Yesu Kristo, 15 (I)kw’aliraga mu ntuuko zaakwo, aweebwa omukisa era nnannyini buyinza yekka, Kabaka wa bakabaka bonna, era Mukama wa bakama, 16 (J)ye yekka atafa era atuula mu kwakaayakana okutasemberekeka, era tewali n’omu yali amulabye, so tewali asobola kumulaba, oyo aweebwe ekitiibwa, n’obuyinza obutaggwaawo, Amiina.
Okulabula Abagagga
17 (K)Okuutirenga abagagga ab’omu mirembe gya kaakano, obuteekuluntaza, wadde okwesiga obugagga kubanga si bwa lubeerera, wabula beesige Katonda atuwa byonna olw’okwesanyusanga, 18 (L)bakole ebirungi, babe bagagga mu bikolwa ebirungi, nga bagabi, era abaagala okugabana n’abalala. 19 (M)Bwe batyo beeterekere obugagga obw’engeri eyo nga gwe musingi omulungi ogw’ebiseera ebigenda okujja, balyoke banywezenga obulamu bwennyini.
20 (N)Timoseewo, kuumanga kye wateresebwa. Weewalenga ebigambo ebivvoola, era ebitaliimu nsa, n’empaka ez’ebigambo ebiyitibwa eby’amagezi naye nga bya bulimba, 21 (O)abantu abamu ge balowooza okuba nago, ne basubwa ekigendererwa mu kukkiriza.
Ekisa kibeerenga nammwe.
Kristo Mwana wa Ani
35 (A)Bwe waayitawo akabanga, Yesu yali ayigiriza mu Yeekaalu, n’ababuuza nti, “Lwaki abannyonnyozi b’amateeka bagamba nti Kristo Mwana wa Dawudi? 36 (B)Kubanga Mwoyo Mutukuvu bwe yali ali ku Dawudi, Dawudi yennyini yagamba ku bwa Mwoyo Mutukuvu nti,
“ ‘Mukama yagamba Mukama wange nti,
“Tuulira wano ku mukono gwange ogwa ddyo,
okutuusa lwe nditeeka abalabe bo
wansi w’ebigere byo.” ’
37 (C)Dawudi yennyini amuyita Mukama we, ayinza atya ate okuba Omwana we?”
Ekibiina kyalimu abantu bangi, ne bamuwuliriza n’essanyu.
38 Awo Yesu n’ayigiriza ng’agamba nti, “Mwekuume abannyonnyozi b’amateeka, kubanga baagala nnyo okwambala ne batambulatambula mu butale ng’abantu babalamusa. 39 (D)Baagala nnyo okutuula mu bifo ebisinga obulungi mu makuŋŋaaniro, n’okutuula mu bifo eby’ekitiibwa ku mbaga. 40 Kyokka, banyagako bannamwandu ebintu byabwe, ne beeraga nga basaba esaala empanvu ennyo. Ekibonerezo kyabwe kyekiriva kibeera ekinene ddala.”
Ekirabo kya Nnamwandu
41 (E)Awo Yesu bwe yatuula okwolekera eggwanika ly’ensimbi, n’alaba engeri ekibiina ky’abantu gye bateekamu ensimbi mu ggwanika. Abagagga bangi baali bateekamu ensimbi nnyingi.[a] 42 Awo nnamwandu eyali omwavu n’ajja n’ateekamu ebitundu bibiri, ye kodulante.[b]
43 Yesu n’ayita abayigirizwa be, n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti nnamwandu oyo omwavu awaddeyo nnyo okusinga bonna bali abatadde mu ggwanika. 44 (F)Kubanga bonna bataddemu ku bibafikkiridde, naye ate nnamwandu ono mu kwetaaga kwe ataddemu kyonna ky’abadde nakyo, ekibadde kijja okumuyamba obulamu bwe bwonna.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.