Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 66-67

Ya mukulu wa bayimbi. Oluyimba, Zabbuli ya Dawudi.

66 (A)Yimbira Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka, ggwe ensi yonna.
    (B)Muyimbe ekitiibwa ky’erinnya lye.
    Mumuyimbire ennyimba ezimusuuta.
(C)Gamba Katonda nti, “Ebikolwa byo nga bya ntiisa!
    Olw’amaanyi go amangi
    abalabe bo bakujeemulukukira.
(D)Ab’omu nsi yonna bakuvuunamira,
    bakutendereza,
    bayimba nga bagulumiza erinnya lyo.”

(E)Mujje mulabe Katonda ky’akoze;
    mulabe eby’entiisa by’akoledde abaana b’abantu!
(F)Ennyanja yagifuula olukalu.
    Abantu baasomoka omugga n’ebigere nga temuli mazzi,
    kyetuva tujaguza.
(G)Afuga n’amaanyi ge emirembe gyonna;
    amaaso ge agasimba ku mawanga,
    ab’omutima omujeemu baleme okumujeemera.

(H)Mutendereze Katonda waffe, mmwe amawanga;
    eddoboozi ery’okumutendereza liwulirwe wonna.
(I)Oyo y’atukuumye ne tuba balamu,
    n’ataganya bigere byaffe kuseerera.
10 (J)Kubanga ggwe, Ayi Katonda, otugezesezza,
    n’otulongoosa nga bwe bakola ffeeza mu muliro.
11 (K)Watuteeka mu kkomera,
    n’otutikka emigugu.
12 (L)Waleka abantu ne batulinnyirira;
    ne tuyita mu muliro ne mu mazzi,
    n’otutuusa mu kifo eky’okwesiima.

13 (M)Nnaayambukanga mu yeekaalu yo n’ebiweebwayo ebyokebwa,
    ntuukirize obweyamo bwange gy’oli,
14 nga ndeeta ekyo emimwa gyange kye gyasuubiza;
    akamwa kange kye kaayogera bwe nnali mu kabi.
15 (N)Nnaawaayo gy’oli ssaddaaka ez’ensolo ensava,
    mpeeyo ne ssaddaaka ey’endiga ennume;
    mpeeyo ente ennume n’embuzi.

16 (O)Mujje muwulire, mmwe mwenna abatya Katonda,
    mbategeeze ebyo by’ankoledde.
17 Namukaabirira n’akamwa kange,
    ne mutendereza n’olulimi lwange.
18 (P)Singa nnali nsirikidde ekibi mu mutima gwange,
    Mukama teyandimpulirizza;
19 (Q)ddala ddala Katonda yampuliriza era n’awulira eddoboozi lyange nga nsaba.
20 (R)Katonda atenderezebwenga,
    atagobye kusaba kwange,
    wadde okunziggyako okwagala kwe okutaggwaawo!

Ya Mukulu wa Bayimbi. Ebivuga eby’enkoba. Zabbuli. Oluyimba.

67 (S)Ayi Katonda tukwatirwe ekisa, otuwe omukisa,
    era otwakize amaaso go.
(T)Ekkubo lyo limanyibwe mu nsi,
    n’obulokozi bwo mu mawanga gonna.

Abantu bakutenderezenga, Ayi Katonda,
    abantu bonna bakutenderezenga.
(U)Amawanga gonna gasanyuke, gayimbe nga gajjudde essanyu.
    Kubanga ofuga abantu bonna mu bwenkanya,
    n’oluŋŋamya amawanga ag’ensi.
Abantu bakutenderezenga, Ayi Katonda,
    abantu bonna bakutenderezenga.

(V)Ensi erireeta amakungula gaayo;
    era Katonda, Katonda waffe, anaatuwanga omukisa.
(W)Katonda anaatuwanga omukisa;
    n’enkomerero z’ensi zinaamutyanga.

Zabbuli 19

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

19 (A)Eggulu litegeeza ekitiibwa kya Katonda,
    ebbanga ne litegeeza emirimu gy’emikono gye.
(B)Buli lunaku litegeeza ekitiibwa kye,
    era liraga amagezi ge buli kiro.
Tewali bigambo oba olulimi olwogerwa,
    era n’eddoboozi lyabyo teriwulikika.
(C)Naye obubaka bwabyo
    bubunye mu nsi yonna.
Mu ggulu omwo Katonda mwe yasimbira enjuba eweema.
    Evaayo ng’awasa omugole bw’ava mu nju ye,
    era ng’omuddusi asinga bonna bw’ajjula essanyu ng’agenda mu mpaka.
(D)Evaayo ku ludda olumu olw’eggulu,
    ne yeetooloola okutuuka ku nkomerero yaalyo,
    era tewali kyekweka bbugumu lyayo.

(E)Ekiragiro kya Mukama kirimu byonna,
    era kizzaamu amaanyi mu mwoyo.
Etteeka lya Mukama lyesigika,
    ligeziwaza abatalina magezi.
(F)Okuyigiriza kwa Mukama kutuufu,
    kusanyusa omutima gw’oyo akugondera.
Ebiragiro bya Mukama bimulisiza amaaso,
    bye galaba.
(G)Okutya Mukama kirungi,
    era kya mirembe gyonna.
Ebiragiro bya Mukama bya bwenkanya,
    era bya butuukirivu ddala.
10 (H)Ebyo byonna bisaana okuyaayaanirwa okusinga zaabu,
    okusingira ddala zaabu ennungi ennyo.
Biwoomerera okusinga omubisi gw’enjuki,
    okusukkirira omubisi gw’enjuki ogutonnya nga guva mu bisenge byagwo.
11 Ebyo bye birabula omuddu wo,
    era mu kubigondera muvaamu empeera ennene.
12 (I)Ani asobola okulaba ebyonoono bye?
    Onsonyiwe, Ayi Mukama, ebibi ebinkisiddwa.
13 Era omuddu wo omuwonye okukola ebibi ebigenderere,
    bireme kunfuga.
Bwe ntyo mbeere ng’ataliiko kyakunenyezebwa
    nneme okuzza omusango omunene ogw’ekibi.
14 (J)Nsaba ebigambo by’omu kamwa kange, n’okulowooza okw’omu mutima gwange,
    bisiimibwe mu maaso go,
    Ayi Mukama, Olwazi lwange, era Omununuzi wange.

Zabbuli 46

Ya Mukulu wa Bayimbi: Zabbuli ya Batabani ba Koola.

46 (A)Katonda kye kiddukiro kyaffe, era ge maanyi gaffe;
    omubeezi ddala atabulawo mu kulaba ennaku.
(B)Kyetunaavanga tulema okutya, ensi ne bw’eneeyuuguumanga,
    ensozi ne bwe zinaasiguulukukanga ne zigwa mu buziba bw’ennyanja;
(C)amazzi g’ennyanja ne bwe ganaayiranga ne gabimba ejjovu
    ensozi ne zikankana olw’okwetabula kwago.

(D)Waliwo omugga, emyala gyagwo gisanyusa ekibuga kya Katonda,
    kye kifo ekitukuvu ekya Katonda Ali Waggulu Ennyo.
(E)Tekirigwa kubanga Katonda mw’abeera.
    Katonda anaakirwaniriranga ng’obudde bunaatera okukya.
(F)Amawanga geetabula, obwakabaka bugwa;
    ayimusa eddoboozi lye ensi n’esaanuuka.

(G)Mukama ow’Eggye ali naffe,
    Katonda wa Yakobo kye kigo kyaffe.

(H)Mujje, mulabe Mukama by’akola,
    mulabe nga bw’afaafaaganya ensi.
(I)Y’akomya entalo mu nsi yonna;
    akutula emitego gy’obusaale, effumu alimenyaamenya;
    amagaali n’engabo abyokya omuliro.
10 (J)Musiriikirire mutegeere nga nze Katonda.
    Nnaagulumizibwanga mu mawanga.
    Nnaagulumizibwanga mu nsi.

11 Katonda ow’Eggye ali naffe;
    Katonda wa Yakobo kye kigo kyaffe.

Isaaya 62:6-12

(A)Ntadde abakuumi ku bbugwe wo,
    ggwe Yerusaalemi abataasirike emisana n’ekiro.
Mmwe abakoowoola Mukama
    temuwummula.
(B)Era temumuganya kuwummula okutuusa nga azimbye Yerusaalemi
    era ng’agifudde ettendo mu nsi.

(C)Mukama yalayira n’omukono gwe ogwa ddyo
    era n’omukono gwe ogw’amaanyi:
“Siriddayo nate kuwaayo ŋŋaano yo kubeera mmere y’abalabe bo,
    era bannaggwanga tebaddeyo kunywa nvinnyo yo gy’otawaanidde.
Naye abo abagikungula be baligirya
    ne batendereza Mukama,
n’abo abanoga emizabbibu
    be baliginywera mu mpya z’omu watukuvu wange.”

10 (D)Muyiteemu, muyite mu miryango mugende!
Muzimbe oluguudo,
    mulugyemu amayinja.
Muyimusize amawanga ebbendera.

11 (E)Laba Mukama alangiridde
    eyo yonna ensi gy’ekoma,
nti, “Gamba omuwala wa Sayuuni nti,
    ‘Laba omulokozi wo ajja,
Laba aleeta n’ebirabo bingi,
    n’abantu b’anunudde bamukulembedde.’ ”
12 (F)Era baliyitibwa Abantu Abatukuvu,
    Abanunule ba Mukama,
ne Yerusaalemi kiyitibwe, Ekibuga Mukama ky’ayagala,
    Ekibuga Ekitakyali ttayo.

1 Yokaana 2:3-11

(A)Bwe tugondera ebiragiro bye, kye kikakasa nti tumutegeera. (B)Kyokka oyo agamba nti amutegeera n’atakuuma biragiro bye, aba mulimba, era si wa mazima. (C)Naye buli agondera ekigambo kye, ddala ng’okwagala kwa Katonda kutuukiridde mu muntu oyo. Era ekyo kye kitukakasisa nti tuli mu ye. (D)Oyo agamba nti ali mu ye, asaana okutambula nga Mukama waffe yennyini bwe yatambula.

(E)Abaagalwa, sibawandiikira kiragiro kiggya, naye mbawandiikira ekiragiro ekyabaawo edda, kye kyo kye mwawuliranga okuva ku lubereberye. (F)Kyokka nno ekiragiro kino kye mbawandiikira kiggya era kikakasirizibwa mu ye ne mu mmwe. Kubanga ekizikiza kigenda kiggwaawo era omusana ogw’amazima kaakano gwaka.

Omuntu agamba nti atambulira mu musana, kyokka ate n’akyawa owooluganda, aba akyali mu kizikiza. 10 (G)Naye ayagala owooluganda aba ali mu musana, era talinaawo kimwesittaza. 11 (H)Kyokka oyo akyawa owooluganda, aba akyali mu kizikiza, era mu kizikiza ekyo mw’atambulira, nga tategeera gy’alaga, kubanga ekizikiza kimuzibye amaaso.

Yokaana 8:12-19

Yesu gwe Musana gw’Ensi

12 (A)Awo Yesu n’ayongera okwogera n’ekibiina, n’agamba nti, “Nze Musana gw’ensi. Angoberera taatambulirenga mu kizikiza, wabula anaabeeranga n’omusana ogw’obulamu.”

13 (B)Abafalisaayo ne bamugamba nti, “Weeyogerako naye by’oyogera bya bulimba.”

14 (C)Yesu n’abaddamu nti, “Newaakubadde neeyogerako, bye njogera bituufu, kubanga mmanyi gye nava ne gye ndaga. Naye mmwe temumanyi gye nva wadde gye ndaga. 15 (D)Mmwe musala omusango ng’abantu obuntu. Nze siriiko gwe nsalira musango. 16 (E)Naye singa mbadde nsala omusango, ensala yange ya mazima, kubanga siri nzekka, naye ndi ne Kitange eyantuma. 17 (F)Amateeka gammwe gagamba nti ssinga abajulirwa babiri bakkiriziganya ku kintu, obujulirwa bwabwe buba bwa mazima. 18 (G)Kale Nze nneyogerako era n’oyo eyantuma ategeeza ebyange.”

19 (H)Awo ne bamubuuza nti, “Kitaawo ali ludda wa?” Yesu n’abaddamu nti, “Nze temuntegeera ne Kitange temumutegeera. Singa muntegeera ne Kitange mwandimutegedde.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.