Book of Common Prayer
Zabbuli ya Dawudi.
37 (A)Teweeraliikiriranga olw’abantu ababi,
so tokwatirwanga buggya abo abakola ebitasaana.
2 (B)Kubanga bagenda kuwotoka ng’omuddo,
bafiire ddala ng’essubi ekkalu.
3 (C)Weesigenga Mukama okolenga bulungi,
onoobeeranga n’emirembe mu nsi n’ofuna ebirungi.
4 (D)Sanyukiranga mu Mukama,
anaakuwanga omutima gwo bye gwetaaga.
5 (E)By’okola byonna byesigamyenga ku Mukama;
mwesigenga, anaakukoleranga ky’oyagala.
6 (F)Anaayolekanga obutuukirivu bwo ng’omusana,
n’obwenkanya bw’ebikolwa byo ne bwakaayakana ng’enjuba ey’omu ttuntu.
7 (G)Siriikirira awali Mukama,
ogumiikirize ng’olindirira ky’anaakola.
Tofangayo ng’abalala bafunye ebirungi nga bayita mu kutetenkanya kwabwe okubi.
8 (H)Tonyiiganga era weewale ekiruyi;
teweeraliikiriranga kubanga bivaamu bibi byereere.
9 (I)Kubanga ababi balisalibwako,
naye abeesiga Mukama baligabana ensi.
10 (J)Wanaayitawo akabanga katono ababi baggweerewo ddala;
wadde mulibanoonya temulibalabako.
11 (K)Naye abateefu baligabana ensi
ne beeyagalira mu ddembe eritatendeka.
12 (L)Ababi basalira abatuukirivu enkwe,
ne babalumira obujiji.
13 (M)Naye Mukama asekerera ababi,
kubanga amanyi ng’entuuko zaabwe ziri kumpi.
14 (N)Ababi basowoddeyo ebitala byabwe
ne baleega emitego gy’obusaale,
batte abaavu n’abali mu kwetaaga
era basaanyeewo abo abatambulira mu kkubo eggolokofu.
15 (O)Naye ebitala byabwe birifumita mitima gyabwe gyennyini,
n’emitego gyabwe egy’obusaale girimenyebwa.
16 (P)Ebitono omutuukirivu by’alina
bisinga obugagga bw’ababi abangi;
17 (Q)kubanga amaanyi g’abakola ebibi galikoma,
naye Mukama anaawaniriranga abatuukirivu.
18 (R)Ennaku z’abataliiko kya kunenyezebwa, zimanyibwa Mukama,
era omugabo gwabwe gunaabanga gwa lubeerera.
19 Mu biseera eby’akabi ebyakatyabaga tebaayongoberenga,
ne mu biro eby’enjala banakkusibwanga.
20 (S)Naye ababi balizikirira;
abalabe ba Mukama balifaanana ng’obulungi bwe ttale,
era baliggwaawo, baliggwaawo ng’omukka.
21 (T)Ababi beewola, ne batasasula;
naye abatuukirivu basaasira era bagaba bingi.
22 (U)Abo Mukama b’awa omukisa baligabana ensi,
naye abo b’akolimira balizikirizibwa.
23 (V)Mukama bw’asanyukira ekkubo ly’omuntu,
aluŋŋamya entambula ye.
24 (W)Ne bw’aneesittalanga, taagwenga wansi,
kubanga omukono gwa Mukama gumuwanirira.
25 (X)Nnali muto kati nkaddiye,
naye sirabanga batuukirivu nga balekeddwa ttayo,
wadde abaana baabwe nga basabiriza ekyokulya.
26 (Y)Bagaba bingi bulijjo, era baazika ku byabwe n’essanyu.
Abaana baabwe banaaweebwanga omukisa.
27 (Z)Muve mu bibi, mukolenga ebirungi,
munaabanga balamu emirembe gyonna.
28 (AA)Kubanga Mukama ayagala ab’amazima,
n’abeesigwa be taabaabulirenga.
Banaalabirirwanga emirembe gyonna;
naye ezzadde ly’ababi lirizikirizibwa.
29 (AB)Abatuukirivu baligabana ensi
ne babeeranga omwo emirembe gyonna.
30 Akamwa k’omutuukirivu koogera bya magezi,
n’olulimi lwe lwogera bya mazima.
31 (AC)Amateeka ga Katonda we gali mu mutima gwe,
era ebigere bye tebiseerera.
32 (AD)Omubi ateega omutuukirivu
ng’anoonya okumutta,
33 (AE)naye Mukama taliganya babi kuwangula,
wadde okukkiriza abatuukirivu okusingibwa omusango.
34 (AF)Lindirira Mukama n’okugumiikiriza,
otambulirenga mu makubo ge;
naye alikugulumiza n’akuwa ensi;
ababi bwe balisalirwako olikitegeera.
35 (AG)Nalaba omuntu omubi era omukambwe ennyo, naye nga buli ky’akola kimugendera bulungi,
ng’agimuse ng’omuti ogukulidde mu ttaka eggimu,
36 (AH)naye teyalwawo n’abula,
ne mmumagamaga buli wantu, nga talabikako.
5 (A)Nze Mukama, tewali mulala.
Tewali katonda mulala wabula nze.
Ndikuwa amaanyi
wadde nga tonzisaako mwoyo,
6 (B)balyoke bamanye nga okuva enjuba gy’eva okutuuka gyegenda
tewali mulala wabula nze.
Nze Mukama,
tewali mulala.
7 (C)Nze nteekawo ekitangaala
ne ntonda ekizikiza.
Nze ndeeta okukulaakulana n’okubonaabona.
Nze Mukama akola ebyo byonna.
8 (D)“Mmwe eggulu eriri waggulu,
mutonnyese obutuukirivu.
Ebire bitonnyese obutuukirivu.
Ensi egguke n’obulokozi bumeruke,
ereete obutuukirivu.
Nze Mukama nze nagitonda.
9 (E)“Zimusanze oyo ayomba n’omutonzi we!
Zimusanze oyo oluggyo mu nzigyo z’ensi.
Bbumba ki eribuuza oyo alibumba nti,
‘Obumba ki?’
Oba omulimu gwo okukubuuza nti,
‘Aliko emikono?’
10 Zimusanze oyo agamba kitaawe nti,
‘Wazaala ki?’
Oba nnyina nti,
‘Kiki ky’ozadde?’
11 (F)“Bw’ati bw’ayogera Mukama Omutukuvu wa Isirayiri
era Omutonzi we nti,
‘Lwaki mumbuuza ebigenda okujja,
oba ebikwata ku baana bange,
oba okumpa ebiragiro ku bikwata ku mirimu gy’emikono gyange?’
12 (G)Nze nakola ensi ne ngitonderamu abantu. Emikono gyange gyennyini gye gyayanjuluza eggulu, era ne ndagira eby’omu bwengula byonna bitondebwewo.
13 (H)Ndiyimusa Kuulo mu butuukirivu
era nditereeza amakubo ge gonna.
Alizimba ekibuga kyange
n’asumulula abantu bange abaawaŋŋangusibwa;
naye si lwa mpeera oba ekirabo,”
bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.
14 (I)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Ebiva mu Misiri n’ebyamaguzi bya Kuusi birireetebwa,
n’abo Abasabeya abawanvu
balijja
babeere abaddu bo,
bajje nga bakugoberera
nga basibiddwa mu njegere.
Balikuvuunamira bakwegayirire nga bagamba nti,
‘Ddala Katonda ali naawe, ye Katonda yekka, tewali Katonda mulala.’ ”
15 (J)Ddala oli Katonda eyeekweka,
ggwe Katonda wa Isirayiri era Omulokozi we.
16 (K)Bonna abakola bakatonda abakole n’emikono baliswazibwa,
balikwatibwa ensonyi, bonna balikwata ekkubo limu nga baswadde.
17 (L)Naye Isirayiri alirokolebwa Mukama
n’obulokozi obutaliggwaawo.
Temuukwatibwenga nsonyi,
temuuswalenga emirembe gyonna.
15 Mutunule nga mutambula n’obwegendereza, si ng’abatalina magezi wabula ng’abalina amagezi, 16 (A)nga temwonoona biseera kubanga ennaku zino mbi. 17 (B)Temubanga basirusiru, naye mutegeere Mukama waffe ky’ayagala. 18 (C)Ate temutamiiranga, kubanga mujja kweyonoona, wabula Omwoyo ajjulenga mu bulamu bwammwe. 19 (D)Bwe mukuŋŋananga muzimbaganenga mu Zabbuli ne mu nnyimba, ne mu nnyimba ez’Omwoyo nga muyimbira Mukama era nga mumuyimusiza amaloboozi mu mutima gwammwe. 20 (E)Bulijjo mwebazenga Katonda Kitaffe olwa byonna, mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo.
Abakazi ne ba bbaabwe
21 (F)Mutyenga Kristo, nga muwuliragananga.
22 (G)Abakazi, muwulirenga babbammwe nga bwe muwulira Mukama waffe. 23 (H)Omusajja gwe mutwe gw’omukazi, nga Kristo bw’ali omutwe gw’Ekkanisa. Ekkanisa gwe mubiri gwa Kristo, era ye yennyini ye Mulokozi waagwo. 24 Kale ng’Ekkanisa bw’ewulira Kristo, n’abakazi bwe batyo bwe basaana okuwuliranga ba bbaabwe mu byonna.
25 (I)Nammwe abaami mwagalenga bakyala bammwe nga Kristo bwe yayagala Ekkanisa ne yeewaayo ku lwayo. 26 (J)Yaginaaza n’amazzi, n’agitukuza n’ekigambo kye, 27 (K)alyoke yeefunire Ekkanisa ey’ekitiibwa, eteriiko bbala wadde akamogo oba ekintu kyonna ekikyamu, wabula ebeere entukuvu, etuukiridde. 28 (L)N’abasajja bwe batyo bwe basaana okwagalanga bakazi baabwe, nga bwe baagala emibiri gyabwe gyennyini. Ayagala mukazi we yeeyagala yekka. 29 Tewali n’omu yali akyaye omubiri gwe, wabula aguliisa era agujjanjaba nga Kristo bw’ajjanjaba Ekkanisa ye, 30 (M)kubanga tuli bitundu bya mubiri gwe. 31 (N)“Kale omusajja kyanaavanga aleka kitaawe ne nnyina ne yeegatta ne mukazi we, ne bafuuka omuntu omu.” 32 Ekyama kino kikulu, kyokka nze ndowooza nti kyogera ku Kristo n’Ekkanisa ye. 33 (O)Kale, nammwe buli musajja ayagalenga mukazi we nga bwe yeeyagala yennyini, era n’omukazi assengamu bba ekitiibwa.
21 (A)Awo Yesu n’ababuuza nti, “Waliwo omuntu akoleeza ettaala n’agivuunikako ekibbo oba n’agiteeka wansi w’ekitanda? Naye omuntu bw’akoleeza ettaala tagiteeka ku kikondo waggulu? 22 (B)Kubanga buli kintu kyonna ekikolebwa mu kyama kaakano, ekiseera kirituuka ne kiragibwa mu lwatu. 23 (C)Alina amatu agawulira awulire. 24 (D)Naye mwegendereze ebyo bye mbayigiriza. 25 (E)Alina aliweebwa na buli atalina aliggyibwako n’ebyo by’alina.”
Olugero lw’Ensigo Ekula
26 (F)Awo Yesu n’abagamba nti, “Obwakabaka bwa Katonda bufaanaanyirizibwa n’omusizi asiga ensigo mu ttaka. 27 Ekiro yeebaka, n’emisana ne yeekolera by’ayagala, mu kiseera ekyo kyonna ensigo ziba zimera, naye ate nga takimanyi. 28 Ku bwalyo ettaka lireeta ekibala. Ensigo zisooka kusindika bulimi bwazo okuva mu ttaka, amatabi ne gajjako ebirimba by’eŋŋaano. 29 (G)Eŋŋaano bw’eyengera omusizi ayanguwa mangu n’akwata akayuuyo, kubanga amakungula gatuuse.”
30 (H)Awo Yesu n’ayongera n’abagamba nti, “Obwakabaka bwa Katonda tunaabugeraageranya na ki? Oba tukozese lugero ki okubunnyonnyola? 31 Bufaananyizibwa n’akasigo aka kaladaali! Kubanga newaakubadde katono nnyo okusinga ensigo zonna ez’oku nsi, 32 naye kavaamu omuti omunene nga gulina amatabi amanene, ennyonyi ez’omu bbanga mwe ziyinza okuzimba ebisu byazo.”
33 (I)Yesu n’abuulira abantu ekigambo kya Katonda ng’akozesa engero nnyingi ezifaanana ng’ezo, nga bwe baasobolanga okuwulira. 34 (J)Yesu bwe yabanga ayigiriza ebibiina yakozesanga engero, naye bwe yaddanga ebbali n’abayigirizwa be n’abannyonnyola amakulu agali mu ngero ezo.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.