Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 5-6

Ya mukulu wa Bayimbi. Ya ndere. Zabbuli ya Dawudi.

Otege okutu eri ebigambo byange, Ayi Mukama;
    olowooze ku kunyolwa kwange.
(A)Wuliriza eddoboozi ly’omulanga gwange,
    Ayi Kabaka wange era Katonda wange:
    kubanga ggwe gwe nsaba.

(B)Ayi Mukama, buli nkya owulira eddoboozi lyange;
    buli nkya ndeeta gy’oli okusaba kwange,
    ne nnindirira onziremu.
(C)Kubanga ggwe Ayi Katonda, tosanyukira bibi:
    n’ebitasaana tobigumiikiriza.
(D)Ab’amalala era abakola ebibi tobeetaaga mu maaso go:
    kubanga okyawa abakola ebibi bonna.
(E)Abalimba bonna obazikiriza;
    Mukama akyawa abatemu
    era n’abalimba.
(F)Naye olw’ekisa kyo ekingi,
    nze nnaayingiranga mu nnyumba yo:
ne nkusinziza mu Yeekaalu yo Entukuvu
    n’okutya okungi.

(G)Onkulembere, Ayi Mukama, mu butuukirivu bwo,
    olw’abalabe bange,
    ondage ekkubo eggolokofu ery’okutambulirangamu.
(H)Abalabe bange bye boogera tebyesigibwa;
    emitima gyabwe gijjudde bussi bwereere.
Emimiro gyabwe ntaana eyasaamiridde:
    akamwa kaabwe koogera bya bulimba.
10 (I)Basalire omusango gubasinge, Ayi Katonda;
    baleke bagwe mu mitego gyabwe.
Bagobe
    kubanga baakujeemera.
11 (J)Naye leka abo bonna abakwesiga basanyukenga;
    ennaku zonna bayimbenga n’essanyu,
obakuumenga,
    abo abaagala erinnya lyo basanyukirenga mu ggwe.

12 (K)Kubanga, Ayi Mukama, omutuukirivu omuwa omukisa;
    era omukuuma, n’omwetoolooza okwagala ng’engabo.

Eri Omukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi.

(L)Ayi Mukama, tonnenya ng’ojjudde obusungu;
    so tombonereza mu kiruyi kyo.
(M)Onsaasire, Ayi Mukama, kubanga ndi munafu.
    Omponye, Ayi Mukama, kubanga amagumba gange gali mu bulumi.
(N)Emmeeme yange ejjudde ennaku.
    Olirindirira kutuusa ddi olyoke onnyambe?

(O)Onkyukire, Ayi Mukama, olokole omwoyo gwange;
    omponye okufa olw’okwagala kwo okungi.
(P)Kubanga tewali ayinza kukujjukira ng’amaze okufa.
    Ani alikutendereza ng’asinziira emagombe?

(Q)Mpweddemu amaanyi olw’okusinda.

Buli kiro obuliri bwange bujjula amaziga gange
    n’omutto ne gutoba.
(R)Amaaso gange ganafuye olw’okunyolwa,
    tegakyalaba bulungi olw’abalabe bange.

(S)Muve we ndi mmwe mwenna abakola ebibi;
    kubanga Mukama awulidde okukaaba kwange.
(T)Mukama awulidde okwegayirira kwange,
    n’okusaba kwange akukkirizza.
10 (U)Abalabe bange bonna baliswazibwa era balitya nnyo;
    bazzibwe emabega nga bajjudde obuswavu mangu ago.

Zabbuli 10-11

10 (A)Lwaki otwekwese, Ayi Mukama?
    Lwaki otwekwese mu biseera eby’emitawaana?

Omubi, mu malala ge, ayigganya abanafu;
    muleke agwe mu nkwe ezo z’asaze.
(B)Kubanga omubi yeewaana ng’anyumya ku bibi ebiri mu mutima gwe,
    agabula aboomululu n’avuma Mukama.
(C)Omubi mu malala ge
    tanoonya Katonda.
Buli ky’akola kimugendera bulungi.
    Amateeka go tagafaako,
    era n’abalabe be abanyooma.
(D)Ayogera mu mutima gwe nti, “Sikangibwa,
    nzija kusanyuka emirembe gyonna.”

(E)Mu kamwa ke mujjudde okukolima n’obulimba awamu n’okutiisatiisa;
    ebigambo bye bya mutawaana era bibi.
(F)Yeekukuma mu byalo
    okutemula abantu abataliiko musango.
    Yeekweka ng’aliimisa b’anatta.
(G)Asooba mu kyama ng’empologoma,
    ng’alindirira okuzinduukiriza abateesobola.
    Abakwasa n’abatwalira mu kitimba kye.
10 B’abonyaabonya bagwa wansi
    ne babetentebwa ng’amaanyi g’omubi gabasukkiridde.
11 (H)Ayogera mu mutima gwe nti, “Katonda yeerabidde, amaaso ge agakwese,
    era takyaddayo kubiraba.”

12 (I)Golokoka, Ayi Mukama, ozikirize omubi, Ayi Katonda;
    abanaku tobeerabiranga.
13 Omuntu omubi ayinza atya okukunyooma, Ayi Katonda,
    n’agamba mu mutima gwe nti
    “Sigenda kwennyonnyolako?”
14 (J)Naye ggwe, Ayi Katonda, ennaku zaabwe n’okubonaabona kwabwe obiraba
    era ojja kubikolako.
Ateesobola yeewaayo mu mikono gyo,
    kubanga gwe mubeezi w’abatalina bakitaabwe.
15 (K)Malawo amaanyi g’omwonoonyi,
    muyite abyogere ebyo
    ebibadde bitajja kuzuulwa.

16 (L)Mukama ye Kabaka emirembe n’emirembe.
    Amawanga galizikirizibwa mu nsi ye.
17 (M)Mukama awulira okwetaaga kw’ababonyaabonyezebwa, ogumye emitima gyabwe;
    otege okutu kwo obaanukule.
18 (N)Olwanirira abataliiko bakitaabwe n’abajoogebwa;
    omuntu obuntu ow’oku nsi n’ataddayo kubatiisa.

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

11 (O)Mu Mukama mwe neekweka;
    ate muyinza mutya okuŋŋamba nti,
    “Ddukira ku nsozi ng’ebinyonyi?
(P)Kubanga laba ababi baleega emitego gyabwe
    egy’obusaale,
balase abalina omutima
    omulongoofu.
(Q)Emisingi nga gizikirizibwa,
    omutuukirivu ayinza kukola ki?”

(R)Mukama ali mu Yeekaalu ye entukuvu;
    Mukama atudde ku ntebe ye ey’obwakabaka eri mu ggulu.
Amaaso ge gatunuulira
    era geetegereza abaana b’abantu.
(S)Mukama akebera abatuukirivu
    naye omutima gwe gukyawa ababi,
    n’abakola eby’obukambwe.
(T)Ababi alibayiwako
    amanda ag’omuliro;
    n’empewo ezibambula gwe guliba omugabo gwabwe.

(U)Kubanga Mukama mutuukirivu
    era ayagala eby’obutuukirivu;
    abo abalongoofu be balimulaba.

Isaaya 40:25-31

25 (A)“Kale mulinfaananya ani,
    ani gwe mulinnenkanya?” bw’ayogera Omutukuvu.
26 (B)Muyimuse amaaso gammwe mulabe ebiri ku ggulu.
    Ani eyatonda ebyo byonna?
Oyo afulumya ebyaka eby’omu bbanga afulumya kina kimu,
    byonna nga bwe biri, n’abiyita amannya gaabyo.
Olw’obukulu bw’obuyinza bwe era kubanga wa maanyi ga nsusso,
    tewali na kimu kibulako.

27 (C)Lwaki ogamba ggwe Yakobo era ne wemulugunya ggwe Isirayiri nti,
    Mukama tamanyi mitawaana gye mpitamu,
era tafaayo nga tuggyibwako
    eddembe lyaffe ery’obwebange”?
28 (D)Tonnamanya?
    Tonnawulira?
Mukama, ye Katonda ataliggwaawo.
    Omutonzi w’enkomerero y’ensi.
Tazirika so takoowa
    era n’amagezi ge tewali n’omu ayinza kugapima.
29 (E)Awa amaanyi abazirika,
    n’oyo atalina buyinza amwongerako amaanyi.
30 (F)Abavubuka bazirika, bakoowa,
    n’abalenzi bagwira ddala.
31 (G)Naye abo abalindirira Mukama
    baliddamu buggya amaanyi gaabwe,
balitumbiira n’ebiwaawaatiro ng’empungu;
    balidduka mbiro ne batakoowa,
    balitambula naye ne batazirika.

Abaefeso 1:15-23

Okusaba kwa Pawulo

15 (A)Noolwekyo okuva lwe nawulira okukkiriza kwe mulina mu Mukama waffe Yesu, n’okwagala kwe mulina eri abantu ba Katonda bonna, 16 (B)sirekangayo kwebaza Katonda ku lwammwe. Mbajjukira 17 (C)ne mbasabira, Katonda wa Mukama waffe Yesu Kristo, Kitaffe ow’ekitiibwa, abawe Omwoyo ow’amagezi n’okubikkulirwa mweyongere okumutegeera. 18 (D)Nnyongera okubasabira, amaaso g’emitima gyammwe gamulisibwenga, mulyoke mumanye essuubi ly’okuyitibwa kwammwe, n’obugagga obungi bwe mulina mu ye, mmwe awamu n’abantu ba Katonda bonna. 19 (E)Njagala mutegeere amaanyi ge agasukkiridde agakolera mu ffe abakkiriza, ng’okukola kw’obuyinza bw’amaanyi ge bwe kuli, 20 (F)amaanyi ago ge yakozesa mu Kristo bwe yamuzuukiza mu bafu, n’amutuuza ku mukono gwe ogwa ddyo waggulu mu ggulu. 21 (G)Waggulu eyo, Kristo gy’afugira obufuzi bwonna, n’obuyinza bwonna, n’amaanyi gonna, n’obwami bwonna, na buli kitiibwa kyonna ekiweebwa omuntu. Afugira mu mulembe guno, era alifugira ne mu mulembe ogugenda okujja. 22 (H)Katonda atadde ebintu byonna wansi w’ebigere bye, n’afuula Kristo omutwe gw’ebintu byonna eby’ekkanisa, 23 era ekkanisa gwe mubiri gwe ye yennyini, mwatuukiririza ebintu byonna.

Makko 1:14-28

Yesu Ayita Abayigirizwa Abaasooka

14 (A)Oluvannyuma nga Yokaana Omubatiza amaze okusibwa mu kkomera, Yesu n’ajja mu Ggaliraaya okubuulira Enjiri ya Katonda, 15 (B)ng’agamba nti, “Ekiseera kituukiridde, n’obwakabaka bwa Katonda busembedde! Mwenenye mukkirize Enjiri.” 16 Awo Yesu yali ng’ayita ku lubalama lw’ennyanja y’e Ggaliraaya, n’alaba Simooni ne muganda we Andereya nga basuula obutimba bwabwe mu nnyanja; kubanga baali bavubi. 17 Yesu n’abagamba nti, “Mujje mungoberere nange ndibafuula abavubi b’abantu!” 18 Amangwago ne baleka obutimba bwabwe ne bamugoberera. 19 Bwe yeeyongerayo katono, n’alaba Yakobo ne Yokaana batabani ba Zebbedaayo, nga bali mu lyato baddaabiriza obutimba bwabwe. 20 Amangwago n’abayita ne baleka kitaabwe Zebbedaayo mu lyato n’abapakasi, ne bagoberera Yesu.

Yesu Awonya Omusajja eyaliko Dayimooni

21 (C)Awo ne bayingira mu Kaperunawumu. Amangwago n’ayingira mu kuŋŋaaniro ku Ssabbiiti, n’abayigiriza. 22 (D)Ne beewuunya okuyigiriza kwe, kubanga yabayigiriza nga nannyini buyinza, so si ng’abannyonnyozi b’amateeka bwe baakolanga. 23 Amangwago ne walabika omusajja eyaliko omwoyo omubi mu ssinzizo, n’awowoggana, 24 (E)ng’agamba nti, “Otwagaza ki Yesu Omunnazaaleesi? Ozze okutuzikiriza? Nkumanyi gwe Mutukuvu wa Katonda.” 25 (F)Awo Yesu n’aguboggolera ng’agamba nti, “Sirika era muveeko.” 26 (G)Awo omwoyo omubi ne gumusikambula nnyo, ne gumuvaako. 27 (H)Buli omu ne yeewuunya, ne beebuuzaganya nti, “Kuyigiriza kwa ngeri ki kuno okuggya okujjudde obuyinza? So n’emyoyo emibi agiragira ne gimugondera.” 28 (I)Amangwago amawulire agamukwatako ne gasaasaana wonna mu byalo ebyetoolodde Ggaliraaya.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.