Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 89:1-29

Endagaano ya Katonda ne Dawudi.

89 (A)Nnaayimbanga ku kwagala kwo okungi, Ayi Mukama, emirembe gyonna.
    Nnaatenderezanga obwesigwa bwo n’akamwa kange, bumanyibwe ab’emirembe gyonna.
(B)Ddala ddala nnaategeezanga nti okwagala kwo tekuggwaawo ennaku zonna;
    n’obwesigwa bwo bunywevu ng’eggulu.
Nakola endagaano n’omulonde wange;
    nalayirira omuweereza wange Dawudi nti,
(C)“Ezadde lyo nnaalinywezanga ennaku zonna,
    era entebe yo ey’obwakabaka nnaaginywezanga emirembe gyonna.”

(D)Eggulu linaatenderezanga ebyamagero byo n’obwesigwa bwo,
    Ayi Mukama, mu kibiina ky’abatukuvu bo.
(E)Kale, mu ggulu waggulu, ani ageraageranyizika ne Mukama?
    Ani afaanana nga Mukama, mu abo ababeera mu ggulu?
(F)Katonda atiibwa nnyo mu lukiiko olw’abatukuvu;
    era wa ntiisa okusinga bonna abamwetooloola.
(G)Ayi Mukama Katonda ow’Eggye, ani akufaanana?
    Oli wa buyinza, Ayi Mukama, ojjudde obwesigwa.
(H)Ggwe ofuga amalala g’ennyanja;
    amayengo gaayo bwe geekuluumulula ogakkakkanya.
10 (I)Lakabu wamubetentera ddala;
    abalabe bo n’obasaasaanya n’omukono gwo ogw’amaanyi.
11 (J)Eggulu liryo, n’ensi yiyo;
    ensi yonna gwe wagitonda ne byonna ebigirimu.
12 (K)Watonda obukiikakkono n’obukiikaddyo;
    ensozi Taboli ne Kerumooni zitendereza erinnya lyo.
13 Oli wa buyinza bungi nnyo; omukono gwo gwa maanyi,
    omukono gwo ogwa ddyo gunaagulumizibwanga.

14 (L)Obutuukirivu n’obwenkanya gwe musingi gw’obwakabaka bwo.
    Okwagala n’obwesigwa bye binaakukulemberanga.
15 (M)Balina omukisa abantu abamanyi okukutendereza Mukama n’amaloboozi ag’essanyu;
    Ayi Mukama, banaatambuliranga mu ssanyu lyo.
16 (N)Banaasanyukiranga mu linnya lyo okuzibya obudde,
    n’obutuukirivu bwo banaabugulumizanga.
17 (O)Kubanga gw’obawa amaanyi ne bafuna ekitiibwa.
    Olw’okwagala kwo otutuusa ku buwanguzi olw’ekisa kyo.
18 (P)Ddala ddala, Mukama ye ngabo yaffe,
    Omutukuvu wa Isirayiri kabaka waffe.

19 Mu biro biri eby’edda wayogera n’omuweereza wo
    omwesigwa mu kwolesebwa nti, Ngulumizizza omuzira ow’amaanyi;
ngulumizizza omuvubuka
    okuva mu bantu abaabulijjo.
20 (Q)Nalaba Dawudi, omuweereza wange;
    ne mufukako amafuta gange amatukuvu okuba kabaka.
21 (R)Nnaamukulemberanga,
    n’omukono gwange gunaamunywezanga.
22 (S)Tewaliba mulabe we alimuwangula,
    so n’aboonoonyi tebaamunyigirizenga.
23 (T)Abalabe be n’abamukyawa ndibamerengula,
    n’amaggye agamulwanyisa ndigabetenta.
24 (U)Obwesigwa bwange n’okwagala kwange kunaabanga naye,
    ne mu linnya lyange aneeyongeranga okuba ow’amaanyi.
25 (V)Alifuga okuva ku migga
    okutuuka ku nnyanja ennene.[a]
26 (W)Anankowoolanga ng’agamba nti, Ggwe Kitange era Katonda wange,
    ggwe Lwazi olw’Obulokozi bwange.
27 (X)Ndimufuula omwana wange omubereberye,
    era kabaka asinga okugulumizibwa mu bakabaka bonna ab’ensi.
28 (Y)Okwagala kwange kunaabeeranga naye ennaku zonna;
    n’endagaano gye nkoze naye teeremenga kutuukirira.
29 (Z)Ezzadde lye teririggwaawo emirembe gyonna,
    n’obwakabaka bunaavanga mu kika kye ennaku zonna.

Isaaya 59:15-21

15 Tewali w’oyinza kusanga mazima,
    era oyo ava ku kibi asuulibwa.

Mukama yakiraba n’atasanyuka
    kubanga tewaali bwenkanya.
16 (A)N’alaba nga tewali muntu,
    ne yennyamira nti tewali muntu ayinza kudduukirira.
Noolwekyo kwe kusalawo okukozesa omukono gwe ye kennyini
    okuleeta obulokozi n’obutuukirivu bwe okuwangula.
17 (B)Yayambala obutuukirivu bwe ng’eky’omu kifuba,
    era n’enkuufiira ey’obulokozi ku mutwe gwe;
n’ateekako ebyambalo by’okuwoolera eggwanga
    era n’ayambala obunyiikivu ng’omunagiro.
18 Ng’ebikolwa byabwe bwe biri
    bwalisasula ekiruyi ku balabe be,
n’abamukyawa
    alibawa empeera yaabwe,
    n’abo abali ewala mu bizinga abasasule.
19 (C)Noolwekyo balitya erinnya lya Mukama okuva ebugwanjuba,
    n’ekitiibwa kye okuva ebuvanjuba,
kubanga alijja ng’omugga ogukulukuta n’amaanyi,
    omukka gwa Mukama gwe gutwala.

20 (D)“Era Omununuzi alijja mu Sayuuni,
    eri abo abeenenya ebibi byabwe mu Yakobo,”
    bw’ayogera Mukama.

21 (E)“Era, eno y’endagaano yange gye nkola nabo,” bw’ayogera Mukama. “Omwoyo wange ali ku ggwe era n’ebigambo byange bye ntadde mu kamwa ko, tebiivenga mu kamwa ko, oba mu kamwa k’abaana bo, wadde mu kamwa k’abaana b’abaana bo, okuva kaakano okutuusa emirembe n’emirembe,” bw’ayogera Mukama.

Abafiripi 2:5-11

(A)Mubengamu endowooza eri eyali mu Kristo Yesu,

(B)ye newaakubadde nga yali mu kifaananyi kya Katonda,
    Teyeerowooza kwenkanankana ne Katonda,
(C)wabula yeewaayo n’afuuka ng’omuddu,
    era n’azaalibwa ng’omuntu,
    era n’alabikira mu kifaananyi ky’omuntu,
(D)ne yeetoowaza,
    n’aba muwulize n’okutuukira ddala ku kufa,
    ate okufa okw’okukomererwa ku musaalaba.

(E)Katonda kyeyava amugulumiza,
    n’amuwa erinnya erisinga amannya gonna;
10 (F)buli vviivi ery’abo abali mu ggulu n’abali ku nsi,
    era n’abali wansi w’ensi liryoke lifukaamirirenga erinnya lya Yesu,
11 (G)era buli lulimi lwatulenga nga Yesu Kristo ye Mukama,
    Katonda Kitaffe aweebwe ekitiibwa.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.