Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 24

Zabbuli ya Dawudi.

24 (A)Ensi ya Mukama n’ebigirimu byonna,
    n’ensi zonna n’abo abazibeeramu.
Kubanga yasimba emisingi gyayo mu nnyanja,
    n’agizimba ku mazzi amangi.

(B)Alyambuka ku lusozi lwa Mukama ye afaanana atya?
    Era wa ngeri ki aliyingira n’ayimirira mu nnyumba ye entukuvu?
(C)Oyo alina omutima omulongoofu, nga n’emikono gye mirongoofu;
    atasinza bakatonda abalala,
    era atalayirira bwereere.

Oyo Mukama anaamuwanga omukisa,
    n’obutuukirivu okuva eri Katonda ow’obulokozi bwe.
(D)Ogwo gwe mulembe gw’abo abakunoonya,
    Ayi Katonda wa Yakobo.

(E)Mweggulewo, mmwe bawankaaki!
    Muggulwewo, mmwe enzigi ez’edda,
    Kabaka ow’ekitiibwa ayingire.
(F)Kabaka ow’ekitiibwa ye ani?
    Ye Mukama ow’amaanyi era ow’obuyinza,
    omuwanguzi mu ntalo.
Mweggulewo, mmwe bawankaaki,
    muggulwewo mmwe enzigi ez’edda!
    Kabaka ow’ekitiibwa ayingire.
10 Kabaka ow’ekitiibwa oyo ye ani?
    Mukama Ayinzabyonna;
    oyo ye Kabaka ow’ekitiibwa.

Zabbuli 29

Zabbuli ya Dawudi.

29 (A)Mutendereze Mukama, mmwe abaana b’ab’amaanyi.
    Mutendereze Mukama n’ekitiibwa n’amaanyi.
(B)Mutendereze Mukama n’ekitiibwa ekisaanira erinnya lye;
    musinze Mukama mu kitiibwa eky’obutukuvu bwe.

(C)Eddoboozi lya Mukama liwulirwa ku mazzi;
    Katonda ow’ekitiibwa abwatuka,
    n’eddoboozi lye ne liwulirwa ku mazzi amangi.
(D)Eddoboozi lya Mukama ly’amaanyi;
    eddoboozi lya Mukama lijjudde ekitiibwa.
(E)Eddoboozi lya Mukama limenya emivule;
    Mukama amenyaamenya emivule gya Lebanooni.
(F)Aleetera Lebanooni okubuukabuuka ng’akayana,
    ne Siriyooni[a] ng’ennyana y’embogo.
Eddoboozi lya Mukama
    libwatukira mu kumyansa.
(G)Eddoboozi lya Mukama likankanya eddungu;
    Mukama akankanya eddungu lya Kadesi.
(H)Eddoboozi lya Mukama linyoolanyoola emivule,
    n’emiti mu bibira ne gitasigalako makoola.
Mu Yeekaalu ye, abantu bonna boogerera waggulu nti, “Ekitiibwa kibe eri Mukama!”

10 (I)Mukama atuula waggulu w’amataba ku ntebe ye ey’obwakabaka.
    Mukama ye Kabaka afuga emirembe gyonna.
11 (J)Mukama awa abantu be amaanyi;
    Mukama awa abantu be emirembe.

Zabbuli 8

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

(A)Ayi Mukama, Mukama waffe,
    erinnya lyo nga ddungi era kkulu nnyo mu nsi yonna!

Ekitiibwa kyo kitenderezebwa
    okutuuka waggulu mu ggulu.
(B)Abaana abato n’abawere
    wabawa amaanyi okukutendereza;
ne basirisa omulabe wo
    n’oyo ayagala okwesasuza.
(C)Bwe ntunuulira eggulu lyo,
    omulimu gw’engalo zo,
omwezi n’emmunyeenye
    bye watonda;
(D)omuntu kye ki ggwe okumujjukira,
    omuntu obuntu ggwe okumussaako omwoyo?

(E)Kubanga wamukola n’abulako katono okuba nga Katonda;
    n’omussaako engule ey’obukulu n’ekitiibwa.
(F)Wamukwasa okufuga ebintu byonna bye wakola n’emikono gyo:
    byonna wabissa wansi w’ebigere bye,
ebisibo n’amagana ag’ebisolo byonna eby’omu nsiko,
n’ennyonyi ez’omu bbanga,
    n’ebyennyanja eby’omu nnyanja;
    era na buli kiramu kyonna ekiyita mu nnyanja.

(G)Ayi Mukama, Mukama waffe, erinnya lyo nga ddungi
    era kkulu nnyo mu nsi yonna!

Zabbuli 84

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola.

84 (A)Eweema zo nga nnungi,
    Ayi Mukama ow’Eggye!
(B)Omwoyo gwange guyaayaana,
    gwagala na kuzirika,
olw’empya za Mukama,
    omutima gwange n’omubiri gwange bikoowoola Katonda omulamu.
(C)Weewaawo,
    ne nkazaluggya yeekoledde ekisu,
    n’akataayi ennyumba mwe binaakulizanga abaana baabyo
awo okumpi n’Ebyoto byo,
    Ayi Mukama Ayinzabyonna, Kabaka wange, era Katonda wange.
Balina omukisa ababeera mu nnyumba yo,
    banaakutenderezanga.

(D)Alina omukisa omuntu eyeesiga amaanyi go,
    era assaayo omwoyo okutambulira mu makubo go.
(E)Bayita mu kiwonvu Baka,
    ne bakifuula ekifo ky’ensulo;
    n’enkuba ya ddumbi n’ejjuza ebidiba byakyo.
(F)Bagenda beeyongera amaanyi,
    okutuusa lwe batuuka mu maaso ga Katonda mu Sayuuni.

Wulira okusaba kwange, Ayi Mukama Katonda ow’Eggye;
    mpuliriza, Ayi Katonda wa Yakobo.
(G)Ayi Katonda, Engabo yaffe,
    tunuulira kabaka wo n’okusaasira oyo gwe wafukako amafuta.

10 (H)Okumala olunaku olumu mu mpya zo,
    kisinga okubeera emyaka olukumi mu bifo ebirala.
Njagala okuba omuggazi mu nnyumba ya Katonda wange,
    okusinga okubeeranga mu weema z’abakola ebibi.
11 (I)Kubanga Mukama Katonda ye njuba yaffe era ye ngabo yaffe;
    atuwa emikisa gye awamu n’ekitiibwa;
tewaliiwo kirungi na kimu ky’ataawa
    abo abatambulira mu makubo ge nga tebaliiko kyakunenyezebwa.

12 (J)Ayi Mukama ow’Eggye
    alina omukisa omuntu akwesiga.

Isaaya 42:1-12

Omuweereza wa Katonda

42 (A)Laba omuweereza wange gwe mpanirira,
    omulonde wange gwe nsanyukira ennyo.
Ndimuwa Omwoyo wange
    era alireeta obwenkanya eri amawanga.
Talireekaana
    wadde okuyimusa eddoboozi lye mu luguudo.
(B)Talimenya lumuli lubetentefu
    oba okuzikiza olutambi olwaka empola ennyo;
mu bwesigwa alireeta obwenkanya.
    (C)Taliremererwa oba okuggwaamu essuubi okutuusa ng’aleesewo obutebenkevu ku nsi.
N’ebizinga eby’ewala
    biririndirira amateeka ge.

(D)Bw’atyo bw’ayogera Mukama Katonda,
eyatonda eggulu n’alibamba.
    Eyayanjuluza ensi ne byonna ebigivaamu;
awa omukka abantu baakwo
    era n’obulamu eri bonna abagitambulirako.
(E)“Nze Mukama,
    nakuyita mu butuukirivu.
Ndikukwata ku mukono era ndikukuuma.
    Ndikufuula okuba endagaano eri abantu,
    era omusana eri bannamawanga.
(F)Okuzibula amaaso g’abazibe,
    okuta abasibe okuva mu makomera
    n’okuggya abo abali mu bunnya, abo abali mu kizikiza.

(G)“Nze Mukama,
    eryo lye linnya lyange, n’ekitiibwa kyange sirikiwa mulala,
    newaakubadde ettendo lyange okukiwa bakatonda abalala.
Laba, ebyo bye nagamba nti
    biribaawo bituuse,
kaakano mbabuulira ku bigenda okujja;
    mbibategeeza nga tebinnabaawo.”

Oluyimba olw’Okutendereza Mukama

10 (H)Muyimbire Mukama oluyimba oluggya,
    ettendo lye okuva ku nkomerero y’ensi!
Mmwe abasaabala ku nnyanja ne byonna ebigirimu,
    mmwe ebizinga ne bonna ababibeeramu.
11 (I)Leka eddungu n’ebibuga byamu biyimuse amaloboozi gaabyo,
    ebyalo Kedali mw’atuula.
Leka abantu b’e Seera bayimbe n’essanyu.
    Leka baleekaanire waggulu ku ntikko z’ensozi.
12 (J)Leka Mukama bamuwe ekitiibwa
    era balangirire ettendo lye mu bizinga.

Abaefeso 6:10-20

Ebyokulwanyisa bya Katonda

10 (A)Eky’enkomerero, mubenga n’amaanyi mu Mukama waffe ne mu buyinza obw’amaanyi ge. 11 (B)Mwambale ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke musobole okwolekera enkwe za Setaani. 12 (C)Kubanga tetumeggana na mubiri wadde musaayi, wabula tulwanyisa abafuzi, n’ab’obuyinza, n’amaanyi ag’ensi ag’ekizikiza, n’emyoyo emibi egy’omu bifo ebya waggulu. 13 Noolwekyo mwambalenga ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke musobole okwaŋŋanga omulabe ku lunaku olw’akabi, era bwe mulimala okukola byonna, mulyoke musigale nga muli banywevu. 14 (D)Muyimirire nga muli banywevu, ng’amazima lwe lukoba lwammwe lwe mwesibye mu kiwato kyammwe, ate ng’obutuukirivu kye ky’omu kifuba, 15 (E)nga mwambadde n’engatto mu bigere byammwe nga mugenda okubuulira Enjiri ey’emirembe. 16 (F)Era ku ebyo byonna okukkiriza kwammwe kubeerenga engabo eneebasobozesanga okuzikiza obusaale bwonna obw’omuliro obulasibwa omubi. 17 (G)Obulokozi bubafuukire enkuufiira gye mwambadde, n’ekigambo kya Katonda kibabeerere ekitala eky’Omwoyo, 18 (H)nga musabiririranga mu ssaala zonna nga mwegayiririranga mu mwoyo buli kiseera. Mwekuumenga nga mugumiikirizanga, era nga mwegayiririranga abatukuvu, be bantu bonna aba Katonda.

19 (I)Era nange munsabirenga bwe nnaabanga njogera mpeebwe eby’okwogera, era mbyogerenga n’obuvumu nga ntegeeza abantu ekyama ky’Enjiri. 20 Ndi mubaka wa Njiri ali mu njegere. Munsabire ndyoke ngibuulire abantu n’obuvumu nga bwe kinsaanira.

Yokaana 3:16-21

16 (A)“Kubanga Katonda bwe yayagala ensi, bw’atyo n’awaayo Omwana we omu yekka, buli muntu yenna amukkiriza aleme kuzikirira, wabula afune obulamu obutaggwaawo. 17 (B)Kubanga Katonda teyatuma Mwana we mu nsi kugisalira musango, wabula ensi erokolebwe okuyita mu ye. 18 (C)Amukkiriza tasalibwa musango, naye atakkiriza gumaze okumusinga kubanga takkiririza mu linnya ly’Omwana oyo omu yekka owa Katonda. 19 (D)Era guno gwe musango nti: Omusana guzze mu nsi, kyokka abantu ne baagala ekizikiza okusinga omusana, kubanga ebikolwa byabwe bibi. 20 (E)Buli akola ebibi akyawa Omusana era tajja eri musana, ebikolwa bye bireme okumanyibwa. 21 Naye buli ajja eri omusana akola eby’amazima, ebikolwa bye bimanyibwe nga byakolerwa mu Katonda.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.