Book of Common Prayer
Zabbuli ya Asafu.
50 (A)Oyo Owaamaanyi, Mukama Katonda,
akoowoola ensi
okuva enjuba gy’eva okutuuka gy’egwa.
2 (B)Katonda ayakaayakana
ng’ava mu Sayuuni n’obulungi bw’ekitiibwa kye ekituukiridde.
3 (C)Katonda waffe ajja, naye tajja kasirise,
omuliro ogusaanyaawo buli kintu gwe gumukulembera,
n’omuyaga ogw’amaanyi ne gumwetooloola.
4 (D)Akoowoola abali mu ggulu ne ku nsi,
azze okusalira abantu be omusango.
5 (E)Agamba nti, “Munkuŋŋaanyize abantu bange abaayawulibwa,
abaakola nange endagaano nga bawaayo ssaddaaka.”
6 (F)Eggulu litegeeza obutuukirivu bwa Katonda
kubanga Katonda yennyini ye mulamuzi.
7 (G)“Muwulirize, mmwe abantu bange, nange nnaayogera.
Ggwe Isirayiri bino bye nkuvunaana:
Nze Katonda, Katonda wo.
8 (H)Sikunenya lwa ssaddaaka zo,
oba ebiweebwayo ebyokebwa by’ossa mu maaso gange bulijjo.
9 (I)Sikyakkiriza nte nnume n’emu evudde mu kiralo kyo,
wadde embuzi ennume ezivudde mu bisibo byo.
10 (J)Kubanga buli nsolo ey’omu kibira yange,
awamu n’ente eziri ku nsozi olukumi.
11 Ennyonyi zonna ez’oku nsozi nzimanyi,
n’ebiramu byonna eby’omu nsiko byange.
12 (K)Singa nnumwa enjala sandikubuulidde:
kubanga ensi n’ebigirimu byonna byange.
13 Ndya ennyama y’ente ennume,
wadde okunywa omusaayi gw’embuzi?
14 (L)“Owangayo ssaddaaka ey’okwebaza eri Katonda;
era otuukirizanga obweyamo bwo eri oyo Ali Waggulu Ennyo.
15 (M)Bw’obanga mu buzibu,
nnaakuwonyanga, naawe onongulumizanga.”
16 (N)Naye omubi Katonda amugamba nti,
“Lekeraawo okwatulanga amateeka gange,
n’endagaano yange togyogerangako.
17 (O)Kubanga okyawa okuluŋŋamizibwa,
n’ebigambo byange tobissaako mwoyo.
18 (P)Bw’olaba omubbi, ng’omukwana;
era weetaba n’abenzi.
19 (Q)Okolima era olimba;
olulimi lwo lwogera ebitali bya butuukirivu.
20 (R)Muganda wo omwogerako bibi byereere buli kiseera,
era owayiriza omwana wa nnyoko yennyini.
21 (S)Ebyo byonna obikoze, ne nsirika,
n’olowooza nti twenkanankana.
Naye kaakano ka nkunenye,
ebisobyo byonna mbikulage.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Tozikiriza.” Zabbuli ya Dawudi, Sawulo bwe yatuma bakuume enju ya Dawudi bamutte.
59 (A)Ayi Katonda wange, mponya abalabe bange;
onnwanirire, abantu bwe bangolokokerako.
2 (B)Omponye abakola ebitali bya butuukirivu,
era ondokole mu batemu.
3 (C)Laba banneekwekeredde nga banteega okunzita.
Abasajja ab’amaanyi abakambwe banneekobera, Ayi Mukama,
so nga soonoonye wadde okubaako ne kye nsobezza.
4 (D)Sirina kye nsobezza, naye bateekateeka okunnumba.
Tunuulira obuzibu bwange, osituke, onnyambe.
5 (E)Ayi Mukama Katonda ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri,
golokoka obonereze amawanga gonna;
abo bonna abasala enkwe tobasaasira.
6 (F)Bakomawo buli kiro,
nga babolooga ng’embwa,
ne batambulatambula mu kibuga.
7 (G)Laba, bwe bavuma!
Ebigambo biwamatuka mu kamwa kaabwe ng’ebitala,
nga boogera nti, “Ani atuwulira?”
8 (H)Naye ggwe, Ayi Mukama, obasekerera,
era amawanga ago gonna oganyooma.
9 (I)Ayi Katonda, Amaanyi gange, nnaakwesiganga
era nnaakutenderezanga, kubanga ggwe kigo kyange ekinywevu. 10 Katonda wange anjagala
anankulemberanga,
ne ndyoka neeyagalira ku balabe bange.
11 (J)Tobatta, Ayi Mukama, engabo yaffe,
abantu bange baleme kwerabira;
mu buyinza bwo obungi, baleke batangetange;
n’oluvannyuma obakkakkanyize ddala.
12 (K)Amalala gaabwe n’ebyonoono ebiva mu kamwa kaabwe,
n’ebigambo by’oku mimwa gyabwe
leka byonna bibatege ng’omutego.
Kubanga bakolima era ne boogera eby’obulimba.
13 (L)Bamaleewo n’ekiruyi kyo,
bamalirewo ddala;
amawanga gonna galyoke gategeere
nga Katonda wa Yakobo y’afuga ensi yonna.
14 Bakomawo nga buwungedde
nga babolooga ng’embwa,
ne batambulatambula mu kibuga.
15 (M)Banoonya emmere buli wantu mu kibuga,
ne bawowoggana bwe batakkuta.
16 (N)Naye nze nnaayimbanga nga ntendereza amaanyi go;
mu makya nnaayimbanga ku kwagala kwo;
kubanga ggwe kigo kyange,
era ggwe kiddukiro kyange mu buzibu bwange.
17 Ggwe, Ayi Katonda, Amaanyi gange, nnaakuyimbiranga nga nkutendereza;
kubanga ggwe kigo kyange, era ggwe Katonda wange, anjagala.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Eddanga ery’Endagaano.” Zabbuli ya Dawudi. Yakuyigiriza. Dawudi bwe yalwana n’Abaalamu abaava e Nakalayimu n’abaava e Zoba, Yowaabu n’akomawo n’atta Abayedomu omutwalo gumu mu enkumi bbiri mu Kiwonvu eky’Omunnyo.
60 (O)Otusudde, Ayi Katonda, otumazeemu amaanyi,
otunyiigidde. Tukwegayiridde otuzze gy’oli.
2 (P)Ensi ogiyuuguumizza n’ogyasaayasa;
tukwegayirira enjatika ozizibe, kubanga ekankana.
3 (Q)Obadde mukambwe nnyo eri abantu bo;
tuli nga b’owadde omwenge omungi ne gututagaza.
4 Naye abo abakutya obawanikidde ebbendera okuba akabonero akabakuŋŋaanya awamu,
era akatiisa abalabe baabwe.
5 (R)Otulokole era otuyambe n’omukono gwo ogwa ddyo,
abakwagala baleme kutuukibwako kabi konna.
6 (S)Katonda ayogedde ng’asinziira mu kifo kye ekitukuvu, n’agamba nti,
“Mu buwanguzi, ndisala mu Sekemu,
era n’ekiwonvu kya Sukkosi ndikigabanyagabanyaamu.
7 (T)Ensi ya Gireyaadi yange, n’eya Manase nayo yange.
Efulayimu ye nkufiira ey’oku mutwe gwange;
ate Yuda gwe muggo gwange ogw’okufuga.
8 (U)Mowaabu kye kinaabirwamu kyange,
ate Edomu gye nkasuka engatto yange:
ne ku Bafirisuuti ndeekaana mu buwanguzi.”
9 Ani anantuusa ku kibuga ekigumu ekinywevu?
Ani anankulembera okunnyingiza mu Edomu?
10 (V)Si ggwe Ayi Katonda, atusudde,
atakyatabaala na magye gaffe?
11 (W)Tudduukirire, nga tulwanyisa abalabe baffe,
kubanga obuyambi bw’abantu temuli nsa.
12 (X)Bwe tunaabeeranga ne Katonda, tunaabanga bawanguzi,
kubanga ye y’anaalinnyiriranga abalabe baffe wansi w’ebigere bye.
Zabbuli ya Dawudi.
33 (A)Muyimbire Mukama n’essanyu mmwe abatuukirivu;
kisaanira abalongoofu okumutenderezanga.
2 (B)Mutendereze Mukama n’ennanga,
mumukubire ennyimba ku ntongooli ey’enkoba ekkumi.
3 (C)Mumuyimbire oluyimba oluggya;
musune enkoba ze ntongooli n’amagezi nga bwe muyimba mu ddoboozi ery’omwanguka olw’essanyu.
4 (D)Kubanga ekigambo kya Mukama kituufu era kya mazima;
mwesigwa mu buli ky’akola.
5 (E)Mukama ayagala obutuukirivu n’obwenkanya.
Ensi ejjudde okwagala kwa Mukama okutaggwaawo.
6 (F)Mukama yayogera kigambo, eggulu ne likolebwa;
n’assiza omukka mu kamwa ke eggye lyonna ery’omu ggulu ne litondebwa.
7 Yakuŋŋaanya amazzi g’ennyanja mu ntuumu,
agayanja n’agasibira mu masitoowa gaago.
8 (G)Ensi yonna esaana etyenga Mukama,
n’abantu ab’omu mawanga gonna bamussengamu ekitiibwa;
9 (H)kubanga yayogera bwogezi n’etondebwa,
n’alagira n’eyimirira nga nywevu.
10 (I)Mukama asansulula enteekateeka y’amawanga;
alemesa abantu okutuukiriza bye bagenderera.
11 (J)Naye enteekateeka za Mukama zibeerawo nga nywevu emirembe gyonna;
n’ebigendererwa by’omutima gwe bya lubeerera.
12 (K)Lirina omukisa eggwanga eririna Katonda nga ye Mukama waalyo,
ng’abantu baalyo yabalonda babeere bantu be.
13 (L)Mukama asinziira mu ggulu
n’alaba abaana b’abantu bonna;
14 (M)asinziira mu kifo kye mw’abeera
n’alaba abantu bonna abali ku nsi.
15 (N)Ye y’ategeka ebirowoozo byabwe bonna
ne yeetegereza byonna bye bakola.
16 (O)Tewali kabaka asobola kuwona olw’obunene bw’eggye lye;
era tewali mulwanyi ayinza kuwona olw’amaanyi ge amangi.
17 (P)Okusuubira embalaasi yokka okukuwanguza olutalo kuteganira bwerere;
newaakubadde erina amaanyi mangi naye tesobola kulokola.
18 (Q)Naye amaaso ga Mukama galabirira abo abamutya;
abalina essuubi mu kwagala kwe okutaggwaawo,
19 (R)abawonya okufa,
era abawonya enjala.
18 (A)Ddala ekibi kyokya ng’omuliro;
gumalawo emyeramannyo n’obusaana.
Era gukoleeza eby’omu kibira,
omukka ne gunyooka ne gutumbiira waggulu.
19 (B)Olw’obusungu bwa Mukama Katonda ow’Eggye
ensi eggiiridde ddala,
era n’abantu bali ng’enku ez’okukuma omuliro,
tewali muntu alekawo muganda we.
20 (C)Balimalawo eby’oku mukono ogwa ddyo,
naye balisigala bayala;
balirya n’eby’oku kkono,
naye tebalikkuta.
Buli omu alirya ku mubiri gw’ezzadde lye.
21 (D)Manase alirya Efulayimu ne Efulayimu n’alya Manase
ate bombi ne balya Yuda.
Naye wadde nga biri bityo, obusungu bwa Mukama buliba tebunnavaawo,
era n’omukono gwe guliba gukyagoloddwa.
10 (E)Nga zibasanze abo abateeka amateeka agatali ga bwenkanya,
n’abo abawa ebiragiro ebinyigiriza,
2 (F)okulemesa abaavu ne batafuna nsala ebagwanidde;
era n’okunyaga ku bantu bange abaavu ebyabwe,
ne bafuula bannamwandu omunyago gwabwe,
n’abatalina ba kitaabwe omuyiggo gwabwe!
3 (G)Mulikola mutya ku lunaku Mukama lwalisalirako omusango
ne mu kuzikirira okuliva ewala?
Muliddukira w’ani alibayamba?
Obugagga bwammwe mulibuleka wa?
4 (H)Muliba temusigazza kya kukola kirala wabula okutwalibwa nga mukutaamiridde mu busibe
oba okuba mu abo abattiddwa.
Naye wadde nga biri bityo, obusungu bwe buliba tebunnaggwaawo,
era n’omukono gwe guliba gukyagoloddwa.
10 (A)n’okusingira ddala abo abagoberera okwegomba kwabwe okw’omubiri ne banyooma abakulembeze baabwe.
Tebaliiko kye batya, beerowoozaako bokka, era tebakwatibwa na nsonyi kuvuma baakitiibwa. 11 (B)Kyokka bo bamalayika newaakubadde be basinga abayigiriza abo amaanyi n’obuyinza, bwe batwala ensonga ezo eri Mukama waffe tebakozesa lulimi luvuma. 12 (C)Abantu bali bavuma ne bye batategeera, bali ng’ensolo obusolo ezitaliimu magezi ezikwatibwa okuttibwa ne zizikirizibwa; era nabo okufaanana ng’ensolo ezo, bagenda kuzikirizibwa.
13 (D)Abantu abo bagenda kubonerezebwa olw’ebibi bye bakola. Kubanga buli lunaku bagoberera okwegomba kwabwe olw’okwesanyusa, era abantu abo bakwasa mmwe ensonyi era babaswaza bwe beegatta nammwe mu mbaga zammwe, nga bakola effujjo mu masanyu gaabwe. 14 (E)Balina amaaso agajjude obukaba, tebalekaayo kukola kibi buli kiseera boonoona era basendasenda abatali banywevu, bajjudde omululu. Baana abaakolimirwa, 15 (F)abaakyama ne bava mu kkubo okufaanana nga Balamu mutabani wa Beyoli, eyayagala empeera ey’obutali butuukirivu. 16 (G)Kyokka endogoyi etayogera, Katonda bwe yagyogeza n’emumanya olw’obujeemu bwe n’eziyiza eddalu lya nnabbi oyo.
Yokaana Omubatiza Aluŋŋamya Ekkubo lya Mukama
3 (A)Mu nnaku ezo Yokaana Omubatiza n’ajja ng’abuulira mu ddungu ly’e Buyudaaya ng’agamba nti, 2 (B)“Mwenenye, kubanga obwakabaka obw’omu ggulu bunaatera okutuuka.” 3 (C)Oyo nnabbi Isaaya gwe yayogerako ng’agamba nti,
“Mpulira eddoboozi ly’oyo ayogerera waggulu mu ddungu ng’agamba nti,
‘Mulongoose oluguudo lwa Mukama,
muluŋŋamye amakubo ge!’ ”
4 (D)Ebyambalo bya Yokaana byakolebwa mu bwoya bwa ŋŋamira, era nga yeesibya lukoba lwa ddiba. N’emmere ye yali nzige na mubisi gwa njuki. 5 Abantu bangi ne bava mu Yerusaalemi ne mu Buyudaaya mwonna ne mu bifo ebiriraanye Yoludaani ne bajja mu ddungu okuwulira by’abuulira. 6 N’ababatiza mu mugga Yoludaani, nga baatula ebibi byabwe.
7 (E)Naye bwe yalaba Abafalisaayo bangi n’Abasaddukaayo nga bajja okubatizibwa n’abagamba nti, “Mmwe, abaana b’essalambwa, ani yabalabula okudduka obusungu bwa Katonda obugenda okujja? 8 (F)Kale mubale ebibala ebiraga nti Mwenenyeza. 9 Temulowooza mu mitima gyammwe nti, ‘Tuli bulungi kubanga tuli Bayudaaya, abaana ba Ibulayimu, tetufaayo, tetulina kye twetaaga.’ Ekyo tekibasigula. Mbategeeza nti, Katonda ayinza okufuula amayinja gano abaana ba Ibulayimu! 10 (G)Kaakano embazzi ya Katonda eteekeddwa ku buli kikolo kya muti, omuti ogutabala bibala birungi, gutemebwa gusuulibwe mu muliro.
11 (H)“Nze mbabatiza na mazzi okutuuka ku kwenenya, naye waliwo omulala ajja, oyo ye ansinga amaanyi era sisaanira na kukwata ngatto ze, oyo alibabatiza ne Mwoyo Mutukuvu n’omuliro. 12 (I)Ekikuŋŋunta kiri mu mukono gwe, alirongoosa egguuliro lye. Eŋŋaano aligitereka mu tterekero lye, naye ebisusunku alibyokya mu muliro ogutazikira.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.