Book of Common Prayer
Oluyimba nga balinnya amadaala.
120 (A)Nkoowoola Mukama nga ndi mu nnaku,
era n’annyanukula.
2 (B)Omponye, Ayi Mukama,
emimwa egy’obulimba,
n’olulimi olw’obukuusa.
3 Onooweebwa ki,
era onookolebwa otya, ggwe olulimi olukuusa?
4 (C)Onoofumitibwa n’obusaale obwogi obw’omulwanyi omuzira,
n’oyokerwa ku manda ag’omuti entaseesa.
5 (D)Ndabye ennaku, kubanga mbeera mu Meseki;
nsula mu weema za Kedali!
6 Ndudde nnyo
mu bantu abakyawa eddembe.
7 Nze njagala mirembe,
naye bwe njogera bo baagala ntalo.
Oluyimba nga balinnya amadaala.
121 Nnyimusa amaaso gange eri ensozi,
okubeerwa kwange kuva wa?
2 (E)Okubeerwa kwange kuva eri Mukama,
eyakola eggulu n’ensi.
3 Taliganya kigere kyo kusagaasagana;
oyo akukuuma taabongootenga.
4 Laba, oyo akuuma Isirayiri
taabongootenga so teyeebakenga.
5 (F)Mukama ye mukuumi wo;
Mukama y’akusiikiriza ku mukono gwo ogwa ddyo;
6 (G)emisana enjuba teekwokyenga,
wadde omwezi ekiro.
7 (H)Mukama anaakukuumanga mu buli kabi;
anaalabiriranga obulamu bwo.
8 (I)Mukama anaakukumanga amagenda go n’amadda,
okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.
Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi.
122 Nasanyuka bwe baŋŋamba nti,
“Tugende mu nnyumba ya Mukama!”
2 Ebigere byaffe biyimiridde
mu miryango gyo, Ayi Yerusaalemi.
3 Yerusaalemi yazimbibwa okuba
ekibuga ekinywevu ekiyimiridde awamu.
4 Eyo ebika byonna gye biraga,
ebika bya Mukama,
okutendereza erinnya lya Mukama
ng’ebiragiro ebyaweebwa Isirayiri bwe biri.
5 Eyo entebe ez’okusalirako emisango gye zaateekebwa;
z’entebe ez’obwakabaka ez’ennyumba ya Dawudi.
6 (J)Musabirenga Yerusaalemi emirembe:
“Abo abakwagala bafune ebirungi.
7 Emirembe gibeerenga munda w’ebisenge byo;
n’amayumba go amanene gabeerenga n’omukisa era nga manywevu.”
8 Olwa baganda bange ne mikwano gyange
nnaayogeranga nti, “Emirembe gibeerenga mu ggwe.”
9 (K)Olw’obulungi bw’ennyumba ya Mukama Katonda waffe, nnaanoonyanga okukulaakulana kwa Yerusaalemi.
Oluyimba nga balinnya amadaala.
123 (L)Nnyimusa amaaso gange gy’oli,
Ayi ggwe atuula ku ntebe ey’obwakabaka mu ggulu.
2 (M)Amaaso g’abaddu nga bwe gatunuulira omukono gwa mukama waabwe;
n’amaaso g’omuweereza omukazi nga bwe gatunuulira omukono gwa mugole we[a],
n’amaaso gaffe bwe gatyo bwe gatunuulira Mukama Katonda waffe,
okutuusa lw’alitusaasira.
3 Tusaasire, Ayi Mukama, tusaasire,
kubanga tunyoomeddwa nnyo ddala.
4 Emitima gyaffe gijjudde ennaku olw’okuduulirwa abo abeeyagala,
n’okunyoomebwa ab’amalala.
Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi.
124 (N)Isirayiri agamba nti,
singa Katonda teyali ku ludda lwaffe,
2 singa Katonda teyali ku ludda lwaffe
abalabe baffe bwe baatulumba,
3 banditusaanyizzaawo mu kaseera buseera,
obusungu bwabwe bwe bwatubuubuukirako.
4 Amataba g’obusungu bwabwe ganditusaanyizzaawo,
ne mukoka n’atukulukutirako;
5 amazzi ag’obusungu bwabwe agayira
ganditukuluggusizza.
6 Mukama atenderezebwe
atatugabuddeeyo ne tutaagulwataagulwa amannyo gaabwe.
7 (O)Tuwonye ng’ekinyonyi bwe kiva
ku mutego gw’abatezi;
omutego gukutuse,
naffe tuwonye!
8 (P)Okubeerwa kwaffe kuli mu linnya lya Mukama,
eyakola eggulu n’ensi.
Oluyimba nga balinnya amadaala.
125 (Q)Abeesiga Mukama bali ng’olusozi Sayuuni
olutayinza kusiguukululwa, naye olubeerawo emirembe gyonna.
2 (R)Ensozi nga bwe zeetooloola Yerusaalemi,
ne Mukama bw’atyo bwe yeetooloola abantu be,
okuva kaakano n’okutuusa emirembe gyonna.
3 (S)Kubanga abafuzi abakola ebibi tebalifugira
mu nsi y’abatuukirivu,
baleme okuwaliriza abatuukirivu
okukola ebibi.
4 (T)Ayi Mukama, abalungi n’abo abalina omutima omulongoofu
bakolere ebirungi.
5 (U)Naye abo abalaga mu makubo gaabwe amakyamu,
Mukama alibawaŋŋangusa wamu n’abakola ebitali bya butuukirivu.
Emirembe gibe ku Isirayiri.
Oluyimba nga balinnya amadaala.
126 (V)Mukama bwe yakomyawo abawaŋŋanguse ba Sayuuni,
twafaanana ng’abaloota.
2 (W)Olwo akamwa kaffe ne kajjula enseko,
ne nnimi zaffe ne ziyimba ennyimba ez’essanyu.
Amawanga ne gagamba nti,
“Mukama abakoledde ebikulu.”
3 (X)Mukama atukoledde ebikulu,
kyetuvudde tusanyuka.
4 (Y)Otuzze obuggya, Ayi Mukama,
tufaanane ng’emigga egikulukutira mu lusenyi.
5 (Z)Abo abasiga nga bakaaba amaziga,
baliyimba ennyimba ez’essanyu nga bakungula.
6 Oyo agenda ng’akaaba
ng’atwala ensigo okusiga;
alikomawo ng’ayimba ennyimba ez’essanyu
ng’aleeta ebinywa bye.
Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Sulemaani.
127 (AA)Mukama bw’atazimba nnyumba,
abo abagizimba bazimbira bwereere.
Mukama bw’atakuuma kibuga,
abakuumi bateganira bwereere.
2 (AB)Oteganira bwereere bw’okeera mu makya n’okola,
ate n’olwawo n’okwebaka
ng’okolerera ekyokulya;
kubanga Mukama abaagalwa be abawa otulo.
3 (AC)Abaana aboobulenzi kya bugagga okuva eri Mukama;
era abaana mpeera gy’agaba okuva gy’ali.
4 Ng’obusaale bwe bubeera mu mukono gw’omulwanyi,
n’abaana abazaalibwa mu buvubuka bw’omuntu bwe bali bwe batyo.
5 (AD)Alina omukisa omuntu oyo
ajjuzza ensawo ye n’obusaale,
kubanga tebaliswazibwa;
balyolekera abalabe baabwe mu mulyango omunene.
Abasumba Ababiri
4 Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wange nti, “Lunda endiga zigejje ezinaatwalibwa okuttibwa. 5 (A)Abo abazigula bazitta ne batabaako musango. N’abo abazitunda ne bagamba nti, ‘Mukama atenderezebwe ngaggawadde!’ Abasumba baazo bennyini tebazikwatirwa kisa. 6 (B)Kubanga sikyaddayo kukwatirwa bantu ba nsi eno kisa,” bw’ayogera Mukama. “Ndiwaayo buli muntu okugwa mu mikono gya muliraanwa we, ne mu mikono gya kabaka we. Nabo balijooga ensi era sirigiwonya kuva mu mikono gwabwe.”
7 Awo ne nunda ekisibo ekyateekebwateekebwa okuttibwa, okusingira ddala ezaali zijoogebwa. Ne ntwala emiggo gy’abasumba ebiri, ogumu ne ngutuuma erinnya Kisa, omulala ne ngutuuma Kwegatta era ne ndiisa endiga. 8 Mu mwezi gumu ne neegobako abasumba basatu, emmeeme yange ng’ebakyaye era nabo nga bankyaye. 9 (C)Awo ne ndyoka ŋŋamba nti, “Siibeere musumba wammwe, ekinaafa leka kife, ekyokwonooneka kyonooneke, era leka ebyo ebisigaddewo biryaŋŋane, buli kimu kirye kinnaakyo.”
10 (D)Ne ndyoka nkwata omuggo gwange Kisa ne ngumenya, ne mmenya endagaano gye nnali nkoze n’abantu bonna. 11 Endagaano n’agikomya ku lunaku olwo era abasuubuzi b’endiga abaali bandaba ne bamanya nti ekyo kyali kigambo kya Katonda.
12 (E)Ne ndyoka mbagamba nti, “Bwe kiba nga kisaanidde mu maaso gammwe mumpe empeera yange; naye obanga temusiimye mulekeeyo.” Awo ne bambalira ensimbi eza ffeeza amakumi asatu.
13 (F)Awo Mukama n’aŋŋamba nti, “Zisuulire omubumbi,” omuwendo guno ogw’ekitalo gwe bansasula! Kale ne ntwala ensimbi amakumi asatu eza ffeeza ne nzisuulira omubumbi mu nnyumba ya Mukama.
14 Awo ne mmenya omuggo gwange ogwokubiri Kwegatta, okulaga nti obumu obwali wakati wa Yuda ne Isirayiri bwali bukomye. 15 Mukama n’alyoka aŋŋamba nti, “Twala nate ebintu eby’omusumba omusirusiru bye yandikozesezza. 16 Kubanga laba, nze nyimusizza omusumba mu nsi atafaayo ku ndiga ezizikirira era atanoonya zisaasaanye, era atayunga zimenyese wadde okuliisa ennamu, naye alya ensolo ensava ng’aziyuzaako ebinuulo.
17 (G)“ ‘Zimusanze omusumba wange ataliiko ky’agasa
agayaalirira ekisibo!
Ekitala kifumite omukono gwe ogwa ddyo, kiggyemu n’eriiso lye erya ddyo!
Omukono gwe gukalire ddala,
n’eriiso lye erya ddyo lizibire ddala!’ ”
10 (A)Okusinziira ku kisa kya Katonda ekya mpeebwa, ng’omuzimbi ow’amagezi, nazimba omusingi, kaakano omulala aguzimbako. Naye buli aguzimbako yeegenderezenga bw’aguzimbako. 11 (B)Kubanga tewali n’omu ayinza kuteekawo musingi mulala okuggyako ogwo ogwateekebwawo, ye Yesu Kristo. 12 Naye Omuntu bw’aguzimbisaako ezaabu, effeeza, n’amayinja ag’omuwendo n’emiti, n’essubi, oba ebisasiro; 13 (C)omulimu gwa buli omu gulirabibwa, kubanga omuliro guligwolesa ku lunaku olwo, era omuliro ogwo gwe gulyoreka omulimu gwa buli omu nga bwe guli. 14 Omuntu kye yazimba ku musingi ogwo bwe kirisigalawo, aliweebwa empeera. 15 (D)Naye omulimu gw’omuntu yenna bwe gulyokebwa omuliro, alifiirwa, kyokka ye yennyini alirokolebwa, naye ng’ayita mu muliro.
16 (E)Temumanyi nti mmwe muli yeekaalu ya Katonda era nga Omwoyo wa Katonda abeera mu mmwe? 17 Omuntu yenna azikiriza Yeekaalu ya Katonda, Katonda alizikiriza omuntu oyo; kubanga Yeekaalu ya Katonda ntukuvu, ye mmwe.
18 (F)Omuntu yenna teyeerimbalimbanga; omuntu yenna bwe yeerowoozanga okuba omugezi mu mmwe mu mirembe gino afuukenga musirusiru alyoke abeere omugezi. 19 (G)Kubanga amagezi ag’ensi eno, bwe busirusiru eri Katonda. Kubanga kyawandiikibwa nti, “Akwatira abagezi mu nkwe zaabwe.” 20 (H)Era kyawandiikibwa nti, “Mukama amanyi ng’ebirowoozo by’abagezi temuli nsa.” 21 (I)Noolwekyo waleme kubaawo muntu n’omu yeenyumiririza mu bantu, kubanga byonna byammwe, 22 (J)oba Pawulo oba Apolo oba Keefa oba nsi, oba bulamu, oba kufa, oba bintu ebya kaakano, oba ebijja, byonna byammwe, 23 (K)nammwe muli ba Kristo, ne Kristo wa Katonda.
Yesu Ayongera Okwogera ku Kufa kwe
31 (A)Awo Yesu n’azza ku bbali ekkumi n’ababiri, n’abagamba nti, “Laba, twambuka e Yerusaalemi, era bwe tunaatuuka eyo, byonna bannabbi bye bawandiika ku Mwana w’Omuntu, bijja kutuukirizibwa. 32 (B)Ajja kuweebwayo eri Abamawanga okukudaalirwa n’okuvumibwa. Balimuduulira, ne bamubonyaabonya, ne bamuwandira amalusu, 33 (C)balimukuba era ne bamutta. Ne ku lunaku olwokusatu alizuukira.”
34 (D)Naye abayigirizwa be tebaategeera ky’agamba, amakulu gaakyo gaali gabakwekeddwa, ne batategeera bye yayogera.
Yesu Awonya Omuzibe w’Amaaso Omusabiriza
35 (E)Awo Yesu bwe yali ng’asemberera Yeriko, ne wabaawo omusajja omuzibe w’amaaso eyali atudde ku kkubo ng’asabiriza. 36 Awo omusajja oyo bwe yawulira ng’ekibiina ky’abantu bayitawo, n’abuuza nti, “Kiki ekyo?” 37 (F)Ne bamuddamu nti, “Yesu Omunnazaaleesi ye ayitawo.”
38 (G)Omuzibe w’amaaso n’akoowoola nti, “Yesu, Omwana wa Dawudi, onsaasire!” 39 (H)Abo abaali bakulembeddemu ne bamuboggolera asirike, kyokka ye ne yeeyongera bweyongezi okuleekaana nti, “Omwana wa Dawudi, onsaasire!”
40 Awo Yesu n’ayimirira, n’alagira, omusajja bamumuleetere. Bwe yasembera, Yesu n’amubuuza nti, 41 “Kiki ky’oyagala nkukolere?” Omusajja n’addamu nti, “Mukama wange, njagala nziremu okulaba!” 42 (I)Yesu n’amugamba nti, “Ddamu okulaba. Okukkirizakwo kukuwonyezza.” 43 (J)Amangwago n’addamu okulaba, n’agoberera Yesu ng’atendereza Katonda. Bonna abaakiraba ne batendereza Katonda.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.