Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 102

Okusaba kw’oyo ali mu buyinike ng’ayigganyizibwa nga yeeyongedde okunafuwa, n’afukumula byonna ebimuli ku mutima mu maaso ga Mukama.

102 (A)Wulira okusaba kwange, Ayi Mukama,
    okkirize okukoowoola kwange kutuuke gy’oli.
(B)Tonneekweka
    mu biseera eby’obuyinike bwange.
Ntegera okutu kwo
    onnyanukule mangu bwe nkukoowoola!

(C)Kubanga ennaku zange zifuumuuka ng’omukka,
    n’amagumba gange gaaka ng’amanda.
(D)Omutima gwange gulinnyirirwa ng’omuddo, era guwotose;
    neerabira n’okulya emmere yange.
Olw’okwaziirana kwange okunene,
    nzenna nfuuse ŋŋumbagumba.
(E)Ndi ng’ekiwuugulu eky’omu ddungu,
    era ng’ekiwuugulu eky’omu nsiko.
(F)Nsula ntunula,
    nga ndi ng’ekinyonyi ekitudde kyokka ku kasolya k’ennyumba.
Abalabe bange banvuma olunaku lwonna;
    abo abanduulira bakozesa linnya lyange nga bakolima.
(G)Kubanga ndya evvu ng’alya emmere,
    n’amaziga gange ne geegattika mu kyokunywa kyange.
10 (H)Olw’obusungu n’okunyiiga kwo;
    onneegobyeko n’onsuula eyo.
11 (I)Ennaku zange ziri ng’ekisiikirize ky’olweggulo nga buziba;
    mpotoka ng’omuddo.

12 (J)Naye ggwe, Ayi Mukama, obeera mu ntebe yo ey’obwakabaka emirembe n’emirembe;
    erinnya lyo linajjukirwanga ab’omu mirembe gyonna.
13 (K)Olisituka n’osaasira Sayuuni,
    kino kye kiseera okulaga Sayuuni omukwano;
    ekiseera kye wateekateeka kituuse.
14 Kubanga amayinja gaakyo abaweereza bo bagaagala nnyo,
    n’enfuufu y’omu kibuga ekyo ebakwasa ekisa.
15 (L)Amawanga gonna ganaatyanga erinnya lya Mukama;
    ne bakabaka bonna ab’ensi banaakankananga olw’ekitiibwa kyo.
16 (M)Kubanga Mukama alizimba Sayuuni buto,
    era n’alabika mu kitiibwa kye.
17 (N)Alyanukula okusaba kw’abanaku;
    talinyooma kwegayirira kwabwe.

18 (O)Bino leka biwandiikirwe ab’omu mirembe egirijja,
    abantu abatannatondebwa bwe balibisoma balyoke batendereze Mukama.
19 (P)Bategeere nti Mukama yatunula wansi ng’asinziira waggulu mu kifo kye ekitukuvu;
    Mukama yasinzira mu ggulu n’atunuulira ensi,
20 (Q)okuwulira okusinda kw’abasibe,
    n’okusumulula abo abasaliddwa ogw’okufa.
21 (R)Erinnya lya Mukama, liryoke litenderezebwe mu Sayuuni,
    bamutenderezenga mu Yerusaalemi;
22 abantu nga bakuŋŋaanye, awamu n’obwakabaka,
    okusinza Mukama.

23 Mukama ammazeemu amaanyi nga nkyali muvubuka;
    akendeezezza ku nnaku z’obulamu bwange.
24 (S)Ne ndyoka mmukaabira nti,
    “Ayi Katonda wange, tontwala nga nkyali mu makkati g’emyaka gy’obulamu bwange,
    ggw’abeera omulamu emirembe gyonna.
25 (T)Ku ntandikwa wassaawo omusingi gw’ensi;
    n’eggulu gy’emirimu gy’emikono gyo.
26 (U)Byonna biriggwaawo, naye ggwe oli wa lubeerera.
    Byonna birikaddiwa ng’ebyambalo.
    Olibikyusa ng’ebyambalo, ne bisuulibwa.
27 (V)Naye ggwe tokyuka oli wa lubeerera
    n’emyaka gyo tegirikoma.
28 (W)Abaana b’abaweereza bo baliba mu ddembe;
    ne bazzukulu baabwe banaabeeranga w’oli nga tebalina kye batya.”

Zabbuli 107:1-32

EKITABO V

Zabbuli 107–150

107 (A)Mwebaze Mukama, kubanga mulungi;
    okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

(B)Kale abanunule ba Mukama boogere bwe batyo;
    abo be yanunula mu mikono gy’abalabe;
(C)abo be yakuŋŋaanya mu mawanga; okuva Ebugwanjuba n’Ebuvanjuba,
    n’okuva obukiikakkono ne mu bukiikaddyo.

(D)Abamu baataataaganira mu malungu
    nga babuliddwa ekkubo eribatwala ku kibuga gye banaabeeranga.
Baalumwa ennyonta n’enjala,
    obulamu bwabwe ne butandika okusereba.
(E)Bwe batyo ne bakaabira Mukama nga bali mu kabi;
    n’abawonya mu kweraliikirira kwabwe.
(F)Yabakulembera butereevu
    n’abatuusa mu kibuga mwe baabeera.
Kale singa beebazanga Mukama olw’okwagala kwe okutaggwaawo,
    n’olw’eby’ekitalo by’akolera abaana b’abantu!
(G)Kubanga abalina ennyonta abanywesa,
    n’abayala abakkusa ebirungi.

10 (H)Abamu baatuulanga mu kizikiza ne mu kisiikirize eky’okufa;
    abasibiddwa mu byuma era abali mu nnaku ennyingi;
11 (I)kubanga baajeemera ekigambo kya Katonda,
    ne banyoomoola amagezi g’oyo Ali Waggulu Ennyo.
12 (J)Baakozesebwa emirimu egy’amaanyi, emitima gyabwe ne gijjula obuyinike;
    baagwanga wansi, naye nga tebalina abasitulawo.
13 Bwe batyo ne bakaabirira Mukama nga bali mu bizibu byabwe,
    era n’abawonya;
14 (K)n’abaggya mu kizikiza ne mu kisiikirize eky’okufa;
    n’enjegere ezaali zibasibye n’azikutula.
15 Kale singa beebazanga Mukama olw’okwagala kwe okutaggwaawo,
    n’olwebikolwa bye eby’ekitalo by’akolera abaana b’abantu!
16 Kubanga enzigi ez’ebikomo azaasaayasa,
    n’emitayimbwa egy’ekyuma agimenyamu.

17 (L)Abamu baafuuka basirusiru olw’obujeemu bwabwe;
    ne babonaabona olw’ebikolwa byabwe ebibi.
18 (M)Ne batamwa emmere yonna, ne babulako katono ddala okufa.
19 Bwe batyo ne bakaabirira Mukama nga bali mu buzibu obwo,
    n’abawonya.
20 (N)Yabatumira ekigambo kye, n’awonya endwadde zaabwe;
    n’abalokola mu kuzikirira.
21 Kale singa beebazanga Mukama olw’okwagala kwe okutaggwaawo,
    n’olw’ebikolwa bye eby’ekyewuunyo by’akolera abaana b’abantu!
22 (O)Bamuleeterenga ebiweebwayo eby’okwebaza,
    era batendenga ebikolwa bye n’ennyimba ez’essanyu.

23 Abalala baasaabalira mu maato ku nnyanja;
    baali basuubuzi b’oku gayanja aganene.
24 Baalaba Mukama bye yakola,
    ebikolwa bye eby’ekitalo mu buziba bw’ennyanja.
25 (P)Kubanga yalagira omuyaga
    ne gusitula amayengo waggulu.
26 (Q)Ne gagulumira okutuuka ku ggulu, ate ne gakka wansi mu ddubi;
    akabenje ne kabayitirira, ne baggwaamu amaanyi.
27 Ne beesunda, eruuyi n’eruuyi ne baba ng’omutamiivu atagala;
    n’amagezi ne gabaggwaako.
28 Bwe batyo ne bakaabira Mukama nga bali mu buzibu;
    n’abawonya mu kweraliikirira kwabwe.
29 (R)Omuyaga yagusirisa,
    ennyanja n’etteeka.
30 Ne bajjula essanyu kubanga ennyanja yateeka;
    n’abakulembera n’abatuusa bulungi ku mwalo gwabwe.
31 Kale singa abantu beebazanga Mukama olw’okwagala kwe okutaggwaawo,
    n’olw’ebikolwa bye eby’ekyewuunyo by’akolera abaana b’abantu!
32 (S)Bamugulumizenga ng’abantu bakuŋŋaanye,
    era bamutenderezenga mu lukiiko lw’abakulu.

Malaki 3:1-12

(A)“Laba, ntuma omubaka wange, alinkulembera era alirongoosa ekkubo nga sinnajja: era Mukama gwe munoonya alijja mu yeekaalu ye nga tebamanyiridde; omubaka w’endagaano gwe musanyukira, laba ajja,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.

(B)“Naye ani ayinza okugumiikiriza olunaku olw’okujja kwe, era ani aliyimirira ye bw’alirabika? Kubanga ali ng’omuliro gw’oyo alongoosa effeeza era nga sabbuuni ow’abayoza. (C)Era alituula n’atunula ng’oyo alongoosa ffeeza n’agimalamu amasengere, era alirongoosa batabani ba Leevi, bakabona ba Katonda, era alibasengejja ng’ezaabu n’effeeza bwe bisengejjebwa; balyoke baweeyo ssaddaaka mu butuukirivu. (D)Awo ekiweebwayo ekya Yuda ne Yerusaalemi kiryoke kisanyuse Mukama, nga mu nnaku ez’edda era nga mu myaka egyayita.

(E)“Era mu kiseera ekyo awatali kulonzalonza ndibasemberera nsale omusango. Ndiyanguwa okuwa obujulizi ku baloga ne ku benzi ne ku abo abalayira eby’obulimba, ne ku abo abalyazaamaanya omupakasi empeera ye; abanyigiriza nnamwandu ne mulekwa, era abajoogereza munnaggwanga, abatatya Mukama,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.

(F)“Kubanga nze Mukama sijjulukuka: mmwe, batabani ba Yakobo, noolwekyo siribazikiriza. (G)Okuva mu nnaku za bajjajjammwe mwakyuka ne mukyama okuva ku biragiro byange ne mutabikwata. Mudde gye ndi, nange nadda gye muli era nnaabasonyiwa,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.

“Naye mwebuuza nti, ‘Tunadda tutya?’

(H)“Omuntu alinyaga Katonda?

“Naye mmwe munnyaga. Kyokka mugamba nti, ‘Tukunyaga tutya?’ 

“Mu biweebwayo ne mu kimu eky’ekkumi. Mukolimiddwa ekikolimo ekyo, kubanga mmwe, eggwanga lyonna munnyaga nze. 10 (I)Muleete ekimu eky’ekkumi ekijjuvu mu nnyumba yange, ennyumba yange ebeeremu emmere, era mungezese,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye, “obanga siribaggulirawo ebituli eby’omu ggulu, ne mbawa omukisa ne gutabaako ne we guligya. 11 Kale ndikuuma ennimiro zammwe ne zitazikirizibwa balabe; so n’omuzabbibu gwammwe ne gutakunkumula bibala byagwo ebitannatuuka kwengera,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye. 12 (J)“Era amawanga gonna galibayita ba mukisa: kubanga muliba nsi esanyusa, kino ky’ekisuubizo,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.

Yakobo 5:7-12

Okugumiikiriza

(A)Noolwekyo abooluganda mugumiikirize, okutuusa amadda ga Mukama waffe, ng’omulimi bw’agumiikiriza ng’alindirira enkuba eya ddumbi n’eya ttoggo okukuza ebibala bye biryoke byengere. (B)Mugumiikirize, era mugume omwoyo, kubanga amadda ga Mukama waffe gali kumpi. (C)Temwemulugunyizagananga mwekka na mwekka, muleme okusalirwa omusango, kubanga Omulamuzi ayimiridde ku luggi.

10 (D)Ekyokulabirako eky’okugumiikiriza n’okubonaabona, be bannabbi abaayogeranga mu linnya lya Mukama. 11 (E)Laba tubayita ba mukisa abo abaagumiikiriza. Yobu yeesiga Mukama, era obulamu bwe butulaga ng’entegeka ya Mukama bwe yatuukirizibwa obulungi; kubanga Mukama wa kisa era ajjudde okusaasira.

12 (F)Naye okusingira ddala byonna, abooluganda, temulayiranga ggulu, oba ensi, oba ekintu kyonna ekirala. Ensonga bw’ebeeranga weewaawo, gamba weewaawo. Bw’ebeeranga si weewaawo gamba si weewaawo, mulyoke mwewale okusalirwa omusango okubasinga.

Lukka 18:1-8

Olugero lwa Nnamwandu n’Omulamuzi

18 (A)Awo Yesu n’agerera abayigirizwa be olugero ng’agamba nga bwe bagwanidde obutakoowanga kusaba n’obutaggwaamu mwoyo, ng’agamba nti, “Waaliwo omulamuzi mu kibuga ekimu, nga tatya Katonda era nga tafa ku muntu yenna. (B)Mu kibuga ekyo mwalimu nnamwandu eyajjanga ew’omulamuzi oyo buli lunaku ng’amwegayirira nti, ‘Nnamula n’omulabe wange.’

“Omulamuzi n’amala ebbanga ng’akyagaanyi. Naye oluvannyuma n’agamba mu mutima gwe nti, ‘Newaakubadde nga sitya Katonda era nga sirina muntu gwe nzisaamu kitiibwa, (C)naye olwokubanga nnamwandu ono aneetayiridde nnyo, nzijja kumumalira ensonga ze, kubanga ajja kunkooya olw’okuneetayirira ng’ajja gye ndi buli lunaku!’ ”

(D)Awo Mukama waffe n’agamba nti, “Muwulire omulamuzi atali wa mazima bw’agamba. (E)Kale Katonda talisingawo nnyo kulamula abantu be, be yeerondera, abamukaabirira emisana n’ekiro ate ng’abagumiikiriza? (F)Mbagamba nti agenda kubalamula mangu. Naye Omwana w’Omuntu, bw’alijja, alisanga okukkiriza ku nsi?”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.