Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 101

Zabbuli ya Dawudi.

101 (A)Nnaayimbanga ku kwagala kwo n’obutuukirivu bwo;
    nnaayimbiranga ggwe, Ayi Mukama.
Nneegenderezanga, mu bulamu bwange ne nkola eby’obutuukirivu,
    naye olijja ddi gye ndi?

Nnaabeeranga mu nnyumba yange
    nga siriiko kya kunenyezebwa.
(B)Sijjanga kwereetereza kintu
    kyonna ekibi.

Nkyayira ddala ebikolwa by’abo abava mu kkubo lyo;
    sijjanga kubyeteekako.
(C)Sijjanga kuba mukuusa;
    ekibi nnaakyewaliranga ddala.

(D)Oyo alyolyoma muliraanwa we mu kyama,
    nnaamuzikiririzanga ddala; amaaso ag’amalala n’omutima ogw’amalala
    sijja kubigumiikirizanga.

(E)Abeesigwa abali mu nsi yaffe nnaabasanyukiranga,
    balyoke babeerenga nange;
akola eby’obutuukirivu
    y’anamperezanga.

Atayogera mazima
    taabeerenga mu nnyumba yange.
Omuntu alimba
    sirimuganya kwongera kubeera nange.

(F)Buli nkya nnaazikirizanga
    abakola ebibi bonna mu nsi,
bwe ntyo abakozi b’ebibi ne mbamalirawo ddala
    mu kibuga kya Mukama.

Zabbuli 109:1-30

Ya Makulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

109 (A)Ayi Katonda wange gwe ntendereza,
    tonsiriikirira.
(B)Kubanga abantu abakola ebibi era abalimba,
    banjogeddeko eby’obulimba.
(C)Banfukumulidde ebigambo eby’obukyayi,
    ne bannumbagana awatali nsonga.
(D)Bwe mbalaga omukwano, bo bandaga bukyayi;
    kyokka nze mbasabira.
(E)Bwe mbakolera ebirungi bo bansasulamu bibi;
    bwe mbalaga okwagala bo bankyawa bukyayi.

(F)Mumulabire omuntu omukozi w’ebibi amwolekere;
    wabeewo amuwawaabira.
(G)Bwe banaawoza, omusango gumusinge;
    n’okusaba kwe kufuuke kwonoona.
(H)Aleme kuwangaala;
    omuntu omulala amusikire.
(I)Abaana be basigalire awo nga tebaliiko kitaabwe,
    ne mukyala we afuuke nnamwandu.
10 Abaana be bataataaganenga nga bagenda basabiriza;
    bagobebwe ne mu bifulukwa mwe basula.
11 (J)Amubanja ajje awambe ebibye byonna;
    n’abagwira bamunyageko ebintu bye byonna bye yakolerera.
12 (K)Waleme kubaawo amusaasira,
    wadde akolera abaana be ebyekisa.
13 (L)Ezzadde lye lizikirizibwe,
    n’amannya g’abazzukulu be gasangulwe mu ago ag’omu mulembe oguliddirira.
14 (M)Mukama ajjukirenga ebyonoono bya bakadde be;
    n’ekibi kya nnyina kireme kwerabirwanga.
15 (N)Mukama ajjukirenga ebyonoono byabwe bulijjo,
    n’ensi ebeerabirire ddala.

16 (O)Kubanga talowoozangako kukolera muntu yenna kya kisa;
    naye yayigganyanga abaavu, n’abeetaaga,
    n’abanakuwavu n’abatuusa ne ku kufa.
17 (P)Yayagalanga nnyo okukolima; kale ebikolimo bimwefuulire. Teyayagalanga mikisa; kale gimwesambire ddala!
18 (Q)Yeeteekako okukolima ng’ekyambalo,
    ne kumutobya ng’amazzi,
    ne kuyingira mu magumba ge ng’amafuta.
19 Kubeerenga ng’ekyambalo ky’ayambadde,
    era ng’olukoba lwe yeesibye emirembe gyonna.
20 (R)Ebyo byonna y’eba ebeera empeera, Mukama gy’awa abo abandoopaloopa,
    era abanjogerako eby’akabi ebyereere.

21 (S)Naye ggwe, Ayi Mukama Katonda wange,
    nnwanirira olw’erinnya lyo;
    era omponye olw’okwagala kwo okulungi okutaggwaawo.
22 Kubanga ndi mwavu era ali mu kwetaaga,
    n’omutima gwange gunyolwa nnyo.
23 (T)Sikyaliwo, ndi ng’ekisiikirize eky’akawungeezi;
    mmansuddwa eri ng’enzige.
24 (U)Amaviivi gange ganafuye olw’okusiiba;
    omubiri gwange gukozze ne guggwaamu ensa.
25 (V)Abandoopaloopa bansekerera;
    bwe bandaba nga banyeenyeza omutwe.

26 (W)Mbeera, Ayi Mukama Katonda wange!
    Ondokole ng’okwagala kwo okutaggwaawo bwe kuli.
27 (X)Baleke bategeere nti ggwe okikoze,
    n’omukono gwo Ayi Mukama.
28 (Y)Balikoma, naye ggwe olimpa omukisa!
    Leka abannumbagana baswale,
    naye nze omuddu wo nga nsanyuka!
29 (Z)Abandoopa baswazibwe,
    n’ensonyi zaabwe zibabuzeeko obwekyusizo.

30 (AA)Nneebazanga Mukama n’akamwa kange;
    nnaamutenderezanga wakati mu kibiina ekinene.

Zabbuli 119:121-144

ע Ayini

121 Nkoze eby’obwenkanya era eby’obutuukirivu;
    tondeka mu mikono gy’abo abanjooga.
122 (A)Okakase okundaganga ekisa kyo bulijjo,
    oleme kukkiriza ababi okunjooganga.
123 (B)Amaaso gange ganfuuyiririra, nga nnindirira obulokozi bwo
    n’ebyo bye wasuubiza mu butuukirivu bwo.
124 (C)Nze omuddu wo nkolaako ng’okwagala kwo bwe kuli;
    era onjigirize amateeka go.
125 (D)Ndi muddu wo, mpa okwawula ekirungi n’ekibi;
    ndyoke ntegeere ebiragiro byo.
126 Ekiseera kituuse, Ayi Mukama, okubaako ky’okola,
    kubanga amateeka go gamenyeddwa.
127 (E)Naye nze njagala amateeka go
    okusinga zaabu, wadde zaabu omulongoose.
128 (F)Kubanga mmanyi ng’ebiragiro byo byonna bituufu;
    nkyawa buli kkubo lyonna ekyamu.

פ Pe

129 Ebiragiro byo bya kitalo;
    kyenva mbigondera.
130 (G)Ebigambo byo bwe binnyonnyolwa bireeta omusana;
    n’atategeera bulungi bimugeziwaza.
131 (H)Njasamya akamwa kange ne mpejjawejja
    nga njaayaanira amateeka go.
132 (I)Nkyukira, onkwatirwe ekisa,
    nga bw’okolera bulijjo abo abaagala erinnya lyo.
133 (J)Oluŋŋamye ebigere byange ng’ekigambo kyo bwe kiri,
    era tokkiriza kibi kyonna kunfuga.
134 (K)Mponya okujooga kw’abantu,
    bwe ntyo nkwatenga ebiragiro byo.
135 (L)Ontunuulire, nze omuddu wo, n’amaaso ag’ekisa,
    era onjigirizenga amateeka go.
136 (M)Amaziga gakulukuta mu maaso gange ng’omugga,
    olw’abo abatakwata mateeka go.

צ Tisade

137 (N)Oli mutuukirivu, Ayi Katonda,
    era amateeka go matuufu.
138 (O)Ebiragiro byo bye wateekawo bituukirivu,
    era byesigibwa.
139 (P)Nnyiikadde nnyo munda yange,
    olw’abalabe bange abatassaayo mwoyo eri ebiragiro byo.
140 (Q)Ebisuubizo byo byetegerezebwa nnyo,
    kyenva mbyagala.
141 (R)Newaakubadde ndi muntu wa bulijjo era anyoomebwa, naye seerabira biragiro byo.
142 (S)Obutuukirivu bwo bwa lubeerera,
    n’amateeka go ga mazima.
143 Newaakubadde nga ndi mu kulumwa n’okutegana okungi,
    amateeka go ge gansanyusa.
144 (T)Ebiragiro byo bituufu emirembe gyonna;
    onjigirize okubitegeera ndyoke mbeere omulamu.

Malaki 1:1

(A)Buno bwe bubaka Mukama bwe yawa Malaki abutuuse eri abaana ba Isirayiri.

Malaki 1:6-14

Ekibi kya Bakabona

(A)“Omwana assaamu kitaawe ekitiibwa, n’omuddu atya mukama we. Kale obanga ddala ndi kitammwe, ekitiibwa kye munzisaamu kiri ludda wa? Era obanga ndi mukama wammwe, lwaki temuntya?” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.

Mukama ow’Eggye bw’abagamba mmwe nti, “Mmwe bakabona munyooma erinnya lyange.

“Ne mubuuza nti, ‘Twayonoona tutya?’ 

(B)“Muwaayo ku kyoto kyange emmere eyonoonese.

“Kyokka ne mwebuuza nti, ‘Twakwonoona tutya?’ 

“Kubanga olujjuliro lwange mulufuula ekitagasa. (C)Bwe muwaayo ensolo enzibe z’amaaso okuba ssaddaaka, muba temukoze kibi? Ate bwe muwaayo eziwenyera oba endwadde, ekyo si kibi? Kale nno mugezeeko okuzitonera omufuzi wammwe, anaabasanyukira? Ye anaafaayo okukutunulako?” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.

(D)“Kale nno mbasaba mwegayirire Katonda, atukwatirwe ekisa, kubanga ebyo ffe twabyereetera. Nga muleese ebiweebwayo ebifaanana bityo, waliwo n’omu gw’ayinza okukkiriza?” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.

10 (E)“Kale waakiri singa omu ku bakabona aggalawo enzigi muleme okukuma omuliro ku kyoto kyange ogw’obwereere! Sibasanyukira n’akatono,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye, “so sikkirize kiweebwayo kyonna ekiva mu mikono gyammwe. 11 (F)Kubanga okuva enjuba gy’eva okutuusa gy’egwa erinnya lyange kkulu mu baamawanga; obubaane buweerwayo mu buli kifo eri erinnya lyange, nga kuliko n’ekiweebwayo ekirongoofu, kubanga erinnya lyange kkulu mu baamawanga,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.

12 (G)“Naye mmwe bakabona muvumisa erinnya lyange mu baamawanga buli lukya nga mugamba nti kya Mukama okuwaayo emmere etesaana n’ebiweebwayo ku kyoto kyange. 13 (H)Era mwogera nti, ‘Nga tulabye;’ ne mugiwunyako ne mwetamwa, era ne mwesooza,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.

“Bwe muleeta ekinyage, n’ekiwenyera, n’ekirwadde, ebyo bye biweebwayo bye mulina okuleeta, mbikkirize?” bw’ayogera Mukama ow’Eggye. 14 (I)“Buli mulimba yenna akolimirwe, oyo alina ennume mu kisibo kye eyeeyama okugiwaayo nga ssaddaaka eri Mukama naye n’awaayo ekintu ekiriko obulema: kubanga ndi Kabaka mukulu,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye, “n’erinnya lyange lya ntiisa mu baamawanga.”

Yakobo 3:13-4:12

Amagezi agava mu ggulu

13 (A)Ani alina amagezi n’okutegeera mu mmwe? Kale abiragirenga mu mpisa ze ennungi ng’akola ebikolwa eby’obwetoowaze eby’amagezi. 14 (B)Bwe muba n’omutima omukyayi ogujjudde n’obuggya, era nga mwefaako mwekka, temusaanidde kwewaana na kulimba nga mukontana n’amazima. 15 (C)Kubanga amagezi ng’ago tegava eri Katonda mu ggulu wabula ga ku nsi, era si ga mwoyo wazira ga Setaani. 16 Kubanga buli awabeera obuggya n’okwefaako wekka, wabeerawo okutabukatabuka era n’ebikolwa ebirala ebibi byonna.

17 (D)Naye amagezi agava mu ggulu okusooka byonna malongoofu, era ga mirembe, gafaayo ku bantu abalala, mawulize, gajjudde okusaasira n’ebibala ebirungi, tegasosola mu bantu, era si gannanfuusi. 18 (E)Era ekibala eky’obutuukirivu kiva mu abo abakolerera emirembe.

Mweweeyo eri Katonda

(F)Kiki ekireeta entalo n’okulwanagana mu mmwe? Si lwa kubanga mu mitima gyammwe mujjudde ebintu bingi nnyo ebibi bye mwagala? Mwagala ebintu ne mutabifuna ne muba n’obuggya, ne mulyoka muttiŋŋana so ne mutasobola kubifuna, nga mulwana era nga muyomba kubanga mulemeddwa okubisaba. (G)Era ne bwe mubisaba, temubifuna kubanga ekigendererwa kyammwe kikyamu; mugenderera kubikozesa ku masanyu gokka.

(H)Mmwe abenzi temumanyi ng’okuba mikwano gy’ensi bulabe eri Katonda? Noolwekyo omuntu yenna bw’alondawo okuba mukwano gw’ensi afuuka mulabe wa Katonda. Oba mulowooza nti Ekyawandiikibwa tekiba na makulu bwe kigamba nti, “Omwoyo gwe yassa mu ffe, atulabirira n’okwagala okujjudde obuggya”? (I)Kyokka Omwoyo omukulu oyo era agaba ekisa kingi. Kyekiva kigamba nti,

“Katonda alwana n’ab’amalala
    naye abawombeefu abawa ekisa.”

(J)Kale, mugondere Katonda era mulwanyisenga Setaani, ajja kubaddukanga. (K)Musemberere Katonda, ne Katonda anaabasembereranga. Mulongoose engalo zammwe, mmwe abakozi b’ebibi, mutukuze emitima gyammwe, mmwe abalina emyoyo egitaaganaaga. (L)Mukungubage, mukube ebiwoobe era mukaabe. Okuseka kwammwe kufuuke okukungubaga, n’essanyu lifuuke okunakuwala. 10 Mwetoowazenga mu maaso ga Mukama waffe, naye alibagulumiza.

11 (M)Abooluganda, temugeyaŋŋananga, era buli omu aleme kwogera bubi ku munne newaakubadde okusalira munne omusango. Bwe mukikola muba mulwanyisa etteeka era musalira etteeka omusango. Bw’osalira etteeka omusango, oba totuukiriza tteeka wabula obeera musazi wa musango. 12 (N)Oyo yekka eyateeka amateeka y’asala omusango. Era y’asalawo okulokola oba okuzikiriza. Kale, osinziira ku ki okusalira muliraanwa wo omusango?

Lukka 17:11-19

Abagenge Kkumi Bawonyezebwa

11 (A)Awo Yesu bwe yali yeeyongerayo mu lugendo lwe ng’agenda e Yerusaalemi, n’akwata ekkubo eriyita wakati wa Ggaliraaya ne Samaliya. 12 (B)Awo bwe yayingira mu kabuga akamu, abasajja kkumi nga bonna bagenge ne bajja okumusisinkana. Ne bayimirira walako 13 (C)ne bakoowoola mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Yesu, Mukama waffe, tukwatirwe ekisa!”

14 (D)Yesu bwe yabalaba n’abagamba nti, “Mugende mweyanjule eri bakabona.” Bwe baali nga bagenda ne bawona ne baba balongoofu.

15 (E)Omu ku bo bwe yalaba ng’awonye n’akomawo eri Yesu nga bw’aleekaanira waggulu ng’atendereza Katonda. 16 (F)N’agwa wansi ku bigere bya Yesu ng’amwebaza. Omusajja oyo yali Musamaliya.

17 Yesu n’agamba nti, “Ekkumi bonna tebaawonyezebbwa? Omwenda bo baluwa? 18 Tebayinzizza kudda kutendereza Katonda wabula munnaggwanga ono yekka y’akomyewo?” 19 (G)Awo Yesu n’amugamba nti, “Situka weetambulire, okukkiriza kwo kukuwonyezza.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.