Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 89

Endagaano ya Katonda ne Dawudi.

89 (A)Nnaayimbanga ku kwagala kwo okungi, Ayi Mukama, emirembe gyonna.
    Nnaatenderezanga obwesigwa bwo n’akamwa kange, bumanyibwe ab’emirembe gyonna.
(B)Ddala ddala nnaategeezanga nti okwagala kwo tekuggwaawo ennaku zonna;
    n’obwesigwa bwo bunywevu ng’eggulu.
Nakola endagaano n’omulonde wange;
    nalayirira omuweereza wange Dawudi nti,
(C)“Ezadde lyo nnaalinywezanga ennaku zonna,
    era entebe yo ey’obwakabaka nnaaginywezanga emirembe gyonna.”

(D)Eggulu linaatenderezanga ebyamagero byo n’obwesigwa bwo,
    Ayi Mukama, mu kibiina ky’abatukuvu bo.
(E)Kale, mu ggulu waggulu, ani ageraageranyizika ne Mukama?
    Ani afaanana nga Mukama, mu abo ababeera mu ggulu?
(F)Katonda atiibwa nnyo mu lukiiko olw’abatukuvu;
    era wa ntiisa okusinga bonna abamwetooloola.
(G)Ayi Mukama Katonda ow’Eggye, ani akufaanana?
    Oli wa buyinza, Ayi Mukama, ojjudde obwesigwa.
(H)Ggwe ofuga amalala g’ennyanja;
    amayengo gaayo bwe geekuluumulula ogakkakkanya.
10 (I)Lakabu wamubetentera ddala;
    abalabe bo n’obasaasaanya n’omukono gwo ogw’amaanyi.
11 (J)Eggulu liryo, n’ensi yiyo;
    ensi yonna gwe wagitonda ne byonna ebigirimu.
12 (K)Watonda obukiikakkono n’obukiikaddyo;
    ensozi Taboli ne Kerumooni zitendereza erinnya lyo.
13 Oli wa buyinza bungi nnyo; omukono gwo gwa maanyi,
    omukono gwo ogwa ddyo gunaagulumizibwanga.

14 (L)Obutuukirivu n’obwenkanya gwe musingi gw’obwakabaka bwo.
    Okwagala n’obwesigwa bye binaakukulemberanga.
15 (M)Balina omukisa abantu abamanyi okukutendereza Mukama n’amaloboozi ag’essanyu;
    Ayi Mukama, banaatambuliranga mu ssanyu lyo.
16 (N)Banaasanyukiranga mu linnya lyo okuzibya obudde,
    n’obutuukirivu bwo banaabugulumizanga.
17 (O)Kubanga gw’obawa amaanyi ne bafuna ekitiibwa.
    Olw’okwagala kwo otutuusa ku buwanguzi olw’ekisa kyo.
18 (P)Ddala ddala, Mukama ye ngabo yaffe,
    Omutukuvu wa Isirayiri kabaka waffe.

19 Mu biro biri eby’edda wayogera n’omuweereza wo
    omwesigwa mu kwolesebwa nti, Ngulumizizza omuzira ow’amaanyi;
ngulumizizza omuvubuka
    okuva mu bantu abaabulijjo.
20 (Q)Nalaba Dawudi, omuweereza wange;
    ne mufukako amafuta gange amatukuvu okuba kabaka.
21 (R)Nnaamukulemberanga,
    n’omukono gwange gunaamunywezanga.
22 (S)Tewaliba mulabe we alimuwangula,
    so n’aboonoonyi tebaamunyigirizenga.
23 (T)Abalabe be n’abamukyawa ndibamerengula,
    n’amaggye agamulwanyisa ndigabetenta.
24 (U)Obwesigwa bwange n’okwagala kwange kunaabanga naye,
    ne mu linnya lyange aneeyongeranga okuba ow’amaanyi.
25 (V)Alifuga okuva ku migga
    okutuuka ku nnyanja ennene.[a]
26 (W)Anankowoolanga ng’agamba nti, Ggwe Kitange era Katonda wange,
    ggwe Lwazi olw’Obulokozi bwange.
27 (X)Ndimufuula omwana wange omubereberye,
    era kabaka asinga okugulumizibwa mu bakabaka bonna ab’ensi.
28 (Y)Okwagala kwange kunaabeeranga naye ennaku zonna;
    n’endagaano gye nkoze naye teeremenga kutuukirira.
29 (Z)Ezzadde lye teririggwaawo emirembe gyonna,
    n’obwakabaka bunaavanga mu kika kye ennaku zonna.

30 Abaana be bwe banaanyoomanga amateeka gange,
    ne batagoberera biragiro byange;
31 bwe banaamenyanga ebiragiro byange,
    ne batagondera mateeka gange,
32 (AA)ndibabonereza n’omuggo olw’ebibi byabwe,
    ne mbakuba emiggo olw’ebyonoono byabwe.
33 (AB)Naye ssirirekayo kumwagala,
    wadde okumenyawo obwesigwa bwange gy’ali.
34 (AC)Sigenda kulemwa kutuukiriza ndagaano yange,
    wadde okukyusa ku ebyo akamwa kange bye koogedde.
35 Nalayira omulundi gumu, ng’obutuukirivu bwange bwe buli,
    nti, “Dawudi sigenda kumulimba.”
36 Ezzadde lye teririggwaawo emirembe gyonna;
    n’entebe ye ey’obwakabaka enaabeerangawo emirembe gyonna okufaanana ng’enjuba.
37 Entebe ye ey’obwakabaka erinywezebwa emirembe n’emirembe,
    ng’omwezi ku ggulu era nga ye mujulirwa wange omwesigwa.

38 (AD)Naye kaakano, gwe wafukako amafuta omusudde,
    omukyaye era omunyiigidde.
39 (AE)Endagaano gye wakola n’omuweereza wo wagimenyawo,
    n’engule ye n’ogisuula eri mu nfuufu.
40 (AF)Wamenyaamenya bbugwe we yenna,
    n’oggyawo n’ebigo bye.
41 (AG)Abatambuze baanyaga ebintu bye;
    n’afuuka ekisekererwa mu baliraanwa be.
42 (AH)Wayimusa omukono gw’abalabe be ogwa ddyo,
    n’osanyusa abalabe be bonna.
43 (AI)Wakyusa ekitala kye
    n’otomuyamba mu lutalo.
44 Ekitiibwa kye wakikomya;
    entebe ye ey’obwakabaka n’ogisuula wansi.
45 (AJ)Ennaku z’obuvuka bwe wazisalako,
    n’omuswaza.
46 (AK)Ayi Mukama, olyekweka ennaku zonna?
    Obusungu bwo obubuubuuka ng’omuliro bulikoma ddi?
47 (AL)Jjukira ekiseera ky’obulamu bwange nga bwe kiri ekimpi.
    Wateganira bwereere okutonda abantu bonna!
48 (AM)Muntu ki omulamu atalifa, omuntu asobola okwewonya okufa
    n’awangula amaanyi g’emagombe?
49 Ayi Mukama, okwagala kwo okw’edda okutaggwaawo,
    kwe walayirira Dawudi mu bwesigwa bwo, kuli luuyi wa?
50 (AN)Ayi Mukama, jjukira abaweereza bo nga basekererwa,
    engeri abantu ab’omu mawanga amangi, bwe banzitoowerera mu mutima nga banvuma;
51 (AO)abalabe bo banvuma, Ayi Mukama;
    ne bajerega oyo gwe wafukako amafuta, nga bamukijjanya buli gy’alaga.

52 (AP)Mukama atenderezebwenga emirembe gyonna!
Amiina era Amiina!

Kaabakuuku 2:1-4

Obulamu eri Abatuukirivu

(A)Kale ndiyimirira mu kifo kyange we ntera okubeera
    ntunule nga ndi waggulu eyo ku ggulumu
nnindirire ky’aliŋŋamba,
    era ne kye ndimuddamu ekikwata ku kwemulugunya kw’abantu.

(B)Awo Mukama n’anziramu n’ayogera nti,

“Wandiika okwolesebwa okwo ku bipande.
    Kuwandiike bulungi
    ate omubaka gwe banaatuma, akutwale bunnambiro.
(C)Kubanga okwolesebwa okwo kujja mu kiseera kyakwo ekigere.
    Kwogera ku by’enkomerero
    ate si kwa bulimba.
Bwe kunaaba ng’okuluddewo, mukulindirire,
    kujja kutuukirira, tekugya kulwa.

(D)“Laba oyo ow’emmeeme eteri nnongoofu wa kugwa,
    naye omutuukirivu aliba mulamu olw’obwesigwa bwe.”

Kaabakuuku 2:9-20

(A)Zimusanze oyo azimbira amaka ge ku bikolwa ebibi,
    azimba ekisu kye waggulu,
    okwekuuma obutatuukwako kabi!
10 (B)Wategeka okuzikirira kw’abantu bangi,
    n’oswaza ennyumba yo ne weefiiriza obulamu bwo.
11 (C)Amayinja g’oku bbugwe galikaaba,
    n’emikiikiro gy’ebibajje girikyasanguza.

12 (D)Zimusanze oyo azimba ekibuga n’omusaayi,
    atandika ekibuga n’obutali butuukirivu.
13 (E)Tekyategekebwa Mukama ow’Eggye
    nti okutegana kw’abantu nku buku za muliro,
    n’amawanga geemalamu ensa olw’ebintu ebitaliimu?
14 (F)Kubanga ensi erijjula okumanya ekitiibwa kya Mukama,
    ng’amazzi bwe ganjaala ku nnyanja.

15 Zimusanze oyo awa baliraanwa be ekitamiiza
    n’akibafukira okuva mu kita n’abawa banywe okutuusa lwe batamiira
    asobole okutunuulira ensonyi zaabwe!
16 (G)Olijjuzibwa ensonyi mu kifo ky’ekitiibwa.
    Naawe olinywa n’oswala.
Ekikompe eky’omu mukono gwa Mukama ogwa ddyo kirikyusibwa kidde gy’oli,
    n’ensonyi ez’obuwemu zisaanikire ekitiibwa kyo.
17 (H)Ebikolwa eby’obukambwe bye watuusa ku Lebanooni,
    n’okutta ensolo, birikutiisa.
Osse abantu
    n’ozikkiriza ensi n’ebibuga n’abantu ababibeeramu.

18 (I)“Ekifaananyi ekyole kigasa ki? Anti kibajje bubazzi.
    Oba ekifaananyi eky’ekyuma, ekisomesa obulimba?
Kubanga omuweesi yeesiga mirimu gya mikono gye
    nga akola ebifaananyi ebitayogera!
19 (J)Zimusanze oyo agamba omuti nti, ‘Lamuka;’
    agamba ejjinja nti, ‘Golokoka!’
Kino kisobola okuluŋŋamya?
    Kibikiddwa zaabu ne ffeeza,
    so tekiriimu bulamu n’akatono.
20 (K)Naye Mukama ali mu yeekaalu ye entukuvu:
    ensi zonna zisiriikirire mu maaso ge.”

Yakobo 2:14-26

Okukkiriza n’ebikolwa ebirungi

14 (A)Abooluganda, kibagasa ki okugamba nti mulina okukkiriza kyokka ng’okukkiriza kwammwe temukwoleka mu bikolwa? Mulowooza ng’okukkiriza ng’okwo kugenda kubalokola? 15 (B)Singa muganda wo oba mwannyoko takyalina kyakwambala wadde ekyokulya, 16 (C)naye omu ku mmwe n’amugamba nti, “Genda mirembe, obugume, era olye bulungi”, naye nga tamuwaddeeyo byetaago bya mubiri, olwo kimugasa ki? 17 Noolwekyo n’okukkiriza bwe kutyo; bwe kutabaako bikolwa kuba kufu.

18 (D)Naye omuntu ayinza okugamba nti, “Ggwe olina okukkiriza nange nnina ebikolwa; ndaga okukkiriza kwo okutaliiko bikolwa, nange nkulage ebikolwa byange nga bwe bikakasa okukkiriza kwange.” 19 (E)Okukkiriza obukkiriza nti waliwo Katonda omu yekka, kirungi. Naye ne baddayimooni nabo bakkiriza n’okukankana ne bakankana!

20 (F)Musirusiru ggwe! Oliyiga ddi ng’okukkiriza okutaliiko bikolwa tekuliiko kye kugasa? 21 (G)Jjajjaffe Ibulayimu teyaweebwa obutuukirivu olw’ekikolwa kye yakola, bwe yawaayo omwana we lsaaka, afiire ku kyoto? 22 (H)Mulaba nga Ibulayimu bwe yalina okukkiriza, era okukkiriza kwe ne kutuukirizibwa olw’ebikolwa bye, 23 (I)n’ekyawandiikibwa ne kituukirizibwa ekigamba nti, “Ibulayimu yakkiriza Katonda, ne kimubalirwa okuba obutuukirivu, era n’ayitibwa mukwano gwa Katonda.” 24 Kaakano mutegedde ng’omuntu asiimibwa Katonda olw’ebyo by’akola, so si lwa kukkiriza kyokka.

25 (J)Ekyokulabirako ekirala kye kya Lakabu, eyali malaaya. Teyaweebwa butuukirivu lwa kikolwa eky’okusembeza ababaka, n’oluvannyuma n’abasiibulira mu kkubo eddala nga baddayo, okubawonya? 26 (K)Ng’omubiri bwe guba omufu omwoyo bwe gutagubeeramu, n’okukkiriza bwe kutyo kuba kufu bwe kuteeyolekera mu bikolwa.

Lukka 16:19-31

Omugagga ne Laazaalo

19 (A)Awo Yesu n’abagamba nti, “Waaliwo omusajja omugagga ennyo, eyayambalanga engoye ez’effulungu ne linena era bulijjo ng’abeera mu masanyu era ng’alya ebyassava. 20 (B)Waaliwo n’omusajja omwavu erinnya lye nga ye Laazaalo nga mulwadde ng’ajjudde amabwa ku mubiri gwe, eyateekebwanga ku mulyango gw’omusajja omugagga. 21 (C)Laazaalo ne yeegombanga okulya obukunkumuka obwagwanga wansi nga buva ku mmeeza ya nnaggagga. N’embwa zajjanga ne zikomberera amabwa ga Laazaalo.

22 “Ekiseera kyatuuka omusajja omwavu n’afa, bamalayika ne bamutwala mu kifuba kya Ibulayimu. Oluvannyuma n’omugagga naye n’afa, n’aziikibwa. 23 Naye ng’ali eyo mu magombe mu kubonaabona, n’atunula waggulu n’alaba Laazaalo ng’ali mu kifuba kya Ibulayimu. 24 (D)N’akoowoola nti, ‘Kitange Ibulayimu, nsaasira, ontumire Laazaalo oyo annyike olugalo Lwe mu mazzi, nkombeko, naye olulimi lumbabuukirira nnyo mu muliro guno ogumbonyaabonya!’

25 (E)“Naye Ibulayimu n’amuddamu nti, ‘Mwana wange, jjukira nga mu biseera byo ng’okyali mulamu wafuna ebirungi bye weetaaganga, naye nga Laazaalo ye afuna bibi. Kaakano Laazaalo asanyusibwa naye gwe oli mu kubonaabona. 26 Ate n’ekirala, wakati waffe nammwe waliwo olukonko luwanvu nnyo olutwawula, omuntu ali eno bw’ayagala okujja eyo akoma awo ku mugo gwalwo, n’oyo ali eyo ayagala okujja eno tasobola.’

27 “Awo nnaggagga n’ayaziirana nti, ‘Ayi kitange Ibulayimu, nkwegayiridde ntumira Laazaalo oyo mu maka ga kitange, 28 (F)kubanga nninayo abooluganda bataano, abandabulire, bwe balifa baleme kujja mu kifo kino ekirimu okubonaabona okwenkanidde wano.’ 29 (G)Naye Ibulayimu n’amugamba nti, ‘Balina Musa ne bannabbi, kale bawulire abo.’

30 (H)“Omugagga n’addamu nti, ‘Nedda, kitange Ibulayimu, singa batumirwa omuntu ng’ava mu bafu, bajja kwenenya.’

31 “Awo Ibulayimu n’amugamba nti, ‘Obanga tebagondera Musa ne bannabbi, newaakubadde alizuukira okuva mu bafu talibakkirizisa.’ ”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.