Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 87

Zabbuli ya Batabani ba Koola. Oluyimba.

87 Atadde emisingi gye ku lusozi olutukuvu.
    (A)Mukama ayagala emiryango gya Sayuuni
    okusinga ennyumba zonna eza Yakobo.

(B)Ebintu eby’ekitiibwa bikwogerwako,
    ggwe ekibuga kya Katonda.
(C)“Mu mawanga ge mmanyi mwe muli Lakabu,
    ne Babulooni;
era ndyogera ku Bufirisuuti, ne ku Ttuulo
    ne ku Esiyopya nti, ‘Ono yazaalirwa mu Sayuuni.’ ”
Bwe baliba boogera ku Sayuuni baligamba nti,
    “Ono n’oli baazaalirwa omwo,”
    n’oyo Ali Waggulu Ennyo alikinyweza.
(D)Mukama aliwandiika mu kitabo bw’ati,
    omuli amannya g’abantu nti, “Ono yazaalibwa omwo.”

(E)Banaakubanga ebivuga nga bwe bayimba nti,
    “Ensulo zange zonna ziri mu ggwe.”

Zabbuli 90

EKITABO IV

Zabbuli 90–106

Okusaba kwa Musa, omusajja wa Katonda.

90 (A)Ayi Mukama, obadde kifo kyaffe eky’okubeeramu
    emirembe gyonna.
(B)Ensozi nga tezinnabaawo,
    n’ensi yonna nga tonnagitonda;
    okuva ku ntandikwa okutuusa ku nkomerero y’emirembe gyonna, ggwe Katonda.

(C)Omuntu omuzzaayo mu nfuufu,
    n’oyogera nti, “Mudde mu nfuufu, mmwe abaana b’abantu.”
(D)Kubanga emyaka olukumi,
    gy’oli giri ng’olunaku olumu olwayita,
    oba ng’ekisisimuka mu kiro.
(E)Obeera n’obamalirawo ddala nga bali mu tulo otw’okufa.
    Ku makya baba ng’omuddo omuto.
(F)Ku makya guba munyirivu,
    naye olw’eggulo ne guwotoka ne gukala.

Ddala ddala obusungu bwo butumalawo,
    n’obukambwe bwo bututiisa nnyo.
(G)Ebyonoono byaffe obyanjadde mu maaso go,
    n’ebyo bye tukoze mu kyama obyanise awo w’oli.
(H)Ddala ddala tumala ennaku z’obulamu bwaffe zonna ng’otunyiigidde;
    tukomekkereza emyaka gyaffe n’okusinda.
10 (I)Obungi bw’ennaku zaffe gy’emyaka nsanvu,
    oba kinaana bwe tubaamu amaanyi.
Naye emyaka egyo gijjula ennaku n’okutegana,
    era giyita mangu, olwo nga tuggwaawo.
11 (J)Ani amanyi amaanyi g’obusungu bwo?
    Kubanga ekiruyi kyo kingi ng’ekitiibwa kye tusaana okukuwa bwe kyenkana.
12 (K)Otuyigirize okutegeeranga obulungi ennaku zaffe,
    tulyoke tubeere n’omutima ogw’amagezi.

13 (L)Ayi Mukama, komawo gye tuli. Olitusuula kutuusa ddi?
    Abaweereza bo bakwatirwe ekisa.
14 (M)Tujjuze okwagala kwo okutaggwaawo ku makya,
    tulyoke tuyimbenga nga tujaguza n’essanyu era tusanyukenga obulamu bwaffe bwonna.
15 Tusanyuse, Ayi Mukama, okumala ennaku nga ze tumaze ng’otubonyaabonya,
    era n’okumala emyaka nga gye tumaze nga tulaba ennaku.
16 (N)Ebikolwa byo biragibwe abaweereza bo,
    n’abaana baabwe balabe ekitiibwa kyo.
17 (O)Okusaasira kwo, Ayi Mukama Katonda waffe, kubeerenga ku ffe,
    otusobozesenga okutuukiriza obulungi emirimu gyaffe;
    weewaawo, otusobozesenga okutuukiriza obulungi emirimu gyaffe.

Zabbuli 136

136 (A)Mwebaze Mukama kubanga mulungi,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
(B)Mwebaze Katonda wa bakatonda bonna,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
Mwebaze Mukama w’abafuzi,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

(C)Oyo yekka akola ebyamagero ebikulu,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
(D)Oyo eyakola eggulu mu kutegeera kwe,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
(E)Oyo eyabamba ensi ku mazzi,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
(F)Oyo eyakola ebyaka ebinene,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
(G)Enjuba yagikola okufuganga emisana,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
Omwezi n’emmunyeenye yabikola okufuganga ekiro,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

10 (H)Oyo eyatta ababereberye b’Abamisiri,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
11 (I)N’aggya Isirayiri mu Misiri,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
12 (J)Yabaggyamu n’omukono gwe ogw’amaanyi gwe yagolola;
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

13 (K)Oyo eyayawulamu amazzi g’Ennyanja Emyufu,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
14 (L)N’ayisa abaana ba Isirayiri wakati waayo,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
15 (M)Naye n’asaanyaawo Falaawo n’eggye lye mu Nnyanja Emyufu;
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

16 (N)Oyo eyakulembera abantu be mu ddungu,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

17 (O)Ye yafufuggaza bakabaka abaatiikirivu,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
18 (P)N’atta bakabaka ab’amaanyi,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
19 (Q)Ye yatta ne Sikoni, kabaka w’Abamoli,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
20 Era ye yatta ne Ogi kabaka wa Basani,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
21 (R)N’awaayo ensi yaabwe okuba obutaka,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
22 Okuba obutaka bwa Isirayiri omuddu we,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

23 (S)Oyo eyatujjukira nga tuweddemu ensa,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
24 (T)N’atuwonya abalabe baffe,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
25 (U)Oyo awa abantu n’ebiramu byonna ekyokulya,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

26 Kale mwebaze Katonda w’eggulu,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

Yoweeri 3:9-17

Bakabona Balangirira Omusango eri Abaamawanga

(A)Bakabona mulangirire mu mawanga bwe muti nti,
    Mwetegekere olutalo!
Muyite abalwanyi bammwe ab’amaanyi,
    buli mulwanyi yenna asembere ajje mu lutalo.
10 (B)Enkumbi zammwe muziweeseemu ebitala,
    n’obwambe bwammwe mubuweeseemu amafumu;
omunafu agambe nti,
    “Ndi wa maanyi.”
11 (C)Mujje mangu mwe mwenna abamawanga agatwetoolodde,
    mukuŋŋaanire mu kiwonvu.
Ayi Mukama, weereza eggye lyo libalumbe.
12 (D)“Amawanga geeteeketeeke
    gajje mu kiwonvu ekya Yekosafaati;
kubanga eyo gye ndisinzira
    ne nsalira amawanga gonna ageetoolodde wano omusango.
13 (E)Kozesa oluwabyo lwo,
    kubanga ekiseera eky’amakungula kituuse.
Mujje mubabetente nga bwe mulinnyirira emizabbibu mu ssogolero
    okutuusa envinnyo lw’ekulukuta,
    ekibi kyabwe kinene nnyo.”

14 (F)Abantu bukadde na bukadde
    abali mu kiwonvu eky’okusalirwamu omusango!
Kubanga olunaku lwa Mukama lusembedde
    lwaliramulirako mu kiwonvu eky’okusalirwamu omusango.
15 Ekizikiza kibuutikidde enjuba n’omwezi,
    n’emmunyeenye tezikyayaka.
16 (G)Mukama aliwuluguma ng’ayima ku Sayuuni;
    alibwatuka n’eddoboozi lye ng’asinziira mu Yerusaalemi.
    Eggulu n’ensi birikankana.
Naye Mukama aliba ekiddukiro ky’abantu be,
    era ekigo ky’abaana ba Isirayiri eky’amaanyi.
17 (H)“Kale mulimanya nga Nze Mukama Katonda wammwe,
    abeera ku lusozi lwange olutukuvu Sayuuni.
Era Yerusaalemi kinaabeeranga kitukuvu,
    nga ne bannamawanga tebakyakirumba.

Yakobo 2:1-13

Obutabaamu kyekubiira

(A)Abooluganda, mmwe abakkiririza mu Mukama waffe Yesu Kristo, Mukama ow’ekitiibwa, temusosolanga mu bantu. Kubanga singa omuntu omu ajja mu kuŋŋaaniro lyammwe, ng’ayambadde engoye ez’omuwendo omunene, ng’anaanise n’empeta eza zaabu ku ngalo ze, mu kiseera kye kimu ne wajjawo n’omusajja omwavu ng’ali mu ngoye ezisensusesensuse, ne mwaniriza omugagga, ne mumugamba nti, “Tuulira wano kyokka ne mugamba omwavu nti ggwe oyinza okuyimirira wali, oba si ekyo tuula wano wansi w’akatebe kwe nteeka ebigere byange,” (B)kale muba temwesosoddeemu mwekka na mwekka nga mukyamizibwa ebirowoozo byammwe ebibi?

(C)Mumpulirize, abooluganda abaagalwa, Katonda teyalonda abo ensi b’eyita abaavu, okuba abagagga mu kukkiriza, era okuba abasika ab’obwakabaka obw’omu ggulu, Katonda bwe yasuubiza abo abamwagala? (D)Naye munyooma omwavu. Abagagga si be babanyigiriza ne babatwala ne mu mbuga z’amateeka? Era si be banyoomoola erinnya eddungi lye muyitibwa?

(E)Kiba kirungi nnyo era kya kitiibwa bwe mugondera etteeka eriri mu Kyawandiikibwa erigamba nti, “Yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.” (F)Naye bwe musosola mu bantu muba mukoze kibi, n’etteeka libasingisa omusango ng’aboonoonyi. 10 (G)Era omuntu akwata amateeka gonna, naye n’asobyako erimu, omusango gumusinga mu ngeri y’emu ng’oli asobezza amateeka gonna. 11 (H)Kubanga Katonda eyagamba nti, “Toyendanga,” era y’omu eyagamba nti, “Tottanga.” Noolwekyo singa toyenda, naye n’otta oba mumenyi wa mateeka gonna.

12 (I)Noolwekyo mwogere era mukole ng’amateeka ag’eddembe bwe gali naye nga mumanyi nti tunaatera okulamulwa. 13 (J)Kubanga abo abatalina kisa, nabo tebalikwatirwa kisa. Ekisa kiwangula omusango.

Lukka 16:10-18

10 (A)Omuntu omwesigwa mu kintu ekitono, abeera mwesigwa ne mu kinene; n’oyo ataba mwesigwa mu kitono era ne mu kinene taba mwesigwa. 11 (B)Kale obanga temwesigibwa mu bugagga obutali butuukirivu, ani agenda okubeesiga mu bugagga obw’amazima? 12 Obanga toli mwesigwa ku by’omulala, kale ani alikwesiga n’akukwasa ebibyo?

13 (C)“Tewali muddu ayinza kuweereza bakulu babiri. Kubanga alikyawako omu n’ayagala omulala, oba aliwulirako omu n’anyooma omulala. Toyinza kuweereza Katonda na mamona.”

Amateeka ga Musa n’Obwakabaka bwa Katonda

14 (D)Awo Abafalisaayo, abaali abaluvu b’ensimbi, bwe baawulira ebigambo ebyo ne banyooma Yesu. 15 (E)N’abagamba nti, “Mmwe mweraga mu bantu, naye Katonda amanyi emitima gyammwe. Okwerimbalimba kwammwe kubaweesa ekitiibwa mu maaso g’abantu, naye nga kya muzizo eri Katonda.

16 (F)“Yokaana Omubatiza bwe yali nga tannabuulira, amateeka n’obubaka bwa bannabbi byabuulirwa. Naye okuva olwo obwakabaka bwa Katonda bubuulirwa, ne buli muntu ayitibwa abuyingiremu mu bwangu ddala. 17 (G)Naye kyangu eggulu n’ensi okuggwaawo okusinga n’akatundu k’ennukuta emu ey’amateeka okuggwaawo.

18 (H)“Omusajja yenna agoba mukazi we n’awasa omulala aba ayenze; n’oyo awasa omukazi agobeddwa, naye aba ayenze.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.