Book of Common Prayer
מ Meemu
97 (A)Amateeka go nga ngagala nnyo!
Ngafumiitirizaako olunaku lwonna.
98 (B)Amateeka go ganfuula mugezi okusinga abalabe bange,
kubanga ge gannuŋŋamya bulijjo.
99 Ntegeera okusinga abasomesa bange bonna,
kubanga nfumiitiriza nnyo ebyo bye walagira.
100 (C)Ntegeera okusinga abakadde;
kubanga ŋŋondera ebyo bye walagira.
101 (D)Neekuumye obutatambulira mu kkubo lyonna ekyamu,
nsobole okugondera ekigambo kyo.
102 Sivudde ku mateeka go,
kubanga ggwe waganjigiriza.
103 (E)Ebisuubizo byo nga bimpoomera nnyo!
Biwoomera akamwa kange okusinga omubisi gw’enjuki.
104 (F)Mu biragiro byo mwe nfunira okutegeera;
kyenva nkyawa ekkubo lyonna ekyamu.
נ Nuuni
105 (G)Ekigambo kyo ye ttaala eri ebigere byange,
era kye kimulisa ekkubo lyange.
106 (H)Ndayidde ekirayiro era nkikakasizza
nga nnaakwatanga amateeka ag’obutuukirivu bwo.
107 Nnumizibwa nnyo;
nzizaamu obulamu, Ayi Mukama, ng’ekigambo kyo bwe kiri.
108 (I)Okkirize Ayi Mukama ettendo akamwa kange lye kakuwa;
era onjigirize amateeka go.
109 (J)Newaakubadde ng’obulamu bwange ntera okubutambuza nga bwe njagala,
naye seerabira mateeka go.
110 (K)Abakola ebibi banteze omutego,
naye sikyamye kuva ku ebyo bye walagira.
111 Ebiragiro byo gwe mugabo gwange emirembe gyonna;
weewaawo, ebyo bye bisanyusa omutima gwange.
112 (L)Omutima gwange gweteeseteese okukwatanga ebiragiro byo
ennaku zonna ez’obulamu bwange.
ס Sameki
113 (M)Nkyawa abalina emitima egisagaasagana,
naye nze njagala amateeka go.
114 (N)Ggwe kiddukiro kyange era ggwe ngabo yange;
essuubi lyange liri mu kigambo kyo.
115 (O)Muve we ndi mmwe abakola ebitali bya butuukirivu,
mundeke nkwate ebiragiro bya Katonda wange.
116 (P)Onnyweze nga bwe wasuubiza, ndyoke mbeere omulamu;
nneme kuswazibwa ne nzigwamu essuubi.
117 Onnyweze ndyoke nfuuke ow’eddembe,
era nkwatenga ebiragiro byo bulijjo.
118 Onyooma abo bonna abaleka ebiragiro byo;
weewaawo obugezigezi bwabwe tebuliimu kantu.
119 (Q)Abakola ebibi bonna mu nsi obalaba ng’ebisasiro;
nze kyenva njagala ebyo bye walagira.
120 (R)Nkankana nzenna nga nkutya,
era ntya amateeka go.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Asafu.
81 (A)Mumuyimbire nnyo n’essanyu Katonda amaanyi gaffe;
muyimuse waggulu amaloboozi gammwe eri Katonda wa Yakobo!
2 (B)Mutandike okuyimba, mukube ebitaasa
n’ennanga evuga obulungi ey’enkoba awamu n’entongooli.
3 Mufuuwe eŋŋombe ng’omwezi gwakaboneka,
era mugifuuwe nga gwa ggabogabo, ku lunaku olw’embaga yaffe.
4 Ekyo kye kiragiro eri Isirayiri,
lye tteeka lya Katonda wa Yakobo.
5 (C)Yaliteekera Yusufu,
Katonda bwe yalumba ensi ya Misiri;
gye nawulirira olulimi olwannema okutegeera.
6 (D)“Nnamutikkula omugugu okuva ku kibegabega kye;
n’emikono gye ne ngiwummuza okusitula ebisero.
7 (E)Mwankoowoola nga muli mu nnaku ne mbadduukirira ne mbawonya,
nabaanukulira mu kubwatuka mu kire;
ne mbagezesa ku mazzi ag’e Meriba.
8 (F)Muwulire, mmwe abantu bange, nga mbalabula.
Singa onompuliriza, ggwe Isirayiri!
9 (G)Temubeeranga na katonda mulala,
wadde okuvuunamira katonda omulala yenna.
10 (H)Nze Mukama Katonda wo,
eyakuggya mu nsi y’e Misiri.
Yasamya akamwa ko, nange nnaakajjuza.
11 (I)“Naye abantu bange tebampuliriza;
Isirayiri teyaŋŋondera.
12 (J)Nange ne mbawaayo eri obujeemu bw’omutima gwabwe,
okugoberera ebyo bye baagala.
13 (K)“Singa abantu bange bampuliriza;
singa Isirayiri agondera ebiragiro byange,
14 (L)mangwago nandirwanyisizza abalabe baabwe,
ne mbawangula.
15 Abo abakyawa Mukama ne beegonza gy’ali;
ekibonerezo kyabwe kya mirembe gyonna.
16 (M)Naye ggwe, Isirayiri, nandikuliisizza eŋŋaano esingira ddala obulungi,
ne nkukkusa omubisi gw’enjuki nga guva mu lwazi.”
Zabbuli ya Asafu.
82 (N)Katonda akubiriza olukiiko lwe olukulu olw’omu ggulu,
ng’alamula bakatonda.
2 (O)Mulituusa ddi okusala emisango n’obukuusa,
nga musalira abanafu?
3 (P)Abanafu n’abatalina bakitaabwe mubalamulenga mu bwenkanya;
abaavu n’abanyigirizibwa mubayambenga mu bwenkanya.
4 Mulwanirire abatalina maanyi n’abali mu kwetaaga, mubawonye;
mubanunule nga mubaggya mu mikono gy’ababi.
5 (Q)Tebalina kye bamanyi, era tebategeera.
Batambulira mu kizikiza;
emisingi gy’ensi gyonna ginyeenyezebwa.
6 (R)Njogedde nti, Muli bakatonda,
era mwenna muli baana b’oyo Ali Waggulu Ennyo.
7 (S)“Naye mugenda kufa ng’abantu obuntu;
muliggwaawo ng’abafuzi abalala bonna bwe baggwaawo.”
8 (T)Ogolokoke, Ayi Katonda, olamule ensi;
kubanga amawanga gonna gago.
Abantu Bayitibwa Okwenenya
12 (A)Mukama kyava agamba nti,
“Mukomeewo gye ndi n’omutima gwammwe gwonna.
Mukomeewo n’okusiiba n’okukaaba awamu n’okukungubaga.”
13 (B)Muyuze emitima gyammwe
so si byambalo byammwe.
Mudde eri Mukama Katonda wammwe,
kubanga ajjudde ekisa n’okusaasira,
era tasunguwala mangu; ajjudde okwagala okutaggwaawo;
n’abandisaanidde okubonerezebwa abasonyiwa.
14 (C)Ani amanyi obanga anaakyuka n’abasonyiwa,
n’abawa omukisa gwe
ne musobola n’okuwaayo eri Mukama Katonda wammwe
ekiweebwayo eky’emmere enkalu, n’ekiweebwayo eky’ekyokunywa?
15 (D)Mufuuyire ekkondeere mu Sayuuni,
mulangirire okusiiba okutukuvu.
Muyite olukuŋŋaana olussaamu Katonda ekitiibwa.
16 (E)Mukuŋŋaanye abantu bonna.
Mutukuze ekibiina ekyo ekikuŋŋaanye.
Muyite abakulu abakulembeze.
Muleete abaana abato
n’abo abakyali ku mabeere.
N’oyo eyakawasa aveeyo mu kisenge kye,
n’eyakafumbirwa naye aveeyo gy’ali.
17 (F)Bakabona abaweereza ba Mukama
bayimirire wakati w’ekisasi kya yeekaalu n’ekyoto,
bakaabirire Mukama nga bamusaba nti, “Saasira abantu bo, Ayi Mukama;
abantu b’obusika bwo tobaleka kugwa mu mikono gya bannamawanga okubafuga
era n’okubasekerera.
Bannamawanga baleme kuduula nga boogera nti,
‘Katonda waabwe ali ludda wa?’ ”
Mukama Asaasira Abantu Be
18 (G)Awo Mukama n’akwatirwa ensi ye ekisa,
n’asaasira abantu be.
19 (H)N’ayanukula abantu be nti,
“Muwulirize, nzija kubaweereza emmere enkalu, n’envinnyo, n’amafuta,
ebimala okubakkusiza ddala,
era siriddayo kubaleka, ne mufuuka ekivume,
bannaggwanga amalala ne babasekerera.
Eyeebagadde Embalaasi Enjeru
11 (A)Ne ndaba eggulu nga libikkuse era laba embalaasi enjeru ng’agyebagadde ayitibwa Omwesigwa era Ow’amazima, asala omusango mu butuukirivu era mulwanyi wa kitalo mu ntalo. 12 (B)Amaaso ge gaali ng’olulimi lw’omuliro ogwaka, era nga yeetikkidde engule nnyingi ku mutwe gwe, ng’alina erinnya eriwandiikiddwa, kyokka ye yekka nga y’alimanyi. 13 (C)Yali ayambadde ekyambalo ekyali kinnyikiddwa mu musaayi era ng’erinnya lye ye Kigambo wa Katonda. 14 (D)Ab’eggye ery’omu ggulu abaali bambadde engoye eza linena omulungi ennyo enjeru, nabo ne bamugoberera nga beebagadde embalaasi enjeru. 15 (E)Mu kamwa ke mwavaamu ekitala eky’obwogi eky’okutemesa amawanga. “Alibafuga n’omuggo ogw’ekyuma.” Alirinnya ku ssogolero ly’omwenge ogw’obusungu bwe, kye kiruyi kya Katonda Ayinzabyonna. 16 (F)Ku kyambalo kye ne ku kisambi kye kwali kuwandiikiddwako nti:
“Kabaka wa Bakabaka era Mukama wa bakama.”
17 (G)Awo ne ndaba malayika omu ng’ayimiridde mu njuba ng’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba ebinyonyi nti, “Mujje mukuŋŋaane ku kijjulo kya Katonda omukulu, 18 (H)mulye ennyama y’emirambo gya bakabaka, abakulu b’amaggye n’abasajja ab’amaanyi, n’egy’embalaasi n’egy’abo abazeebagala, era n’egy’abantu bonna abaddu n’ab’eddembe, abeekitiibwa n’abatali baakitiibwa.”
19 (I)Awo ne ndyoka ndaba ekisolo n’abafuzi ab’omu nsi n’amaggye gaabwe nga bakuŋŋaanye balwanyise oyo eyali yeebagadde embalaasi, awamu n’eggye lye. 20 (J)Ekisolo ne kiwambibwa awamu ne nnabbi ow’obulimba eyakolanga ebyamagero ng’ekisolo kiraba; bye yakola ng’alimbalimba abo abakkiriza akabonero k’ekisolo era abasinza ekifaananyi kyakyo. Awo ekisolo ne nnabbi ow’obulimba ne basuulibwa nga balamu, mu nnyanja ey’omuliro eyaka ne salufa. 21 (K)Abaasigalawo ne battibwa n’obwogi bw’ekitala ekyava mu kamwa k’oyo eyeebagadde embalaasi. Ennyonyi zonna ez’omu bbanga ne zirya ne zekkutira emirambo gyabwe.
Olugero lw’Endiga Eyabula
15 (A)Awo abasolooza b’omusolo n’abakozi b’ebibi ne bakuŋŋaanira eri Yesu okumuwuliriza. 2 (B)Naye Abafalisaayo n’abannyonnyozi b’amateeka ne beemulugunya nga bagamba nti Yesu akolagana n’abantu abalina ebibi, n’okulya n’alya nabo.
3 (C)Yesu n’alyoka abagerera olugero luno ng’agamba nti, 4 (D)“Singa omu ku mmwe abadde alina endiga kikumi, naye emu n’emubulako, taleka ziri ekyenda mu omwenda ku ttale n’agenda anoonya eri ebuze okutuusa Lw’agiraba? 5 Bw’agiraba, agisitula ku bibegabega bye n’agitwala eka ng’ajaguza. 6 (E)Bw’atuuka eka ayita mikwano gye ne baliraanwa be bajje ng’agamba nti, ‘Munsanyukireko kubanga endiga yange eyabadde ebuze, erabise.’ 7 (F)Mu ngeri y’emu, mbagamba nti mu ggulu eribaayo essanyu lingi nnyo olw’omwonoonyi omu eyeenenyezza okusinga ekyenda mu omwenda abatuukirivu abateetaaga kwenenya.”
Olugero lw’Ennoso Eyabula
8 “Oba mukazi ki alina ennoso ze kkumi, emu n’emubulako, atakoleeza ttaala n’anoonya mu buli kasonda konna ak’ennyumba, n’ayera n’ebuziizi yenna okutuusa lw’agiraba? 9 (G)Bw’agiraba, ayita mikwano gye ne baliraanwa be n’abagamba nti, ‘Munsanyukireko, ennoso yange eyabadde ebuze ngirabye.’ 10 (H)Mbategeeza nti mu ngeri y’emu omukozi w’ebibi omu bwe yeenenya, bamalayika ba Katonda bajjula essanyu.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.