Book of Common Prayer
Zabbuli n’Oluyimba. Okuwaayo Yeekaalu. Zabbuli ya Dawudi.
30 (A)Nnaakugulumizanga, Ayi Mukama,
kubanga wannyimusa;
n’otoganya balabe bange kunneeyagalirako.
2 (B)Ayi Mukama, nakukaabirira onnyambe,
n’omponya.
3 (C)Ayi Mukama, omwoyo gwange waguggya emagombe,
n’omponya ekinnya.
4 (D)Muyimbire Mukama nga mumutendereza, mmwe abatukuvu be;
mutendereze erinnya lye ettukuvu.
5 (E)Kubanga obusungu bwe bwa kiseera buseera,
naye obulungi bwe bwa mirembe gyonna.
Amaziga gayinza okubaawo ekiro kyokka
essanyu ne lijja nga bukedde.
6 Bwe namala okunywera
ne njogera nti, “Sigenda kusiguukululwa.”
7 (F)Ayi Mukama, bwe wanjagala,
wanyweza olusozi lwange;
naye bwe wankweka amaaso go
ne neeraliikirira.
8 Ggwe gwe nakoowoola, Ayi Mukama;
ne nkukaabirira Mukama, onsaasire.
9 (G)“Kingasa ki bwe nzika mu kinnya
ne nzikirira?
Enfuufu eneekutenderezanga
n’etegeeza abantu obwesigwa bwo?
10 Mpuliriza, Ayi Mukama, onsaasire;
Ayi Mukama, onnyambe.”
Zabbuli ya Dawudi.
32 (A)Alina omukisa oyo
asonyiyiddwa ebyonoono bye
ekibi ne kiggyibwawo.
2 (B)Alina omukisa omuntu oyo
Mukama gw’atakyabalira kibi kye,
ne mu mutima gwe nga temuli bukuusa.
3 (C)Bwe nasirikiranga ekibi kyange,
ne nkogga,
kubanga nasindanga olunaku lwonna.
4 (D)Wambonerezanga
emisana n’ekiro,
amaanyi ne ganzigwamu
ng’amazzi bwe gakalira mu kyeya.
5 (E)Awo ne nkwatulira ekibi kyange,
ne sibikkirira kwonoona kwange.
Ne njogera nti,
“Leka neenenyeze Mukama ebibi byange.”
Bw’otyo n’onsonyiwa,
n’onziggyako omusango gw’ebibi byange.
6 (F)Noolwekyo abaweereza bo bonna abeesigwa
bakwegayirire ng’okyalabika;
oluvannyuma ebizibu bwe birijja,
ng’amazzi ag’amaanyi amangi tebiribatuukako.
7 (G)Oli kifo kyange mwe nneekweka,
ononkuumanga ne situukwako kabi
era ononneetooloozanga ennyimba ez’obulokozi.
8 (H)Nnaakulagiranga era ne nkuyigiriza ekkubo mw’onootambuliranga;
nnaakuwanga amagezi nga bwe nkulabirira.
9 (I)Temubeeranga ng’embalaasi
oba ennyumbu ezitategeera,
ze bateekwa okussa ekyuma mu kamwa ekisibwa ku lukoba,
ziryoke zifugibwe zijje gy’oli.
10 (J)Ababi balaba ennaku nnyingi;
naye abeesiga Mukama bakuumirwa
mu kwagala kwe okutaggwaawo.
11 (K)Musanyukire mu Mukama era mujaguze mmwe abatuukirivu,
era muyimbire waggulu n’essanyu mmwe abalina omutima omulongoofu.
EKITABO II
Zabbuli 42–72
Ya Mukulu wa Bayimbi: Zabbuli ya Batabani ba Koola.
42 (A)Ng’empeewo bw’ewejjawejja olw’amazzi,
n’emmeeme yange bw’etyo bwe wejjawejja ku lulwo, Ayi Katonda.
2 (B)Emmeeme yange eyaayaanira Katonda, Katonda omulamu.
Ndigenda ddi ne nsisinkana Katonda?
3 (C)Nkaabirira Mukama
emisana n’ekiro.
Amaziga gange gabadde emmere yange emisana n’ekiro,
abantu ne baŋŋamba nti, “Katonda wo ali ludda wa?”
4 (D)Bino mbijjukira nga nfuka emmeeme yange
nga bwe nagendanga n’ekibiina ekinene,
ne nkulembera ennyiriri z’abantu empanvu,
nga tugenda mu nnyumba ya Katonda,
nga tuyimba mu ddoboozi ery’omwanguka
n’okwebaza mu kibiina ekijaguza.
5 (E)Lwaki oweddemu amaanyi ggwe emmeeme yange?
Lwaki otabusetabuse mu nda yange?
Essuubi lyo liteeke mu Katonda,
kubanga natenderezanga omulokozi wange era Katonda wange;
ye mubeezi wange.
6 Ayi Katonda wange, emmeeme yange yennyise,
yeeraliikiridde;
naye nkujjukira olw’ebyo bye wakola mu nsi ya Yoludaani
ne ku nsozi engulumivu eza Kalumooni[a] ne ku Lusozi Mizali.
7 (F)Obuziba bukoowoola obuziba,
olw’okuwuluguma kw’ebiyiriro
amayengo n’amasingisira go
bimpiseeko.
8 (G)Mukama alaga okwagala kwe emisana n’ekiro
ne muyimbira oluyimba lwe;
y’essaala eri Katonda w’obulamu bwange.
9 (H)Ŋŋamba Katonda, olwazi lwange nti,
“Lwaki onneerabidde?
Lwaki ŋŋenda nkungubaga
olw’okujoogebwa abalabe bange?”
10 Mbonyaabonyezebwa ng’abalabe bange
bancocca,
nga bwe bagamba buli kiseera nti,
“Katonda wo ali ludda wa?”
11 (I)Lwaki wennyise Ayi ggwe emmeeme yange?
Lwaki otabusetabuse mu nda yange?
Weesigenga Katonda,
kubanga nnaamutenderezanga,
Omulokozi wange era ye Katonda wange.
43 (J)Ayi Katonda, onnejjeereze
omponye eggwanga eritatya Katonda
ondokole mu mikono gy’abantu abalimba, abakola ebibi.
2 (K)Ddala ddala ggwe Katonda, ekigo kyange eky’amaanyi.
Lwaki ondese?
Lwaki ŋŋenda nkaaba
nga nnyigirizibwa omulabe?
3 (L)Kale tuma omusana gwo n’amazima
binnuŋŋamye;
bindeete ku lusozi lwo olutukuvu,
mu kifo mw’obeera.
4 (M)Ne ndyoka ndaga ku kyoto kya Katonda,
eri Katonda wange era essanyu lyange eritasingika.
Weewaawo nnaakutenderezanga n’ennanga,
Ayi Katonda, Katonda wange.
5 (N)Lwaki wennyise ggwe emmeeme yange?
Lwaki otabusetabuse munda yange?
Weesige Katonda; kubanga nnaamutenderezanga,
Omulokozi wange era Katonda wange.
Malayika n’Omuzingo gw’Ekitabo Omutono
10 (A)Ne ndaba malayika omulala ow’amaanyi ng’akka okuva mu ggulu nga yeetooloddwa ekire, ng’ayambadde musoke ku mutwe gwe; amaaso ge nga gaakaayakana ng’enjuba ate ebigere bye nga byaka ng’omuliro. 2 Yali alina mu ngalo ze omuzingo gw’ekitabo omutono ng’agwanjuluzza, n’ateeka ekigere kye ekya ddyo ku nnyanja ate ekya kkono n’akiteeka ku lukalu. 3 (B)N’aleekaana mu ddoboozi ery’omwanguka nga liri ng’okuwuluguma kw’empologoma. Ne wabaawo n’okubwatuka kwa mirundi musanvu olw’eddoboozi eryo. 4 (C)Ebibwatuka omusanvu bwe byayogera, nnali n’atera okuwandiika, ne mpulira eddoboozi eryava mu ggulu nga ligamba nti, “Teeka akabonero ku ebyo ebibwatuka omusanvu bye byogedde, so tobiwandiika.”
5 (D)Awo malayika gwe nalaba ng’ayimiridde ku nnyanja ne ku lukalu n’ayimusa omukono gwe ogwa ddyo eri eggulu, 6 (E)n’alayira Oyo omulamu abeerera emirembe gyonna, eyatonda eggulu n’ebintu byonna ebirimu, n’atonda n’ensi n’ebintu byonna ebigirimu, n’atonda n’ennyanja ne byonna ebigirimu, ng’agamba nti, “Tewaliba kulwa nate. 7 (F)Naye mu nnaku ez’eddoboozi lya malayika ow’omusanvu, bw’aliba anaatera okufuuwa ekkondeere, ekyama kya Katonda kiribikkulwa, nga bwe yabuulira abaddu be, bannabbi.”
8 (G)Eddoboozi lye nnawulira nga liva mu ggulu, ne liddamu ne liŋŋamba nti, “Twala omuzingo gw’ekitabo nga mubikkule okuva mu mukono gwa malayika ayimiridde ku nnyanja ne ku lukalu.”
9 (H)Ne ŋŋenda eri malayika ne mugamba ampe omuzingo gw’ekitabo ogwo omutono. N’aŋŋamba nti, “Gutwale ogulye; mu kamwa ko guliwoomerera ng’omubisi gw’enjuki, naye guligulumbya olubuto lwo.” 10 Ne nziggya omuzingo ogwo omutono mu mukono gwa malayika ne ngulya, ne gumpomera ng’omubisi gw’enjuki, naye bwe nagumira ne gugulumbya olubuto lwange. 11 (I)Ne baŋŋamba nti, “Kikugwanidde okuwa obunnabbi nate ku mawanga, n’ensi, n’ennimi ne bakabaka bangi.”
Yesu Ayigiriza Okusaba
11 (A)Awo olwatuuka Yesu ng’ali mu kifo ekimu ng’asaba, bwe yamaliriza, omu ku bayigirizwa be n’amugamba nti, “Mukama waffe, naawe tuyigirize okusaba nga Yokaana bwe yayigiriza abayigirizwa be.”
2 (B)N’abagamba nti, “Bwe mubanga musaba mugambanga nti,
“ ‘Kitaffe,[a]
Erinnya lyo litukuzibwe,
obwakabaka bwo bujje.
3 Otuwenga buli lunaku emmere yaffe ey’olunaku.
4 (C)Era otusonyiwe ebyonoono byaffe,
nga naffe bwe tusonyiwa abatukolako ebisobyo.
So totutwala mu kukemebwa.’ ”
5 Ate n’abagamba nti, “Singa omu ku mmwe alina mukwano gwe, n’ajja gy’ali ekiro mu ttumbi n’amugamba nti, ‘Mukwano gwange, nkusaba ompoleyo emigaati esatu, 6 kubanga nfunye omugenyi, mukwano gwange avudde lugendo, naye sirina kyakulya kya kumuwa.’ ”
7 “Oli ali munda mu nju bw’ayanukula nti, ‘Tonteganya. Twasibyewo dda, ffenna n’abaana bange twebisse. Noolwekyo siyinza kugolokoka kaakano ne mbaako kye nkuwa.’ 8 (D)Naye mbategeeza nti, Newaakubadde nga tagolokoka n’amuyamba nga mukwano gwe, naye, singa akonkona n’amwetayirira, alwaddaaki agolokoka n’amuwa by’amusabye.
9 (E)“Bwe ntyo mbagamba nti, musabe munaaweebwa, munoonye mulizuula, mukonkone era munaggulirwawo. 10 Kubanga buli asaba, aweebwa, n’oyo anoonya, azuula, era n’oyo akonkona aggulirwawo.
11 “Ani ku mmwe kitaawe w’omwana, omwana we ng’amusabye ekyennyanja, mu kifo ky’ekyennyanja n’amuwa omusota? 12 Oba ng’amusabye eggi n’amuwa enjaba? 13 Kale obanga mmwe ababi muwa abaana bammwe ebirungi, Kitammwe ali mu ggulu talisinga nnyo okubawa Mwoyo Mutukuvu abo abamusaba?”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.