Book of Common Prayer
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi gye yayimbira Mukama bwe yamuwonya abalabe be ne Sawulo.
18 Nkwagala Ayi Mukama kubanga ggwe maanyi gange.
2 (A)Mukama lwe lwazi lwange, ky’ekigo kyange ekigumu era ye mununuzi wange,
ye Katonda wange era lwe lwazi lwange mwe neekweka;
ye ngabo yange era ye mulokozi wange ow’amaanyi, era kye kigo kyange ekinywevu.
3 (B)Nkoowoola Mukama asaana okutenderezebwa,
era amponya eri abalabe bange.
4 (C)Emiguwa gy’okufa gyanneetooloola;
embuyaga ez’okusaanawo zansaanikira.
5 (D)Ebisiba eby’amagombe byanneetooloola;
n’emitego gy’okufa ne ginjolekera.
6 (E)Mu nnaku yange nakoowoola Mukama;
ne nkaabirira Katonda wange annyambe.
Yawulira eddoboozi lyange ng’ali mu yeekaalu ye;
omulanga gwange ne gutuuka mu matu ge.
7 (F)Emisingi gy’ensi ne gikankana ne giyuuguuma;
ensozi ne zinyeenyezebwa ne ziseeseetuka,
kubanga yali asunguwadde.
8 (G)Omukka ne gunyooka nga guva mu nnyindo ze.
Omuliro ne guva mu kamwa ke,
ne gukoleeza amanda ne gabuubuuka.
9 (H)Yayabuluza eggulu n’akka wansi;
ebire ebikutte nga biri wansi w’ebigere bye.
10 (I)Yeebagala kerubi n’abuuka,[a]
n’aseeyeeyeza ku biwaawaatiro by’empewo.
11 (J)Yafuula ekizikiza ekyamwetooloolanga
okuba enkuufiira ey’ebire ebijjudde amazzi.
12 (K)Okumasamasa okwali mu maaso ge ne kuva mu bire bye,
n’okumyansa kw’eggulu n’omuzira.
13 (L)Mukama yabwatuka ng’asinziira mu ggulu; oyo Ali Waggulu Ennyo yayogera;
mu kamwa ke ne muvaamu omuzira n’okumyansa kw’eggulu.
14 (M)Yalasa obusaale bwe n’asaasaanya abalabe;
n’okumyansa okw’eggulu n’abawangula.
15 (N)Ebiwonvu eby’omu nnyanja ne bibikkulwa
n’emisingi gy’ensi ne gyeyerula
olw’okunenya kwo Ayi Mukama
n’olw’okubwatuka kw’omukka ogw’omu nnyindo zo.
16 (O)Mukama yagolola omukono gwe ng’ali waggulu,
n’ankwata n’annyinyulula mu mazzi amangi.
17 (P)Yamponya abalabe bange ab’amaanyi,
abankyawa, abo abaali bansinza amaanyi.
18 (Q)Bannumba nga ndi mu buzibu,
naye Mukama n’annyamba.
19 (R)N’antwala mu kifo ekigazi n’amponya,
kubanga yansanyukira nnyo.
20 (S)Mukama ankoledde ng’obutuukirivu bwange bwe buli,
ansasudde ng’ebikolwa byange ebirungi bwe biri.
21 (T)Kubanga ntambulidde mu makubo ga Mukama,
ne sikola kibi eri Katonda wange.
22 (U)Ddala ddala amateeka ga Mukama gonna ngagondedde,
era ne siva ku biragiro bye.
23 Sisobyanga mu maaso ge
era nneekuuma obutayonoona.
24 (V)Noolwekyo, Mukama ansasudde ng’obutuukirivu bwange bwe buli,
era ng’ebikolwa byange ebirungi bwe biri by’alaba.
25 (W)Eri omwesigwa weeraga ng’oli mwesigwa,
n’eri atalina musango weeraga nga tolina musango.
26 (X)Eri abalongoofu weeraga ng’oli mulongoofu,
n’eri abakyamu weeraga ng’obasinza amagezi.
27 (Y)Owonya abawombeefu,
naye abeegulumiza obakkakkanya.
28 (Z)Okoleezezza ettaala yange;
Ayi Mukama Katonda wange, ekizikiza kyange okimulisizza.
29 (AA)Bwe mbeera naawe nsobola okulumba abalabe bange;
nga ndi ne Katonda wange nsobola okuwalampa bbugwe.
30 (AB)Katonda byonna by’akola bigolokofu;
Mukama ky’asuubiza akituukiriza;
era bwe buddukiro
bw’abo bonna abamwekwekamu.
31 (AC)Kale, ani Katonda, wabula Mukama?
Era ani Lwazi, wabula Katonda waffe?
32 (AD)Oyo ye Katonda ampa amaanyi era aluŋŋamya ekkubo lyange.
33 (AE)Ebigere byange abinyweza ng’eby’empeewo,
n’ansobozesa okuyimirira ku ntikko z’ensozi.
34 (AF)Anjigiriza okulwana entalo,
ne nsobola n’okuleega omutego ogw’obusaale ogw’ekikomo.
35 (AG)Ompadde obulokozi bwo okuba engabo yange;
era ompaniridde n’omukono gwo ogwa ddyo;
weetoowazizza n’ongulumiza.
36 Ongaziyirizza ekkubo ebigere byange we biyita,
obukongovvule bwange ne butanuuka.
37 (AH)Nagoba abalabe bange embiro,
ne mbakwata ne sidda mabega okutuusa nga mbazikirizza.
38 (AI)Nababetenta ne batasobola na kugolokoka,
ne mbalinnyako ebigere byange.
39 Ompadde amaanyi ag’okulwana;
abalabe bange ne banvuunamira.
40 (AJ)Okyusizza abalabe bange ne bankuba amabega ne badduka,
ne ndyoka nsanyaawo abo bonna abankyawa.
41 (AK)Baalaajana naye tewaali yabawonya;
ne bakaabirira Mukama, naye n’atabaddamu.
42 Ne mbamerengula ng’enfuufu empewo gy’efuumuula;
ne mbasammula eri ng’ebisooto by’omu luguudo.
43 (AL)Omponyezza obulumbaganyi bw’abantu;
n’onfuula omufuzi w’amawanga.
Abantu be nnali simanyi ne bafuuka abaweereza bange.
44 (AM)Olumpulira ne baŋŋondera,
bannamawanga ne bajugumira mu maaso gange.
45 (AN)Bannamawanga baggwaamu omutima
ne bava mu bigo byabwe nga bakankana.
46 (AO)Mukama mulamu! Atenderezebwe, Olwazi lwange;
era agulumizibwe Katonda w’obulokozi bwange.
47 (AP)Ye Katonda, asasula ku lwange abankola obubi
era akakkanya amawanga ne ngafuga.
Amponyeza abalabe bange.
48 (AQ)Ayi Mukama, ongulumizizza okusinga abalabe bange,
n’onkuuma abakambwe ne batankwatako.
49 (AR)Noolwekyo, Ayi Mukama, nnaakutenderezanga mu mawanga,
era nnaayimbanga nga ntendereza erinnya lyo.
50 (AS)Awa kabaka obuwanguzi obw’amaanyi,
amulaga ebyekisa emirembe gyonna oyo gwe yafukako amafuta,
eri Dawudi n’eri ezzadde lye.
Yona Agondera Mukama
3 (A)Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Yona omulundi ogwokubiri, n’amugamba nti, 2 “Genda mu kibuga ekinene Nineeve obalabule n’obubaka buno bwe nkuwa.”
3 Awo Yona n’agondera Mukama n’agenda e Nineeve. Nineeve kyali kibuga kya kitiibwa nnyo era nga kitwala ennaku ssatu okukibuna kyonna. 4 Ku lunaku olwasooka Yona yatambula olunaku lwonna ng’agenda alangirira nti, “Bwe waliyitawo ennaku amakumi ana, Nineeve kirizikirira.” 5 (B)Abantu b’omu Nineeve ne bakkiriza Katonda, ne balangirira okusiiba ne beesiba ebibukutu, bonna okuva ku asinga ekitiibwa okutuuka ku asembayo okuba owa wansi.
6 (C)Amawulire gano bwe gaatuuka ku kabaka w’e Nineeve, n’ayimuka ku ntebe ye ey’obwakabaka, ne yeeyambulamu ekyambalo kye, ne yeesiba ekibukutu, n’atuula mu nfuufu. 7 (D)Kabaka teyakoma awo, wabula n’ayisa n’etteeka n’alibunya Nineeve yonna nga ligamba nti,
Olw’ekiragiro kya kabaka n’abakungu be:
“Tewaba muntu yenna, wadde ensolo oba eggana n’ekisibo, okukomba ku mmere wadde amazzi; 8 (E)naye buli muntu n’ekisibo bibikkibwe n’ebibukutu, era bikaabirire nnyo Katonda, era birekeraawo okwonoona n’okukola eby’obukambwe. 9 (F)Ani amanyi? Oboolyawo Katonda anaakyusa ku kibonerezo kye, kye yatusalira n’akkakkanya obusungu bwe n’atatuzikiriza.”
10 (G)Awo Katonda bwe yalaba kye bakoze, ne baleka n’ebibi byabwe, n’abasonyiwa n’atabatuusaako kibonerezo, kye yali agambye okubatuusaako.
Obusungu bwa Yona n’Ekisa Kya Katonda
4 (H)Naye Yona n’anyiiga nnyo. 2 (I)N’alyoka yeemulugunyiza Katonda n’amugamba nti, “Kino ddala kye nalowooza, Mukama, bwe nnali mu nsi ye waffe, lwe wasooka okuŋŋamba okujja eno. Kye kyanzirusa n’okunzirusa okugenda e Talusiisi; kubanga namanya nti ggwe oli Katonda ajjudde obulungi, alwawo okusunguwala, alina ekisa ekingi, era namanya nti ojja kwanguwa okukyusa entegeka zo ez’okuzikiriza abantu bano. 3 (J)Kale nno nkwegayiridde Mukama nzita; okufa kisinga okuba omulamu.”
4 (K)Awo Mukama n’agamba nti, “Olina ekituufu kw’osinziira okunyiiga?”
5 Awo Yona n’afuluma ebweru w’ekibuga n’abeera ku luuyi lwakyo olw’ebuvanjuba, era ne yeekolerawo akasiisira mu makoola, n’alinda alabe ekinatuuka ku kibuga. 6 Ebikoola by’akasiisira bwe by’awotoka olw’omusana, Mukama Katonda n’ategeka ekiryo ne kimera mangu amakoola gaakyo ne gabikka ku mutwe gwa Yona ne gakendeeza ku musana. Yona n’asanyuka nnyo olw’ekiryo. 7 (L)Naye ate enkeera Katonda n’aleeta ekiwuka, ne kirya ekiryo ne kikala ne kifa. 8 Ng’enjuba yeewanise, Katonda n’alyoka alagira embuyaga ey’Ebuvanjuba ey’olubugumu okufuuwa Yona, omusana ne gumwokya nnyo mu mutwe okutuusa lwe yazirika. N’ayagala afe. N’ayogera nti, “Okufa kusinga okuba omulamu.”
9 Mukama n’alyoka amubuuza nti, “Olina ekituufu kw’osinziira okunyiiga olw’ekiryo ekikaze ne kifa?”
Yona n’addamu nti, “Yee, kituufu nze okunyiiga ennyo n’okwegomba okufa.”
10 Mukama n’amugamba nti, “Osaalirwa olw’ekibikka kyo ekyonoonese songa si ggwe wakimeza, ate nga kyo kyali kya kiseera buseera. 11 (M)Kale lwaki nange sandisaasidde Nineeve, ekibuga ekyo ekinene n’abantu baamu emitwalo ekkumi n’ebiri n’okusingawo, n’ente zaakyo ennyingi bwe zityo, abantu abatasobola kwawula kirungi na kibi?”
Ekyombo Kisaanawo
27 Mu kiro eky’ekkumi n’ebina embuyaga bwe yali etuwuuba eno n’eri mu Nnyanja Aduliya, mu ttumbi abalunnyanja ne bateebereza nti olukalu luli kumpi. 28 Ne bapima ne balaba ng’obuwanvu bw’amazzi okukka wansi buli mita amakumi asatu mu musanvu. Bwe waayitawo akabanga ate ne bapima ne basanga nga mita amakumi abiri mu musanvu. 29 Bwe baatya okutomera enjazi ku lubalama ne basuula ennanga nnya emabega, ne basabirira obudde okukya. 30 (A)Abamu ku balunnyanja ne bateesa okwabulira ekyombo ne bassa akaato akeyambisibwa mu kabenje, nga beefuula ng’abagenda okusuula ennanga mu maaso g’ekyombo. 31 (B)Naye Pawulo n’agamba omukulu w’ekitongole n’abaserikale be nti, “Mwenna temujja kuwona okuggyako ng’abasajja bano basigala ku kyombo.” 32 Awo abaserikale ne basala emiguwa egyali gikutte akato, ne bakaleka ne kagwayo.
33 Awo obudde bwali bunaatera okukya, Pawulo ne yeegayirira buli muntu alye ku mmere, ng’abagamba nti, “Leero lunaku lwa kkumi na nnya nga mulindirira nga temulidde, ate era mukyeyongera obutalya. 34 (C)Noolwekyo mubeeko ke mulya, kubanga ekyo kye kijja okubalokola so tewaabe n’omu ku mmwe anaavibwako luviiri lwe ku mutwe gwe.” 35 (D)Awo Pawulo bwe yamala okwogera ebyo, n’addira omugaati, ne yeebaza Katonda mu maaso gaabwe bonna, n’amenya omugaati n’alya. 36 (E)Amangwago buli omu n’atandika okulya ku mmere. 37 Abaali ku kyombo bonna awamu baali ebikumi bibiri mu nsanvu mu mukaaga. 38 (F)Bonna bwe baamala okulya nga bakkuse, ne basuula eŋŋaano mu nnyanja okwongera okuwewula ku kyombo.
39 (G)Awo obudde bwe bwakya ne batalaba lukalu naye ne balengera ekikono ky’ennyanja nga kirina ekibangirizi eky’omusenyu ku lubalama, ne baagala bagobye okwo ekyombo. 40 (H)Ne bakutula ennanga, ne bazireka mu nnyanja, ne basumulula emiguwa egikwata enkasi ne bawanika ettanga ery’omu maaso g’ekyombo empewo eryoke ekitwale mu maaso, ne balyoka boolekera olukalu. 41 (I)Naye ekyombo ne kyeggunda mu musenyu engezi ebbiri we zaali zisisinkana, ekitundu eky’omu maaso ne kiwagamira mu musenyu nga tekinyeenya, eky’emabega ne kisigala wabweru waggulu, ng’amayengo ag’amaanyi gakikuba, era ne kitandika okumenyekamenyeka.
42 Abaserikale ne bateesa batte abasibe bonna, si kulwa nga bawuga ne batuuka ku lukalu ne babomba. 43 (J)Naye olwokubanga Yuliyo yayagala okuwonya Pawulo, amagezi ago n’agagaana. Awo n’alagira buli muntu asobola okuwuga awuge alage ku lukalu, 44 (K)n’abo abatasobola kuwuga bagezeeko okweyambisa ebitundutundu by’embaawo ebyali bimenyese ku kyombo. Awo buli muntu n’atuuka bulungi ku lukalu nga taliiko kamogo.
Peetero Ayatula nti Yesu ye Kristo
18 (A)Lwali lumu Yesu bwe yali ng’asaba yekka kyokka nga n’abayigirizwa be bali awo, n’ababuuza nti, “Ebibiina bimpita ani?” 19 (B)Ne baddamu nti, “Abamu bagamba nti Yokaana Omubatiza, abalala nti Eriya, ate nga waliwo abagamba nti omu ku bannabbi ab’edda y’azuukidde.”
20 (C)Yesu kwe kubabuuza nti, “Naye mmwe mumpita ani?”
Peetero n’addamu nti, “Ggwe Kristo wa Katonda.”
21 (D)Awo Yesu n’abakuutira, ng’abalagira obutakitegeezaako muntu yenna, 22 (E)n’abategeeza nti, “Kigwanidde, Omwana w’Omuntu, okubonaabona ennyo, n’okugaanibwa abakulembeze b’Abayudaaya, ne bakabona abakulu, n’abannyonnyozi b’amateeka, n’okuttibwa, naye ku lunaku olwokusatu okuzuukizibwa!”
23 (F)Era bonna n’abagamba nti, “Omuntu yenna ayagala okungoberera asaana yeefiirize yekka yeetikke omusaalaba gwe buli lunaku, angoberere! 24 (G)Kubanga buli ayagala okulokola obulamu bwe, alibufiirwa. Na buli alifiirwa obulamu bwe ku lwange alibulokola. 25 Kubanga omuntu kirimugasa ki okulya ensi yonna, naye n’afiirwa obulamu bwe? 26 (H)Buli alinkwatirwa ensonyi, nze n’ebigambo byange, n’Omwana w’Omuntu, alimukwatirwa ensonyi, bw’alijja mu kitiibwa kye ne mu kya Kitaawe ne mu kya bamalayika abatukuvu.
27 “Naye ddala ddala mbagamba nti abamu ku abo abayimiridde wano waliwo abatalirega ku kufa okutuusa nga bamaze okulaba obwakabaka bwa Katonda.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.